1 Abasessaloniika  

Essuula 1

1 Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika eri mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe.
2 Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe;
3 nga tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lya Mukama waffe Yesu Kristo, mu maaso ga Katonda era Kitaffe;
4 nga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, okulondebwa kwammwe,
5 kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.
6 Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, bwe mwatoolera ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu ery'Omwoyo Omutukuvu;
7 mmwe n'okuba ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya.
8 Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ae tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera.
9 Kubanga bo bokka babuulira ebyaffe okuyingira kwaffe gye muli bwe kwali; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima,
10 n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yaiuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Kubanga mmwe mwekka, ab'oluganda, mumanyi ng'okuyingira kwaffe gye muli tekwali kwa bwereere:
2 naye bwe twamala okubonaabona n'okugirirwa ekyejo mu Firipi, nga bwe mumanyi, ne tugumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi.
3 Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so si mu bukuusa:
4 naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ag'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe.
5 Kubanga tetubeeranga na kigambo eky'okwegonza, nga bwe mumanyi, newakubadde n'ensonga ey'okukisa okwegomba, Katonda ye mujulirwa;
6 newakubadde nga tunoonya ekitiibwa eri abantu, newakubadde eri mmwe,
7 Naye twali bawombeefu mu mmwe, ng'omulezi bw'ajjanjaba abaana be ye:
8 bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.
9 Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana: bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda.
10 Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kunenyezebwa eri mmwe abakkiriza:
11 nga bwe mumanyi ffe bwe twali eri buli muntu ku mmwe, nga kitaabwe bw'aba eri abaana be, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tutegeeza,
12 mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye n'ekitiibwa.
13 Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky'okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.
14 Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwagoberera ekkaaisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu: kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya;
15 abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era abaatugoba, so tebasiimibwa Katonda, era balabe ba bantu bonna;
16 nga batuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; okutuukiriza ebibi byabwe ennaku zonaa: naye obusungu bubatuuseeko obumalira ddala.
17 Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo:
18 kubanga twayagala okujja gye muli, nze Pawulo omulundi ogw'olubereberye era n'ogw'okubiri; Setaani n'atuziyiza.
19 Kubanga essuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey'okwenyumiriza? Bwe mutaba mmwe, mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe?
20 Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n'essanyu.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Kyetwava tusiima okulekebwa ennyuma fekka mu Asene, bwe tutaayinza kugumiikiriza nate;
2 ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubasanyusa olw'okukkiriza kwammwe;
3 omuntu yenna aleme okusagaasagana mu kubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo.
4 Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi.
5 Nange kyennava ntuma, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe; oba nga mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kubo okw'obwereere.
6 Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gye tuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe;
7 kyetwava tusanyusibwa, ab'oluganda, ku lwammwe mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna olw'okukkiriza kwammwe:
8 kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira mu Mukama waffe.
9 Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu tnaaso ga Katonda waffe;
10 emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gatnmwe, n'okutuukiriza ebitatuuka mu kukkiriza kwammwe?
11 Naye Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu agolole ekkubo lyaffe okujja gye muli:
12 nammwe Mukama waffe abongerengako abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka n'eri bonna, era nga naffe eri mmwe;
13 alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangako nate.
2 Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabalagira ku bwa Mukama waffe Yesu.
3 Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;
4 buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa,
5 si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda;
6 alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala.
7 Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu.
8 Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.
9 Naye okuwandiikirava ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga;
10 kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedotu yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;
11 era mwegombe oknkkakkananga, n'okukolanga ebyammwe mmwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira;
12 mulyoke mutambulirenga mu mpisa ennungi eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.
13 Naye tetwagala mmwe . obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
14 Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.
15 Kubanga ekyo kye tubabuulisa mu kigambo hya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.
16 Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katoada: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira:
17 naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
18 Kale musanyusagaaenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikitwa.
2 Kubanga mwekka mutnanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro, bwe lutyo.
3 Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.
4 Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi:
5 kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba ldro newakubadde ab'ekizikiza;
6 kale nno tulemeaga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira.
7 Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro.
8 Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.
9 Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,
10 eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye.
11 Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
12 Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira;
13 n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe.
14 Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyeaga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mu gumiikirizenga eri bonna.
15 Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.
16 Musanyukenga ennaku zonna;
17 musabenga obutayosa;
18 mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
19 Temuzikizanga Mwoyo;
20 temunyoomanga bunnabbi;
21 mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi;
22 mwewalenga buli ngeri ya bubi.
23 Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
24 Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.
25 Ab'oluganda, mutusabirenga.
26 Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu.
27 Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.
   

Next
Back