1 Bassekabaka  

Essuula 12

1 Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu akumufuula kabaka.
2 Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe Yakiwulira; (kubanga yali akyali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani, era Yerobowaamu n'atuula mu Misiri),
3 ne batuma ne bamuyita; awo Yerobowaamu n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti
4 Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tulikuweereza.
5 N'abagamba nti Mugende mumale ennaku ssatu nate, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda.
6 Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bano?
7 Ne bamugamba nti Bw'onooyagala okuba omuddu eri abantu bano leero n'oyagala okubaweereza n'obaddamu n'obagamba ebigambo ebirtmgi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.
8 Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge.
9 N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu abantu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?
10 Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11 Era nno kubanga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.
12 Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu.
13 Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, n'aleka okuteesa kw'abakadde kwe baamuwa;
14 n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangawula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.
15 Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta anyweeze ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.
16 Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nii Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri ne bagenda mu weema zaabwe.
17 Naye abaana ba Isiraeri abaabeera mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18 Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali omukulu w'omusolo; Isiraeri yenna ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye okuddukira mu Yerusaalemi.
19 Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.
20 Awo olwatuuka Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne batuma ne bamuyita okujja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: tewaali eyagoberera ennyumba ya Dawudi wabula ekika kya Yuda kyokka.
21 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda n'ekika kya Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani.
22 Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
23 Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n'ennyumba yonna eya Yuda ne Benyamini n'abantu bonna abalala nti
24 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
25 Awo Yerobowaamu n'azimba Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abeera omwo; n'ava omwo n'azimba Penueri.
26 Yerobowaamu n'ayogerera mu mutima gwe nti Kaakano obwakabaka bunadda eri ennyumba ya Dawudi:
27 abantu bano bwe banaayambukanga okuweerayo ssaddaaka mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, kale omutima gw'abantu bano gulikyukira nate mukama waabwe, Lekobowaamu kabaka wa Yuda; kale balinzita nze, ne baddayo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda.
28 Awo kabaka n'alyoka ateesa ebigambo, n'akola ennyana bbiri za zaabu: n'abagamba nti Kinaabalemanga okwambukanga e Yerusaalemi; laba bakatonda bo, ai Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.
29 Naateeka emu mu Beseri ne ginnaayo naagiteeka mu Ddaani.
30 N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kutianga abantu baagendanga okusinziza mu maaso g'emu nga bagenda e Ddaani.
31 N'azimba ennyumba ez'ebifo ebigulumivu, n'assaawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi.
32 Era Yerobowaamu n'assaawo embaga mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano okufaanana embaga eri mu Yuda, n'alinnya eri ekyoto; bw'atyo bwe yakolera mu Beseri ng'awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola: n'ateeka mu Beseri bakabona b'ebifo ebigulumivu be yassaawo.
33 N'alinnya eri ekyoto kye yali azimbye mu Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'assaawo embaga eri abaana ba Isiraeri, n'alinnya eri ekyoto okwoteza obubaane.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Awo, laba, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okwoteza obunaane.
2 Awo n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ai ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya; era ku ggwe kw'aliweerayo bakabona b'ebifo ebigulumivu abootereza obubaane ku ggwe, era baliweerayo ku ggwe amagumba g'abantu.
3 N'awa akabonero ku lunaku olwo ng'ayogera nti Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: laba, ekyoto kiryatika n'evvu erikiriko liriyiika.
4 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate: N'omukono gwe gw'amugololedde ne gukala n'okuyinza n'atayinza kuguzza nate.
5 Ekyoto nakyo ne kyatika n'evvu ne liyiika okuva ku kyoto ng'akabonero bwe kaali omusajja wa Katonda ke yawa olw'ekigambo kya Mukama.
6 Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange gumponyezebwe nate: Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne gumuwonyezebwa nate ne gufuuka nga bwe gwali olubereberye.
7 Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tuddeyo nange eka oweereweere, nange naakuwa empeera.
8 Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekitundu ky'ennyumba yo, siyingire wamu naawe so siiriire mmere so sinywere mazzi mu kifo kino:
9 kubanga bwe nkuutiddwa bwe ntyo n'ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Tolya mmere so tonywa mazzi so toddayo mu kkubo ly'ofulumyemu.
10 Awo n'addayo mu kkubo eddala, n'ataddayo mu kkubo ly'afulumyemu ng'ajja e Beseri.
11 Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri; omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira ebikolwa byonna omusajja wa Katonda bye yali akoledde mu Beseri ku lunaku olwo: ebigambo by'agambye kabaka nabyo ne babibuulira kitaabwe.
12 Kitaabwe n'abagamba nti Kkubo ki mw'afulumidde? Awo batabani be nga balabye ekkubo ly'afulumiddemu omusajja wa Katonda eyava mu Yuda.
13 N'agamba batabani be nti Munteekere amatanduko ku ndogoyi. Awo ne bamuteekera amatandiiko ku ndogoyi: n'agyebagala.
14 N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amugamba nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'ayogera nti Nze nzuuyo.
15 Awo n'amugamba nti Tuddeyo nange eka tulye ku mmere.
16 N'ayogera nti Siyinza kuddayo naawe newakubadde okuyingira naawe: so siiriire mmere so sinywere mazzi wamu naawe mu kifo kino:
17 kubanga nabuulirwa n'ekigambo kya Mukama nti Tolya ku mmere so tonywerayo mazzi so tokyuka nate okudda mu kkubo mw'ofulumidde.
18 Awo n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika annambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba.
19 Awo n'addayo naye n'aliira ku mmere mu nnyumba ye n'anywa amazzi.
20 Awo olwatuuka nga batudde ku mmeeza ekigambo kya Mukama ne kimujjira nnabbi amukomezzaawo:
21 n'ayogerera waggulu eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga ogaanyi okuwulira akamwa ka Mukama so tokutte kiragiro Mukama Katonda wo ky'akulagidde,
22 naye n'okomawo, era oliiridde ku mmere n'onywera amazzi mu kifo ky'akugambyeko nti Toliirayo ku mmere so tonywa mazzi: omulambo gwo tegulituuka mu ntaana ya bajjajjaabo.
23 Awo olwatuuka bwe yamala okulya ku mmere era ng'anywedde n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ng'amuteekera nnabbi gw'akomezzaawo.
24 Awo ng'agenze empologoma n'emusanga mu kkubo n'emutta: omulambo gwe ne gusuulibwa mu kkubo, endogoyi n'eyimirira kumpi nagwo; era n'empologoma n'eyimirira kumpi n'omulambo.
25 Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bajja ne bakibuulira mu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga.
26 Awo nnabbi amukomezzaawo mu kkubo bwe yakiwulira, n'ayogera nti Ye musajja wa Katonda ataagondedde kamwa ka Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ky'amugambye.
27 Awo n'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Ne bagiteekako amatandiiko.
28 N'agenda n'asanga omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kkubo n'endogoyi n'empologoma nga ziyimiridde kumpi n'omulambo: empologoma nga teridde mulambo so nga tetaagudde ndogoyi.
29 Nnabbi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo: nnabbi omukadde n'akomawo mu kibuga okukungubaga n'okumuziika.
30 N'ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye; ne bamukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange!
31 Awo olwatuuka g'amaze okumuziika n'agamba batabani be nti Bwe ndimala okufa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw'aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n'amagumba ge.
32 Kubanga ekigambo kye yayogerera waggulu olw'ekigambo kya Mukama ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebirimu bibuga eby'e Samaliya telurirema kutuukirira.
33 Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga wabeerewo bakabona b'ebifo ebigulumivu.
34 N'ekigambo ekyo ne kifuuka ekibi eri ennyumba ya Yerobowaamu okugimalawo n'okugizikiriza okuva ku nsi yonna.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n'alwala.
2 Yerobowaamu n'agamba mukazi we nti Golokoka, nkwegayiridde weefuule oleme okumanyibwa nga ggwe mukazi wa Yerobowaamu: ogende e Siiro; laba, Akiya nnabbi ali eyo eyanjogerako nga ndiba kabaka w'abantu bano.
3 Era twala wamu naawe emigaati kkumi n'egy'empewere n'ensumbi ey'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali: ye alikubuulira omwana bw'aliba.
4 Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'agolokoka n'agenda e Siiro n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Era. Akiya teyayinza kulaba; kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde bwe.
5 Awo Mukama n'agamba Akiya nti Laba, muka Yerobowaamu ajja okukubuuza ebya mutabani we; kubanga alwadde: bw'oti bw'oti bw'onoomugamba: kubanga olunaatuuka bw'anaayingira, aneefuula okuba omukazi omulala.
6 Awo olwatuuka Akiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bye ng'ayingira mu luggi, n'ayogera nti Yingira, ggwe muka Yerobowaamu; lwaki okwefuula. okuba omulala? kubanga ntumiddwa gy'oli n'ebigambo ebizito.
7 Genda obuulire Yerobowaamu nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri,
8 ne njuza mu bwakabaka nga mbuggya ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa ggwe: era naye tobadde ng'omuddu wange Dawudi eyakwatanga ebiragiro byange era eyangoberera n'omuuima gwe gwonna okukola ekyo kyokka ekyali mu maaso gange ekirungi;
9 naye okoze ekibi okusinga bonna abaakusooka n'ogenda ne weekolera bakatonda abalala n'ebifaananyi ebisaanuuse okunsunguwaza, n'onsuula ennyuma w'amabega go:
10 kale, laba, kyendiva ndeeta ekibi ku nnyumba ya Yerobowaamu era ndimalawo buli mwana ow'obulenzi eri Yerobowaamu, asibiddwa era n'atasibiddwa mu Isiraeri, era ndyerera ddala ennyumba ya Yerobowaamu ng'omuntu bw'ayera obusa n'okuggwaawo ne buggwaawo bwonna.
11 Owa Yerobowaamu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga: kubanga Mukama akyogedde.
12 Kale golokoka ogende mu nnyumba yo: ebigere byo bwe binaayingira mu kibuga, omwana anaafa.
13 Kale Isiraeri yenna balimukungubagira ne bamuziika; kubanga ku ba Yerobowaamu oyo yekka ye alituuka mu ntaana: kubanga mu ye mulabise ekigambo ekirungi eri Mukama Katonda wa Isiraeri mu nnyumba ya Yerobowaamu.
14 Era nate Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isiraeri alimalawo ennyumba ya Yerobowaamu ku lunaku olwo: naye njogedde nrya? kaakano kati.
15 Kubanga Mukama alikuba Isiraeri ng'ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi; era alisimbula Isiraeri okubaggya mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, era alibasaasaanyiza emitala w'Omugga; kubanga bakoze Baaseri baabwe, nga basunguwaza Mukama.
16 Era aliwaayo Isiraeri olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri.
17 Awo muka Yerobowaamu n'agolokoka n'agenda n'ajja e Tiruza: awo bwe yali ng'ajja ku mulyango gw'ennyumba, omwana n'afa.
18 Isiraeri yenna ne bamuziika ne bamukungubagira; ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gw'o muddu we Akiya nnabbi.
19 N'ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu bwe yalwana era bwo yafuga, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
20 N'ennaku Yerobowaamu ze yafugira yaali emyaka abiri mu ebiri: ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Nadabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
21 Awo Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n'afuga mu Yuda. Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka ana mu gumu bwe yalya obwakabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Viulcama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n'erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.
22 Yuda n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; ne bamukwasa ebuggya olw'ebibi byabwe bye baakola okusinga byonna bajjajjaabwe bye baakola.
23 Kubanga beezimbira nabo ebifo ebigulumivu nabo n'empagi ne Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi;
24 era waaliwo n'abaalyanga ebisiyaga mu nsi: ne bakola ng'eby'emizizo byonna bwe byali eby'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
25 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka We Misiri n'ayambuka okulumba Yerusaalemi:
26 n'aggyayo eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka; yatwalira ddala byonna: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
27 Awo kabaka Lekobowaamu n'akola engabo za bikomo okudda mu kifo kyazo, n'aziteresa mu mikono gy'abakulu b'ambabowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.
28 Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bazambalanga ne bazizza mu nju ey'abambowa.
29 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Lekobowaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
30 Era waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna.
31 Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajiajjaabe mu kibuga kya Dawudi: ne nnyina erinnya lye lyali Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yerobowaamu kabaka mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atanula okufuga Yuda.
2 Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
3 atambulira mu bibi byonna ebya kitaawe bye yakola okumusooka: n'omutima gwe tegwatuukirira eri Mukama Katonda we ng'omutima gwa Dawudi kitaawe.
4 Era naye ku lwa Dawudi Mukama Katonda we n'amuwa ettabaaza mu Yerusaalemi okuyimusa mutabani we oluvannyuma lwe n'okunyweza Yerusaalemi:
5 kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe wabula mu kigambo kya Uliya Omukiiti.
6 Awo waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna ez'obulamu bwe.
7 N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8 Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye.
9 Awo mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atanula okufuga Yuda.
10 N'afugira emyaka ana mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya. lye. Lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
11 Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
12 N'agoba abaalyanga ebisiyaga mu nsi, n'aggyawo ebifaananyi byonna bajjajjaabe bye baakola.
13 Era ne Maaka nnyina n'amugoba mu bwa nnamasole kubanga yali akoze ekifaananyi eky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akyokera ku kagga Kiduloni.
14 Naye ebifo ebigulumiw tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna.
15 N'ayingiza mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yenayini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.
16 Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna.
17 Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama, obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
18 Awo Asa n'addira effeeza yonna n'ezaabu eyali esigadde mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa mu mikono gy'abaddu be: kabaka Asa n'abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka We Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
19 Waliwo endagaano eri nze naawe, eii kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ekirabo kya ffeeza n'ezaabu; genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
20 Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'akuba Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ensi yonna eya Nafutaali.
21 Awo olwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'abeeranga e Tiruza.
22 Awo kabaka Asa n'alangira Yuda yenna; tewali eyaggibwako; ne baggyawo amayinja ag'e Laama, n'emiti gyakyo, Baasa bye yazimbya; kabaka Asa n'abizimbisa Geba ekya Benyamini ne Mizupa.
23 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n’alwala ebigere.
24 Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25 Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atanula okufuga Isiraeri mu mwaka ogw'okubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
26 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri.
27 Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'amwekobaana; Baasa n'amukubira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti; kubanga Nadabu ne Isiraeri yenna baali bazingizizza Gibbesoni.
28 Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mwe yamuttira, n'afuga mu kifo kye.
29 Awo olwatuuka amangu ago bwe yalya obwakabaka, n'atta ennyumba yonna eya Yerobowaamu; teyamulekera Yerobowaamu n'omu eyassa omukka okutuusa lwe yamuzikiriza; ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya Omusiiro:
30 olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri; olw'okusunguwaza kwe kwe yasunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri.
31 Era ebikolwa ebirala byoana ebya Nadabu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
32 Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna.
33 Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka amakumi abiri mu ena.
34 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kweyayonoonyesa Isiraeri.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira Yeeku mutabani wa Kanani ku Baasa nga kyogera
2 Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n’oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe;
3 laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
4 Owa Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyoni ez'omu bbanga zinaamulyanga.
5 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
6 Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye.
7 Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja ku Baasa mu mukono gwa nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'omulimu gw'emikono gye ng'afaanana ennyumba ya Yerobowaamu era kubanga yamukuba.
8 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu mukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda Era mutabani wa Baasa n'atanula okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri.
9 Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amwekobaana: era yali ali e Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali saabakaaki mu Tiruza:
10 Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga mu kifo kye.
11 Awo olwatuuka bwe yatanula okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, awo n'atta ennyumba yonna eya Baasa: teyamusigaliza mwana wa bulenzi, newakubadde ku nda ze newakubadde ku mikwano gye.
12 Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa mu Yeeku nnabbi,
13 olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, okusunguwaza Mukama Katonda wa. Isiraeri n'ebirerya byabwe.
14 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
15 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu milsanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Era abantu baali basiisidde okulwana ne Gibbesoni eky'Abafirisuuti.
16 Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nga boogera nti Zimula yeekobaanye era asse kabaka: Isiraeri yenna kyebaava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri ku lunaku olwo mu lusiisira.
17 Omuli n'ayambuka ng'ava e Gibbesoni ne Isiraeri yenna wamu naye, ne bazingiza Tiruza.
18 Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, ne yeeyokerera n'omuliro mu nnyumba ya kabaka n'afa,
19 olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri.
20 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
21 Awo abantu ba Isiraeri ne baawulibwamu ebibiina bibiri: ekitundu ky'abantu nga bagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi okumufuula kabaka; n'ekitundu nga bagoberera Omuli.
22 Naye abantu abaagoberera Omuli ne basinga abantu abaagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka.
23 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu gumu ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atanula okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri: yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.
24 N'agula olusozi Samaliya eri Semeri ne talanta bbiri za ffeeza; n'azimba ku lusozi n'atuuma ekibuga kye yazimba erinnya ng'erinnya bwe lyali erya Semeri nnyini lusozi Samaliya.
25 Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agira ekyejo okusinga bonna abaamusooka.
26 Kubanga yatambulira mu kkubo lyonna erya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ne mu bibi bye bye yayonoonyesa Isiraeri okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n’ebirerya byabwe.
27 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
28 Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29 Awo mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atanula okufuga Isiraeri: Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
30 Era Akabu mutabani wa Imuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka.
31 Awo olwatuuka, ng'akiyita kigambo kitono okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'awasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali n'amusinza.
32 Era yasimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya.
33 Akabu n'akola Baaseri; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaa musooka.
34 Ku mirembe gye Kyeri Omubeseri n'azimba Yeriko: yassaawo emisingi gyakyo n'okufiirwa Abiraamu omubereberye we, n'asimba enzigi zaakyo n'okufiirwa mutabani we omuto Segubi, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gwa Yoswa mutabani wa Nuni.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
1 Awo Eriya Omutisubi, eyali ku abo abaatuula e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, tewaabenga musulo newakubadde enkuba mu myaka gino, wabula ng'ekigambo kyange bwe kiri.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti
3 Va wano okyuke ogende ebuvanjuba weekweke awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani.
4 Awo olulituuka onoonyweranga mu kagga; era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.
5 Awo n'agenda n'akola ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali: kubanga yagenda n'abeera awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani.
6 Awo bannamunnoona ne bamuleeteranga emmere n'ennyama enkya, n'emmere n'ennyama akawungeezi; n'anywanga mu kagga.
7 Awo olwatuuka ddaaki akagga ne kakala olw'obutaba nkuba mu nsi.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti
9 Golokoka ogende e Zalefaasi ekya Sidoni, obeere eyo: laba, ndagidde omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga.
10 Awo n'agolokoka n'agenda e Zalefaasi: awo bwe yatuuka ku wankaaki w'ekibuga, laba, omukazi nnamwandu ng'ali eyo ng'alonda enku: n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, nkimira otuzzi mu kibya, nnywe.
11 Awo ng'agenda okugakima, n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, ndeetera akamere mu mukono gwo.
12 N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba, nsennya enku bbiri nnyingire neefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe.
13 Awo Eriya n'amugamba nti Totya; genda okole nga bw'oyogedde: naye sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n'omwana wo.
14 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.
15 Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi naye n'ennyumba ye ne baliira ennaku nnyingi.
16 Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
17 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo omwana w'omukazi oyo nnyini nnyumba n'alwala; n'endwadde ye n'enyiikira bw'eti n'atabaamu nate na mukka.
18 Awo n'agamba Eriya nti Nfaayo ki eri ggwe, ggwe omusajja wa Katonda? wajja gye ndi okunjijukiza ekibi kyange n'okutta omwana wange!
19 N'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye.
20 N'akaabira Mukama, n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we?
21 Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, z'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate.
22 Mukama n'awulira eddoboozi lya Eriya; obulamu bw'omwana ne bumuddamu nate, n'alama.
23 Awo Eriya n'addira omwana n'amuserengesa ng'amuggya mu kisenge n'amuleeta mu nnyumba n'amuwa nnyina: Eriya n'ayogera nti Laba, omwana wo mulamu.
24 Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano mmanyi ng'oli musajja wa Katonda, era ng'ekigambo kya Mukama mu kamwa ko ge mazima.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka ennaku nnyingi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogw'okusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.
2 Awo Eriya n'agenda okweraga eri Akabu. Era enjala ng'enyiikidde nnyo mu Samaliya.
3 Awo Akabu n'ayita Obadiya eyali saabakaaki. (Era Obadiya yarya nnyo Mukama:
4 kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi.)
5 Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda obune ensi eri enzizi zonna ez'amazzi n'eri obugga bwonna: mpozzi tuliraba omuddo netuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna.
6 Awo ne bagabana ensi bombi okugibuna: Akabu ng'akwata ekkubo lye ye, ne Obadiya ng'akwata ekkubo lye ye.
7 Awo Obadiya ng'ali mu kkubo, laba, Eriya n'amusanga: n'amumanya n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Ggwe wuuno, mukama wange Eriya?
8 N'amuddamu nti Nze nzuuno: genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano.
9 N'ayogera nti Nuyomwnye mu ki, n'oyagala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita?
10 Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, tewali ggwanga newakubadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya: awo bwe baayogeranga nti Tali wano, n'alayiza obwakabaka obwo n'eggwanga nga tebakulabye.
11 Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano.
12 Kale olulituuka nga kyenjije nkuveeko kale omwoyo gwa Mukama gunaakutwala gye simanyi; kale bwe ndituuka ne mbuulira Akabu n'atayinza kukulaba, alinzita: naye nze omuddu wo ntya Mukama okuva mu buto bwange.
13 Tekibuulirwanga mukama wange kye nnakola, Yezeberi bwe yatta banaabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku ataano ataano, ne mbaliisa emigaati n’amazzi?
14 Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya aliwano: kale ananzita.
15 Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gwe nnyimiririra mu maaso ge, siireme kweraga eri ye leero.
16 Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Akabu n'amubuulira: Akabu n'agenda okusisinkana Eriya.
17 Awo olwatuuka Akabu bwe yalaba Eriya Akabu n'amugamba nti Ggwe wuuno, ggwe ateganya Isiraeri?
18 N'addamu nti Nze sinnateganya Isiraeri; naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, n'ogoberera Babaali.
19 Kale nno tuma okuŋŋaanyize gye ndi Isiraeri yenna ku lusozi Kalumeeri ne bannabbi ba Baali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba Baaseti ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezeberi.
20 Awo Akabu n'atumira abaana ba Isiraeri bonaa n'akuŋŋaanyiza bannabbi ku lusozi Kalumeeri.
21 Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n’ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.
22 Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi ba Baali abasajja ebilcumi bins mu ataano.
23 Kale batuwe ente bbiri; beeroboze eate emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente ey'okubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi.
24 Kale mmwe mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, nange naakaabirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi.
25 Awo Eriya n'agamba bannabbi ba Baali nti Mweroboze ente emu okuba eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi.
26 Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne bakaabirira erinnya lya Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ai Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuuka awali ekyoto ekyakolebwa.
27 Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira n'ayogera nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afiuniitiriza oba akyamye oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase, kigwanidde okumuzuukusa.
28 Ne boogerera waggulu ne beesala n'obwambe n'amafumu ng'engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo.
29 Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balagula okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo.
30 Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa.
31 Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.
32 N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwa lwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo.
33 N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'ayogera nti mujjuze amapipa ana amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.
34 Awo n'ayogera nti Mukole bwe mutyo omutundi ogw'okubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okusatu.
35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto; n'ajjuza n'olusalosalo amazzi.
36 Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.
37 Mpulira, ai Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe, Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okuddayo.
38 Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali mu lusalosalo.
39 Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama amaaso gaabwe: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda.
40 Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi ba Baali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo.
41 Awo Eriya n'agamba Akabu nti Golokoka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw'enkuba nnyingi.
42 Awo Akabu n’agolokoka okulya n'okunywa. Eriya n'alinnya ku ntikko y'e Kalumeeri; n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
43 N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Genda nate emirundi musanvu.
44 Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu, n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.
45 Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda ebire n'embuyaga, ne waba enkuba nnyingi. Akabu n'alinnya mu ggaali n'agenda e Yezuleeri.
46 Omukono gwa Mukama ne guba ku Eriya; ne yeesiba ekimyu n'addukira mu maaso ga Akabu okutuusa awayingirirwa e Yezuleeri.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 Awo Akabu n'abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola era bwe yatta bannabbi bonna n'ekitala.
2 Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, bwe sirifuula obulamu bwo okuba ng'obulamu bw'omu ku bo enkya bwe buliba nga kampegaano.
3 Awo bwe yalaba ekyo n'agolokoka n'agenda olw'obulamu bwe, n'ajja e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we.
4 Naye ye yennyini n'atambula olugendo olw'olunaku lumu mu ddungu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ai Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.
5 N'agalamira ne yeebaka wansi w'omwoloola; kale, laba malayika n'amukomako, n'amugamba nti Golokoka olye.
6 N'atunula, kale, laba, omugaati nga guli awali omutwe gwe ogwokeddwa ku manda n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate.
7 Malayika wa Mukama n'ajja nate omulundi ogw'okubiri n'amukomako n'ayogera nti Golokoka olye; kubanga olugendo lukuyinze obunene.
8 N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro n'atuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.
9 N'atuukayo n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo; kale, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amugamba nti Okola ki wano, Eriya?
10 N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
11 N'ayogera nti Fuluma oyimirize ku lusozi mu maaso ga Mukama. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi:
12 awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa.
13 Awo olwatuuka Eriya bwe yaliwulira, ne yeebikka amaaso ge mu munagiro, n'afuluma n'ayimirira mu mulyango gw'empuku. Kale, laba, ne wamujjira eddoboozi, ne lyogera nti Okola ki wano, Eriya?
14 N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya burigi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo; basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala; nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
15 Awo Mukama n'amugamba nti Genda oddeyo mu kkubo lyo eri eddungu ery'e Ddamasiko: kale bw'olituuka ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli:
16 ne Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo.
17 Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga.
18 Era naye ndyesigaliza akasanvu mu Isiraeri amaviivi gonna agatafukaamiriranga Baali na buli kamwa akatamunywegeranga.
19 Awo n'avaayo n'asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng'alima ng'alina mu maaso ge emigogo gy'ente kkumi n'ebiri, ye ng'alina ogw'ekkumi n'ebiri: awo Eriya n'asomoka okugenda gy'ali n'amusuulako omunagiro gwe.
20 Awo n'aleka ente, n'adduka mbiro okugoberera Eriya, n'ayogera nti Nkwegayiridde, ka mmale okunywegera kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N'amugamba nti Ddayo; kubanga nkukoze ki?
21 N'addayo n'atamugoberera n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo n'ebintu eby'ente, n'agabira abantu ne balya. Awo n'agolokoka n'agoberera Eriya n'amuweereza.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna: ne waba wamu naye bakabaka amakumi asatu mu babiri n'embalassi n'amagaali: n'ayambuka n'azingiza Samaliya n'alwana nakyo.
2 N'atumira Akabu kabaka wa Isiraeri ababaka mu kibuga, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti
3 Effeeza yo n'ezaabu yo yange; ne bakazi bo nabo n'abaana bo, abasinga obulungi, baage.
4 Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Kiri ng'ekigambo kyo, mukama wange, ai kabaka; nze wuwo ne byonna bye nnina.
5 Awo ababaka ne bakomawo ne boogera nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti Okutuma nakutumira nga njogera nti Oliwaayo gye ndi efleeza yo n'ezaabu yo ne bakazi bo n'abaana bo;
6 naye ndikutumira abaddu bange enkya bwe buliba nga kampegaano, kale balikebera ennyumba yo n'ennyumba z'abaddu bo; awo olulituuka kyonna kyonna ekisanyusa amaaso go balikiteeka mu mukono gwabwe ne bakitwala.
7 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere, mbeegayiridde, mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne simumma.
8 Awo abakadde bonna n'abantu bonna ne bamugamba nti Towulira so tokkiriza.
9 Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino siyinza kukikola. Ababaka ne bagenda ne bamuddiza ebigambo.
10 Awo Benikadadi n'amutumira n'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, enfuufu ey'e Samaliya bw'eribuna abantu bonna abango berera okuba embatu.
11 Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba ebyakulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula.
12 Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, bwe yali ng'anywera, ye ne bakabaka abo, mu weema, n'agamba abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n’ekibuga.
13 Kale, laba, nnabbi n'asemberera Akabu kabaka wa Isiraeri, n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olabye ekibiina kino kyonna ekinene? laba, naakigabula mu mukono gwo leero; naawe onoomanyz nga nze Mukama.
14 Akabu n'ayogera nti Eri ani? N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Eri abalenzi ab'abakulu b'amasaza. Awo n'ayogera nti Ani anaasooka okulwana? N'addamu nti Ggwe.
15 Awo n'ayolesa abalenzi ab'abakulu b'amasaza, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri: awo oluvannyuma lwabwe n'ayolesa abantu bonna, abaana ba Isiraeri botma, ke kasanvu.
16 Awo ne batabaala mu ttuntu. Naye Benikadadi yali ng'ali mu weema ng'anywa omwenge ng'atamiira, ye ne bakabaka, bakabaka amakumi asatu mu babiri abaamubeera.
17 Awo abalenzi ab'abakulu b'amasaza be baasooka okutabaala; Benikadadi n'atuma, ne bamubuulira nu Waliwo abasaja abafulumye mu Samaliya.
18 N'ayogera nti Ne bwe baba bafulumidde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bafulumidde bulwa, mubawambe.
19 Awo abo ne bafuluma mu kibuga, abalenzi ab'abakulu b'amasaza, n'eggye eryabagoberera.
20 Ne batta buli muntu musajja we; Abasuuli ne badduka, Isiraeri ne babagoberera: Benikadadikabaka w'e Busuuli n'awonera ku mbalaasi wamu n'abeebagala embalaasi.
21 Awo kabaka wa Isiraeri n'afuluma n'akuba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli olutta lunene.
22 Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda oddemu amaanyi weetegereze olabe by'onookola: kubanga omwaka bwe gulidda kabaka w'e Busuuli alikutabaala.
23 Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda waabwe katonda wa ku nsozi; kyebaava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, kale tetulirema kubasinga bo amaanyi.
24 Era kola kino; ggyawo bakabaka buli muntu mu kifo kye, osseewo mu kifo kyabwe abaami:
25 era weebalire eggye erifaanana eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwanira nabo mu lusenyi, era tetulirema kubasinga amaanyi. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo.
26 Awo olwatuuka omwaka bwe gwadda Benikadadi n’ayolesa Abasuuli n'ayambuka n'agenda e Afeki okulwana ne Isiraeri.
27 Awo abaana ba Isiraeri ne bayolesebwa ne baweebwa entanda yaabwe, ne babatabaala: awo abaana ba Isiraeri ne basiisira okuboolekera nga bafaanana ebisibo bibiri ebitono eby'abaana b'embuzi: naye Abasuuli ne babuna ensi.
28 Awo omusajja wa Katonda n'asembera n'agamba kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, naye si katonda wa mu biwonvu; kyendiva ngabula mu mukono gwo ekibiina kino kyonna ekinene, nammwe mulimanya nga nze Mukama.
29 Awo ne basiisira nga basulaganako ne bamala etmaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne balumbagana; abaana ba Isiraeri ne batta ku Basuuli abasajja abatambula n'ebigere kasiriivu ku lunaku lumu.
30 Naye abalala ne baddukira e Afeki mu kibuga; awo bbugwe n'agwa ku basajja obukumi bubiri mu kasanvu abaasigalawo. Ne Benikadadi n'adduka n'atuuka mu kibuga mu kisenge eky'omunda.
31 Abaddu be ne bamugamba nti Laba nno, tuwulidde nga bakabaka b'ennyumba ya Isiraeri bakabaka ba kisa: tukwegayiridde, twambale ebibukutu mu biwato n'emigwa ku mitwe gyaffe, tufulume eri kabaka wa Isiraeri: mpozzi anaawonya obulamu bwo.
32 Awo ne beesiba ebibukutu mu biwato ne batikkira emigwa ku mitwe, ne bajja eri kabaka wa Isiraeri, ne boogera nti Omuddu wo Benikadadi ayogera nti Nkwegayiridde, mbeere omulamu. N'ayogera nti Akyali mulamu? ye muganda wange.
33 Awo abasajja ne balabirira nnyo ne banguwa okwetegereza oba nga bw'ayagala bw'atyo; ne boogera nti Muganda wo Benikadadi. Awo n'ayogera nti Mugende mumuleete. Awo Benikadadi n'afuluma n'ajja gy'ali; n'amulinnyisa mu ggaali.
34 Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo nze ndibizzaayo; era olyerimira enguudo mu Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta.
35 Awo omusajja omu ow'oku baana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita.
36 Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onooba nga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta.
37 Awo n'asanga omusajja omulala, n'ayogera nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'amufumita ng'amufumita ekiwundu.
38 Awo nnabbi n'agenda n'alindirira kabaka mu kkubo, ne yeefuula ng'abisse ekiremba kye ku maaso ge.
39 Awo kabaka bwe yali ayitawo, n'akaabirira kabaka: n'ayogera nti Omuddu wo yafuluma wakati mu lutalo; kale, laba, omusajja n'akyama n'andeetera omusajja n'ayogera nti Kuuma omusajja ono: okubula bw'aliba ng'abuze, kale obulamu bwo buliba mu kifo ky'obulamu bwe, oba oliriwa talanta ey'effeeza.
40 Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana eruuyi n'eruuyi, ng'agenze. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Era bwe gutyo bwe gunaaba omusango gwo; ggwe ogusaze ggwe kennyini.
41 Awo n'ayanguwa n'aggya ekiremba ku maaso ge; kabaka wa Isiraeri n'smutegeera nga wa ku bannabbi.
42 N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga wata omusajja ow'ekiwe gye ndi okuva mu mukono gwo, obulamu bwo kyebuliva bubeera mu kifo ky'obulamu bwe, n'abantu bo baliba mu kifo ky'abantu be.
43 Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'ajja e Samaliya.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nabosi Omuyezuleeri yalina olusuku olw'emizabbibu olwali mu Yezuleeri kumpi n'olubiri lya Akabu kabaka w'e Samaliya.
2 Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli.
3 Awo Nabosi n'agamba Akabu nti Mukama akiddize eri gye ndi nkuwe obusika bwa bajjajjange.
4 Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga ayogedde nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. N'agalamira ku kitanda kye n'akyusa amaaso ge n'atakkiriza kulya ku mmere.
5 Naye Yezeberi mukazi we n'ajja gy'ali, n'amugamba nti Kiki ekinakuwazizza omwoyo gwo obwenkanidde awo, n'okulya n'otolya ku mmere?
6 N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijj kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu.
7 Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri? golokoka olye ku mmere, omutima gwo gusanyuke: nze ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri.
8 Awo n'a wandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ke, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga kye era abaatuula awali Nabosi.
9 N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangire okusiiba, mumuteeke Nabosi waggulu mu bantu
10 muteeke abasajja babiri aba Beriali mu maaso ge, bamulumirize nga boogera nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukasuukirire amayinja afe.
11 Awo abasajja ab'omu kibuga kye abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza.
12 Awo ne balangira okusiiba, ne bamuteeka waggulu Nabosi mu bantu.
13 Abasajja babiri abaana ba Beriali ne bayingira ne batuula mu maaso ge: abasajja ba Beriali ne bamulumiriza, nga balumiriza Nabosi mu maaso g'abantu, nga boogera nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukasuukirira amayinja n'afa.
14 Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akasuukiriddwa amayinja afudde.
15 Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawulira Nabosi ng'akasuukiriddwa amayinja era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Golokoka olye olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuwa olw'ebintu kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde.
16 Awo olwatuuka Akabu bwe yawtilira Nabosi ng'afudde, awo Akabu n'agolokoka okuserengeta mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri okululya.
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
18 Golokoka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okululya.
19 Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo, weewaawo, ogugwo.
20 Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ondabye, ggwe omulabe wange? N'addamu nti Nkulabye: kubanga weetunze okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi.
21 Laba, adikuleetako akabi, era ndikwerera ddala, era ndimalawo eri Akabu buli mwana ow'obulenzi n'oyo asibiddwa n'atasibiddwa mu Isiraeri:
22 era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerubowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri.
23 Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi awali ekigo eky'e Yezuleeri.
24 Owa Akabu anaa&iranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n’yo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zianamulyanga,
25 (Naye tewali eyafaanana Akabu eyeetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi Yezeberi mukazi we gwe yapikiriza.
26 N'akolanga eby'emizizo ennyo ng'agoberera ebifaananyi nga byonna bwe byali Abamoli bye baakolanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.)
27 Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n'asiiba n'agalamira ng'ayambadde ebibukutu n'atambula mpola.
28 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
29 Olaba Akabu bwe yeetoowaza mu maaso gange? kubanga yeetoowaza mu maaso gaage, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe ya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali bulwa eri Obusuuli ne Isiraeri.
2 Awo olwatuuka mu nwaka ogw'okusatu Yekosafaati kalaka wa Yuda n'aserengeta eri abaka wa Isiraeri.
3 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba abaddu be nti Mumanyi aga Lamosugireyaadi kyaffe, naffe tusirika ne tutakiggya mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli?
4 N'agamba Yekosafaati nti Onoonda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Awo Yekosafaati n'amba kabaka wa Isiraeri nti Nze linga ggwe bw'oli, abantu bange abantu bo, embalaasi zange ng'ebalaasi zo.
5 Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri uti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero.
6 Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ng'ebikumi bina, n'abagamba nti Ntabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
7 Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuze?
8 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.
9 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula.
10 Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne bala gulira mu maaso gaabwe.
11 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
12 Ne bannabbi bonna ne balaguIa bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
13 Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba nno, ebigambo bya bannabbi bibuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi.
14 Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ky'anan0amba ekyo kye nnaayogera.
15 Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
16 Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama?
17 N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe; baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.
18 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Sikugambye aga taalagule birungi eri nze wabula ebibi?
19 N'ayogera nti Kale wulira ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde gy'ali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
20 Mukama n'ayogera nti Ani anaasendaseada Akabu ayambuke e Lamosugireyaadi agwe? Omu n'ayogera bw'atyo; omulala n'ayogera bw'atyo.
21 Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze naamusendasensa.
22 Mukama n'agugamba nti Otya? Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. Naayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma okole bw'otyo.
23 Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano bonna: era Mukama akwogeddeko akabi.
24 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'akuba Mikaaya oluyi, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gurya okwogera naawe?
25 Mikaaya n'ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw'oliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka.
26 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka;
27 mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.
28 Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.
29 Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
30 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo.
31 Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami amakumi asatu mu babiri ab'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.
32 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; ne bakyama okulwana naye: Yekosafaati n'ayogerera waggulu.
33 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, awo ne bakoma okumugoberera.
34 Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggaali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nftunitiddwa nnyo:
35 Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, n'afa akawungeezi: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda w'eggaali.
36 Awo ne waba okulangirwa mu ggye lyonna enjuba ng'eyagala okugwa nga boogera nti Buli muntu adde mu kibuga ky'ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y'ewaabwe.
37 Awo kabaka n'afa n'aleetebwa e Samaliya; ne baziika kabaka mu Samaliya.
38 Ne booleza eggaali awali ekidiba eky'e Samaliya; embwa ne zikomba omusaayi gwe; (era abenzi baanaabiranga eyo;) ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera.
39 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akabu ne byonna bye yakola n'ennyumba ey'amasanga gye yazimba n'ebibuga byonna bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
40 Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
41 Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atanula okufuga Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri.
42 Yekosafaati yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki.
43 Awo n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu.
44 Era Yekosafaati n'atabagana ne kabaka wa Isiraeri.
45 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana tebyawandukibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
46 N'abaalyanga ebisiyaga abaasigalawo ku mirembe gya kitaawe Asa n'abaggya mu nsi.
47 Awo nga tewali kabaka mu Edomu: omusigire nga ye kabaka.
48 Yekosafaati n'asiba malikebu ez'e Talusiisi ez'okugenda e Ofiri okukimayo ezaabu: naye ne zitagenda; kubanga malikebu zaamenyekera e Ezyonigeba.
49 Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende n'abaddu bo mu malikebu. Naye Yekosafaati n'atakkiriza.
50 Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
51 Akaziya mutabani wa Akabu n'atanuta okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
52 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kkubo lya nnyina ne mu kkubo lya Yerobowaamu mutabani wa Nebati mwe yayonoonyesa Isiraeri.
53 N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri nga byanna bwe byali kitaawe bye yakola.
   

Next
Back