1 Ebyomumirembe  

Essuula 1

1 Adamu, Seezi, Enosi;
2 Kenani, Makalaleri, Yaledi;
3 Enoki, Mesuseera, Lameka;
4 Nuuwa, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
5 Batabani ba Yafeesi; Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6 Ne batabani ba Gomeri; Asukenaazi, ne Difasi, ne Togaluma.
7 Ne batabani ba Yavani; Erisa, ne Talusiisi, Kittimu, ne Lodanimu.
8 Batabani ba Kaamu; Kuusi, ne Mizulayimu, Puti, ne Kanani.
9 Ne batabani ba Kuusi; Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka. Ne batabani ba Laama; Seeba, ne Dedani.
10 Kuusi n'azaala Nimuloodi: n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi.
11 Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
12 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu Abafirisuuti gye baava, ne Kafutolimu.
13 Kanani n'azaala Sidoni omubereberye we, ne Keesi;
14 n'Omuyebusi n'Omwamoli n'Omugirugaasi;
15 n'Omukiivi n'Omwaluki n'Omusiini;
16 n'Omwaluvadi n'Omuzemali n'Omukamasi.
17 Batabani ba Seemu: Eramu; ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Luddi, ne Alamu, ne Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.
18 Alupakusaadi n'azaala Seera, Seera n'azaala Eberi.
19 Eberi n'azaalirwa abaana babiri ab'obulenzi: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi mwe yagabanirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani,
20 Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumavesi, ne Yera;
21 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;
22 ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba;
23 ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu. Abo bonna baali batabani ba Yokutaani,
24 Seemu, Alupakusaadi, Seera;
25 Eberi, Peregi, Lewu;
26 Serugi, Nakoli, Teera;
27 Ibulaamu ye Ibulayimu.
28 Batabani ba Ibulayimu; Isaaka ne Isimaeri.
29 Okwo kwe kuzaalibwa kwabwe: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; awo Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
30 Misuma, ne Duma, Massa; Kadadi, ne Tema,
31 Yetuli, Nafisi, ne Kedema. Abo be baana ba Isimaeri.
32 Ne batabani ba Ketula, omuzaana wa Ibulayinfu; oyo n'azaala Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. Ne batabani ba Yokusaani; Seeba, ne Dedani.
33 Ne batabani ba Midiyaani; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baali batabani ba Ketula.
34 Ibulayimu n'azaala Isaaka. Batabani ba Isaaka;. Esawu ne Isiraeri.
35 Batabani ba Esawu; Erifaazi, Leweri; ne Yewusi, ne Yalamu, ne Koola.
36 Batabani ba Erifaazi; Temani, ne Omali, Zeefi, ne Gatamu, Kenazi, ne Timuna, ne Amaleki.
37 Batabani ba Leweri; Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza.
38 Ne batabani ba Seyiri; Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri, ne Disani.
39 Ne batabani ba Lotani; Koli ne Komamu: ne Timuna yali mwannyina Lotani.
40 Batabani ba Sobali; Aliyani ne Manakasi ne Ebali, Seefi ne Onamu. Ne ba,abani ba Zibyoni; Aya ne Ana.
41 Batabani ba Ana; Disoni. Ne batabani ba Disoni; Kamulani ne Esubani ne Isulani ne Kerani,
42 Batabani ba Ezeri; Birukani ne Zaavaai, Yaakani. Batabani ba Disani; Uzi ne Alani.
43 Kale abo be bakabaka abaafuga mu nsi ya Edomu, kabaka yenna nga tannafuga baana ba Isiraeri: Bera mutabani wa Byoli; n'eritmya ly'e kibuga kye lyali Dinukaba.
44 Bera bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozula n'afuga mu kifo kye.
45 Yobabu bwe yafa, Kusamu ow'ensi y'Abatemani n'afuga mu kifo kye.
46 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyakuba Midiyaani mu ttale lya Mowaabu n'afuga mu kifo kye: n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Avisi.
47 Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'afuga mu kifo kye.
48 Samula bwe yafa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiri ku Mugga n'afuga mu kifo kye.
49 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afuga mu kifo kye.
50 Baalukanani bwe yafa, Kadadi n'afuga mu kifo kye; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Payi: ne mukazi we erinnya lye yali Meketaberi muwala wa Matuledi, muwala wa Mezakabu.
51 Kadadi bwe yafa. N'abakungu ba Edomu ne bano; omukungu Timuna, omukungu Aliya, omukungu Yesesi;
52 omukungu Okolibama, omukungu Era, omukungu Pinoni;
53 omukungu Kenazi, omukungu Temani, omukungu Mibuzali;
54 omukuagu Magudyeri, omukungu Iramu. Abo be bakungu ba Edomu.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Bano be batabani ba Isiraeri; Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda, Isakaali ne Zebbulooni;
2 Ddaani, Yusufu ne Benyamini, Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
3 Batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera: abo bonsatule baamuzaalirwa mu Basusuwa Omukanani. Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; n'amutta,
4 Tamali muka mwana we n'amuzaalira Pereezi ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna baali bataano.
5 Batabani ba Pereezi; Kezulooni ne Kamuli.
6 Ne batabani ba Zeera; Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala: bonna bataano.
7 Ne batabani ba Kalumi; Akali, omuteganya wa Isiraeri, eyayonoona mu ekyo ekyawongebwa.
8 Ne batabani ba Esani: Azaliya.
9 Era batabani ba Kezulooni, abaamuzaalirwa; Yerameeri, ne Laamu, ne Kerubayi.
10 Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nakusoni, omukulu w'abaana ba Yuda;
11 Nakusoni n'azaala Saluma, Saluma n'azaala Bowaazi;
12 Bowaazi n'azaala Obedi, Obedi n'azaala Yese;
13 Yese n'azaala omubereberye we Eriyaabu, ne Abinadaabu, ye w'okubiri, ne Simeeya ye w'okusatu;
14 Nesaneeri, ye w'okuna, Laddayi, ye w'okutaano;
15 Ozemu, ye w'omukaaga, Dawudi ye w'omusanvu:
16 ne bannyinnaabwe be bano; Zeruyiya ne Abbigayiri. Ne batabani ba Zeruyiya; Abisaayi, ne Yowaabu, ne Asakeri, basatu.
17 Abbigayiri n'azaala Amasa: ne kitaawe wa Amasa yali Yeseri Omuisimaeri.
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n'azaala abaana mu Azuba mukazi we, ne mu Yeriyoosi: ne bano be baali batabani be; Yeseri ne Sobabu, ne Aludoni.
19 Azuba bwe yafa, Kalebu n'afumbirwa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 Kuuli n'azaala Uli, Uli n'azaala Bezaleeri.
21 Oluvannyuma Kezulooni n'ayingira eri muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi; gwe yafumbirwa nga yaakamaze emyaka nkaaga; n'amuzaalira Segubu.
22 Segubu n'azaala Yayiri, eyalina ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ya Gireyaadi.
23 Gesuli ne Alamu ne babaggyako ebibuga bya Yayiri, ne Kenasi n'ebyalo byako, ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali batabani ba Makiri kitaawe wa Gireyaadi.
24 Awo Kezulooni ng'amaze okufa mu Kalebu-efulaasa, Abiya muka Kezulooni n'amuzaalira Asukuli kitaawe wa Tekowa.
25 Ne batabani ba Yerameeri omubereberye wa Kezulooni be bano; Laamu omubereberye, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu, Akiya.
26 Era Yerameeri yalina n'omukazi ow'okubiri erinnya lye Atala; oyo ye yali nnyina Onamu.
27 Ne batabani ba Laamu omubereberye wa Yerameeri ye Maazi, ne Yamini, ne Ekeri.
28 Ne batabani ba Onamu ye Sammayi, ne Yada: ne batabani ba Sammayi; Nadabu, ne Abisuli.
29 Ne muka Abisuli erinnya lye yali Abikayiri; n'amuzaalira Abani, ne Molidi.
30 Ne batabani ba Nadabu; Seredi, ne Appayimu: naye Seredi n'afa; nga talina baana.
31 Ne batabani ba Appayimu; Isi. Ne batabani ba Isi; Sesani. Ne batabani ba Sesani; Alayi.
32 Ne batabani ba Yada, muganda wa Sammayi; Yeseri, ne Yonasaani: Yeseri n'afa nga talina baana.
33 Ne batabani ba Yonasaani; Peresi, ne Zaza. Abo be baali batabani ba Yerameeri.
34 Awo Sesani teyalina baana ba bulenzi wabula ab'obuwala. Sesani n'aba n'omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.
35 Sesani n'awa Yala omuddu we muwala we okumufumbirwa; n'amuzaalira Attayi.
36 Attayi n'azaala Nasani, Nasani n'azaala Zabadi;
37 Zabadi n'azaala Efulali, Efulali n'azaala Obedi;
38 Obedi n'azaala Yeeku, Yeeku n'azaala Azaliya;
39 Azaliya n'azaala Kerezi, Kerezi n'azaala Ereyaasa;
40 Ereyaasa n'azaala Sisumaayi; Sisumaayi n'azaala Sallumu;
41 Sallumu n'azaala Yekamiya, Yekamiya n'azaala Erisaama.
42 Ne batabani ba Kalebu muganda wa Yerameeri ye Mesa omubereberye we, ye yali kitaawe wa Zifu; ne batabani ba Malesa kitaawe wa Kebbulooni:
43 Ne batabani ba Kebbulooni; Koola, ne Tappuwa, ne Lekemu, ne Seems.
44 Seema n'azaala Lakamu, kitaawe wa Yolukeyaamu; Lekemu n'azaala Sammayi.
45 Ne mutabani wa Sammayi yali Mawoni; era Mawoni yali kitaawe wa Besuzuli.
46 Efa muzaana wa Kalebu n'azaala Kalani, ne Moza, ne Gazezi: Kalani n'azaala Gazezi.
47 Ne batabani ba Yadayi; Legemu, ne Yosamu; ne Gesani, ne Pereti, ne Efa, ne Saafu.
48 Maaka omuzaana wa Kalebu n'azaala Seberi ne Tirukaana.
49 Era n'azaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena, era kitaawe wa Uibeya; ne muwala wa Kalebu yali Akusa.
50 Abo be baali batabani ba Kalebu; mutabani wa Kuuli, omubereberye wa Efulaasa, Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu;
51 Saluma kitaawe wa Besirekemu, Kalefu kitaawe wa Besugaderi.
52 Ne Sobali kitaawe wa Kiriyasuyalimu yalina abaana; Kalowe, ekitundu ky'Abamenukosi.
53 N'enda za Kiriyasuyalimu; Abayisuli, n'Abapusi, n'Abasumasi, n'Abamisulayi; ku abo kwe kwava Abazolasi n'Abayesutawooli.
54 Batabani ba Saluma; Besirekemu, n'Abanetofa, Atulosubesuyowabu, n'ekitundu ky'Abamanakasi, Abazooli.
55 N'enda ez'abawandiisi abaabeeranga e Yabezi; Abatirasi, Abasimeyasi, Abasukasi. Abo be Bakeeni abaava ku Kammasi kitaawe w'ekika kya Lekabu.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Era bano be baali batabani ba Dawudi, abaamuzaalirwa e Kebbulooni: omubereberye Amunoni, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; ow'okubiri Danyeri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri;
2 ow'okusatu, Abusaalomu, omwana wa Maaka muwala wa Talumayi kabaka w'e Gesuli; ow'okuna Adoniya omwana wa Kaggisi;
3 ow'okutaano Sefatiya, omwana wa Abitali; ow'omukaga Isuleyamu, gwe yazaala mu Eggulaasi mukazi we.
4 Yazaalirwa abaana mukaaga e Kebbulooni; era yafugira eyo emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu.
5 Era bano be baamuzaalirwa mu Yerusaalemi: Simeeya, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, bana, abaana ba Basusuwa muwala wa Ammiyeri:
6 ne Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti;
7 e Noga, ne Nefegi, ne Yafiya;
8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, mwenda.
9 Abo bonna baali batabani ba Dawudi, obutassaako baana ba bazaana; era;i Tamali yali mwannyinnaabwe.
10 Ne Lekobowaamu ye yali mutabani wa Sulemaani, mutabaai we Abiya, mutabani we Asa, mutabani we Yekosafaati;
11 mutabani we Yolaamu, mutabani we Akaziya, mutabani we Yowaasi;
12 mutabani we Amaziya, mutabani we Azaliya, mutabani we Yosamu;
13 mutabani we Akazi, mutabani we Keezeekiya, mutabani we Manase;
14 mutabani we Amoni, mutabani we Yosiya.
15 Ne batabani ba Yosiya; omubereberye Yokanani, ow'okubiri Yekoyakimu, ow'okusatu Zeddekiya, ow'okuna Sallumu.
16 Ne batabani ba Yekoyakimu: Yekoniya mutabani we, Zeddekiya mutabani we.
17 Ne batabani ba Yekoniya omusibe; Seyalutyeri mutabani we,
18 ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, Yekamiya, Kosama, ne Nedabiya.
19 Ne batabani ba Pedaya; Zerubbaberi, ne Simeeyi: ne batabani ba Zerubbaberi; Mesullamu, ne Kananiya; ne Seromisi yali mwannyinaabwe:
20 ne Kasuba; ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya; Yusabukesedi, bataano.
21 Ne batabani ba Kananiya; Peratiya, ne Yesukaya: batabani ba Lefaya, batabani ba Alunani, batabani ba Obadiya, batabani ba Sekaniya.
22 Ne batabani ba Sekaniya; Semaaya: ne batabani ba Semaaya; Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati, mukaaga.
23 Ne batabani ba Neyaliya; Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, basatu.
24 Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu.
2 Ne Leyaya mutabani wa Sobali n'azaala Yakasi; Yakasi n'azaala Akumayi ne Lakadi. Ezo ze nda ez'Abazolaasi.
3 Era bano be baali abaana ba kitaawe wa Etamu; Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi: n'erinnya lya mwannyinaabwe yali Kazzereruponi:
4 ne Penueri kitaawe wa Gedoli, ne Ezeri kitaawe wa Kusa. Abo be batabani ba Kuuli omubereberye wa Efulaasa, kitaawe wa Besirekemu.
5 Era Asukuli kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri, Keera ne Naala.
6 Naala n'amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni, ne Kaakasutali. Abo be baali batabani ba Naala.
7 Ne batabani ba Keera ye Zeresi; Izukaali, ne Esunani.
8 Kakkozi n'azaala Anubu, ne Zobeba, n'enda za Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Yabezi n'aba n'ekitiibwa okukira baganda be: nnyina n'amutuuma erinnya Yabezi, ng'ayogera nti Kubanga namuzaala lwa buyinike.
10 Yabezi n'akaabiriranga Katonda wa Isiraeri, ng'ayogera nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, era oba nga omukono gwo gunaabanga nange n'onkuuma obutalaba bubi, buleme okunnumya omwoyo! Katonda n'amuwa kye yasaba.
11 Kerubu muganda wa Suwa n'azaala Mekiri, eyali kitaawe wa Esutoni.
12 Esutuni n'azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina kitaawe wa hvnakasi. Abo be basajja ab'e Leka.
13 Ne batabani ba Kenazi; Osiuueri ne Seraya: ne batabani ba Osunieri; Kasasi.
14 Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; kubanga baali bafundi.
15 Ne batabani ba Kalebu mutabani wal Yefune; Iru, Era, ne Naamu: ne batabani ba Era; ne Kenazi.
16 Ne batabani ba Yekalereri; Zifu, ne Zifa, ne Tiriya, ne Asaleri.
17 Ne batabani ba Ezula; Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni: oyo n’azaala Miryamu ne Sammayi, ne Isuba kitaawe wa Esutemoa.
18 Ne mukazi we Omuyudaaya n'azaala Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa. Awo abo be batabani ba Bisiya muwala wa Falaawo, Meredi gwe yawasa.
19 Ne batabani ba muka, Kodiya mwannyina Nakamu ye kitaawe wa Keyira Omugaluni, ne Esutemoa Omumaakasi.
20 Ne batabani ba Simoni; Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi. Ne batabani ba Isi; Zokesi ne Benizokesi.
21 Batabani ba Seera mutabani wa Yuda; Eri kitaawe wa Leka, ne Laada kitaawe wa Malesa, n'ebika eby'ennyumba yaabo abaaluka bafuta ennungi, eby'ennyumba ya Asubeya;
22 ne Yokimu, n'abasajja ab'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Salafu, abaafuganga mu Mowaabu, ne Yasubirekemu. Era ebigambo ebyo bya dda.
23 Abo be baali abajoona, era abaatuula mu Netayimu ne mu Gedera: eyo gye baabeeranga ne kabaka olw'omulimu gwe.
24 Batabani ba Simyoni: Nemweri, ne Yanini, Yalibu, Zeera, Sawuli:
25 Sallumu mutabani we, Mibusamu mutabani we, Misuma mutabani we.
26 Ne batabani ba Misuma; Kammweri mutabani we, Zakkuli mutabani we, Simeeyi mutabani we.
27 Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda.
28 Ne babeeranga e Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuali;
29 ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi;
30 Besweri ne Koluma, ne Zikulagi;
31 ne Besumalukabosi, ne Kazalususimu, ne Besubiri, ne Saalayimu. Ebyo bye byali ebibuga okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.
32 N'ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayini, Limmoni, ne Tokeni, ne Asani, ebibuga bitaano:
33 n'ebyalo byabwe byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuusa e Baali. Ago ge gaali amaka gaabwe, era bamanyi amannya ga bajjajjaabwe.
34 Ne Mesobabu, ne Yamuleki, ne Yosa mutabani wa Amaziya;
35 ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, mutabani wa Seraya, mutabani wa Asyeri;
36 ne Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya;
37 ne Ziza mutabani wa Sifi, mutabani wa Alloni, mutabani wa Yedaya, mutabani wa Simuli, mutabani wa Semaaya;
38 abo abaatuddwa amannya gaabwe baabanga bakulu mu bika byabwe: n'etmyumba za bajjajjaabwe ne zeeyongeranga nnyo.
39 Ne bajja awayingirwa mu Gedoli, ku luuyi lw'ekiwonvu olw'ebuvanjuba, okunoonyeza ebisibo byabwe omuddo.
40 Ne balaba omuddo omugimu omulungi, en ensi yali ngazi era ng'eteredde era nga mirembe; kubanga abaabeennga omwo olubereberye baali ba Kaamu.
41 Era abo abawandiikiddwa amannya gaabwe bajja ku mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne balumba eweema zaabwe, n'Abamewuni abaalabikayo, ne baibazikiririza ddala, ne leero, ne babeera mu kifo kyabwe: kubanga ng'eriyo omuddo ogw'ebisibo byabwe.
42 Awo abamu ku bo, ku batabani ba Simyoni, abasajja ebikumi bitaano, ne bagenda ku lusozi Seyiri, aga baliaa abakulu baabwe Peratiya ne Neyaliya ne Lefaya ne Wuziyeeri, batabani ba Isi.
43 Ne bakuba ekitundu ky'Abamaleki ekyafikkawo ekyawona, ne babeera eyo ne leero.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Ne batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri, (kubanga ye yali omubereberye; naye kubanga yayonooaa ekiriri kya kitaawe, eby'okuzaalibwa kwe okw'olubereberye batabani ba Yusufu mutabaai wa Isiraeri kyebaava babiweebwa; so taviibwako okubala amannya ng'oknzaalibwa okw'olubereberye bwe kwali.
2 Kubanga Yuda yasinga baganda be, era mu ye mwe mwava omulangira; naye' eby'okuzaalibwa okw'olubereberye byali bya Yusufu:)
3 batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri; Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi.
4 Batabani ba Yoweeri; S'emaaya mutabani we, Gogi mutabani we, Simeeyi mutabani we;
5 Mikka mutabani we, Leyaya mutabani we, Baali mutabani we;
6 Beera mutabani we, Tirugasupiruneseri kabaka We Bwasuli gwe yatwala nga musibe: ye yali omukulu w'Abalewubeeni.
7 Ne baganda be ng'enda zaabwe bwe zaali, okuzaalibwa kwabwe bwe kwabalibwa; omukulu Yeyeri, ne Zekkaliya,
8 ne Bera mutabani wa Azazi, mutabani wa Sema, mutabani wa Yoweeri eyabeeranga mu Aloweri, okutuusa e Nebo ne Baalumyoni:
9 n'ebuvanjuba yabeeranB"a okutuuka awayingirirwa mu ddungu okuva ku mugga Fulaati: kubanga ebisibo byabwe nga byeyongedde mu nsi ya Gireyaadi.
10 Awo ku mirembe gya Sawulo ne balwana n’abakaguli, ne battibwa n'omukono gwabwe ne babeeraaga mu weema zaabwe okubuna ensi yonna eri ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Gireyaadi.
11 Awo batabani ba Gaadi ne babeeranga okuboolekera mu nsi y'e Basani okutuusa ku Saleka:
12 Yoweeri omukulu, ne Safamu ow'okubiri, ne Yanayi, ne Safati mu Basani:
13 ne baganda baabwe ab'omu nda za bajjajjaabwe; Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, musanvu.
14 Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi; Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi;
15 Aki mutabani wa Abudyeri, mutabani wa Guni, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe.
16 Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byaIo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku naslo zaabyo.
17 Abo bonna baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne ku mirembe gya Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri.
18 Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali obukumi buna mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abaayinza okutabaala.
19 Ne balwana n'Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi, ne Nodabu.
20 Ne bayambwa nga balwana nabo, Abakaguli ne bagabulwa mu mukono gwabwe ne bonna abaali nabo: kubanga baakaabirira Katonda mu lutalo, n'akkiriza okwegayirira kwabwe; kubanga baamwesiga.
21 Ne banyaga ebisibo byabwe; ku ŋŋamira zaabwe obukumi butaano, ne ku ndiga obusiriivu bubiri mu obukumi butaano, ne ku ndogoyi enkumi bbiri, ne ku bantu kasiriivu.
22 Kubanga bangi abaagwa nga battiddwa kubanga olutalo lwava eri Katonda. Ne babeeranga mu kifo kyabwe okutuuka ku kutwalibwa.
23 Awo abaana b'ekitundu ky'ekika kya Manase ne babeeranga mu nsi: ne bayala okuva ku Basani ne batuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni.
24 Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
25 Ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagenda nga benda okugoberera bakatonda b'amawanga ag'omu nsi, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
26 Awo Katonda wa Isiraeri n'akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w'e Bwasuli n'omwoyo gwa Tirugasupiruneseri kabaka w’e Bwasuli, n'abatwala n'abaggyayo, Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase n'abaleeta e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
2 Ne batabani ba Kokasi; AmuIaamu, Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3 N'abaana ba Amulaamu; Alooni ne Musa ne Miryamu. Ne batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
4 Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa;
5 Abisuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi;
6 Uzzi n'azaala Zeraluya, Zerakiya n'azaala Merayoosi;
7 Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu;
8 Akitubu n'azaala Zadooki, Zadooki n'azaala Akimaazi;
9 Akimaazi n'azaala Azaliya, Azaliya n'azaala Yokanani;
10 Yokanani n'azaala Azaliya, (oyo ye yakolanga omulimu ogw'obwakabona mu nnyumba Sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi):
11 Azaliya n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu;
12 Akitubu n'azaala Zadooki, Zadooki n'azaala Sallumu;
13 Sallumu n'azaala Kirukiya, Kirukiya n'azaala Azaliya;
14 Azaliya n'azaala Seraya, Seraya n'azaala Yekozadaki;
15 Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza.
16 Batabani ba Leevi; Gerusomu, Kokasi, ne Merali.
17 Era gano ge mannya ga batabani ba Gerusomu; Libuni ne Simeeyi.
18 Ne batabani ba Kokasi ye Amulaamu ne Izukali ne Kebhulooni ne Wuziyeeri.
19 Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Era ebyo bye bika by'Abaleevi ng'enda za bajjajjaabwe bwe zaali.
20 Abaava ku Gerusomu; Libuni mutabani we, Yakasi mutabani we, Zimma mutabani we:
21 Yowa mutabani we, Iddo mutabani we, Zeera mutabani we, Yeaserayi mutabani we.
22 Batabani ba Kokasi; Amminadaabu mutabani we, Koola mutabani we, Assiri mutabani we;
23 Erukaana Emutabani we, ne Ebiyasaafu mutabani we, ne Assiri mutabani we;
24 Takasi mutabani we, Uliyeri mutabani we, Uzziya mutabani we, ne Sawuli mutabani we.
25 Ne batabani ba Erukaana; Amasayi, ne Akimosi.
26 N'ebya Erukaana: batabani ba Erukaana; Zofayi mutabani we, ne Nakasi mutabani we;
27 Eriyaabu mutabani we, Yerokamu mutabani we, Erukaana mutabani we.
28 Ne batabani ba Samwiri; omubereberye Yoweeri, n'ow'okubiri Abiya.
29 Batabani ba Merali; Makuli, Libuni mutabani we, Simeeyi mutabani we, Uzza mutabani we;
30 Simeeya mutababi we, Kaggiya mutabani we, Asaya mutabani we.
31 Era Dawudi be yafuula abakulu b'omulimu ogw'okutimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng'emaze okuwummula, be bano.
32 Ne baweereza n'ennyimba mu maaso g'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu okutuusa Sulemaani lwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi: ne beesibira omulimu gwabwe ng'ebisanja byabwe bwe byali.
33 Era bano be beesibiranga ne batabani baabwe. Ku batabani b'Abakokasi: Kemani omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Samwiri;
34 mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriyeri, mutabani wa Toowa;
35 mutabani wa Zufu, mutabani wa Erukaana, mutabani wa Makasi, mutabani wa Amasayi;
36 mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Azaliya, mutabani wa Zeffaniya;
37 mutabani wa Takasi, mutabani wa Assiri, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola;
38 mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri.
39 Ne muganda we Asafu, eyayimiriranga ku mukono gwe ogwa ddyo, Asafu mutabani wa Berekiya, mutabani wa Simeeya;
40 mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Baaseya, mutabani wa Malukiya;
41 mutabani wa Esuni, mutabani wa Zeera, mutabani wa Adaaya;
42 mutabani wa Esani, mutabani wa Zimma, mutabani wa Simeeyi;
43 mutabani wa Yakasi, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Leevi.
44 Ne ku mukono gwabwe ogwa kkono baganda baabwe batabani ba Merali: Esani mutabani wa Kiisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Malluki; Ne ku mukono gwabwe ogwa kkono baganda baabwe batabani ba Merali: Esani mutabani wa Kiisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Malluki;
45 mutabani wa Kasukabiya, mutabani wa Amaziya, mutabani wa Kirukiya;
46 mutabatu wa Amuzi, mutabani wa Bani, mutabani wa Semeri;
47 mutabani wa Makuli, mutabani wa Musi, mutabani wa Merali, mutabani wa Leevi.
48 Ne baganda baabwe Abaleevi ne bateekerwawo okuweereza kwonna okw'omu weema ey'ennyumba ya Katonda.
49 Naye Alooni ne batabani be, ne baweerangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky'okwoterezangako obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira.
50 Era bano be batabani ba Alooni; Eriyazaali mutabani we, Finekaasi mutabani we, Abisuwa mutabani we;
51 Bukki mutabani we, Uzzi mutabani we, Zerakiya mutabani we;
52 Merayoosi mutabani we, Amaliya mutabani we, Akitubu mutabani we;
53 Zadooki mutabani we, Akimaazi mutabani we.
54 Era bino bye bifo byabwe eby'okubeeramu, ng'ensiisira zaabwe bwe zaali mu nsalo zaabwe: ne bawa batabani ba Alooni, ab'oku nda z'Abakokasi, kubanga abo akalulu be kaasooka okugwiira,
55 abo ne babawa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde:
56 naye ennimiro ez'oku kibuga n'ebyalo byako, ne babiwa Kalebu mutabani wa Ye fune.
57 Ne batabani ba Alooni ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni; era ne Libuna n'ebyalo byako, ne Yattiri, ne Esutemoa n'ebyalo byako;
58 ne Kireni n'ebyalo byako, Debiri n'ebyalo byako
59 ne Asani n'ebyalo byako, ne Besusemesi n'ebyalo byako;
60 n'ebyaggibwa ku kika kya Benyamini; Geba n'ebyalo byako, ne Allemesi n'ebyalo byako, ne Anasosi n'ebyalo byako. Ebibuga byabwe byonna okubuna enda zaabwe zonna byali ebibuga kkumi na bisatu.
61 Ne batabani ba Kokasi abalala ne baweebwa n'obululu ebibuga kkumi ebyaggibwa ku nda y'ekika, ku kitundu ky'ekika, ekitundu kya Manase.
62 Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu, ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani.
63 Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri, ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni.
64 Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi ebibuga n'ebyalo byabyo.
65 Ne bawa n'obululu ebibuga ebyaggibwa ku kika ky'abaana ba Yuda ne ku kika ky'abaana ba Simyoni ne ku kika ky'abaana ba Benyamini, biibino ebyatuddwa amannya gaabyo.
66 Era enda ezimu ez'oku batabani ba Kokasi baalina ebibuga eby'oku nsalo zaabwe ebyaggibwa ku kika kya Efulayimu.
67 Ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ebyalo byako: ne Gezeri n'ebyalo byako;
68 ne Yokumyamu n'ebyalo byako, ne Besukolooni n'ebyalo byako;
69 ne Ayalooni n'ebyalo byako, ne Gasulimmoni n'ebyalo byako:
70 n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'ebyalo byako, ne Biryamu n'ebyalo byako, okuba eby'abo abasigaddewo ku nda ya batabani ba Kokasi.
71 Batabani ba Gerusomu ne baweebwa ebyaggibwa ku nda y'ekitundu ky'ekika kya Manase, Golani mu Basani n'ebyalo byako, ne Asutaloosi n'ebyalo byako:
72 n'ebyaggibwa ku kika kya Isakaali; Kedesi n'ebyalo byako, Daberasi n'ebyalo byako,
73 ne Lamosi n'ebyalo byako, ne Anemu n'ebyalo byako:
74 ne ku kika kya Aseri; Masali n'ebyalo byako, ne Abudoni n'ebyalo byako;
75 ne Kukoki n'ebyalo byako, ne Lekobu n'ebyalo byako:
76 ne ku kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'ebyalo byako, ne Kammoni n'ebyalo byako, ne Kiriyasayimu n'ebyalo byako.
77 N'Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'ebyalo byako, Taboli n'ebyalo byako:
78 era emitala wa Yoludaani e Yeriko, ku luuyi lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni, Bezeri ekiri mu ddungu n'ebyalo byako, ne Yaza n'ebyalo byako,
79 ne Kedemosi n'ebyalo byako, ne Mefaasi n'ebyalo byako:
80 n'ebyaggibwa ku kika kya Gaadi; Lamosi ekiri mu Gireyaadi n'ebyalo byako, ne Makanayimu n'ebyalo byako,
81 ne Kesuboni n'ebyalo byako, ne Yazeri n'ebyalo byako.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 N'ebyaggibwa ku batabaai ba Isakaali; Tola, ne Puwa, Yasubu, ne Simuloni, bina.
2 Ne batabani ba Tola; Uzzi ne Lefaya, ne Yeryeri, ne Yamayi, ne Ibusamu, ne Semweri, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaa bwe, aba Tola; abasajja ab'amaanyi abazira mu mirembe gyabwe: ku mirembe gya Dawudi omuwendo gwabwe gwali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3 Ne batabani ba Uzzi; Izulakiya: ne batabani ba Izulakiya; Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri, Issiya, bataano; bonna basajja bakulu.
4 Era ag'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, ebibiina by'omu ggye byali wamu nabo olw'okulwana, obukumi busatu mu kakaaga: kubaaga baalina abakazi bangi n'abaana baagi.
5 Ne baganda baabwe bonna, ab'omu luggya lwa Isakaali, nga babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, abasajja ab'amaanyi abazira, baali obukumi munaana mu kasanvu.
6 Batabani ba Beayamini; Bera, ne Bekeri, ne Yediyayeri, basatu.
7 Ne batabani ba Bera; Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi, ne Iri, bataano; emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira; era baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.
8 Ne batabani ba Bekeri; Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi, ne Alemesi. Abo bonna baali batabani ba Bekeri.
9 Era baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, obukumi bubiri mu ebikumi bibiri.
10 Ne batabani ba Yediyayeri; Birukani; ne batabani ba Biruhani; Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi, ne Akisakali.
11 Abo bonna baali baana ba Yediyayeri, ng'emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe bwe gyali, abasajja ab'amaanyi abazira, kakumi mu kasanvu mu ebikumi bibiri, abayinza okutabaala mu ggye okulwana.
12 Suppimu naye, ne Kuppimu, batabani ba Iri, Kusimu, batabani ba Akeri.
13 Batabani ba Nafutaali; Yaziyeri, ne Gutu, ne Yazeri, ne Sallumu, batabani ba Biruka.
14 Batabani ba Manase; Asuliyeri mukazi we gwe yazaala: (muzaana we Omwalamu yazaala Makiri kitaawe wa Gireyaadi:
15 Makiri n'awasa omukazi ow'oku Kuppimu ne Suppimu, erinnya lya muganda we Maaka;) n'erinnya ly'ow'okubiri lyali Zerofekadi: Zerofekadi n'azaala abaana ba buwala.
16 Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Peresi; n'erinnya lya muganda we lyali Seresi; ne batabani be Ulamu ne Lakemu.
17 Ne batabani ba Ulamu; Bedani. Abo be baali batabani ba Gireyaadi mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.
18 Ne mwannyina Kammolekesi n'azaala Isukodi, ne Abiezeri, ne Makula.
19 Ne batabani ba Semida ye Akyani, ne Sekemu, ne Liki, ne Aniyamu.
20 Ne batabani ba Efulayimu; Susera, ne Beredi mutabani we, ne Takasi mutabani we, ne Ereyadda mutabani we, ne Takasi mutabani we,
21 ne Zabadi mutabani we, ne Susera mutabani we, ne Ezeri, ne Ereyaddi, abasajja ab'e Gaasi abaazaalibwa mu nsi be batta, kubanga baaserengeta okubaggyako ebisibo byabwe.
22 Efulayimu kitaabwe n'akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza.
23 N'ayingira eri mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi.
24 Ne muwala we yali Seera, eyazimba Besukoloni, ekya wansi n'eky'engulu, ne Uzze nuseera.
25 Ne Leefa ye yali mutabani we, ne Lesefu, ne Teera mutabani we, ne Takani mutabani we;
26 Ladani mutabani we, Ammikudi mutabani we, Erisaama mutabani we;
27 Nuni mutabani we, Yoswa mutabani we.
28 N'ebifo byabwe bye baalya era bye baabeerangamu bye bino; Beseri n'ebibuga byako, n'ebuvanjuba Naalani, n'ebugvanjuba Gezeri, n'ebibuga byako; era ne Sekemu n'ebibuga byako, okutuusa ku Azza n'ebibuga byako:
29 n'awali ensalo ez'abaana ba Manase Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.
30 Batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya; ne Seera mwannyinaabwe.
31 Ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri, ye kitaawe wa Biruzayisi.
32 Keberi n'azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu, ne Suwa, mwannyinaabwe.
33 Ne batabani ba Yafuleti; Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi. Abo be baana ba Yafuleti.
34 Ne batabani ba Semeri: Aki, ne Loga, Yekubba, ne Alamu.
35 Ne batabani ba Keremu muganda we; Zofa, ne Imuna, ne Seresi, ne Amali.
36 Batabani ba Zofa; Suwa, ne Kaluneferi; ne Swali, ne Beri, ne Imula;
37 Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani, ne Beera.
38 Ne batabani ba Yeseri; Yefune, Pisupa, ne Ala.
39 Ne batabani ba Ulla; Ala, ne Kanyeri, ne Liziya.
40 Abo bonna baali baana ba Aseri, emitwe gy'ennyumba za. bajjajja baabwe, abasajja abazira abalonde ab'amaanyi, ab'olubereberye mu bakulu. N'omuwendo gwabwe ogwabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, olw'okukola omulimu ogw'okulwana, gwali abasajja obukumi bubiri mu kakaaga.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Ne Benyamini n'azaala Bera omubereberye we, Asuberi ow'okubiri, ne Akala ow'okusatu;
2 Noka ow'okuna, ne Lafa ow'okutaano.
3 Ne Bera yalina batabani be, Addali, ne Gera, ne Abikudi;
4 ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa;
5 ne Gera, ne Sefufani, ne Kulamu
6 Era bano be batabani ba Ekudi: gino gye mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaali mu Geba, ne babatwala e Manakasi nga basibe:
7 ne Naamani ne Akiya ne Gera n'abatwala nga basibe; n'azaala Uzza ne Akikudi.
8 Sakalayimu n'azaala abaana mu nnimiro ya Mowaabu bwe yamala okubasindika; Kusimu ne Baala be baali bakazi be.
9 N'azaala mu Kodesi mukazi we Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu;
10 ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali batabani be, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
11 N'azaala mu Kusimu Abitubu ne Eru paali.
12 Ne batabani ba Erupaali; Eberi ne Misamu ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi, wamu n'ebibuga byako:
13 ne Beriya ne Sema, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'abo abaabeeranga e Ayalooni, abaagoba abo abaali e Gaasi;
14 ne Akiyo, Sasaki, ne Yeremosi;
15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi;
16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, batabani ba Beriya;
17 ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi;
18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali;
19 ne Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi;
20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri;
21 ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi, batabani ba Simeeyi;
22 ne Isupani, ne Eberi, ne Eryeri;
23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani;
24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya;
25 ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki;
26 ne Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya;
27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, batabani ba Yerokamu.
28 Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe! okubuna emirembe gyabwe, abasajja abakulu: abo baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 Era kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeri, mukazi we erinnya lye Maaka:
30 ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu;
31 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri.
32 Mikuloosi n'azaala Simeeya. Era nabo baabeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, okwolekera baganda baabwe.
33 Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali.
34 Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka.
35 Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi.
36 Akazi n'azaala Yekoyaada; Yekoyaada n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza:
37 ne Moza n'azaala Bineya; Lafa ye yali mutabani we, Ereyasa mutabani we, Azeri mutabani we:
38 Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amannya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali batabani ba Azeri.
39 Ne batabani ba Eseki muganda we; Ulamu omubereberye we, Yewusi ow'okubiri, ne Erifereti ow'okusatu.
40 Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano. Abo bonna baali ku batabani ba Benyamini.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Awo Isiraeri yenna ne babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali; era, laba, kwawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri: Yuda n'atwalibwa e Babulooni nga basibe olw'okusobya kwabwe.
2 Awo abantu abaasooka okubeera mu bifo byabwe bye baalya mu bibuga byabwe be bano, Isiraeri, bakahena; Abaleevi, n'Abanesinimu.
3 Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu ku baana ba Yuda, ne ku baana ba Benyamini, ne ku baana ba Efulayimu ne Manase;
4 Usayi mutabani wa Ammikudi, mutabani wa Omuli, mutabani wa Imuli, mutabani wa Bani, ow'oku baana ba Pereezi mutabani wa Yuda.
5 Ne ku Basiiro; Asaya omubereberye, ne batabani be.
6 Ne ku batabani ba Zeera; Yeweri, ne baganda baabwe, lukaaga mu kyenda.
7 Ne ku batabani ba Benyamini; Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Kodaviya, mutabani wa Kassenuwa;
8 ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, mutabani wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Leweri, mutabani wa Ibuniya;
9 ne baganda baabwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, lwenda mu lataano mu mukaaga. Abasajja abo bonna nga mitwe gya nnyumba za bajjajjaabwe, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali.
10 Ne ku bakabona; Yedaya, ne Yekoyalibu, Yakini;
11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, mutabani wa Mesulamu, mutabani wa Zadooki, mutabani wa Merayoosi, mutabani wa Akituubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda;
12 ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, mutabani wa Yazera, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Mesiremisi, mutabani wa Immeri;
13 ne baganda baabwe emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, lukumi mu lusanvu mu nkaaga; abasajja abaayinziza ddala omulimu ogw'okuweereza mu nnyumba ya Katonda.
14 Ne ku Baleevi; Semaaya mutabani wa Kassubu, mutabani wa Azulikamu, mutabani wa Kasabiya ow'oku batabani ba Merali:
15 ne Bakubakkali, Keresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, mutabani wa Zikuli, mutabani wa Asafu;
16 ne Obadiya mutabani wa Semaaya, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni, ne Berekiya mutabani wa Asa, mutabani wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo leby'Abanetofa.
17 N'abaggazi; Sallumu, ne Akkubu, ne Talumoni, ne Akimani, ne baganda baabwe: Sallumu ye yali omukulu;
18 edda abaalindiriranga mu mulyango gwa kabaka ebuvanjuba; be baali abaggazi ab'olusiisira lw'abaana ba Leevi.
19 Ne Sallumu mutabani wa Koole, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola, ne baganda be ab'omu nnyumba ya kitaawe, Abakoola, be baalabirira omulimu ogw'okuweereza, abaggazi b'enzigi z'eweema: ne bajjajjaabwe be baabanga abakuiu b'olusiisira lwa Mukama, abaggazi b'omulyango;
20 ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yabanga omukulu waabwe mu biro eby'edda, era Mukama yabanga naye.
21 Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ow'oku luggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
22 Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi ku nzigi baali ebikumi bibiri mu kkumi mu babiri. Abo baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu byalo byabwe, Dawudi ne Samwiri nnabbi be baayawulira omulimu gwabwe ogwateekebwawo.
23 Awo bo n'abaana baabwe ne baba n'omulimu ogw'okulabirira enzigi z'ennyiunba ya Mukama, ennyumba ey'eweema, mu bisanja.
24 Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obuluika obwa ddyo.
25 Ne baganda baabwe mu byalo byabwe baali ba kujjanga nga wayiseewo ennaku musanvu buli kiseera okubeera awamu nabo:
26 kubanga abaggazi abana abaasinga obukulu, Abaleevi, baalina omulimu ogwateekebwawo, nga be bakulu b'enju era ab'amawanika mu nnyumba ya Katonda.
27 Ne basula okwetooloola ennyumba ya Katonda, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulawo buli nkya nga gwe mulimu gwabwe.
28 Era abamu ku bo ne bakwasibwa ebintu ebiweereza okubikuuma; kubanga bwe byayingizibwanga ne bibalibwanga, era bwe byafulumizibwanga ne bibalibwanga.
29 Era abamu ku bo ne balagirwa okulabirira ebikoza emirimu n'ebintu byonna eby'omu watukuw, n'obutta obulungi, n'omwenge, n'amafuta, n'omugavu, n'eby'akaloosa.
30 Era abamu ku baana ba bakabona ne balongoosanga kalifuwa ow'eby'akaloosa.
31 Ne Mattisiya, omu ku Baleevi, omubereberye wa Sallumu Omukoola, ye yalina omulimu ogwateekebwawo ogw'okulabirira ebyo ebyasiikirwanga mu mmumbiro.
32 Era abamu ku baganda baabwe ku baana ba b'Abakokasi be baalabiriranga emigaati egy'okulaga, okugirongoosanga buli ssabbiiti.
33 Era bano be bayimbi, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, abaasula mu nju era abaasonyiyibwa okuweereza okulala: kubanga baakolanga omulimu gwabwe emisana n'ekiro.
34 Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, okubuna emirembe gyabwe, abasajja abasinga obukulu: abo baabeeranga e Yerusaalemi.
35 Ne kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeeri, mukazi we erinnya lye Maaka:
36 ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Neeri, ne Nadabu;
37 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekkaliya, ne Mikuloosi.
38 Mikuloosi n'azaala Simeyamu. Era nabo ne babeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, nga boolekera baganda baabwe.
39 Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala SawuIo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali.
40 Ne Meribubaali ye yali mutabani wa Yonamani; Meribubaali n'azaala Mikka.
41 Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi.
42 Akazi n'azaala Yala; Yala n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza;
43 Moza n'azaala Bineya; ne Lefaya nutabani we, Ereyaasa mutabani we, Azeri mutabani we;
44 Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amanya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani: abo be baali batabani ba Azeri.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri e badduka Abafirisuuti ne bagwanga battiddwa ku lusozi Girubowa.
2 Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu, ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3 Awo olutalo Sawulo ne lumugendera bubi, abalasi ne bamutuukako; neyeeraliikirira olw'abalasi.
4 Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banswaza. Naye eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'agaana; kubanga yarya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5 Awo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afa.
6 Sawulo n'afa bw'atyo ne batabani be bonsatule; n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
7 Awo abasajja bonna aba Isiraeri abaali mu kiwonvu bwe baalaba nga badduse, era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Awo olwatuuka olw'okubiri, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9 Ne bamwambula, ne baddira omutwe gwe n'ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi y'Abafirisuuti enjuyi zonna, okutwala ebigambo ebyo eri ebifaananyi byabwe, n'eri abantu.
10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya bakatonda baabwe, ne basimba omutwe gwe mu ssabo lya Dagoni.
11 Awo ab'e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye bakoze Sawulo,
12 abazira bonna ne bagolokoka ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gaabwe wansi w'omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.
13 Bw'atyo Sawulo n'afa olw'okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw'ekigambo kya Mukama ky'ataakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko omuzimu, okumubuulizaamu,
14 n'atalagulwa eri Mukama: kyeyava amutta, n'akyusa obwakabaka eri Dawudi mutabani wa Yese.
   

Next
Back