| |
|
|
| 1 |
Era bano be bajja eri Dawudi e Zikulagi ng'akyekwese olwa Sawulo, mutabani wa Kiisi: era baabanga mu basajja ab'amaanyi abaamubeeranga okulwana. |
| 2 |
Baakwatanga emitego era baayinza okuvuumuula amayinja n'okulasa obusaale ku mutego n'omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono; baali ba ku baganda ba Sawulo, ba Benyamini. |
| 3 |
Akiyezeri ye yali omukulu, Yowaasi n'amuddirira, batabani ba Semaa Omugibeya; ne Yeziyeri ne Pereti, batabani ba Azumavesi; ne Beraka, ne Yeeku Omwanasosi; |
| 4 |
ne Isumaya Omugibyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo amakumi asatu, era omukulu w'amakumi asatu; Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanani, ne Yozabadi Omugederi; |
| 5 |
Eruzayi ne Yerimosi, ne Beyaliya ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu; |
| 6 |
Erukaana ne Issiya ne Azaleri ne Yowezeeri ne, Yasobeyamu, Abakoola; |
| 7 |
ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba Yerokamu ow'e Gedoli. |
| 8 |
Ne ku Bagaadi ne kweyawula abaagoberera Dawudi ku kiddukiro mu ddungu abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayigirizibwa okulwana, abaayinza okukwata engabo n'effumu; amaaso gaabwe nga gafaanana amaaso g'empologoma, era ab'embiro ng'empeewo eziri ku nsozi; |
| 9 |
Ezeri omukulu, Obadiya ow'okubiri, Eriyaabu ow'okusatu; |
| 10 |
Misumanna ow'okuna, Yeremiya ow'okutaano; |
| 11 |
Attayi ow'omukaaga, Eriyeri ow'omusanvu; |
| 12 |
Yokanani ow'omunaana, Eruzabadi ow'omwenda; |
| 13 |
Yeremiya ow'ekkumi, Makubannayi ow'ekkumi n'omu. |
| 14 |
Abo ab'oku baana ba Gaadi be baali abakulu b'eggye; omuto nga yenkana ekikumi, n'omukulu nga yenkana olukumi. |
| 15 |
Abo be baasomoka Yoludaani mu mwezi ogw'olubereberye, nga gumaze okwanjaala ku ttale lyagwo lyonna; ne bagoba abo bonna ab'omu biwonvu, ebuvanjuba era n'ebugwanjuba. |
| 16 |
Awo ku baana ba Benyamini ne Yuda ne kujja mu kiddukiro eri Dawudi. |
| 17 |
Dawudi n'afuluma okubasisinkana, n'addamu n'abagamba nti Oba nga muzze gye ndi mirembe okunnyamba, omutima gwange guneegatta nammwe: naye oba nga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga temuli kabi nu mikono gyange, Katonda wa bajjajjaffe akitunuulire, akinenye: |
| 18 |
Awo omwoyo ne gulyoka gujja ku Amasayi, eyali omukulu w'abo anakumi asatu, n'ayogera nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, gwe mutabani wa Yese: emirembe, emirembe gibe gy'oli, era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula abaami b'ekitongole. |
| 19 |
Era ne ku Manase ne kusenguka abamu ne basenga Dawudi, bwe yajja awamu n'Abafirisuuti okutabaala Sawulo, naye ne batabayamba: kubanga abakungu b'Abafirisuuti bwe baamala okuteesa ne bamugoba, nga boogera nti Anaasenga mukama we Sawulo n'aleeta akabi ku mitwe gyaffe. |
| 20 |
Bwe yali ng'agenda e Zikulagi, ne kumusenga ku Manase Aduna ne Yozabadi ne Yediyayaeri ne Mikayiri ne Yozabadi ne Eriku ne Zirresayi, abaami b'enkumi aba Manase. |
| 21 |
Ne bayamba Dawudi okulwana n'ekibiina eky'abakwekwesi: kubanga bonna baali basajja ba maanyi abazira, era nga baami ab'omu ggye. |
| 22 |
Kubanga buli lunaku ne bajja eri Dawudi okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye ddene, erifaanana eggye lya Katonda. |
| 23 |
Era gino gye miwendo gy'emitwe gy'abo abaakwata ebyokulwanyisa okulwana, abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okukyusa obwakabaka bwa Sawulo eri ye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. |
| 24 |
Abaana ba Yuda abaakwatanga engabo n'effumu baali kakaaga mu lunaana abaakwata ebyokulwanyisa okulwana. |
| 25 |
Ku baana ba Simyoni abasajja ab'amaanyi abazira okulwana, kasanvu mu kikumi. |
| 26 |
Ne ku baana ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga. |
| 27 |
Era Yekoyaada ye yali omukulembezi w'ennyumba ya Alooni, era ne waba wamu naye enkumi ssatu mu lusanvu; |
| 28 |
ne Zadooki, omulenzi ow'amaanyi omuzira, ne ku nnyumba ya kitaawe, abaami amakumi abiri mu babiri. |
| 29 |
Ne ku baana ba Benyamini, baganda ba Sawulo, enkumi ssatu: kubanga okutuusa ku biro ebyo abasinga obungi baali banyweredde ku nnyumba ya Sawulo. |
| 30 |
Ne ku baana ba Efulayimu, obukumi bubiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayatiikirira mu nayumba za bajjajjaabwe. |
| 31 |
Ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, kakumi mu kanaana, abaayatulwa amanaya gaabwe okujja okufuula Dawudi kabaka. |
| 32 |
Ne ku baana ba Isakaali, abasajja abaategeera ebiro bwe byali, okumanya ebigwaLi nidde Isiraeri okukola; emitwe gyabwe gyali ebikumi bibiri; ne baganda baabwe bonna baagonderanga okulsgira kwabwe. |
| 33 |
Ku Zebbulooni abo abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, n'ebyokulwanyisa eby'engeri zonna, obukumi butaano; era abaayinza okusimba (enayiriri,) so abataali ba mitima ebiri. |
| 34 |
Ne ku Nafutaali, abaami lukumi, era wamu n'abo abalina engabo n'effumu, obukumi busatu mu kasanvu. |
| 35 |
Ne ku Badani abaayinza okusimba nnyiriri, obukumi bubiri mu kanaana mu lukaaga. |
| 36 |
Ne ku Aseri, abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, obukumi buna. |
| 37 |
N'emitala wa Yoludaani, ku Balewubeeni n'Abagaadi ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, nga balina ebyokulwaayisa eby'engeri zonna olw'olutalo, kasiriivu mu obukumi bubiri. |
| 38 |
Abo bonna, abasajja abalwanyi, abaayinza okusimba ennyiriri, ne bajja n'omutima ogwatuukirira e Kebbulooni, okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yenna: era n'Abaisiraeri abalala bonna baalina omutima gumu okufuula Dawudi kabaka. |
| 39 |
Awo ne bamalayo wamu ne Dawudi ennaku ssatu nga balya era nga benywa: kubanga baganda baabwe baali babategekedde. |
| 40 |
Era nate abo abaabali okumpi, okutuuka ku Isakaali ne Zebbulooni ne Nafutaali, ne baleeta emigaati ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumba ne ku nte, ebyokulya eby'obutta; n'ebitole eby'ettiini n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu n'omwenge n'amafuta n'ente n'endiga nnyingi: kubanga mu Isiraeri nga mulimu essanyu. |
| |
|