1 Ebyomumirembe  

Essuula 21

1 Awo Setaani n'ayimirira okulwana ne Isiraeri, n'asendasenda Dawudi okubala Isiraeri.
2 Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulu b'abantu nti Mugende mubale Isiraeri okuva e Beeruseba okutuusa e Ddaani; munzirize ebigambo ntegeere omuwendo gwabwe.
3 Yowaabu n'ayogera nti Mukama ayongere abantu be okusinga omuwendo gwabwe oguliwo kaakano emirundi kikumi: naye, mukama wange kabaka, bonna si baddu bamukama wange? mukama wange kiki ekimulagizza ekigambo kino? kiki ekimwagaza okuba ensonga y'omusango eri Isiraeri?
4 Era naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu: Yowaabu kyeyava agenda n'abuna Isiraeri yonna, n'ajja e Yerusaalemi.
5 Yowaabu n'aleetera Dawudi omuwendo ogw'abantu gwe baabalibwa. Abantu bonna aba Isiraeri baali kakadde mu kasiriivu abasajja abaasowolanga ebitala: ne Yuda baali abasajja obusiriivu buna mu obukumi musanvu abaasowolanga ebitala.
6 Naye teyassaako Leevi ne Benyamini: kubanga ekigambo kya kabaka kya mutama Yowaabu.
7 Katonda n'anyiigira ekigambo ekyo; kyeyava abonyaabonya Isiraeri.
8 Dawudi n'agamba Katonda nti.Nnyonoonye nnyo, kubanga nakola ekigambo ekyo: naye kaakano, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bwa muddu wo; kubanga nakola eky'obusirusiru bungi.
9 Mukama n'agamba Gaadi nabbi wa Dawudi nti
10 Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo:
11 Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Weerobozeeko ky'onooyagala;
12 oba emyaka esatu egy'enjala; oba emyezi esatu okumalirwawo mu maaso g'abalabe bo, ekitala ky'abalabe bo nga kikutuukako; oba ekitala kya Mukama ennaku ssatu, kawumpuli ng'ali mu nsi; ne malayika wa Mukama ng'azikiriza mu nsalo zonna eza Isiraeri. Kale nno, lowooza bwe mba mmuddamu oyo antumye.
13 Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: ngwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi nnyo: nneme okugwa mu mukono gw'abantu.
14 Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri: awo ku Isiraeri ne kufa abasajja obukumi musanvu.
15 Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemi okukizikiriza: awo ng'anaatera okuzikiriza, Mukama n'atunula, ne yejjusa akabi, n'agamba malayika azikiriza nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Malayika wa Mukama n'ayimirira awali egguuliro lya Olunaani Omuyebusi:
16 Dawudi n'ayimusa amaaso ge n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte ekitala ekisowoddwa mu ngalo ze, ekigoloddwa ku Yemsaalemi. Awo Dawudi n'abakadde, nga bambadde ebibukutu, ne balyoka bavuunama amaaso gaabwe.
17 Dawudi n'agamba Katonda nti Si nze nalagira okubala abantu? Me nnyonoonye ne nkola eby'ekyejo kingi; naye endiga zino bakoze ki bo? nkwegayiridde, ai Mukama Katonda wange, omukono gwo gube ku nze ne ku nnyumba yo kitange; naye guleme okuba ku bantu bo babe ne kawumpuli,
18 Awo malayika wa Mukama n'alabnra Gaadi okugamba Dawudi, Dawudi ayambuke, azimbire ekyoto eri Mukama mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
19 Dawudi n'ayambuka olw'ekigambo kya Gaadi, kye yayogera mu linnya lya Mukama.
20 Olunaani n'akyuka n'alaba malayika; ne batabani be abana abaali naye ne beekweka. Era Olunaani yali ng'awuula eŋŋaano,
21 Awo Dawudi bwe yajja eri Olunaani, Olunaani n'atunula n'alaba Dawudi, n'ava mu gguuliro, n'avuunamira Dawudi amaaso ge.
22 Awo Dawudi n'agamba Olunaani nti Mpa ekibanja eky'egguuliro lino, nzimbewo ekyoto eri Mukama; onoogulana nange n'ebintu ng'omuwendo gwalyo gwennyini bwe guli obutaseera: kawumpuli; aziyizibwe mu bantu.
23 Awo Olunaani n’agamba Dawudi nti Lyetwalire, mukama wange kabaka akole ekyo ky'anaasiima: laba, nkuwadde ente okuba ebiweebwayo ebyokebwa n'ebintu ebiwuula okuba enku n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky'obutta; byonna mbiwa buwa:
24 Kabaka Dawudi n'agamba Olunaani nti Nedda; naye mazima naaligula n'ebintu obutaseera: kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, so siiweeyo ekiweebwayo ekyokebwa ekitanzitidde byange:
25 Awo Dawudi n'awa Olunaani okugula ekibanja sekeri eza zaabu ezipimibwa lukaaga.
26 Dawudi n'azimba eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asaba Mukama; n'amuddamu n'omuliro ng'ayima mu ggulu ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa.
27 Mukama n'alagira malayika; n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28 Mu biro ebyo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, n'aweerayo eyo ssaddaaka.
29 Kubanga eweema ya Mukama, Musa gye yakola mu ddungu, n'ekyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa, mu biro ebyo nga biri mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.
30 Naye Dawudi n'atayinza kujja mu maaso gaayo okubuuza Katonda; kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Awo Dawudi n'ayogera nti Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.
2 Awo Dawudi n'alagira okukuInaanya bannaggwanga abaali mu nsi ya Isiraeri; n'assaawo ab'amayinja okutema amayinja amabajje okuzimba ennyumba ya Katonda.
3 Dawudi n'ategeka ebyuma bingi olw'enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika;
4 n'emivule egitabalika: kubanga Abazidoni n'Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi.
5 Dawudi n'ayogera nti Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n’ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna: kyendiva ngitegekera. Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.
6 Awo n'ayita Sulemaani mutabatii we n'amukuutira okuzimbira ennyumba Mukama Katonda wa Isiraeri.
7 Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba.
8 Naye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo enkulu: tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange;
9 laba, olizaalirwa omwana wa bulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna: kubanga erinnya lye aliba Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye:
10 oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana, wange, nange naabanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ku Isiraeri emirembe gyonna:
11 Kale, mwana wange, Mukama abe naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako.
12 Kyokka Mukama akuwe amagezi n'okutegeera, akukuutire ebya Isiraeri; olyoke okwate amateeka ga Mukama Katonda wo.
13 Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'emisango, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri: ba n'amaanyi ogume omwoyo; totya so totekemuka.
14 Laba nno, mu kubonyabonyezebwa kwange ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era a'emiti n'amayinja ntegese; oyongereko ggwe.
15 Era nate waliwo naawe abakozi b'emirimu bangi nnyo, abatema n'abakola emirimu egy'amayinja n'emiti, n'abantu bonna abalina amagezi ag'omulimu gwonna;
16 zaabu ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma tebibalika; golokoka okole, era Mukama abeere naawe.
17 Era Dawudi n'alagira n'abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng'ayogera nti
18 Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? era tabawadde mirembe enjuyi zonna? kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maasa ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be.
19 Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; kale mugolokoke muzimbe ekigwa kya Mukama Katonda, okuleeta essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda okubiyingiza mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Awo Dawudi yali ng'akaddiye era ng'awangadde ennaku nnyingi; n'afuula Sulemaani mutabani we kabaka wa Isiraeri.
2 N'akuŋŋaanya abakulu bonna aba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi.
3 Abaleevi ne babalibwa okuva ku myaka amakumi asatu n'okukirawo: n'omuwendo gwabwe ng'emitwe bwe gyali buli muntu kinnoomu gwali lobukumi busatu mu kanaana.
4 Ku abo obukumi bubiri mu enkumi nnya ba kulabirira mulimu gwa mu nnyumba ya Mukama; n'akakaaga baami n'abaasalanga emisango:
5 n'enkumi nnya baggazi; era nate enkumi nnya baatenderezanga Mukama n'ebintu bye nnakola, bwe yayogera Dawudi, okutenderezanga nabyo.
6 Dawudi n'abasalamu empalo ng'abaana ba Leevi bwe baali; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
7 Ku Bagerusoni; Ladani ne Simeeyi.
8 Batabani ba Ladani; Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu.
9 Batabani ba Simeeyi; Seromosi, ne Kaziyeri, ne Kalani, basatu. Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani.
10 Ne batabani ba Simeeyi: Yakasi, Zina, ne Yewusi, ne Beriya. Abo abana baali batabani ba Simeeyi.
11 Ne Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali ow'okubiri: naye Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi; kyebaava babalirwa awamu okuba ennyumba ya bakitaabwe.
12 Batabani ba Kokasi; Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri, bana.
13 Batabani ba Amulaamu; Alooni ne Musa: Alooni n'ayawulibwa atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, ye ne batabani be emirembe gyonna, okwoterezanga obubaane mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
14 Naye Musa omusajja wa Katonda; batabani be baayatulwa mu kika kya Leevi.
15 Batabani ba Musa; Gerusomu ne Eryeza.
16 Batabani ba Gerusomu; Sebweri omukulu.
17 Ne batabani ba Eryeza be bano, Lekabiya omukulu. Eryeza n'ataba na baana balala ba bulenzi; naye batabani ba Lekabiya ne baba bangi nnyo.
18 Batabani ba Izukali; Seromisi omukulu
19 Batabani ba Kebbulooni; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeri ow'okusatu, ne Yekameya mu ow'okuna.
20 Batabani ba Wuziyeeri; Mikka omukulu, ne Issiya ow'okubiri.
21 Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli; Eriyazaali ne Kiisi.
22 Eriyazaali n'afa, nga talina baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala beereere: baganda baabwe batabani ba Kiisi ne babafumbirwa
23 Batabani ba Musi; Makuli ne Ederi, ne Yeremosi, basatu.
24 Abo be baali batabani ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abo abaabalibwa ku bo mu muwendo gw'amannya ng'emitwe gyabwe bwe gyali, abaakola omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo.
25 Kubanga Dawudi yayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri awadde abantu be eaurembe; era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna:
26 era Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema n'ebintu byonna ebyako olw'okuweerezanga kwayo.
27 Kubanga olw'ebigambo bya Dawudi eby'enkomerero abaana ba Leevi kyebaava babalibwa, abaakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo.
28 Kubanga omulimu gwabwe kuweerezanga batabani ba Alooni olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, gwe mulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda;
29 era n'olw'emigaati egy'okulaga n'olw'obutta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, oba migaati gya mpewere egitazimbulukuswa oba ekyo ekisiikibwa ku kikalango, oba ekyo elunnyikibwa, n'olw'engeri zonna elugero bwe kyenkana n'obunene bwe bwenkana;
30 n'okuyimiriranga buli nkya okwebazanga n'okutenderezanga Mukama, era bwe batyo akawungeezi;
31 n'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa byonna eri Mukama, ku ssabbiiti, n'emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo, omuwendo gwabyo ng'ekiragiro kyabyo bwe kiri, obutayosanga mu maaso ga Mukama:
32 era bakuumenga eweema ey'okusisinhanirangamu gye baateresebwa, n'ekifo ekitukuvu kye baateresebwa, n'ebyo batabani ba Alooni baganda baabwe bye baateresebwa, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
1 N'empalo za batabani ba Alooni zaali zino. Batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
2 Naye Na'dabu ne Abiku ne basooka kitaabwe okufa nga tebalina baana: Eriyazaali ne Isamaali kyebaava bakola omulimu ogw'obwakabona.
3 Dawudi wamu ne Zadoki ow'oku batabani ba Eriyazaali ne Akimereki ow'oku batabani ba Isamaali ne babasalamu ng'ebisanja byabwe bwe byali mu kuweereza kwabwe.
4 Awo ne walabika abasajja abakulu ku batabani ba Eriyazaali bangi okusinga ab'oku batabani ba Isamaali; era bwe bati bwe baasalibwamu: ku batabani ba Eriyazaali kwaliko kkumi na mukaaga, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; ne ku batabani ba Isamaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, munaana.
5 Bwe bati bwe baasalibwamu na bululu, emitindo gyonna wamu; kubanga waaliwo abakulu ab'omu kifo ekitukuvu n'abakulu ba Katonda, ku batabani ba Eriyazaali era ne ku batabani ba Isamaali
6 Awo Semaaya mutabani wa Nesaneri omuwandiisi ow'oku Baleevi, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka b'abakulu ne Zadoki kabona ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; ennyumba emu eya bakitaabwe ng'eronderwa Eriyazaali, n'endala ng'eronderwa Isa maali.
7 Awo akaluIu ak'olubereberye ne kamugwako Yekoyalibu, ak'okubiri Yedaya;
8 ak'okusatu Kalimu, ak'okuna Seyolimu;
9 ak'okutaano Malukiya; ak'omukaaga Miyamini;
10 ak'omusanvu Kakkozi, ak'omunaana Abiya;
11 ak'omwenda Yesuwa; ak'ekkumi Sehaniya;
12 ak'ekkumi n'akamu Eriyasibu, n'ak'ekkumi n'obubiri Yakimu;
13 ak'ekkumi n'obusatu Kuppa, ak'ekkumi n'obuna Yesebeyabu;
14 ak'ekkumi n'obutaano Biruga, ak'ekkumi n'omukaaga Immeri;
15 ak'ekkumi n'omusanvu Keziri, ak'ekkumi n'omunaana Kapizzezi;
16 ak'ekkumi n'omwenda Pesakiya, ak'amakumi abiri Yekezukeri;
17 ak'abiri mu kamu Yakini, ak'abiri mu bubiri Gamuli;
18 ak'abiri mu busatu Deraya, ak'abiri mu buna Maaziya.
19 Bino bye byali ebisanja byabwe mu kuweereza kwabwe, okuyingiranga mu nnyumba ya Mukama ng'ekiragiro bwe kyali kye baaweebwa mu mukono gwa Alooni jjajjaabwe, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yali amulagidde.
20 Ne ku batabani ba Leevi abalala: ku batabani ba Amulaamu Subayeri; ku batabani ba Subayeri, Yedeya.
21 Ku Lekabiya: ku batabani ba Lekabiya; Issiya omukulu.
22 Ku Bayizukali, Seromosi; ku batabani ba Seromosi, Yakasi.
23 Ne batabani ba Kebulooni; Yeriya omukulu, Amaliya ow'okubiri, Yakaziyeri ow'okusatu, Yekameyamu ow'okuna.
24 Batabani ba Winziyeeri, Mikka; ku batabani ba Mikka, Samiri.
25 Muganda wa Mikka, Issiya: ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.
26 Batabani ba Merali; Makuli ne Musi: batabani ba Yaaziya; Beno.
27 Batabani ba Merali; ku Yaaziya, Beao ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
28 Ku Makuli; Eriyazaali, ataazaala baana ba bulenzi.
29 Ku kiisi; batabani ba Kiisi, Yerameeri.
30 Ne batabani ba Musi; Makuli ne Ederi, ne Yerimosi. Abo be baali batabani b'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
31 Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu nga baganda baabwe batabani ba Alooni mu maaso ga Dawudi kabaka, ne Zadoki ne Akimereki n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza bakabona n'Abaleevi; (ennyumba) za bakitaabwe ez'omukulu okufaanana eza muganda we omuto.
   

Essuula 25

[Ddayo waggulu]
1 Era nate Dawudi n'abaami b’eggye ne baawulira okuweereza okwo abamu ku batabani ba Asafu n'aba Kemani n'aba Yedusuni, ab'okulagula n'ennanga, n'entongooli, n'ebitaasa: n'omuwendo gwabo abaakola omulimu ng'okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti:
2 ku batabani ba Asafu; Zakkuli ne Yusufu ne Nesaniya ne Asalera, batabani ba Asafu; wansi w'omukono gwa Asafu eyalagulanga ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali.
3 Ku Yedusuni: batabani ba Yedusuni; Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Kasabiya ne Mattisiya, mukaaga; wansi w'emikono gya kitaabwe Yedusuni nga balina ennanga, abaalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama,
4 Ku Kemani; batabani ba Kemani; Bukkiya, Mattaniya, Wuziyeeri, Sebuweri, ne Yerimoosi, Kananiya, Kanani, Eriyaasa, Giddaluti, ne Lomamutyezeri, Yosubekasa, Mallosi, Kosiri, Makaziyoosi:
5 abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi. wa kabaka mu bigambo bya Katonda, okuyimusanga ejjembe. Katonda n'awa Kemani abaana ab'obulenzi kkumi na bana n'ab'obuwala basatu.
6 Abo bonna baabanga wansi w'emikono gya kitaabwe okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n'ebitaasa, n'entongooli, n'ennanga, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; Asafu, Yedusuni, ne Kemani nga bali wansi w'ekiragiro kya kabaka.
7 N'omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa akuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
8 Ne bakubira ebyo bye baateresebwa obululu bonna okwenkana, abato era n'abakulu, omuyigiriza era n'omuyigirizwa.
9 Awo akalulu ak'olubereberye ne kamugwako Yusufu olwa Asafu: ak'okubiri Gedaliya; ye ne baganda be ne batabani be baali kkumi na; babiri:
10 ak'okusatu Zakkuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
11 ak'okuna Izuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
12 ak'okutaano Nesaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
13 ak'omukaaga Bukkiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
14 ak'omusanvu yesalera, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
15 ak'omunaana yesaya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
16 ak'omwenda Mattaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
17 ak'ekkumi Simeeyi, batabani be ne baganda be,ykkumi naI babiri:
18 ak'ekkumi n'akamu Azaleeri, batabani be ne baganda be kkumi na babiri:
19 ak'ekkumi n'obubiri Kasabiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
20 ak'ekkumi n'obusatu, Subayeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri :
21 ak'ekkumi n'obuna Mattisiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
22 ak'ekkumi n'obutaano Yeremoosi, batabani be be baganda be, kkumi na babiri:
23 ak'ekkumi n'omukaaga Kananiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
24 ak'ekkumi n'omusanvu Yosubekasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
25 ak'ekkumi n'omunaana Kanani, batabani be ne baganda be kkumi na babiri:
26 ak'ekkumi n'omwenda Mallosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
27 ak'amakumi abiri Eriyaasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
28 ak'abiri mu kamu Kosiri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
29 ak'abiri mu bubiri Giddaluti, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
30 ak'abiri mu busatu Makaziyoosi, batabani be ne, baganda be, kkumi na babiri:
31 ak'abiri mu buna Lomamutyezeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri.
   

Essuula 26

[Ddayo waggulu]
1 Olw'empalo z'abaggazi: ku Bakola; Meseremiya mutabani wa Kole, ku batabani ba Asafu.
2 Era Meseremiya yalina abaana ab'obulenzi; Zekkaliya omubereberye, Yediyayeri ow'okubiri, Zebadiya ow'okusatu, Yasuniyeri ow'okuna;
3 Eramu ow'okutaano, Yekokanani ow'omukaaga, Eriwenayi ow'omusanvu.
4 Era Obededomu yalina abaana ab'obulenzi; Semaaya omubereberye, Yekozabadi ow'okubiri, Yowa ow'okusatu, ne Sakali ow'okuna, ne Nesaneeri ow'okutaano;
5 Ammiyeri ow'omukaaga, Isakaali ow'omusanvu, Pewulesayi ow'omunaana: kubanga Katonda n'amuwa omukisa.
6 Era Semaaya mutabani we n'azaalirwa abaana ab'obulenzi, abaafuga ennyumba ya kitaabwe: kubanga baali basajja ba maanyi abazira.
7 Batabani ba Semaaya; Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi, ne Eruzabadi, baganda baabwe basajja bazira, Eriku, ne Semakiya.
8 Abo bonna baali ba ku baana ba Obededomu: bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe; abasajja ab'amaanyi abaamala okuweereza okwo; amakumi asatu mu babiri ab'oku Obededomu.
9 Era Meseremiya yalina abaana n'ab'oluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana.
10 Era Kosa ow'oku baana ba Merali yalina abaana; Simuli omukulu, (kubanga kitaawe yamufuula omukulu newakubadde nga si ye mubereberye;)
11 Kirukiya ow'okubiri, Tebaliya ow'okusatu, Zekkaliya ow'okuna: batabani ba Kosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu.
12 Empalo z'abaggazi zaali z'abo, za basajja bakulu, nga baliko bye bateresebwa Inga baganda baabwe, okuweererei zanga mu nnyumba ya Mukama.
13 Ne bakuba obululu, abato era n'abakulu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali olwa buli mulyango.
14 Akalulu ak'ebuvanjuba ne kamugwako Seremiya. Awo ne bakubira obululu Zekkaliya mutabani we, omuteesa ow'amagezi; akalulu ke ne kamugwako ku buliika obwa kkono.
15 Obededomu ku bukiika obwka ddyo; ne batabani be (ne baweebwa) eggwanika.
16 Suppimu ne Kosa ebugwanjuba, awaali omulyango Salekesi awaali olutindo oluyambuka, abakuumi nga boole kera bakuumi bannaabwe.
17 Abaleevi mukaaga baali ku luuyi olw'e, buvanjuba, ku bukiika obwa kkono buli lunaku bana, ku bukiika obwa ddyo buli lunaku bana, n'ab'eggwanika babiri babiri.
18 Aba Palubali ku luuyi olw'ebugwanjuba, awaali olutindo bana, ne ku Palubali babiri.Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali,
19 Ezo ze zaali empalo z'abaggazi; ku batabani b'Abakola ne ku batabani ba Merali.
20 Ne ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w'amawanika g'ennyumba ya Katonda, era w'amawanika g'ebintu ebyawongebwa.
21 Batabani ba Ladani; batabani b'Abagerusoni aba Ladani, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Ladani Omugerusoni; Yekyeri.
22 Batabani ba Yekyeri; Zesamu, ne Yoweeri muganda we, abakulu b'amawatuka g'ennyumba ya Mukama.
23 Ku Baamulamu, ku Bayizukali, ku Bakebbulooni, ku Bawuziyeeri:
24 ne Sebweri mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omukulu w'amawanika.
25 Ne baganda be; ku Eryeza ne kuva Lekabiya mutabani we, ne Yesaya mutabani we, ne Yolaamu mutabani we, ne Zikuli mutabani we, ne Seromosi mutabani we.
26 Seromosi oyo ne baganda be be baali abakulu b'amawanika gonna ag'ebintu ebyawongebwa, Dawudi kabaka n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abaami b'enkumi n'ebikumi, n'abaami b'eggye, bye baawonga.
27 Ku munyago gwe baanyaga mu ntalo kwebaggya okuwonga okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
28 Ne byonna Samwiri nabbi ne Sawulo mutabani wa Kiisi ne Abuneeri mutabani wa Neeri ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya bye baawonga; buli muntu yenna eyawonga ekintu kyonna, kyabanga wansi w'omukono gwa Seromosi ne baganda be.
30 Ku Bayizukali, Kenaniya ne batabani be baafuganga Isiraeri olw'omulimu ogw'ebweru, okuba abaami n'abalamuzi.
30 Ku Bakebbulooni, Kasabiya ne baganda be, abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, be baalabiriranga Isiraeri emitala wa Yoludaani ebugwanjuba; olw'omulimu gwonna ogwa Mukama n'olw'okuweereza kabaka.
31 Yeriya yali mukulu ku Bakebbulooni, ku Bakebbulooni kwe yali, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu (nnyumba) za bakitaabwe. Mu mwaka ogw'ana Dawudi kasookedde alya obwakabaka ne banoonyezebwa, ne mulabika mu bo abasajja ab'amaanyi abazira e Yazeri eky'e Gireyaadi.
32 Ne baganda be abasajja abazira baali enkumi bbiri mu lusanvu, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, kabaka Dawudi be yafuula abalabirizi b'Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika eky'Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n'olw'ebigambo bya kabaka.
   

Essuula 27

[Ddayo waggulu]
1 Awo abaana ba Isiraeri ng'omuwendo gwabwe bwe gwali, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka mu buli kigambo eky'empalo ezaayingiranga ne zifulumanga buli mwezi okumala emyezi gyonna egy'omwaka, aba buli luwalo baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
2 Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w'oluwalo olw'olubereberye olw'omu mwezi ogw'olubereberye: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi naya.
3 Oyo yali wa ku baana ba Pereezi, omukulu w'abaami bonna ab'eggye mu mwezi ogw'olubereberye.
4 Ne Dodayi Omwakowa n'oluwalo lwe ye yali omukulu w'oluwalo olw'omwezi ogw'okubiri; ne Mikuloosi omukungu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
5 Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye ow'omu mwezi ogw'okusatu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
6 Ono ye Benaya oyo eyali omusajja ow'amaanyi ow'oku abo amakumi asatu, era omukulu w'abo amakumi asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa ku luwalo lwe.
7 Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omwami ow'okuna ow'omu mwezi ogw'okuna, ne Zebadiya mutabani we oluvannyuma lwe: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
8 Samukusi Omuyizula ye yali omwami ow'okutaano ow'omu mwezi ogw'okutaano: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
9 Ira mutabani wa Ikesi Omutekowa ye yali omwami ow'omukaaga ow'omu mwezi ogw'omukaaga: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10 Kerezi Omuperoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'omusanvu ow'omu mwezi ogw'omusanvu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
11 Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera ye yali omwami ow'omunaana ow'omu mwezi ogw'omunaana: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
12 Abiyezeeri Omwanasosi ow'oku Babenyamini ye yali omwami ow'omwenda ow'omu mwezi ogw'omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumii bubiri mu enkumi nnya.
13 Makalayi Omunetofa ow'oku Bazera Ye yali omwami ow'ekkumi ow'omu mwezi ogw'ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
14 Benaya Omupirasoni ow'oku baana ba Efulayimu ye Yali omwami ow'ekkumi n'omu ow.omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu' obnkumi bubiri mu enkumi nnya.
15 Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omwami ow'ekkumi n'ababiri ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri; ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
16 Nate abaafuga ebika bya Isiraeri: ku Balewubeeni Eryeza mutabani wa Zikuli afuga: ku Basimyom Sefatiya mutabani wa Maaka:
17 ku Leevi Kasabiya mutabani wa Kemweri: ku Alooni Zadoki:
18 ku Yuda Eriku, omu ku baganda ba Dawudi: ku Isakaali Omuli mutabani wa Mikayiri;
19 ku Zebbulooni Isumaaya mutabani wa Obadiya: ku Nafutaali Yeremosi mutabani wa Azutiyeeri:
20 ku baana ba Efulayimu Koseya mutabani wa Azaziya: ku kitundu ky'ekika kya Manase Yoweeri mutabani wa Pedaya:
21 ku kitundu ky'ekika kya Manase mu Gireyaadi Iddo mutabani wa Zekkaliya; ku Benyamini Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri:
22 ku Ddaani Azaleeri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abaami b'ebika bya Isiraeri.
23 Naye Dawudi n'atabala muwendo gwabo abaakamaze emyaka amakumi abiri n'abatannaba kutuusa egYo, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ng'emmunyeenye ez'omu ggulu,
24 Yowaabu mutabani vva Zeruyiya yatanula okubala, naye n'atamaliriza: obusungu kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
25 Era Azumaveesi mutabani wa Adyeri yali mukulu wa mawanika Ba kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya yali mukulu wa mawanika ag'oku ttale n'ag'omu bibuga n'ag'omu byalo n'agomu bigo:
26 ne Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakola emirimu egy'omu nnimiro olw'okulima ettaka:
27 ne Simeeyi Omulaama Ye Yali omukulu w'ensuku z'emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w'ebibala eby'ensuku olw'amasenero ag'omwenge:
28 ne Baalukanani Omugedera ye yali omukulu w'emizeyituuni n'emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w'amawanika g'amafuta:
29 ne Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu:
30 ne Obiri Omuyisimaeri ye Yali omukulu w'eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu w'endogoyi:
31 ne Yazizi Omukaguli ye yali omukulu w'embuzi. Abo bonna be baali abakulu b'ebintu ebya kabaka Dawudi.
32 Ne Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, omusajja omutegeevu era omuwandiisi: ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni yabanga wamu n'abaana ba kabaka:
33 ne Akisoferi ye yateesanga ebigambo bya kabaka: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka:
34 Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omwami w'eggye lya kabaka.
   

Essuula 28

[Ddayo waggulu]
1 Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakungu b'ebika n'abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, n'abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi n'abakulu b'ebintu byonna n'obugagga ebya kabaka ne batabani be, wamu n'abaami n'abasajja ab'amaanyi, abasajja bonna ab'amaanyi abazira, e Yerusaalemi.
2 Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti Mumpulire, baganda bange era abantu bange: nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba.
3 Naye Katonda n'annamba nti Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja wa ntalo, era wayiwa omusaayi.
4 Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anziya mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana ba kitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna:
5 ne ku, batabani bange bonna (kubanga Mukama ampadde abaana bangi) n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri.
6 N'aŋŋamba nti Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange: kubanga namulonda okuba mutabani wange, nange naabanga kitaawe.
7 Era naanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okukola ebiragiro byange n'emisango gyange nga leero.
8 Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, ekkuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng'awulira, mukwatenga munoonyenga ebiragiro byonaa ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi mugirekere abaana bammwe okubala obusika emirembe gyonna abanaabangawo oluvannyuma lwammwe.
9 Name, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakugobanga emirembe gyonna.
10 Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekigwa: ba n'amaanyi, okikolanga.
11 Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky'ekisasi kya yeekaalu u'ennyumba zaako n'amawanika gaako n'enju zaako eza waggulu n'ebisenge byako eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira;
12 n'ekyokulabirako ekya byonna bye yalina olw'omwoyo, eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byotma ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa:
13 era eby'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebiweereza mu nnyumba ya Mukama:
14 zaabu epimibwa olw'ebintu ebya zaabu, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna; ffeeza epimibwa olw'ebintu byonna ebya ffeeza, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna:
15 era eby'ettabaaza eza zaabu ebipimibwa, n'eby'ettabaaza zaakyo, zaabu epimibwa ya buli kikondo era ya etabaaza zaakyo: era ya bikondo ebya ffeeza, ffeeza epimibwa ya buli kikondo era ya ttabaaza zaakyo, ng'okuweereza okwa buli kikondo:
16 ne zaabu eyapimibwa ey'emmee za ez'emigaati egy'okulaga, eya buli mmeeza; ne ffeeza ey'emmeeza ez'effeeza:
17 n'eby'okukwasa ennyama n'ebibya n'ebikompe bya zaabu ennungi: era ya bbakuli za zaabu, zaabu eyapimibwa eya buli bbakuli: era ya bbakuli eza ffeeza, ffeeza eyapimibwa eya buli bbakuli:
18 era ey'ekyoto eky'obubaane, zaabu tmongoofu eyapimibwa; era zaabu ya kyakulabirako eky'eggaali, be bakerubi abayanjala ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama.
19 Ebyo byonna, bwe yayogera Dawudi, nabitegeezebwa mu biwandiike ebiva eri omukono gwa Mukama, gye mirimu gyonna egy'omutindo guno.
20 Dawudi n'agamba Sulemaatu mutabani we nti Ba n'amaanyi ogume omwoyo, okikolenga: totyanga so totekemukanga: kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe: taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.
21 Era, laba, waliwo empalo za bakabona n'Abaleevi olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era waliba naawe mu mulimu ogw'engeri zonna buli musajja ayagala ku bubwe alina amagezi ag'okuweereza kwonna: era n'abaami n'abantu bonna banaagondereranga ddala okulagira kwo.
   

Essuula 29

[Ddayo waggulu]
1 Dawudi kabaka n'agamba ekibiina kyonna nti Sulemaani mutabani wange Katonda gw'alonze yekka akyali mwana muto, n'omulimu munene: kubanga eriyumba si lya bantu naye lya Mukama Katonda.
2 Nze nno ntegekedde ennyumba ya Katonda wange n'amaanyi gange gonna zaabu (ey'ebintu) ebya zaabu, ne ffeeza ey'ebintu ebya ffeeza, n'ebikomo eby'ebintu eby'ebikomo, ebyuma eby'ebintu eby'ebyuma, n'emiti egy'ebintu eby'emiti; amayinja aga onuku n'amayinja ag'okutona, amayinja ag'omulimu ogw'enjola n'ag'amabala mangi, n'amayinja ag'omuwendo omungi ag'engeri zonna, n'amayinja amanyirivu mangi nnyo.
3 Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, kubanga nnina obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange, okusukkiriza byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu;
4 talanta eza zaabu enkumi ssatu, zaabu ya Ofiri, ne talanta eza ffeeza eyalongoosebwa kasanvu, okugibissa ku bisenge by'ennyumba nayo:
5 zaabu ya bintu ebya zaabu, ne ffeeza ya bintu ebya ffeeza, n'olw'emirimu egy'engeri zonna egirikolebwa n'emikono gy'abafundi. Kale ani awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama?
6 Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe n'abakulu b'ebika bya Isiraeri n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi wamu n'abalabirizi b'emirimu gya kabaka, ne bawaayo ku bwabwe;
7 ne bawa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda, zaabu talanta enkumi ttaano ne daliki kakumi, ne ffeeza talanta kakumi, n'ebikomo talanta kakumi mu kanaana, n'ebyuma talanta kasiriivu.
8 N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawa eri obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa Yekyeri Omugerusoui.
9 Awo abantu ne basanyuka kubanga baawaayo ku bwabwe, kubanga baawaayo ku bwabwe eri Mukama n'omutima ogutuukiridde: era ne Dawudi kabaka n'asanyuka essanyu ddene.
10 Dawudi kyeyava yeebaliza Mukama mu maaso g'ekibiina kyonna: Dawudi n'ayogera nti Weebazibwe, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri jjajjaffe, emirembe n'emirembe.
11 Obukulu bubwo n'amaanyi n'ekitiibwa n'okuwangula n'okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi (bibyo); obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna.
12 Obugagga era n'ekitiibwa biva gyoli, era ggwe ofuga bonna; era mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi; era mu mukono gwo mwe muli okukuza n'okuwa bonna amaanyi.
13 Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery'ekitiibwa.
14 Naye nze ani n'abantu bange kye ki, ffe okuyinza okuwaayo bwe tutyo ku bwaffe ddala? kubanga byonna biva gyoli, era tukuwadde ku bibyo.
15 Kubanga ffe tuli bagenyi mu maaso go era batambuze nga bajjajjaffe bonna bwe baali: ennaku zaffe ez'oku nsi ziri ng'ekisiikirize, so tewali kubeerera.
16 Ai Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira ennyumba olw'erinnya lyo ettukuvu biva mu mukono gwo, era byonna bibyo
17 Era mmanyi, Katonda wange, nga ggwe okema omutima era osanyukira amazima. Nze, nga nnina omutima ogw'amazima, mpaddeyo ku bwange bino byonna: era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo ku bwabwe gyoli ne nsanyuka.
18 Ai Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Isiraeri, bajjajjaffe, onyweze kino mu kufiuniitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gw'abantu bo, oteeketeeke omutima gwabwe gyoli:
19 era owe Sulemaani mutabani wange omutima ogutuukiridde okukwata ebiragiro byo, n'ebyo bye wategeeza, n'amateeka go, n'okukola ebyo byonna, n'okuzimba ennyumba gye ntegekedde ebintu.
20 Dawudi n'agamba ekibiina kyonna nti Kaakano mwebaze Mukama Katonda wammwe. Ekibiina kyonna ne beebaza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama ne kabaka.
21 Ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku lw'okubiri olunaku olwo nga luwedde, ente lukumi n'endiga ennume lukumi, n'abaana b'endiga lukumi n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, ne ssaddaaka nnyingi nnyo olwa Isiraeri yenna;
22 ne baliira ne banywera mu maaso ga Mukama ku lunaku olwo ne basanyuka nnyo. Ne bafuula Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka omulundi ogw'okubiri, ne bamufukako amafuta eri Mukama okuba omulangira ne Zadoki okuba kabona.
23 Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'alaba omukisa; Isiraeri yenna ne bamugondera.
24 Abakulu bonna n'abasajja ab'amaanyi era ne batabani ba Dawudi kabaka bonna ne bagondera Sulemaani kabaka.
25 Mukama n'agutumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri.
26 Era Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isiraeri yenna.
27 N'ebiro bye yafugira Isiraeri byali emyaka amakumi ana; yafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, era yafugira emyakaa asatu mu esatu mu Yerusaalemi.
28 N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'ajjudde ennakun'obugagga n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29 Era ebikolwa bya Dawudi kabaka, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Samwiri omulabi ne mu bigambo bya Nasani nabbi ne mu bigambo bya Gaadi omulabi;
30 era n'okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebiro ebyamuyitako ye ne Isiraeri n'amatwale gonna ag'ensi ezo.
   

Next
Back