1 Samwiri  

Essuula 1

Amaka ga Erukaana
1 Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu:
2 era yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina: era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana.
3 Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'alinnya okusinza n'okuweerayo mu Siiro ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo.
4 Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerayo ssaddaaka, n'awa emigabo Penina mukazi we ne batabani be ne bawala be:
5 naye n'awa Kaana emigabo ebiri: kubanga yamwagala Kaana, naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
6 Muggya we n'amusunguwaza nnyo okumweraliikiriza, kubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
7 Awo musajja we bwe yakolanga bw'atyo buli mwaka, ye bwe yalinnyanga okugenda mu nnyumba ya Mukama, n'amusunguwaza bw'atyo; kyeyava akaaba amaziga n'agaana okulya
8 Awo Erukaana musajja we n'amugamba nti Kaana, okaabira ki? kiki ekikulobera okulya? n'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? nze sisinga baana kkumi gy'oli obulungi?
9 Awo Kaana n'agolokoka nga bamaze okulya mu Siiro, era nga bamaze okunywa. Awo Eri kabona yali ng'atudde ku ntebe ye awaali omufuubeeto ogw'omu yeekaalu ya Mukama.
10 N'omwoyo gwe gwali nga gumuluma, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga.
11 Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti Ai Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo z'alabye, n'onjijukira n'oteerabira muzaana wo, naye n'owa omuzaana wo omwana ow'obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so n'akamwano tekaliyita ku mutwe gwe:
12 Awo olwatuuka, bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama; Eri ne yekkaanya akamwa ke.
13 teryawulikika. Eri kyeyava alowooza nti atamidde.
14 Eri n'amugamba nti Olituusa wa okutamiiranga? weggyeeko omwenge gwo.
15 Kaana n'addamu n'ayogera nti Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina emwoyo ogunakuwadde: sinywedde mwenge newakubadde ekitimiiza, naye nfuse ebiri mu mmeeme yange mu maaso ga Mukama.
16 Toyita muzaana wo muwala wa Beriali: kubanga mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nnyinye okwogera okutuusa kaakano.
17 Awo Eri n'addamu n’ayogera nti Genda mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye.
18 N'ayogera nti omuzaana wo alabe ekisa mu maaso go. Awo omukazi ne Yeddirayo, n'alya, amaaso ge ne gatatokooterera lwa kubiri.
Okuzaalibwa kwa Samwiri
19 Awo ne bagolokoka enkya mu makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne batuuka mu nnyumba yaabwe mu Laama: Erukaana n'amanya Kaana mukazi we; Mukama n'amujjukira.
20 Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto nazaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma erinnya lye Samwiri, nti Kubanga namusaba eri Mukama.
21 Omusajja Erukaana n'ennyumba ye yonna ne balinnya okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'obweyamo bwe.
22 Naye Kaana n'atalinnya; kubanga Yagamba bba nti Sijja kulinnyayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala alabike mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.
23 Erukaana bba n'amugamba nti Kola nga bw'osiima; beera awo okutuusa lw'olimala okumuggya ku mabeere; kyokka Mukama anyweze ekigambo kye. Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
24 Awo bwe yamala okumuggya ku mabeere, n'amutwala n'agenda naye n'alinnya, ng'alina ente ssatu, ne efa emu ey'obutta, n'ekita eky'omwenge, n'amutwala mu nnyumba ya Mukama mu Siiro: era omwana yali muto.
25 Ne batta ente ne baleetera Eri omwana.
26 N'amugamba nti Ai mukama wange, nga bw'oli omulamu, mukama wange, nze ndi nukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama.
27 Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba;
28 nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu aweereddwayo eri Mukama. Ye n'asinziza Mukama eyo.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
Okusaba kwa Kaana
1 Kaana n'asaba n'ayogera nti Omutima gwange gulaguliza Mukama, Ejjembe lyange ligulumizibwa mu Mukama: Akamwa kange kagaziye ku balabe bange; Kubanga nsanyukita obulokozi bwo.
2 Tewali mutukuvu nga Mukama; Kubanga tewali mulala wabula ggwe: So tewali lwazi oluliŋŋanga Katonda waffe.
3 Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.
4 Emitego egy'abazira gimenyese. N'abo abeesittalanga beesibye amaanyi.
5 Abakkutanga bapakasizza olw'emmere; N'abo abaalumwanga enjala bakomye weewaawo, omugumba azadde musanvu; N'oyo alina abaana abangi ayongobera.
6 Mukama atta n'alamya: Aserengesa mu magombe n'alinnyisa okuvaayo.
7 Mukama ayavuwaza era agaggawaza: Assa wansi, era ye agulumiza.
8 Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubaggya mu lubungo, Okubatuuza awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'ekitiibwa: Kubanga empagi z'ensi za Mukama, Era yateeka ebintu byonna okwo.
9 Alikuuma ebigere by'abatukuvu be, Naye ababi balisirisibwa mu kizikiza Kubanga tewaliba muntu alisinga olw'amaanyi.
10 Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka; Alibwatuka ku bo ng'ayima mu ggulu: Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi; Era alimuwa kabaka we amaanyi, N'agulumiza ejjembe ly'oyo gwe yafukako amafuta.
11 Awo Erukaana n'agenda e Lama mu nnyumba ye. Omwana n'aweereza Mukama mu maaso ga Eri kabona.
12 Awo batabani ba Eri baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama.
13 N'empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omud du wa kabona n'ajja, nga bakyafumba etmyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu mu ngalo ze;
14 n'akisoya mu nsaka oba bbinika oba ntamu oba sufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga kabona n'abitwalanga n'eryo. Bwe batyo bwe baakoleranga mu Siiro Abaisiraeri bonna abajjangayo.
15 Weewaawo, nga tebannaba kwokya masavu, omuddu wa kabona n'ajjanga, n'agamba omusajja eyali awaayo ssaddaaka nti Mpa ennyama okwokera kabona; kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.
16 N'omusajja bwe yamugambanga nti Tebaaleme kwokya masavu mangu ago, n'olyoka otwala ng'emmeeme yo bw'eyagala; awo n'ayogeranga nti Nedda, naye onoogimpa kaakano: era bw'onoogaana, n'agitwala lwa maanyi.
17 Ekibi eky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukaiaa: kubanga abaatu ne batamwa ekiweebwayo eri Mukama.
Samwiri aweereza nga muto
18 Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.
19 Era nnyina n'amutungiranga akanagiro n'akamuleeteranga buli mwaka, bwe yalinnyanga awamu ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.
20 Eri n'amusabira omukisa Erukaana ne mukazi we, n'ayogera nti Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yayazika Mukama. Ne baddayo ewaabwe eka.
21 Awo Mukama n'ajjira Kaana n'aba olubuto n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama.
Nnabbi alangirira obubi ku nnyumba ya Eri
22 Awo Eri yali akaddiye nnyo; n'awulira byonna batabani be bye baakolanga Abaisiraeri bonna era bwe baasulanga n'abakazi abaaweererezanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
23 N'abagamba nti Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? kubanga abantu bano bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi.
24 Nedda, baana bange; kubanga bye mpulira si birungi n'akatono: mwonoonyesa eggwanga lya Mukama.
25 Omuntu bw'asobya ku munne, Katonda alimusalira omusango: naye omuntu bw'asobya ku Mukama, alimwegayiririra ani? Naye ne batawulira ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Mukama yali ayagala okubatta.
26 Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi wa Katonda era n'abantu.
27 Awo ne wajja omusajja wa Katonda eri Eri, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Neebikkulira ekika kya kitaawo, bwe baali mu Misiri nga basibiddwa mu nnyumba ya Falaawo?
28 Era namuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, n'okulinnyanga ku kyoto kyange, okwotezanga obubaane, okwambalanga ekkanzu mu maaso gange? ne mpa ekika kya kitaawo ebiweebwayo byonna eby'abaana ba Isiraeri ebikolebwa n'omuliro?
29 Lwaki mmwe okusambira ssaddaaka yange n'ekiweebwayo gye ndi, bye nnalagira mu nnyumba yange, n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okukira nze, mmwe okwesavuwaza n'ebisinga obulungi mu ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?
30 Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera nti Okwogera nayogera ng'ekika kyo n'ekika kya kitaawo kinaatambuliranga mu maaso gange ennaku zonna: naye kaakano Mukama ayogera nti Kiddire eri; kuhanga abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabayitengamu ka buntu.
31 Laba, ennaku zijja, lwe ndisalako omukono gwo n'omukono gw'ennyumba ya kitaawo, waleme okuba omukadde mu nnyumba yo.
32 Era olitunuulira ennyumba yange ng'ebonyaabonyezebwa mu birungi byonna Katonda by'aliwa Isiraeri: so tewaabenga mukadde mu nnyumba yo ennaku zonna.
33 N'omusajja wo gwe ssiizikirizenga okumuggya ku kyoto kyange anaabanga wa kumalawo amaaso go n'okunakuwaza omwoyo gwo: n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga nga kyebajje bavubuke.
34 Era kano ke kaliba akabonero gy'oli akalituuka ku batabani bo bombi, Kofuni ne Finekaasi; bombi balifa ku lunaku lumu.
35 Nange ndyeyimusiza kabona omwesigwa anaakolanga ng'ebyo bwe biri ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange: era ndimuzimbira ennyumba eyenkalakkalira; era anaatambuliranga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta.
36 Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira olw'ekitundu ky'effeeza n'omugaati gumu, n'ayogera nti Mpa obumu ku bwami bwa bakabona, nkwegayiridde, ndyoke ndye ku kamere.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
Okulagirira kwa Samwiri okwasooka
1 Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. N'ekigambo kya Mukama kyali kya muwendo mungi mu nnaku ezo; tewaabaagawo kwolesebwa kwa lwatu.
2 Awo olwatuuka mu biro ebyo, Eri ng'agalamidde mu kifo kye, (n’amaaso ge gaali gatanudde okuyimbaala n'atayinza kulaba,)
3 n'ettabaaza ya Katonda nga tennazikira, ne Samwiri ng'agalamidde okwebaka mu yeekaalu ya Mukama omwali ssanduuko ya Katonda;
4 awo Mukama n'ayita Samwiri: n'ayogera nti Nze nzuuno.
5 N'addukana mbiro n'ajja eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'ayogera nti Sikuyise; galamira nate. N'agenda, n'agalamira.
6 Mukama n'amuyita nate olw'okubiri nti Samwiri. Samwiri n’agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'addamu nti Sikuyise, mwana wange; galamira nate.
7 Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa.
8 Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogw'okusatu. N'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. Awo Eri n'ategeera nga Mukama ye ayise omwana.
9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti Genda ogalamire: awo olunaatuuka, bw'anaaba ng'akuyise, n'oyogera nti Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira. Awo Samwiri n’agenda n'agalamira mu kifo kye.
10 Mukama n'ajja n'ayimirira n'ayita ng'olulala nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'ayogera nti Yogera; kubanga omuddu wo awulira.
11 Mukama n'agamba Samwiri nti Laba, ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.
12 Ku lunaku olwo adituukiriza ku Eri byonna bye anaakayogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomeraro.
13 Kubanga namugamba nga ndisalira ennyumba ye omusango ogw'ennaku zonna, olw'obutali butuukirivu bwe yamanya, kubanga batabani be beereetako ekikolimo, ye n'atabaziyiza.
14 Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Eri tebugenda kulongoosebwa na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo enaaku zonna.
15 Samwiri n'agalamira n'akeesa obudde, n'alyoka aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. Samwiri n'atya okubuulira Eri bye yayolesebwa.
16 Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti Samwiri, mwana wange. N'ayogera nti Nze nzuuno.
17 N'ayogera nti Kigambo ki Mukama ky'akugambye? nkwegayiridde, tokinlasa: Katonda akukole bw'atyo n'okukirawo, bw'ononkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna by'akugambye.
18 Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. N'ayogera nti Ye Mukama: akole nga bw'asiima.
19 Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, n'ataganya bigambo bye kugwa wansi na kimu.
20 Abaisiraeri bonna okuva eri Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.
21 Mukama n'alabikira nate mu Siiro: kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro n'ekigambo kya Mukama.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
Essanduuko ya Mukama enyagibwa
1 Ekigambo kya Samwiri ne kijjira Israeri yenna. Awo Abaisiraeri ne batabaala okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira ku bbali lya Ebenezeri: AbaSrisuuti ne basiisira mu Afeki.
2 Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukaganako, Isiraeri n'akubibwa mu maaso g'Abafirisuuti: ne battira awo ku ggye lyabwe abasajja ng'enkumi nnya
3 Awo abantu bwe baatuuka mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne boogera nti Mukama atukubidde ki leero mu maaso g'Abafirisuuti? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw'abalabe baffe.
4 Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano ya Mukama ow'eggye, atuula ku bakerubi: ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda.
5 Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n’ewuumira ddala.
6 Awo Abafirisuuti bwe baawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, ne boogera nti Eddoboozi eryo lye boogerera waggulu ennyo mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.
7 Awo Abafirisuuti ne batya kubanga baayogera nti Katonda atuuse mu lusiisira. Ne boogera nti Zitusanze! kubanga obw'edda tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.
8 Zitusanze! ani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'amaanyi? Be bakatonda abo abaabonyezabonyeza Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebitali bimu.
9 Muddeemu amaanyi, mwerage obusajja, mmwe Abafirisuuti, muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya, nga bo bwe baabanga abammwe: mwerage obusajja, mulwane.
10 Awo Abafirisuuti ne balwana, Isiraeri n'akubibwa, ne baddukira buli muntu mu weema ye: ne waba olutta lunene nnyo; kubanga ku Baisiraeri ne kugwa abasajja abatambula n'ebigere obukumi busatu.
11 Ssanduuko ya Mukama n’enyagibwa; batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
Okufa kwa Eri
12 Omusajja wa Benyamini n’ava mu ggye n'adduka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye ze nga ziyulise n'ettaka nga liri ku mutwe gwe.
13 Awo bwe yajja, laba, Eri ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'atunuulira: kubanga omutima gwe gwali gukankanira sanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga n'akibuulira, ekibuga kyonna ne kyogerera waggulu.
14 Awo Eri bwe yawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, n'ayogera nti Eddoboozi ery'oluyoogaano luno amakulu gaalyo ki? Omusajja n'ayanguwa n'ajja n'abuulira Eri.
15 Era Eri yali nga yaakamaze emyaka kyenda mu munaana; n'amaaso ge gaali gayimbadde n'atayinza kulaba.
16 Omusajja n'agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N'ayogera nti Byali bitya, mwana wange?
17 Awo oyo eyaleeta ebigambo n'addamu n'ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g'Abafirisuuti, era wabaddewo olutta olunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.
18 Awo olwatuuka bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g'omulyango, obulago bwe ne bukutukako n'afa: kubanga yali mukadde n'obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana.
19 Awo muka mwana we, mukazi wa Finekaasi, yali lubuto ng'alitera okuzaala: awo bwe yawulira ebigambo nga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'akutama n'azaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukako.
20 Awo ng'anaatera okufa abakazi abaayimirira wali ne bamugamba nti Totya; kubanga ozadde omwana wa bulenzi. Naye n'ataddamu so teyassaayo mwoyo.
21 N'atuuma omwana Ikabodi ng'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri: kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne kulwa ssezaala we ne bba
22 N'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
Abafirisuuti n'essanduuko ya Mukama
1 Awo Ababrisuuti baali banyaze essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala e Asudodi.
2 Abafirisuuti ne baddira essaaduuko ya Katonda ne bagireeta mu ssabo ya Dagoni ne bagiteeka ku mabbali ga Dagoni.
3 Abasudodi bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama. Ne baddira Dagoni ne bamuzza nate mu kifo kye.
4 Awo bwe baagolokoka olw'okubiri enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssaaduuko ya Mukama; n'omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi eby'emikono gye nga bitemeddwako nga bigalamidde mu mulyango; ekiwududu kya Dagoni kye kyamusiga lirawo kyokka.
5 Bakabona ba Dagoni kyebaava balema okuiinnya ku mulyango gwa Dagoni mu Asudodi na buli kati, newakubadde omuntu yenna ayingira mu nnyumba ya Dagoni.
6 Naye omukono gwa Mukama ne gubazitoowerera Abasudodi, n'abazikiriza, n'abalwaza ebizimba, Asudodi era n'ensalo zaakyo.
7 Awo Abasudodi bwe baalaba nga kyali bwe kityo, ne boogera nti Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri teribeera naffe: kubanga omukono gwe gutuluma ne Dagoni Katonda waffe.
8 Awo ne batuma ne bakunnaanya gye bali abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isiraeri? Ne baddamu nti Essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri etambuzibwe okutuusa e Gaasi. Ne batambuza essanduuko ya Katonda wa Isiraeri.
9 Awo olwatuuka, bwe baamala okugitambuza, omukono gwa Mukama ne gulwana n'ekibuga ne gubakennentereza nnyo nnyini: n'alwaza ab'omu kibuga, abato n'abakulu, ebizimba ne bifuutuuka ku bo.
10 Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda okugenda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yatuuka e Ekuloni, Abaekuloni ne boogerera waggulu nga boogera nti Batambuzizza essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri ne bagituusa gye tuli, okututta n'abantu baffe.
11 Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Musindike essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, eddeyo mu kifo kyayo, ereme okututta n'abantu baffe: kubanga okukeŋŋenterera okw'okufa kwabuna ekibuga kyonna; omukono gwa Katonda gwazitowa nnyo eyo.
12 N'abo abataafa ne balwala ebizimba: okukaaba kw'ekibuga ne kulinnya mu ggulu.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
Essanduuko ya Mukama ezzibwa mu Isiraeri
1 Awo essanduuko ya Mukama yamala emyezi musaaw ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti.
2 Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abafumu, nga boogera nti Tunaakola tutya essaaduuko ya Mukama? tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo.
3 Ne boogera nti Bwe munaasindika essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okugenda, temugisindika njereere; naye temulema kumuweereza ekiweebwayo olw'omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera okubaggyako omukono gwe.
4 Awo ne boogera nti Ekiweebwayo olw'omusango kye tulimuweereza kiriba ki? Ne boogera nti Ebizimba ebya zaabu bitaano n'emisonso egya zaabu etaano, ng'abaami b'Abafirisuuti bwe benkana omuwendo: kubanga ekibonoobono ekimu kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.
5 Kyemunaava mwekolera ebifaananyi by'ebizimba byammwe n'ebifaananyi by'emisonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukono gwe ku mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.
6 Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? bwe yamala okukola mu bo eby'ekitalo, tebakkiriza bantu kugenda ne bagenda?
7 Kale nno kaakano muddire eggaali empya mugyeteekereteekere, n'ente bbiri eziramulwa, ezitateekebwangako kikoligo, musibe ente ku ggaali, muziggyeko ennyana zaazo muzizze eka:
8 muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku ggaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo olw'omusango, mu bbweta ku mabbali gaayo; mugisindike egende.
9 Awo mutegeere, bw'eryambukira mu kkubo ery'ensalo yaayo okugenda e Besusemesi, awo nga ye yatukoze ekibi kino ekinene: naye bwe kitaliba bwe kityo, awo tulitegeera ng'omukono gwe si gwe gwatukuba; kyatugwira bugwizi.
10 Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri eziramulwa, ne bazisiba ku ggaali, ne basiba ennyana zaazo eka.
11 ne bateeka essanduuko ya Mukama ku ggaali, n'ebbweta erimu emisonso egya zaabu n'ebifaananyi by'ebizimba byabwe.
12 Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi, zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo eye Besusemesi.
13 N'Ababesusemesi baali nga bakungula ennaano Yaabwe mu kiwonvu: ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba.
14 Eggaali n'ejja mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene: ne baasa emiti egy'eggaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
15 Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'ebbweta eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene: Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama.
16 N'abaami abataano ab'Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo.
17 N'ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino: ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu;
18 n'emisonso egya zaabu ng'ebibuga byonna eby'Abafirisuuti eby'abaami abataano bwe byenkana omuwendo, ebibuga ebiriko enkomera era n'embuga ez'omu byalo: okutuusa ku jjinja eryo eddene, kwe bassa ssanduuko ya Mukama, eririwo na guno gujwa mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi.
19 N'atta ku Babesusemesi, kubanga baali balingizizza mu ssanduuko ya Mukama, n'atta ye ku bantu abasajja obukumi butaano mu nsanvu: abantu ne banakuwala, kubanga Mukama yatta abantu olutta olunene.
Essanduuko ya Mukama mu Kiriyasuyalimu
20 Ababesusemesi ne boogera nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama Katonda ono omutukuvu? era eri ani gy'alirinnya ng'atuvuddeko?
21 Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; muserengete mmwe, mugikime erinnye gye muli.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.
Samwiri alamula Isiraeri
2 Awo olwatuuka okuva ku lunaku essanduuko bwe yabeera mu Kiriyasuyalimu, ne wabaawo ekiseera kinene; kubanga gyali emyaka abiri n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne banoonya Mukama nga banakuwala.
3 Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka: naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.
4 Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka.
5 Awo Samwiri n'ayogera nti Mukuŋŋaanye Isiraeri yenna bajje e Mizupa, nange ndibasabira eri Mukama.
6 Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagafuka mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti Twasobya ku Mukama. Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri e Mizupa.
7 Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne batabaala Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
8 Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti Toleka kukaabira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.
9 Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka n’aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama: Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri: Mukama n'amuddamu.
10 Awo Samwiri ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri: naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti n'abakeŋŋentereza; ne bameggebwa wansi mu maaso ga Isiraeri.
11 Abasajja ba Isiraeri ne bava mu Mizupa ne bagoberera Abafirisuuti ne babatta oltutuusa lwe baatuuka ku Besukali.
12 Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati We Mizupa ne Seni, n'alituuma erinaya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti Okutuusa kaakano Mukama atubedde.
13 Abafirisuuti ne bajeemululwa bwe batyo, ne batatuuka lwa kubiri mu nsalo ya Isiraeri: n'omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri.
14 N'ebibuga Abafirisuuti bye baali baggye ku Isiraeri ne bizzibwa eri Isiraeri okuva ku Ekuloni okutuusa ku Geasi; n’ensalo yaabyo Isiraeri n’agiggya mu mukono gw'Abafirisuuti. Ne Isiraeri n'Abamoli ne baba n'emirembe.
15 Samwiri n’alamulira Isiraeri ennaku zonna ez'obulamu bwe.
16 Ne yeetooloolanga buli mwaka n'agenda e Beseri ne Girugaali ne Mizupa; n'alamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonna.
17 N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n’alamulira eyo Isiraeri: n'azimba eyo ekyoto eri Mukama.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
Isirari yeesabira kabaka
1 Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be abalamuzi ba Isiraeri.
2 N'omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya: baali batamuzi mu Beeruseba.
3 Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga.
4 Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama:
5 ne bamugamba nti Laba, ggwe oh mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna.
6 Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama.
7 Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.
8 Ng'emirimu gyoana bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya mu Misiri okutuusa leero, kubanga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo.
9 Kale nno kaakano wulira eddoboozi lyabwe: naye onoobategeereza ddala n'obalaga kabaka bw'alifaanana alibafuga.
10 Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna.
11 N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge:
12 era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n’abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukuagula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge.
13 Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi.
14 14 Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be.
15 Era alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'ensigo zammwe n'eky'ensuku zammwe ez'emizabibu n'agabira abaami be n'a baddu be.
16 Era alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'abalenzi bammwe abasinga obulungi n'endogoyi zammwe n'abakoza emirimu gye.
17 Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be.
18 Era mulikaaba ku lunaku olwo olwa kabaka wammwe gwe muliba mwerondedde; so Mukama talibaddiramu ku lunaku olwo.
19 Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti Nedda; aaye twagala kabaka atufuge;
20 naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atukulembedde atulwanirirenga entalo zaffe.
21 Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abyogera mu matu ga Mukama.
22 Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
Sawulo alondebwa okubeera kabaka
1 Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afia omwana w'Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira.
2 Era yalina omwana, erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi: so mu baana ba Isiraeri temwali muntu eyamusinga obulungi: okuva ku bibegabega bye n'okwambuka yasinga abantu bonaa obuwanvu.
3 Awo endogoyi za Kiisi kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n'agamba Sawulo mutabani we nti Twala omu ku baddu agende naawe ogolokoke ogende onoonye endogoyi.
4 Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n’ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba: awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo: n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba.
5 Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti Tugende tuddeyo; kitange aleme okuleka okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ffe.
6 N'amugamba nti Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera tebirema kutuukirira: tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.
7 Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Naye, laba, bwe tunaagenda kiki kye tunaatwalira omusajja? kubanga emmere ewedde mu bintu byaffe, so tewali kirabo kye tuba tutwalira omusajja wa Katonda tulina ki?
8 Omuddu n'amuddamu Sawulo nate n'ayogera nti Laba, nnina ekitundu eky'okuna ekya sekeri eya ffeeza mu ngalo zange: ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagitire ekkubo lyaffe.
9 (Edda mu Isiraeri, omuntu bwe yagendaaga okubuuza Katonda, n'ayogeranga bw'ati nti Jjangu tugende eri omulabi: kubanga oyo ayitibwa nnabbi kaakano baamuyitanga mulabi edda.)
10 Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Oyogedde bulungi; jjangu tugende. Awo ne bayingira mu kibuga omwali omusajja wa Katonda.
11 Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti Omulabi ali wano?
12 Ne babaddamu ne boogera nti Waali; laba, ali mu maaso go: yanguwa nno, kubanga atuuse mu kibuga leero; kubanga abantu balina ssaddaalta leero mu kifo ekigulumivu:
13 bwe munaaba nga mutuuse mu kibuga, munaamulaba mangu ago, nga taanaba kwambulta mu kifo ekigulumivu okulya: kubanga abantu tebaalye nga tannajja, kubanga ye asabira ssaddaaka omukisa; awo abaayitibwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke; kubanga kaakano lwe munaamulaba.
14 Ne bambuka mu kibuga; awo bwe baali bayingira mu kibuga, laba, Samwiri n'afuluma okuboolekera, okwambuka mu kifo ekigulumivu.
15 Awo Mukama yali abikkulidde Samwiri ng'ekyasigaddeyo olunaku lumu Sawulo okujja, ng'ayogera nti
16 Enkya nga mu kiseera kino nnaawereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri, era ye alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti: kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.
17 Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti Laba omusajja gwe nnakugambyeko! oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange.
18 Awo Sawulo n'asemberera Samwiri mu mulyango n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, ennyumba ey'omulabi w'eri.
19 Samwiri n'addamu Sawulo n'ayogera nti Nze mulabi; yambuka okunkulembera mu kifo ekigulumivu, kubanga mu naalya nange leero: awo enkya n'akusiibula, ne nkubuulira byonna ebiri mu mutima gwo.
20 N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna ebyegombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?
21 Sawulo n'addamu n'ayogera nti Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? n'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?
22 Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu ng'asatu.
23 Samwiri n'agamba omufumbiro nti Leeta omugabo gwe nkuwadde gwe nkugambyeko nti Gutereke.
24 Omufumbiro n'asitula ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'ayogera nti Laba ekyo ekiterekeddwa! kiteeke mu maaso go olye; kubanga kikuterekeddwa okutuusa ku biro ebyateekebwawo, kubanga nayogera nti Mpise abantu. Awo Sawulo n'alya ne Samwiri ku lunaku olwo.
25 Awo bwe baali baserengese mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, n'ateesa ne Sawulo waggulu ku nnyumba.
26 Ne bagolokoka mu makya: awo olwatuuka obudde nga bukya, Samwiri n'ayita Sawulo waggulu ku nnyumba ng'ayogera nti Golokoka, nkusindike ogende. Sawulo n'agolokoka ne bafuluma bombi, ye ne Samwiri.
27 Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti Lagira omuddu ayitemu atukulembere (n'ayitamu,) naye ggwe yimirira buyimirizi mu kiseera kino nkuwulize ekigambo kya Katonda.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
Sawulo afukibwako amafuta okubeera kabaka
1 Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'obusika bwe?
2 Bw'onoova gye ndi leero, onoolaba abasajja babiri ku malaalo ga Laakeeri, mu nsalo ya Benyamini e Zereza; awo banaakugamba nti Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe ng'ayogera nti Naakola ntya olw'omwana wange?
3 Awo onoovaayo ne weeyongera okugenda mu maaso n'otuuka awali omwera gwa Taboli, onoosiŋŋaanwa eyo abasajja basatu nga bambuka eri Katonda e Beseri, omu ng'atwala abaana b'embuzi basatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ekita eky'omwenge:
4 awo banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri: gy'oba otoola mu ngalo zaabwe.
5 N'olyoka otuuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo eky'Abafirisuuti: awo olunaatuuka, bw'onooba ng'otuuse eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaaba nga balagula:
6 awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, n'olagulira wamu nabo, n'ofuuka okuba omuntu omulala.
7 Awo olunaatuuka, obubonero obwo nga bukutuuseeko, okolanga ng'omukono gwo bwe gunaasanga bwe biri; kubanga Katonda ali naawe.
8 Era ononkulembera n'oserengeta e Giragaali; nange, laba, ndiserengeta gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe: olimalayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola.
9 Awo olwatuuka bwe yakyusa amabega ge okuva Samwiri w'ali, Katonda n'amuwa omutima omulala: obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
10 Awo bwe baatunkayo eri olusozi, laba, ekibiina kya bannabbi ne kisisinkana naye; omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye n'amaanyi, n'alagula mu bo.
11 Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, laba, ng'alagulira wamu ne bannabbi, awo abantu nga bagambagana nti Kiki kino ekimujjiridde mutabani wa Kiisi? ne Sawulo ali mu bannabbi?
12 Awo omuntu ow'omu kifo omwo n'addamu n'ayogera nti Ne kitaabwe ye ani? Kyerwava lufuuka olugero nti Ne Sawulo ali mu bannabbi?
13 Awo bwe yamala okulagula n'ajja mu kifo ekigulumivu.
14 Awo kojja wa Sawulo n'amugamba ye n'omuddu we nti Mwagenda wa? Naayogera nti Okunoonya endogoyi: awo bwe twalaba nga tezirabise ne tujja eri Samwiri.
15 Kojja wa Sawulo n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, Samwiri bye yabagamba.
16 Sawulo n'agamba kojjaawe nti Yatubuulirira ddala ng'endogoyi zirabise. Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako.
Sawulo alangirirwa okuba kabaka
17 Samwiri n'ayita abantu n'abakuŋŋaanyiza eri Mukama e Mizupa;
18 n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Naggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga:
19 naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti Nedda naye ssaawo kabaka atufuge. Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe bwe biri; era ng'enkumi zammwe bwe ziri.
20 Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri; ekika kya Benyamini ne kitwalibwa.
21 N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri n'etwalibwa: Sawulo mutabani wa Kiisi n'atwalibwa; naye bwe baamunoonya, ne batayinza kumulaba.
22 Awo ne beeyongera okubuuza Mukama nti Ekyasigaddeyo omusajja ow'okujja eno? Mukama n'addamu nti Laba, yeekwese mu bintu.
23 Ne badduka mbiro ne bamuggyayo; awo bwe yayimirira mu bantu, ng'asinga abantu bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye n'okwambuka.
24 Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu Bantu bonna? Abantu bonna ne boogerera waggulu ne boogera nti Kabaka abeere omulamu.
25 Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asindika abantu bonna bagende buli muatu mu nnyumba ye.
26 Ne Sawulo naye n'agenda mu nnyumba e Gibea; ne wagenda naye eggye Katonda be yali akomyeko ku mitima gyabwe.
27 Naye ne wabaawo abaana ba Beriali abaayogera nti Omusajja oyo alitulokola atya? Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika.
   

Next
Back