1 Samwiri  

Essuula 21

Dawudi n'omugaati omutukuvu
1 Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona: Akimereki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana n'amugamba nti Obeeredde ki omu, so tewali muntu naawe?
2 Dawudi n'agamba Akimereki kabona nti Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba ati Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde: era n'abalagira abalenzi egindi n'egindi.
3 Kale nno kiki ekiri wansi w'omukono gwo? mpa emigaati etaano mu mukono gwange oba kyonna ekiriwo.
4 Awo kabona n'addamu Dawudi n'ayogera nti Tewali mugaati bugaati wansi w'omukono gwange, naye omugaati omutukuvu gwe guliwo; kyokka abalenzi oba nga beekuumye obutakwata ku bakazi.
5 Dawudi n'addamu kabona n'amugamba nti Mazima twaziyizibwa okuba n'abakazi ennaku nga ssatu; bwe nnavaayo, ebintu by'abalenzi byali bitukuvu, newakubadde nga lugendo bugendo; kale leero ebintu byabwe tebirisinga nnyo kuba bitukuvu?
6 Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu: kubanga teyaliiyo mugaati wabula emigaati egy'okuiaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku kwe gyaggirwawo.
7 Era omuntu ow'oku baddu ba Sawulo yaliyo ku lunaku olwo, ng'aziyizibwa mu maaso ga Mukama; n'erinnya lye yali Dowegi Omwedomu, omukulu w'abasumba ba Sawulo.
8 Dawudi n'agamba Akimereki nti Era tewali wano ffumu newakubadde ekitala wansi w'omukono gwo? kubanga saaleeta wamu mange kitala kyange newakubadde ebyokulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa kwanguwa.
9 Kabona n'ayogera nti Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, laba, kiri wano nga kizingiddwa mu kiwero ennyuma w'ekkanzu: oba oyagala okutwala ekyo, kitwale; kubanga tewali kirala wano wabula ekyo. Dawudi n'ayogera nti Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.
10 Awo Dawudi n'agolokoka n'adduka ku lunaku olwo olw'okutya Sawulo, n'agenda eri Akisi kabaka w'e Gaasi.
11 Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? tebaayimbiragana ku ye nga bazina, nga boogera nti
Sawulo asse enkumi ze,
Ne Dawudi obukumi bwe?
12 Dawudi n'atereka ebigambo ebyo mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi kabaka w'e Gaasi.
13 Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n’ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye.
14 Awo Akisi n'alyoka agamba abaddu be nti Abaffe, mulabye omusajja ng'aguddemu eddalu: kale mumuleetedde ki gye ndi?
15 Mbulitidwa abalalu n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange?
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
Dawudi n'abasajja be ebikumi ebina
1 Dawudi kyeyava avaayo, n'adduka n'atuuka ku mpuku ya Adulamu: awo baganda be n'ennyumba ya kitaawe yonna bwe baakiwulira, ne baserengeta ne bagendayo gy'ali
2 Awo buli muntu eyali alaba ennaku na buli muntu eyalina ebbanja na buli eyalina obuyinike, ne bakuŋŋaana gy'ali; n'afuuka omukulu waabwe: awo ne waba naye abasajja nga bikumi bina.
3 Awo Dawudi n'avaayo n'agenda e Mizupa ekya Mowaabu: n'agamba kabaka wa Mowaabu nti Kitange ne mmange bafulume babe nammwe, okutuusa lwe ndimanya Katonda by'alinkolera.
4 Awo n'abaleeta mu maaso ga kabaka wa Mowaabu: ne batuula naye ekiseera kyonna Dawudi ng'akyali mu mpuku.
5 Awo nnabbi Gaadi n'agamba Dawudi nti Tobeera mu mpuku; genda, otuuke mu nsi ya Yuda. Awo Dawudi n'agenda n'atuuka mu kibira Keresi.
Dawudi atta bakabona ba Mukama
6 Awo Sawulo n'awulira nga Dawudi alabise n'abasajja abaali naye: era Sawulo yali atudde e Gibeya, munda w'omumyuliru mu Laama, ng'akutte effumu lye mu ngalo, n'abaddu be bonna baali bayimiridde okumwetooloola.
7 Sawulo n'agamba abaddu be abaali bayimiridde okumwetooloola nti Muwulire nno, mmwe Ababenyamini; mutabani wa Yese aliwa buli muntu ku mmwe ennimiro n'ensuku ez'emizabbibu, alibafuula mwenna okuba abaami b'enkumi era abaami b'ebikumi;
8 mwenna ne muneekobaana, so tewali ambikkulira mutabani wange bw'alagaana endagaano ne mutabani wa Yese, so tewali ku mmwe ansaasidde, newakubadde antegeeza nga mutabani wange yampererera omuddu wange okuteega nga leero?
9 Awo Dowegi Omwedomu, eyayimirira awali abaddu ba Sawulo, n'alyoka addamu n'ayogera nti Nalaba mutabani wa Yese ng'ajja e Nobu, eri Akimereki mutabani wa Akitubu.
10 N'amubuuliza eri Mukama n'amuwa ebyokulya n'amuwa ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.
11 Awo kabaka n'alyoka atuma okuyita Akimereki kabona, mutabani wa Akitubu, n'ennyumba yonna eya kitaawe, bakabona abaali e Nobu: ne bajja bonna eri kabaka.
12 Sawulo n'ayogera nti Wulira nno, ggwe mutabani wa Akitubu. N'addamu nti Nze nzuuno, mukama wange.
13 Sawulo n'amugamba nti Mwanneekobaanira ki, ggwe ne mutabani wa Yese, kubanga wamuwa emigaati n'ekitala; n'omubuuliza eri Katonda, angolokokereko, okuteega nga leero?
14 Awo Akimereki n'addamu kabaka n'ayogera nti Era ani ku baddu bo bonna amwenkana Dawudi obwesigwa, ye mukoddomi wa kabaka, era ayingizibwa mu kuteesa kwo era ow'ekitiibwa mu nnyumba yo?
15 Nsoose leero okumubuuliza eri Katonda? kiddire eri: kabaka aleme okussaako omuddu we ekigambo kyonna, newakubadde ennyumba ya kitange yonna: kubanga omuddu wo taliiko ky'amanyi ku bino byonna, newakubadde ebitono newakubadde ebingi.
16 Kabaka n'ayogera nti. Tooleme kufa, Akimereki, ggwe n'ennyumbaya kitaawo yonna,
17 Awo kabaka n'agamba abambowa abaali bayimiridde okumwetooloola nti Mukyuke mutte bakabona ba Mukama; kubanga n'omukono gwabwe guli ne Dawudi, era kubanga baamanya nga yadduka, ne batakimbikkulira. Naye abaddu ba kabaka ne bagaana okussaawo omukono gwabwe okugwa ku bakabona ba Mukama.
18 Awo kabaka n'agamba Dowegi nti Kyuka ggwe obagweko bakabona. Awo Dowegi Omwedomu n'akyuka n'agwa ku bakabona, n'atta ku lunaku olwo abantu kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu eya bafuta.
19 Ne Nobu, ekibuga kya bakabona, n'akitta a'obwogi bw'ekitala, abasajja era n'abakazi, abaana abato n'abayonka, n'ente n'endogoyi n'endiga, n'obwogi bw'ekitala.
20 Awo omwana omu owa Akimereki, mutabani wa Akitubu, erinnya lye Abiyasaali, n'awona n'adduka okugoberera Dawudi.
21 Abiyasaali n'abuulira Dawudi Sawulo ng'asse bakabona ba Mukama.
22 Awo Dawudi n'agamba Abiyasaayi nti Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga talirema kumubuulira Sawulo: nze nassa abantu bonna ab'omu nnyumba ya kitaawo.
23 Ggwe beera nange, totya; kubanga oyo aaoonya obulamu bwange anoonya obulamu bwo: kubanga awali nze onoobanga mirembe.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
Dawudi anunula ekibuga kya Keyira
1 Awo ne babuulira Dawudi nti Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyaga amawuuliro.
2 Dawudi kyeyava abuuza Mukama nti Ŋŋende nkube Abafirisuuti abo? Mukama n'agamba Dawudi nti Genda okube Abafirisuuti olokole Keyira.
3 Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, tutiiridde wano mu Yuda: kale tetulisinga nnyo bwe tuligenda e Keyira okulwana n'eggye ly'Abafirisuuti?
4 Awo Dawudi n'alyoka abuuza Mukama nate olw'okubiri. Mukama n'amuddamu n'ayogera nti Golokoka oserengete ogende e Keyira; kubanga ndigabula Abafirisuuti mu mukono gwo.
5 Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Keyira, ne balwana n'Abafirisuuti, ne banyaga ente zaabwe, ne babatta olutta olunene. Awo Dawudi n'alokola abaatuula e Keyira.
6 Awo olwatuuka, Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yadduka eri Dawudi e Keyira, yaserengeta ng'alina ekkanzu mu mukono gwe.
7 Ne babuulira Sawulo nga Dawudi atuuse e Keyira. Sawulo n'ayogera nti Katonda amugabudde mu mukono gwange: kubanga aggaliddwa munda mu kibuga ekirina enzigi n'ebisiba.
8 Awo Sawulo n'ayita abantu bonna okutabaala, okuserengeta okugenda e Keyira, okuzingiza Dawudi n'abasajja be.
9 Dawudi n'ategeera Sawulo ng'amwagaliza akabi; n'agamba Abiyasaali kabona nti Leeta wano ekkanzu.
10 Awo Dawudi n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, omuddu wo awuliridde ddala Sawulo nga ayagala okujja e Keyira, okuzikiriza ekibuga ku lwange.
11 Abasajja ab'e Keyira balimpaayo mu mukono gwe? Sawulo aliserengeta, ng'omuddu wo bw'awulidde? Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, nkwegayiridde, buulira omuddu wo. Mukama n'ayogera nti Aliserengeta.
12 Awo Dawudi n'alyoka ayogera nti Abasajja ab'e Keyira balimpaayo nze n'abasajja bange mu mukono gwa Sawulo? Mukama n'ayogera nti Balikuwaayo.
13 Awo Dawudi n'abasajja be, abaali nga lukaaga ne bagolokoka ne bagenda okuva mu Keyira ne bagenda buli gye bayinza okugenda. Ne babuulira Sawulo Dawudi ng'awonye okuva mu Keyira: n'alekayo okutabaala.
Dawudi mu bigo eby'omu ddungu
14 Awo Dawudi n'atuula mu ddungu mu bigo, n'abeera mu nsi ey'ensozi mu ddungu ery'e Zifu. Sawulo n'amunoonyanga buli lunaku, naye Katonda n'atamugabula mu mukono gwe.
15 Dawudi n'alaba nga Sawulo atabadde okunoonya obulamu bwe: era Dawudi yali mu ddungu ery'e Zifu mu kibira.
16 Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agolokoka, n'agenda eri Dawudi mu kibira, n'anyweza omukono gwe mu Katonda.
17 N'amugamba nti Totya; kubanga omukono gwa Sawulo kitange tegulikulaba; era gw'oliba kabaka wa Isiraeri nange ndikuddirira obukulu; era n'ekyo Sawulo kitange akimanyi,
18 Awo abo bombi ne balagaanira endagaano mu maaso ga Mukama: Dawudi n'abeera mu kibira, Yonasaani n'addayo mu nnyumba ye.
19 Awo ab'e Zifu ne bambuka ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera uti Dawudi teyeekweka ewaffe mu bigo mu kibira ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'eddungu?
20 Kale nno kaakano, ai kabaka, serengeta, ng'emmeeme yo yonna bw'eyagala okuserengeta; naffe okumuwaayo mu mukono gwa kabaka kuliba kwaffe.
21 Sawulo n'ayogera nti Muweebwe Mukama omukisa; kubanga munsaasidde.
22 Mugende, mbeegayiridde, mweyongere okwetegereza, mumanye mulabe ekifo kye w'abeera n'eyamulabayo: kubanga bambuulira nti alina obugerengetanya bungi nnyo.
23 Kale mulabe, muzige ebifo byonna mw'ateegera mwe Yeekweka, mukomewo gye ndi so temulema kujja, nange ndigenda nammwe: awo olulituuka, oba ng'ali mu nsi, ndimunoonya ne mmulaba mu nkumi zonna eza Yuda.
24 Awo ne bagolokoka ne bagenda e Zifu okukulembera Sawulo: naye Dawudi n'abasajja be baali mu ddungu ery'e Mawoni, mu Alaba ku luuyi olw'eddungu olw'obukiika obwa ddyo.
25 Sawulo n'abasajja be ne bagenda okumunoonya. Ne babuulira Dawudi; kyeyava aserengeta awali olwazi, n'abeera mu ddungu ery'e Mawoni. Awo Sawulo bwe yakiwulira, n'agoberera Dawudi mu ddungu ery'e Mawoni.
26 Sawulo n'agenda ku mabbali g'olusozi eruuyi, ne Dawudi n'abasajja be ku mabbali g'olusozi eruuyi: Dawudi n'ayanguwa okuvaayo olw'okutya Sawulo; kubanga Sawulo n'abasajja be baazingiza Dawudi n'abasajja be enjuyi zonna okubakwata.
27 Naye ne wajja omubaka eri Sawulo ng'ayogera nti Yanguwako ojje; kubaaga Abafirisuuti bakwekwese mu nsi.
28 Awo Sawulo n'alekayo okugoberera Dawudi n'addayo, n'atabaala Abafirisuuti: ekifo ekyo kyebaava bakiyita Serakammalekosi.
29 Awo Dawudi n'avaayo n'ayambuka n' abeera mu bigo ebya Engedi.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
Dawudi ataliza obulamu bwa Sawulo
1 Awo olwatuuka Sawulo bwe yakomawo ng'amaze okugoberera Abafirisuuti, ne bamubuulira nti Laba, Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.
2 Awo Sawulo n’atwala abasajja enkumi ssaru abaalondebwa mu Isiraeri yenna, n'agenda okunoonya Dawudi n'abasajja be ku njazi ez'embulabuzi.
3 N'ajja ku bisibo by'endiga mu kkubo awali empuku; Sawulo n'ayingira okubikka ku bigere bye. Era Dawudi n’abasajja be baali batudde mu bifo eby'omu mpuku ebyakomererayo munda.
4 Abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti Laba, olunaku Mukama lwe yakugambako nti Laba, ndigabula omulabe wo mu mukono gwo, era olimukola nga bw'olisiima. Awo Dawudi n'agolokoka n’asala ku kirenge ky'ekyambalo kya Sawulo mu kyama.
5 Awo olwatuuka oluvaanyuma Dawudi n'alumwa omwoyo, kubanga yasalaku kirenge kya Sawulo.
6 N'agamba abasajja be nti Mukama akiddize eri nze okukola mukama wange Mukama gwe yafukako amafuta ekigambo kino, okumugololera omukono gwange kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
7 Awo Dawudi n’aziyiza abasajja be n'ebigambo ebyo, n'atabaganya kumugolokokerako Sawulo. Awo Sawulo n'agolokoka n'ava mu mpuku n’agenda.
8 Awo ne Dawudi n'agolokoka oluvaanyuma n'ava mu mpuku n'akoowoola Sawulo ng'ayogera nti Mukama wange kabaka. Awo Sawulo bwe yakebuka, Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
9 Dawudi n'agamba Sawulo nti Kiki ekikuwuliza ebigambo by'abantu nga boogera nti Laba, Dawudi ayagala okukukola akabi?
10 Laba, leero amaaso go galabye Mukama bw'abadde akugabudde mu mukono gwange leero mu mpuku: era wabaddewo abaŋŋambye okukutta: naye eriiso lyange ne likusaasira; ne nnamba nti Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange; kubanga ye oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
11 Era, kitange, laba, weewaawo, laba, ekirenge ky'ekyambalo kyo mu ngalo zange; kale kubanga nsaze ku kirenge ky'ekyambalo kyo ne sikutta, tegeera olabe nga tewali kabi newakubadde ekyanoono mu mukono gwange; so siknsobezza newakubadde ng'oyigganya obulamu bwange okubukwata:
12 Mukama asale omusango wakati wange naawe, Mukama akuwalaneko eggwanga lyange: naye, omukono gwange teguliba ku ggwe.
13 Ng'olugero olw'ab'edda bwe lwogera nti Mu babi mwe muva obubi: naye omukono gwange tegaliba ku ggwe.
14 Kabaka wa Isiraeri atabadde ani? ogoberera ani? ogoberera embwa enfu, enkukunyi.
15 Kale Mukama abe mulamuzi, asale omusango gwange n'ogugwo, alabe awoze ensingayange andokole mu mukono
16 Awo olwatuuka Dawudi bwe yamala okugamba Sawulo ebigambo ebyo, Sawulo n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Sawulo n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba amaziga.
17 N'agamba Dawudi nti Ggwe onsinga obutuukirivu: kubanga ensasudde obulungi, naye nze nkusasudde obubi.
18 Era oyatudde leero bw'onkoze obulungi: kuba Mukama ng'angabudde mu mukono gwo n'otonzita.
19 Kubanga omuntu bw'asanga omulabe we, anaamuganya okugenda nga mulamu? Kale Mukama akuwe empeera ennungi olw'ekyo ky'onkoze leero.
20 Era nao, laba, mmanyi nga tolirema kuba kabaka, era ng'obwakabaka bwa Isiraeri bulinywezebwa mu mukono gwo.
21 Kale nno kaakano ndayirira Mukama nga tolizikiriza zzadde lyange eririddawo, so nga tolimalawo linnya lyange okuliggya mu nnyumba ya kitange.
22 Dawudi n'alayirira Sawulo. Sawulo n'addayo eka; naye Dawudi n'abasajja be ne bayambuka mu mpuku.
   

Essuula 25

[Ddayo waggulu]
Samwiri afa
1 Awo Samwiri n'afa; Isiraeri yenna ne bakuŋŋaana ne bamukaabira, ne bamuziika mu nnyumba ye e Laama. Dawudi n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu Palani
Dawudi ne mukazi Nabali
2 Awo yaliyo omusajja e Mawoni ebintu bye nga biri e Kalumeeri; era omusajja oyo yali mukulu nnyo, era yalina endiga enkumi ssatu n'embuzi lukumi: awo yali ng'asala ebyoya by'endiga ze e Kalumeeri.
3 Era erinnya ly'omusajja Nabali; ne mukazi we erinnya lye Abbigayiri: n'omukazi yali mutegeevu n'amaaso ge nga malungi: naye omusajja yali wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye; era yali wa nnyumba ya Kalebu.
4 Era erinnya ly'omusajja Nabali; ne mukazi we erinnya lye Abbigayiri: n'omukazi yali mutegeevu n'amaaso ge nga malungi: naye omusajja yali wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye; era yali wa nnyumba ya Kalebu.
5 Awo Dawudi n'atuma abalenzi kkumi, Dawudi n'agamba abalenzi nti Mwambuke e Kalumeeri mugende eri Nabali mumunnamusize:
6 era bwe mutyo bwe muba mugamba oyo atuula ng'alaba (omukisa) nti Emirembe gibeere gy'oli, era emirembe gibeere ku nnyumba yo, era emirembe gibeere ku byonna by'olina.
7 Era nno mpulidde ng'olina abasala ebyoya by'endiga: abasumba bo nno baabanga naffe ne tutabakola bubi, so tewaabanga ekyababula, ebiro byonna nga bali e Kalumeeri.
8 Buuza abalenzi bo, banaakubuulira: kale abalenzi baganje mu maaso go; kubanga tujjidde ku lunaku olulungi: waayo, nkwegayiridde, kyonna ekinajja mu mukono gwo eri abaddu bo n'eri mutabani wo Dawudi.
9 Awo abalenzi ba Dawudi bwe bajja, ne boogera ne Nabali mu linnya lya Dawudi ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri, ne basirika.
10 Awo Nabali n'addamu abaddu ba Dawudi n'ayogera nti Dawudi ye ani? ne mutabani wa Yese ye ani? mu biro bino wabaawo abaddu bangi abajeemera buli muntu mukama we.
11 Kale nno nnaatoola emigaati gyange n'amazzi gange n'ennyama yange gye nzitidde abasajja bange abasala ebyoya, ne mbiwa abasajja be ssimanyiiko gye bavudde?
12 Awo abalenzi ba Dawudi ne bakyuka ne bakwata ekkubo ne baddayo ne bajja ne bamubuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri.
13 Awo Dawudi n'agamba abasajja be nti Mwesibe buli muntu ekitala kye. Ne beesiba buli muntu ekitala kye; ne Dawudi naye ne yeesiba ekitala kye: ne wayambuka okugoberera Dawudi abasajja nga bikumi bina; ebikumi ebibiri ne basigala ku bintu.
14 Naye omu ku balenzi n'abuulira Abbigayiri mukazi wa Nabali ng'ayogera nti Laba, Dawudi yatuma ababaka ng'ayima mu ddungu okulamusa mukama waffe; n'abagwako.
15 Naye abasajja abo baatukolanga bulungi nnyo, so tetukolwanga bubi, so tetubulwanga kintu kyonna ebbanga lyonna lye twamala nga tubeera nabo, bwe twali mu nsiko:
16 baabanga bbugwe gye tuli emisana n'ekiro ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga.
17 Kale nno kaakano tegeera olowooze ky'onookola: kubanga bamaliridde obubi ku mukama waffe ne ku nnyumba ye yonna: kubanga omwana wa Beriali eyenkanidde awo n'okuyinza omuatu n'atayinza kwogera naye.
18 Awo Abbigayiri n'alyoka ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri n'ebita bibiri eby'omwenge n'endiga ttaano enfiunbire ddala, n'ebigero bitaano eby'eŋŋaano ensiike, n'ebirimba kikumi eby'ezabbibu enkalu, n'ebitole ebikumi bibiri eby'ettiini, n'abitikka endogoyi.
19 N'agamba abalenzi be nti Munkulembere mugende; laba mbavaako nnyuma. Naye n'atabuulira bba Nabali.
20 Awo olwatuuka nga yeebagala endogoyi ye n'aserengeta awaali ekifo ekyekwekerwamu eky'oku lusozi, awo, laba, Dawudi n'abasajja be ne baserengeta okumwolekera; n'asisinkana nabo.
21 Era Dawudi yali ayogedde nti Mazima nkuumidde bwereere byonna olusajja luno bye lulina mu ddungu, ekintu kyonna ne kitabula ku byalwo byonna bwe byenkana: kale lunsasudde obubi olw'obulungi.
22 Katonda akole bw'atyoabalabe awudi n'okukirawo, bwe ndisigazaawo ku babe bonna bwe benkana n'omwana omu ow'obulenzi.
23 Awo Abbigayiri bwe yalaba Dawudi, n'ayanguwa n'ava ku ndogoyi ye n’avuunamira Dawudi amaaso ge, n akutama ku ttaka.
24 N'agwa ku bigere bye n'ayogera nti Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze mukama wange, ku me, era muzaana wo ayogere mu matu go, nkwegayiridde, era wulira ebigambo, by'omuzaana wo.
25 Nkwegayiridde; mukama wange aleme okussaayo omwoyo en omuntu oyo owa Beriali, Nabali: kuba erinnya lye nga bwe liri, naye bw'ali bw'atyo; Nabali lye linnya lye n'obusirusiru buli naye naye nze omuzaana wo saalaba balenzi ba mukama wange be watuma.
26 kaakano, mukama wange nga Mukama bw'ali omulamu naawe nga bw'oli omulamu, kubanga Mukama akuziyizza okuzza omusango gw'omusaayi n'okwewalanira eggwanga n'omukono gwo ggwe, kale nno abalabe bo n’abo abanoonyeza mukama wange akabi, babe nga Nabali.
27 Era nno ekirabo kino omuzaana wo ky'aleetedde mukama wange, kiweebwe abalenzi abagoberera mukama wange.
28 Nkwegayidde, sonyiwa ekyonoono ky’omuzaana wo: kubanga Mukama talirema kukolera mukama nnyumba ey'enkalakkalira kubanga Mukama wange alwana entalo za Mukama; so n'akabi tekalirabika ku ggwe ennaku zo zonna.
29 Era newakubadde ng'abantu bagolokose okukuyigga nya n'okunoonya obulamu bwange wange naye obulamu bwa mukama wange bulisibirwa mu muganda gwo bulanu wamu ne Mukama Katonda wo; n'obulamu bw'abalabe bo alibuvuumuula ng'ebiva mu lubuto lw'envuumuulo.
30 Awo olulituuka Mukama bw'aliba ng'akoze mukama wange ng'obulungi bwonna bwe buli bwe yakwogerako era ng'akutaddewo okuba omukulu wa Isiraeri:
31 kale kino tekirikululuya mwoyo, so omutima gwange tegulyesittaza mukama wange kubanga wayiwa omusaayi ogutaliiko nsonga newakubadde kino nga mukama wange yeewalanira eggwanga yekka: awo Mukama bw'aliba ng'akoze bulungi mukama wange, kale ojjukiranga omuzaana wo.
32 Dawudi n'agamba Abbigayiri nti Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange:
33 era gatenderezebwe n'amagezi go, naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi n'obuteewalanira ggwanga n'omukono gwange nze.
34 Kubanga mazima ddala, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bw'ali omulamu, anziyizza okukola obubi, singa toyanguye n'ojja okusisinkana nange, mazima tewandisigalidde Nabali emmambya ng'esaze omwana omu ow'obulenzi.
35 Awo Dawudi n'atoola mu ngalo ze ebyo by'amuleetedde: n'amugamba nti Yambuka mu nnyumba yo mirembe; laba, mpulidde eddoboozi lyo ne nkukkiriza ggwe.
36 Awo Abbigayiri n'ajja eri Nabali; era, laba, yali afumbye embaga mu nnyumba ye, ng'embaga ya kabaka; n'omwoyo gwa Nabali gwali gusanyuse munda mu ye, kubanga yali atamidde nnyo: kyeyava alema okumubuulira ekigambo kyonna, oba kitono oba kikulu, okutuusa enkya.
37 Awo olwatuuka enkya, Nabali omwenge bwe gwali gumuvuddeko, mukazi we n'amubuulira ebigambo ebyo, omutima gwe ne gufiira munda ye n'afuuka ng'ejjinja.
38 Awo olwatuuka ennaku nga kkumi nga ziyiseewo, Mukama n'alwaza Nabali n'afa.
39 Awo Dawudi bwe yawulira Nabali ng'afudde, n'ayogera nti Mukama atenderezebwe, awozezza ensonga ey'okuvumibwa kwange mu mukono gwa Nabali era aziyizza omuddu we okukola ekibi: n'obubi bwa Nabali Mukama abuzzizzaayo ku mutwe gwe ye. Dawudi n'atuma n'ayogereza Abbigayiri okumufumbirwa.
40 Awo abaddu ba Dawudi bwe baatuuka eri Abbigayiri e Kalumeeri, ne bamugamba nti Dawudi yatutumye gy'oli okukufumbirwa.
41 Awo n'agolokoka n'awunama amaaso ge n'ayogera nti Laba, omuzaana wo abe muweereza okunaazanga ebigere by'abaddu ba mukama wange.
42 Awo Abbigayiri n'ayanguwa n'agolokoka ne yeebagala endogoyi wamu ne bawala be bataano abaamugobereranga; n'agoberera ababaka ba Dawudi, n'aba mukazi we.
43 Dawudi n'awasa ne Akinoamu ow'e Yezuleeri; bombi ne baba bakazi be.
44 Era Sawulo yali awadde Mikali muwala we, mukazi wa Dawudi, Paluti mutabani wa Layisi ow'e Galimu.
   

Essuula 26

[Ddayo waggulu]
Dawudi ataliza obulamu bwa Sawulo nate
1 Awo ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ku lusozi Kakira olwolekera eddungu?
2 Awo Sawulo n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde aba Isiraeri enkumi ssatu wamu naye, okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu.
3 Sawulo n'asiisira ku lusozi Kakira, olwolekera eddungu, mu kkubo. Naye Dawudi n'abeera mu ddungu n'alaba nga Sawulo atuuse mu ddungu ng'amugoberera.
4 Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala:
5 Dawudi n'agolokoka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde: Dawudi n'alaba ekifo Sawulo we yagalamira, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lye: era Sawulo yali agalamidde munda w'ekifo eky'amagaali, abantu ne basiisira okumwetooloola.
6 Awo Dawudi n'addamu n'agamba Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, ng'ayogera nti Ani anaaserengeta nange n'agenda eri Sawulo mu lusiisira? Abisaayi n'ayogera nti Nze naaserengeta naawe.
7 Awo Dawudi ne Abisaayi ne bajja eri abantu ekiro: awo, laba, Sawulo ng'agalamidde nga yeebase munda w'ekifo eky'amagaali, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka ku mutwe gwe: ne Abuneeri n'abantu nga bagalamidde okumwetooloola.
8 Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero: kale nno, nkwegayiridde, mmufumite n'effumu okukwasa n'ettaka omulundi gumu so siimufumite gwa kubiri.
9 Dawudi n'agamba Abisaayi nti Tomuzikiriza: kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku loyo Mukama gwe yafukako amafuta n'aba nga taliiko musango?
10 Dawudi n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu Mukama ye alimutta oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo nsazikirira.
11 Mukama akiddize eri nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta: naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende.
12 Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya ku mutwe gwa Sawulo; ne beddirayo so nga tewali muntu akirabye newakubadde akimanyi, so nga tewali azuukuse: kubanga bonna nga beebase; kubanga otulo tungi otwava eri Mukama twali tubaguddeko.
13 Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi; nga yeesuddeko nabo ebbanga ddene:
14 Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'ayogera nti Toddamu, Abuneeri? Awo Abuneeri n'addamu n’ayogera nti Ggwe ani akoowoola kabaka?
15 Dawudi n'agamba Abuneeri nti Toli muzira? era ani akwenkana mu Isiraeri? kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? kubanga muyingidde omu ku bantu okuzikiriza kabaka mukama wo.
16 Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.
17 Sawulo n'amanya eddoboozi lya Dawudi n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Dawudi n'ayogera nti Lye ddoboozi lyange, mukama wange; ai kabaka.
18 N'ayogera nti Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? kubanga nkoze ki? oba kibi ki ekiri mu mukono gwange?
19 Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama oba nga ye yaku mpeerera, akkirize ekiweebwayo: naye oba nga be baana b'abantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga bangobye leero nneme okwegatta n'obusika bwa Mukama nga boogera nti Genda oweereze bakatonda abalala.
20 Kale nno omusaayi gwange guleme okutonnya wansi Mukama gy'atabeera: kubanga kabaka wa Isiraeri atabadde oknnoonya enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi:
21 Awo Sawulo n'ayogera nti Nnyonoonye: komawo, mwana wange Dawudi: kubanga siryeyongera kukukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.
22 Dawudi n'addamu n'ayogera nti Laba effumu, ai kabaka! kale omu ku balenzi ajje aliddukire.
23 Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe: kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
24 Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, obulamu bwange bubeere bwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama, andakole mu kulaba ennaku kwonna.
25 Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Oweebwe omukisa, mwana waage Dawudi: olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula. Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo mu kifo kye.
   

Essuula 27

[Ddayo waggulu]
Dawudi yeegatta ku ggye ly'Abafirisuuti
1 Awo Dawudi n'ayogera mu mwoyo gwe nti Luliba lunaku lumu ne nzikirira olw'omukono gwa Sawulo: tewali kisinga bulungi gye ndi okudduka ne ntuuka mu nsi ey'Abafirisuuti; kale Sawulo aliggyayo omwoyo gye ndi, okunnoonya nate mu nsalo zonna eza Isiraeri: bwe ndiwona bwe ntyo mu mukono gwe.
2 Dawudi n'agolokoka n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne basenga Akisi mutabani wa Mawoki, kabaka w'e Gaasi.
3 Dawudi n'atuula ne Akisi e Gaasi, ye n'abasajja be, buli muntu n'ab'omu nnyumba, Dawudi ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, mukazi wa Nabali
4 Ne babuulira Sawulo nga Dawudi yaddukira e Gaasi: n'atamunoonya nate.
5 Awo Dawudi n'agamba Akisi nti Oba nga nno ŋŋanze mu maaso go, bampe ekifo mu mbuga emu mu byalo ntuule eyo: kubanga kiki ekinaaba kituuza omuddu wo mu kibuga kyennyini awamu naawe?
6 Awo Akisi n'amuwa Zikulagi ku lunaku olwo: Zikulagi kyekivudde kibeera ekya bakabaka ba Yuda na buli kati.
7 Awo omuwendo gw'ennaku Dawudi ze yamala mu nsi ey'Abafirisuuti gwali mwaka mulamba ko emyezi ena
8 Dawudi n'abasajja be ne bambuka ne bakwekweta Abagesuli n'Abagiruzi n'Abamaleki: kubanga abo be baatuulanga mu asi, abaabangamu edda, ng'ogenda e Ssuuli, okugenda mu nsi ey'e Misiri.
9 Dawudi n'atta ensi n'atawonya musajja newakubadde omukazi, n'anyaga endiga n'ente n'endogoyi n'eŋŋamira n'ebyambalo; n'akomawo n'ajja eri Akisi.
10 Awo Akisi n'ayogera nti Muva wa okukwekweta leero? Dawudi n'ayogera nti Ebukiika obwa ddyo obwa Yuda n'obukiika obwa ddyo obw'Abayerameeri n'obukiika obwa ddyo obw'Aba keeni.
11 Dawudi n'atawonya musajja newakubadde omukazi okubaleeta e Gaasi, ng'ayogera nti Baleme okutuloopa nga boogera nti Bw'atyo Dawudi bwe yakola, era bwe yayisanga. bw'atyo kasookedde atuula mu nsi ey'Abafirisuuti.
12 Awo Akisi n'akkiriza Dawudi n'ayogera nti Abantu be Isiraeri abatamiriddwa ddala; kyaliva abeera omuddu wange ennaku zonna.
   

Essuula 28

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe entalo okulwana ne Isiraeri. Akisi n'agamba Dawudi nti Tegeerera ddala ng'olitabaala nange mu ggye, ggwe n'abasajja bo.
2 Dawudi n'agamba Akisi nti Kyoliva otegeera omuddu wo by'alikola. Akisi n'agamba Dawudi nti Kyendiva nkufuula omukuumi w'omutwe gwange ennaku zonna.
Sawulo yeebuuza eri omulabi
3 Awo Samwiri yali afudde, ne Isiraeri yenna baali bamukaabidde, ne bamuziika mu Laama, mu kibuga kye ye. Era Sawulo yali aggye mu nsi abo abaaliko emizimu n'abafumu.
4 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana ne bajja ne basiisira e Sunemu: awo Sawulo n'akuŋŋaanya Isiraeri yonna ne basiisira ku Girubowa.
5 Awo Sawulo bwe yalaba eggye ly'Abafirisuuti, n'atya, omwoyo gwe ne gukankana nnyo:
6 Awo Sawulo bwe yabuuza Mukama, Mukama n'atamwanukula newakubadde mu birooto newakubadde mu Ulimu newakubadde mu bannabbi.
7 Awo Sawulo n'alyoka agamba abaddu be nti Munnoonyeze omukazi aliko omuzimu ŋŋende gy'ali mubuuze. Abaddu be ne bamugamba nti Laba, waliwo omukazi aliko omuzimu e Endoli.
8 Sawulo ne yeekyusa n'ayambala ebyambalo ebirala n'agenda, ye n'abasajja babiri naye, be bajja eri omukazi ekiro: n'ayogera nti Ndagula, nkwegayiridde, n'omuzimu, onninnyisize buli gwe nnaakugambako erinnya.
9 Awo omukazi n'amugamba nti Laba, omanyi Sawulo bye yakola, bwe yazikiriza mu nsi abo abaliko emizimu, n'abafumu: kale kiki ekikuteeza obulamu bwange ekyambika okunzisa.
10 Sawulo n'alayirira Mukama ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, tekulikubaako kibonerezo kyonna olw'ekigambo kino.
11 Awo omukazi n'ayogera nti Ani gwe mba nkulinnyisiza? N'ayogera nti Nninnyisiza Samwiri.
12 Awo omukazi bwe yalaba Samwiri, n'akaaba n'eddoboozi ddene: omukazi n'agamba Sawulo nti Onnimbidde ki? Kubanga ggwe oli Sawulo.
13 Kabaka n'amugamba nti Totya: kubanga olaba ki? Omukazi n'agamba Sawulo nti Ndaba katonda ng'ava mu ttaka ng'ayambuka.
14 N'amugamba nti Embala ye eri etya? N'ayogera nti Omukadde ayambuka; era yeenagiddeko omunagiro. Sawulo n'ategeera nga Samwiri, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza.
15 Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti Lwaki okungolokosa okunninnyisa? Sawulo n'addamu nti Neeraliikiridde nnyo; kubanga Abafirisuuti balwana nange, era Katonda anvuddeko, so takyannyanukula newakubadde mu bannabbi newakubadde mu birooto: kyenvudde nkuyita ontegeeze bye mba nkola.
16 Awo Samwiri n'ayogera nti Obuuliza ki nze nno, Mukama ng'akuvuddeko era ng'afuuse mulabe wo?
17 Era Mukama yeekoledde omulimu, nga bwe yayogerera mu nze: era Mukama ayuzizza obwakabaka ng'abuggya mu mukono gwo era abuwadde muliraanwa wo, Dawudi.
18 Kubanga tewagondera ddoboozi lya Mukama n'ototuukiriza kiruyi kye ekingi ku Amaleki, Mukama kyavudde akukola ekigambo kiao leero.
19 Era nate Mukama anaagabula ne Isiraeri wamu naawe mu mukobo gw'Abafirisuuti: era enkya ggwe ne batabani bo banaaba nange: Mukama anaagabula n'eggye lya Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.
20 Awo Sawulo n'alyoka agwa ku ttaka ng'alambadde, n'atya nnyo, olw'ebigambo bya Samwiri: ne mutamusigalamu maanyi; kubanga yali talidde ku mmere yonna okuzibya obudde n'okukeesa
21 Omukazi n'ajja eri Sawulo, n'alaba nga yeeraliikiridde nnyo, n'amugamba nti Laba, omuzaana wo awulidde eddoboozi lyo ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange ne mpulira ebigambo byo by'oŋŋambye.
22 Kale nno, nkwegayiridde, naawe wulira eddoboozi ly'omuzaana wo, era nteeke akamere mu maaso go; olye olyoke obe n'amaanyi bw'onoogenda.
23 Naye n'agaana n'ayogera nti Siirye. Naye abaddu be awamu n'omukazi ne bamuwaliriza; n'awulira eddoboozi lyabwe. Awo n'agolokoka okuva wansi n'atuula ku kitanda.
24 Era omukazi yalina ennyana eya ssava mu nnyumba; n'ayanguwa n'agitta; n'addira obutta n'abugoya n'abwokya okuba omugaati ogutazimbulukuswa:
25 n'aguleeta mu maaso ga Sawulo ne mu maaso g'abaddu be; ne balya. Awo ne bagolokoka ne bagenda ekiro ekyo.
   

Essuula 29

[Ddayo waggulu]
Abafirisuuti bagaana Dawudi okugenda nabo mu lutalo
1 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki: Abaisiraeri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri.
2 Awo abaami b'Abafirisuuti ac bayitawo ebikumi n'ebikumi n'enkumi n'enkumi: Dawudi n'abasajja be ne bayitira wamu ne Akisi nga basemba.
3 Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti Abaebbulaniya bakola ki wano Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti Ono si Dawudi, omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, eyaakamala nange ennaku zino oba emyaka gino, so sirabanga kabi ku ye kasookedde aseaga okutuusa leero?
4 Naye abakulu b'Abafirisuuti ne bamusunguwalira; abakulu b'Abafirisuuti ne bamugamba nti Muzzeeyo omusajja oyo addeyo mu kifo kye kye wamulagira, aleme okuserengetera awamu naffe mu lutalo, aleme okufuuka omulabe waffe mu lutalo kubanga olusajja luno lwandyetabaganyizza naki ne mukama we? si na mitwe gya basajja bano?
5 Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako aga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?
6 Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange: kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero: naye abaami tebakwagala.
7 Kale nno ddayo ogende mirembe oleme okunyiiza abaami b'Abafirisuuti.
8 Dawudi n'agamba Akisi nti Naye nkoze ki oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka?
9 Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda: naye abaami b'Abafuisuuti boogedde nti Tajja kwambuka naffe mu lutalo:
10 Kale nno golokoka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe: awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende.
11 Awo Dawudi n'agolokoka mu makya, ye n'abasajja be, okugenda enkya, okuddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bambuka e Yezuleeri.
   

Essuula 30

[Ddayo waggulu]
Dawudi alwanagana n'Abamaleki
1 Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olw'okusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiika obwa ddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okutta Zikulagi era nga bakyokezza omuliro;
2 era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu: tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda.
3 Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba, nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze.
4 Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba,
5 Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze:
6 Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be: naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.
7 Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti Nkwegayiridde, leeta eno ekkanzu. Abiyasaali n'aleetayo ekkanzu eri Dawudi.
8 Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibantukako? N'amuddamu nti Goberera: kubanga tolirema kubatunkako, era tolirema kubibasuuza byonna.
9 Awo Dawudi n'agenda, ye n'abasajja olukaaga abaali naye, ne bajja ku kagga Besoli abaasigala gye baatuula.
10 Naye Dawudi n’agoberera, ye n’abasajja ebikumi bina: kubanga ebikumi bibiri baasigala, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayiaza kusomoka kagga Besoli:
11 ne basanga Omumisiri mu nsiko ne bamuleetera Dawudi ne bamuwa omugaati n'alya; ne bamunywesa amazzi:
12 ne bamuwa ekitundu ky'ekitole eky'ettiini n'ebirimba bibiri eby'ezabbibu enkalu; awo bwe yalya omwoyo gwe ne gukomawo: kubanga yali ng'amaze ennaku ssatu emisana n'ekiro nga talya mugaati so nga tanywa n’amazzi.
13 Awo Dawudi n'amugamba nti Ggwe oli musajja w'ani? era ova wa? N'ayogera nti Nze ndi mulenzi We Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula kubanga ennaku ziri ssatu kasookedde ndwala.
14 Twakwekweta obukiika obwa ddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiika obwa ddyo obwa Kalebu; ne twokya Zikulagi omuliro.
15 Dawudi n'amugamba nti Ononserengesa eri ekibiina kino? N'ayogera ati Ndayirira Katonda nga tolinzita so tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, nange naakuserengesa eri ekibiina kino.
16 Awo bwe yamuserengesa, laba, nga beesuddesudde ku ttaka lyonna, nga balya nga banywa, nga bafumba embaga, olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda.
17 Awo Dawudi n'abatta okutanula ekiro okutuusa olw'enkya lwe lwawungeera: ne watawonako n'omu, wabula abalenzi ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka.
18 Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze: Dawudi n'awonya bakazi be bombi.
19 Ne batabulwa kintu, oba kitono oba kinene, newakubadde abaana ab'obulenzi newakubadde ab'obuwala newakubadde omunyago newakubadde ekintu kyonna kye baali beenyagidde: Dawudi n’akomyawo byonna.
20 Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti Guno gwe munyago gwa Dawudi.
21 Dawudi n'ajja eri abasajja ebikumi ebibiri, abaayongobera bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kugoberera Dawudi, era be baatuuza ku kagga Besoli: ne bafuluma okusisinkana ne Dawudi n'okusisinkana n’abantu abaali naye: awo Dawudi bwe yasemberera abantu, n'abalamusa.
22 Awo abantu bonna ababi n'abantu ba Beriali ku abo abaagenda ne Dawudi ne baddamu ne boogera nti Kubanga tebaagenda naffe, tetujja kubawa ku munyago gwe tubasuuzizza, wabula buli muntu mukazi we n’abaana be, babatwale bagende.
23 Awo Dawudi n’ayogera nti Baganda bange, si bwe mugenda kukola ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyarutabaala.
24 Era ani anaabawulira mu kigamho ekyo? kuba omugabo gw'oyo aserengeta mu lutalo nga bwe guli, bwe gutyo bwe gunaabeera omugabo gw'oyo asigala ku bintu: banaagabana okwenkanankana.
25 Awo olwatuuka okuva ku Iunaku olwo n'alifuula etteeka n'empisa eri Isiraeri ne leero.
26 Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'ayogera nti Laba ekirabo kyammwe eky'oku munyago gw'abalabe ba Mukama;
27 abo abaali mu Beseri, n'abo abaali mu Lamosi eky'obukiika obwa ddyo, n'abo abaali mu Yattiri;
28 n'abo abaali mu Aloweri, n'abo abaali mu Sifumosi, n'abo abaali mu Esutemoa;
29 n'abo abaali mu Lakali, n'abo abaali mu bibuga eby'Abayerameeri, n'abo abaali mu bibuga eby'Abakeeni;
30 n'abo abaali mu Koluma, n'abo abaali mu Kolasani, n'abo abaali mu Asaki;
31 n'abo abaali mu Kebbulooni, n'ebifo byonna Dawudi yennyini n'abasajja be gye baamanyiiranga okubeera.
   

Essuula 31

[Ddayo waggulu]
Sawulo afiira mu lutalo e batabani be
1 Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti, ne bagwa nga battiddwa ku lusozi Girubowa.
2 Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3 Olutalo ne lumuba bubi Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne yeeraliikirira nnyo olw'abalasi.
4 Awo Sawulo n'agamba oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banfumita ne banswaza. Naye eyaiwalanga ebyokuiwanyisa bye n'agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n'akigwako.
5 Awo eyatwalanga ebyo okulwanyisa bye bwe yalaba Sawulo ng'afudde, era naye n'agwa ku kitala kye n'afiira wamu naye.
6 Sawulo n'afa bw'atyo, ne batabani be bonsatule, n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'abasajja be bonna, ku lunaku olwo wamu.
7 Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w'ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Awo olwatuuka enkya Abafirisuuti bwe bajja okunyaga abafu, ne basanga Sawulo ne batabani be bonsatule nga bagudde ku lusozi Girubowa.
9 Ne bamusalako omutwe, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne batuma mu nsi ey'Abafirisuuti enjuyi zonna, okubuulira ebigambo ebyo mu masabo omwali ebifaananyi byabwe ne mu bantu.
10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu nnyumba ya Baasutaloosi: ne basiba omulambo gwe ku bbugwe ow'e Besusani.
11 Awo We Yabesugireyaadi bwe baamuwulirako ekyo Abafirisuuti kye baakola SawuIo,
12 awo abazira bonna ne bagolokoka ne batambula ne bakeesa obudde ne baggya omulambo gwa Sawulo n'emirambo gya batabani be ku bbugwe w'e Besusani, ne bajja e Yabesi ne bagyokera eyo.
13 Ne baddira amagumba gaabwe, ne bagaziika wansi w'omumyuliru e Yabesi ne basiibira ennaku musanvu.
   

Next
Back