2 Abakkolinso  

Essuula 1

1 Paulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkariisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna:
2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna;
4 atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.
5 Kuba ebibonyoobonyo bya Kristo aga bwe byeyongera ennyo gye tuli, era bwe kutyo n'okusanyusibwa kwaffe kweyongera nnyo ku bwa Kristo.
6 Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusaayusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebiboayoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa:
7 era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tamanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoobonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa.
8 Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu:
9 era ffe bennyini twalimu okuddamu okw'okufa munda mu ffe, tuleme obwesige okubuteeka mu ffe fekka, wabula Katonda azuukiza abafu:
10 eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga: era gwe tusuubira edda alituwonya;
11 era mmwe bwe mubeera awamu ku lwaffe mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi balyoke beebaze ku lwaffe.
12 Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaffe, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga ennyo eri mmwe.
13 Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musoma era n'okwatula bye mwatula, era nsuubira nga munaabyatulanga okutuusa enkomerero:
14 nga n'okwatula bwe mwatwatulako akatono, nti ffe tuli kwenyumiriza kwammwe, era nga nammwe bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
15 Ne mu kusuubira kuno nnali njagala okujja gye muli edda, mulyoke muweebwe ekisa olw'okubiri;
16 n'okuyita gye muli okugenda e Makedoni, n'okuva nate e Makedoni okujja gye muli, n'okusibirirwa mmwe okugenda e Buyudaaya.
17 Kale bwe nnali njagala bwe ntyo, nnalagaalaganya? oba bye ateesa, mbiteesa kugoberera mubiri, nze okuba n'ebyo nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18 Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe ekiri eri mmwe si bwe kiti nti weewaawo ate nti si weewaawo.
19 Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye mwe muli weewaawo.
20 Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.
21 Naye. atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda;
22 era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe.
23 Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, nga kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.
24 Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza kwe kubayimiriza.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Naye kino nnakimalirira mu mwoyo gwange, obutajja nate na nnaku gye muli.
2 Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza?
3 N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja abo baleme okunnakuwaza abagwanira okunsanyusa; kubanga nneesiga mmwe mwenna, ng'essaayu lyange lye lyammwe mwenna,
4 Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa ku banakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina eri mmwe bwe kuli okungi enyo:
5 Naye omuntu bw'aba annakuwazizza, abatanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okuzitowa ennyo:
6 Kunaamumala ali bw'atyo okubonerezebwa okwo okw'abangi;
7 kyekivudde kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa, afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa enaaku ze nga ziyinze obungi.
8 Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala eri oyo.
9 Kubanga era kyennava mpandiika; ndyoke ntegeere okukemebwa kwammwe, oba nga muwulira mu bigambo byonna.
10 Naye gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye asonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo;
11 Setaani alemenga kutwekulumbalizaako: kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze.
12 Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,
13 ssaalaba kuwummula mu mwoyo gwange, olw'obutasanga Tito muganda wange: naye ne mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni:
14 Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangulwa mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo,
15 Kubanga tuli vvumbe ddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu bo ababula;
16 eri abo ababula a tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri bali tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?
17 Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi ofwamambo kya Katonda: mu maaso naye olwa Katonda, mu ga Katonda bwe tutyo bwe twogera mu Kristo.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abalala, ez'okutendereza eri jnmwe, oba eziva gye muli?
2 Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, basoma; .
3 nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande mitima egy'omubiri
4 Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo:
5 si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowoona ekigambo kulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda
6 era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga nnukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu.
7 Naye oba okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, amayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo:
8 okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa?
9 Kuba oba kitiibwa eereza okw'omusango kye ng’okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza kitiibwa.
10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiwebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo.
11 Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga ennyo okuba n’ekitiibwa.
12 Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi
13 so si nga Musa eyeebi kkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo:
14 naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo.
15 Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.
16 Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo.
17 Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.
18 Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso, gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri' okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Kale, kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasirwa, tetuddirira:
2 naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, aga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda.
3 Naye okubikkibwako oba ng'enjiri yaffe ebikkibwako, ebikkibwako mu abo ababula:
4 katonda ow'emirembe gino be yaziba amaaso g'amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw'enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira:
5 Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.
6 Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.
7 Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe;
8 tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so si kweraliikiririra ddala:
9 tuyiggayizibwa, naye tetulekebwa; tumegebwa, naye tetuzikirira;
10 bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okuttibwa kwa Yesu, era obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe.
11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa.
12 Bwe kiyo okufa kukolera mu ffe, naye bulamu mu mmwe.
13 Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiriza, kyennava njogera era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera;
14 nga tumanyi ng'oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, era naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.
15 Kubanga byonna biri ku bwammwe, ekisa ekyo bwe kyeyoagera olw'abangi kiryoke kyongezenga okwebaza Katonda aweebwe ekitiibwa.
16 Kyetuva tulema okuddirira; naye newakubadde omuntu waffe w'okungulu ng'aggwaawo, naye omuntu waffe ow'omunda afuuka muggya bulijjo bulijjo.
17 Kubanga okubonaabona kwaffe okuazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, wongerayongera nnyo okutukolera kidibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe;
18 ffe nga tetutuauuira ebirabika, wabula ebitalabika: nbanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Kubanga tumanyi nti, oba ng'ennyumba yaffe ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eryazimbibwa tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba taazimbibwa na mikono, ey'emirenbe n'emirembe, ey'omu ggulu.
2 Kubanga tusindira mu eno, nga twegomba okwambazibwa ennyunba yaffe eriva mu ggulu:
3 bwe tulyambazibwa, mpozzi tuleme okusangibwa nga tuli bwereere:
4 Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwamburwa, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu.
5 Naye eyatukolera ekyo ye Katonda, eyatuwa omusingo ogw'Omwoyo.
6 Kyetuva tuguma omwoyo ennaku zonna, era tumanya nga bwe tuba mu mubiri tuba wala Mukama waffe
7 (kubanga tutambula olw'okukkiriza, si lwa kulaba);
8 tuguma omwoyo, era kino kye tusinga okwagala, okuba ewala omubiri n'okubeera Mukama waffe gy'ali.
9 Era kyetuva tufuba, oba nga tukyali muno, oba nga tuli wala, okusiimibwa ye.
10 Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.
11 Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe.
12 Tetwetendereza nate eri mmwe, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeenyumiriza mu maaso, so si mu mutima.
13 Kuba oba nga tulaluse, tulaluse eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza eri mmwe.
14 Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa;
15 naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira.
16 Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna mu mubiri: okumanya newakubadde nga twamanya Kristo mu mubiri, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo.
17 Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.
18 Naye byonna biva eri Katonda, eyatutabaganya naye yekka ku bwa Kristo, n'atuwa ffe okuweereza okw'okutabaganya; nti
19 Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya.
20 Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng'afaanana ng'abeegayirira mu ffe: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda.
21 Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda
2 (kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi):
3 nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa;
4 naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku,
5 mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba;
6 mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi;
7 mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; lolw'ebyokulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono,
8 olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima;
9 ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa;
10 ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.
11 Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaff'e gugaziye.
12 Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe.
13 Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), nammwe mugaziwe.
14 Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza?
15 Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkirizal n'atali mukkiriza?
16 Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bWe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
17 Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama: So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza.
18 Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.
   

Next
Back