2 Abakkolinso  

Essuula 7

1 Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo,abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
2 Mutukkirize: tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muatu yenna:
3 Soogedde ku banenya: kubanga edda nnayogera nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe.
4 Njogera n'obuvumu bungi eri mmwe, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe: njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna.
5 Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.
6 Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.
7 so si lwa kujja kwe kwokka, era naye olw'okusanyusibwa kwe yasanyusibwa mu mmwe, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka.
8 Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga namala okwejjusa; kubangandabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza kaseera.
9 Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe.
10 Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa.
11 Kubanga, laba; okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba lokungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era a'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.
12 Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi; newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda.
13 Kyetwava tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna.
14 Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima:
15 N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli; ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana.
16 Nsanyuse kubanga mu byonna nguma omwoyo mu mmwe.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa mu kkanisa ez'e Makedoni;
2 mu kubonaabona okwabakema etmyo essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwayinga obungi byasukkirira mu bugagga obw'obugabi bwabwe.
3 Kubanga, ntegeeza bo, baagaba bokka nga bwe baayinza era n'okusinga obuyinza bwabwa,
4 nga batusaba n'okwegayirira okungi olw'ekisa ekyo n'okussa ekimu okwo mu kuweereza abatukuvu;
5 so si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda.
6 Kyetwava tubuulirira Tito, nga bwe yatanula edda, era bw'atyo alyoke akituukirize era n'ekisa ekyo gye muli.
7 Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe eri ffe, era musukkirirenga ne mu kisa ekyo.
8 Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula olw'okufuba kw'abalala nga nkema okwagala kwammwe nga kwa mazima.
9 Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.
10 Era mbagambye kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira mmwe, abaasooka okutanula, si kukola kwokka, era naye n'okwagala, nga mwakamala omwaka gumu.
11 Naye kaakano mutuukirize n'okukola; nga bwe waaliwo okwagala amangu, era n'okutuukiriza bwe kutyo kulyoke kubeerewo, nga hwe muyinza;
12 Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng'omuntu bw'alina, si nga bw'atalina.
13 Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, na mmwe muteganyizibwe:
14 wabula olw'okwenkanankana, okusukkirira kwammwe kuweereze okwetaaga kwabwe kaakano mu biro bino, era n'okusukkirira kwabwe kulyoke kuweereze okwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo:
15 nga bwe kyawandiikibwa nti Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.
16 Naye Katonda yeebazibwe, eyassa mu mutima gwe Tito okufuba okwo ku lwammwe.
17 Kubanga okukktnza akkirizza okubuulirira kwaffe; kubanga naye yennyini alina okufuba okungi, asitula okugenda gye muli nga yeetuma.
18 Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa mu njiri mu kkanisa zonna;
19 so si ekyo kyokka, era so naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage okwa,gala kwaffe amangu:
20 nga twetwala ekyo, omuntu obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza:
21 kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu.
22 Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano muayiikivu nnyo. okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri mmwe.
23 Omuntu bw'anaabuuzanga ebya Tito, ye assa ekimu nange era ye mukozi munnange eri mmwe; oba bya baganda baffe, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo:
24 Kale mubalage mu maaso g'ekkanisa ekiraga okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira:
2 kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo:
3 Naye nttama ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke:
4 mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwe.balibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo.
5 Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.
6 Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.
7 Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
8 Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:
9 aga bwe kyawandiikibwa nti Ye asasaanya, yagabira abaavu Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna,
10 Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:
11 nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.
12 Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo ekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;
13 kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda oka okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;
14 era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe:
15 Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Naye aze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzlra;
2 kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambuIa okugobereranga omubiri.
3 Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri
4 (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);
5 nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo;
6 era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira.
7 Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowonze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era na$e bwe tutyo,
8 Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi:
9 nneme okufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange:
10 Kubanga boogera nti Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; aaye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu:
11 Ali bw'atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bwe tutyo: bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo.
12 Kubanga tetwanijanga kwerowooza nga tuli ku muweado gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi.
13 Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli:
14 Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo:
15 nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammvee bwa kukula okuguiumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira,
16 era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiiiza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese.
17 Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.
18 Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza:
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Singa mungumiikirizza mu busirusiru obutono; era naye mungumiikirize.
2 Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu; ndyoke mbaleeta eri Kristo nga omuwala omulongoofu.
3 Naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.
4 Kuba oyo ajja bw'abuulira Yesu omulala gwe tutaabuulira, oba bwe muweebwa omwoyo omulala gwe mutaaweebwa, oba njiri ndala; gye mutakkiriza, mukola bulungi okumugumiikiriza.
5 Kubanga ndowooza nga ssisingibwa n'akatono abatume abakulu ennyo.
6 Naye newakubadde nga ndi muligo mu bigambo, naye ssiri muligo mu kutegeera; naye mu byonna twakwolesa mu bantu bonna eri mmwe.
7 Oba nnayonoona bwe nueetoowaza nzekka mmwe mugulumizibwe kubanga nnababuulira enjiri ya Katonda ey'obwereere?
8 Nnanyaga ekkanisa endala, nga mpeebwa empeera olw'okubaweereza mmwe;
9 era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda bwe baava mu Makedoni, baatuukiriza ebyali bimbuze; ne mu byonna nneekuuma obutabazitoowereranga, era nneekuumanga bwe ntyo.
10 Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, siwali: alinziyiza okwenyumiriza okwo mu asalo ez'e Yakaya.
11 Lwaki? kubanga sibaagala? Katonda amanyi.
12 Naye bwe nkola, era bwe nnaakolanga, mbaggirewo awasinziirwa abo abaagala awasinziirwa, balabike era nga ffe mu kigambo kye beenyumiririzaamu.
13 Kubanga abali ng'abo be batume ab'obulimba, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo.
14 So si kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya aga malayika ow'omusana.
15 Kale si kitalo era n'abaweeteza be bwe beefaananya ng'abaweereza: ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.
16 Njogera nate nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, naye munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono.
17 Kye njogera, sikyogera nga kigambo kya Mukama waffe, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumiriza.
18 Kubanga bangi abeenyumiriza mu mubiri, nange nneenyumiriza.
19 Kubanga mugumiikiriza n'essanyu abasirusiru, kubanga mtnwe muli bagezigezi.
20 Kubanga mugumiikiriza omuntu, bw'abafuula abaddu, bw'abamira, bw'abawamha, bwe yeegulumiza, bw'abakuba amaaso.
21 Njogedde olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenna. ky'agumira (njogera mu busirusiru), nange nguma.
22 Bo Baebbulaniya? nange. Bo Baisiraeri? nange. Bo zzadde lya Ibulayimu? nange.
23 Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, mu kufa emirundi emingi.
24 Eri Abayudaaya nnakubibwa emirundi etaano emiggo amakumi asatu mu mwenda.
25 Emirundi esatu nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu eryato lyamenyeka, nnasula ne nsiiba mu buziba;
26 mu kutambulanga emirundi emingi, mu bubi obw'emigga, mu bubi obw'abanyazi, mu bubi lobuva eri eggwanga lyange, mu bubi obuva eri ab'amawanga, mu bubi obw'omu kibuga, mu bubi obw'omu ddungu, mu bubi obw'omunnyanja, mu bubi obw'ab'oluganda ab'obulimba;
27 mu kufuba n'okukoowa, mu kutunulanga emirundi emingi, mu njala n'ennyonta, mu kusiibanga: emirundi emingi, mu mpewo n'okubeera obwereere.
28 Obutassaako bya bweru, waliwo ekinzitoowerera bulijjo bulijjo, okwerariikiriranga olw'ekkanisa zonna.
29 Ani omunafu; nange bwe ssiba munafu? ani eyeesittazibwa, nange bwe ssaaka?
30 Oba nga kirpwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange.
31 Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, eyeebazibwa emirembe gyonna, amanyi nga ssirimba.
32 Mu Ddamasiko ow’essaza owa Aleta kabaka yateega ekibuga eky'Abadamasiko, alyoke ankwate:
33 ne bampisa mu ddirisa nga ndi mu kisero ku bbugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe.
2 Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amaanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggutu ery'okusatu.
3 Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi),
4 bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.
5 Ku bw'omuntu ali bw'atyo nneenyumirizanga: naye ku bwange ssiryenyumisiza, wabula mu by'obunafu bwange.
6 Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira.
7 N'olw'obukutu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulilswa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.
8 Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.
9 N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.
10 Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
11 Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu.
12 Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.
13 Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.
14 Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.
15 Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?
16 Naye si musango, nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nabateega mu lukwe.
17 Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe?
18 Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu?
19 Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe.
20 Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema;
21 bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Kaakano njija gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera.
2 Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw'okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira;
3 kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe:
4 kubanga yakomererwa olw'obunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda eri mmwe.
5 Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa.
6 Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa:
7 Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.
8 Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba.
9 Kubanga tusanyuka ffe: bwe tuba abanafn, nammwe bwe muba n'amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe, okutuukirira.
10 Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.
11 Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba: Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe: ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe.
12 Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
13 Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.
   

Next
Back