2 Bassekabaka  

Essuula 17

1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogwa Akazi kabaka wa Yuda Koseya mutabani wa Era n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka mwenda.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, era naye nga tabenkana bassekabaka ba Isiraeri abaamusooka.
3 Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n'amutabaala; Koseya n'afuuka muddu we n'amuleeteranga ebirabo.
4 kabaka w'e Bwasuli n'alaba olukwe mu Koseya; kubanga yali atumidde So kabaka w'e Misiri ababaka, n'atawa kabaka w'e Bwasuli kirabo nga bwe yakolanga buli mwaka: kabaka w'e Bwasuli kyeyava amuteeka mu kkomera n'amusiba.
5 Awo kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi yonna n'ayambuka e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu.
6 Mu mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka w'e Bwasuli n'amenya Samaliya, n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani ne mu bibuga eby'Abameedi.
7 Awo ne kiba bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuva wansi w'omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne batya bakatonda abalala,
8 ne batambulira mu mateeka g'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri ne mu ga bassekabaka ba Isiraeri, ge baateeka.
9 Era abaana ba Isiraeri ne bakolanga kyama ebigambo ebitali birungi eri Mukama Katonda waabwe, ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu kibuga ekiriko enkomera.
10 Era ne beesimbira empagi ne Baasera ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi:
11 ne bootererezanga eyo obubaane ku bifo byonna ebigulumivu ng'amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yaggyawo okubasooka; ne bakolanga eby'ekyejo okusunguwaza Mukama:
12 ne baweerezanga ebifaananyi Mukama bye yabagambako nti Temukolanga kigambo kino.
13 Era naye Mukama n'ategeerezanga Isiraeri ne Yuda mu mukono gwa buli nnabbi a'ogwa buli mulabi ng'ayogera nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe era ge nnabaweereza mu mukono gw'abaddu bange bannabbi.
14 Era naye ne bataganya kuwulira naye ne bakakanyazanga ensingo yaabwe ng'ensingo ya bajjajjaabwe abatakkiriza Mukama Katonda waabwe.
15 Ne bagaananga amateeka ge n'endagaano ye gye yalagaana ne bajjajjaabwe n'ebyo bye yategeeza gye bali; ne bagobereranga ebirerya ne bafirukanga ba birerya, ne bagobereranga amawanga agabeetoolodde, Mukama ge yabakuutirako baleme okukola okubafaanananga.
16 Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga eggye lyonna ery'omu ggulu, ne baweerezanga Baali.
17 Ne bayisanga abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala mu muliro, ne bakola eby'obufumu n'eby'obulogo, ne beetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, okumusunguwaza.
18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abaggya mu maaso ge: tewaali eyasigalawo wabula ekika kya Yuda kyokka.
19 Era ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, naye ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka.
20 Era ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, naye ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka.
21 Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka: Yerobowaamu n'agoba Isiraeri obutagoberera Mukama, n'aboonoonyesa okwonoona okunene.
22 Awo abaana ba Isiraeri ne batambuliranga mu bibi byonna ebya Yerobowaamu bye yakola; tebabivangamu;
23 okutuusa Mukama lwe yaggya Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogera n'omukono gw'abaddu be bonna bannabbi. Awo Isiraeri ne batwalirwa ddala okuva mu nsi yaabwe mu Bwasuli ne leero.
24 Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babulooni ne Kusa ne Ava ne Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne balya Samaliya ne batuula mu bibuga byayo.
25 Awo olwatuuka bwe baasooka okututila omwo ne batatya Mukama: Mukama kyeyava asindika mu bo emipologoma ne zibattako abamu.
26 Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava asindika mu bo empologoma, era, laba, zibatta kubanga tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi:
27 Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi.
28 Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n’abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama.
29 Naye buli ggwanga ne beekoleranga bakatonda baabwe bo ne babateeka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu Abasamaliya bye baali bakoze, buli ggwanga mu bibuga byabwe mwe baabeera.
30 Abasajja ab'e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab'e Kuusi ne bakola Nerugali, abasajja ab'e Kamasi ne bakola Asima,
31 Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookeranga abaana baabwe mu muliro eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu.
32 Awo ne batyanga Mukama ne beeyawulira bakabona b'ebifo ebigulumivu nga babaggya mu bo bennyiai, abaabaweerangayo ssaddaaka mu nnyumba ez'ebifo ebignlumivu.
33 Ne batyanga Mukama, ne baweerezanga bakatonda baabwe bo ng'engeri bwe yali ey'amawanga ge baggibwamu okutwalibwa.
34 Baakola na buli kati ng'empisa ez'edda bwe zaali: tebaatyanga Mukama so tebaakolanga ng'amateeka gaabwe bwe gaali newakubadde nga bwe baalagirwa newakubadde ng'etteeka n'ebiragiro bwe biri Mukama bye yalagira abaana ba Yakobo gwe yatuuma Isiraeri;
35 Mukama gwe yali alagaanye naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temutyanga bakatonda abalala, so temubakutamiranga, so temubaweerezanga, so temuwangayo ssaddaaka eri bo:
36 naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga mutya era oyo gwe mubanga mukutamira, era eri oyo gye mubanga muwa ssaddaaka:
37 n'amateeka ne bye mwalagirwa ne tawuleti n'ekiragiro kye yabawandiikira, munaabikwatanga okubikola ennaku zonna; so temutyanga bakatonda abalala:
38 n'endagaano gye ndagaanye nammwe temugyerabiranga; so temutyanga bakatonda abalala:
39 naye Mukama Katonda wammwe gwe mubanga mutya; era ye anaabalokolanga mu mukono gw'abalabe bammwe bonna.
40 Era naye ne batawulira naye ne bakola ng'empisa yaabwe ey'edda bwe yali.
41 Awo amawanga gano ne gatya Mukama ne baweereza, ebifaananyi byabwe ebyole; era n'abaana baabwe bwe batyo n'abaana b'abaana baabwe, nga bajjajjaabwe bwe baakolanga, bwe batyo bwe baakola na buli kati.
   


Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okusatu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaks wa Yuda n'atanula okufuga.
2 Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi, abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
3 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Dawudi bye yakolanga.
4 Yaggyawo ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n'atemera ddala Baasera: n'amenyamenya omusota ogw'ekikomo Musa gwe yakola; kubanga okuruusa mu biro ebyo abaana ba Isiraeri nga bagwoterereza obubaane; n'aguyita nti Kikorao bukomo.
5 Yeesiga Mukama Katonda wa Isiraeri; awo oluvannyuma lwe ne wataba amufaanana mu bakabaka bonna aba Yuda so si mu abo abaamusooka.
6 Kubanga yeegatta ne Mukama, teyaleka kumugoberera naye n'akwata ebiragiro bye Mukama bye yalagira Musa.
7 Awo Mukama n'abanga naye; buli gye yafulumanga yonna n'alabanga omukisa: n'ajeemera kabaka w'e Bwasuli n'atamuweereza.
8 N'akuba Abafirisuuti okubatuusa e Gaza n'ensalo zaakyo, ekigo eky'omukuumi era n'ekibuga ekirika enkomera.
9 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusaavu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Samaliya n'auzingiza.
10 Awo emyaka esatu bwe gyayitawo ne bakimenya: mu mwaka ogw'omukaaga ogwa Keezekiya, gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri, Samaliya ne kimenyebwa.
11 Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, ne mu bibuga eby'Abameedi:
12 kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye ne basobya endagaano ye, byonna Musa omuddu wa Mukama bye yalagira, ne batakkiriza kubiwulira newakubadde okubikola.
13 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya.
14 Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ddayo onveeko: by'oaonsalira ttaabikkiriza. kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talaata ebikumi bisatu n'ezaabu talanta amakumi asatu.
15 Era Keezeekiya n'amuwa effeeza yonna eyalabika mu nnyumba ya Niukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka.
16 Mu biro ebyo Keezeekiya n'asala ezaabu ku nzigi za yeekaalu ya Mukama ne kumpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda ze yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli.
17 Awo kabaka w'e Bwasuli n'atuma Talutani ne Labusalisi ne Labusake ng'ayima e Lakisi eri kabaka Keezeekiya, nga balina eggye lingi, e Yerusaalemi. Ne batabaala ne bajja e Yerusaalemi. Awo nga batabadde ne bajja ne bayimirira awali olusalosalo olw'ekidiba ekyengulu ekiri mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoyo.
18 Awo bwe baayita kabaka, ne wafuluma eri bo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza.
19 Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli nti Bwesige ki buno bwe weesiga? nti
20 Oyogera, naye bigambo bya mu kamwa bumwa, nti Waliwo amagezi n'amaanyi ag'okulwana: Ani nno gwe weesiga n'okujeema n'onjeemera?
21 Laba nno weesiga omuggo ogw'olumuli luno olwatifu, ye Misiri; omuntu bw'aneesigama okwo, lunaayingira mu mukono gwe ne lugufumita: bw'atyo Falaawo kabaka w'e Misiri bw'ali eri abo bonna abamwesiga.
22 Naye bwe munaŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gw'aggidewo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino mu Yerusaalemi?
23 Kale nno, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli, nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw'onooyinza okuziteekako abazeebagala.
24 Kale onooyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi.
25 Nze ntabadde ekifo kino kaakano awatali Mukama okukizikiriza? Mukama ye yaŋŋamba nti Tabaala ensi eno ogizikirize.
26 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulutegeera: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.
27 Naye Labusake n'abagamba nti Mukama wange yantumira mukama wo naawe okwogera ebigambo bino? tantumidde basajja abatuula ku bbugwe, okulya amazi gaabwe bo n'okunywera enkali yaabwe bo wamu nammwe?
28 Awo Labusake n'ayimirira n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli.
29 Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza ku balokola mu mukono gwe
30 so Keezeekiya tabeesizanga Mukama ng'ayogera nti Mukama talirema kutulokola, n'ekibuga kino tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
31 Temuwulirizanga Keezeekiya: kubanga bw'atyo bw'ayogera kabaka w'e Bwasuli ati Mutabagane nange mufulume gye ndi; ne mulya buli muntu ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, ne munywa buli muntu amazzi ag'omu kidiba kye ye;
32 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta nga zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwulirizanga Keezeekiya bw'alibasendasenda ng'ayogera nti Mukama alitulokola.
33 Waliwo katonda yenna ku bakatonda b'amawanga eyali 'alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli?
34 Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab'e Kena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange?
35 Baani ku bakatonda bonna ab'ensi abaalokola ensi yaabwe mu mukono gwange, Mukama alokole Yerusaalemi mu mukono gwange?
36 Naye abantu ne basirika ne batamuddamu kigambo: kubanga ekiragiro kya kabaka kyali bwe kityo nti Temumuddamu.
37 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka kabaka Keezeekiya bwe yakiwulira n'ayuza ebyambalo bye ne yeesiiga evvu n'ayingira mu nnyumba ya Mukama.
2 N'atuma Eriyakimu eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona nga bambadde ebibukutu eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
3 Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa buyinike era lwa kunenyezebwa era lwa kuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala.
4 Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo byonna ebya Labusake kabaka w'e Bwasuli mukama we gwe yatuma okuvuma Katonda omulamu, era n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusa okusaba kwo ku lwabo abasigadde.
5 Awo abaddu ba kabaka Keezeekiya ne bajja eri Isaaya.
6 Awo Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe muba mugamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde abaddu ba kabaka w'e Bwasuli kye banzivodde.
7 Laba, naateeka omwoyo mu ye, kale anaawulira ekigambo n'addayo mu nsi ye; nange ndimugwisa n'ekitala mu nsi ye ye.
8 Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde ng'awdde ku Lakisi.
9 Awo bwe, yawulira nga boogera ku Tiraka kabaka w'e Esiyoopya nti Laba, atabadde okulwana naawe: n'atumira nate Keezeekiya ababaka ng'ayogera nti
10 Bwe mutyo bwe muba mugamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
11 Laba, wawulira bakabaka b'e Bwasuli bye baakola ensi zonna nga bazizikiririza ddala, naawe olirokoka?
12 Bakatonda b'amawanga baabalokola abo bajjajjange be baazikiriza, Gozani ne Kalani ne Lezefu n'abaana ba Edeni abali mu Terasali?
13 Kabaka w'e Kamasi ali ludda wa ne kabaka w'e Alupadi ne kabaka w'ekibuga Sefavayimu, ow'e Kena n'ow'e Yiva?
14 Awo Keezeekiya n'atoola ebbaluwa mu mukono gw'ababaka n'agisoma: awo Keezeekiya n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15 Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi.
16 Tega okutu kwo, ai Mukama, owulire; zibula amaaso go; ai Mukama, olabe: owulire ebigambo bya Sennakeribu by'amutumye okuvuma Katonda omulamu.
17 Mazima, Mukama, bakabaka w'e Bwasuli baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe,
18 era baasuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda naye mulimu gwa mikono gya bantu, emiti n'amayinja; kyebaava babazikiriza.
19 Kale nno, ai Mukama Katonda waffe, tulokole, nkwegayiridde, mu mukono gwe obwakabaka bwonna obw'ensi bamanye nga ggwe Mukama Katonda, ggwe wekka.
20 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera ati Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga onsabye olwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, nkuwulidde.
21 Kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: nti Omuwala wa Sayuuni atamanyanga musajja akunyoomye, akusekeredde; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe.
22 Ani gw'ovumye gw'ovodde? ani gw'ogulumirizzaako eddoboozi lyo n'oyimusa waggulu amaaso go? ku Mutukuvu owa Isiraeri.
23 Ovumidde Mukama mu babaka bo n'oyogera nti Nninnye ku ntiko y'easozi n'olufulube lw'amagaali gange, ku njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditema emivule gyako emiwanvu n'emiberosi gyako egisinga obulungi: era ndiyingira mu kisulo kyako ekikomereddeyo, mu kibira eky'ennimiro yaako engimu.
24 Nsimye, nnywedde amazzi ag'abannaggwanga, era ndikaza n'ebigere byange emigga gyonna egy'e Misiri:
25 Tewawulira bwe nnalukola edda, ne nkibumba okuva mu biro eby'edda? kaakano nkituukirizza obeere wa kuzikiriza bibuga ebiriko enkomera n'obifuula ebifunvu eby'amatongo.
26 Ababituulamu kyebava babeera n'amaanyi amatono, ne batekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu ttale era ng'omuddo omubisi, ng'essubi eriri waggulu ku nnyuniba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
27 Naye mmanyi okutuula kwo n'okufuluma kwo n'okuyingira kwo ne bw'ondalukira.
28 Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo zo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, ne nkuddizaayo mu kkubo lye wafulumamu.
29 Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogw'okusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu.
30 Awo ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emizi wansi ne babala ebibala waggulu.
31 Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama bulituukiriza ekyo.
32 Mukama kyava ayogera ku kabaka w'e Bwasuli nti Talituuka ku kibuga kino, so talirasaayo kasaale, so talikyolekera n'engabo, so talikituumako kifunvu.
33 Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama.
34 Kubanga ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.
35 Awo olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n'afuluma n’atta mu lusiisira olw'Abasuuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu.
36 Awo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'avaayo n'agenda n'addayo, n'abeera e Nineeve.
37 Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi y'e Alalati. Esaladoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.
2 Awo n'akyusiza amaaso ge ku kisenge n'amwegayirira Mukama ng'ayogera nti
3 Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
4 Awo olwatuuka Isaaya nga tannafuluma okugenda mu luuyi Iw'ekibuga olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti
5 Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya : ku Ilunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama.
6 Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya : ku lunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama.
7 Awo Isaaya n'ayogera nti Muddire ekitole ky'ettiini. Ne bakiddira ne bakiteeka ku jjute, n'awona.
8 Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Kaluwa akabonero nga Mukama alimponya era nga ndirinnyira mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusatu?
9 Isaaya n'ayogera nti Kano ke kaliba akabonero gy'oli akava eri Mukama nga Mukama alikola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaddayo ennyuma amadaala kkumi?
10 Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okukka amadaala kkumi kigambo 'kyangu: nedda, naye ekisiikirize kiddeyo ennyuma amadaala kkumi,
11 Isaaya nnabbi n'akaabirira Mukama: n'azzaayo ennyuma ekisiikirize ebbanga ery'amadaala ekkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi.
12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w'e Babulooni n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwaide.
13 Awo Keezeekiya n'abavulira n'abalaga ennyumba yonna y'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n’amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'ebyokulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
14 Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ey'ewala mu Babulooni.
15 N'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.
16 Isaaya n'agamba Keezeekiya nti Wulira ekigambo kya Mukama.
17 Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama.
18 Era balitwala ne ku batabani bo abalikuvaamu b'olizaala: kale baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w'e Babulooni.
19 Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Si weewaawo, emirembe n'amazima bwe binaabangawo ku mirenbe gyange?
20 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya n’amaanyi ge gonna era bwe yasima ekidiba n'olusalosalo n’aleeta amazzi mu kibuga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
21 Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Manase mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kefuziba.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama beyagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
3 N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.
4 N'azimba ebyota mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.
5 Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.
6 N'ayisa mu muliro mutabani we, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
7 N'asimba ekifaananyi ekyole ekya Asera kye yakola mu nnyumba Mukama gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna:
8 so siriwabya nate bigere bya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; kyokka bwe baneekuumanga okukola nga byonna bwe biri bye mbalagidde era ng'amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa ge yabalagira.
9 Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
10 Awo Mukama n'ayogerera mu baddu be bannabbi nti
11 Kubanga Manase kabaka wa Yuda okoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna. Abamoli bye baakola abaamusooka, era ayonoonyesezza ne Yuda n'ebifaananyi bye:
12 Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli anaabuwuliranga n'okwamirira amatu ge gombi ne gaamirira.
13 Era ndireega ku Yerusaalemi omugwa ogw'e Samaliya n'ejjinja erigera ery'ennyumba ya Akabu: era ndisangula Yerusaalemi ng'omuntu bw'asangula essowaani, ng'agisangula era ng'agivunika.
14 Era ndisuula ekitundu ekifisseewo eky'obusika bwange ne mbagabula mu mukono gw'abalabe baabwe; kale balifuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna;
15 kubanga bakoze ebiri mu maaso gange ebibi ne bansunguwaza okuva ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviira mu Misiri ne leero.
16 Era nate Manase n'ayiwa omusaayi ogutaliiko musango, mungi nnyo okutuusa lwe yajjuza Yerusaalemi eruuyi n'eruuyi; obutasaako kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Yuda ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
17 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase ne byonna bye yakola n'okwonoona kwe kwe yayonoona tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
18 Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.
19 Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba.
20 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakola:
21 N'atambulira mu kkubo lyonna kitaawe lye yatambuliramu n'aweereza ebifaananyi kitaawe bye yaweereza n'abisinza:
22 n'ava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe n'atatambulira mu kkubo lya Mukama.
23 Abaddu ba Amoni ne bamwekobaana ne battira kabaka mu nnyumba ye ye.
24 Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.
25 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amoni bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
26 N'aziikibwa mu ntaana ye mu lusuku lwa Uzza: Yosiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
3 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya kabaka n'atuma Safani mutabani wa Azaliya mutabani wa Mesullamu omuwandiisi eri ennyumba ya Mukama ng'ayogera nti
4 Mwambuke eri Kirukiya kabona asinga obukulu, abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu:
5 baziweeyo mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama: baziwe abakozi b'emirimu abali mu nnyumba ya Mukama okuddaabiriza ebituli by'ennyumba;
6 ababazzi n'abazimbi n'abazimbi b'amayinja; era olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddaabiriza ennyumba.
7 Naye tebaabalirira muwendo eri abo ogw'effeeza ezaaweebwa mu mukono gwabwe; kubanga baakolanga n'obwesigwa.
8 Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma.
9 Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama.
10 Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.
11 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulirA ebigambo eby'ekitabo eky'amateeka, n'ayuza ebyambalo bye.
12 Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona ne Akikamu mutabani wa Safani ne Akuboli mutabani wa Mikaaya ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka ng'ayogera nti
13 Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abantu ne Yuda yenna eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obubuubuuse eri ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaawulira bigambo bya kitabo kino okukola nga byonna bwe biri ebyatuwandiikirwa.
14 Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akuboli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye.
15 Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja abatumye gye ndi nti
16 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye:
17 kubanga banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira.
18 Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nii Olw'ebigambo by'owulidde,
19 kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga balifuuka amaiongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama.
20 Laba, kyendiva nkukuŋŋaanya eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Awo kabaka n'atuma, ne bakuŋŋaanyiza gy'ali abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yeru saalemi.
2 Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi wamu naye ne bakabona ne bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu: n'asoma mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.
3 Kabaka n'ayimirira awali empagi n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambula okugoberera Mukama n'okukwata amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna okunyweza ebigambo by'endagaano eno ebyawandiikibwa mu kitabo kino: abantu bonna ne bayimirira okwesibira endagaano.
4 Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona ab'omutindo ogw'okubiri n'abaggazi, okufulumya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebyakolerwa Baali ne Asera n'eggye lyonna ery'omu ggulu: n'abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri ku Kiduloni, n'evvu lyabyo n'alitwala e Beseri.
5 N'aggyawo bakabona abaasinza ebifaananyi bakabaka ba Yuda be baayawula okwoterereza obubaane ku bifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetooloode Yerusaalemi; n'abo abaayotererezanga obubaane Baali n'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye n'eggye lyonna ery'omu ggulu.
6 N'aggya Asera mu nnyumba ya Mukama ebweru wa Yerusaatemi n'akireeta ku kagga Kiduloni n'akyokera ku kagga Kiduloni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n’asuula effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi.
7 N'amenyamenya ennyumba ez'abaalyanga ebisiyaga ezaali mu nnyumba ya Mukama, abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
8 N'aggya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda, n'ayonoona ebifo ebigulumivu bakabona kwe baayoterezanga obubaane, okuva e Geba okuruuka e Beeruseba; n'amenyamenya ebifo ebigulumivu eby'oku nzigi ebyali awayingirirwa mu mulyango gwa Yoswa omukulu w'ekibuga, ebyali ku mukono ogwa kkono ogw'omuntu awali wankaaki w'ekibuga.
9 Era naye bakabona ab'ebifo ebigulumivu ne batayambuka eri ekyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, naye ne baliiranga emigaati egitazimbulukuswa mu baganda baabwe.
10 Era n'ayonoona Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okuyisa omwana we ow'obulenzi newakubadde ow'obuwala mu muliro eri Moleki.
11 N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawadde enjuba, awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyaliraana yeekaalu; n'ayokya amagaali g'enjuba omuliro.
12 N'ebyoto ebyali waggulu ku nju eya waggulu eya Akazi, bakabaka ba Yuda bye baali bakoze, n'ebyoto Manase bye yali akoze, mu mpya zombi ez'ennyumba ya Mukama, kabaka n'abimenyamenya n'abisindika wansi okubiggya yo, n'asuula enfuufu yaabyo mu kagga Kiduloai.
13 N'ebifo ebigulumivu ebyayolekera Yerusaalemi ebyali ku mukono ogwa ddyo ogw'olusozi olw'obwonoonefu, Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yazimbira Asutaloosi omuzizo gw'Abasidoni ne Kemosi omuzizo gwa Mowaabu ne Mirukomu omuzizo gw'abaana ba Amoni, kabaka n'abyonoona.
14 N'amenyamenya empagi n'atema Baasera n'ajjuza ebifo byabwe amagumba g'abantu.
15 Era n'ekyoto ekyali e Beseti n'ekifo ekigulumivu n'abimenyamutabani wa Nebati eyayonoonyesa Isiraeri kye yakola, ekyoto ekyo n'ekifo ekigulumivu n'ebimenyamenya; n'ayokya ekifo ekigulumivu n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n'ayokya Asera.
16 Awo Yosiya bwe yakebuka n'alaba amalaalo agali eyo ku lusozi; n'atuma n'aggya amagumba mu malaalo n'agookera ku kyoto n'akyonoona ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama omusajja wa Katonda kye yalangira eyalangira ebigambo bino.
17 Awo n'ayogera nti Kijjukizo ki ekyo kye ndaba? Abasajja ab'omu kibuga ne bamubuulira nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri.
18 N'ayogera nti Mumuleke; omuntu yenna aleme okusimula amagumba ge. Awo ne baleka amagumba ge wamu n'amagumba ga nnabbi eyava mu Samaliya.
19 Era n'amasabo gonna ag'ebifo ebigulumivu agaali mu bibuga eby'e Samaliya, bassekabaka ba Isiraeri go baakola, okusunguwaza Mukama, Yosiya n'agaggyawo naakola ag'ebikolwa byonna bwe byali bye yakola mu Beseri.
20 N'attira bakabona bonna ab'ebifo ebigulumivu abali eyo ku byoto, n'abyokerako amagumba g'abantu; n'addayo e Yetusaalemi.
21 Awo kabaka n'alagira abantu bonna ag'ayogera nti Mukwate Okuyitako eri Mukama Katonda wammwe nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo , kino eky'endagaano.
22 Mazima tebaakwatanga: Kuyitako okwenkana awo okuva ku mirembe gy'abalamuzi abaalamula Isiraeri newakubadde mu mirembe gyonna egya bassekabaka ba Isiraeri newakubadde mu gya bassekabaka ba Yuda;
23 naye mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya ne bakwata Okuyitako okwo eri Mukama mu Yerusaalemi.
24 Era nate abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna egyalabika mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi Yosiya n'abiggyawo, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama.
25 Era tewali kabaka eyamusooka eyamufaanana eyakyukira Mukama n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna n'amaanyi ge; gonna ng'amateeka ga Musa gonna bwe gali; so n'oluvannyuma lwe tewaagolokoka n'omu eyamufaanana.
26 Era naye Mukama n'atakyuka kuleka ekiruyi kye ekingi ekyabuubuusa obusungu bwe eri Yuda olw'okusunguwaza kwonna Manase kwe yamusunguwaza.
27 Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo ne Yuda mu manso gange nga bwe nziyeewo Isiraeri, era ndisuula ekibuga kino kye nneeroboza, Yerusaalemi, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange linaabanga eyo.
28 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
29 Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atabaala kabaka w'e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n'amutabaala: n'amuttira e Megiddo bwe yamulaba.
30 Ku mirembe gye Falaawoneko kabaka w'e Misiri n'atabaala kabaka w'e Bwasuli ku mugga Fulaati: Yosiya n'amutabaala: n'amuttira e Megiddo bwe yamulaba.
31 Yekoyakaazi, yali yaakamaze emYaka amakumi abiri mu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
32 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola.
33 Awo Falaawoneko n'amusibira, mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi n'ezaabu, talanta emu.
34 Awo Falaawoneko, n'afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka mu kifo kya Yosiya kitaawe, n'awaanyisa erinnya lye', n'amutuuma Yekoyakimu: naye n'aggyayo Yekoyakaazi; n'ajja e Misiri n'afiira eyo.
35 Awo Yekoyakimu n'awa Falaawo effeeza n'ezaabu; naye n'asalira ensi ebintu okuwaayo effeeza eyo nga Falaawo bwe yalagira: yasoloozza effeeza n'ezaabu ku bantu ab'omu nsi, ku buli muntu nga bwe yasalirwa ebintu, okubiwa Falaawoneko.
36 Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano, bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali: Zebida muwala wa Pedaya ow'e Luuma.
37 N'akola ebyali mu' maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
1 Ku mirembe gye Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ayambuka, Yekoyakimu n'afuuka omuddu we emyaka esatu: awo n'alyoka akyuka n'amujeemera
2 Awo Mukama n'amusindikira ebibiina eby'Abakaludaaya n'ebibiina eby'Abasuuli n'ebibiina eby'Abamowaabu n'ebibiina eby'abaana ba Amoni, n'abasindika ku Yuda okugizikiriza ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera n'omukono gw'abaddu be bannabbi.
3 Mazima ekyo kyajjira Yuda lwa kiragiro kya Mukama, okubaggya mu maaso ge olw'okwonoona kwa Manase nga byonna bwe byali bye yakola;
4 era n'olw'omusaayi ogutaliiko musango gwe yayiwa; kubanga yajjuza Yerusaalemi omusaayi ogutaliiko musango: Mukama n'atayagala kusonyiwa.
5 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
6 Awo Yekoyakimu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: Yekoyakini mutabani we n'afuga mu kifo kye.
7 Awo kabaka w'e Misiri teyeeyongera nate kujjanga okuva mu nsi ye: kubanga kabaka w'e Babulooni yali alidde byonna ebyabanga ebya kabaka w'e Misiri okuva ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati.
8 Yekoyakini yali yaakamaze emyaka kkumi na munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaalemi: n'ennyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow'e Yerusaalemi.
9 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakolanga.
10 Mu biro ebyo abaddu ba Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni ne bambuka e Yerusaalemi, ekibuga ne kizingizibwa.
11 Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ajja eri ekibuga, abaddu be nga bakyakizingiza
12 Yekoyakini kabaka wa Yuda n'afuluma n'ajja eri kabaka w'e Babulooni, ye ne nnyina n'abaddu be n'abakungu be n'abaami be: kabaka w'e Babulooni n'amukwata mu mwaka ogw'omunaana kasooka alya abwakabaka.
13 N'aggyamu eby'obugagga byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu ba ya kabaka n'a tematema, atematema ebintu byonna lebya zaabu Sulemaani kabaka wa Isiraeri bye yakola mu yeekaalu ya Mukama nga Mukama bwe yayogera.
14 N'atwalira ddala Yerusaalemi kyonna n'abakungu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi abazira, abasibe kakumi, ne baffundi bonna n'abaweesi; tewali abaasigalawo wabula abo abaasinga obwavu ku bantu ab'omu nsi.
15 N'atwala Yekoyakini e Babulooni; ne nnyina kabaka ne baka kabaka n'abaami be n'abakulu ab'ensi n'abatwala e Babulooni nga basibe ng'abaggya e Yerusaalemi:
16 Era abasajja bonna ab'amaanyi, kasanvu, ne baffundi n'abaweesi, lukumi, bonna ba maanyi nga basaanidde okulwana, abo kabaka w'e Babulooni n'abatwala e Babulooni nga basibe.
17 Awo kabaka w'e Babulaoni n'afuula Mataniya muganda wa kitaawe kabaka mu kifo kye, n'awaanyisa erinnya lye n'amutuuma Zeddekiya.
18 Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwaia wa Yeremiya ow'e Libuna.
19 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yakola.
20 Kubanga kyatuukirira mu Yerusaalemi ne mu Yuda lwa busungu bwa Mukama okutuusa lwe yamala okubagoba mu maaso ge: Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni.
   

Essuula 25

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda kasooka alya obwakabaka, mu mwezi ogw'ekkumi, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okulwana ne Yerusaalemi, n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
2 Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuusa ku mwaka ogwa kabaka Zedeekiya ogw'ekkumi n'ogtunu.
3 Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogw'okuna enjala n'enyiikira mu kibuga, emmere n'okubula n'ebula abantu ab'omu nsi eyo.
4 Awo ne bawagula mu kibuga ekituli, abasajja bonna abalwanyi ne badduka kiro mu kkubo ery'omulyango oguli wakati wa babbugwe babiri ogwaliraana olusuku lwa kabaka: (era Abakaludaaya baali nga bazingizizza ekibuga enjuyi zonna:) kabaka n'ayita mu kkubo erya Alaba.
5 Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka ne bamutuukako mu nsenyi ez'e Yeriko: eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.
6 Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa ne bamuleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula; ne bamusalira omusango.
7 Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso Zeddekiya, ne bamusiba mu masamba, ne bamutwala e Babulooni.
8 Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa omuddu wa kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi:
9 n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba ennene, n'azookya omuliro.
10 N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali n'omukulu w'abambowa ne bamenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.
11 N'abantu abafisseewo abasigadde mu kibuga n'abo abaasenguka abaasenga kabaka w'e Babulooni n'abaffisseewo ku kibiina, abo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aba twalira ddala nga basibe.
12 Naye omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abaasinga obwavu ab'omu nsi eyo okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.
13 N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyamenya, ne batwala ebikomo byamu e Babulooni.
14 N'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo bye baaweerezanga nabyo, ne babiggyayo.
15 N'ebyoterezo n'ebibya; ebyali ebya zaabu, zaabu yaako, n'ebyali ebya ffeeza, ffeeza yaako, omukulu w'abambowa n'abiggyayo.
16 Empagi zombi, ennyanja emu, n'entebe Sulemaani ze yakolera ennyumba ya Mukama; ebikomo eby'ebintu bino byonna tebyagereka.
17 Empagi emu obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana, n'omutwe ogw'ekikomo gwali ku yo: n'omutwe obugulumivu bwagwo emikono esatu; omulimu omuluke n'amakomamawanga nga biri ku mutwe okwetooloola, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri yalina ebifaanana ebyo, n'omulimu omuluke.
18 Omukulu w'abambowa n'akwata Seraya kabona asinga obukulu ne Zeffaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu:
19 ne mu kibuga n'aggyamu omwami eyakulira abasajja abalwanyi; n'abasajja bataano ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'o mu nsi; n'abasajja nkaaga ku bantu ab'omu nsi eyo abaalabika mu kibuga.
20 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abakwata n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula.
21 Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi y'e Kamasi. Bw'atyo Yuda n'atwalibwa nga musibe ng'aggibwa mu nsi ye.
22 N'abantu abaasigala mu nsi ya Yuda Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yaleka, abo n'abafuulira Gedaliya mutabazu wa Akikamu mutabani wa Safani omukulu waabwe.
23 Awo abaami bonna ab'eggye, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afudde Gedaliya omukulu, ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa ne Yaazaniya omwana w'Omumaakasi, bo n'abasajja baabwe.
24 Awo Gedaliya n'abalayirira bo n'abasajja baabwe n'abagamba nti Temutya olw'abaddu b'Abakaludaaya: mubeere mu nsi muweereze kabaka w'e Babulooni, kale muliba bulungi.
25 Naye olwatuuka mu mwezi ogw'omusanvu Isimaeri mutabani wa Nesaniya mutabani wa Erisaama ow'ezzadde lya kabaka n'ajja n'abasajja kkumi wamu naye ne bafumita Gedaliya n'okufa n'afa, n'Abayudaaya n'Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa.
26 Awo abantu bonna abato n'abakulu n'abaami b'eggye ne bagolokoka ne bajja e Misiri: kubanga baatya Abakaludaaya.
27 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu musanvu Evirumerodaki kabaka w'e Babulooni n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda okumuggya mu kkomera mu mwaka mwe yatanulira okufuga;
28 n'amugamba eby'ekisa n'agulumiza entebe ye okusinga bakabaka abaali awamu naye mu Babulooni.
29 N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera n'aliiranga emmere mu maaso, ge ennaku zonna ez'obulamu bwe.
30 N'okumuliisanga kabaka n'amuwa ebya bulijjo eby'okumuliisanga, buli lunaku omugabo gwalwo, ennaku zonna ez'obulamu bwe.
   

Next
Back