2 Ebyomumirembe  

Essuula 1

1 Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, Mukama Katonda wel n'aba naye, n'amugulumiza nnyo.
2 Sulemaani n'ayogera ne Isiraeri yenna, abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abalamuzi na buli mukulu mu Isiraeri yenna, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe.
3 Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu.
4 Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi.
5 Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri.
6 Sulemaani n'ayambukayo eri ekyoto eky'ekikomo mu maaso ga Mukama ekyali ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7 Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa.
8 Sulemaani n'agamba Katonda nti Walaga Dawudi kitange ekisa kingi, n'onfuula kabaka mu kifo kye.
9 Kale, ai Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abafaanana enfuufu ey'oku nsi obungi.
10 Mpa nno amagezi n'okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g'abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu?
11 Katonda n'agamba Sulemaani nti Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, newakubadde obulamu bw'abo abakukyawa, so tosabye kuwangaala; naye weesabidde amagezi n'okumanya, osalirenga emisango abantu bange, be nkufuulidde kabaka:
12 amagezi n'okumanya oweereddwa; era ndikuwa n'obugagga n'ebintu n'ekiuibwa by'atabanga nabyo n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba oluvannyuma lwo aliba nabyo.
13 Awo Sulemaani n'ava ku lugendo lwe n'ajja eri ekifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, ng'ava mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ajja e Yerusaalemi; n'afuga Isiraeri.
14 Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
15 Kabaka n'afuula ffeeza ne zaabu mu Yerusaalemi okuba ng'amayinja obungi, okuba ng'amayinja, n'emivule yagifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi.
16 Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri; abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo.
17 Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Awo Sulemaani n'ayagala okuzimbira erinnya lya Mukama ennyumba, n'ennyumba y'obwakabaka bwe
2 Sulemaani n'ayawula abasajja obukumi musanvu, okwetikkanga emigugu, n'abasajja obukumi munaana abaatemanga ku nsozi, n'enkumi ssatu mu lukaaga okubalabiriranga.
3 Sulemaani n'atuma eri Kulamu kabaka w'e Ttuulo ng'ayogera nti Nga bwe wakolanga Dawudi kitange n'omuweereza emivule okuzimba ennyumba okubeera omwo, bw'oryo bw'oba okola nange.
4 Laba, nzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba okugiwonga eri ye, n'okwotereza mu maaso ge obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'olw'emigaati egitaggwaawo, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe. Kino kye kiragiro eky'emirembe gyonna eri Isiraeri.
5 N'ennytunba gye nzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna.
6 Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga eggulu n'eggulu erya waggulu taligyamu? nze nno nze ani mmuzimbire ennyumba, wabula okwoterezanga obubaane mu maaso ge?
7 Kale nno, mpeereza omusajja alina amagezi okukola omulimu ogwa zaabu, ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma, n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne kaniki, era omutegeevu okukola enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8 Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo ng'ogiggya ku Lebanooni: kubanga mmanyi ng'abaddu bo bategeevu okutema emiti ku Lebanooni; era, laba, abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo,
9 okunteekerateekera emiti mingi: kubanga ennyumba gy'eŋŋenda okuzimba eriba nnene kitalo.
10 Era, laba, ndiwa abaddu bo, ababazzi abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule obukumi bubiri, n'ebigero ebya sayiri obukumi bubiri, n'ebita eby'omwenge obukumi bubiri, n'ebita eby'amafuta obukumi bubiri.
11 Awo Kulamu kabaka w’e Ttuulo n'addamu ng'awandiika ebbaluwa n'agiweereza Sulemaani, nti Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyeyava akufuula kabaka waabwe.
12 Era Kulamu n'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, eyaweebwa amagezi n'okumanya, agenda okuzimbira Mukama ennyumba n'okuzimbira obwakabaka bwe ennyumba.
13 Kaakano nno mpeerezza omusajja ow'amagezi eyaweebwa okutegeera, owa Kulamu kitange,
14 Omwana w'omukazi ow'oku bawala ba Ddaani, ne kitaawe yali musajja wa Ttuulo, ow'amagezi okukola omulimu ogwa zaabu n'ogwa ffeeza n'ogw'ebikomo n'ogw'ebyuma n'ogw'amayinja n'ogw'emiti n'ogw'engoye ez'effulungu ne kaniki ne bafuta ennungi n'engoye entwakaavu; era n'okwola enjola ez'engeri zonna, n'okugunja engeri yonna egunjibwa: alagirwe ekifo wamu n'abasajja bo ab'amagezi n'abasajja ab'amagezi aba mukama wange Dawudi kitaawo.
15 Kale nno, eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye yayogerako; atume eri abaddu be:
16 naffe tulitema emiti ku Lebanooni, nga bw'olyagala obungi: era tuligireeti gy'oli nga tugikulula ku nnyanja ne tugituusa e Yopa; naawe oligirinnyisa e Yerusaalemi.
17 Awo Sulemaani n'abala bannaggwanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri ng'okubala bwe kwali Dawudi kitaawe kwe yababala: ne walabika kasiriivu mu obukumi butaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.
18 N'assaawo obukumi musanvu ku bo okwetikkanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemanga ku nsozi n'abalabirizi enkumi ssatu mu lukaaga okukozanga abantu.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Awo Sulemaani n'atanula oku zimba ennyumba ya Mukama Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe, gye yateekateeka mu kiof Dawudi kye yalagira, mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
2 Awo n'atanula okuzimba ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi ogw'okubi mu mwaka ogw'okuna kasookedde alya obwakabaka.
3 Era gino gye misingi Sulemaani gye yakuba okizimba ennyumba ya Katonda Obuwanvu bwayo mu mikono ng'ekigero eky'olubereberye bwe kyali bwali emikono nkaaga, n'obugazi emikono amakumi abiri.
4 N'ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, obuwanvu bwakyo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugulumivu kikumi mu abiri: n'akibikkako munda zaabu ennongoofu.
5 N'ennyumba ennene n'agibikkako embaawo ez'emiberosi gye yabikkako zaabu ennongoofu, n'akolako enkindu n'emikuufu.
6 N'ayonja ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi olw'obulungi: ne zaabu yali zaabu Eyepaluvayimu.
7 Era n'ennyumba n'agibikkako zaabu, emiti n'emiryango n'ebisenge byayo n'enzigi zaayo; ne bakerubi ababajje ku bisenge.
8 N'akola ennyumba entukuvu ennyo; obuwanvu bwayo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri: n'agibikkako zaabu ennongoofu, eweza talanta lukaaga.
9 N'obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu amakumi ataano. N'abikkako zaabu enju eza waggulu. N'azibikkako zaabu.
10 Ne mu nnyumba entukuvu ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'omulimu ogw'ebifaananyi; ne bababikkako zaabu.
11 N'ebiwawaatiro bya bakerubi obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri: n'ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro eky'okubiri nakyo bwe kityo kya mikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
12 N'ekiwawaatiro kya kerubi munne kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro ekirala nakyo kya mikono etaano, nga kyegatta n'ekiwawaatiro kya kerubi munne.
13 Ebiwawaatiro bya bakerubi abo byebamba emikono amakumi abiri: era baayimirira ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ennyumba.
14 N'akola eggigi lya kaniki n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne bafuta ennungi, n'alikolako bakerubi.
15 Era n'akola mu maaso g'ennyumba empagi bbiri, obugulumivu bwazo emikono amakumi asatu mu etaano, n'omutwe ogwali ku zo kinneemu gwali emikono etaano.
16 N'akola emikuufu awayimibwa okwogera, n'agiteeka ku ntikko z'empagi; n'akola amakomamawanga kikumi n'agateeka ku mikuufu.
17 N'asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'erinnya ly'ey'oku gwa kkono Bowaazi.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi.
2 Era n'akola n'ennyanja ensaanuuse ey'emikono kkumi okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nneekulungirivu n'obugulumi bwali emikono etaano; n'omugwa ogw'emikono amakumi asatu ne gugyeiooloola.
3 Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.
4 Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira ebugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira ebuvanjuba: n'ennyanja ng'eteekeddwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.
5 N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu.
6 Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu.
7 N'akola ebikondo kkumi bya zaabu ng'ekiragiro kyabyo bwe kyali; n'abiteeka mu yeekaalu, ku taukono ogwa ddyo bitaano, ne ku gwa kkono bitaano.
8 Bra n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu.
9 Era nate n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, n'enzigi z'oluggya, enzigi zaazo n'azibikkako ebikomo.
10 N'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo:
11 Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda:
12 empagi zombi n'embuto, n'emitwe gyombi egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi;
13 n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi.
14 Era n'akola n'entebe, n'ebyolezebwamu n'abikola ku ntebe:
15 ennyanja emu n'ente kkumi na bbiri wansi waayo.
16 Era n'entamu n'ebisena n'amakato agaikwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule.
17 Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda.
18 Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka.
19 Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga;
20 n'ebikondo n'ettabaaza zaabyo, zaakirenga mu maaso g'awayimibwa okwogera ng'ekiragiro bwe kyali, bya zaabu nnungi nnongoofu;
21 n'ebimuli ne ttabaaza ne makaasi, bya zaabu, zaabu ntuukirivu;
22 n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu: n'omulyango gw'ennyumba, enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo ekitukuvu ennyo n'enzigi z'ennyumba, ye yeekaalu, zaali za zaabu.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Bwe gutyo omulimu gwonna Sulemaani gwe yakola olw'ennyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga; effeeza ne zaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.
2 Awo Sulemaani n'alyoka akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu kibuga kya Dawudi, ye Sayuuni.
3 Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakungaanira eri kabaka ku mbaga, eyabaawo mu mwezi ogw'omusanvu.
4 Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko.
5 Ne balinnyisa essanduuko n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona Abaleevi ne babirinnyisa.
6 Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne. baba mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente, ezitagattika newakubadde okubalika obungi.
7 Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa okwogera mu nnyumba, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.
8 Kubanga bakerubi bayanjala ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu.
9 N'emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima awali essanduuko mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye n'atagiraba ayima ebweru: era ekyali eyo ne leero.
10 Temwali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi Musa bye yateeka omwo ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, we baava mu Misiri.
11 Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, (kubanga bakabona bonna abaali eyo baali beetukuzizza, so tebaakwata mpalo zaabwe;
12 era n'Abaleevi abayimbi, bonna, Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, era wamu nabo bakabona kikumi mu abiri nga bafuuwa amakondeere:)
13 awo olwatuuka abaafuuwa n'abayimbi nga bafaanana omu, okuwuliza eddoboozi erimu nga batendereza nga beebaza Mukama, era bwe baayimusa eddoboozi lyabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: awo ennyumba n'eryoka ejjula ekire, ennyumba ya Mukama,
14 bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Awo Sulemaani n'alyoka ayogera nti Mukama ayogedde ng'anaatuulanga mu kizikiza ekikutte.
2 Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, n'ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.
3 Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa: ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bayimirira.
4 N'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, era akituukirizza n'emikono gye, ng'ayogera nti
5 Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi y'e Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimbira omwo ennyumba, erinnya lyange libeere omwo; so seerobozanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri:
6 naye neerobozezza Yerusaalemi, erinnya lyange libeere omwo; era neerobozezza Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.
7 Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
8 Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo:
9 era naye ggwe tozimbanga nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimbira, erinnya lyange ennyumba.
10 Era Mukama atuukirizza ekigambo kye kye yayogera;'kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katcnda wa Isiraeri ennyumba.
11 Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana n'abaana ba Isiraeri.
12 ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali n'ayanjuIuza engalo ze:
13 (kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ebikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, n'akiteeka wakati mu luggya; n'ayimirira okwo, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu:)
14 n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
15 eyanyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe luri leero.
16 Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
17 Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe; kye wagamba omuddu wo Dawudi.
18 Naye Katonda alituula mazima ddala n'abantu ku ttaka? laba, eggulu n'eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye eyinza etya ggwe okugigyamu?
19 Naye lowooza okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabye mu maaso go:
20 amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogeralzo ng'oliteeka omwo erinnya lyo; okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.
21 Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wuiiranga ggwe ng'oyima mu kifo kyo ky'obeeramu, ng'oyima mu ggulu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
22 Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamulayiza ekirayiro ky'aba alayira, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba, eno:
23 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, okolanga, osaliranga abaddu bo omusango, ng'osasula ababi, okumuleetako ekkubo lye; era ng'oweesa obutuukirivu omutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.
24 Era abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; ne bakyuka nate ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu nnyumba eno:
25 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wawa bo ne bajjajja baabwe.
26 Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga:
27 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'onoobayigirizanga ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweerezanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
28 Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli bw'anafaanananga atya, n'endwadde bw'eneefaanananga etya;
29 kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno:
30 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu, osonyiwanga osasulanga buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu;)
31 balyoke bakutye okutambuliranga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mtt nsi gye wawa bajjajjaffe.
32 Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno;
33 owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.
34 Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne bakusabanga nga batunuulira ekibuga kino kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
35 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayitira kwabwe owozanga ensonga yaabwe.
36 Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi oba wala oba kumpi;
37 naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
38 bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey'okusibibwa kwabwe gye baabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajja baabwe, n'ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
39 kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu owozanga ensonga yaabwe; osonyiwanga abantu bo abakwonoonye.
40 Kale, ai Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go ,gazibukenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino.
41 Kale nno golokoka, ai Mukama Katonda, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ai Mukama Katonda, bambale obulokozi, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.
42 Ai Mukama Katonda, tokyusanga maaso g'oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okusaasirwa kwa Dawudi omuddu wo.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Awo Sulemaani bwe yamala okwogera omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
2 Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kijjudde ennyumba ya Mukama.
3 Abaana ba Isiraeri bonna ne batunuulira, omuliro bwe gwaka, ekitiibwa kya Mukama ne kiba ku nnyumba; ne bavuunama amaaso gaabwe ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Awo kabaka n'abantu bonna ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
5 Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri, n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawonga ennyumba ya Katonda.
6 Bakabona ne bayimirira ng'emirimu gyabwe bwe gyali; era n'Abaleevi nga balina ebintu ebivuga ebya Mukama, Dawudi kabaka bye yakola okwebaza Mukama, kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna, Dawudi bwe yatenderezanga olw'okuweereza kwabwe: bakabona ne bafuuwa amakondeere mu maaso gaabwe; Isiraeri yenna ne bayimirira.
7 Era Sulemaani n'atukuza oluggya wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga yaweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yakola tekyayinza kugyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu.
8 Awo Sulemaani n'afumba embaga mu biro ebyo ey'ennaku musanvu, ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene ennyo, okuva awayingirirwa e Kamasi oku tuuka ku kagga ak'e Misiri.
9 Awo ku lunaku olw'omunaana ne bakug0aanya okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga embaga ey'okuwonga ekyoto baagikwatira ennaku musanvu, n'embaga ennaku musanvu
10 Awo ku lunaku olw'amakumi; abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu n'asindika abantu mu weema zaabwe, nga basanyuse era nga oajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.
11 Bw'atyo Sulemaani bwe yamala ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka: ne byonna ebyayingira mu mutima gwa Sulemaani okukola mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye n'abituusa bulungi.
12 Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti Mpulidde okusaba ktivo ne nneeroboza gye ndi ekifo kino okuba ennyumba ey'okuweerangamu ssaddaaka.
13 Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;
14 abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetaowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.
15 Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino.
16 Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga eyo obutayosa.
17 Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'emisango gyange;
18 kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja okuba afuga mu Isiraeri.
19 Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza:
20 awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigisuula okuva mu maaso gange, era ndigifuula olugero n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna.
21 N'ennyumba eno empanvu eyenkanidde awo buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?
22 Kale banaddangamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babajweereza: kyeyava abaleetako obubi buno bwonna.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ye,
2 ebibuga Kulamu bye yawa Sulemaani, Sulemaani n'abizimba n’atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3 Awo Sulemaani n'agenda Kamasuzoba n'akimenya.
4 n'azimba Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu yazimba mu Kamasi.
5 Era, n’azimba ne Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, ebibuga ebiriko enkomera ne bbugwe n’enzigi n'ebisiba;
6 ne Baalasi n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n'ebibuga byonna eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embaIaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw'okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu, Lebanooni ne mu nsi yonna ey'amatwale ge.
7 Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n'Abamoli n'Abaperini n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri;
8 ku baana baabwe abaasigalawo oluvannyuma lwabwe mu nsi, abaana ba Isiraeri be bataazikiriza, ku abo Sulemaani kwe yasoloozanga (abaddu) ne leero.
9 Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw'omtalimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b'abaami be era abafuga amagaali ge n'abasajja be abeebagala embalaasi.
10 Era bano be baali abaami abakulu aba tabska Sulemaani, ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu.
11 Sulemaani n'ayambusa muwala wa Falaawo ng'amuggya mu kibuga kya Dawudi n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumha ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka.
12 Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso g'ekisasi,
13 ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng'awaayo ng'ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey'ensiisira.
14 N'agaba empalo za bakabona olw'okuweereza kwabwe ng'ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n'awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n'okuweereza mu maaso ga bakabona, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n'abaggazi ng'empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15 Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n'Abaleevi olw'ekigambo kyonna oba olw'ebintu ebyaterekeiwa.
16 Awo omulimu gwonna gwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw'okussaawo emisingi y'ennyumba ya Mukama n'okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyunba ya Mukama n'etuusibwa ddala.
17 Awo Sulemaani n'agenda Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku ttale y'ennyanja mu nsi ya Edomu.
18 Kulamu n'amuweereza mu mikono gy'abaddu be ebyombo n'abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n'abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja okukema Sulemaani n’ebibuuzibwa ebizibu, e Yerusaalemi, ng'alina abaddu bangi nnyo n’eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa ne zaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi: awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye byo byonna ebyali mu mutima gwe.
2 Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewali cintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza.
3 Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
4 n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe; n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu tanyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye.
5 N'agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange kyali kya mazima eky'ebiko Iwa byo n'amagezi go.
6 Era naye sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nnajja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu kya bukulu bw'amagezi go: osinga ettutumo lye nnawulira.
7 Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.
8 Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusanyukira okukuteeka ku ntebe okuba kabaka olwa Mukama Katonda wo: kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okukolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.
9 Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: so tewaabaawo bya kaloosa ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
10 Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
11 Kabaka n'akola n'emitoogo entindo ez'ennyumba za Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: so tewaalabikanga edda mu nsi ya Yuda egifaanana bwe gityo.
12 Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo bye yaleetera kabaka. Awo n'akyusa n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be.
13 Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta za zaabu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
14 obutassaako eyo abasuubuzi n'ab'obuguzi gye baaleetanga: ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abakulu b'ensi ne baleetera Sule maani zaabu n'effeeza.
15 Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo ebikumi bibiri ebya zaabu empeese: buli kagabo n'akawaako (sekeri) za zaabu lukaaga.
16 N'akola engabo ebikumi bisatu ebya zaabu empeese; buli ngabo n'agiwaako sekeri ebikumi bisatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni.
17 Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi.
18 Entebe yaliko amadaala mukaaga, era yaliko entebe ey'ebigere eya zaabu, era gaasibibwa n'entebe, era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.
19 N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga: tewali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana.
20 Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: ffeeza teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani.
21 Kubanga kabaka yalina malikebu ezaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; malikebu ez'e Talusiisi zajjanga mulundi gumu buli myaka esatu nga zireeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge.
22 Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
23 Bakabaka b'ensi bonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
24 Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka.
25 Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya olw'embalaasi n'amagaali, n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
26 Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo ey'e Misiri.
27 Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi.
28 Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna.
29 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Nasani nnabbi ne mu ebyo bye yalagula Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi okwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
30 Sulemaani n'afugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana.
31 Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Next
Back