2 Ebyomumirembe  

Essuula 10

1 Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu okumufuula, kabaka.
2 Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, (kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani,) Yerobowaamu n'ava mu' Misiri n'akomawo.
3 Ne batuma, ne bamuyita; awo Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti
4 Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula, ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga.
5 N'abagamba nti Mumale ennaku ssatu, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda.
6 Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bonna?
7 Ne bamugamba nti Bw'onookola eby'ekisa abantu bano n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.
8 Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge.
9 N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?
10 Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11 Era nno kubanga kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze naayongeranga ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.
12 Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu.
13 Awo kabaka n'abaddamu n'ebboggo, kabaka Lekobowaamu n'aleka okuteesa kw'abakadde;
14 n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali ng'ayogera nti Kitange yafuulanga ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze naayongerangako: kitange yabakangawulanga na nkoba, naye nze naabakangawulanga na njaba ez'obusagwa.
15 Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Katonda kye yaleeta, Mukama anyweze ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.
16 Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: buli muntu mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri yenna ne baddayo mu weema zaabwe.
17 Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18 Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali omukulu w'omusolo; abaana ba Isiraeri ne bamukasuukirira ama yinja n'okufa n'afa. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya mu ggaali lye okuddukira mu Yerusaalemi.
19 Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.
   


Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwaka! baka Lekobowaamu.
2 Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
3 Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka lwa Yuda, ne Isiraeri yenna mu Yuda ne Benyamini, ng'oyogera nti
4 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu.
5 Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi n'azimba ebibuga mu Yuda okuba ebigo.
6 N'azimba Besirekemu ne Etamu ne Tekowa
7 ne Besuzuli ne Soko ne Adulamu
8 ne Gaasi ne Malesa ne Zifu,
9 ne Adorayimu ne Lakisi ne Azeka
10 ne Zola ne Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko enkomera.
11 Ebigo n'abizimbako enkomera, n'abiteekamu abaami n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta n'omwenge.
12 Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe.
13 Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna.
14 Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
15 ne yeetekerawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu n'ab'embuzi ennume n'ab'ennyana ze yakola.
16 Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17 Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18 Awo Lekobowaamu n'afumbirwa omukazi Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era owa Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese;
19 n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; Yewusi ne Semaliya ne Zakamu.
20 Oluvannyuma lwe n'afumbirwa Maaka muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya ne Attayi ne Ziza ne Seromisi.
21 Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga).
22 Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka.
23 N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywezebwa n'aba n'amaanyi, kale n'aleka amateeka ga Mukama, ne Isiraeri yenna wamu naye.
2 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi, kubanga basobezza Mukama,
3 ng'alina amagaali lukumi mu ebikumi bibiri n'abasajja abeebagala embalaasi obukumi mukaaga: n'abantu abajja naye abaava mu Misiri nga tebabalika; Abalubimu n'Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.
4 N'amenya ebibuga ebiriko enkomera ebya Yuda, n'ajja e Yerusaalemi.
5 Awo Semaaya nabbi n'ajja eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olwa Sisaki, n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki.
6 Awo abakulu ba Isiraeri ne kabaka ne beetoowaza; ne boogera nti Mukama mutuukirivu
7 Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Semaaya nga kyogera nti Beetoowazizza; siribazikiriza: naye naabawaako okuwonyezebwa, n'obuIsungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.
8 Era naye baliba baddu be; bamanye okuweereza kwange n'okuweereza kw'obwakabaka bw'ensi bwe kufaanana.
9 Awo Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi n'aggyayo obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka; byonna n'abitwalira ddala: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yakola.
10 Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu bifo byazo, n'aziteresa mu mikono gy'abaami b'abambowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.
11 Awo oiwatuuka kabaka buli lwe yayingi_ ranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bajja ne bazisitula, ne bazizza mu nju ey'abakuumi.
12 Awo bwe yeetoowaza, obusungu bwa Mukama ne bukyuka okumuvaako, aleme okumuzikiririza ddala: era nate mu Yuda mwalabika ebirungi.
13 Awo kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi n'afuga, kubaaga Lekobowaamu yali Yaakamaze emyaka amakumi ana mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n’erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.
14 N'akola ebyali ebibi, kubanga teyakakasa mutima gwe okunoonya Mukama.
15 Era ebikolwa bya Lekobowaamu, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi ng'engeri bw'eri ey'ebitabo eby'okuzaalibwa? Ne wabanga entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu obutayosa.
16 Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi: Abiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yerobowaamu Abiya n'atanula okufuga Yuda.
2 N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyaB Mikaaya muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabanga entalo eri Abiya ne Yerobowaamu.
3 Abiya n'alumba ng'aliaa eggye ery'abasajja abazira abalwanyi, abasajja abalonde obusiriivu buna: Yerobowaamu n'asimba ennyiriri okulwana naye ng'alina abasajja abalonde obusiriivu munaana ab'amaanyi abazira.
4 Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayogera nti Mumpuhre, mmwe Yerobowaamu ne Isiraeri yenna;
5 temwagwana kumanya nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi obwakabaka bwa Isiraeri okumala emirembe gyo, ye ne batabaai be n'endagaano ey'omunnyo?
6 Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi n'agolokoka n'ajeemera mukama we.
7 Ne wakuŋŋaana gy'ali abasajja abataliiko kye bagasa, abaana ba Beriali, abeenyweza eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu ng'akyali muto n'omutima gwe aga mugonvu, so nga tayinza kubaziyiza.
8 Awo kaakaao mulowooza okuziyiza obwakabaka bwa Mukama mu mukono gwe batabani ba Dawudi; era muli kibiina kinene, era waliwo nammwe ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda.
9 Temwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakaboaa ng'empisa bw'eri ey'amawaaga ag'omu nsi endala? kale buli ajja okwetukuza ng'alina ente ento n'endiga ennuae musanvu, oyo ayinza okuba kaboaa w'abo abatali bakatonda.
10 Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, naffe tetumuvangako; era (tulina) bakabona abaweereza Mukaiaa, batabani ba Alooni n'Abaleevi, mu mulimu gwabwe:
11 era bookya eri Mukama buli nkya aa buli kawungeezi ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu: n'emigaati egy'okulaga nagyo bagiteekateeka ku mmeeza ennongoofu: n'ekikondo ekya zaabu n'eitabaaza zaakYo, okwakanga buli kawungeezi: kubanga ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira; naye mmwe mwamuvaako.
12 Era, laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be ngamakondeere agalawa, okugalaya okulwana nammwe. Ai abaana ba Isiraeri, temulwana ne Mukama Katonda wa bajjajjammwe; kubanga temuulabe mukisa.
13 Naye Yerobowaamu n'abafulumya ennyuma abateezi: awo ae baba mu maaso ga Yuda, abateezi ne baba ennyuma waabwe.
14 Awo Yuda bwe baakebuka, laba, olutalo nga lubafulumye mu maaso n'ennyuma: ne bakaabira Mukama, bakabona ne bafuuwa amakondeere.
15 Awo abasajja ba Yuda ne boogerera waggulu: awo abasajja ba Yuda nga boogerera waggulu, olwatuuka Katonda n'akuba Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16 Abaana ba Isiraeri ne badduka mu maaso ga Yuda: Katonda n'abagabula mu mukono gwabwe.
17 Abiya n'abantu be ne babatta olutta olunene: n'okugwa ne kugwa ku Isiraeri nga battiddwa abasajja abalonde obusiriivu butaano.
18 Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mu biro ebyo, abaana ba Yuda ne basinga, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
19 Abiya n'ayigganya Yerobowaamu, n'amuggyako ebibuga, Beseri n'ebibuga byako, ne Yesana n'ebibuga byako, ne Efulooni n'ebibuga byako.
20 So Yerobowaamu teyafuna nate amaanyi ku mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa.
21 Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.
22 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'amakubo ge n'ebigambo bye byawandiikibwa mu bitegeeza bya nnabbi Iddo.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'etereerera emyaka kkumi.
2 Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga:
3 kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n'ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n’ate maatema ba Asera;
4 n'alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okukwata amateeka n'ekiragiro.
5 Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n'ebifaananyi by'enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge.
6 N'azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo, mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula.
7 Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga runoonyezza Mukama Katonda waffe; rumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa.
8 Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n'amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n'abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira.
9 Zeera Omwesiyopya n'abatabaala ng'alina eggye kakadde n'amagaaii ebikumi bisatu; n'ajja e Malesa. 10 Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
10 Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11 Asa n'akaabira Mukama Katonda we n'ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w'abalina (abalwanyi) abangi, n'abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme oku kusinga.
12 Awo Mukama n'akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.
13 Asa n'abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ae kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kuddamu amaenyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo:
14 Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali; kubanga entiisa ya Mukama yabatuukako: ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi.
15 Era ne bakuba eweema ez'ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n'eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi:
2 n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munsamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.
3 Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow'amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka:
4 naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba.
5 Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo.
6 Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n'ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng'abalabya ennaku zonna.
7 Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu awammwe guliweebwa empeera.
8 Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama.
9 N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
10 Awo ne bakutltlaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka, ogw'ekkumi n'etaano ogw'okufuga kwa Asa.
11 Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu.
12 Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna;
13 era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.
14 Ne balayirira Mukama n'eddoboozi ddene n'okwogerera waggulu n'amakondeere n'eŋŋombe.
15 Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya okwagala kwabwe kwonna; ne vamulaba: Mukama n'abawa okuwummula enjuyi zonna.
16 Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamaole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa i'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kiduooni.
17 Naye ebifo ebigulumivu ebyaggibwawo mu Isiraeri: naye mutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna.
18 N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.
19 Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw'asatu mu etaano ogwa Asa.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufulwna newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
2 Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
3 Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
4 Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali.
5 Awo lolwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'akomya omulimu gwe.
6 Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa.
7 Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo.
8 Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.
9 Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo.
10 Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo.
11 Era, laba, ebikolwa bya Asa ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
12 Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.
13 Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe.
14 Ne bamuziika mu ntaana ze ye ze yeebajjira mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyajjula eby'akaloosa ebiwoomerevu n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa: ne bamunyookereza bingi nnyo nnyini.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
1 Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye, ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri.
2 N'ateeka eggye mu bibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yalya.
3 Mukama n'aba ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu makubo ag'olubereberye aga kitaawe Dawudi n’atagenda eri ba Baali;
4 naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge so si ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali.
5 Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.
6 Omutima gwe ne gugulumizibwa mu makubo ga Mukama: era n'aggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda.
7 Era mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'atuma abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda;
8 era wamu nabo Abaleevi, Semaaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeri ne Semiramoosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobbiya ne Tobadoniya, Abaleevi; era wamu nabo Erisaama ne Yekolaamu, bakabona.
9 Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.
10 Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, n'okulwana ne batalwana ne Yekosafaati.
11 Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo ne ffeeza okuba omusolo; era n'Abawalabu ne bamuleetera embuzi, endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu.
12 Yekosafaati n'aba mukulu nnyo nnyini; n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'okuterekeramu.
13 Era yalina emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n'abasajja abalwanyi n'abasajja ab'amaanyi abazira mu Yerusaalemi.
14 Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; ku Yuda abaami b'enkumi; Aduna omwami, era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu busatu:
15 n'eyamuddirira Yekakanani omwami, era wamu naye obusiriivu bubiri mu obukumi mu naana:
16 n'eyamuddirira Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe eri Mukama; era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu bubiri:
17 ne ku Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi omuzira, era wamu naye obusiriivu bubiri, abaakwatanga emitego n'engabo:
18 n'eyamuddirira Yekozabadi, era wamu naye akasiriivu mu obukumi munaana, abeeteeseteese okulwana.
19 Abo be baaweerezanga kabaka, obutassaako abo kabaka be yateeka mu bibuga ebyaliko enkomera okubuna Yuda yonna.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Era Yekosafaati yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini; n'afuuka mukoddomi wa Akabu.
2 Awo emyaka bwe gyayitawo n'aserengeta eri Akabu e Samaliya. Akabu n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu abaali naye, n'amusemberera okutabaala e Lamosugireyaadi (wamu naye).
3 Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati kabaka wa Yuda nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi? Awo n'amuddamu nti Nze ninga ggwe bw'oli, n'abantu bange ng'abantu bo; era (tunaabanga) wamu naawe mu ntalo ezo.
4 Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayitldde, buuza ekigambo kya Mukama leero.
5 Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ebikumi bina, n'abagamba nti Tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Katonda alikigabula mu mukono gwa kabaka.
6 Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Nlukama, tumubuuzeeko?
7 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama: naye mmukyawa; kubanga tandagulangako birungi wabula ebibi ebyereere; oyo ye Mikaaya mutabani wa Imula. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.
8 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imufa.
9 Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, nga batudde mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagula mu maaso gaabwe.
10 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
11 Ne bannabbi bonna ue balagula bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka,
12 Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba, ebigambo bya bannabbi bimubuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi.
13 Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba, ekyo kye nnaayogera.
14 Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? N'ayogera nti Mwambuke mulabe omukisa; era baligabulwa mu mukono gwammwe.
15 Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama?
16 N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe: baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.
17 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Sikugambye nga taalagule birungi eri nze wabula ebibi?
18 N'ayogera nti Kale muwulire ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu gguIu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
19 Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri ayambuke e Laznosugireyaadi agwe; Omu n'ayogera bwatyo; omulala n'ayogera bw'atyo.
20 Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze nnamusendasenda. Mukama
21 Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N'ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma: okole bw'otyo.
22 Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bobano; era Mukama akwogeddeko; akabi.
23 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'amukuba Mikaaya ku matama, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe.
24 Mikaaya n'ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw'oliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka.
25 Awo kabaka wa Isiraeri n’ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka;
26 mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.
27 Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.
28 Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
29 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula ne bayingira mu lutalo.
30 Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami b'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.
31 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; kyebaava bakyama okulwana naye: naye Yekosafaati n'ayogerera waggulu, Mukama n'amuyamba; Katonda n'abamuggyako.
32 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne bakomawo okumugoberera.
33 Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo.
34 Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.
   

Next
Back