2 Ebyomumirembe  

Essuula 19

1 Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi.
2 Yeeku mutabani wa Kanani omulabi n'afuluma okumusisinkana n'agamba kabaka Yekosafaati nti Kirungi ggwe okuyamba ababi n'obaagala abo abakyawa Mukama? olw'ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama.
3 Naye mu ggwe mulabise ebirungi, kubanga waggyawo Baaserosi mu nsi, n'okakasa omutima gwo okunooaya Katonda.
4 Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi: n'afuluma nate mu bantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
5 N'assaawo abalamuzi mu nsi okubuna ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, buli kibuga kinnakimu,
6 n'agamba abalamuzi nti Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango.
7 Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi.
8 Era mu Yerusaalemi Yekosafaati mwe yassa ku Baleevi ne bakabona ne ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri olw'okulamula kwa Mukama n'olw'empaka. Ne bakomawo e Yerusaalemi.
9 Awo n'abakuutira ng'ayogera nti Bwe mutyo bwe muba mukola mu ntiisa ya Mukama n'obwesigwa era n'omutima ogwatuukirira.
10 Era baganda bammwe abali mu bibuga byabwe bwe banaaleetanga gye muli okukaayana kwonna, eruuyi omusaayi n'eruuyi omusaayi, eruuyi etteeka n'eruuyi ekiragiro, eruuyi ebyakuutirwa n'eruuyi emisango, munaabalabulanga baleme okuzza omusango eri Mukama, obusungu ne bujja bwe butyo ku mmwe ne ku baganda bammwe: mukolenga bwe mutyo obutabaako musango.
11 Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka oluvannyuma w'ebyo abaana ba Mowaabu n'abaana ba Amoni era wamu nabo abamu ku Bamoni ne batabaala Yekosafaati okulwana naye.
2 Awo ne wajja abantu abaamugamba Yekosafaati nti Eggye ddene likutabadde eriva emitala w'ennyanja e Busuuli; era, laba, bali mu Kazazonutamali (ye Engedi).
3 Yekosafaati n'atya ne yeeteekateeka okunoonya Mukama; n'alangira okusiiba mu Yuda yonna.
4 Yuda ne bakuinaana okunoonya okubeerwa eri Mukama: baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okunoonya Mukama.
5 Yekosafaati n'ayimirira mu kkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya oluggya;
6 n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa bajjajjaffe, toli Katonda mu ggulu? era si ggwe ofuga obwakabaka bwonna obw'amawanga? ne mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi n'okubaawo ne watabaawo ayinza okukuziyiza.
7 Ai Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
8 Ne babeera omwo, era bakuzimbidde omwo ekigwa olw'erinnya lyo, nga boogera nti
9 Obubi bwe bunaatutuukangako, ekitala, omusango, oba lumbe oba njala, tunaayimirira.nga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, (kubanga erinnya lyo liri mu nnyumba eno,) ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.
10 Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okutabaala bwe baava mu nsi y'e Misiri, naye ne bakyama okubavaako ne batabazikiriza;
11 laba, bwe batusasula, okujja okutugoba mu butaka bwo bw'otuwadde okulya.
12 Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? kubanga tetulina maanyi n'akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe.
13 Yuda yenna ne bayimirira mu maaso ga Mukama nga balina abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe.
14 Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Benaya mutabani wa Yeyeri mutabani wa Mattaniya Omuleevi ow'oku batabani ba Asafu wakati mu kibiina;
15 n'ayogera nti Muwulire, mmwe Abayuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abai gamba Mukama nti Temutya mmwe so temukennentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.
16 Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bambukira awalinnyirwa e Zizi; nammwe mulibasanga ekiwonvu we kisibuka mu maaso g'edduagu Yerweri.
17 Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno: mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, ggwe Yuda ne Yerusaalemi: temutya so temukeŋŋentererwa: enkya mubatabaale; kubanga Mukama ali nammwe.
18 Awo Yekosafaati n'avuunama amaaso ge ku ttaka: ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, nga basinza Mukama.
19 Abaleevi ab'oku baana b'Abakokasi n'ab'oku baana b'Abakola ne bayimirira okutendereza Mukama Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ddene nnyo nnyini.
20 Ne bagolokoka enkya mu makya ne bafuluma mu ddungu ery'e Tekowa: awo bwe baali nga bafuluma Yekosafaati n’ayimirira n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Abayuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa.
21 Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw'obutukuvu nga bafuluma nga bakulembedde eggye ne boogera nti Mwebaze Mukama; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Awo bwe baatanula okuyimba n'okutendereza, Mukama n’ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda; ne bakubibwa.
23 Kubanga abaana ba Amoni ne Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, okubatta n'okubazikiririza ddala: awo bwe baamalira ddala ab'oku lusozi Seyiri, buli muntu ne beegatta okuzikiriza munne.
24 Awo Yuda bwe baatuuka ku kigo ekikuumirwako eky'omu ddungu, ne batunuulira eggye, kale, laba, nga mirambo egigudde wansi, so tewaali abaawona.
25 Awo Yekosafaati n'abantu be bwe baatuuka okubaggyako omunyago, ne basanga mu bo obugagga bungi n'emirambo n'ebintu eby'omuwendo omungi, bye beeyambulira bokka, obungi bwabyo ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga banyaga omunyago, bwe gwali mungi bwe gutyo.
26 Awo ku lunaku olw'okuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka; kubanga eyo gye beebaliza Mukama: ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya kiwonvu Beraka ne leero.
27 Awo ne baddayo, buli muntu owa Yuda n'ow'e Yerusaalemi, Yekosafaati ng'abakulembedde, okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama abawadde okusanyukira abalabe baabwe.
28 Ne bajja e Yerusaalemi nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere eri ennyumba ya Mukama.
29 Entiisa ya Katonda n'eba ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira Mukama ng'alwana n'abalabe ba Isiraeri
30 Awo amatwale ga Yekosafaati ne gatereera: kubanga Katonda we yamuwa okuwummula enjuyi zonna.
31 Yekosafaati n'afuga Yuda: yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Azuba muwala wa Siruki.
32 N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebitungi.
33 Era naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; so n'abantu nga tebannaba kukakasa mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
34 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Yeeku mutabani wa Kanani, ebyayingizibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri.
35 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yekosafaati ne yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri; oyo n'akola bubi nnyo:
36 ne yeegatta naye okusiba ebyombo eby'okugenda e Talusiisi: ne basibira ebyombo e Ezyonigeba.
37 Awo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa n'alagula ku Yekosafaati ng'ayogera nti Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama azikirizza emirimu gyo. Ebyombo ne bimenyeka n'okuyinza ne bitayinza kugenda e Talusiisi.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajja be n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2 Era yalina ab'oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya:abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.
3 Kitaabwe n'abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n'ebintu eby'omuwendo omungi, n'ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.
4 Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala n'abamu ab'oku bakulu ba Isiraeri.
5 Yekolaamu yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
6 N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
7 Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe lyasuubiza okumuwa ettabaaza n'abaana be emirembe gyonna,
8 Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka.
9 Awo Yekolaamu n'asomoka n'abaami be n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali.
10 Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo wansi w'omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.
11 Era nate n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n'akyamya Yuda.
12 Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda;
13 naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oyenza Yuda n'ababeera mu Yerusaalemi, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; era, n'okutta watta baganda bo ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:
14 laba, Mukama alirwaza abantu bo kawumpuli mungi n'abaana bo ne bakazi bo n'ebintu byo byonna:
15 naawe oliba n'endwadde nnyingi ebyenda byo nga; birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw'endwadde eya buli lunaku.
16 Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gw'Abafirisuuti eri Yekolaamu, n'ogw'Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya:
17 ne batabaala Yuda, ne bakiwagula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n'omu wabula Yekoyakaazi omuto ow'oku baana be,
18 Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Mukama n'amulwaza ebyenda endwadde etewonyezeka.
19 Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw'endwadde ye n'afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng'okunyookeza kwa bajjajjaabe.
20 Yali yaakamaze emyaka amakumi asaru mu ebiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n'agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Awo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we omuto kabaka mu kifo kye: kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'afuga.
2 Akaziya yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli.
3 Era naye n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamuweereranga okukola obubi.
4 N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuweereranga, kitaawe ng'amaze okufa, okumuzikiriza.
5 Era yatambulanga ng'okuteesa kwabwe bwe kwali n'agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Absuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
6 Awo n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Azaliya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yekolaamu mutabani wa Akabu e Yezul.eeri kubanga alwadde:
7 Era okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n'agenda ne Yekolaamu eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu.
8 Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'akomekkereza omusango ku nnyumba ya Akabu n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya nga baweereza Akaziya, n'abatta. 9 N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali
9 N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali nga yeekwese mu Samaliya,) ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta; ne bamuziika, kubanga baayogera nti Ye mutabani wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna. Ennyumba ya Akaziya n'eteba na maanyi okunyweeza obwakabaka.
10 Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n’agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka ery'ennyumba ya Yuda.
11 Naye Yekosabeyaasi muwala wa kabaka n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n'amuggya mu baana ba kabaka abatubwa, n'amuteeka n'omulezi we, mu kisenge ekisulibwamu. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu muka Yekoyaada kabona, (kubanga yali muganda wa Akaziya,) n'amukweka Asaliya, n'atamutta.
12 Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n'afuga ensi.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada ne yeenyweza n'alagaanya abaami b'ebikttmi, Azaliya mutabani wa Yerokamu ne Isimaeri mutabani wa Yekokanani ne Azaliya mutabani wa Obedi ne Maaseya mutabani wa Adaya ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
2 Awo ne batambulatambula mu Yuda ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi.
3 Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo n'abagamba nti Laba, mutabani wa kabaka anaafuga, nga Mukama bwe yayogera ebya batabani ba Dawudi.
4 Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abayingira ku ssabbiiti, ku bakabona ne ku Baleevi, banaabanga baggazi ba nzigi;
5 n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku nnyumba ya kabaka; n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku mulyango ogw'omusingi: n'abantu bonna banaabanga mu mpya ez'ennyumba ya Mukama.
6 Naye walemenga okubaawo anaayingira mu nnyumba ya Mukama wabula bakabona n'abo ab'oku Baleevi abaweereza; abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu bonna banaakwatanga okukuuma kwa Mukama.
7 Era Abaleevi baneetooloolanga kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingiranga mu nnyumba attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga.
8 Awo Abaleevi ne Yuda yenna ne bakola nga bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti; kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula mpalo.
9 Awo Yekoyaada kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'obugabo n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda.
10 Awo n'assaawo abantu bonna, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n’ennyumba awali kabaka enjuyi zonna.
11 Awo ne bafulumya omwana wa kabaka ne bamutikkira engule ey'obwakabaka ne bamuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta; ne boogera nti Kabaka abe mulamu.
12 Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano Iw'abantu, nga baddukana era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
13 n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ye awayingirirwa, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi eyo ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere; era n'abayimbi nabo ne bakuba ebintu ebivuga ne baleetereza oluyimba olw'okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Bujeemu, bujeemu.
14 Awo Yekoyaada kabona n'afulumya abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera attibwe n'ekitala; kubanga kabona yayogera nti Temumuttira mu nnyumba ya Mukama.
15 Awo ne bamusegulira; n'agenda awayingirirwa mu mulyango ogw'embalaasi mu nnyumba ya kabaka: ne bamuttira eyo.
16 Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano naye yennyini n'abantu bonna ne kabaka, babeerenga abantu ba Mukama.
17 Awo abantu bonna ne bagenda mu sabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto.
18 Awo Yekoyaada n'assaawo obwami obw'oku nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa bakabona Abaleevi, Dawudi be yateekateeka mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yateekateeka.
19 N'assaawo abaggazi ku nzigi z'ennyumba ya Mukama, walemenga okuyingira omuntu yenna atali muloagoofu olw'ekigambo kyonna.
20 N'atwala abaami b'ebikumi n'abakuagu n'abakulu b'abantu n'abantu bonna ab'omu nsi; n'aserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama: ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu eri ennyumba ya kabaka, ne batuuza kabaka ku ntebe y'obwa kabaka.
21 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne batta Asaliya n'ekitala.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
1 Yowaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
2 Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku zonna eza Yekoyaada kabona.
3 Yekoyaada n'amuwasiza abakazi babiri; n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Yowaasi n'ayagala okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
5 N'akunnaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti Mufulume mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku Isiraeri yenna ffeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wanunwe buli mwaka, era temulema kwanguya ekigambo ekyo. Era naye Abaleevi ne batakyanguya.
6 Awo kabaka n’ayita Yekoyaada omukulu n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okusalira Abaleevi okuleetanga omusolo gwa Musa omuddu wa Mukama olw'eweema ey'obujulirwa nga bagusolooza ku Yuda ne ku Yerusaalemi ne ku kibiina kya Isiraeri?
7 Kubanga batabani ba Asaliya, omukazi oyo omubi, baali bamenye ennyumba ya Katonda; era n'ebintu byonna ebyawongebwa eby'omu nnyumba ya Mukama ne babiwa Babaali.
8 Awo kabaka n'alagira ne bakola essanduuko, ne bagiteeka ebweru awali oluggi olw'ennyumba ya Mukama.
9 Ne balangira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi okuleetera Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yateeka ku Isiraeri mu ddungu.
10 Awo abakulu bonna n'abantu bonna ne basanyuka ne baleeta ne basuula mu ssaaduuko okutuusa lwe baamala.
11 Awo olwatuuka mu kiseera ekyo lwe baaleetanga essanduuko mu nju kabaka w'ateeseza ebigambo mu mukono gw'Abaleevi, era bwe baalaba nga mulimu ebintu bingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu ne bajja ne baggyamu ebintu mu ssanduuko, ne bagitwala ne bagizza mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne basolooza ebintu bingi nnyo.
12 Awo kabaka ne Yekoyaada ne bagiwa abo abaakolanga omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama; ne bagutirira ab'amayinja n'ababazzi okuddaabiriza ennyumba ya Mukama era n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo okuddaabiriza ennyu mba ya Mukama.
13 Awo abakozi ne bakola omulimu ne bakamala, ne basimba ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza.
14 Awo bwe baamalira ddala, ne baleeta ebintu ebyafikkawo mu maaso ga kabaka ne Yekoyaada, ne babikoza ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama, ebintu ebiweereza era eby'okuwongeramu, n'ebijiiko, n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza. Ne bawaagayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama obutayosanga ennaku zonna eza Yekoyaada.
15 Naye Yekoyaada n'akaddiwa, ng'ajjudde ennaku ng'awangadde ennaku nnyingi n'afa; yali yaakamaze emyaka kikumi mu amakumi asatu we yafiira.
16 Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi mu bakabaka kubanga yakola bulungi mu Isiraeri n'eri Katonda n'ennyumba ye,
17 Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde abakulu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawulira.
18 Ne balekanga ennyumba ya Mukama Katonda: wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n'ebifaananyi: obusungu ne bujja ku Yuda ne ku Yerusaalemi olw'omusango gwabwe ogwo.
19 Era naye n'abatumiranga bannabbi okubakomyativo eri Mukama; ne babanga bajulirwa eri bo: naye ne bataganyanga kutega matu.
20 Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona; n'ayimirira wagguluko awali abantu n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti Musobezanga ki ebiragiro bya Mukama n'okuyinza ne mutayinza kulaba mukisa? kubanga mwaleka Mukama, era naye kyavudde abaleka mmwe.
21 Ne bamwekobaana era olw'ekiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya olw'oku nnyumba ya Mukama.
22 Bw'atyo Yowaasi kabaka n'atajjukira kisa kye yakolwa Yekoyaada kitaawe, naye n'atta mutabani we. Awo bwe yali ali kumpi okufa n'ayogera nti Mukama akitunuulire akivunaane.
23 Awo olwatuuka omwaka bwe gwayitawo eggye ery'Abasuuli ne limutabaala: ne bajja eri Yuda ne Yerusaalemi ne bazikiriza abakulu bonna ab'abantu okubamalawo mu bantu, ne baweereza omunyago gwabwe gwonna eri kabaka w'e Ddamasiko.
24 Kubanga eggye ery'Abasuuli lyajja nga balina ekibiina ky'abasajja ekitono; Mukama n'agabula mu mukono gwabwe eggye eddene ennyo nnyini, kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
25 Awo bwe baamuvaako (kubanga baamuleka obulwadde nga bumukutte nnyo abaddu be ye ne bamwekobaana olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira ku kitanda kye n'afa: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka:
26 Era bano be baamwekobaana; Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.
27 Era ebya batabani be n'emigugu egyamuteekebwako bwe gyali emikulu n'okuzimba nate ennywnba ya Katonda, laba, byawandiikibwa mu bitegeeza eby'ekitabo kya bassekabaka. Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
   

Essuula 25

[Ddayo waggulu]
1 Amaziya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufnga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: n'eritmya lya nnyina lyali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi:
2 N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebigolokofu, naye si na mutima ogwatuukirira.
3 Awo olwatuuka obwakabaka bwe bwanywezebwa gy'ali, n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe.
4 Naye n'atatta baana baabwe, naye n'akola ng'ekyo bwe kiri ekyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa nga Mukama bwe Yalagira nti Kitaabwe talangibwanga gwa baana be okumutta, so n'abaana tebalangibwanga gwa bakitaabwe okubatta; naye buli muntu alangibwenga okwonoona kwe ye okumutta.
5 Era nate Amaziya n'akuŋŋaanya Yuda, n'abateekateeka ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali nga batwalibwa abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, Yuda yenna ne Benyamini: n'ababala abaakamaze emyaka amaktmu abiri n'okukirawo, n'abalaba nga basajja abalonde obusiriivu busatu, abaayinza okutabaala, abaayinza okukwata effumu n'engabo.
6 Era n'agulirira abasajja ab'amaanyi abazira kasiriivu ng'abaggya mu Isiraeii, olwa talanta eza ffeeza kikumi.
7 Naye ne wajja gy'ali omusajja wa Katonda ng'ayogera nti Ggwe kabaka, eggye lya Isiraeri lireme okugenda naawe; kubanga Mukama taliwamu ne Isiraeri, tali wamu n'abaana bonna aba Efulayimu.
8 Naye bw'onooyagala okugenda, kola eby'obuzira, beera n'amaanyi olw'olutalo: Katonda alikumegga mu maaso g'ahalabe; kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okumegga.
9 Awo Amaziya n'agamba omusajja wa Katonda nti Naye tunaakola tutya olwa talanta ekikumi ze mmaze okuwa eggye lya Isiraeri? Omusajja wa Katonda n'addamu nti Mukama ayinza okukuwa ebisinga ennyo ebyo.
10 Awo Amaziya n'abaawulamu, eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe: obusungu bwabwe kyebwava bubuubuuka ennyo eri Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.
11 Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'atabaaza abantu be n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo n'atta ku baana ab'oku Seyiri kakumi.
12 Abaana ba Yuda ne bawamba ne batwala kakumi abalala, ne babaleeta waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbanga ly'olwazi, n'okumenyeka ne bamenyeka.
13 Naye abasajja ab'omu ggye Amaziya lye yazzaayo baleme okutabaala naye, ne bagwa ku bibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu, ne banyaga omunyago mungi.
14 Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'asse Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abaana ab'oku Seyiri, n'abasimba okuba bakatonda be, n'avuunama mu maaso gaabwe n'abootereza obubaane.
15 Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Amaziya, n'amutumira nnabbi n'amugamba nti Wagenderanga ki eri bakatonda b'abantu abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo?
16 Awo olwatuuka bwe yali ng'ayogera naye kabaka n'amugamba nti Twali tukuyingizizza ggwe mu bateesa ne kabaka? lekera awo; wandikubiddwa lwa ki? Awo nnabbi n'alekera awo n'ayogera ati Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza kubanga wakola ekyo n'otowulira kuteesa kwange.
17 Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, n'ateesa ebigambo n'atumira Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso.
18 Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gewatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Wa muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango.
19 Oyogera nti Laba, okubye Edomu; n'omutima gwo gukugulumizizza okwenyumiriza: obeere nno eka; lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa, ggwe ne Yuda wamu naawe?
20 Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira; kubanga kyava eri Katonda abagabule mu mukono gw'abalabe baabwe, kubanga baanoonyanga bakatonda ba Edomu.
21 Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.
22 Yuda n'agobebwa mu so ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye
23 Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'swambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi n'amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina.
24 N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n’ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Katonda wamu ne Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'emisingo nabo, n'addayo e Samaliya
25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaals emyaka kkumi n'etaano Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okafa.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya, ebyasooka n'ebyamalirvvako, laba, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri?
27 Era okuva mu biro Amaziya lwe yakyuka obutagoberera Mukama ne bamwekobaana mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi naye ne batuma e Lakisi okumugoberera ne bamuttira eyo.
28 Ne bamuleetera ku mbalaasi, ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.
   

Essuula 26

[Ddayo waggulu]
1 Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali yaakamaze emyaka ekkumi n'omukaaga ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
2 N'azimba Erosi, n'akizzaayo eri Yuda, kabaka ng'amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe.
3 Uzziya yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.
4 N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakola.
5 Ne yeesimba okunoonya Katonda mu nnaku za Zekkaliya eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda: era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n'amulabyanga omukisa.
6 Awo n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe wa Gaasi ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi; n'azimba ebibuga mu nsi ya Asudodi ne mu Bafirisuuti.
7 Katonda n'amuyambanga ng'alwana n'Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali n'Abamewunimu.
8 Abamoni ne bawanga Uzziya ebirabo: erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa awayingirirwa e Misiri; kubanga yaba n'amaanyi mangi nnyo nnyini.
9 Era nate Uzziya n'azimba ebigo mu Yerusaalemi ku luggi olw'oku nsonda ne ku luggi olw'omu kiwonvu ne bbugwe w'akyukira, n'abinyweza.
10 N'azimba ebigo mu ddungu n'abajja ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi; ne mu biwonvu ne mu lusenyi: era yalina abalimi n'abalongoosa emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu; kubanga yayagala nnyo okulima.
11 Era nate Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abaatabaalanga ebibiina n'ebibiina, ng'omuwendo gw'okubalibwa kwabwe bwe gwali Yeyeri omuwandiisi gwe yabala, ne Maaseya omwami wansi w'omukono gwa Kananiya omu ku baami ba kabaka.
12 Omuwendo gwonna ogw'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga.
13 Era wansi w'omukono gwabwe ne waba eggye eryayigirizibwa, obusiriivu busatu mu kasanvu mu bitaano, abaalwahanga n'obuyinza bungi nnyo, okuyambanga kabaka eri abalabe.
14 Uzziya n'abategekera eggye lyonna engabo n'amafumu n'enkuffiira n'ebizibawo eby'ebyuma n'emitego n'amayinja ag'okuvuumuula.
15 N'akolera mu Yerusaalemi ebyuma ebyagunjibwa abasajja ab'amagezi okubanga ku bigo ne ku nkomera eby'okulasa obusaale n'amayinja amanene. Erinnya lye ne lyatiikirira wala; kubanga yayambwanga kitalo okutuusa lwe yafuna amaanyi.
16 Naye lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa n'okukola n'akola eby'obukyamu n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'obubaane.
17 Azaliya kabona n'ayingira ng'amuvaako ennyuma, era wamu naye bakabona ba Mukama kinaana abasajja abazira:
18 ne baziyiza Uzziya kabaka, ne bamugamba nti Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane wabula gwa bakabona batabani ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane: va mu kigwa; kubanga oyonoonye; so tekiriba kya kitiibwa kyo okuva eri Mukama Katonda.
19 Awo Uzziya n'asunguwala; era yali alina ekyoterezo mu mukono gwe okwoteza obubaane; awo ng'asunguwalidde bakabona ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Mukama ku mabbali g'ekyoto eky'obubaane.
20 Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, era, laba, ebigenge nga bimukutte mu kyenyi, ne banguwa okumusindiikiriza okuvaamu; weewaawo, ye yennyini n'ayanguwa okuvaamu kubanga Mukama amulwazizza.
21 Uzziya kabaka n'abanga omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyayawulibwa nga mugenge; kubanga yaggibwa mu nnyumba ya Mukama: Yosamu mutabani we n'abanga mukulu w'ennyumba ya kabaka, ng'alamula abantu ab'omu nsi.
22 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, ebyasooka n'ebyamalirwako, Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi yabiwandiika.
23 Awo Uzziya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibanja eky'okuziikangamu ekya bassekabaka; kubanga baayogera nti Mugenge: Yosamu mutabani we n'amuddira mu bigere.
   

Essuula 27

[Ddayo waggulu]
1 Yosamu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaanoI bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye ali Yerusa muwala wa Zadoki.
2 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Uzziya bye yakolanga: era naye teyayingiranga mu yeekaalu ya Mukama. Abantu ne beeyongeranga okukola eby'obukyamu.
3 N'azimba oluggi olwa waggulu olw'omu nnyumba ya Mukama, n'azimba bingi ku bbu gwe wa Oferi.
4 Era n'azimba ebibuga mu nsi ey'ensozi eya Yuda, ne mu kibira n'azimbamu enkomera n'ebigo.
5 Era n'alwana ne kabaka w'abaana ba Amoni n'abawangula. Abaana ba Amoni ne bamuwa mu mwaka ogwo ffeeza talanta kiktuni n'erjnaano ebigero kakumi ne sayiri kakumi. Era ebyenkana n'ebyo abaana ba Amoni ne bamusasula mu mwaka ogw'okubiri ne mu gw'okusatu.
6 Awo Yosamu n'afuuka ow'amaanyi kubanga yateekateeka amakubo ge mu maaso ga Mukama Katonda we.
7 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu n'entalo ze zonna n'amakubo ge, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.
8 Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi.
9 Yosamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Akazi mutabani we n'amuddira mu bigere.
   

Next
Back