2 Peetero  

Essuula 1

1 Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twafuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
2 ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe;
3 kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye;
4 ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba.
5 Naye era olw'ekyo kyennyini bwe muleeta ku lwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe okutegeera;
6 era ne ku kufegeera kwammwe okwegendereza; era ne ku okwegendereza kwammwe okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe okutya Katonda;
7 era ne ku kutya Katonda kwammwe okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe okwagala.
8 Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.
9 Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda.
10 Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa: kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono:
11 kubanga bwe kityo tewalibulawo bugagga mu kuyingira kwammwe mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12 Kyennaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.
13 Era ndowooza nga kya nsonga, nga nkyali mu nsiisira eno, okubakubiri zanga nga mbajjukiza;
14 nga mmanyi nga nditera , okwambula amangu ensiisira yange, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
15 Naye era nnaafubanga okubayinzisa buli kaseera nga mmaze okufa okujjukirariga ebyo.
16 Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.
17 Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo:
18 n'eddoboozi eryo ffe ne tuliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.
19 Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe:
20 nga mumaze okutegeera kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekitegeeza kukoma kw'oyo yekka.
21 Kubanga siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Naye era ne wabaawo ne bannabbi b'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza b'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okwangu.
2 Era bangi abaligoberera obukaba bwabwe; abalivumisa ekkubo ery'amazima.
3 Era olw'okwegomba balibaviisaamu amagoba n'ebigambo ebyagunjibwa: omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota.
4 Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubakuumira omusango;
5 era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda:
6 era bwe yasirissa ebibuga Sodoma ne Ggomola a'abisalira omusango ng'abizikiriza ng'abifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda;
7 era n'alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw'empisa ez'obukaba ez'ababi
8 (kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo, olw'okulaba n'olw'okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu):
9 Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango;
10 naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebakankana kuvuma ba kitiibwa:
11 naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe.
12 Naye abo, ng'ensolo ezitaliaa magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, mu kuzikirira kwabwe tebalirema kuzikirizibwa,
13 nga boonoonebwa, ye mpeera ey'okwonoona; abalowooza ebinyumu by'emisana nga ssanyu, mabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe:
14 nga balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa;
15 abaleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu;
16 naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye: endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya naabbi.
17 Abo ze azizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi.
18 Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okubadduka abatambulira mu bukyamu;
19 nga babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga omuntu bw'awangulibwa munne, era abeera muddu we.
20 Kuba oba nga bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi mu kutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombeza mu obwo omulundi ogw'okubiri ne bawangulibwa eby'oluvaanyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye.
21 Kubanga kyandibadde kirungi gye bali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, okudda ennyuma okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa.
22 Kyabatuukirira ng'olugero olw'amazima bwe luli, nti Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa eddidde okwekulukuuaya mu bitosi.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa ey'okubiri gye mbawaadiikira; mu ezo zombi mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza;
2 okujjukiraaga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi:
3 nga mumaze okusooka okutegeera kino, aga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo
4 ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.
5 Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda,
6 ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira: 7
7 naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
8 Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu.
9 Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.
10 Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwo kebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka.
11 Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,
12 nga musuubira nga mwegomba nnyo oltmaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi?
13 Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.
14 Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.
15 Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira;
16 era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo.
17 Kale, abaagalwa, kubanga musoose oktitegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.
18 Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.
   

Next

PROCEED TO....   Bible Quiz Vault
BACK....   Home Page