Abaefeeso  

Essuula 1

1 Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'akwagala kwa Katonda eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu:
2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa huli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifa eby'omu ggulu mu Kristo:
4 nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala:
5 bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe,
6 ekitiibwa ky'ekisa kye kiryoke kitenderezebweaga, kye yatuwa obuwa mu oyo omwagalwa:
7 eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyo noono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli,
8 kye yasukkiriza gye tuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna,
9 bwe yatutegeeza ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, nga bwe yamalirira edda mu ye,
10 olw'obuwanika obw'omu bire ebituukirivu, okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi;
11 mu oyo naffe mwe twafuukira obusika bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe;
12 ffe tulyoke tubeere ettendo ly'ekitiibwa kye, ffe abaasooka okusuubira mu Kristo:
13 era namnwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa,
14 gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.
15 Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, era kwe mulaga eri abatukuvu bonna,
16 kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange;
17 Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye;
18 nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli,
19 era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola,
20 ge yakoza mu Kristo, bwe qamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu,
21 waggulu nayo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja:
22 n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna en ekkanisa,
23 gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe,
2 bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukolera kaakano mu baana abatawulira;
3 era naffe fenna be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala:
4 naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe,
5 era ffe bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa),
6 n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu:
7 mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gye tuli mu Kristo Yesu:
8 kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda:
9 tekwava mu bikolwa, amuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
10 Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye, yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.
11 Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;
12 nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannaggwanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi.
13 Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo.
14 Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula,
15 bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya, okuleeta emirembe;
16 era alyoke atabaganye bombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo:
17 n'ajja n'ababuulira enjiri ey'emirembe mmwe abaali ewala, n'emirembe abaali okumpi:
18 kubanga ku bw'oyo ffe fembi tulina okusembera kwaffe eri Kitaffe mu Mwoyo omu.
19 Kale bwe mutyo temukyali bannaggwanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda,
20 kubanga mwazimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bw'ali ejjinja eddene ery'oku nsonda;
21 mu oyo buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe;
22 mu oyo era nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Kale nze Pawulo, omusibe we Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga;
2 oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe;
3 bwe nnategeezebwa ekyama mu kubikkulirwa, nga bwe nnawandiika edda mu bigambo ebitono,
4 ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kye Kristo;
5 ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo;
6 ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri,
7 gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'akukola kw'amaanyi ge bwe kuli.
8 Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwe ekisa kino, okubuuliranga ab’ama wanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;
9 n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna;
10 kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omn ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi,
11 ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waffe:
12 mwe tuggya obuvumu bwaffe n'okusembera n'obugumu olw'okumukkiriza ye.
13 Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.
14 Kyenva nfukaamirira Kitaffe,
15 buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya,
16 abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda:
17 Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala,
18 mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu botlaa obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri,
19 n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.
20 Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe,
21 aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa,
2 n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana,
3 nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.
4 Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe;
5 Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu,
6 Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna.
7 Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri.
8 Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.
9 (Naye ekigambo ekyo nti Yalinnya, kigamba ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi?
10 Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna.)
11 Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza;
12 olw'okuiriza abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo:
13 okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'bbukulu obw'okutuukirira kwa Kristo:
14 tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba;
15 naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo;
16 mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.
17 Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,
18 nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutaregeera obuli mu bo, olw'okukakanyala okw'omutima gwabwe;
19 kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba.
20 Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo;
21 oba nga mwamuwulira, ne' muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu:
22 mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avnda olw'okwegomba okw'obulimba;
23 era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe,
24 okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuw obw'amazima.
25 Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka.
26 Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe:
27 so temuwanga bbanga Setaani.
28 Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.
29 Buli kigambo ekiwndu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.
30 So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa.
31 Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayalla n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna:
32 era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Kale mugobererenga Katonda, ng'abaana abaagalwa;
2 era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo era ssaddaaka eri Katonda okubeera evvumbe eriwunya obulungi.
3 Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu
4 newakubadde eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana: naye waakiri okwebazanga.
5 Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mu gwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.
6 Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.
7 Kale temussanga kimu nabo;
8 kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe: mutambulenga ng'abaana b'omusana
9 (kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima),
10 nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri;
11 so temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi;
12 kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.
13 Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa: kubanga buli ekirabisibwa gwe musana.
14 Kyava ayogera nti Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.
15 Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi;
16 nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.
17 Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.
18 So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo;
19 nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe;
20 nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo;
21 nga muwuliragananga mu kutya Kristo.
22 Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe.
23 Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini.
24 Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.
25 Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;
26 alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo,
27 alyoke agyereetere yenayini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema.
28 Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe benayini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka:
29 kubanga tewali munru eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjaajaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;
30 kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.
31 Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.
32 Ekyama kino kikulu: naye njogera ku Kristo n'ekkaaisa.
33 Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi atyenga bba.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi.
2 Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza),
3 olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.
4 Nammwe, bakitaabwe, temusuaguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.
5 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, aga Kristo;
6 si nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng'abaddu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo, Katonda by'ayagala,
7 nga muweerezanga n'okwagala nga Mukamall waffe so si bantu:
8 nga mumanyil nti buli munru ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe.
9 Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa: nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali.
10 Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.
11 Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.
12 Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.
13 Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukoIla byonna, musobole okuyimirira.
14 Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu,
15 era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe;
16 era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi.
17 Muweebwe ne sseppewo ey'obulokow, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda:
18 nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonna n'okwegayirirrianga abatukuvu kusaba okwo mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna,
19 era nange ndyoke mpeebwe okwogeranga okwasamyanga akamwa kange, okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'enjiri,
20 gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.
21 Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna:
22 gwe mbatumidde olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli, era abasanyuse emitima gyammwe.
23 Emirembe gibenga eri ab'oluganda, n'okwagala awamu n'okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
24 Ekisa kibeerenga n'abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo mu butamala.
   

Next
Back