Abatume Ekkumi n'Ababiri Awamu
ne Pawulo Omutume Omutukuvu

This time we have brought you Abatume Ekkumi n'ababiri Awamu n'Obulamu bw'Omukume Omutukuvu Pawulo. This books starts you from the the life of St. Peter, what he did unit his death telling you the difficulties he met during his service, until he came to the feet of the One he loved. Read all about the twelve Apostles. Era ekitabo kino kyawandiikibwa okusobola okuyamba buli Mukristaayo, okumanya ebizibu Abatume bye baayitamu naye ne bategaanao Oyo eyabafiirira. Kale naawe kitusaanidde okugoberera eky'okulabirako kino okunyikirenga bulijjo okubunya Enjiri n'Ekigambo kya Kristo eyagya mu nsi ku lw'ebibi byaffe okusobola okununula gwe nange. Soma ku bulamu b'abatume bonna ne bye baakola, era olabe n'engeri Omutume Omutukuvu Pawulo gye yayigganyamu e Kkanisa ate oluvannyuma n'abeera nga ye mugoberezi wa Kristo, gwe yayigganyanga, era ne yewaayo okubonabona okutuusa lwe yafa!

OMUTUME OMUTUKUVU PEETERO
June 29.

Peetero omutume wa Yesu Kristo, yali musajja muvubi ku nnyanja y'e Ggalilaaya, Kitawe nga ye Yona. Yalina mugandawe ayitibwa Andereya. Baabeeranga Besusayida. Yesu bwe yamuyita okumugobera ne muganda we Andereya, Peetero yaleka byonna n'amugoberera. Ebyawandiikibwa biraga nga Peetero eyali ayitibwa Simooni, ye mutume eyasooka okulondebwa ku kkumi n'abiri, era n'ebiseera ebisinga nga y'ayogerera abatume banne. Yesu n'amutuuma erinnya lya Peetero eritegeeza Olwazi mu kifo kya Simooni. Era n'amugamba nti, 'Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno, so emiryango egy'emagombe tegirigiziyiza. Ndikuwa ebisumuluzo by'obwakabaka obw'omu ggulu, kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa ne mu ggulu, ne kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu ggulu. Mat. 16:18-19.

Yesu bwe yategeeza abatume nga bwe kimugwanira okugenda e Yerusaalemi okubonyabonyezebwa, Peetero ono yamuzza ku mabbali n'atandika okumunenya ng'amugamba nti, "Nedda, Mukama wange ekyo tekirikubaako n'akatono, Mat. 16:21-22. Nga bali ku ky'eggulo eky'enkomerero, Yesu yategeeza Peetero ono nga bwe yali agenda okumwegaana nga bw'atamumanyi, Luk. 22:33-34. Wewaawo Peetero yali ayagala nnyo Mukamawe, naye ekiro ekyo oluvannyuma lwa Yesu okukwatibwa abasserikale bakabona, Peetero yamwegaana n'alayira nga b'atamumanyi emirundi emirungi esatu mirambirira, Luk. 22:57-60. Naye enkoko bwe yakookolima, Peetero n'ajjukira Yesu kye yamugamba, n'afuluma n'akaaba, Luk. 22:61-62. Peetero obutafaanana na Yuda Isukaliyoti, yagenda ne yeenenya era n'asonyibwa.

Yesu nga yakazuukira, yalabikira abayigirizwa ku nnyanja ey'e Ggalilaaya gye baali nga bavuba. Bwe bamulengera ku lubalama, Peetero teyalinda banne kuweta lyato kugenda ku lubalama, yagwa mu mazzi ng'awuga kutuuka wali Mukama we, Yok. 21:79. Oluvannyuma lwa Yesu okulinnya mu ggulu, Peetero yayimirira mu kibiina ky'abantu abaali bawerera ddala nga kikumi mw'abiri. N'abategeeza ng'ebyawandiikibwa bwe byali kibigwanidde okutuukirizibwa, n'abawa n'obujulizi eri Abayuddaya ku lunaku lwa Pentekonte, Bik. 1:14-39.

Peetero olw'okukkiriza, yawonya omulema eyali ku mulyango gwa yeekaalu, Bik. 3:1-10. Yasibibwa ne Yokaana olw'okuyigiriza mu linnya lya Yesu n'okutegeeza nga bwe yazuukira mu bafu. Era bwe yabuuzibwa obuyinza obumukozesa bye yali akokola, n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu n'ategeeza abakulu b'abantu n'abakadde nti, "Mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaalesi gwe baakomerera, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'Oyo eyali omulema yali atambula mu maaso gaabwe, Bik. 4:5-12. Yazuukiza ne Tabbiisa (Doluka) omukazi eyali ajjudde ebikolwa ebirungi, Bik. 9:36-41. Peetero ono yasibibwa Kerode ng'ayagala okumutta, n'amuteekako n'abasserikale kkumi na mukaaga okumukuuma. Naye bwe yali yeebase mu kkomera, Malayika wa Mukama yamuggulirawo enzigi z'ekkomera n'amufulumya, Bik. 12:4-10. Kerodde oyo eyali amusibye, lumu bwe yeegulumiza nga tawadde Mukama kitiibwa, Malayika wamukama n'amukuba n'afa amangu ago, n'aliibwa envunyu n'afa.

Peetero yabuulira obulokozi bwa Kristo, eri Koluneeriyo n'ennyumbaye nabo n'abaweebwa Omwoyo Omutukuvu oluvannyuma lw'okufuna lwa Peetero okufuna okwolesebwa nga ng'ali ewa Simooni omuwazi w'amaliba. Soma Mat. 16:13-19 ne Yok. 21:1-8. Kigambinwa nti, 'Peetero yafa ng'omujulirwa mu Ruumi. Naye okufaanana ne Yesu yasalirwa omusango gwakufa, n'akomererwa ku musaalaba, kyokka omutwe ogugwe n'asalawo bagutunuze wansi nga gwewuunzise.

**** Ekatabo kano kaddiba ery'olupapula oluweweevu obulungi,era nga lugoonvu.****

ORDER FORM - Print out this .txt file for convenience if ordering by mail.

E-MAIL US For comments, critics, questions about these Books, or whatever you may need to know about Luganda Christian Services, please feel free to drop us a line. Send them to us at lugandaministry@yahoo.com


This entire site, including all pages, Copyright 2000-2008 Luganda Christian Services Inc. All rights reserved. Send mail to:Luganda Christian Mission Services Inc. P.O. Box 5213, Glendale, Arizona, USA 85312. Or P.O. Box 31602 Kampala Uganda East Africa

Back
Next