Amasiro g’e Kasubi

Ennyumba ya Muzibu Azaala Mpanga omugalamiziddwa Muteesa I, Mwanga, Daudi Chwa ne Sir Edward Muteesa II.Ennyumba Bujja Bukula eri ku wankaaki w’amasiro. Ennyumba Ndogoobukaba omuterekebwa eng’oma.

Bya Jane Nakyondwa
Ekimu ku bifo ebiraga ekitiibwa kya Buganda ge Masiro g’e Kasubi. Naye Buganda erina ntegeka ki okukuuma ekitiibwa kyago emyaka 20 egijja mu maaso?

Amasiro kye kimu ku bifo by’ebyobuwangwa mu Buganda, kifo omugalamizibwa bassekabaka ate kifo kya bulambuzi.

Ebyafaayo by’Amasiro
Amasiro gano gaatandikibwa Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa I mu 1878 bwe yakuba olubiri lwe e Kasubi Nabulagala n’azimba ennyumba enkulu mu masiro gano eyitibwa Muzibu Azaala Mpanga. Kigambibwa yagituuma erinnya eryo ng’agamba nti ye yali empanga mu Buganda era nga tewaali amukira.

George Ssenteza avunaanyizibwa ku kulambuza abagenyi mu kifo kino agamba amasiro gano makulu mu Buganda olw’ensonga nti bassekabaka bana okutandikira ku Mutesa 1, Mwanga eyazzibwa ng’afiiridde mu bizinga by’e Seychelles, Daudi Chwa ne Fredrick Edward Muteesa II mwe bagalamiziddwa.

Ng’oggyeeko ennyumba ya Muzibu azaala Mpanga, mulimu n’ennyumba endala enkulu mu buwangwa bwa Buganda, Ndogoobukaba omuterekwa engoma ezikubibwa nga Kabaka akyadde mu masiro. Endala y’ennyumba omuziikibwa bannaalinnya sso nga wankaaki w’amasiro gano ayitibwa Bujja Bukula.

Okufaananako n’ebifo by’obuwangwa ebirala, amasiro geebunguluddwa bbugwe w’emmuli era galina emizizo n’obulombolombo.

Mu bulombolombo mulimu obutakkiriza bakazi balina mbuto oba abali mu nsonga okuyingira mu Muzibu azaala Mpanga, okuggyamu engatto ng’oyingira, abakazi abambadde empale empanvu oba enkunamyo tebakkirizibwamu okuggyako nga balina olugoye lwe beezingiriddeko okubikka enkunamyo.

Omusajja n’omukazi tebakkirizibwa kwekwatirayo mu ngalo yadde okunywegeraganirayo kubanga buli muk-yala ayingirayo aba muka Kabaka.
Mu Muzibu azaala Mpanga mulimu n’engo ‘Mayanja’ eyali eya Kabaka Muteesa II eyakazibwa oluvannyuma lw’okuttibwa bwe yagezaako okutabuka nga mukama waayo akisizza omukono.

Endabika y’amasiro kati Muzibu Azaala Mpanga eri mu mbeera nnungi naye ennyumba Ndogoobukaba omuterekerwa eng’oma yo etonnya yeetaaga kuddaabirizibwa.

Yadde mu kusooka Muzibu Azaala Mpanga yazimbibwa mmuli n’eserekebwa ssubi, olw’okuba obwaguuga, mu makkati gaayo mwateekebwamu empangi luwaga okuwanirira akasolya kaayo.

Ebbanga bwe lyagenda liyita, Ssekabaka Daudi Chwa yakizuula nti akasolya ka Muzibu Azaala Mpanga kaali kayinza okugwa olw’enkuyege okukalya. Yakozesa akasolya ak’ebyuma ne kateekebwako olwo ate ne baserekako essubi n’empagi ekawanirira wakati n’assaamu ya kyuma n’esambikibwako embugo.

Amasiro emyaka 20 egijja Okusinziira ku bye nnalabye ku masiro, ekibuuzo ekyebuuzibwa kati kiri nti amasiro gano emyaka 20 mu maaso ganaaba gatya? Ekitiibwa n’obulombolombo bwago binaaba bikyakuumibwa butiribiri emyaka 20 egijja?

Kuno kwe kusoomoozebwa okwolekedde Obuganda. Ng’oggyeko okweraliikirira okusereka akasolya kaleme kutonnya, okukung’aanya essubi erigasereka ng’abantu ensiko zonna bagenda bazirima kifuuse kizibu sso ng’ekitiibwa kyago ekimu kiri mu nsereka yaago.

Ku kino Gavumenti y’e Mmengo egenze essaawo ebifo eby’enjawulo mu masaza ga Buganda gonna awagenda okulimibwa essubi, n’ebinsambwe, emmuli n’ebintu ebirala ebijja okuko-zesebwanga okuddaabiriza amasiro gano n’ebifo by’ebyobuwangwa ebirala.

Mu bbanga eritali ly’ewala gye buvuddeko, ebigambo byali bitandise okuyiting’ana nti ekitundu ku masiro ago kyali kiguziddwa kkampuni y’amafuta eya Shell ekolereko emirimu gyayo.

Bino byawakanyizibwa abalgalinako obuyinza naye kiranga nga bwe waliwo okugezesebwa okw’amaanyi okuyinza okujja olw’abantu okutunuulira eby’okufuna mu kifo ky’okussa ekitiibwa mu byobuwangwa.

Ku nsonga zino, Ssenteza agamba nti obuvunaanyizibwa okulaba nti ekitiibwa n’obulombolombo bw’amasiro gano tebusaanawo kiri eri buli muganda.

Olw’okuba ekizibu ekisinga y’engeri y’okufunamu ensimbi okulabirira ekifo ekyo, Ssenteza agamba balina okulaba nga kituusibwa ku mutindo ogusikkiriza abalambuzi abangi.

Wadde abakulira amasiro gano balina omulimu okulaba nti bagafunamu ensimbi okugayimirizaawo nga baziggya mu bulambuzi, omulimu omukulu gwe gw’okukuuma obuwangwa, empisa n’obulombolombo ebikwatagana n’amasiro gano.

Published on: Sunday, 8th May, 2005