Amosi  

Essuula 1

1 Ebigambo bya Amosi eyali ow'oku basumba b’e Tekowa, bye yalaba ebya Isiraeri mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng'ekyasigaddeyo emyaka ebiri okutuuka ku kikankano ky'ensi.
2 N'ayogera nti Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, era alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; kale amalundiro ag'abasumba galiwnubaala, n'entikko ya Kalumeeri eriwotoka.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyuma:
4 naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi.
5 Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw'ayogera Mukama.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu:
7 naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Gaza, era gulyokya amayumba gaakyo:
8 era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'a yogera Mukama Katonda.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'oluganda:
10 naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Ttuulo, era gulyokya amayumba gaakyo.
11 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonna:
12 naye ndiweereza omuliro ku Temani, era gulyokya amayumba ag'e Bozula.
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab'e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe:
14 naye ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'akunta ku lunaku olw'embuyaga ez'akazimu:
15 era kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye n'abakungu be wamu, nw'ayogera Mukama.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula evvu:
2 naye ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ag'e Keriyoosi; era Mowaabu alifa, nga basasamala nga baleekaana nga bafuuwa ekkondeere:
3 era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu kyo, era ndittira abakungu baamu bonna wamu naye, bw'ayogera Mukama.
4 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, so tebakutte biragiro bye, n'eby'obulimba byabwe bibawabizza, bajjajjaabwe bye baagobereranga mu kutambuia kwabwe:
5 naye ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo, olw'ebina, siiikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga batunze omutuukirivu olw'effeeza ne yeetaaga olw'omugogo gw'engatto:
7 abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaaw, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu:
8 era bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanze.
9 Era naye nazikiriza Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwali ng'obuwanvu obw'emivule, era yali wa maanyi ng'emyera; era naye nazikiriza ebibala bye engulu n'emmizi gye wansi.
10 Era nabalinnyisa nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mbalurJtlamiza emyaka amakumi ana mu ddungu, okulya ensi ey'Omwamoli.
11 Ne ngolokosa ku batabani bammwe okuba bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, ai mmwe abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama.
12 Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti Temulagula.
13 Laba, ndibanyigiriza mu kifo kyammwe, ng'eggaali erijjudde ebi nywa bwe linyigiriza.
14 Awo okudduka kulibula ow'embiro, so n'ow'amaanyi talyongera maanyi ge, so n'omuzira talyewonya:
15 so n'oyo akwata omutego taliyimirira; era n'omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya:
16 n'oyo alina obugumu mu b'amaanyi alidduka ng'ali bwereere ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Muwulire ekigambo kino Mukama ky'afoogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonna kye nnalinnyisa nga nkiggya mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti
2 Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi zonna: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna.
3 Ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga batabaganye?
4 Empologoma ewulugumira mu kibira nga terina muyiggo? empologoma ento eyima mu mpuku yaayo okulira nga teriiko ky'ekutte?
5 Ennyonyi eyinza okugwa mu mutego ku nsi nga tebagiteze kakunizo? omutego gumasuka okuva wansi nga teguliiko kye gukwasizza?
6 Bafuuyira ekkondeere mu kibuga, abantu ne batatya? obubi bugwa ku kibuga, Mukama nga tabuleese?
7 Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.
8 Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde, ani ayinza obutalagula?
9 Mulangirire mu mayumba mu Asudodi ne mu mayumba mu nsi y'e Misiri, mwogere nti Mukuŋŋaanire ku nsozi ez'e Samaliya, mulabe enjoogaano eziri omwo bwe zenkana obungi, n'okujooga bwe kuli okuli omwo wakati.
10 Kubanga tebamanyi kukola bya nsonga, bw'ayogera Mukama, abo abatereka ekyejo n'obunyazi mu mayumba gaabwe.
11 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Walibaawo omulabe, okwetooloola ensi enjuyi zonna: naye alikkakkanya amaanyi go okukuvaako, n'amayumba go galinyagibwa.
12 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omusumba bw'awonyaako mu kamwa k'empologoma amagulu abiri oba ekitundu ky'okutu; bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baliwonyezebwa, abatuula mu Samaliya mu nsonda y'ekiriri ne ku bigugu ebya aliiri eby'oku kitanda:
13 Muwulire mube abajulirwa eri ennyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama Katonda, Katonda ow'eggye.
14 Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndibonereza n'ebyoto bya Beseri, n'amayembe g'ekyoto galisalihwako ne gagwa wansi.
15 Era ndikuba ennyumba eya ttoggo wamu n'ennyumba ey'ekyeya; n'ennyumba ez'amasanga ziribula, n'amayumba amanene galikoma, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Muwulire ekigambo kino, mmwe ente ez'e Basani, abali ku lusozi Iwa Samaliya, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abagamba bakama baabwe nti Muleete tunywe.
2 Mukama Katonda alayidde obutukuvu bwe nga, laba, ennaku ziribatuukako lwe balibaggyawo n'amalobo, n'ekitundu kyammwe ekirifikkawo balibaggyawo n'amalobo agavuba.
3 Era mulivaamu nga muyita mu bituli ebiwaguddwa, buli nte ng'esimbira ddala mu maaso gaayo; ne mwesuula mu Kalumooni, bw'ayogera Mukama.
4 Mujje e Beseri mwonoone; mujje e Girugaali mwongere okwonoona kwammwe; era muleetenga ssaddaaka zammwe buli nkya n'ebitundu byammwe eby'ekkumi buli nnaku essatu;
5 muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ku ebyo ebizimbulukuswa, mulangirire ebiweebwayo ku bwammwe mubiraalike: kubanga ekyo kye musiima, ai mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.
6 Era nange mbawadde obulongoofu bw'amannyo mu bibuga byammwe n'okubulwa emmere mu mayumba gammwe gonna: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
7 Era nange mbaziyirizza enkuba, ng'ekyasigaddeyo emyezi esatu okutuusa amakungula: ne ntonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne nziyiza enkuba okutonnya ku kibuga ekirala: ekitundu kimu kyatonnyebwako, n'ekitundu ky'etaatonnyako ne kiwotoka.
8 Awo ab'omu bibuga ebibiri oba bisatu ne batambulatambula ne batuuka mu kibuga ekimu okunywa amazzi, so tebakkutanga: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
9 Mbakubye n'okugengewala n'obukuku: akawuka kalidde olufulube lw'ensuku zammwe n'ensuku zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabbibu n'emitiini gyammwe n'emizeyituuni gyammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
10 Mpeerezza mu mmwe kawumpuli ng'engeri ey'e Misiri bwe yali: abalenzi bammwe mbasse n'ekitala, ne nziyawo embalaasi zammwe; ne nninnyisiza ne mu nnyindo zammwe okuwunya kw'olusiisira lwammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
11 Nsudde abamu ku mmwe nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola, nammwe ne muba ng'omumuli ogusiikibwa mu muliro: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
12 Kyendiva nkukola bwe nti, ai Isiraeri: era kubanga ndikukola kino, weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo, ai Isiraeri.
13 Kubanga, laba, oyo abumba ensozi, era atonda embuyaga, era abuulira omuntu by'alowooza, afuula enkya okuba ekizikiza, era alinnya ku bifo ebigulumivu eby'ensi; Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Muwulire ekigambo kino kye nkwata okubakungubagira, ai ennyumba ya Isiraeri.
2 Omuwala wa Isiraeri agudde; takyayimuka nate: asuuliddwa wansi ku nsi ye tewali wa kumuyimusa.
3 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigazaawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigazaawo kkumi, eri ennyumba ya Isiraeri.
4 Kubanga bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti Munnoonye, kale munaabanga balamu:
5 naye temunoonyanga Beseri, so temuyingiranga mu Girugaali, so temuyitanga okugenda e Beeruseba: kubanga Girugaali tekirirema kugenda mu busibe, ne Beseri kiriggwaawo.
6 Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu; aleme okubuubuuka ng'omuliro mu nnyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri:
7 mmwe abafuula omusango okuba obusinso, ne musuula wansi obutuukirivu;
8 munoonye oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekisiikirize eky'okufa okuba enkya, era asiikiriza omusana n'ekiro; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye;
9 aleeta okuzikirira ku w'amaanyi nga tamanyiridde, okuzikirira ne kutuuka ku kigo.
10 Bakyawa oyo anenya mu mulyango, era batamwa oyo ayogera ebigolokofu.
11 Kale kubanga muli. nnyirira omwavu, ne mumukamul entlaano: mwazimba ennyumba ez'a mayinja amateme, naye temulizi tuulamu; mwasimba ensuku z'emizabbibu ezisanyusa, naye temu linywa mwenge gwamu.
12 Kubanga mmanyi ebyonoono bya mmwe bwe byenkana obungi n'ebibi byammwe bwe byenkana amaanyi mmwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abagobera abo abeetaaga mu mulyango.
13 Omukabakaba kyaliva asirika mi biro ebifaanana bwe bityo; kubang: bye biro ebibi.
14 Munoonye obulungi so si bubi, mulyoke mubeere nga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe nga bwe mwogera.
15 Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi munywezenga eby'ensonga mu mu. lyango: mpozzi Mukama Katond: ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundt kya Yusufu ekifisseewo.
16 Mukama Katonda ow'eggye, Mukama kyava ayogera bw'ati nti Ebiwoobo biriba mu nguudo zonna engazi era balyogerera mu makubo gonns nti Woowe, woowe! kale baliyiti omulimi okukuba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukuba ebiwoobe.
17 Awo mu nsuku zonna ez'emizabbibu mulibaamt ebiwoobe: kubanga ndiyita mt ggwe wakati, bw'ayogera Mukama.
18 Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? kizikiza so si musana.
19 Kwenkana omusajja ng'adduka empologoma, n'asisinkana eddubu n'esisinkana naye oba ng'ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge omukono gwe omusota ne gumuluma.
20 Olunaku lwa Mukama teruliba kizikiza so si musana? ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala?
21 Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu.
22 Weewaawo, newa. kubadde nga muwaayo gye ad ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, siribikkiriza: so sirissaayo mwoyo eri ebiweebwayo olw'emirembe eby'ensolo zammwe eza ssava.
23 Nziyaako oluyoogaano olw'ennyimba zo; kubanga siiwulire nnanga zo bwe zikubibwa obulungi.
24 Naye omusango gukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogw'amaanyi.
25 Mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ldungu emyaka amakumi ana, ai ennyumba ya Isiraeri?
26 Weewaawo, mwasitulanga Sikusi kabaka wammwe ne Kiyuni, ebifaananyi byammwe, emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera.
27 Kyendiva mbatwaza mu busibe okuyita e Ddamasiko, bw'ayogera Mukama, erinnya lye Katonda ow'eggye.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Zibasanze abo abeegolodde mu Sayuuni n'abo abataliiko kye batya ku lusozi lw’e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga obukulu, abajjirwa ennyumba ya Isiraeri!
2 Muyite mugende e Kalune mulabe; nuveeyo mugende e Kamasi ekizulu: mulyoke muserengete e Gaasi eky'Abafirisuuti: bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba ensalo yaabwe ekira ensalo yammwe obugazi?
3 Mmwe abateeka ewala Aunaku olubi ne musembeza kumpi entebe ey'ekyejo;
4 abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegolorera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'endiga ab'omu kisibo, s'ennyana nga baziggya mu kisibo;
5 abayimbira ennyimba ezitaliimu ru ddoboozi ery'ennanga; abeegunjira ebintu ebivuga nga Dawudi;
6 abanywera omwenge mu bibya, ne basaaba amafuta agasinga obulungi; naye tebanakuwalidde kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu.
7 Kale kyebaliva bagenda mu busibe wamu n'abo abaasooka okugenda mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo.
8 Mukama Katonda yeerayidde yekka, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye, nti Nkyawa obulungi bwa Yakobo, ne ntamvda amayumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonna ebikirimu.
9 Awo olulituuka abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu balifa.
10 Era omuntu bw'anaasitulibwa kojjaawe, oyo amwokya, okuggya amagumba mu nnyumba, n'agamba oyo ali mu njuya. ez'ennyumba ez'omunda nti Wakyaliwo ali naawe? naye n'addamu nti Nedda; kale a'alyoka ayogera nti Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.
11 Kubanga, laba, Mukama alagidde, n'ennyumba ennene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika.
12 Embalaasi ziriddukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? mmwe okufuula ne mufuula omusango okuba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okuba abusinso:
13 mmwe abasanyukira ekintu ekitaliiko kye kigasa, aboogera nti Tetwefunidde mayembe olw'amaanyi gaffe ffe?
14 Kubanga, laba, ndibayimusizaako eggwanga, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, yabumba enzige ebimererezi nga bitanudde okumera; era, laba, byali bimererezi okukungula kwa kabaka nga kuwedde.
2 Awo olwatuuka bwe zaamala okulya omuddo ogw'omu nsi ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? kubanga mutono.
3 Mukama ne yejjusa olw'ekyo: Tekiribaawo, bw'ayogera Mukama.
4 Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: kale, laba, Mukama Katonda n'ayita abantu okuwakana n'omuliro; ne gwokya obuziba obunene, era gwandimazeewo n'olukalu.
5 Awo ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? kubanga mutono.
6 Awo Mukama ne yejjusa ekyo: Era n'ekyo tekiribaawo, bw'ayogera Mukama Katonda.
7 Bw'atyo bwe yandaga: kale, laba, Mukama n'ayimirira ku mabbali g'ekisenge ekyazimbibwa n'omugwa ogugera, era ng'akutte omugwa ogugera mu mukono gwe.
8 Awo Mukama n'annamba nti Amosi, olaba ki? Ne ŋŋamba nti Omugwa ogugera. Awo Mukama n'ayogera nti Laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w'abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri:
9 n'ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birirekebwawo, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri birizisibwa; era ndigolokokera ku nnyumba ya Yerobowaamu n'ekitala.
10 Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Amosi akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna.
11 Kubanga Amosi bw'ayogera bw'ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
12 Era Amaziya n'agamba Amosi nti Ggwe omulabi, genda we ddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo:
13 naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka.
14 Awo Amosi n'alyoka addamu n'agamba Amaziya nti Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi; naye nnali musumba era musalizi w'emisukomooli:
15 Mukama n'anziya ku mulimu ogw'okugoberera ekisibo, Mukama n'aŋŋamba nti Genda olagule abantu bange Isiraeri.
16 Kale nno wulira ekigambo kya Mukama: Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonnyesanga ku nnyumba ya Isaaka;
17 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; naawe kennyini olifiira mu nsi eteri nnongoofu, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.
2 N'ayogera nti Amosi, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama n'alyoka annamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.
3 Awo ennyimba ez'omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.
4 Muwulire kino, ai mmwe abaagala okuliira ddala eyeetaaga n'okumalawo abaavu ab'omu nsi, nga mwogera nti
5 Omwezi ogwakaboneka guliggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? ne ssabbiiti, tusumulule eŋŋaano? nga mutoniwaza efa, era nga munenewaza sekeri, era nga mulyazaamaanya ne m;nzaan; ez'obulimba;
6 tugule abaavu n’effeeza, n'abeetaaga n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisasiro by'eŋŋaano.
7 Mukama alayidde obulungi bwa Yakobo nti Mazima seerabirenga bikolwa bya bwe na kimu ennaku zotma.
8 Ensi terikankanira ekyo, buli muntu n'awuubaala abeera omwo? weewaawo, eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era eritabanguka n'ekka nate nga Omugga ogw'e Misiri.
9 Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukatna Katonda, ndigwisa enjuba mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi obudde nga butangaala.
10 Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga; era ndireeta ebibukutu ku biwato byonna, n'ebiwalaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaalibwa omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala.
11 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama.
12 Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n'okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebuvanjuba; baliddukana mbiro eruuyi n'eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba.
13 Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyoata.
14 Abalayira ekibi kya Samaliya ne boogera nti Nga Katonda wo, ai Ddaani, bw'ali omulamu; era nti Ng'ekkubo lya Beeruseba bwe liri eddamu; abo baligwa so tebaliyimuka nate.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto: n'ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonna; era nditta n'ekitala ow'enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n'omu.
2 Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.
3 Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw'ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma.
4 Era newakubadde nga bagenda mu busibe mu maaso g'abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibatta: era nditeeka amaaso gange ku bo olw'okuleeta obubi so si bulungi.
5 Kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n'esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw'e Misiri;
6 ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olunalu; Mukama lye linnya lye.
7 Mmwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri?
8 Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g'ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama.
9 Kubanga, laba, ndiragira era ndiwewera ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, naye tewaliba na kaweke na kamu akaligwa ku ttaka.
10 Abalina ebibi bonna ab'omu bantu bange balifa n'ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebulitukulembera.
11 Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez'edda;
12 balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw'ayogera Mukama akola kino.
13 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obu sozi bwonna bulisaanuuka.
14 Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.
15 Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo.
   

Next
Back