|
Olwokusobozesa abantu mwenna gyemuli mu nsi yonna okusoma Baibuli mu lulimi lwo. |
|
Zabuli 121 |
| 1 |
Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa? |
| 2 |
Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi. |
| 3 |
Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga. |
| 4 |
Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga |
| 5 |
Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo. |
| 6 |
Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro. |
| 7 |
Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo. |
| 8 |
Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna. |
| |
|