| |
|
|
| 1 |
Ne mu mwaka ogw'okubiri mu mirembe gya Nebukadduneeza Nebukadduneeza n'aloota ebirooto: omwoyo gwe ne gweraliikirira, otulo twe ne tumubula. |
| 2 |
Awo kabaka n'alagira bayite abasawo n'abafumu n'emmandwa n'Abakaludaaya, okubuulira kabaka ebirooto bye. Ne bayingira ne bayimirira mu maaso ga kabaka. |
| 3 |
Kabaka n'abagamba nti Ndoose ekirooto, omwoyo gwange ne gweraliikirira okutegeera ekirooto. |
| 4 |
Abakaludaaya ne balyoka bagamba kabaka mu lulimi Olusuuli nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: obuulire abaddu bo ekirooto, naffe tunaalaga amakulu gaakyo. |
| 5 |
Kabaka n'addamu n'agamba Abakaludaaya nti Ekigambo kinvuddeko: bwe mutantegeeze ekirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zirifuuka mmungo. |
| 6 |
Naye bwe munaalaga ekirooto n'amakulu gaakyo, munaaweebwa nze ebirabo n'empeera n'ekitiibwa kingi: kale mundage ekirooto n'amakulu gaakyo. |
| 7 |
Ne baddamu omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Kabaka abuulire abaddu be ekirooto, naffe tunaalaga amakulu. |
| 8 |
Kabaka n'addamu n'ayogera nti Ntegeeredde ddala nga mwagala okufuna ebbanga, kubanga mulabye ng'ekigambo kinvuddeko. |
| 9 |
Naye bwe mutantegeeze ekirooto, waliwo etteeka limu gye muli: kubanga muteeseteese okulimba n'ebigambo ebivundu okwogera mu maaso gange okutuusa ebiro lwe biriwaanyisibwa: kale mumbuulire ekirooto, nange ndyoke ntegeere nga muyinza okundaga amakulu gaakyo. |
| 10 |
Abakaludaaya ne baddiramu mu maaso ga kabaka, ne boogera nti Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okulaga ekigambo kya kabaka: kubanga tewali kabaka newakubadde omukungu newakubadde owessaza eyali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna newakubadde omufumu yenna newakubadde Omukaludaaya yenna. |
| 11 |
Era ekigambo kino tekirabwanga kabaka ky'awaliriza, so tewali ayinza okukiraga mu maaso ga kabaka, wabula bakatonda 'abatatuula na balina emibiri. |
| 12 |
Kabaka kyeyava asunguwala ne yeejuumuula nnyo, n'alagira okutta abagezigezi bonna ab'e Babulooni. |
| 13 |
Etteeka ne liteekebwa, abagezigezi ne bagenda okubatta: ne banoonya Danyeri ne banne okubatta. |
| 14 |
Awo Danyeri n'addamu n'amagezi n'obukabakaba Aliyooki omwami wa baserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babulooni: |
| 15 |
n'addamu n'agamba Aliyooki omwami wa kabaka nti Kiki ekyanguyiriza bwe kityo etteeka eriva eri kabaka? Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ekigambo ekyo. |
| 16 |
Danyeri n'ayingira ne yeegayirira kabaka okumuteekerawo olunaku, naye ng'aliraga kabaka amakulu. |
| 17 |
Awo Danyeri n'agenda mu nnyumba ye, n'ategeeza ekigambo ekyo Kananiya, Misayeri ne Azaliya, banne: |
| 18 |
basabe Katonda ow'omu ggulu okubasaasira olw'ekyama ekyo: Danyeri ne banne baleme okuzikirira awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babulooni. |
| 19 |
Ekyama ne kiryoka kibikkulirwa Danyeri mu kwolesebwa okw'ekiro. Danyeri n'alyoka yeebaza Katonda ow'omu ggulu. |
| 20 |
Danyeri n'addamu n'agamba nti Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi gage: |
| 21 |
era oyo ye awaanyisa ebiro n'ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka: awa amagezi abagezigezi, n'okumanya eri abo abamanyi okutegeera: |
| 22 |
abikkula ebigambo eby'obuziba eby'ekyama: ebiri mu kizikiza abimanyi, era omusana gubeera naye. |
| 23 |
Nkwebaza, nkutendereza, ai ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka. |
| 24 |
Danyeri kyeyava ayingira eri Aliyooki, kabaka gwe yali ateeseewo okuzikiriza abagezigezi ab'e Babulooni: n'agenda n'amugamba bw'ati nti Tozikiriza bagezigezi ab'e Babulooni: nnyingiza mu maaso ga kabaka, nange naalaga kabaka amakulu. |
| 25 |
Awo Aliyooki n'ayanguwa n'ayingiza Danyeri mu maaso ga kabaka, n'amugamba bw'ati nti Ndabye omusajja ow'omu baana ab'omu bunyage bwa Yuda, anaategeeza kabaka amakulu. |
| 26 |
Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye Berutesazza, nti Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnalaba, n'amakulu gaakyo? |
| 27 |
Danyeri n'addiramu mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Ekyama kabaka ky'awalirizza, abagezigezi tebayinza kukiraga kabaka newakubadde abafumu newakubadde abasawo newakubadde abalaguzi: |
| 28 |
naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, era ategeezezza kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye biibino |
| 29 |
ggwe, ai kabaka, ebirowoozo byo ne bikujjira ku kitanda kyo, ebiribaawo oluvannyuma: naye abikkuta ebyama akutegeezezza ebiribaawo. |
| 30 |
Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw'amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa kabaka ategeezebwe amakulu, naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo. |
| 31 |
Ggwe, ai kabaka, watunula, era, laba, ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo, eky'amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: n'engeri yaakyo ya ntiisa. |
| 32 |
Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa zaabu nnungi, ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo bya ffeeza, olubuto Iwakyo n'ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma, |
| 33 |
ebigere byakyo ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba. |
| 34 |
Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya. |
| 35 |
Ekyuma, n'ebbumba n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe ziryo n'okulaba ne bitalaba bbanga: n'ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna. |
| 36 |
Ekirooto kye kiikyo: era tunaayatula amakulu gaakye mu maaso ga kabaka. |
| 37 |
Ggwe, ai kabaka, oli kabaka wa bakabaka, Katonda ow'eggulu gwe yawa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa: |
| 38 |
era abaana b'abantu gye batuula yonna, yagaba ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu ggulu mu mukono gwo, era yakubifuza ggwe byonna: ggwe oli mutwe gwa zaabu. |
| 39 |
Era walikuddirira obwakabaka obulala, bw'osinga ggwe, bulibaawo: n'obwakabaka obulala obw'okusatu obw'ekikomo obulifuga ensi zonna. |
| 40 |
N'obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma: kubanga ekyuma kimenyaamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng'ekyuma ekibetenta ebyo byonna, bwe bulimenyaamenya bwe bulibetenta bwe butyo. |
| 41 |
Era kubanga walaba ebigere n'obugere, ekitundu kya bbumba ery'omubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi. |
| 42 |
Era ng'obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba, era n'obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n'ekitundu kimenyefu. |
| 43 |
Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi, balyetabula n'ezzadde ly'abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng'ekyuma bwe kiteetabula na bbumba. |
| 44 |
Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n'okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna. |
| 45 |
Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa. |
| 46 |
Awo kabaka Nebukadduneeza n'alyoka avuunama amaaso ge n'asinza Danyeri, n'alagira okumuwa ssaddaaka n'omugavu. |
| 47 |
Kabaka n'addamu Danyeri n'ayogera nti Mazima Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Diukama wa bakabaka; era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga oyinzizza okubikkula ekyama ekyo. |
| 48 |
Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babulooni. |
| 49 |
Danyeri n'asaba kabaka, n'akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu bigambo eby'essaza ery'e Babulooni: naye Danyeri n'abeera mu wankaaki wa kabaka. |
| |
|