Ebikolwa  

Essuula 10

Koluneeriyo atuma ababaka
1 Waaliwo omuntu mu Kayisali ya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano,
2 omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda ennaku zonna.
3 Oyo n'alaba mu kwolesebwa mu lwatu, nga mu ssaawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amugamba nti Koluneeriyo.
4 N'amwekaliriza amaaso n'atya n'agamba nti Kiki, Mukama wange? N'amugamba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye olw'okujjukiza mu maaso ga Katonda.
5 Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero:
6 oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w'amaliba, n'eanyumba ye eriraanye ku nnyanja.
7 Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo:
8 bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n'abatuma e Yopa.
9 Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe baali nga batambula abo, aga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga.
10 N'alumwa enjala n'ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa;
11 n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka eanene, ag'ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n'essibwa wansi:
12 omwali ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n’eby'ewalula eby’ensi, n’ennyonyi ez’omu bbanga.
13 Eddoboozi ne lijja eri ye nti Golokoka, Peetero, osale olye
14 Naye Peetero n'agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga silyanga kya muzizo newakubadde ekibi.
15 Eddoboozi nate (ne lijja) gy'ali omulundi ogw'okubiri nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.
16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangu ago ekintu ne kitwalibwa mu ggulu.
17 Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza enayumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi,
18 ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero, yakyazibwa omwo.
19 Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti Laba, abantu basatu bakunoonya.
20 Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye.
21 Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuao gwe munoonya: kiki ekibaleese?
22 Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.
23 Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olw'okubiri Peetero n’agolokoka n'asirula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye.
24 Awo ku lunaku olw'okubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo.
25 Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira Koluneeriyo n'amusisinkana, n'amtlfukaamirira ku bigere n’asinza.
26 Naye Peetero n'amuyimusa ng'agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu.
27 Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye,
28 n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi. .
29 Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza?
30 Awo Koluneeriyo n’agamba ati Kaakano waakayitawo ennaku nnya naali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gauge eyalina engoye ezimamaasa,
31 n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda.
32 Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja.
33 Awo ama ngu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.
34 Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tansosola mu bantu:
35 naye muggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza.
36 Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo (ye Mukama w'ebintu byonna)
37 mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana,
38 Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Umutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye.
39 Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti.
40 Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olw'okusatu n'amulaga mu lwatu,
41 si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu.
42 N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango w'abalamu n'abafu.
43 Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo.
45 Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.
46 Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti
47 Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe?
48 N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamwegayirira okumalayo ennaku nnyingiko.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira ng'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2 Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye
3 nga bagamba nti Wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo.
4 Naye Peetero n'atanula n'abannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti
5 Nze nnali mu kibuga Yopa nga ansaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku birenge ebina okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira:
6 bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekulula n'ennyonyi ez'omu bbanga.
7 Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti Peetero, yimirira osale olye.
8 Naye neŋŋamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekibi tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.
9 Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu ggulu nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.
10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu.
11 Kale, laba, amangu ago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya.
12 Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli;
13 n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye ery'okubiri Peetero;
14 alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna.
15 Bwe nnali kye njije ntanule okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe.
16 Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.
17 Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?
18 Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Kale Katonda; awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.
19 N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.
20 Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.
21 N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe.
22 Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya:
23 naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe:
24 kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe.
25 N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo:
26 bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
27 Mu nnaku ezo barmabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyoklya.
28 N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.
29 Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya:
30 n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
Obulabe bwa Kerode eri ekkanisa
1 Mu biro ebyo kabaka Kerode n'agolola emikono okukola obubi abamu ab'omu kkanisa.
2 N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana.
3 Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero. Ze nnaku ez'emigaati egitazimbulukuswa.
4 Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.
5 Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda.
6 Ku lunaku Kerode Iwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi bash ku luggi nga bakuuma ekkomera.
7 Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti Yimuka mangu. Enjeigere ne ziva ku mikono ne zigwa.
8 Malayika n'amugamba nti Weesibe, oyambale engatto zo. N'akola Ibw'atyo. N'amugamba nti Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.
9 N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa.
10 Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'ab'okubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangu ago malayika n'amuleka. Peetero bwe yeddamu n'agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.
11 11 Peetero bwe yeddamu n'agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.
12 Bwe yalowooza n'ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba.
13 Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'omu mulyango omuzaana n'ajja okuyitaba, erinnya lye Looda.
14 Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'ayingira mbiro n'agamba nti Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.
15 Ne bamugamha nti Olaluse. Naye n'akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we.
16 Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira.
17 Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda. N'avaayo n'agenda mu kifo awalala.
18 Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti Peetero nno abadde ki?
19 Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo.
20 N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.
21 Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo.
22 Abantu bonna ne boogerera waggulu nti Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.
23 Amangu ago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa.
24 Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga.
25 Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Mu Antiyokiya mu kkanisa eyaliyo waaliwo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo.
2 Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.
3 Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma.
4 Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo.
5 Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza.
6 Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa;
7 eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8 Naye Eruma omulogo (kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa) n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza.
9 Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso,
10 n'agamba nti Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu?
11 Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko. Amangu ago ekifu ne kimugwako, n'enzikiza; n'awammanta n'anoonya abantu ab'okumukwata ku mukono.
12 Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n'akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe.
13 Awo Pawulo ne banne ne bawanika amatanga okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'addayo e Yerusaalemi.
14 Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuggaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula.
15 Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.
16 Pawulo n'ayimirira n'abawenya n'omukono n'agamba nti Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire.
17 Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa.
18 N'abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng'amakumi ana.
19 Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka ebikumi bina mu ataano.
20 Oluvannyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri.
21 Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka amakumi ana.
22 Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.
23 Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu,
24 Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri.
25 Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja ennyuma wange, gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.
26 Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe.
27 Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango.
28 Bwe bataalaba nsonga ya kumutta, ne basaba Piraato okumutta.
29 Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako ne bamuwanula ku muti ne bamuteeka mu ntaana.
30 Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu:
31 n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu.
32 Ffe tubabuulira ebigambo ebirungi, eby'okusuubiza okwasuubizibwa bajjajja nti
33 Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli ey'okubiri nti Ggwe mwana wange, nkuzadde leero.
34 Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi.
35 Kubanga yayogera ne mu Zabbuli endala nti Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda.
36 Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, ne yeebaka n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda:
37 naye oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa;
39 byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli akkiriza abiggibwako.
40 Kale mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti
41 Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule; Kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe Omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng'agubabuulidde nnyo.
42 Bwe baafuluma ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku ssabbiiti ey'okubiri.
43 Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendanga okunyiikirira mu hisa kya Katonda.
44 Awo ku ssabbiiti ey'okubiri ne bakuŋŋaana nga kibuga kyonna okuwulira ekigambo kya Katonda.
45 Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma.
46 Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temweiraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga.
47 Kubanga Mlukama yatulagira bw’ati nti Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.
48 Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo.
49 Ekigambo kya Mukama waffe ne kibuna mu nsi eri yonna.
50 Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe.
51 Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne bajja okutuuka Ikoniyo.
52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu n'Omwoyo Omutukuvu.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
Mu Ikonio
1 Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamumukkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.
2 Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.
3 Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
4 Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume.
5 Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,
6 bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo:
7 ne babeera eyo nga babuulira enjiri.
8 Mu Lusitula yaliyo omlmtu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono.
9 Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka,
10 n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.
11 Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu.
12 Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubaaga ye yasinga okwogera.
13 Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.
14 Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu
15 nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:
16 mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago:
17 naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’abiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.
18 Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
19 Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
20 Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lutlaku olw'okubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube.
21 Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
22 nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
23 Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.
24 Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya.
25 Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya;
26 ne bavaayo ne bawanika amatanga okuruuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.
27 Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.
28 Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
Enjawukana ku by'okukomolebwa
1 Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.
2 Bwe waali empaka enayingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo.
3 Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna.
4 Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekkanisa n'abatume n'abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo.
5 Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.
6 Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo.
7 Bwe waali okwawukaila kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'enjiri ne bakkiriza.
8 Ne Katonda amanyi emitima n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe;
9 n'atayawula ffe nabo, bwe yalongoosa emitima gyabwe olw'okukkiriza.
10 Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe?
11 Naye tukkiriza okulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nabo bwe batyo.
12 Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga.
13 Abo bwe baamala okusirika Yakobo n'addamu ng'agamba nti Abasajja ab'oluganda, mumpulire.
14 Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu.
15 Ebigambo bya bannabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti
16 Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa; Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate, Era ndigigolokosa:
17 Abantu abasigalawo banoonye Mukama, N'amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange ku bo,
18 Bw'ayogera Mukama, ategeeza ebyo byonna okuva ku lubereberye lw'ensi.
19 Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda;
20 naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obweazi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi.
21 Kubanga okuva edda Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋŋaaniro buli ssabbiiti.
22 Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda:
23 ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga:
24 kubanga tuwulidde nti abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga;
25 tusiimye, bwe tutabaganye n'omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n'abaagalwa baffe Balunabba ne Pawulo,
26 abantu abaasingawo obulamu bwabwe olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
27 Kyetuvudde tutuma Yuda ne Siira era abalibabuulira obumu bennyini n'akamwa.
28 Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana,
29 okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.
30 Awo ho, bwe baasindikibwa ne bajja e Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ne babakwasa ebbaluwa.
31 Bwe baasoma ne basanyuka olw'okubuulirirwa okwo.
32 Yuda ne Siira, kubanga nabo baali bannabbi, ne babuulirira ab'oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya.
33 Bwe baamalayo ebiro, ne basiibulwa ab'oluganda n'emirembe okuddayo eri abaabatuma.
34 Naye Siira yasiima okusigalayo.
35 Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era.
36 Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali.
37 Balunabba era n’ayagala okutwala Yokaana erinaya: lye ery'okubiri Makko:
38 naye Pawulo teyasiima kumutwala oyo eyabaleka mu Panfuliya n'atagenda nabo ku mulimu.
39 Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo;
40 naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigira ekisa kya Mukama waffe.
41 N'ayita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekkanisa.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Era n'atuuka e Derube ne Lusitula: laba, yaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'umukuzi Omuyudaaya eyakkiriza: naye kitaawe
2 eyasiimibwa ab'oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio.
3 Oyo Pawulo n'ayagala okugenda naye; n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baamumanya nga kitaawe yali Muyonaani
4 Bwe baali nga bayita mu bibuga ne babawa okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi.
5 Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.
6 Ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya;
7 bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo gwa Yesu n'atabaganya;
8 ne beekooloobya Musiya, ne batuuka e Tulowa.
9 Pawulo n'alaba okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe.
10 Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira enjiri.
11 Kyetwava tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okuruuka e Samoserakiya, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Neyapoli;
12 ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky'e Makedoni elusookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku.
13 Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana.
14 Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzaaga Katonda, n’atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe okuwuliriza Pawulo bye yayogera.
15 muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo. N'atuwaliriza.
16 Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, omuwala eyaliko dayimooni alagula n'atusanga, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula.
17 Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.
18 N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo omuveeko. N'amuvaako mu kiseera ekyo.
19 Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu,
20 ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti Abantu bano basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, kubanga Bayudaaya
21 era bayigiriza empisa ez'omuzizo ffe okuzikwatanga newakubadde okuzikolanga kubanga tuli Baruumi.
22 Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo.
23 Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindikira mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo:
24 oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abasindiikiriza mu kkomera ery'omunda, n'akomerera ebigere byabwe mu nvuba.
25 Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda, abasibe ne babawulira;
26 amangu ago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana: amangu ago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka.
27 Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye.
28 Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano.
29 N'asaba ettabaaza n'addukana n'ayingira, n'avuunamira Pawulo ne Siira, ng'akankana,
30 N'asaba ettabaaza n'addukana n'ayingira, n'avuunamira Pawulo ne Siira, ng'akankana,
31 Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo.
32 Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye.
33 Nabatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza emiggo; n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna amangu ago.
34 N'abalintayisa mu nnyumba ye, n'abaleetera emmeeza, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda.
35 Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti Musumulule abantu abo.
36 Omukuumi w'ekkomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n'emirembe.
37 Naye Pawulo n'abagamba nti Batukubidde mu maaso ga bantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli Bantu Baruumi ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.
38 Basserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi:
39 ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.
40 Ne bafuhuna mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babasanyusa ne bavaayo.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
Okubuulira Yesu mu Ssessaloniika
1 Ne Bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya:
2 awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mubo, mu ssabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiilubwa,
3 ng'abikkula ng'ategeeza nti Kristo kya mugwanira okubonyaabonyezehwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo.
4 Abamu ku bo ne bakkirira ne beegatta ne Pawulo ne Siira; n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene n'abakyala abakulu si batono.
5 Naye Abayudaaya bwe baakwatibwa obuggya ne batwala abantu ababi ab'omu bakopi ne bakuŋŋaanyisa ahantu ne basasamaza ekibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni ne baagala okubaleeta mu maaso g'abantu.
6 Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti Bano abavuunika ensi bazze ne wano;
7 ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti Waliwo kabaka omulala, Yesu.
8 Ne basasamaza ekibiina'n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo.
9 Bwe baamala okweyimiriza Yasooni n'abalaIa, ne babata.
10 Amangu ago ab'oluganda ne basindika ekiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
11 Naye bano baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.
12 Abamu bangi kyebaava bakkiriza, era n'abakazi abakyala Abayonaani n'abasajja si batono.
13 Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo era mu Beroya, era ne bajjayo ne baweerera ebibiina ne babasasamaza.
14 Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda okutuuka ku nnyanja: Siira ne Timoseewo ne babeera eyo.
15 Naye abaawerekera Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okugamba Siira ne Timoseewo bajje gy'ali amangu nga bwe bayinza, ne bagenda.
16 Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kijjudde ebifaananyi.
17 Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga.
18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
19 Ne bamuItwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?
20 Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okuteIgeera amakulu g'ebigambo bino.
21 (Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya.)
22 Pawulo n'ayimirira wakati wa Aleyopaago n'agamba nti Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.
23 Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.
24 Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono,
25 so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;
26 yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:
27 banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:
28 kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.
29 Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekirugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu.
30 Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,
31 kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.
32 Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne basekerera; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.
33 Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati.
34 Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: muabo Diyonusiyo Omwaleyopaagoddewo, n'omukazi erinnya lye Damali, n’abalala wamu nabo.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
Enjiri mu Kkolinso
1 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso.
2 N'alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo: yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali
3 era kubanga baalina omulimu gumu n'abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema.
4 N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro bulissabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani.
5 Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.
6 Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n'abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.
7 N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaniro.
8 Era Kulisupo, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.
9 Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti Totya naye yogeranga, tosirikanga,
10 kubanga nze ndi wamu naawe; so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.
11 N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12 Naye Galiyo bwe yali nga ye wessaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango,
13 nga bagamba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira.
14 Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti Singa wabaabo okusobya oba kwonoona, okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza:
15 naye oba nga waliwo okubuuzagana okw'ebigambo: n'amannya n'amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw'ebyo.
16 N'abagoba awasalirwa emisango.
17 Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo.
18 Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'awanika amatanga okugenda e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamala okumwera enviiri mu Kekereya; kubanga yeerayirira.
19 Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya.
20 Bwe baamwagala okweyongera okutuula n'atakkiriza;
21 naye n'abasiibula n'agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso.
22 N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta lokutuuka Antiyokiya.
23 Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, in'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya w’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.
24 Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezandereya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso,
25 Oyo yali ng'abuliddwa ekkubo ya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng'amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka:
26 oyo n'atanula okwogera n'obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.
27 Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:
28 kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.
   

Next
Back