Ebyabaleevi  

Essuula 10

1 Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga.
2 Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ga Mukama.
3 Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira.
4 Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kojja wa Alooni, n'abagamba nti Musembere, musitule baganda bammwe okubaggya mu maaso g'awatukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira.
5 Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo, byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde.
6 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza.
7 So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga, Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.
8 Mukama n'agamba Alooni nti
9 Tonywanga ku mwenge newankubadde ekitamiiza, ggwe newakubadde abaana bo awamu naawe, bwe munaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: linaabanga tteeka eritajjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna
10 era mulyoke mwawulengamu ebitukuvu n'ebitali bitukuvu, n'ebirongoofu n'ebitali birongoofu;
11 era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulirira mu mukono gwa Musa.
12 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali abaana be abaasigalawo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, mugiriire awatali kizimbulukusa ku mabbali g'ekyoto: kubanga kye kitukuvu ennyo:
13 era munaagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga lye bbannja lyo, era bbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
14 N'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa munaabiriira mu kifo ekirongoofu; ggwe ne batabani bo ne bawala bo awamu naawe: kubanga biweebwa gy'oli okuba ebbanja lyo, era ebbanja ly'abaana bo, ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.
15 Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo eki wuubibwa mu maaso ga Mukama: era binaabanga bibyo, era bya baana bo awamu naawe, okuba ebbanja emirembe gyonna; nga Mukama bwe yalagira.
16 Musa n'anoonyeza ddala embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era, laba, ng'eyokeddwa: n'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti
17 Ekibalobedde okuliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu manso ga Mukama?
18 Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; temwandiremye kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagidde.
19 Awo Alooni n'agamba Musa nti Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era bimbaddeko ebigambo ebyenkanidde wano: era singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kiruagi nnyo mu maaso ga Mukama?
20 Kale Musa bwe yawulira, n'ekiba kirungi nnyo mu maaso ge.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]

1 Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni ng'abagamba nti
2 Mugambe abaana ba Isiraeri nti Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi.
3 Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era, ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye kye munalyanga.
4 Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli.
5 N'omusu kubanga guzza obwenkulumu nayetegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli.
6 N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli.
7 N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.
8 Ku nnyama yaazo temulyangako, so n'emirambo gyazo temugikomangako; si nnongoofu gye muli.
9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga, ebyo bye munaalyanga.
10 Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli,
11 era binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, n'emirambo gyabyo munaagiyitanga gya muzizo.
12 Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli.
13 Na bino bye munaayitanga eby'omuzuo ku nnyonyi; tebiriibwanga, bya muzizo: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
14 ne kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo;
15 buli namuŋŋoona n'engeri yaabo;
16 ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
17 n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkufufu;
18 n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega;
19 ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
20 Ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana bya muzizo gye muli.
21 Naye bino bye muyinza okulya ku byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana, ebirina amagulu waggulu ku bigere byabyo, okugabuusa ku nsi;
22 bino bye muyinza okulya ku ebyo enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo.
23 Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli.
24 Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi
25 era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.
27 Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli.
29 Na bino bye bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eggunju, n'emmese, n'ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo,
30 ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu.
31 Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebyewalula: buli anaabikomangako, nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32 Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaaI banga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo, oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.
33 Na buli kintu eky'e'bbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga.
34 Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu : na buli kya kunywa ekinaaywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu.
35 Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.
36 Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuinaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
37 Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonna ey'okusiga egenda okusigibwa, yo eneebanga nnongoofu.
38 Naye oba ng'amazzi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo ne kugwa okwo, nga si nnongoofu gye muli.
39 Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40 N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi,
41 Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kya muzizo; tekiriibwanga.
42 Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba bud ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo.
43 Temwegwagwawazanga na kyewalula kyonna, so temwefuulanga nabyo abatali balongoofu, mubeere n'empitambi bwe mutyo.
44 Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi.
45 45 Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu.
46 Eryo lye tteeka ery'ensolo n'ery'ennyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi:
47 okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu.
3 Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga.
4 Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa.
5 Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe.
6 Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona:
7 kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala.
8 Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Omuntu bw'anaabAnga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe etvngudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona:
3 kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, ne kifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu.
4 Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku ddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuuse bweru, kale kabona snaasibiranga ow'endwadde ennaku musanvu:
5 awo kabona alimukebera ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo; n'endwadde nga tebunye ku ddiba, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu endala:
6 awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu
7 Naye ekikuta bwe kinaabunanga ku ddiba, ag'amaze okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, aneeraganga nate eri kabona:
8 kale kabona anaakeberanga, era, laba, ekikuta bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongaofu: nga bye bigenge.
9 Endwadde y'ebigenge bw'ebanga ekutte omuntu, awo anaaleetebwanga eri kabona;
10 kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba,
11 nga bye bigenge eby'edda ku ddiba ly'omubiri gwe, era kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo si mulongoofu.
12 Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga;
13 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, ebigenge bwe binaabanga bibunye omubiri gwe gwonaa, anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: byonna bifuuse okuba ebyeru: oyo mulongoofu.
14 Naye ennyama enjere bw'eneerabikanga ku yc, anaabanga atali mulongoofu.
15 Awo kabona anaakebeianga ennyama enjere, n'amwatulira nga si mulongoofu: ennyama enjere si nnongoofu: bye bigenge.
16 Oba ennyama enjere bw'ekyukanga nata n'efuuka okuba enjeru, kale anajjanga eri kabona,
17 kabona n'amukebera: era, laba, endwadde bw'ebanga efuuse okuba onjeru, kale kabona anaamwatulirangs onnulwadde nga mulongoofu: oyo mulongoofu.
18 Era omubiri bwe gunaabangako ejjute ku ddiba lyagwo, nalyo nga lyawona,
19 n'awaali ejjute ne wabaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona;
20 awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, a'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, hale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.
21 Naye kabona bw'anaakikeberanga, era, laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekifulumye wansi w'eddiba, naye nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
22 awo bwe kinaabunanga ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: eyo ye ndwadde:
23 Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga 'awo, era nga tebunye, eyo nga ye enkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
24 Oba omubiri bwe gunaabangako okwokebwa n'omuliro ku ddiba lyagwo, ennyama ennamu eyokeddwa n'efuuka okuba embalabe erungudde, enjeruyeru era lemmyufumyufu, oba njeru;
25 awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
26 Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tefulumye wansi w'eddiba, naye nga terabika bulungi; kale kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
27 kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eneebunanga ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
28 Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwo kebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.
29 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kirevu,
30 kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu.
31 Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu:
32 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba,
33 kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona anaasibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu endala:
34 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye ku ddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumye wansi w'eddiba; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu.
35 Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku ddiba ng'amaze okulongoosebwa;
36 awo kabona anaamukeberanga: era, laba, ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, kabona tanoonyanga nviiri za kyenvu; oyo si mulongoofu.
37 Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
38 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'embalabe ezirungudde ku ddiba ly'omubiri gwabwe, ze mbalabe ezirungudde enjeru;
39 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezi rungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu.
40 Era omusajja bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; (naye) mulongoofu.
41 Era bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'omu kawumpo, nga wa kiwalaata kya mu kawumpo; naye nga mulongoofu.
42 Naye endwadde enjeruyeru era emmyafumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata.
43 Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri;
44 oyo nga wa bigenge, si mulongoofu: kabona talemanga kumwatulira nga si mulongoofu; endwadde ng'eri ku mutwe gwe.
45 Era omugenge alina endwadde, engoye ze zinaabanga enjulifuyulifu, n'enviiri ez'oku mutwe gwe tazisibangako, era anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayagereranga waggulu nti Siri mulongoofu, siri mulongoofu.
46 Ennaku zonna eadwadde ng'ekyali ku ye anaabanga atali mulongoofu; si mulongoofu: anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.
47 Era n'ekyambalo ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kyambalo kya byoya bya ndiga oba kyambalo kya bafuta; 48 bwe bibanga ku wuuzi ez'obusimba oba ku z'obukiika; oba kya bafuta oba kya byoya; bwe bibanga ku ddiba oba ku kintu ekikolebwa n'eddiba;
48 endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwai dde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona:
49 awo kabona anaakeiberanga endwadde, n'asibira eki kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu.
50 Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro.
51 Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga tebunye mu kyambalo, newakubadde mu wuuzi ez'obusimba, newakubadde mu z'obukiika, newakubadde mu kintu kyonna eky'eddiba;
52 kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala:
53 awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.
54 kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala:
55 awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.
56 Era kabona bw'anaakeberanga, era, laba, endwadde nga terabika bulungi ng'emaze okwozebwa, kale anaagiyuzanga okugiggya mu kyambalo oba mu ddiba, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika:
57 era bw'eneebanga ekyalabika mu kyambalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, ng'efuutuuka: onooyokyanga n'omuliro ekyo ekirimu endwadde.
58 N'ekyambalo oba wuuzi ez'obusimba, obali ez'obukiika, oba kintu kyonna eky'eddiba nga bwe kinaabanga, ky'onooyozanga, endwadde bw'eneebanga, ebivuddemu, kale ne kiryoka kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kiba kirongoofu.
59 Eryo lye tteeka ery'endwadde y'ebigenge mu kyambalo eky'ebyoya oba mu kyall bafuta, oba muwuuzi ez'obusimba, oba mu z'obuliika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, okukyatuliranga nga kirongoofu, oba okukyatuliranga nga si kirongoofu.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: anaaleetebwanga eri kabona:
3 awo kabona anaafulumanga mu lusiisira; kabona n'akebera, kale, laba, endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye ku mugenge;
4 kale kabona anaalagiranga okutwalira oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi bbiri ennongoofu ennamu, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu:
5 awo kabona anaalagiranga okuttako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta:
6 n'ennyonyi ennamu anaagiddiranga n'omuti omwerezi n'olugoye olumyufu n'ezobu, n'annyika ebyo n'ennyonyi ennamu mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa ku mazzi agakulukuta:
7 awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga.
8 N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu: oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
9 Awo olunaaruukanga ku lunaku olw'omusanvu, anaamwanga enviiri ze zonna okuziggya ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enviiri ze zonna anaazimwanga: era anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu.
10 Awo ku lunaku olw'omunaana anaddiranga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi ogiunu ogwakamaze omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta.
11 Ne kabona amulongoosa anaateekanga omuntu: agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweeina ey'okusisinkanirangamu:
12 awo kabona anaddirangako gumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango n’ekibya eky’amafuta, n’abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
13 anattirwanga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: ekyo kitukuvu nnyo;
14 kale kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo:
15 kale kabona anaddiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu kibatu eky'omukono gwe ye ogwa kkono:
16 awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso ga Mukama:
17 ne ku mafuta agasigalawo agali mu mukono gwe kabona anaagateekanga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo, ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango:
18 n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa: era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama.
19 Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa:
20 era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto: era kabona anaamutangiriranga, kale anaabanga mulongoofu.
21 Era bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;
22 ne bakaamukuukulu babiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okufuna; erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
23 Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama.
24 Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa:
25 n'atta omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoala ku musaayi ogw'ekiwee,bwayo olw'omusango, n'aguteekaku nsonda y'okuru okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo:
26 awo kabona anaafukanga ku mafuta mu kibatu ky'omukono gwe ye ogwa kkono:
27 kabona n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta lagali mu mukono gwe ogwa kl:ono emirundi musanw mu maaso ga Mukama:
28 kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe n'agateeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, mu kifo eky'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango:
29 n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, akumutangirira mu maaso ga Mukama.
30 Era anaawangayo ku bakaamukuukulu omu, oba ku mayiba amato limu, nga bw'anaayinzanga okufuna;
31 nga bw'anaayinzanga okufuna, erimu lya kiweebwayo otw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta: era kabana anaatangiriranga oyo agenda okulongoosebwa mu maaso ga Mukama.
32 Eryo lye tteeka ly'oya aliko endwadde y'ebigenge, atayin2a kufuna bya kulongoosebwa kwe.
33 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
34 Bwe muliba nga muruuse mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigeage mu nnyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwammwe;
35 awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti Ennyumba efaanana gye ndi okubaamu endwadde:
36 kale kabona anaalagiranga okumalamu ebintu mu nnyumba, kabona nga tannaba kuyingira kulaba ndwadde, byonna ebiri mu nnyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba:
37 kale anaakeberanga endwadde, era, laba, endwadde bw'eneebanga ku bisenge by'ennyumba nga byewummuddewummudde, enguudo oba nga za nnawaadagala oba mmyufumyufu, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye munda w'ekisenge;
38 awo kabona anaafulumanga mu nnyumba n'agenda ku mulyango gw'ennyumba, n'aggalira ennyumba ennaku musanvu:
39 kale kabona anaakomangawo ku lunaku olw'omusanvu, n'akebera: era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba;
40 kale kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga:
41 era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoai gye bakolokota ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu;
42 ne baddira amayinja amalala, ne bagateeka mu kifo ky'amayinja ago; n'addira ennonii endala, n'agisiiga ku nnyumba.
43 Awo endwadde bw'eneekoma-' ngawo n'efuutuuka ku nnyumba, ng'amaze okuggyamu amayinja, era ng'amaze okukolokota ennyumba, era ng'emaze okusiigibwako;
44 kale kabona anaayingiranga n'akebera, era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku nnyumba, ebyo nga bye bigenge ebirya mu nnyumba: nga si nnongoofu.
45 Awo anaayabyanga ennyumba, amayinja gaayo, n'emiti gyayo, n'ennoni yonna ey'ennyumba; era anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu.
46 Era nate buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera kyonna ng'ekyali nzigale anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47 Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze.
48 Era kabona bw'anaayingiranga, n'akebera, era, laba, endwadde nga tebunye ku nnyumba, ennyuxnba ng'emaze okusiigibwako; kale kabona anaayatuliranga ennyumba nga nnongoofu, kubanga endwadde ng'e wonye.
49 Awo anaddiranga olw'okulongoosa ennyumba ennyoayi bbiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu:
50 n'attako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta:
51 n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu n'ennyonyi ,ennamu, n'abinnyika mu musaayi !gw'ennyonyi ettiddwa, ne mu mazzi ago agakulukuta, . n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu:
52 era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi ago agakulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu:
53 naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga okuva mu kibuga: bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba: awo eneebanga nnongoofu.
54 Eryo lye tteeka ly'engeri yonna ey'endwadde y'ebigenge, era ery'ekikakampa;
55 era ery'ebigenge eby'okukyambalo, era ery'ennyumba;
56 era ery'ekizimba, era ery'ekikuta, era ery'embalabe erungudde:
57 okuyigirizanga bwe kinaabanga ekitali kirongoofu, era bwe kinaabanga ekirongoofu: eryo lye tteeka ly'ebigenge.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]

1 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Mugambe abaaIna ba Isiraeri mubabuulire nti Omusajja yenna bw’abaabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga simulongoofu olw'enziku ye.
3 Era buino bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bu longoofu bwe.
4 Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako kinaabanga kitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga kitali kirongoofu.
5 Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6 N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7 N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; kale anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu.
10 Ne buli anaakomanga ku kintu kyonna ekibadde wansi we anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'oyo anaasitulanga ebyo' anaayozanga engoye ze, n'anaaba mw mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11 Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofn okutuusa akawungeezi.
12 Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
13 N'ekintu ky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga: na buli kintu ky'omuti kinaayozebwanga mu mazzi.
14 Era omuziku bw'anaalongoosebwangako enziku ye, kale aneebaliranga ennaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye ze; n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu.
15 kale kabona anaagawangayo, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.
16 Era omusajja yenna bw'anaavangamu amaanyi, kale anaanaabanga omubiri gwe gwonna mu mazzi, n'aba atali mulongoofu oku tuusa akawungeezi.
17 Na buli kyambalo, na buli ddiba, omuli amaanyi, kinaayozebwanga n'amazzi, ne kiba ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi.
18 Era n'omukazi omusajja gw'anaasulanga naye n'amaanyi, bombi banaanaabanga mu mazzi, ne baba abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
19 Era omukazi bw'anaabanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga ya musaayi, anaamalanga ennaku musanvu ez'okweyawula kwe: na buli anaamukomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20 Na buli kintu ky'anaasulangako mu biro by'okweyawula kwe kinaabanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
21 Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23 Era bwe kinaabanga ku kitanda, oba ku kintu kyonna ky'atuddeko, bw'anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24 Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga latali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
25 Era omukazi bw'anaavangamu omusaayi gwe ennaku nnyingi so nga si bye biro eby'okweyawula kwe, oba bw'anaavangamu omusaayi okusukkirira ebiro eby'okweyawula kwe; ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe anaabanga nga bw'aba mu nnaku ez'okweyawula kwe: oyo nga si mulongoofu.
26 Buli kitanda ky'anaasulangako ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi kinaabanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe.
27 Era buli anaakomanga ku ebyo anaabanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 Naye bw'anaalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale aneebaliranga ennaku musanvu, oluvannyuma n'alyoka aba omulongoofu.
29 Awo ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
30 Awo kabona anaawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe.
31 Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo.
32 Eryo lye tteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amaanyi, n'okufuula ne gamufuula atali mulongoofu;
33 era ery'omukazi alwadde olw'okweyawula kwe, era ery'omuziku, omusaja, era ery'omukazi, era ery'oyo asula n'omukazi atali mulongoofu.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]

1 Mukama n'ayogera ne Musa, batabani ba Alooni bombi nga bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa;
2 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja mu watukuvu munda w'eggigi buli biro, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuko; aleme okufa: kubanga naalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.
3 Bino Alooni by'anajjanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga enaume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
4 Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkufbira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala.
5 Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennu 'me bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
6 Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyu mba ye.
7 Awo anaatwalanga embuzi zombi, n'aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
8 Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri.
9 Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
10 Naye embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneetekebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, okumutangirira, okugisindiikiriza eri Azazeri mu ddungu:
11 Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo o1w'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe:
12 awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi:
13 awo anaateekaaga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane 'gubikke ku atebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa:
14 awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'eIngalo ye emirundi musanvu.
15 Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akoze omusaayi gw'ente ennume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, ne mu maaso g'entebe ey'okusaasira:
16 era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bw'atyo bw'anaakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
17 So temubanga muntu mu eveema ey'okusisinkanirangamu, bw'anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw'anaafulumanga, ng'amaze okwetangirira ye n'ennyumba ye n'eki biina kyonna ekya Isiraeri.
18 Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.
19 N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.
20 Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuw, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu:
21 awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali buruukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese:
22 era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu.
23 Awo Aiooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo:
24 awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.
25 N'amasanvu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 N'oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27 N'ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuw, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira; ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.
28 N'oyo abyokya amaayozanga ebyambalo bye n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mulusiisira.
29 Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa I newakubadde omugenyi atuula mu mmwe:
30 kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama.
31 Olwo ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe: lye tteeka ery'emirembe gyonna.
32 Era kabona, anaafukibwangako amafuta era anaayawulibwanga okuba kabona mu lufo kya kitaawe, anaatangiriranga era anaayambalanga ebyambalo ebya bafuta, ebyambalo ebitukuvu:
33 era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina.
34 Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagira Musa.
   

Essuula 17

[Dddayo waggulu]

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ag'ayogera nti
3 Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira,
4 n'atagiretta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be:
5 abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
6 Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
7 So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye ball ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
8 Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9 n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
10 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be.
11 Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.
12 Kyennava nnamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi:
13 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu.
14 Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.
15 Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulo ngoofu.
16 Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe.
3 Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.
4 Emisango gyange gye muba mukolanga, n'amateeka gange ge muba mwekuumanga, okubitambulirangamu: nze Mukama Katonda wammwe.
5 Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu olw'ebyo: nze Mukama.
6 Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okubikkula ku nsonyi ze: nze Mukama.
7 Ensonyi za kitaawo, ze nsonyi za nnyoko, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi ze.
8 Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo.
9 Ensonyi za mwannyoko azaalibwa kitaawo, azaalibwa nnyoko, oba yazaalibwa waka, yazaalibwa walala, ensonyi zaabwe tozibikkulangako.
10 Ensonyi za muwala wa mutabani wo, oba muwala wa muwala wo, ensonyi zaabwe tozibikkulangako: kubanga ensonyi zaabwe ze zizo ggwe.
11 Ensonyi za muwala wa mukazi wa kitaawo, kitaawo gw'azaala, oyo mwannyoko, tobikkulanga ku nsonyi ze.
12 Tobikkulanga ku nsonyi za ssenga wo: oyo wa buko ne kitaawo.
13 Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko: oyo wa buko ne nnyoko.
14 Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa kitaawo, tose mbereranga mukazi we: oyo ssenga wo.
15 Tobikkulanga ku nsonyi za muka mwana wo: oyo muka, mutabani wo; tobikkulanga ku nsoayi ze.
16 Tobikkulanga ku nsonyi, za muka muganda wo: ze nsonyi zamuganda wo.
17 Tobikkulanga ku nsonyi z'omukazi n'eza muwala we; totwalanga muwala wa mutabani we, newakubadde muwala wa muwala we, okubikkula ku nsonyi ze; abo ba buko: ekyo kibi.
18 So totwalanga mukazi wamu ne muganda we, okuba muggya we, okubikkula ku nsonyi ze, wamu ne munne, ye ng'akyali mulamu.
19 So tosembereranga mukazi okubikkula ku nsonyi ze, ng'akyayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe.
20 So tosulanga na muka muliraanwa wo, okweyonoona naye.
21 So towangayo ku zzadde lyo okubayisa mu muliro en Moleki, so tovumisanga lianya lya Katonda wo: nze Mukama.
22 Tosulanga aa basajja, nga bwe basula n'abakazi: ekyo kya muzizo.
23 So tosulanga na nsolo yonna, okweyonoona nayo: so n'omukazi yenna tayimiriranga mu maaso g'ensolo, okugalamira aayo: okwo kwe kutabula.
24 Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna: kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe:
25 n’ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera ddala abagituulamu.
26 Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolaagako ku by'emizzo ebyo byonna byonna; aewakubadde enzaalwa, newakubadde omugenyi atuula mu mmwe:
27 (kubanga eby'emizizo ebyo byonna abasajja, ab'omu nsi baabikolanga, abaabasooka, n’ensi eyonoonese;)
28 ensi ereme okubasesemera ddala nammwe, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemera ddala eggwaaga eryabasooka.
29 Kubanga omuntu yenna bw'anaakolanga kyonna ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola banasibwanga okubaggya mu bantu baabwe.
30 Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonna ku mpisa ezo ez'emizizo, ezaakolebwanga okusooka mmwe, n'obuteeyonoonsnga n'ezo: nze Mukama Katonda wammwe.
   

Next
Back