1 |
Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti |
| 2 |
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, ensi n'eryokanga yeekuuma ssabbiiti eri Mukama. |
| 3 |
Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo; |
| 4 |
naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako eri ensi, ssabbiiti eri Mukama: tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusu ku lwo. |
| 5 |
Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga: gunaabanga mwaka gwa kuwummula okw'okwewombeeka eri ensi. |
| 6 |
Era ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe; |
| 7 |
n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya. |
| 8 |
Era oneebaliranga ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvui emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda. |
| 9 |
Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna. |
| 10 |
Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano, ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo banna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze. |
| 11 |
Omwaka ogwo ogw'ataano gunaabanga jjuhiri gye muli: temusigaaga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire. |
| 12 |
Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro |
| 13 |
Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buIi muntu mu butaka bwe. |
| 14 |
Era bw'onooguzanga muliraanwa wo ekintu kyonna, oba by'onoogulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga: |
| 15 |
ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiddiridde jjubiri, bw'onoogulaananga ne muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bw'anaakuguzanga. |
| 16 |
Ng'emyaka bwe ginenkananga obungi bw'onooyongera bw'otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe ginenkananga obutono bw'onoosalanga bw'otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akuguza. |
| 17 |
So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. |
| 18 |
Kye munaavanga mukola ama teeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe. |
| 19 |
Era ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga okukkuta, ne mutuula omwo mirembe. |
| 20 |
Era bwe munaayogeranga nti Tulirya ki mu mwaka ogw'omusanvu? laba, tetulisiga, so tetulikungula kyeagera kyaffe: |
| 21 |
kale naalagiranga omukisa gwange okubeera ku mmwe mu mwaka ogw'omukaaga, era gunaabalanga ebibala eby'emyaka gyonsatule. |
| 22 |
Era munaasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyaterekebwa edda; okutuusa ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, munaalyanga ku byaterekebwa edda. |
| 23 |
So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi. |
| 24 |
Ne mu nsi yonna ey'obutaka bwammwe munakkirizanga ensi okununulibwa. |
| 25 |
Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze. |
| 26 |
Era omuntu bw'atabangako anaakinunula, era ng'agaggawadde n'alaba ebinaamala okukinunula; |
| 27 |
awo abalenga emyaka gye kyatundi rwamu n'addiza ebisukkiriddemu amuntu gwe yakiguza; naye anaddanga mu butaka bwe. |
| 28 |
Naye bw'aba nga tayinza kukyeddiza, kale ekyo kye yatunda kinaabeeranga mu mukono gw'oyo eyakigula bkutuusa ku mwaka gwa jjubiri: awo kinaagenderanga mu jjubiri, naye anaddanga mu butaka bwe. |
| 29 |
Era omuntu bw'atundanga ennyumba ey'okutuulamu mu kibuga ekiriko bbugwe, kale anaayinzanga okuginunula omwaka omulamba nga tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula. |
| 30 |
Era bw'eteenunulirwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula okuba eyiye ennaku zonna, mu mirembe gye gyonna: tegenderanga mu jjubiri. |
| 31 |
Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalirwanga wamu n'ennimiro ez'omu byalo: zinaayinzikanga okununulibwa, era zinaagenderanga mu jjubiri. |
| 32 |
Naye ebibuga eby'Abaleevi, ennyumba ez'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi banaayinzanga okuzinunula mu biro byonna. |
| 33 |
Era omu ku Baleevi bw'anaanunulanga, kale ennyumba eyatundibwa, n'ekibuga eky'obutaka bwe, binaagenderanga mu jjubiri: kubanga ennyumba ez'omu bibuga eby'Abaleevi bwe butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri. |
| 34 |
Naye ennimiro ey'omu byalo ebiriraanye ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga bwe butaka bwabwe olw'ennaku zonna. |
| 35 |
Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, omukono gwe ne guggwaamu amaanyi gy'oli; kale onoomuyambanga: anaatuulanga naawe ng'omugenyi era ng'omuwaŋŋanguse. |
| 36 |
Tomutwalangako magoba newakubadde ebisukkirira; naye otyanga Katonda wo: muganda wo alyoke atuulenga naawe. |
| 37 |
Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byakulya byo olw'ebisukkirira. |
| 38 |
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, okuba Katonda wammwe. |
| 39 |
Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga: |
| 40 |
anaabeeranga name ng'omusenze akolera empeera era ng'omuwaŋŋanguse; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: |
| 41 |
n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be awamu naye, n'adda mu nda ze ye, ne mu butaka bwa bakitaawe mw'anaddiranga. |
| 42 |
Kubanga baddu barige, be nnaggya mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okuba abaddu. |
| 43 |
Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo. |
| 44 |
N'abaddu bo, n'abazaana bo, b'onoobanga nabo; ku mawanga agabeetoolodde, ku abo kwe munaagulanga abaddu n'abazaana. |
| 45 |
Era ku baana b'abagenyi abatuula mu mmwe, ku abo kwe munaagulanga ne ku ŋŋanda zaabwe eziri nammwe, be baazaalira mu asi yammwe: nabo banaabanga nwma zammwe. |
| 46 |
Era munaabafuulanga obusika eri abaana bammwe abanaabaddiriranga okuba nabo okuba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu bammwe ennaku zonna: naye baganda bammwe abaana ba Isiraeri temubafuganga mwekka na mwekka lwa maanyi. |
| 47 |
Era omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde gy'ali, ne yeetunda eri omugenyi oba muwagganguse ali naawe, oba eri olukolo lw'enda z'omuwaŋŋanguse: |
| 48 |
bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa; omu ku baganda be anaayinzanga okumununula: |
| 49 |
oba kojja we, oba mutabani wa kojja we, anaayinzanga okumununula; oba muntu yenna ku nda ze amuli okumpi mu luganda anaayinzanga okumununula oba bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula yekka. |
| 50 |
Era anaabaliranga oyo eyamugula okuva ku mwaka mwe yeetundira gy'ali okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gunaabanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gunaabanga; ng'ebiro eby'omusenze akolera empeera bwe biri bw'atyo bw'anaabanga naye. |
| 51 |
Oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bw'anazzanga bw'atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'aguggya ku bintu ebyamugula. |
| 52 |
Era oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mitono okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, kale anaamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bw'anazzanga bw'atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe. |
| 53 |
Anaabanga naye ng'omusenze akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maanyi mu maaso go. |
| 54 |
Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaagenderanga mu mwaka gwa jjubiri, ye n'abaana be awamu naye. |
| 55 |
Kubanga abaana ba Isiraeri baddu gye ndi; be baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe. |
| |
|