Ekyabalamuzi  

Essuula 11

Yefusa
1 Era Yefusa Omugireyaadi yali musajja wa maanyi muzira, era yali mwana w'omwenzi: Gireyaadi ye yazaala Yefusa.
2 Omukazi ow'e Gireyaadi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; abaana ba mukazi we bwe baakula, ne bagoba Yefusa; ne bamugamba nti Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.
3 Awo Yefusa n'alyoka adduka bagaada be, n’abeera mu nsi ye Tobu: abasajja abataliiko kye bagasa ne bakuŋŋaana eri Yefusa, ne batabaalanga naye.
4 Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo abaana ba Amoni ne balwana ne Isiraeri.
5 Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye, Tobu:
6 ne bagamba Yefusa nti Jjangu obeere omukulu waffe, tulwane n'abaana ba Amoni.
7 Yefusa n'agamba Abakadde ab'e Gireyaadi nti, temwakyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Kati lwaki mu noonya?
8 Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Kyetuvudde tukukyukira nate kaakatto ogende naffe olwane n'abaana ba Amoni, naawe oliba mukulu waffe afuga bonna abatuula mu Gireyaadi.
9 Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti Bwe mulinkomyawo ewaffe okulwana n'abaana ba Amoni Mukama n'abagabula mu maaso gange, ndiba muhulu wammwe?
10 Abakadde We Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Mukama ye anaabanga omujulirwa wakati waffe; mazima n8'ekigambo kyo bwe kiriba bwe tulikola bwe tutyo.
11 Awo Yefusa n'alyoka agenda n'abakadde ab'e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafnga: Yefusa n'ayogera ebigambo bye byonaa mu maasoy ga Mukama mu Mizupa.
12 Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaaria ba Amoni ttg'ayogera nti Gw'olina ki nange, ekikuleese gye ndi okulwanyisa ensi yange?
13 Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti Kubanga Isiraeri yanziyako ensi yange bwe yayambuka okuva mu Misiri, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani: kale kaakano zizze ensi ezo lwa mirembe.
14 Yefusa n'atuma nate ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni.
15 n'abagamba nti Yefusa bw'ayogera bw'atyo nti Isiraeri teyanyaga nsi ya Mowaabu, newakubadde ensi y'abaana ba Amoni:
16 naye bwe baayambuka okuva mu Misiri, Isiraeri bwe yali ayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, n'atuuka e Kadesi;
17 Isiraeri n'alyoka atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti Nkwegayirira, ka mpite mu nsi yo: naye kabaka wa Edomu n'ata wulira: Era n'atumira bw'atyo kabaka wa Mowaabu: naye n'atayagala: Isiraeri n'atuula mu Kadesi:
18 Awo n'alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala wa Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu:
19 Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli, kabaka w’e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti Tukwegayirira; ka tuyitemu nsi yo ŋŋende mu kifo kyange.
20 Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsalo ye; naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi, n'alwana ne Isiraeri:
21 Mukama Katonda wa Isiraeri; n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri; ne babatta: Isiraeri n'alyoka alya ensi yonna ey'Abamoli, be baatuula mu nsi eyo.
22 Ne balya ensalo yonna ey'Abamoli, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki, era okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.
23 Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, yagobamu Abamoli mu maaso g'abantu be Isiraeri, naawe wandibalidde?
24 Tolirya nsi katonda wo Kemosi gy'akuwa okulya? Naffe bwe tutyo bonas Mukama Katonda waffe be yagobamu mu maaso gaffe, eyo gye tulirya.
25 Ne kaakano gw'osinga Balaki mutabani wa ZipoIi, kabaka wa Mowaabu, n'akatono? yali awakanyeeko ne Isiraeri; oba yali alwaayeeko nabo?
26 Isiraeri bwe yali atuula mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, ne mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali ga Alunoni, emyaka ebikumi bisatu; ekyabalobera ki okubiddamu okubirya mu kiseera ekyo?
27 Kale nze sikwonoonanga, naye ggwe onsobezza okulwana nange: Mukama, Omulamuzi, alamule: leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.
28 Naye kabaka w'abaana ba Amoni n'atawulira bigambo bya Yefusa bye yamutumira.
Obweyamo bwa Yefusa era n'obuwanguzi
29 Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'ayita mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, n'ava e Mizupe eky'omu Gireyaadi n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni.
30 Yefusa ne yeeyama eri Mukama obweyamo n'agamba nti Oba ng'oligabulira ddala abaana ba Amoni mu mukono gwange;
31 awo olulituuka, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z'ennyumba yange okunsisinkana, bwe ndikomawo emirembe okuva eri abaana ba Amoni, kiriba kya Mukama, nange ndikiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa:
32 Awo Yefusa n'ayita n'agenda eri abaana ba Amoni okulwana nabo; Mukama n'abagabula mu mukono gwe.
33 N'abakuba okuva ku Aloweri okutuusa ng'ojja e Minnisi, bye bibuga abiri, n'okutuuka ku Aberukeramimu, n'abatta bangi nnyo: Abaana ba Amoni bwe baajeemulwa bwe batyo mu maaso g'abaana ba Isiraeri:
Muwala wa Yefusa
34 Yefusa n'ajja e Mizupa eri ennyumba ye, era, laba, muwala we n'afuluma okumusisinkana ag'alina ebitaasa era nga bazina: era ye yali omwana we omu; teyalina wa bulenzi newakubadde ow'obuwala wabula ye.
35 Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kaage eri Mukama, so siyinza kuddirira.
36 N'amugamba nti Kitange, wayasama akamwa ko eri Mukama; nkola ng'ekigambo bwe kyali ekyava mu kamwa ko; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.
37 N'agamba kitaawe nti Ekigambo kino kinkolwe: ndekera emyezi ebiri, ŋŋende nserengetere ku nsozi, nkaabire obutamanya bwange musajja, nze ne bannange.
38 N'agamba nti Genda: N'amusiibula amale emyezi ebiri: n'agenda, ye ne banne, n'akaabira obutamanya bwe musajja ne bumukaabisiza eyo ku nsozi.
39 Awo olwatuuka emyezi ebiri bwe gyaggwaako, n'akomawo eri kitaawe, n'amukola ng'obweyamo bwe bwe bwali bwe yeeyama: era yali tannamanya musajja.
40 Ne wabangawo empisa mu Isiraeri, abawala ba Isiraeri okugendanga buli mwaka okujjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi ennaku nnya buli mwaka.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
Yefusa alwanyisa Efulayimu
1 Abasajja ba Efulayimu ne bakuŋŋana ne bayita okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; ne bagamba Yefusa nti Kiki ekyakusomosa okugenda okulwana n'abaana ba Amoni, n'ototuyita ffe okugenda naawe? tulikwokerera ennyumba yo omuliro.
2 Yefusa n'abagamba nti Nze n'abantu bange twali tulwana nnyo n'abaana ba Amoni; awo bwe nnabayita ne mutandokola mu mukono gwabwe.
3 Awo bwe nnalaba nga temundokodde, obulamu bwange ne mbuteeka mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n'abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwaage: kale, kiki ekibalinnyisa leero gye ndi okulwana nange?
4 Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi n'alwana ne Efulayimu: abasajja ab'e Gireyaadi ne bakuba Efulayimu, kubanga baayogera nti Muli badduse ba Efulayimu, mmwe. We Gireyaadi, wakati mu Efulayimu (ne) wakati mu Manase.
5 Ab'e Gireyaadi ne beekwata emisomoko gya Yoludaani okuteega Abaefulayimu: awo olwatuuka (omuntu yenna) ku badduse ba Efulayimu bwe yayogera nti Nsomoke, ab'e Gireyaadi ne bamugamba nti Oli Mwefulayimu? Bwe yayogera nti Nedda;
6 ne balyoka bamugamba nti Kale nno yogera Shibbolesi; n'ayogera nti Sibbolesi; kubanga teyayinza kukiruŋŋamya kukituusa bulungi; ne balyoka bamukwata, ne bamuttira ku misomoko gya Yoludaani; ne bafai ku Efulayimu mu biro ebyo obukumi buna mu enkumi bbiri.
7 Yefusa n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n'alyoka afa, ne bamuziika mu kibuga kimu ku by'omu Gireyaadi.
Ibuzaani, Eroni ne Abudoni
8 Awo oluvannyuma lwe Ibuzaani ow'e Besirekemu n'alamula Isiraeri.
9 Era yalina. batabani be asatu, era yasindika abawala be asatu okugenda mu nsi endala, n'aggya abawala asatu mu nsi endala n'abawasiza batabani be. N'alamulira Isiraeri emyaka musanvu.
10 Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu.
11 Awo oluvannyuma lwe Eroni Omuzebbulooni n'alamula Isiraeri; n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi.
12 Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
13 Awo oluvannyuma lwe Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri.
14 Era yalina batabani be ana n'abazzukulu be asatu, abeebagalanga ku baana b'endogoyi nsanvu: n'alamulira Isiraeri emyaka munaana:
15 Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey'Abamaleki ey'ensozi.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
Okuzaalibwa kwa Samusooni
1 Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; Mukama n'abagabulira mu mukono gw'Abafirisuuti emyaka ana.
2 Era waaliwo omusajja ow’e Zola, ow’ekika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa: ne mukazi we yali mugumba ng'atazaala.
3 Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti Laba nno, oli mugumba so tozaala: naye oliba olubuto, era olizaala omwana w bulenzi.
4 Kale nno weekuume nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza so tolyanga ku kintu kyonna ekital kirongoofu:
5 kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala; omwana wa bulenzi; so akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto: era ye alitanula okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.
6 Awo omukazi n'alyoka ajja abuulira bba, ng'ayogera nti Omusajja wa Katonda azze gye ndi, n'amaaso ge gabadde ng'amaaso ga malay:ka oyo owa Katonda, ag'entiisa ennyingi; so simubuuzizza gy'avudde, so n'atambuulira linnya lye:
7 naye n'aŋŋamba nti Laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; ne kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga, ku kintu ekitali kirongoofu: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku olw'okufa kwe.
8 Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw'okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.
9 Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda n.'ajjira omukazi olw'okubiri bwe yali atudde mu nnimiro: naye Manowa bba teyali naye.
10 Omukazi n'ayanguwa n'adduka n'abuulira; bba n'amugamba nti Laba, omusajja andabikidde eyanjijira olulala.
11 Manowa n'agolokoka n'agoberera mukazi we, n'ajja eri omusajja n'amugamba nti Ggwe oli omusajja eyayogera n'omukazi? N'agamba nti Nze wuuno.
12 Manowa n'agamba nti Kale nno ebigambo byo bituukirire; omwana alifaanana atya, n'omulimu gwe (guliba ki)?
13 Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Byonna bye nnabuulira omukazi abyekuumenga.
14 Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatenga.
15 Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Nkwegayirira, tukulwiseewo, tukuteekereteekere omwana gw'embuzi.
16 Malayika wa Mukama n'agamba Maaowa nti Newakubadde ng'onondwisaawo sijja kulya ku mmere yo: era bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira okukiwa Mukama. Kubanga Manowa yali tamanyi aga Ye malayika wa Mukama.
17 Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Erinnya lyo ggwe ani, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukuwe ekitiibwa?
18 Malayika wa Mukama n'amugamba nti Obuuliza ki erinnya lyange, kubanga lya kitalo?
19 Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; ne (malayika) n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira.
20 Kubanga olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu ggulu, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogw'oku kyoto: Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira ne bavuuaama amaso gaabwe.
21 Naye malayika wa Mukama n'atalabikira nate Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga Ye malayika wa Mukama.
22 Manowa n'agamba mukazi we nti Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda.
23 Naye mukazi we n'amugamba nti Oba nga Mukama abadde ayagala okututta, teyandikkirizza ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta eri omukono gwaffe, so teyanditulaze bigambo ebyo byonna, so teyanditubuulidde mu biro bino ebigambo ebiri bwe bityo.
24 Omukazi n’azaala omwana wa bulenzi, n’amutuuma erinnya Samusooni: omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa.
25 Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumusindika mu Makanedani, wakati w’e Zola ne Esutaoli.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
Mukazi wa Samusooni Omufirisuuti
1 Samusooni n'aserengeta Etimuna, n'alaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti.
2 N'ayambuka okuvaayo, n'abuulira kitaawe ne nnyina n'agabamba nti Nalaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti: kale nno mumpasize oyo.
3 Awo kitaawe ne nnyina ne balyoka bamugamba nti Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi ku Bafirisuuti abatali bakomole? Samusooni n'agamba kitaawe nti Mpasiza oyo; kubanga mmusiima nnyo.
4 Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga kyava eri Mukama; kubanga yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti baali bafuga Isiraeri.
5 Awo Samusooni n'alyoka aserengeta e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, ne baruuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna: era, laba, empologoma envubuka n'emuwulugumirako.
6 Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga talina kintu mu ngalo ze: naye n'atabuulira kitaawe newakubadde nnyina ky'akoze.
7 N'aserengeta n'anyumya n'omukazi, Samusooni n'amusiima nnyo.
8 Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumutwala, n'akyama okulaba omulambo gw'empologoma: era, laba, enjuki nga ziri mu mulambo gw'empologoma n'omubisi gw'enjuki.
9 N'agutwala n'engalo ze, n'agenda, ng'alya atambula, n'ajjira kitaawe ne nnyina, n'abawaako, ne balya: naye n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma.
10 Kitaawe n'aserengeta eri omukazi: Samusooni n'afumbayo embaga; kubanga bwe baayisanga okukola bwe batyo.
11 Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu okubeera naye.
12 Samusooni n'abagamba nti Kaakano ka mbakokkolere ekikokko: bwe muliyinza okukinzivuunula ennaku omusanvu ez'embaga nga tezinnaggwaawo, ne mukitegeera, ne ndyoka mbawa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu:
13 naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu. Ne bamugamba nti Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.
14 N'abagamba nti
Mu mmuli mwavaamu emmere,
Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu.
Ennaku ssatu ne ziyitawo ne balemwa okuvvuunula ekikokko.
15 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne bagamba: mukazi wa Samusooni nti Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo: mwatuyita okutwavuwaza? si bwe kiri?
16 Mukazi wa Samusooni n'akaaba amaziga mu maaso ge n'agamba nti Onkyawa bukyayi, so tonjagala: wakokkolera ekikokko abaana b'abantu bange a'otokimbuulirako nze. N'amugamba nti Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaakibuulirako?
17 N'akaabira amaziga mu maaso ge ennaku musanvu embaga ag'ekyaliwo: awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira kubanga yamutayirira nnyo: n'abuulira abaana b'abantu be ekikokko kye yakokkola.
18 Abasajja ab'omu kibuga ne bamugamba ku lunaku olw'omusanvu enjuba nga tennagwa nti Ekisinga omnbisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? era ekisinga empologoma amaanyi kiki? N'agamba nti
Singa temwalimya nte yange,
Temwandivvuunudde kikokko kyange.
19 Awo omwoyo gwa Mukama n e gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukulooni, n'abattamu abasajja asatu, n'anyaga omunyago gwabwe, n'abawa emiteeko (gy'engoye) abo abavvuunula ekikokko. Obusungu bwe ne bubuubuuka, n'ayambuka eri ennyumba ya kitaawe.
20 Naye mukazi wa Samusooni ne bamuwa munne, gwe yabanga naye nga ba mukwano.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
Samusooni awangula Abafirisuuti
1 Naye olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, nga bakungula eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we ng'alina omwana gw'embuzi; n'ayogera nti Naayingira eri mukazi wange mu nju. Naye kitaawe n'atamuganya kuyingira.
2 Kitaawe n'agamba ati Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye.
3 Samusooni n'abagamba nti Omulundi guno ndiba aga siriiko musango eri Abafirisuuti, bwe ndibakolera akabi.
4 Samusooni n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'addira ebitawuliro, n'abikwataganya emikira, n'ateeka ekitawuliro wakati w'emikira kinneebirye.
5 Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'abita okugenda mu ŋŋaano eri mu nnimiro ey'Abafirisuuti, n'ayokya ebinywa era n'eŋŋaano eri mu nnimiro, era n'ensuku z'emizeyituuni
6 Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe nmuliro.
7 Samusooni n'abagamba nti Bwe mukola bwe mutyo, sirirema kubawalanako ggwanga, ne ndyoka ndekera awo.
8 N'abattira ddala nnyo nnyini bangi nnyo: n'aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.
9 Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bayanjaala mu Leki.
10 Abasajja ba Yuda ne boogera nti Kiki ekibayambusizza okulwana naffe? Ne boogera nti Twambuse okusiba Samusooni, okumukola nga bwe yatukola ffe.
11 Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola.
12 Ne bamugamba nti Tuserengese okukusiba, tukugabule mu mukono gw'Abafirisuuti. Samusooni n'abagamba nti Mundayirire obutangwako mmwe bennyini.
13 Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulianyisa okuva mu jjinja.
14 Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye.
15 N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'agolola omukoao gwe, n'aluddira, w'alussa abasajja lukumi.
16 Samusooni n’ayogera nti
Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo,
Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi.
17 Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula oluba okuva mu ngalo ze; ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamasuleki:
18 Ennyonta n'emuluma nnyo, n'akaabira Mukama, n’ayogera nti Otuwadde okulokoka kuao okunene n'omukono gw'omuddu wo: ne kaakano ennyonta enenzita, ne ngwa mu mukono gw'abatali bakomole.
19 Naye Katonda n'ayasa ekinnya ekiri mu Leki, amazzi ne gavaamu; awo bwe yamala okunywa, omwoyo gwe ne guniuddamu, n'alamuka: kyerwava lutuumibwa erinnya Enkakkole, oluli mu Leki, okutuusa leero.
20 N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu nnaku z'Abafiiisuuti.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
Samusooni ne Delira
1 Samusooni n'agenda e Gaza, n'alabayo omukazi omwenzi, n'ayingira gy'ali.
2 (Ne babuulira) ab'e Gaza nti Samusooni atuuse wano: Ne bamuzingiza, ne bamuteegera mu mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, nga boogera nti Obudde bukye tulyoke tumutte.
3 Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emifuubeeto gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n’abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni.
4 Awo olwatuuka oluvannyuma n'ayagala omukazi mu kiwonw Soleki, erinnya lye Derira.
5 Abakungu b'Abafirisuuti ne bayambuka gy'ali, ne bamugamba nti Musendeseade olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, era kwe tulisinziira okumusobola, tumusibe tumujeeze: naffe tulikuwa buli muntu ku ffe ebitundu ebya ffeeza lukumi mu kikumi.
6 Derira n'agamba Samusooni nti Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era ekiyinza okukusiba okukujeeza.
7 Samusooni.n'amugamba nti Bwe balinsibya enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala.
8 Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bamuleetera enkolokolo embisi omusanvu ezitakaze, n'amusibya ezo.
9 Era omukazi yalina abateezi abaabeera mu nju ey'omunda: N'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'akutula enkolokolo, ng'omugwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gutuuse ku muliro: Awo amaanyi ge ne gatategeereka:
10 Derira n'agamba Samusooni nti Labs, onduulidde, era onnimbye: kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba.
11 N'amugamba nti Bwe balinsibya obusibya emigwa emiggya egitakozesebwanga ku mirimu, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala.
12 Awo Derira n'addira emigwa emiggya, n'amusibya egyo, n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. Era abateezi baali bali mu nju ey'omunda. N'agikutula ku mikono gye ng'ewuzi.
13 Derira n'agamba Samusooni nti Okutuusa kaakano onduulira era omvniba btilimbi: mbuulira ekiyinza okukusiba. N'amugamba nti Bw'onooluka emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu n'engoye ezirukibwa.
14 N'azisibira ddala n'olubambo n'amugamba nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusootu. N'azukuuka mu tulo twe, n'akwakula olubambo lw'omuti ogulukirwako, n'engoye ezirukibwa.
15 N'amugamba nti Oyinza otya okwogera nti Nkwagala, omutima gwo nga teguli mange? waakanduulira emirundi gino esatu, so tonnambuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.
16 Awo olwatuuka bwe yamutayiriranga buli luaaku n'ebigambo bye n'amwegayiriranga, obulamu bwe ne bwagala okufa ennaku.
17 N'amubuulira yonna (ebyali mu) mutima gwe, n'amugamba nti Akamwano tekayitanga ku mutwe gwange; kubanga ndi Muwoage eri Katonda okuva mu lubuto lwa mange: bwe ndiba nga mmwereddwa, amaanyi gange ne galyoka ganvaako, ne nfuuka nmunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.
18 Derira bwe yalaba ng'amubuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe, n'atuma n'ayita abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti Mwambuke omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna (ebibadde mu) mutima gwe. Awo abakungu b'Abafirisuuti ne balyoka bayambuka gy'ali nga baleeta effeeza mu ngalo zaabwe.
19 N'amwebasa ku maviivi ge; n'ayita omusajja, n'amwa emivumbo egy'oku, mutwe. gwe omusanvu; n'atanula okumujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako.
20 N'ayogera nti Abafirisuuti bakuguddeko, Samusooni. N'azuukuka mu tulo twe n'ayogera nti.Naafuluma ng'obw'edda, ne nneekunkumula. Naye yali tamanyi nga Mukama amulese.
21 Awo Abafirisuuti ne bamukwata, ne baggyamu amaaso ge; ne bamuserengesa e Gaza, ne bamusibya enjegere z'ebikomo: n'aseeranga mu nnyumba ey'ekkomera.
22 Naye enviiri ez'oku mutwe gwe ne zitanula okumera bwe yamala okumwebwa.
Samusooni afiira awamu n'Abafirisuuti
23 Awo abakungu b'Abafirisuuti ne baku00aana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe:
24 Awo abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe: kubanga baayogera nti Katonda waffe agabudde omulabe waffe mu mukoao gwaffe, era omuzikiriza w'ensi y'ewaffe, eyatuttako abangi.
25 Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyali gisanyuse, ne boogera nti Muyite Samusooni atuayumizeeko. Ne bayita Samusooni okumuggya mu nnyumba ey'ekkomera: n'abanyumizaako (ng'ali) mu maaso gaabwe: ne bamuteeka wakati w'empagi:
26 Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti Ndeka okuwammanta empagi eziwanirira enju, nzeesigameko.
27 Era enju yali ejjudde abasajja n’abakazi; era abakungu b'Abafirisuuti baali bali awo bonna; ne waggulu ku nju kwaliko abasajja n'abakazi nga nkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng'abanyumizaako.
28 Awo Samusooni n'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, njijukira, nkwegayirira, ompe amaanyi, nkwegayirira, omulundi guno gwokka, ai Katonda, mpalane eggwanga mangu ago ku Bafirisuuti olw'amaaso gange gombi.
29 Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira enju, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala:
30 Samusooni n'ayogera nti Nfiire wamu n'Abafirisuuti. N'akutama n'amaanyi ge gonna; enju n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaali omwo. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu.
31 Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne baserengeta ne bamutwala, ne bamwambusa, ne bamuziika wakati w’e Zola ne Esutaoli mu kifo eky'okuziikangamu ekya Manowa kitaawe. Era yalamulira Isiraeri emyaka abiri.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
Ekifaananyi Mikka ekyole
1 Awo waaliwo omusajja ow'omu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, erinnya lye Mikka.
2 N'agamba nnyina nti Ebitundu ebya ffeeza lukumi mu- kikumi ebyakuggibwako, ebyakukolimya ekikolimo n'okwogera n'okyogera mu matu gange, laba, ffeeza eri nange; nze nagitwala: Nnyina n'ayogera nti Omwana wange aweebwe omukisa Mukama:
3 N'azza ebitundu biri ebya ffeeza lukumi mu kikumi eri nnyina, nnyina n'ayogera nti Mazima njawula ffeeza eno eri Mukama okuva mu mukono, gwange olw'omwana wange, okukola ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: kale kaakano naagizza eri ggwe.
4 Awo bwe yazza ebintu eri nnyina, nnyina n'atwala ebitundu ebya ffeeza ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'abikoza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne kibeera mu nnyumba ya Mikka.
5 Era omusajja oyo Mikka yalina ennyumba ya bakatonda, n'atunga ekkanzu, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be, oyo n'afuuka kabona we.
6 Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.
7 Era waaliwo omuvubuka eyava mu Besirekemuyuda, ow'ekika kya Yuda, Omuleevi, n'abeera eyo.
8 Omusajja oyo n'ava mu kibuga, mu Besirekemuyuda, okubeera gy'anaayinza okulaba (ekifo): n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi eri ennyumba ya Mikka, ng'atambula:
9 Mikka n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Nze Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era ŋŋenda okubeera gye nnaayinza okulaba (ekifo).
10 Mikka n'amugamba nti Beera nange, obeere gye ndi kitange era kabona, nange naakuwanga ebi[undu ebya ffeeza kkumi buli mwaka, n'ebyokwambala omuteeko gumu, n'ebyokulya. Awo Omuleevi n'ayingira.
11 Omuleevi n'akkiriza okubeera n'omusajja oyo; omulenzi oyo n'abeera gy'ali ng'omu ku batabani be.
12 Mikka: n'ayawula Omuleevi, omulenzi oyo n'afuuka kabona we, n'abeera mu nnyumba ya Mikka.
13 Mikka n'alyoka ayogera nti Kaakano mmanyi nga Mukama anankolanga bulungi, kubanga nnina Omuleevi okuba kabona wange.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
Abadaanibanyaga ekifaananyi Mikka ekyole
1 Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: ne mu nnaku ezo ekika ky'Abadaani beenoonyeza obusika obw'okutuulamu; kubanga okutuusa ku lunaku olwo obusika bwabwe baali aga tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri.
2 Awo abaana ba Ddaani ne batuma ab'omu kika kyabwe abasajja bataano ku muwendo gwabwe gwonna, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, okuketta ensi n'okugikebera; ne babagamba nti Mugende mukebere ensi: ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo.
3 Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bategeera eddoboozi ly'omuvubuka Omuleevi: ne bakyama okugenda eyo, ne bamugamba nti Ani eyakuleeta wano? era okola ki mu kifo kino? era kiki ky'olina wano?
4 N'abagamba nti Bw'atyo ne bw'atyo Mikka bwe yankola, n’ampeera, nange ne nfuuka kabona we.
5 Ne bamugamba nti Tukwegayirira, buuza Katonda atulagule, tumanye oba ng'olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.
6 Kabona n'abagamba nti Mugende mirembe: olugendo lwammwe lwe mugenda luli mu maaso ga Mukama.
7 Awo abasajja abo abataano ne balyoka beegendera, ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu abali omwo, nga batuula mirembe, ng'engeri ey'Abasidoni bw'eri, nga basirise nga balina emirembe; kubanga tewaali muntu mu nsi nannyini buyinza eyandiyinzizza okubaswaza mu kigambo kyonna, era baabali wala Abasidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna.
8 Ne batuuka eri baganda baabwe e Zola ne Esutaoli: baganda baabwe ne babagamba nti Mwogera mutya?
9 Ne boogera nti Mugolokoke twambuke okulwana nabo: kubanga tumaze okulaba ensi, era, laba, nnungi nnyo: nammwe musirise? temugayaala kugenda n'okuyingira okulya ensi.
10 Bwe muligenda, mulisanga abantu abatamanyiridde, era ensi ngazi: kubanga Katonda agibawadde mu mukono gwammwe; ekifo ekitabulwamu kintu ekiri mu nsi.
11 Ne wavaayo okugenda ab'omu kika ky'Abadaani, abaava mu Zola ne mu Esutaoli, abasajja lukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.
12 Ne bambuka, ne basiisira mu Kiriyasuyalimu mu Yuda: kyebava bayita ekifo ekyo Makanedani okutuusa leero: laba, kiri nnyuma w'e Kiri yasuyalimu.
13 Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ne bajja ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.
14 Awo abasajja bataano abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne baddamu ne bagamba baganda baabwe nti Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekyole, n'ekifaananyi ekisaanuuse? kale nno mulowooze ekibagwanira okukola.
15 Ne bakyamira eyo, ne bajja ne batuuka ku nnyumba y'omuvubuka Omuleevi, ye nnyumba ya Mikka, ne bamubuuza bw'ali.
16 N'abasajja bali olukumi abeesiba ebyokulwanyisa ab'oku baana ba Ddaani baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki.
17 N'abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ne bambuka ne bayingira omwo, ne batwala ekifaananyi ekyole, n'ekkanzu, ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse: ne ka'oona yali ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki wamu n'abasajja bali olukaaga abeesiba ebyokulwanyisa.
18 Awo abo bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n'abagamba nti Mukola ki?
19 Ne bamugamba nti Sirika, engalo zo oziteeke ku kamwa ko ogende naffe, obeere gye tuli kitaffe era kabona: kisinga obulungi ggwe okubeera kabona eri ennyumba y'omuntu omu, oba okuba kabona eri ekika n'ennyumba ya mu Isiraeri?
20 Omutima gwa kabona ne gusanyuka, n'atwala ekkanzu ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda wakati mu bantu.
21 Awo ne bakyuka ne beegendera; ne bakulembeza abaana abato n'ensolo n'ebintu.
22 Bwe baali balese ennyuma walako ennyumba ya Mikka, abasajja abaali mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana, ne batuuka ku baana ba Ddaani.
23 Ne bakoowoola abaana ba Ddaani. Ne bakyusa amaaso gaabwe ne bagamba Mikka nti Obadde otya okujja n'ekibiina ekyenkanidde wano?
24 N'ayogera nti Munziyeeko bakatonda bange be nnakola ne kabona ne mwegendera, nange nnina ki nate? kale mumbuuza mutya nti Obadde otya?
25 Abaana ba Ddaani ne bamugamba nti Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja ab'obusungu baleme okubagwako, naawe n'ofa n'ab'omu nnyumba yo.
26 Abaana ba Ddaani ne beetambulira: awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye:
Abadaabi batuuka mu Layisi
27 Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze; ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise abatamanyiridde, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro.
28 So tewaabaawo mulokozi, kubanga kyali wala We Sidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna: era kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Ne bazimba ekibuga ne batuula omwo.
29 Ne batuuma ekibuga erinnya lyakyo Ddaani, ng'erinnya lya Ddaani jjajjaabwe bwe lyali eyazaalirwa Isiraeri: naye erinnya ly'ekibuga lyali Layisi olubereberye.
30 Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole: ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye ne batabani be be baali bakabona eri ekika ky'Abadaani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako.
31 Awo ne beesimbira ekifaananyi kya Mikka ekyole kye yakola, ennaku zonna etinyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
Omuzaana w'Omuleevi
1 Awo olwatuuka mu nnaku ezo, nga tewali kabaka mu Isiraeri, ne wabaawo Omuleevi eyatuula emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi, eyaggya omuzaana mu Besirekemuyuda n'amuwasa.
2 Omuzaana we n'amusobyako ng'ayenda, n'amunobako n'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Besirekemuyuda, n'amalayo ebbanga lya myezi ena.
3 Bba nagolokoka n'amugoberera okumubuulira eby'ekisa, okumukomyawo, ng'alina omuddu we, n'endogoyi bbiri: n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe: awo- kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'asanyuka okusisinkana naye.
4 Mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amutwisa; n'amalayo naye ennaku ssatu: bwe batyo ne balya ne banywa ne basula eyo.
5 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okuna ne bagolokoka enkya mu makya, naye n'agolokoka okugenda: kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we uti Sanyusa omutima gwo n'akamere mulyoke mugende.
6 Awo ne batuula, ne balya ne banywa; bombi wamu: kitaawe w'omuwala n'agamba omusajja nti Nkwegayiridde, kkiriza osulewo; omutima gwo gusanyuke.
7 Omusajja n'agolokoka okugenda; naye mukoddomi we n'amwegayirira, n'asulayo nate.
8 N'agolokoka enkya mu makya ku lunaku olw'okutaano okugenda; kitaawe w'omuwala n'ayogera nti Sanyusa omutima gwo, nkwegayiridde, mubeere wano, okutuusa obudde lwe bunaawungeera; ne balya bombi.
9 Omusajja bwe yagolokoka okugenda, ye n'omuzaana we n'omuddu we, mukoddomi we kitaawe w'omuwala n'amugamba nti Laba, kaakano obudde bunaatera okuwungeera, mbeegayiridde musule: laba obudde bugenda buziba, beera weno, omutima gwo gusanyuke; enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.
10 Naye omusajja n'atakkiriza kusulayo, naye n'agolokoka n'atambula, n'atuuka emitala We Yebusi ye Yerusaalemi: era ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko; era n'omuzaana we ng'ali naye.
11 Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, obudde bwali buyitiridde nnyo; omuddu n'agamba mukama we nti Jjangu, nkwegayiridde, tukyame tuyingire mu kibuga kino eky'Abayebusi, tusule omwo.
12 Mukama we n'amugamba nti Tetuukyame kuyingira mu kibuga kya munnaggwanga, atali wa baana ba Isiraeri; naye tunaasomoka okugenda e Gibea.
13 N'agamba omuddu we nti Jjangu tusemberere ekimu ku bibuga: ebyo; era tunaasula mu Gibea oba mu Laama.
14 Awo ne batambula ne bagenda; obudde ne bubazibirira nga bali kumpi ne Gibea, ekya Benyamini.
15 Ne bakyamira eyo, okuyingira okusula mu Gibea: n'ayingira n'atuula mu luguudo Iw'ekibuga: kubanga tewaali muntu abayingiza mu nnyumba ye okubasuza.
16 Awo, laba, omukadde n'ajja ng'ava. mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi; era omusajja oyo yali we nsi ya Efulayimu ey'ensozi, yali atuula mu Gibea: naye abasajja ab'ekifo baali Babenyamini.
17 N'ayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli mu luguudo lw'ekibuga; omukadde n'ayogera nti Ogenda we? era ova wa?
18 N'amugamba nti Tuva mu Besirekemuyuda nga tugenda emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi; gye nnava ne ŋŋenda e Besireke muyuda: ne kaakano ŋŋenda mu nnyumba ya Mukama; so tewali muntu annyingiza mu nnyumba ye.
19 Naye waliwo essubi era n'ebyokulya eby'endogoyi zaffe; era waliwo emmere yange n'omwenge n'eby’omuzaana wo, n'eby'omuvubuka ali awamu n'abaddu bo: tetuliiko kye twetaaga.
20 Omukadde n'ayogera nti Emirembe gibe gy'oli; naye byonna bye weetaaga bibeere ku nze: kyokka temusula mu luguudo.
21 Awo n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'endogoyi n’aziwa ebyokulya: ne banaaba ebigere byabwe, ne balya ne banywa.
Ekibi kya Gibea
22 Awo bwe baali nga beesanyusa emitima, laba, abasajja ab'omu kibuga, abaana be Beriali, ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, nga bakoona ku luggi; ne boogera ne nannyini nnvumba, omukadde oli, aga bagamba nti Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo tulyoke tumumanye.
23 Omusajja, nannyini nnyumba, n'abafiilumira n'abagamba nti Nedda, baganda bange, mbeegayirira, temukola bubi obwenkanidde wano; kubanga omusajja ono ayingidde mu nnyumba yange, temukola kya busirusiru kino.
24 Laba, muwala wange wuuno, atamanyanga musajja, n'omuzaana we; abo be nnaafulumya kaakano, nammwe mubatoowaze, mubakole aga bwe munaalaba nga kirungi: naye omusajja ono temumukola kya busirusiru kyonna ekiriŋŋanga ekyo:
25 Naye abasajja ne bagaana okumuwulira: awo omusajja n'akwata omuzaana we; n'amufulumya gye bali; ne bamumanya, ne bamwonoona okukeesa obudde: awo emmambya bwe yasala, ne bamuta.
26 Awo omukazi n'ajja obudde nga bukya, n'agwa ku luggi lw'ennyumba ey'omusajja omwali mukama we okutuusa obudde bwe bwakya.
27 Awo mukama we n'agolokoka enkya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba, n'afuluma okwegendera: era, laba; omukazi omuzaana we yali agudde ku luggi lw'ennyumba, engalo ze nga ziri ku mulyango.
28 N'amugamba nti Golokoka tugende; naye nga tewali addamu: n'alyoka amutwalira ku ndogoyi; omusajja n'agolokoka n'agenda mu kifo kye.
29 Awo bwe yatuuka mu nnyumba ye, n'addira akambe, n'akwata omuzaana we, n'amusalamu, ng'amagumba ge bwe gali, ebitundu kkumi na bibiri, n'anmuweereza okubunya ensalo zonna eza Isiraeri:
30 Awo olwatuuka bonna abaalaba ekyo ne boogera nti Ekikolwa ekiriŋŋanga kino tekikolebwanga so tekirabwanga okuva ku lunaku abaana be Isiraeri lwe baayambukirako okuva mu nsi y'e Misiri okutuusa leero: mukirowooze, mukiteese, mwogere:
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
Isiraeri erwanagana ne Benyamini
1 Awo abaana be Isiraeri bonna ne balyoka bafuluma, ekibiina ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba, wamu n'ensi y'e Gireyaadi, eri Mukama e Mizupa.
2 Abakungu b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abatambula n'ebigere abaasowolanga ebitala obusiriivu'buna.
3 (Era abaana ba Benyamini baali bawulidde ng'abaana ba Isiraeri bayambuse e Mizupa.) Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tubuulire, obubi buno bwakolebwa butya?
4 Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n’ayogera nti Natuuka e Gibea, ekya Benyamini, nze n'omuzaana wange, okusulayo.
5 Abasajja ab'e Gibea ne bangolokokerako, ne bazingiza ennyuma enjuyi zonna mwe nnali ekiro; nze baali baagala okunzita, n'omuzaana wange baamukwata, era yafa.
6 Ne ntwala omuzaana wange, ne mmusalaasala ebitundu, ne mmuweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri: kubanga baakola eky'obukaba era eky'obusirusiru mu Isiraeri.
7 Mulabe, mmwe abaana ba Isiraeri, mwenna, muleete amagezi gammwe muteese.
8 Abantu bonna ne bagolokoka ng'omuntu omu nga boogera nu Tewali muntu mu ffe aligenda mu weema ye, so tewali mu ffe alikyama okuyingira mu nnyumba ye.
9 Naye kaakano ekigambo kye tulikola e Gibea kye kino; tulyambuka okulwana nakyo nga tukubye akalulu;
10 era tuliggya abasajja kkumi ku buli kyasa okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, era kikumi ku buli lukumi, era lukumi ku buli kakumi, okusakira abantu emmere, bwe balituuka e Gibea ekya Benyamini balyoke bakole ng'obusirusiru bwonna bwe buli bwe baakolera mu Isiraeri
11 Awo, abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ku kibuga, nga beegaasse ng'omuntu omu.
12 Awo ebika bya Isiraeri ne batuma abantu okubunya ekika kyonna ekya Benyamini nga boogera nti Bubi ki obwo obwakolebwa mu mmwe?
13 Kale kaakano muweeyo abasajja, abaana aba Beriali; abaali mu Gibea; tulyoke tubatte, tuggyemu obubi mu Isiraeri. Naye Benyamini n'agaana okuwulira eddoboozi lya baganda baabwe abaana ba Isiraeri.
14 Awo abaana ba Benyamini ne bava mu bibuga ne bakuŋŋanira e Gibea, okugenda okutabaala abaana ba Isiraeri.
15 Abaana ba Benyamini ne bababala ku iunaku olwo abaava mu bibuga abassajja abaasowolanga ebitala obukumi bubiri mu kakaaga, obutassaako abo abaatuula mu Gibea be baabala abasajja abalonde lusanvu.
16 Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja abalonde aba kkono lusanvu; buli omu yayinza okuvuumuulira amayinja oluviiri, n’atasubwa:
17 Abasajja ba Isiraeri, obutassaako Benyamini, baababala abasajja abaasowolanga ebitala obusiriivu buna: abo bonna nga bazira.
18 Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka, ne bayambuka e Beseri, ne babuuza Katonda abalagule; ne bagamba nti Ani alisooka okutwambukira okulwana: n'abaana ba BeaYamim? Mukama n'ayogera nti Yuda ye alisooka.
19 Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka enkya, ne basiisira ku Gibea.
20 Abasajja ba Isiraeri ne bafuluma okulwana ne Beayamini; abasajja ba Isiraeri ne basimba ennyiriri okulwanira nabo e Gibea.
21 Awo abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne bamegga wansi ne bazikiriza ku lunaku olwo abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri ku Baisiraeri.
22 Awo abantu, abasajja ba Isiraeri, ne beegumya emyoyo, ne basimba ennyiriri nate mu kifo mwe baali bazisimbidde ku lunakn olw'olubereberye:
23 (Era abaana ba Isiraeri ne balinnya ne bakaabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi; ne babuuza Mukama nga boogera nti Naasembera nate okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange? Mukama n'ayogera nti Yambuka okulwana naye.)
24 Awo abaana ba Isiraeri ne basembera okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olw'okubiri.
25 Benyamini n'ava mu Gibea ku lunaku olw'okubiri okulwana nabo, ne bamegga waasi ne bazikiriza nate abasajja kakumi mu kanaana ku: Isiraeri; abo bonna baasowolanga ebitala.
26 Awo abaana ba Isiraeri bonna n'abantu bonna ne baLyoka balinnya ne batuuka e Beseri, ne bakaaba amaziga, ne batuula eyo mu-maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo okutuusa akawungeezi; ne bawaayo ebiweehwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama:
27 Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, (kubanga ssanduuko ey'endagaano ya Katonda yaliyo mu nnaku ezo,
28 ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni yayimiriranga mu maaso gaayo mu nnaku ezo) nga boogera nti Naafuluma nate omulundi ogw'okusatu okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange nantiki nalekera awo? Mukama n'ayogera ati Yambuka; kubanga enkya naamugabula mu mukono gwo.
29 Awo Isiraeri n'assaawo.abateezi okuteega Gibea enjuyi zonna.
30 Awo abaana ba Isiraeri ne bambuka okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olw'okusatu, ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekera Gibea ng'olulala.
31 Abaana ba Benyamini ne bafuluma okulwana n'abantu, ne basendebwasendebwa okuva ku kibuga; ne batanula okukuba n'okutta ku baatu, ng'olulala, mu nguudo, olumu: lwe lwambuka e Beseri, n'olulala e Gibea, ne mu nnimiro, abasajja ba Isiraeri ng'asatu.
32 Abaana ba Benyamini ne boogera nti Bameggeddwa mu maaso gaffe ng'olubereberye. Naye abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo.
33 Abasajja ba Isiraeri bonna ne bagolokoka ne bava mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe mu Baalutamali: n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe, okuva mu Maalegeba.
34 Ne wayita okulwana ne Gibea abasajja abaalondebwa mu Isiraeri yenna, kakumi, ne balwana nnyo: naye baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.
35 Mukama n'akuba Benyamini mu msaso ga Isiraeri: abaana ba Isiraeri ku lunaku olwo ne bazikiriza ku Benyamini abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano mu kikumi: abo bonna baasowolanga ebitala.
36 Awo abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa: kubanga abasajja ba Isiraeri baasegulira Benyamini, kubanga baali beesize abateezi be baali bateezezza e Gibea.
37 Awo abateezi ne banguwa ne bafubutuka ku Gibea; abateezi ne basembera enjuyi zonna, ne batta ekibuga kyonna n'obwogi bw'ekitala.
38 Era akabonero abasajja ba Isiraeri n'abateezi ke baali balagaanye ke kano, bo akunyoosa ekire ekinene eky'omukka okuva mu kibuga.
39 Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka mu lutalo, ne Benyamini n'atanula okukuba n'okutta ku basajja ba Isiraeri abasajja ng'asatu: kubanga baayogera nti Mazima bameggeddwa mu maaso gaffe nga mu lutabaalo olw'olubereberye.
40 Naye ekire bwe kyasooka okunyooka okuva mu kibuga ng'empagi y'omukka, Ababenyamini ne batunula ennyuma, era, laba, ekibuga kyonna nga kinyooka akutuusa mu ggulu.
41 Awo abasajja ba Isiraeri ne bakyuka, abasajja ba Benyamini ne bawuniikirira: kubanga baalaba ng'akabi kabatuuseeko.
42 Awo ne bakuba amabega mu maaso g'abasajja ba Isiraeri okugenda mu kkubo eridda mu ddungu; naye olutalo ne lubagoberera kumpi; nabo abaava mu bibuga ne babazikiriza wakati mu byo.
43 Ne bazingiza Ababenyamini enjuyi zonna, ne babayigganya, ne babalinnyirira mu bisulo byabwe, okutuusa emitala w'e Gibea ku luuyi lw'ebuvanjuba.
44 Ne wagwa ku Benyamini abasajja kakumi mu kanaana; abo bonna basajja bazira.
45 Ne bakyuka ne badduka mu kkubo ly'eddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni: ne bafuuza abaali badduse mu nguudo abasajja enkumi ttaano; ne babayigganya okutuuka e Gidomu, ne babattako abasajja enkumi bbiri.
46 Bwe batyo bonna abaagwa ku lunaku olwo ku Benyamini baali abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano abaasowolanga ebitala; abo bonna basajja bazira:
47 Naye abasajja lukaaga ne bakyuka ne baddukira mu kkubo ly'eddungu ne batuuka ku jjinja lya Limoni, ne babeera mu jjinja lya Limoni okumalayo emyezi ena.
48 Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka nate okulwana n'abaana ba Benyamini, ne babatta n'obwogi bw'ekitala, ekibuga kyonna era n'ente ne byonna bye baasanga: era n'ebibuga byonna bye baasanga ne babyokya.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
Ababenyamini baweebwa abakazi
1 Era abasajja ba Isiraeri baali balayidde mu Mizupa nga boogera nti Tewabanga ku ffe alimuwa Benyamini omuwala we okumuwasa.
2 Abantu ne bajja e Beseri, ne batuula eyo okutuusa akawungeezi mu maaso ga Katonda, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba nayo amaziga.
3 Ne boogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, kiki ekireese kino mu Isiraeri, leero ekika kimu okubulamu Isiraeri?
4 Awo olwatuuka enkya abantu ne bagolokoka mu makya, ne bazimba eyo ekyoto, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'eaiirembe.
5 Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Aluwa mu bika byonna ebya Isiraeri atayambuka eri ekkuŋŋaaniro eri Mukama? Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo atayambuka eri Mukama e Mizupa nga boogera nti Talirema kuttibwa:
6 Abaana ba Isiraeri ne bejjusa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri.
7 Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?
8 Ne boogera nti Kika ki ku bika bya Isiraeri ekitayambuka eri Mukama e Mizupa? Era, laba; mu Yabesugireyaadi temwava muntu okugenda mu lusiisira eri ekkuŋŋaaniro.
9 Kubanga abantu bwe baabalibwa, laba; nga tewaliiwo ku abo abaatuula mu Yabesugireyaadi.
10 Ekibiina ne kitumayo abasajja kakumi mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nga boogera nti Mugende mutte n'obwogi, bw'ekitala abatuula mu Yabesugireyaadi, wamu n'abakazi n'abaana abato.
11 Na kino kye kigambo kye munaakola; munaazikiririza ddala buli musajja na buli mukazi eyali asuze n'omusajja.
12 Ne balaba mu abo abatuula mu Yabesugireyaadi abawala abato bina; abatamanyanga musajja okusula naye: ne babaleeta mu lusiisira e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani.
13 Awo ekibiina kyonna ne batuma ne boogera n'abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni, ne babalangira emirembe.
14 Awo Benyamini n'akomawo mu biro ebyo; ne babawa abakazi be baali bawonyezza okubatta ku bakazi ab'e Yabesugireyaadi: era naye ne batabamala bwe batyo.
15 Abantu ne bejjusa olwa Benyamini, kubanga Mukama yali awagudde ekituli mu bika bya Isiraeri:
16 Awo abakadde b'ekibiina ne boogera nti Tulirabira tutya abakazi, abo abasigaddewo; kubanga abakazi bazikirizibbwa mu Benyamini?
17 Ne boogera nti Kigwana okubaawo obusika eri abo abaawona ku Benyamini, ekika kireme okusangulibwa mu Isiraeri.
18 Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa: kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.
19 Ne boogera nti Laba, waliwo embaga ya Mukama buli mwaka- mu Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri olwambuka e Sekemu; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Lebona.
20 Awo ne balagira abaana ba Benyamini nga boogera nti Mugende muteegere mu nsuku z'emizabbibu;
21 mutunule, era, laba, abawala ab'e Siiro bwe balifuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, ne mulyoka muva mu nsuku, mukwate buli muntu mukazi we ku bawala ab'e Siiro, mugende mu nsi ya Benyamini.
22 Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne rubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango.
23 Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku abo abaazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali; abo be baanyaga: ne baddayo mu busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.
24 Awo abaana ba Isiraeri ne; bavaayo mu biro ebyo, buli muntu eri ekika kye n'eri ennyumba ye, ne bavaayo ne bagenda buli muntu mu busika bwe.
25 Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.
   

Next
Back