Ekyamateeka  

Essuula 1

1 Bino bye bigambo Musa bye yabuulira Isiraeri yenna emitala wa Yoludaani mu ddungu, mu Alaba awoolekera Sufu, wakati We Palani ne Toferi ne Labani ne Kazerosi ne Dizakabu.
2 Lwe lugendo olw'ennaku ekkumi n'olumu okuva e Kolebu okuyita awali olusozi Seyiri okutuuka e Kadesubanea.
3 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi ana, mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, ku lunaku olw'omwezi ogw'olubereberye, Musa n'ayogera a'abaana ba Isiraeri, nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira okubabuulira;
4 bwe yamala okutta Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka We Basani, eyatuulanga mu Asutaloosi, mu Ederei:
5 emitala wa Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatanulira okulangira amateeka gano,
6 ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe yayogerera naffe ku Kolebu, ng'ayogera nti Mwaludde okutuula ku lusozi luno:
7 mukyuke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ey'olusenyi, ne mu Bukiika obwa ne ddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y’Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati.
8 Laba, ensi ngitadde mu maaso gammwe: muyingire, mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, okubawa bo n'ezzadde lyabwe eririddawo.
9 Nange nayogera nammwe mu biro ebyo, nga ŋŋamba nti Nze soyinza kubasotula nzekka:
10 Mukama Katonda wammwe abongedde, era, laba, leero muli ng’emmunyeenye ez’omu ggullu okuba obungi
11 Mukama, Katonda wa bajjajja bammwe, abongere emirundi lukumi okusinga nga bwe muli, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza!
12 Nze nnyinza ntya nzekka okusitula okutegana kwammwe n'omugugu gwammwe n'okuyomba kwammwe?
13 Mwetwalire abasajja ab'amagezi era abategeevu era ab'amaanyi, ng'ebika byammwe bwe biri, nange ndibafuula abakulu bammwe.
14 Nammwe ne muddamu ne mwogera nti Ekigambo ky'oyogedde luruagi ffe okukikola.
15 Kale ne ntwala abakulu b'ebika byammwe, abasajja ab'amagezi, era ab'amaanyi, ne mbafuula abakulu bammwe, abaami b'enkumi, era abaami b'ebikumi, era abaami b'ataano, era abaami b'amakumi, era abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.
16 Era nakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye.
17 Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga.
18 Era nabalagira mu biro ebyo byonna eby'abagwanira okukola.
19 Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba mu kkubo erouota mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.
20 Ne mbagamba nti Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwa.
21 Laba, Mukama Katonda wo attadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so takankana.
22 Ne musemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanatukulembera, batume abantu abaatukulembera, batukulemberere ensi, bakomewo baubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n’ebibuga bwe biri mwe tulituuka.
23 Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo: ne nnonda ku mmwe abantu kkumi na babiri, buli kika omuntu omu:
24 ne bakyuka ne balinnya ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu kya Esukoli, ne bakiketta.
25 Ne batwala ku bibala by'ensi mu ngalo zaabwe, ne babireeta gye tuli, ne batubuulira ne boogera nti Ensi eyo nnungi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
26 Naye mmwe ne mutakkiriza kwambuka, naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe:
27 ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, ne mwogera nti Kubanga Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli, okutuzikiriza.
28 Twambuka wa? baganda baffe batusaanuusizza emitima gyaffe, nga boogera nti Abantu banene bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu; era twalabayo abaana ba Abanaki.
29 Awo ne ndyoka mbagamba nti Temubatya, so temubatekemukira.
30 Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga byonna bwe byali bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe;
31 ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwaruuka mu kifo kino.
32 Naye mu kigambo ekyo temwakkiriza Mukama Katonda wammwe,
33 eyabakulemberanga mu kkubo, okubanoonyezanga ekifo eky'okukubiramu eweema zammwe, ng'ayima mu muliro ekiro, okubalaganga ekkubo lye munaayitamu, ne mu kire emisana.
34 Awo Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti
35 Mazima tewalibawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliraba ensi ennungi, gye nnalayirira okuwa bajjajja bammwe,
36 wabula Kalebu omwana wa Yefune, oyo y'aligiraba; era oyo ndimuwa ensi gye yalinnyako n'abaana be: kubanga yagoberera Mukama mu byonna:
37 Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe, ng'ayogera nti Naawe toliyingira omwo:
38 Yoswa omwana wa Nuni, ayimirira mu maaso go, oyo aliyingira omwo: mugumye omwoyo; kubanga ye aligisisa Isiraeri.
39 Era n'abaana bammwe abato, be mwayogera nga bagenda okuba omwandu, n'abaana bammwe, abatamanyi leero birungi newakubadde ebibi, bo baliyingira omwo, era ndigibawa bo, era baligirya.
40 Naye mmwe mukyuke mutambule mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu.
41 Ne mulyoka muddamu ne munnamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye ebyokulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi.
42 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Bagambe nti Temulinnya so temulwana; kubanga nze siri mu mmwe; muleme okugobebwa mu maaso g'abalabe bammwe:
43 Awo ne njogera nammwe, ne mutawulira; naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mukwatibwa amalala, ne mulinnya ku lusozi.
44 Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba ne babagoba, ng'enjuki bwe zikola, ne babakubirakubira ku Seyiri okutuusa ku Koluma.
45 Ne muddayo ne mukaaba amaziga mu maaso ga Mukama; naye Mukama n'atawulira ddoboozi lyammwe, so n'atabategera kutu.
46 Awo ne mutuulira mu Kadesi ennaku nnyingi, ng'ennaku bwe ziri ze mwamalayo.
   


Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba: ne twetooloolera olusozi Seyiri ennaku nnYingi.
2 Mukama n'ayogera nange nti
3 Mwaludde okwetooloola olusozi luno: mukyuke mugende ebukika obwa kkono.
4 Naawe lagira abantu ng'oyogera nti Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya: kale mwekuume nnyo mwekka:
5 temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa ku nsi yaabwe newakubadde awalinayibwa n'ekigere: kubanga nawa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka.
6 Munaagulanga emmere na ffeeza gye bali mulyenga; era n'amazzi munaagagulanga na ffeeza gye bali munywenga.
7 Kubanga Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo: yamanya okutambula kwo mu ddungu lino eddene: emyaka gino amakumi ana Mukama Katonda wo ng'abeera wamu naawe; tewabangawo kye wabulwa:
8 Awo ne tuyita ku mabbali baganda baffe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, mu kkubo lya Alaba okuva mu Erasi rie Ezyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu lya Mowaabu.
9 Mukama n'aŋŋamba nti Tosunguwaza Mowaabu so tolwana nabo mu lutalo: kubanga sijja kukuwa ku nsi ye okuba obutaka; kubanga nawa abaana ba Lutti Ali okuba obutaka.
10 (Abemi baatuulanga omwo olubereberye, eggwanga ekkulu, era eddene era eggwanvu aga Abanaki bwe bali;
11 era nabo baayitibwa Balefa, nga Abanaki bwe bali; naye Abamo waabu baabayita Bemi.
12 Era n'Abakooli baatuulaaga ku Seyiri olubereberye, naye abaana ba Esawu ne babasikira; ne babazikiriza mu maaso gaabwe, ne batuula mu kifo kyabwe; nga Isiraeri bwe yakola ensi ey'obutaka bwe Mukama gye yabawa.)
13 Kale mugolokoke musomoke akagga Zeredi. Ne tusomoka akagga Zeredi.
14 Era ennaku ze twamala kasookedde tuva e Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi zaali emyaka amakumi asatu mu munaana; okuruusa emirembe gyonna egy'abalwanyi lwe baggweerawo wakati mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.
15 Era omukono gwa Mukama gwalwananga nabo, okubazikiriza wakati mu lusiisira, okutuusa lwe baggwaawo.
16 Awo olwatuuka, abalwanyi boana bwe baamala okuggwaawo era nga bafudde mu bantu,
17 Mukama n'alyoka aŋŋamba nti
18 Leero onooyita mu Ali, ye nsalo ya Mowaabu:
19 era bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasunguwaza so toyomba aabo: kubanga sijja kukuwa ku nsi y'abaana ba Amoni okuba obutaka: kubanga nagiwa abaana ba Lutti okuba obutaka.
20 (Era n'eyo eyitibwa nsi ya Balefa: Balefa baagituulangamu edda; naye Abamoni baabayita Bazamuzumu;
21 eggwanga ekkulu era eddene era eggwanvu. nga Abaaaki bwe bali; naye Mukama yabazikiriza mu maaso gaabwe; ne babasikira ne batuula mu kifo kyabwe:
22 nga bwe yakola abaana ba Esawu, abaatuula ku Seyiri, bwe yazikiriza Abakooli mu maaso gaabwe; ne babasikira, ne batuula, mu kifo kyabwe okutuusa leero
23 n'Abavi abaatuulanga mu byalo okutuuka ku Gaza, Abakafutoli abaava mu Kafutoli ne babazikiriza ne batuula mu kifo kyabwe.)
24 Mugolokoke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni: laba, ngabudde mu mukono gwo Sikoni Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ye: tanula okugirya, olwane naye mu lutalo.
25 Leero naasooka okuteeka entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna, abaliwulira ettutumu lyo ne bakankana ne balumwa ku bubwo.
26 Ne ntuma ababaka okuva mu ddungu ery'e Kedemosi eri Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'ebigambo eby'emirembe, nga njogera nti
27 Mpite mu nsi yo: naatambuliranga mu luguudo, sijja kukyami.ra ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
28 Emmere ononguzanga na ffeeza ndyenga; n’amazzi onoonguzanga na ffeeza nywenga: kyokka mpitemu n'ebigere byange;
29 ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe bankola; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani okugenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
30 Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita ku mabbali ge: kubanga Mukama Katonda wo yakakaayaza omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima gwe alyoke amugabule mu mukono gwo nga leero.
31 Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntanudde okugabula Sikoni n'ensi ye mu maaso go: tanula okulya ensi ye olyoke ogisikire.
32 Sikoni n'alyoka asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna okulwauira e Yakazi.
33 Mukama Katonda waffe n'amugabula mu maaso gaffe; ne tumutta ye n'abaana be n'abantu be bonna.
34 Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; tetwasigazaawo n'omu:
35 ente zokka zetwetwalira okuba omunyago, wamu n'ebyo bye twaggya mu bibuga bye twanyaga.
36 Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, era okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi, tewali kibuga ekyatulema olw'obugulumivu bwakyo: Mukama Katonda waffe yagabula byonna mu maaso gaffe:
37 kyokka tewasemberera nsi y'abaana ba Amoni: oluuyi lwonna olw'omugga Yaboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne yonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka We Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okulwanira Ederei.
2 Mukama n'aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye'n'abantu be bonna n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni.
3 Awo Mukama Katonda waffe n'agabula mu mukono gwaffe ne Ogi kabaka We Basani n'abantu be bonna: ne tumutta okutuusa Iwe watamusigalirawo n'omu:
4 Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5 Ebyo byonna byali bibuga ebyazimbibwako bbugwe omuwanvu n'enzigi n'ebisiba; obutassaako bibuga ebitaalina bbugwe bingi nnyo:
6 Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka We Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato.
7 Naye ente zonna n'ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago.
8 Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni;
9 (Kerumooni Abasidoni bamuyita Siriyooni, n'Abamoli bamuyita Seniri;)
10 ebibuga byonna eby'omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani:
11 (Kubanga Ogi kabaka w'e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky'abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n'obugazi bwakyo emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.)
12 N'ensi eyo ne tugitya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byayo n'abiwa Abalewubeeni n'Abagaadi:
13 n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa.
14 n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa.
15 Gireyaadi n'empaayo Makiri,
16 N'Abalewubeeni n'abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni;
17 era ne Alaba ne Ybludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba.
18 Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte ebyokuiwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira.
19 Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa;
20 okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.
21 Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano bombi: bw'atyo Mukama bw'alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda.
22 Temubatyanga: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira.
23 Ne nneegayirira Mukama mu biro ebyo nga ajogera nti
24 Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?
25 Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.
26 Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira: Mukama n'atlrlamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo.
27 Linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba, olabe n'smaaso go: kubanga tolisomoka Yoludaani guno.
28 Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba.
29 Awo ne tutuula mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Ne kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n'emisango, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mulye ensi Mukama Katonda wa bajjajja bammwe gy'abawa.
2 Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira.
3 Amaaso gammwe galabye Mukama kye yakola olwa Baalipyoli: kubanga abantu bonna abaagoberera Baalipyoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza wakati mu mmwe.
4 Naye mmwe abeegatta ne Mukama Katonda wammwe mukyali balamu buli muntu ku mmwe leero.
5 Laba, mbayigirizza amateeka n'emisango, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mukolenga bwe mutyo wakati mu nsi gye muyingi ramu okugirya.
6 Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be baatu ab'amagezi era abategeera.
7 Kubanga, ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw'ali bwe tumukoowoolanga?
8 Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'emisango egy'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?
9 Kyokka weegendereze weekuume emmeeme yo ag'onyiikira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; naye mubitegeezenga abaana bo n'abaana b'abaana bo;
10 olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkunnaanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe.
11 Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olusozi ne lwaka n'omuliro okutuusa ku mutima gw'eggulu, n'ekizikiza, n'ekire, n'ekizikiza ekikutte.
12 Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro: mwawulira eddoboozi ly'ebigambo, naye ne mutalaba kifaananyi kyonna; ddoboozi lyokka.
13 N'ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n'agawandiika ku bipande by'amayinja bibiri.
14 Mukama n'andagira mu biro ebyo okubayigiriza amateeka n'emisango, mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya.
15 Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng'ayima wakati mu muliro:
16 mulemenga okweyonoona ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga lufaanana ekintu kyonna, ekifaananyi kye kisajja oba eky'ekikazi,
17 ekifaananyi ky'ensolo yonna eri ku nsi, ekifaananyi ky'ennyonyi yonna erina ebiwaawaatiro ebuuka mu bbanga,
18 ekifaananyi kye kintu kyonna ekyewalula ku ttaka, ekifaaaanyi ky'ekyennyanja kyonna ekiri mu mazzi wansi w'ettaka:
19 era olemenga okuyimusa amaaso go mu ggulu, n'olaba enjuba n'omwezi n'emmunyeenye, lye ggye lyonna ery'omu ggulu, n'osendebwasendebwa n'obisinza, n'obiweereza, Mukama Katonda wo bye yagabira amawanga gonna agali wansi w'eggulu lyonna:
20 Naye Mukama yabatwala n'abaggya mu kikoomi eky'ekyuma, mu Misiri, okuba gy'ali abantu ab'envuma, nga leero.
21 Era nate Mukama yansunguwalira nze ku lwammwe, n'alayira nze obutasomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka:
22 naye kiŋŋnira okufiira mu nsi muno, tekiŋŋwanira kusomoka Yoludaani: naye mmwe mulisomoka: ne mulya ensi eyo ennungi.
23 Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.
24 Kubanga Mukama Katonda wo gwe muliro ogwokya, Katonda ow'obuggya.
25 Bw'onoozaalanga abaana n'abaana b'abaana, era nga mumaze ebiro bingi mu nsi, era nga mumaze okweyonoona, ne mwekolera ekifaananyi ekyolenga kirina engeri y'ekintu kyonna, ne mukola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, okumusunguwaza:
26 mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa eri mmwe leero, nga mulizikiririra ddala mangu ku nsi gye musomokera Yoludaani okugendamu okugirya; temuligimalako nnaku nnyingi, naye mulizikiririra ddala.
27 Era Mukama alibasaasaanya mu mawanga, era mulisigalawo batono mu bantu,' Mukama gy'alibatwala ewala.
28 Era muliweerereza eyo bakatonda, emirimu gy'emikono gy'abantu, emiti n'amayinja, ebitalaba newakubadde okuwulira newakubadde okulya newakubadde okuwunyiriza.
29 Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw'onoomunoonyanga n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna.
30 Bw'onooba ng'olabye ennaku; era ebyo byonna nga bikujjidde; mu nnaku ez'enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye;
31 kubanga Mukama Katonda wo Katonda wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira.
32 Kubanga kale buuza ennaku ez'edda ezaakusooka, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda abantu ku nsi, era okuva ku nkomerero y'eggulu okutuuka ku nkomerero yaalyo, oba nga waabangawo ekifaanana ng'ekigambo kino ekikulu; oba kyawulirwanga ekiri bwe kityo.
33 Waabangawo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera nga liva wakati mu muliro, nga ggwe bwe wawulira, ne baba balamu?
34 Oba Katonda yali agezezzaako okugenda okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga linnaalyo, n'okukema n'obubonero n'eby'amagero n'entalo n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe?
35 Ggwe walagibwa bw'otyo olyoke omanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala wabula ye.
36 Yakuwuliza eddoboozi lye ng'ayima mu ggulu alyoke akuyigirize: ne ku nsi yakulabya omulimu gwe omunene; n'owulira ebigambo bye nga biva wakati mu muliro.
37 Era kubanga yayagala bajjajja bo, kyeyava alonda ezzadde lyabwe eriddawo, n'akuggya mu Misiri ye ng'abeera naawe olw'obuyinza bwe obungi;
38 okugoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n'amaanyi, okukuyingiza ggwe, okukuwa ensi yaabwe okuba obutaka, nga leero.
39 Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi: tewali mulala.
40 Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era omale ennaku anyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa, emirembe gyonna.
41 Awo Musa n'alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;
42 omussi addukirenga omwo, anattanga munne ng'ataniddwa; so nga tamukyawanga; addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo abeerenga omulamu;
43 Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Ababalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase.
44 Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g'abaana ba Isiraeri:
45 buno bwe bujulirwa n'amateeka n'emisango Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri;
46 emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baava mu Misiri:
47 ne balya ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka We Basani, bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabanga emitals wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;
48 okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kye Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni (oyo Ye Kerumooni),
49 ne Alaba yonna emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuusa ku nnyanja ya Alaba, awali entunaumba za Pisuga.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n'emisango bye njogera mu matu gammwe leero, mubiyige, mubikwatenga okubikola.
2 Mukama Katonda waffe yalagaanira endagaaao aaffe ku Kolebu.
3 Mukama teyalagaana ndagaano eyo ne bajjajja baffe, naye naffe ffe, abali wano fenna nga balamu leero.
4 Mukama Yayogera nammwe nga mulabagana n'smaaso ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro,
5 (nayimirira wakati wa Mukama na mmwe mu biro ebyo, okubalaga ekigambo kya Mukama: kubaaga mwali mutidde olw'omuliro ne mutalinnya ku lusozi;) ng'ayogera nti
6 Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nayumba y'obuddu.
7 Tobanga na bakatonda balala we ndi.
8 Teweekoleranga kifaananyi kyole, ekifaananyi ky'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka:
9 tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baaaa obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankya wa;
10 era addiramu abantu nkumi na nkumi ku abo abanjagala, abeekuuma amateeka gange.
11 Tolayiriraaga bwereere 1innYa lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talimutowooza nga taliiko musaago omuntu alay^iira obwereere erinnya lye.
12 Okwatanga olunaku olwa asabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira
13 Ennaku omukaaga okolaaga n'omala emi,rimu gyo gyonna:
14 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo; newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga wo ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga: era nga naawe.
15 Era onojjuluranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa: Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa ssabbiiti.
16 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi ku nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
17 Tottanga.
18 So toyendanga:
19 So tobbanga.
20 So towaayirizanga muntu munno:
21 So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaairanga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno.
22 Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene: n'atayoagerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'agampa:
23 Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera, abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe;
24 ne mwogera nti Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obuknlu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro: wakati: tulabye leero nga Katonda ayogera n'omuntu n'aba mulamu:
25 Kale kaakano twandifiiridde ki? kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza: bwe tunaawulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tunaafa.
26 Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu?
27 Ggwe sembera ownfire byonna Mukama Katonda waffe by'anaayogera: olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola.
28 Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe bwe mwayogera nange; Mukama n'aŋŋamba nti Mpulidde eddoboozi ly'ebigambo by'abantu bano, bye bakubuulidde: boogedde bulungi byonna bye bagambye.
29 Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n'okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n'abaana baabwe emirembe gyonna
30 Genda obagambe nti Muddeeyo mu weema zammwe.
31 Naye ggwe, yimirira wano we ndi; nange n'akubuulira ekiragiro kyonna n'amateeka n'emisango by'olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okugirya.
32 Kale munaakwatanga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira: temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
33 Munaatambuliranga mu kkubo lyonna Mukama Katonda wammwe lye yabalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era mumale ennaku nnyingi mu nsi gye mulirya.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Kale kino kye kiragiro, amateeka n'emisango, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi, gye musomokera okugendamu okugirya:
2 otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge'gonna n'etiiragiro bye; bye nkulagira ggwe n'omwaaa wo n'omuzzukulu wo, ennaku zonna ez'obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi.
3 Kale wulisa, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
4 Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:
5 era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, nemmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.
6 Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo:
7 era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga:
8 Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby'oku kyenyi wakati w'amaaso go.
9 Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo, ne ku nzigi zo.
10 Awo olulituuka Mukaraa Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,
11 n'ennyumba ezijjula ebirungi byonna, z'otajjuza, n'ebidiba ebyasimibwa, by'otaasima, ensuku ez'emizabibu n'emizeyituuni gy'otaasimba, n'olya n'okkuta;
12 n'olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama: eyakuggya mu nsi y'e Misiri; mu nnyumba y'obuddu.
13 Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.
14 Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde;
15 kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow'obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza okukuggya ku maaso g'ensi.
16 Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa.
17 Munaaayiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza; n'amateeka ge, ge yakulagira:
18 Era onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekituukirivu era ekirungi: olyoke olabenga ebirungi, era oyingire olye ensi ennungi Mukaana gye yalayirira bajjajja bo,
19 okugobamu abalabe bo bonna mu maaso go, nga Mukama bwe yayogera.
20 Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n'amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira; amakulu gaabyo ki?
21 n'olyoka ogamba omwana wo, nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi:
22 era Mukama n’alaga obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe:
23 n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajja baffe.
24 Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero.
25 Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe aga bwe yatulagira.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okulya, n'asimbula mu maaso go amawanga mangi, Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani; n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, a.mawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaaayi;
2 era Mukama Katonda wo bw'alibagabula mu maaso go, naawe n'obatta; n'olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tabalaganga kisa:
3 so tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo.
4 Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa. Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu
5 Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, mu naabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.
6 Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda. wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.
7 Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna:
8 naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n'engalo ez'amaanyi, n'abanunula mu tmyumba y'obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri.
9 Kale manya nga Mukama.Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi;
10 asasula abo abamukyawa ng'alabagana n'amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng'alabagana n'a maaso.
11 Kale oneekuumanga ekiragiro ekyo, n'amateeka, n'emisango, bye nkulagira leero, okubikolanga.
12 Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino; ne mugikwata, ne mugikola; Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n'okusaasira bye yalayirira bajjajja bo:
13 era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa . ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, ennaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.
14 Onoobanga n'omukisa okusinga aimawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakuba dde mu bisibo byo.
15 Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez'e Misiri, z'omanyi; nape anaazissa,nga ku abo bonna abakukyawa.
16 Era onoozikirizanga amawanga gonna Mukama Katonda wo g'anaakugabulanga; amaaso go tegaabasaasirenga: so toweerezanga bakatonda baabwe; kubanga ekyo kinaabanga kyambik gy'oli.
17 Bw'onooyogeranga m mutima gwo nti Amawanga gan gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga?
18 tobatyanga; onojjukiriranga ddala Mukama Katond wo bwe yakola Falaawo, ne Misiri yonna;
19 okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero, n’engalo ez'a maanyi, n'omukono ogwagololwa Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya.
20 Era Mukama Katonda wo anaatumanga mu bo ennumba okuruusa abo abalisigalawo ne beekweka lwe balizikirira mu maaso ge.
21 Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow'entiisa.
22 Era Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu; toliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera okukuyinga.
23 Naye Mukama Katonda wo anaabagabulanga mu maaso go; era anaabeeraliikirizanga okweraliikirira okungi, okutuusa lwe balizikirira.
24 Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'egguIu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza.
25 Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omntliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo:
26 so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kiatu ekyakolimirwa.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Ekiragiro kyonna kye nkulagira leeroragimunaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.
2 Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo Iwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumaaya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.
3 N'akutoowaza n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, aaye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.
4 Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbaaga, emyaka gino amakumi ana.
5 Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akaagavvula omwana we, bw'aryo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe.
6 Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.
7 Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi;
8 ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga;
9 ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi, zaayo oyinza okusima ebikomo.
10 Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa.
11 Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteokuumanga biragiro bye n'emisango gye n'amateeka ge bye nkulagira leero:
12 bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba enayumba ennungi n'okutuula omwo;
13 era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by'olina nga byaze;
14 kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katottda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nayumba y'obuddu;
15 eyakuyisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota egy'omuliro n’enjaba ez'obusagwa, n'ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale;
16 eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo:
17 era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno.
18 Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero.
19 Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.
20 Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyiagira okulya amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mn ggulu,
2 abantu abanene abawanvu, abaana b'Anaki, b'omanyi, era be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g'abaana ba Anaki?
3 Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obaziluriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba.
4 Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nu Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyiagiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go.
5 Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga, ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
6 Kale manya nga Mukama Katonda wo takuwa nsi eno nnuagi okugirya lwa butuukirivu bwo; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakaayavu.
7 Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama.
8 Era ne ku Kolebu mwasunguwaza Mukama, Mukama n'abanyiigira okubazikiriza.
9 Bwe nnali aga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga. mazzi.
10 Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okuku nnaanirako.
11 Awo olwatuuka ennaku amakumi ana bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.
12 Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengere mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse.
13 Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu:
14 ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe wansi w'eggulu: era ndifuula ggwe eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.
15 Awo ne nkyuka ne ava ku lusozi, era olusozi nga lwaka omuliro: n’ebipande eby'endagaano byombi aga biri mu mikono gyange gyombi.
16 Ne atunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; mwali mumaze okwekolera enayana ensaanuuse: mwali mumaze okuky ama amangu okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.
17 Ne nkwata ebipande byombi, ne mbisuula mu mikono gyange gyombi, ne mbi menya mu maaso gammwe.
18 Ne avuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona.kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza.
19 Kubanga natya obusungu n'ekiruyi, Mukama bwe yali abasunguwalidde okubazikiriza. Naye Mukama n’ampulira n'omulundi guli.
20 Mukama n’asunguwalira nnyo Alooni okumuzikiriza: era ne nsabira ne Alooni mu biro ebyo.
21 Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengetn’ okuva ku lusozi.
22 Era e Tabera, n’e Masa, n'e Kiberosukataava mwasunguwalizaayo Mukama:
23 Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.
24 Mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nnabamanya.
25 Awo ne nvuunamira mu maaso ga Mukama ennaku amakuau ana emisana n’ekiro ze nnavuunamirira; kubanga Mukama yali ayogedde ng'agenda okubazikiriza:
26 Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Multama Katonda, tozikiriza bantu be na busika bwo, be wanuaula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi.
27 Jjukira abaddu be, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe:
28 ensi gye wattiggyamu ereme okwogeta nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta.
29 Naye be bantu be, era bwe busika bwo, be waggyamu n'obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogwagololwa.
   

Next
Back