Ekyamateeka  

Essuula 10
1 Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti Weetemere ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, weekolere essanduuko ey'omuti.
2 Era nnaawandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko.
3 Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne ntema ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange.
4 N'awandiika ku bipande, ng'okuwandiika okw'olubereberye bwe kwali, amateeka ekkumi, Mukama ge yababuulira ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako Mukama n'abimpa.
5 Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne ateeka ebipande mu ssanduuko, gye nnali nkoze; era biri omwo, nga Mukama bwe yandagira.
6 (Abaana ba. Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera: Alooni n'afiira eye, era eye gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'aweerezanga mu bwakabona mu kifo kye.
7 Ne bavaayo ne batambula okuruuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey'emigga egy'amazzi.
8 Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okwebazanga erinnya lye, ne leero.
9 Leevi kyava alema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda be; Mukama bwe busika bwe, nga Mukama Katonda we bwe yamu gamba.)
10 Ne mmala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogw'olubereberye: Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo; Mukama nga tagenda kukuzikiriza.
11 Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka, otambule ku lugendo lwo ng'okulembera abaatu; era baliyingira balirya ensi gye nnalayirira bajjajja baabwe okubawa:
12 Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katoada we akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda we, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda we n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna,
13 okwekuumanga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge, bwe nkulagira leero olw'obulungi bwo?
14 Laba, Mukama Katonda we ye nnannyini ggulu, n'eggulu erya waggulu ensi era n'ebigirimu byonna.
15 Mukama yasanyukira busanyukizi bajjajja be okubaagala, n'alonda ezzadde lyabwe eryaddawo, ye mmwe okusinga amawanga gonna, nga leero.
16 Kale mukomole ekikuta ky'omutima gwammwe so, temubanga nate ba nsingo nkakanyavu
17 Kubanga kiukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda era Mukama w'abaami, Katonda omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, atatya maaso ga bantu, so talya nguzi.
18 Asalira omusango mulekwa ne nnamwandu, era ayagala muanaggwanga, ng'amuwa ebyokulya n'ebyo kwambala.
19 Kale mwagalenga munnaggwanga: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y'e Misiri.
20 Onootyanga Mukama Katonda we; eye gw'onooweerezanga; era eye gw'oneegattanga aaye, n'erinnya lye ly'onoolayiranga.
21 Oyo lye ttendo lye, era ye Katoada we, eyakukolera ebyo ebikulu era eby'entiisa, amaaso go bye gaalaba.
22 Bajjajja be baaserengeta mu Misiri nga bali abantu nsanvu; ne kaakano Mukama Katonda we akufudde ng'emmuyeenye ez'omu ggulu olw'obungi.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]

1 Kale onooyagalanga Mukama Katonda we, ne weekuuma bye yakuutira n'amateeka ge n'emisango gye n'ebiragiro bye ennaku zonna.
2 Era mumanye leero: kubanga soogera aa baana bammwe abatannamanya era abatannalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, obukulu bwe, engalo ze ez'amaanyi, n'omukona gwe ogwagololwa,
3 n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri Falaawo kabaka w’e Msirin'ensi ye yonna;
4 ne kye yakolera eggye ery'e Misiri; embalaasi zaabwe n'amagaali gaabwe; bwe yabakulukusizaako amazzi ag'Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babagoberera, era Mukama bwe yabazikiriza okutuusa leero
5 era bye yabakolera mu ddungu okuruusa lwe mwajja mu kifo kino;
6 era kye yakola Dasani ne Abiramu, abaana ba Eriyaabu, omwana wa Lewubeeni; ensi bwe yayasamya akamwa kaayo, n'ebamira bugobo, n'ab'omu nnyumba zaabwe, n'eweema zaabwe na buli kintu kiramu ekyabagoberera, wakati mu Isiraeri yenna:
7 naye amaaso. gammwe gaalabanga omulimu gwonna omukulu ogwa Mukama gwe yakola.
8 Kale muneekuumanga ekiraBiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, muyingire mulye ensi gye. musomokera okugendamu okugirya;
9 era mulyoke mumale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama gye yalayirira: bajjajja bammwe okugibawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta n'amaca n'omubisi gw'enjuki.
10 Kubanga ensi gy'oyiagiramu okugirya, tefaanana ng'ensi y'e Misiri mwe mwava, mwe wasigiranga ensigo zo n'ogifukirira amazzi n'ekigere kyo, ng'ennimiro y'enva:
11 nate ensi gye musomokera okugendamu okugirya ye asi ey'ebiwonvu n'ensozi, enywa amazzi ag'enkuba eva mu ggulu:
12 ensi Mukama Katonda wo gy'ayagala; amaaso ga Mukama Katonda wo gaba ku yo ennaku zonna, okuva omwaka we gusookera okutuusa ku nkomerero ya gwo.
13 Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme Yammwe yonna,
14 naatonnyesanga enkuba y'ensi yammwe mu ntuuko zaayo, enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, okungulenga ennaano yo n’envinnyo yo n'amafuta go.
15 Era naawanga.omuddo mu nniaiiro zo olw'ebisibo byo era onoolyanga n'okkuta.
16 Mwekuumenga omutima gwammwe Suleme okulimbibwa, ne mukyama, ne muweereza bakatonda abalala, ne mubasinza;
17 obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba obutatonayanga, n'ensi obutabalanga bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva ku nsi ennungi Mukama gy'abawa.
18 Kale mutereke, ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby'okukyenyi, wakati w'amaaso gammwe.
19 Era munaabiyigirizaaga, abaana bammwe nga mubinyumya, bw'onootuulanga mu nnyumba yo .era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga,
20 Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba, yo ne ku nzigi zo:
21 ennaku zammwe zeeyongerenga, n'ennaku ez'abaana bammwe, ku nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okubawa, ng'ennaku ez'eggulu eriri waggulu w'ensi.
22 Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okwegatta naye;
23 Mukama anaagobaagamu amawanga gano gonna mu maaso, gammwe, mmwe ne mulya amawanga agabasinga obunene n'a maanyi.
24 Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga; omugga Fulaati, okutuuka ku.nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe.
25 Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katanda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
26 Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa;
27 omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro, bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero:
28 n'okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katottda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda atialala be mutamanyanga.
29 Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogendamu okugirya, oliteeka omulusa ogwo ku lusozi Gerizimu, n'okukolimirwa okwo ku lusozi Ebali.
30 Ezo teziri mitala wa Yoludaani, ennyuma w'ekkubo ery'ebugwanjuba, mu nsi ey'Abakanani abatuula mu Alaba, ekyolekera Girugaali, ku mabbali g'emyera gya Mole?
31 Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, era muligirya, ne mutuula omwo.
32 Era munaa kwatanga okukola amateeka gonna n'emisango bye nteeka mu maaso gammwe leero.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Gano ge mateeka n'emisango, bye munaakwatanga okukola mu nsi Mukama Katonda wa bajjajja bo gye yakuwa okugirya, ennaku zonna ze munaabeererangamu abalanu ku nsi:
2 Temulirema kuzikiriza bifo byonna amawanga ge mulirya mwe baaweererezanga bakatonda baabwe, ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi:
3 era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo.
4 Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe.
5 Naye mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza mu bika byammwe byonna okuteeka omwo erinnya lye, kye kifo mw'atuula, munaanoonyangayo, era onojjangayo;
6 era munaaleetanga eyo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ss-addaaka zammwe, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwamrmwe, n'obweyamo, bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, era n'ebibereber,ye by’ente zammwe n'eby’endiga zammwe:
7 era munaaliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye munassangako emikono gyammwe, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe, Mukama Katonda wo mwe yakuweera omukisa.
8 Temukolanga ng'ebyo byonna bwe biri bye tukola wano leero, buli muntu ekiri mu maaso ge, ekirungi;
9 kubanga temunnatuuka mu kuwummula ne mu busika, Mukama Katonda wammwe bw'akuwa.
10 Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukania Katonda wammwe gy'abasisa, n'abawa okuwummula eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga n'okutuula ne mutuula mirembe;
11 awo olulituuka mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, munaaleetanga eyo byonna bye mbalagira, ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe, ebitundu byammwe eby'ekkumi, n'ek'iweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwonna obusinga obulungi bwe mweyama Mukama:
12 era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'Omuleevi ali munda w'enzigi zammwe, kubanga talina mugabo newakubadde obusika wamu nammwe.
13 Weekuumenga oleme okuweerayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa mu buti kifo ky'olaba:
14 naye mu kifo Mukama ky'alyeroboza mu kimu ku bika byammwe; eyo gy'onooweeranga ebyo bw'owaayo ebyokebws era eyo gy'onookoleranga byonna bye akulagira.
15 Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omulusa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpewo ne ku njaza.
16 Kyokka temulyanga ku musaayi; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi:
17 Toliiranga munda w'enzigi zo kitundu eky'ekkunu eky'eŋŋaano yo, newakubadde eky'envinnyo yo, newakubadde eky'amafuta go, newakubadde ebibereberye by'ente zo newakubadde eby'endiga zo, newakubadde ekintu kyonna ku ebyo bye weeyama, newakubadde ebyo by'owaayo ku bubwo, newakubadde ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwo:
18 naye onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza, ggwene mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'0muleevi ali munda w'enzigi zo: era onoosanyukiranga ebyo byonna by'onossangakov omukono gwo mu maaso ga Mukama Katonda wo.
19 Weekuumenga oleme okwabulira Omuleevi. ennaku zonna z'onoobeererangamu omulamu ku nsi yo.
20 Mukama Katonda wo bw'aligaziya ensalo yo, nga bwe yakusuubiza, naawe n'oyogera nti Naalya ennyama, kubanga emmeeme yo eyagala okulya ennyama; oyinza okulya ennyama, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kuli.
21 Oba ng'ekifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye kiriyinga okukuba ewala, onottanga ku nte zo ne ku mbuzi zo, Mukama zeyakuwa, nga bwe nnakulagira, era onooliiranga munda w'enzigi zo, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme'yo bwe kunaabanga.
22 Ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa, bw'otyo bw'oaoogiryangako: atali mulongoofu n'omulongoofu banaagiryangako okwenkanankana:
23 Kyokka weetegereze olemenga okulya ku musaayi: kubanga omusaayi bwe bulamu; so toliiranga bulamu wamu n'ennyama.
24 Togulyanga onoogufukanga ku ttaka ag'amazzi.
25 Togulyanga; olyoke olabenga ebirtmgi n'abaana bo abaliddawo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.
26 Kyokka ebitukuvu byo by'oliaa n'obweyamo bwo onoobiddiranga n'oyingira mu kifo Mukama ky'alyeroboza;
27 era onooweerangayo ebyo by'owaayo ebyokebwa; ennyama n'omusaayi, ku kyoto kya Mukama Katonda wo: era omusaayi gwa ssaddaaka zo gunaafukibwanga ku kyoto kya Mukama Katonda wo; naawe onoolyanga ennyama.
28 Kwata owulirenga ebigambo eby'o byonna bye nkulagira; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolariga ekiiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga;
29 Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga mu maaso go, gy'oyingira okugalya, n'ogalya, n'otuula mu nsi yaabwe;
30 weekuumenga oleme okutegebwa okugagoberera, bwe galimala okuzikirira mu maaso go; era olemenga okubuuza ebya bakatonda baabwe ng'oyogera nti Amawanga gano gaweereza. gatya bakatonda baabwe? era nange bwe. nnaakolanga bwe ntyo.
31 Tokolanga bw'otyo Mukama Katonda wo: kubanga buli kigambo Mukama ky'ayita eky'omuzizo ky'akyawa bali baakikolanga bakatonda baabwe: kubanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe baabookyanga omuliro eri bakatonda baabwe.
32 Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga okukola: tokyongerangako, so tokisalangako.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Bwe wanaabangawo wakati mu ggwe nabbi oba omuloosi w'ebirooto, n'akuwa akabonero oba eky'amagero,
2 akabonero ako oba eky'amagero eiryo ne kituukirira, kye yakugambako ng'ayogera nti Tugobererenga bakatonda abalala b'otomanyanga, era tubaweerezenga;
3 towuliranga bigambo bya nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto oyo: kubanga Mukama Katonda wammwe ag'abakema okumanya nga mwagala Mukama Katonda wammwe n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna.
4 Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliraaga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwega ttanga naye.
5 Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katoada wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe.
6 Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi ow'omu kifuba kyo, oba mukwano gwo, alitinanga obulamu bwo ggwe, bw'akusendasendanga ekyama, ng'ayogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala, b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo;
7 ku bakatonda ab'amawanga ababeetoolodde, abali okumpi naawe, oba abakuli ewala okuva ku akomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi:
8 tomukkirizanga so tomuwuliranga; so n'eriiso lyo terimusaasiranga, so tosonyiwanga, so tomukwekanga:
9 naye tolemanga kumutta; omukono gwo gwe gunaasookanga okuba ku ye okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubaako.
10 Era onoomukubanga amayinla afe; kubanga agezezzaako okukusendasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
11 Ne Isiraeri yenna anaawuliranga, ne batya, ne batakola nate bubi obwenkana awo wakati mu ggwe,
12 Bw'onoowuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byo, Mukama Katonda wo by'akuwa okutuula omwo, nga bagamba nti
13 Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu ggwe, era abasenzesenze abatuula mu kibuga kyabwe, nga boogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala be mutamaayanga;
14 onookeberanga n'onoonya n'obuuliriza; era laba, oba nga kya mazima, elugambo ne kitegeerekeka, ng'eky'omuzizo ekyenkana awo kikolerwa wakati mu ggwe;
15 tolemanga kutta abatuula mu kibuga omwo n’obwogi bw'ekitala, ng'okizikiririza ddala ne byonna ebikirimu n'ebisibo byakyo, n'obwogi bw'ekitata.
16 Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate.
17 So tewabanga ku kintu ekyakolimirwa ekineegatta nga n'omukono gwo: Mukama akyuke okuleka obusungu bwe obukambwe, akulage ekisa, akusaasire, era akwaze, nga bwe yalayirira bajjajja bo;
18 bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga, ebiragiro bye byonna bye nkulagira, leero, okukolanga ekiri mu manso ga Mukama Katonda wo ekirungi.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe: temwesalanga, so temum.wanga kiwalaata kyonna wakati w'amaaso gammwe olw'abafu.
2 Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga goana agali ku maaso g'ensi.
3 Tolyanga kintu kyonna kya muzizo.
4 Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n’embuzi,
5 enjaza n’empeewo n’ennangaazi n'embulabuzi n'entamu n'enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko.
6 Na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era ekirina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, eyo gye munaalyanga.
7 Naye zino ze mutalyangako ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ku ezo ezirina ekinuulo ekyaseemu: eŋŋamira n'akamyu n'omusu, kubanga bizza obwenkulumo, naye tebyawulamu kinuulo, ebyo si birongoofu gye muli:
8 n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, eyo si nnongoofu gye muli: ku nnyama yaabyo temugiryangako, n'emirambo gyabyo temugikomangako.
9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba munaakiryaaga:
10 na buli ekitalina maggwa na magamba temukiryanga; si kirongoofu gye muli.
11 Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.
12 Naye zino ze mutalyangako: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
13 ne wonzi, n'eddiirawamu, ne kamunye n'engeri ye;
14 na buli namuŋŋoona n'engeri ye;
15 ne maaya, n'olubugabuga, n’olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
16 n'ekiwuugulu, n'ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu;
17 n'ekimbaala, n'ensega, n'enkobyokobyo;
18 ne kasiida, ne ssekanyolya n'engeri ye, n’ekkookootezi, n'ekinyira.
19 Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli: tebiriibwanga.
20 Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.
21 Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza mu nnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo.
22 Tolemanga kusolooza kitundu kya kkumi ku bibala byonna eby'ensigo zo ebinaavanga mu nnimiro buli mwaka.
23 Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n’eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.
24 Era oba ng'olugendo lunaakuyinganga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erianya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;
25 onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Kafonda wo ky'alyeroboza:
26 kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:
27 n’Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe.
28 Buli myaka esatu bwe giggwangako, onoofulumyanga ekitundu kyonna eky'ekkumi eky'ebibala byo mu mwaka ogwo, n'okiterekanga munda w'enzigi zo:
29 n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulimu gwonna ogw'a mukono gwo gw'okola.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 Buli myaka omusanvu bwe giggwangako, onoosumululanga.
2 Era eno ye ngeri y'okusumulula okwo: buli abanja anaasumululanga ekyo kye yawola muliraanwa we; takibanjanga muliraanwa we era muganda we; kubanga okusumulula kwa Mukama nga kulangiddwa.
3 Munnaggwanga oyinza okukimubanja: naye ekintu kyonna ku bibyo ekiri ne muganda wo omukono gwo gunaakisumululanga.
4 Naye tewaabenga baavu gy'oli, (kubanga Mukama taalemenga kukuwa mukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya;)
5 kyokka bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwatanga okukolanga ekiragiro kino kyonna kye nkulagira leero.
6 Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza: era onoowolanga amawanga mangi, naye teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe.
7 Bwe wanaabanga gy'oli omwavu, omu ku baganda bo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, tokakanyazanga mutima gwo, so tofunyanga ngalo zo eri muganda wo omwavu:
8 naye tolemanga kwanjuluza ngalo zo gy'ali, so tolemanga kumuwola ebinaamumalanga olw'okwetaaga kwe mu ekyo ky'abuliddwa.
9 Weekuumenga waleme okubaawo mu mutima gwo ekirowoozo ekikodo, ng'oyogera nti Omwaka ogw'omusanvu, omwaka ogusumululirwamu,,gunaatera okutuuka; eriiso lyo ne liba bbi eri muganda wo omwavu, n'otomuwa kintu; n'akoowoola Mukama ng'akuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
10 Tolemanga kumuwa, so n'amutima gwo tegunakuwalanga bw'omuwa: kubanga olw'ekigambo ekyo Mukama Katonda wo kyanaavanga akuwa omukisa mu mulimu gwo gwonna ne mu byonna by'onossangako omukono gwo.
11 Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuIuza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.
12 Bwe bakuguzanga muganda wo, omusajja Omwebbulaniya oba mukazi Omwebbulaniya, n'amala emyaka mukaaga ng'akuweereza; mu mwaka ogw'omusanvu n'olyoka omuteeranga ddala okukuvaako.
13 Era bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako, tomutanga nga talina kintu:
14 onoomulabiranga ebingi ku mbuzi zo ne ku gguuliro lyo ne ku ssogolero lyo: nga Mukama Katonda wo bwe yakuwa omukisa, bw'onoomuwanga bw'otyo.
15 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula: kyenva nkulagira ekigambo ekyo leero.
16 Awo olunaatuukanga bw'anaakugambanga nti Sijja kufutuma kukuleka; kubanga akwagala ggwe n'ab'omu nnyumba yo, kubanga alaba ebirungi ewuwo;
17 n'olyoka oddiranga olukato, n'oluyisa mu kutu kwe n'okwasa n'oluggi, naye anaabeeranga muddu wo ennaku zonna. Era n'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo.
18 Tolowoozanga nga kizibu bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako; kubanga yakuweerereza emyaka mukaaga okusinga emirundi ebiri oyo aweerereza empeera: era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola.
19 Ebibereberye byonna ebisajja ente zo n'embuzi zo bye zinaazaalanga onootukuzanga eri Mukama Katonda wo: tokozanga mulimu gwonna kibereberye kya ate yo, so tosalanga byoya bya kibereberye kya mbuzi zo.
20 Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo buli mwaka mu kifo Mukama ky'alyeroboza, ggwe n'ab'omu nnyumba yo.
21 Era bwe kinaabangako obulema bwonna, bwe kinaawenyeraaga oba bwe kinaabanga ekizibe ky'amaaso, obulema bwonna bwonna obutali bulungi; tokiwangayo eri Mukama Katonda wo.
22 Onookiriiranga munda w'enzigi zo: abatali balongoofu n'abalongoofu banaakiryanga okwenkanankana, ng'e mpeewo era ng'enjaza:
23 Kyokka tolyanga musaayi gwakyo; oaoogufukanga ku ttaka ng'amazzi.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Okwatanga omwezi Abibu, weekuumenga Okuyitako eri Mukama Katonda wo: kubanga mu mwezi Abibu Mukama Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro
2 Era onottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi n, ku nte, mu kifo Mukama ky'alyero boza okutuuza omwo erinnya lye.
3 Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng'olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey'okunakuwala; kubanga wava mu nsi y'e Misiri ng'oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri ennaku zonna ez'o bulamu bwo.
4 So tewalabikanga gy'oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy'onotta nga ku lunaku olw'olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde.
5 Tottiranga Kuyitako munda w'oluggi lwonna ku nzig zo, Mukama Katonda wo z'akuwa:
6 naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mi Misiri.
7 Era onookwokyanga n'okuliiranga mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: era onookyukanga enkya, n'ogenda mu weema zo.
8 Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimi gwonna.
9 Oneebaliranga ssabbiiti musanvu: okuva ku biro by'otanuliramu okussa ekiwabyo ku ŋŋaano ng'ekyali mu nnimiro kw'onoosookeranga okubala ssabbiiti omusanvu.
10 Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng'omuwa omusolo ogw'ekyo ky'owaayo bubwo eky'omukono gwo, ky'onowangayo nga Mukama Katonda wo bw'akuwa omukisa:
11 era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'Omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuu omwo erinnya lye.
12 Era onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri: era onookwatanga onookolanga amateeka gano.
13 Oneekuumiranga embaga ey'ensiisira ennaku musanvu, bw'onoobanga omaze okutereka eby'omugguuliro lyo n'eby'omu ssogolero lyo:
14 era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n'omuddu wo n'omuzaana wo, n'Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w'enzigi zo.
15 Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu:
16 Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu:
17 buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw'akuwadde:
18 Abalamuzi n'abaami onossangawo mu nzigi zo zonna Mukama Katonda wo z'akuwa, ng'ebika byo bwe biri: era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga.
19 Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu.
20 Eby'obutuukirivu ddala by'onoogobereranga, olyoke obenga omulamu, osikire ensi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
21 Teweesimbiranga muti gwonna okuba Asera ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wo, ky'oneekoleranga.
22 So teweeyimiririzanga mpagi; Mukama Katonda wo gy'akyawa.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
1 Tosalanga okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo ente newakubadde endiga eriko obuiema oba ekitali kirungi kyonna: kubanga ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo.
2 Bwe wanaalabikanga wakati wo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo Mukama Katonda wo z'akuwa, omusajja oba mukazi, akola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, ng'asobya ku ndagaano,
3 era ng'agenze n'aweereza bakatonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba ku ggye ery'omu ggulu, bye ssaalagira;
4 ne bakubuulira era ng'okiwulidde, n'olyoka onyiikiranga okubuuliriza, era, laba, bwe kinaabanga eky'amazima, ekigambo ne kitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekiri bwe kityo kikolerwa mu Isiraeri;
5 n'olyoka ofulumyanga omusajja oyo oba mukazi oyo, abakoze ekigambo ekyo ekibi, awali enzigi zo, omusajja oba mukazi; kale onoobakubanga amayinja bafe.
6 Olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba bajulirwa basatu, agenda okufa bw'anattibwanga; olw'akamwa k'omujulirwa omu tattibwanga.
7 Omukono gw'abajulirwa gwe gunaasookanga okumubaako okumutta, omukono gw'abantu. bonna ne gulyoka gumubangako: Bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi wakati wo.
8 Bwe wanaabangawo ensonga ekulema okugisalira omusango, nga bavunaana omusaayi n'omusaayi, nga bavunaana ensonga n'ensonga, era nga bavunaana omuggo n'omuggo, nga bawakanira ebyo munda w'enzigi zo: kale onoogolokokanga, n'oyambuka mu kifo Mukama Katonda ky'alyeroboza;
9 n'ojja eri bakabona Abaleevi, n'eri omulamuzi anaabangawo mu nnaku ziri: n'obuuza; era bo banaakulaganga ensala y'omusango:
10 naawe onookolanga ng'omusango bwe gunaabanga, gwe banaakulaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza; era onookwatanga akukola nga byonna bwe binaabanga bye bakuyigiriza:
11 ng'etteeka bwe linaabaaga lye banaakuyigirizanga, era ng'ensala bw'eneebanga gye banaakubuuliranga, onookolanga bw'otyo: tokyamanga okuva mu musango gwe banaakulaganga okugenda ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono:
12 Era omuntu anaakolanga eby'ekyejo, nga tawulira kabona ayimirira eyo okuweerereza mu maaso: ga Mukama Katonda wo, oba mulamuzi, omuntu oyo anaafanga: era onoggyangawo obubi obwo mu Isiraeri.
13 Era abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya kyejo.
14 Bw'oliba ng'otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, n'ogirya, n'otuula omwo; n'oyogera nti Nassaawo kabaka okunfuga, era nga n’amawanga gonna aganneetoolodde;
15 tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katoada wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo.
16 Kyokka teyeefuniranga mbalaasi nayingi, so tazzangayo bantu mu Misiri, alyoke yeefunire embalaasi ennyingi: kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano.
17 So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza nnyingi nnyo newa kubadde zaabu.
18 Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu: maaso ga bakabona Abaleevi:
19 era kinaabeeranga gy'ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga:
20 omutima gwe gulemenga okuguIumizibwa ku baganda be, era alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde: ogwa kkono: alyoke awangaale ennaku nayingi mu bwakabaka bwe, ye n'abaana be, wakati mu Isiraeri.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika awamu ne Isiraeri: banaalyanga ebiweebwapo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, n'obusika bwe.
2 So tebabanga na busika mubaganda baabwe: Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba:
3 Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawaagayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, ne ssebusa.
4 Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga,
5 Kubanga Mukama Katonda wo yamweroboza mu bika byo byonna, okuyimiriranga okuweerezanga n'erinnya lya Mukama, ye ne batabani be emirembe gyonna.
6 Era Omuleevi bw'anaavanga mu luggi lwonna ku nzigi zo mu Isiraeri yenna, mw'atuula, n'ajja mu kifo Mukama ky'alyeroboza, emmeeme ye nga yeegombera ddala okujja;
7 anaaweerezanga n'erinnya lya Mukama Katonda we, nga baganda be bonna tibaleevi bwe bakola, abayimirira eyo mu maaso ga Mukama,
8 Banaabanga n'emigabo egyenkanankana okulya, obutassaako ebyo ebivudde mu kutunda obutaka bwe.
9 Bw'olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, toyiganga kukola ng'eby'emizizo eby'amawanga gali bwe biri.
10 Tewalabikanga gy'oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we, newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire; newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,
11 newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emma ndwa, newakubadde abuuza abafu.
12 Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama: era olw'emizizo egyo Mukama Katonda wo kyava abagoba mu maaso go.
13 Onoobanga eyatuukirira eri Katonda wo,
14 Kubanga amawanga gano g'olirya, bawulira abo abalaguza ebire n'abafumu: naye ggwe Mukama Katonda wo takuganyizza kukolanga bw'otyo.
15 Makama Katonda wo alikuyimusiza nabbi wakati wo, ku baganda bo, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;
16 nga byonna bwe byali bye wasaba Mukama Katonda wo ku Kolebu ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako, ng'oyogere nti Nneme okuwulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda vvange, era nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa.
17 Mukama n'aŋŋamba nti Boogedde bulungi ebyo bye bagambye.
18 Ndibayimusiza aabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.
19 Kale olulituuka buli ataliwulira bigambo byange by'alyogera mu linnya lyange, ndimulanga ekyo.
20 Naye nabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkiridde, bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nabbi oyo anaafaaga.
21 Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?
22 Nabbi bw'anaayogeranga mu linnya lya Mukama, ekigambo ekyo bwe kitajja so tekiruukirira, ekyo kye lugambo Mukama ky'atayogedde: nabbi ng'akyogedde nga yeetulinkiridde, tomutyanga.
     

Next
Back