Ekyamateeka  

Essuula 19

1 Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga, Mukama Katonda wo ensi yaago gy'akuwa, on'obasikira, n'otuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe;
2 olyeyawulira ebibuga bisatu wakati mu nsi yo, Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya.
3 Olyelimira oluguudo, era olisala mu nsalo z'ensi yo, Mukama Katonda wo gy'akusisa, okuba ebituadu bisatu, buli atta omuntu addukirenga omwo.
4 Era eno ye nsonga y'oyo atta omuntu anaddukiranga omwo n'aba nga mulamu: buli anattanga munne nga tamanyiridde, so nga tamukyawanga lubereberye;
5 ng'omuntu bw'ayingira mu kibira ne munne kutema omuti, n'agalula embazzi omukono gwe okutema omuti, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'egwa ku munne, n'okufa n'afa; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'aba mulamu:
6 awalana eggwanga ly'omusaayi alemenga okugoberera eyatta omuntu, omutima gwe nga gukyasunguwadde, amutuukako, kubanga olugendo nnene, n'amufumita okumutta; so ga tasaanidde kufa, kubanga tamuawanga lubereberye.
7 Kyenva ulagira nga njogera nti Olyeyawulira ebibuga bisatu.
8 Era oba ga Mukama Katonda wo aligaziya ensalo yo, nga bwe yalayirira. bajjajja bo, n'akuwa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajja bo;
9 bw'oneekuumanga ekiragiro kino kyonna okukikola, kye nkulagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wo, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; n'olyoka weeyongerera ebibuga bisatu ebirala ku bino ebisatu:
10 omusaayi ogutaliiko musango guleme okuyiika mu nsi yo Mukama Katonda wo. gy'akuwa okuba obusika, bwe kityo omusaayi ne gukubaako.
11 Naye omuatu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amugolokokerako, n’amufumita okumutta n'okufa n'afa; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo:
12 kale abakadde b'ekibuga kye, banaatumanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo mu mukono gw'oyo awalana eggwanga ly'omusaayi, afe.
13 Eriiso lyo terimusaasiranga; naye onoggyangawo mu Isiraeri omusaayi ogn' taliiko musango, olyoke olabenga ebirungi.
14 Tojjululanga nsalo ya muliraanwa wo, ab'edda gye baasimba, mu b.usika bwo bw'olisika mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya.
15 Omujulinva omu tagolokokeranga ku muntu olw'obutali butuukirivu bwonna oba: olw'ekibi kyonna, mu kibi kyonna ky'ayonoona: olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba olw'akamwa k'abajulirwa abasatu ekigambo kinaanywezebwanga.
16 Omujulirwa atali mutuukirivu bw'agolokokeranga ku muntu yenna okutegeeza ng'akoze bubi;
17 abasajja bombi abawakana empaka ezo banaayimiriranga mu maaso ga Mukama, mu maaso ga bakabona n'abalamuzi abalibaawo mu nnaku ziri;
18 kale abalamuzi banaakemerezanga nayo: era, laba; omujulirwa oyo bw'abanga omujulirwa ow'obulimba, era ng'awaayirizza muganda we;
19 kale munaamukoleranga nga bw'abadde alowooza okukola muganda we: bw'otyo bw'o aoggyangawo obubi; wakati wo.
20 N'abo abasigalawo b'anaawulilanga ne, batya, ne batakola: nate okuva, ku biro: biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.
21 So n'eriisa lyo terisaasiranga; obulamu bugattwenga obulamu, eriiso ligattwenga eriiso, erinnyo ligattwenga erinnyo, omukono gugattwenga omukono, ekigere kigattwenga ekigere.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.
2 Awo olunaatuukanga bwe munaasembereranga olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu,
3 n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, musemberera olutalo leero okulwana n'abalabe bammwe: omutima gwammwe teguddiriranga; temutya so temukankana, so temubatekemukira;
4 kubanga Mukama: Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola:
5 Era abaami banaayogeranga n'abantu nga bagamba: nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'agitukuza.
6 Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga aannalya ku bibala byalwo? agende addeyo ekaaleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala, byalwo.
7 Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa:
8 Era abaami baneeyoageranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe:
9 Awo olunaatuukanga abaami bwe banaamalanga okwogera n'abantu, banassangawo abakulu b'eggye okukulembera abantu.
10 Bw'onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, n'olyoka akirangiriranga emirembe.
11 Awo olunaatuukanga, bwe kinaddangamu eby'emirembe; ne kikuggulirawo, abantu bonna abalabika omwo banaafuukanga ab'omusolo, era banaakuweerezanga.
12 Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n'olyoka okizingizanga:
13 era Mukama Katonda wo bw'anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga buli musajja waamu n'obwogi bw'ekitala:
14 naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa.
15 Bw'otya bw'onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo, ebitali bya ku bibuga bya mawanga gano.
16 Naye ku bibuga by'abantu bano, Mukama Katonda wo b'akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa:
17 naye onoo bazikiririzanga ddala; Omukiiti, n'Omwamoli, Omukanani, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira:
18 balemenga okubayigiriza okukola ng'eby'emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleraaga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe.
19 Bw'oaoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubaaga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo?
20 Emiti egyo gyokka gy'omanyi nga si miti gya kulyako, gy'onoozikirizanga gy'onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigawa.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Omuntu bw'anaasangibwanga ng'attiddwa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya, ng'ali mu. nsiko, so tekimanyibwa bw'ali amukubye:
2 abakadde bo n'abalamuzi bo ne balyoka bafulumanga, era banaageranga okutuuka ku bibuga ebimwetoolodde oyo eyattibwa:
3 awo olunaatuukanga ekibuga ekisinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, abakadde: b'ekibuga ekyo banaddiranga ente enduusi okugiggya mu nte, etekozebwaaga mirimu, etewalulanga ng'eri mu kikoligo;
4 era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga enduusi mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitali kirime so ekitali kisige, ne bakutula ensingo y'ente enduusi eyo mu kiwonvu:
5 awo bakabona abaana ba Leevi banaasemberanga; kubanga abo Mukama Katonda wo be yeeroboza okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linaya lya Mukama; era ng'ekigambo kyabwe bwe kinaabanga, bwe zityo buli mpaka na buli kulumbagana bwe binaamalibwanga:
6 awo abakadde bonna ab'ekibuga ekyo, abasinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu:
7 era banaddangamu ne boogera nti Engalo zaffe si ze zaayiwa omusaayi guno, so n'amaaso gaffe tegaagulaba.
8 Sonyiwa, ai Mukama, abantu bo Isiraeri; be wanunula, so toganya musaayi ogutaliiko musango okuba wakati mu bantu bo Isiraeri. Kale omusaayi gunaabasonyiyibwanga.
9 Bw'oryo bw'onoggyangawo omusaayi ogutaliiko musango wakati wo, bw'oaookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.
10 Bw'onootabaalanga okulwana n'abalabe bo, Mukama Katonda wo n'abagabula mu mikono gyo, n'obatwala nga mwandu,
11 n'olaba mu mwandu omukazi: omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa;
12 n'olyoka omutwalanga ewuwo mu nnyumba yo; naye anaamwanga omutwe gwe n'asala enjala ze;
13 era anaayambulanga ebyambalo eby'obunyage bwe, n'abeera mu nayumba yo n'amala omwezi omulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina: kale oluvanayuma n'olyoka oyingira gy'ali; n'oba bba naye nga mukazi wo.
14 Awo olunaatuukanga, bw'otoomusanyukirenga n'akatono, onoomulekanga okugenda gy'ayagala; naye tomu tundangamu bintu n'akatono, tomukolanga ng'iomuzaana, kubanga wamutoowaza.
15 Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi, omulala nga mukyawe, era'nga bombi baamuzaalira abaana, omuganzi n'omukyawe; era omwana wo w'obulenzi omubereberye bw'abanga ow'omukyawe;
16 awo olunaatuukanga, ku lunaku lw'alisisa abaana be ebyo by'alina, tafuulanga mwana wa muganzi okuba omubereberye, omwana w'omukyawe, ye mubereberye, ng'akyali mulamu:
17 naye anakkirizanga omubereberye, omwana w'omukyawe, ng'amuwa emigabo ebiri ku ebyo byonna by'alina: kubanga oyo kwe kusooka kw'amaanyi ge; eby'omubereberye bibye.
18 Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu, atakkiriza kugondera ddoboozi lya kitaawe, newakubadde eddoboozi lya nnyina, era newakubadde nga bamubonereza, nga takkiriza kubawulira:
19 kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamufulumya eri abakadde ab'omu kibuga kyabwe, n'eri wankaaki w'ekifo kyabwe:
20 ne bagamba abakadde ab'omu kibuga kyabwe nti Omwana waffe ono mukakanyavu mujeemu, takkiriza kugondera ddoboozi lyaffe; wa mpisa mbi, era mutamiivu.
21 Abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja okumutta: bw'otyo bw'onoggyangawo obubi okuva wakati wo; kale Isiraeri yenna anaawuliranga anaatyanga.
22 Era omuntu bw'aba ng'akoze ekibi ekisaanira okumussa; ne bamutta, n'omuwanika ku muti;
23 omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye tolemanga kumuziika ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa ng'akolimiddwa Katonda; olemenga okugwagwawaza ensi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
   


Essuula 22

[Ddayo waggulu]
Tolabaaga nte ya muganda wo newakubadde endiga ye ng'ekyama, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kuzizza eri muganda wo.
2 Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali.
3 Era onookolanga n'endogoyi ye bw'otyo; era onookolanga n'ekyambalo kye bw'otyo; era onookolanga na buli kintu ekya muganda wo ekinaamubulanga naawe ng'okironze: okwekweka si kulungi.
4 Tolabanga ndogoyi ya muganda wo newakubadde ente ye ng'egudde mu kkubo, ne.weekweka okuva gye ziri: tolemanga kumubeera okuziyimusa nate.
5 Omukazi tayambalanga kya musajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi: kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wo.
6 Ekisu ky'ennyonyi bwe kiba nga kikuli mu maaso mu kkubo, ku muti gwonaa oba wansi, obwana nga weebuli oba magi, nnyina ng'atudde ku bwana oba ku magi, totwalanga nnyina wamu n'amagi:
7 tolemanga kuta nnyina, naye oyinza okwetwalira obwana; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.
8 Bw'ozimbanga enayumba empya, onookolanga omuziziko ku ntikko, ng'omuntu yenna ayimye okwo n'agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo.
9 Tosiganga ngeri bbiri za: nsigo mu lusuku lwo olw'emizabbibu: olemeaga okufiirwa ebibala byonna, ensigo.ze wasiga n'ekyengera eky'olusuku.
10 Tolimisanga nte n'endogoyi wamu.
11 Toyambalanga lugoye olugatta ebibiri, ebyoya ne segamwenge wamu.
12 Oneekoleranga amatanvuuwa mu mbiriizi nnya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.
13 Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, n'ayingira gy'ali, n'amukyawa,
14 n'amuwawaabira eby'ensonyi, n'amuleetako erinnya ebbi, n'ayogera nti Nawasa omukazi ono, kale bwe nnamusembesera, ne ssimulabako bubonero bwa butamanya musajja:
15 awo kitaawe w'omukazi ne nayina ne balyoka baddira obubonero bw'omuwala oyo obw'obutamanya musajja ne babuleetera abakadde b'ekibuga mu mulyango:
16 kitaawe w'omuwala n’agamba abakadde nti Omusajja ono namuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye;
17 era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti Saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno. Kale ne bayaliira ekyambalo mu maaso g'abakadde b'ekibuga.
18 Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba;
19 ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi, ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga yamuleetako erinnya ebbi omuwala wa Isiraeri: era anaabanga mukazi we; tamugobanga ennaku ze zonna.
20 Naye oba ng'ekigambo kiao kya mazima, obubonero bw'obutamanya musajja obutalabika mu muwala:
21 awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe.
22 Bwe basanganga omusajja ng'asula n'omukazi eyafumbirwa bba, bombi bafenga omusajja eyasula n'omukazi, n'omukazi: bw'otyo bw'onoggyanga obubi mu Isiraeri.
23 Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n'amusanga mu kibuga n'asula naye;
24 bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyaaga obubi wakati mu ggwe.
25 Naye omusajja bw'asaaganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, omusajja n'amuwaliriza, n'asula naye; omusajja eyasula naye yekka y'anaafanga:
26 naye omuwala tolimukola kintu; ku muwala tekuli kibi ekinaamussa: kuba ng'omuntu bw'agolokokera ku munne n'amutta, n'ekigambo ekyo hwe kiri bwe kiryo:
27 kubanga yamusanga mu nnimiro; omuwala ayogerezebwa n'akuba enduulu, ne watabaawo amulokola.
28 Omusajja bw'asangaaga omuwala atamanyanga musajja, atayo, gerezebwa, n'amukwata n'asula naye ne babalaba;
29 kale omusajja eyasula naye anaamuwanga kitaawe w'omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano, era anaabanga mukazi we, kubanga yamutoowaza; tayinza kumugoba ennaku ze zonna.
30 Omusajja tawasaaga mukazi wa kitaawe, so tabikkulanga lukugiro lwa kitaawe.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2 Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3 Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
4 kubanga: tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana, wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, okukukolimira:
5 Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n'afuula ekikolimo okuba omukisa gy'oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala.
6 Tonoonyaaga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna.
7 Tokyawanga Mwedomu; kubanga muganda wo: tokyawanga Mumisiri; kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe.
8 Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkunnaaniro lya Mukama.
9 Bw'otabaalanga mu nsiisira okulwana n'abalabe bo, oneekuumanga mu buli kintu ekibi.
10 Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw'ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w'olusiisira:
11 naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n'amazzi: kale enjuba bw'emalanga okugwa, n'ayingiranga mu lusiisira.
12 Era onoobanga n'ekifo ebweru w'olusiisira, gy'onoofulumanga:
13 era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw'onoofulumaaga n'otuula, onookisimyanga n'okyuka n'obikka ku ekyo ekinaakuvangamu:
14 kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati, mu lusiisira lwo, okukuwonya, n'okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ebitali kirongoofu, n’akukuba amabega.
15 Tozzaaga eri mukama we omuddu eyabomba ku mukama we okujja gy'oli:
16 anaatuulanga naswe, wakati mu ggwe, mu kifo ky'anaayagalanga munda w'enzigi zo olumu, w'anaasinganga okusiima: tomujooganga.
17 Tewabanga mwenzi ku bawala ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku batabani ba Isiraeri.
18 Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y'embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw'obwepauio bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo.
19 Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag'effeeza, amagoba ag'ebyokulya, amagoba ag'ekintu: kyonna ekiwolwa olw'amagoba:
20 munnaggwanga si kibi okumtiwola olw'amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'oteekako omukono gwo, mu nsi gy'oyingiramu okugirya.
21 Bw'oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy'oli: era kyandibadde kibi mu ggwe:
22 Naye bw'olekanga okweyama, tekiriba kibi mu ggwe.
23 Ekyali kivudde mu mimwa gyo onookyekuumanga n'okikola; nga bwe weeyama Mukama Katonda wo, ekiweebwayo ku bubwo, kye wasuubiza n'akamwa ko.
24 Bw'oyingiranga mu lusuku olw'emizabbibu olwa munno, si labi okulya ezabbibu okukkuta nga bw'oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo.
25 Bw'oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo; naye toteekanga kiwabyo ku'nnaano etennakungulwa eya: munno.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatoao mu maaso ge, kubaaga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebb8luwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye:
2 Awo bw'abanga avudde mu nnyumba ye, ayinza okugenda okuba omukazi w'omusajja omulala.
3 Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa;
4 bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizb mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
5 Omusaja bw'awasanga omukazi omuggya, tatabaalanga na ggye, so tasalirwanga mirimu gyonna: anaamalanga omwaka gumu eka nga yessa, anaasanyusanga omukazi gw'awasizza:
6 Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu.
7 Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omu bbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyaaga obubi wakati mu ggwe.
8 Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola:
9 Jjukira Mukama Katonda wo bwe yakola Miryamu, mu kkubo bwe mwali muva mu Misiri.
10 Bw'oyazikanga munno ekintu kyonna ekyazikibwa, toyingiranga mu nnyumba ye okukima omusingo gwe.
11 Onooyimiriranga ebweru, n'omuntu gw'oyazika anaafulumyanga omusingo ebweru gy'oli.
12 Era bw'abanga omwavu, tosulanga ng'olina omusingo gwe:
13 tolemanga kumuddiza misingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14 Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muweado gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo:
15 ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteckako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
16 Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okualanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.
17 Tokyamyanga musango gwa munnaggwanga, newakubadde ogw'atalina kitaawe; so tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu:
18 naye onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
19 Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya muanaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwaadu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo.
20 Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu.
21 Bw'okungulanga ezabbibu ez'omu lusuku lwo, toddangamu ng'omaze omulundi gumu: lunaabanga lwa munnaggwanga, lw'atalina kitaawe, era lwa nnamwandu.
22 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyeava nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
   

Essuula 25

[Ddayo waggulu]
1 Bwe wabangawo empaka n'abantu, ne bajja okusalirwa omusango, ne bagubasalira; banaasaliranga omutuukirivu okugusinga, n’omubi okusingibwa;
2 awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale.
3 Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussaagawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo.
4 Togiaibanga kamwa ente ng'ewuula.
5 Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba
6 Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri.
7 Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze.
8 Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa;
9 kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga,omusajja atazimba nnyumba, ya muganda we.
10 Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti Nnyumba y'oyo eyanaanulirwa engatto.
11 Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi:
12 omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga.
13 Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo.
14 Tobanga na bigero ebitali bimu, ekinene n'ekitono; mu nayumba yo.
15 Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: enriaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
16 Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo.
17 Jjukira Amaleki bwe yakukolera mu kkubo bwe mwali nga muva mu Misiri;
18 bwe yakusanga mu kkubo, n'atta abasembi ennyuma wo, abanafu bonna ab'ennyuma, bwe wazirika era ng'okooye; n'atatya Katonda.
19 Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga.
   

Essuula 26

[Ddayo waggulu]
1 Awo olulituuka, bw'oliba ng'oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, n'ogirya, n'otuula omwo;
2 olitoola kwbibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'oliggya mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa: n'obiteeka mu kibbo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
3 Era olijja eri kabona alibaawo mu biro ebyo, n’omugamba nti Njatulidde leero Mukama Katonda wo: nga nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baffe okugituwa.
4 Kale kabona alitoola ekibbo ng'akiggya mu mukoao gwo; n’akissa wansi mu maasa g'ekyoto kya Mukama Katonda wo.
5 Naawe oliddamu n'oyogera mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Omusuuli eyali ng'anaatera okubula ye yali kitange, n'aserengeta mu Misiri, n'atuula omwo, omuweado gwe aga mutono; n'afuuka eyo eggwanga, eddene, ery'amaanyi, eryayala.
6 Abamisiri ne batukola bubi, ne batubonyaabonya, ne batuteekako obuddu obukakanyavu:
7 ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajja baffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe:
8 Mukama n'atuggya mu Misiri n’engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero:
9 n'atuyingiza mu kifo muno, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
10 Era kaakano, laba, ndeese ebibereberye eby'oku bibala by'ettaka, ly'ompadde ggwe, ai Mukama. Era olibiteeka wansi mu maaso ga Mukama Katonda wo n'osinza mu maaso ga Mukama Katonda wo:
11 era olisanyukira ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe n'ennyumba yo, ggwe n'Omuleevi ne munnaggwanga ali wakati wo:
12 Bw'onoomalanga okusolooza ekitundu eky'ekkumi eky'ekyengera kyo kyonaa mu mwaka: ogw'okusatu, gwe mwaka ogusoloolezebwamu ekitundu eky'ekkumi, n'olyoka okiwa Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, baliire munda w'enzigi zo bakkute;
13 era onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange; era mbiwadde Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira: sisobezza ku biragiro byonna kimu, so sibyerabidde:
14 sikiryangako nga nkyali mu nnaku zange, so sikiterekangako nga siri mulongoofu, so sikiwangako olw'abafu: nawulira eddoboozi. lya Mukama Katonda wange, nkoze nga byonna bwe biri bye wandagira.
15 Tunula. ng'oyima mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, mu ggulu, owe omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajja baffe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
16 Leero Mukama Katonda wo akulagira okukolanga amateeka gano n'emisango: kyonoovanga obyekuuma n'obikola n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
17 Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro, bye n'emisango gye; n'owuliranga eddoboozi lye:
18 era Mukama ayatudde leero ggwe okubeeranga eggwanga ery'envuma eri ye yennyini, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna;
19 era akugulumizenga okusinga amawanga gonna ge yakola, olw'ettendo n'olw'erinnya n'olw'ekitiibwa; era obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo; nga bwe yayogera.
   

Essuula 27

[Ddayo waggulu]
1 Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti Mwekuumenga ekiragiro kyonna kye mbalagira leero.
2 Kale olulituuka ku lunaku olwo lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, olyesimbira amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni:
3 era oliwandiika ku go ebigambo byonna eby'amateeka gano, bw'olimala okusomoka; olyoke oyingire mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama, Katonda wa bajjajja bo, bwe yakusuubiza.
4 Awo olulituuka bwe muliba nga musomose Yoludaani; ne mulyoka musimba amayinja gano, ge mbalagira leero, ku lusozi, Ebali, n'ogasiigako ennoni.
5 Era olizimbira eyo ekyoto kya Mukama Katonda wo, ekyoto eky'amayinja: togayimusangako kintu kya kyuma.
6 Ekyoto kya Mukama Katonda wo onookizimbyanga amayinja agatali mateme: era okwo kw'onooweeranga ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo:
7 era onoosalanga ebiweebwayo olw'emirembe, n'oliiranga eyo; era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo.
8 Era oliwandiikira ddala bulungi ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano.
9 Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
10 Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero.
11 Awo Musa n'akuutiira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti
12 nti Bano be baliyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa nga mumaze okusomoka Yoludaani; Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini:
13 era bano be baliyimirira ku lusozi Ebali olw'okukolima; Lewubeetu; Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni; Ddaani, ne Nafutaali.
14 Kale Abaleevi baliddamu ne bagamba abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi ddene nti
15 Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekifumbe, eky'omuzizo eri Mukama; omulimu gw'engalo z'omukozi, n'alusimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina.
16 Akolimirwe oyo anyooma kitaawe oba nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
17 Akolimirwe oyo ajjulula ensalo ya muliraanwa we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
18 Akolimirwe oyo akyamya omuzibe w'amaaso okuva mu kkubo. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
19 Akolimirwe oyo akyamya ensonga eya munnaggwanga n'atalina kitaawe ne nnamwandu. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
20 Akolimirwe oyo asula ne mukazi wa kitaawe; kubanga abikkudde olukugiro lwa kitaawe. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina:
21 Akolimirwe oya asula n'ensolo yonna yonna. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
22 Akolimirwe oyo asula ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
23 Akolimirwe oyo asuta ne mukoddomi we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
24 Akolimirwe oyo akuba muliraanwa we mu kyama. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
25 Akolimirwe oyo alya empeera olw'okuttisa omuntu ataliiko musango. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
26 Akolimirwe oyo atanyweza bigambo by’amateeka gano okubikolanga. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
     

Next
Back