Eseza  

Essuula 1

1 Awo olwatuuka ku miretnbe gya Akaswero (ye Akaswero oyo eyafuga okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu amakumi abiri mu musanvu:)
2 awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe y'obwakabaka bwe eyali mu lubiri lw’e Susani,
3 mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; obuyinza bw'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge:
4 n'ayoleseza ennaku nnyingi obugagga obw'obwakabaka bwe obw'ekitiibwa n'ettendo ery'obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana.
5 Awo ennaku ezo bwe zaatuukirira, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali bali awo mu lubiri w'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olw'oku lusuku olw'olubiti lwa kabaka;
6 waaliwo ebitimbe eby'engoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga bisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira: ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu.
7 Ne babanywesa mu bintu ebya zaabu, (ebintu nga tebifaanana byokka na byokka,) n'omwenge ogwa kabaka mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
8 N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza: kubanga kabaka bwe yali alagi,dde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala:
9 Ne Vasuti kaddulubaale n'afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero:
10 Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani ne Bizusa ne Kalubona ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka,
11 okuteeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka okwolesa amawanga n'abakungu obulungi bwe kubanga yali mulungi okutunuulira:
12 Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja olw'ekiragiro kya kabaka bwe yamulagiriza abalaawe: kabaka kyeyava asunguwala ennyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye.
13 Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, (kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka eri bonna abaamanya amateeka n'emisango;
14 ne Kalusena ne Sesali ne Adumasa ne Talusiisi ne Meiesi ne Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab'e Buperusi n'e Bumeedi; abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddirira:) nti
15 Tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti ng'amateeka bwe gali, kubanga takoze ekyo kabaka. Akaswero ky'amulagirizza abalaawe?
16 Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti Vasuti kaddulubaale tayonoonye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero.
17 Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomesanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.
18 Awo ku lunaku luno abakyala w’e Buperusi We Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka: Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu.
19 Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka, abuwe omulala amusinga obulungi.
20 Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, (kubanga bunene,) kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.
21 Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyali:
22 kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka; mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali:
   


Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Awo oluvaaayuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, n'alyoka ajjukira Vasuti n'ekyo kye yakola n'ekyo ekyateekebwa eri ye.
2 Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Banoonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja:
3 era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakunijaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe:
4 awo omuwala kabaka gw'alisiima abe kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; n'akola bw'atyo.
5 Waaliwo Omuyudaaya mu Susaai mu lubiri, erianya lye Moluddekaayi mutabani wa Yayiri mutabani wa Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini;
6 eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni gwe yatwala.
7 N'alera Kadassa, ye Eseza muwala wa kitaawe omuto: kubanga teyalina kitaawe newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n'amutwala okuba omwana we ye.
8 Awo olwaruuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga baku0naanidde e Susani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi, awo Eseza n'atwalibwa mu nayumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w'abakazi.
9 Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa eri ye; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okulongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka: n'amujjulula ye n'abawala be a'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi.
10 Eseza yali tategeezanga abantu be bwe baali newakubadde ekika kye: kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakitegeeza.
11 Era Moluddekaayi n'atambuliranga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era ky'alibeera.
12 Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwajja okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri, (kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaatuukiriraaga bwe zityo, emyezi mukaaga amafuta ag'omugavu, n’emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu eby'okuloagoosa abakazi,)
13 kale bw'atyo omuwala n’alyoka ajja eri kabaka, kyonna kye yayagala n'akiweebwa okugenda naye ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka.
14 Yagenda akawungeezi n'akomawo enkya mu nayumba ey'abakazi ey'okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingira nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.
15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto eyamutwala okuba omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaswe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira
16 Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe.
17 Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula kaddulubaale mu kifo kya Vasuti.
18 Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyibwa, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
19 Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogw'okubiri, awo Moluddekaayi n'atuula mu mulyango gwa kabaka.
20 Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddeksayi bwe yamukuutira: kubanga Eseza yakola ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera.
21 Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'arudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okukwata kabaka Akaswero.
22 Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n'akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n'abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi.
23 Awo ekigambo ekyo bwe baakikenneenya, ne kirabika nga bwe kyali bwe kityo, bombi ne bawanikibwa ku muti: awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo ebya buli lunaku mu maaso ga kabaka.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Awo oluvannyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akuza Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi n’amusukkiriza, n'agulumiza entebe ye okusinga abakuagu bonna abali naye.
2 Awo abaddu bonna aba kabaka abaali mu mulyaago gwa kabaka ne bakutamira Kamani ne bamuvuunamira: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo ebigambo bye. Naye Moluddekaayi teyamukutamira so teyamu vuunamira.
3 Awo abaddu ba kabaka abaali mu mulyango gwa kabaka ne bagamba Moluddekaayi nti Kiki ekikusobesa ekiragiro kya kabaka?
4 Awo olwaruuka bwe baayogeranga naye buli luaaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okulaba ebigambo bya Moluddekaayi oba nga binaanywera: kubanga yali ababuulidde nga Muyudaaya.
5 Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi teyakutama so teyamuvuunamira, kale Kamani n’ajjula obusungu.
6 Naye n'alaba nga tekugasa okukwata Moluddekaayi yekka; kubanga baali bamutegeezezza abantu ba Moluddekaayi bwe baali: Kamani kyeyava asala amagezi okuzikiriza Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero, abantu ba Moluddekaayi.
7 Awo mu mwezi ogw'olubereberye, gwe mwezi Nisani, mu mwaka ogw'ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, bwe bululu, mu maaso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusa ku mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.
8 Awo Kamani n'agamba kabaka Akaswero nti Waliwo abantu abasaasaanye abataataagaaye mu mawanga mu masaza gonna ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ga ggwanga lyonna; so tebakwata mateeka ga kabaka; kyekiva kirema okugasa kabaka okubaganya.
9 Kabaka bw'anaasiima, kiwandiikibwe bazikirizibwe: nange ndisasula ettalanta eza ffeeza kakumi mu mikono gy'abo abateresebbwa okukuuma omulimu (gwa kabaka), okuzireeta mu mawanika ga kabaka.
10 Awo kabaka n'aggya empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya.
11 Awo kabaka n'agamba Kamani nti Effeeza eweereddwa gy'oli era n'abantu okubakola nga bw'osiima.
12 Awo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ne bawandiika nga byonna bwe byali Kamani bye yali alagidde abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli ssaza n'abakulu ba buli ggwanga; eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali: mu linnya lya kabaka Akaswero mwe byawandiikirwa, era byateekebwako akabonero n'empeta ya kabaka.
13 Ne baweereza ebbaluwa ne zitwalibwa ababaka mu masaza gonna aga kabaka, okuzikiriza n'okutta n'okumalawo Abayudaaya bonna, abato n'abakadde, abaana abato n'abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw’ekkumi n'ebbiri, gwe mwezi Adali, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo.
14 Ebyaggibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.
15 Awo ababaka ne banguwa ne bagenda olw'ekiragiro kya kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri w’e Susani: awo kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kibulwa amagezi.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, Moluddekaayi n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu n'evvu, n'afuluma n'agenda mu kibuga wakati, n'akaaba n'eddoboozi ddene ery'ennaku nnyingi:
2 n'ajja mu maaso g'omulyango gwa kabaka: kubanga tewali eyayinza okuyingira mu mulyango gwa kabaka ng'ayambadde ebibukutu.
3 Awo mu buli ssaza ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga ne waba okuwuubaala kungi mu Bayudaaya n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okukuba ebiwoobe; kale bangi abaagalamira nga bambadde ebibukutu n'evvu.
4 Awo abawala ba Eseza n'abalaawe be ne bajja ne bamubuulira; kaddulubaale n'anakuwala nnyo: n'aweereza ebyambalo Moluddekaayi by'aba ayambala, n'okumuggyako ebibukutu bye: naye n'atabikkiriza.
5 Awo Eseza n'ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza, n'amukuutira okugenda eri Moluddekaayi okumanya ekigambo ekyo bwe kyali n'ensonga yaakyo.
6 Awo Kasaki n'afuluma n'agenda eri Moluddekaayi awali ekifo ekigazi eky'ekibuga ekyayolekera omulyango gwa kabaka.
7 Awo Moluddekaayi n'amubuulira byonna ebya mubaako, n'ebintu bwe byenkanira ddala Kamani bye yasuubiza okusasula mu mawanika ga kabaka olw'Abayudaaya, okubazikiriza.
8 Era n'amuwa n'ebyaggibwa mu kiwandiike eky'etteeka eryalaalikibwa mu Susani okubazikiriza okulyolesa Eseza n'okulimubuulira; n'okumukuutira ayingire eri kabaka amwegayirire era asabire abantu be mu maaso ge.
9 Awo Kasaki n'ajja n'abuulira Eseza ebigambo bya Moluddekaayi.
10 Awo Eseza n'agamba Kasaki n'amuwa ebigambo eby'okutwalira Moluddekaayi, nti
11 Abaddu ba kabaka bonna n'abantu ab'omu masaza ga kabaka bamanyi nga buli muntu, oba musajja oba mukazi, anaayingiranga eri kabaka mu luggya olw'omunda atayitiddwa, waliwo etteeka limu eri ye, attibwenga, wabula abo kabaka b'agololera omuggo ogwa zaabu abeere omulamu: naye nze siyitibwanga okuyingira eri kabaka, ennaku ziri amakumi asatu.
12 Awo ne babuulira Moluddekaayi ebigambo bya Eseza.
13 Awo Moluddekaayi n'abalagira okuddiza Eseza ebigambo nti Tolowoozanga mu mwoyo gwo nga ggwe ogenda okuwona mu nnyumba ya kabaka okusinga Abayudaaya bonna.
14 Kubanga bw'onoosirikira ddala mu biro bino, kale okulokoka n'okuwona kuliva awalala eri Abayudaaya, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo balizikirira: era ani amanyi oba nga ozze mu bwakaddulubaale olw'ebiro ebifaanana bwe bityo?
15 Awo Eseza n'abalagira okuddiza Moluddekaayi ebigambo nti
16 Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abaliwo mu Susani, munsiibire, so temulya newakubadde okunywa ennaku ssatu emisana n'ekiro; era nange n'abawala bange tunaasiiba bwe tutyo: bwe ntyo bwe ndiyingira eri kabaka, ekitali kya mu mateeka: era bwe ndizikirira, ndi zikirira.
17 Awo Moluddekaayi n'addayo n'akola nga byonna bwe byali Eseza by'amulagidde.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu Eseza n'ayambala ebyambalo bye ebya kaddulubaale, n'ayimirira mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera ennyumba ya kabaka: kabaka n'atuula ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nnyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'ennyumba.
2 Awo olwatuuka kabaka bwe yalaba Eseza kaddulubaale ng'ayimiridde mu luggya, kale n'aganja mu maaso ge: kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akoma ku musa gw'omuggo.
3 Awo kabaka n'alyoka amugamba nti Oyagala ki, kaddulubaale Eseza? era kiruwa kye weegayirira? onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka.
4 Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, kabaka ne Kamani bajje leero eri embaga gye mmufumbidde.
5 Awo kabaka n'ayogera nti Mwanguye Kamani kikolebwe nga Eseza bw'ayogedde. Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga Eseza gye yali afumbye.
6 Awo kabaka n'agamba Eseza nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Osaba ki? era kinaakukolerwa; era weegayirira ki? kinaatuukirizibwa ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka.
7 Awo Eseza n'addamu n'ayogera nti Kye nsaba era kye nneegayirira kye kino;
8 oba nga ŋŋanze mu maaso ga kabaka, era kabaka bw'anaasiima. okumpa kye nsaba, n'okutuukiriza kye nneegayirira, kabaka ne Kamani bajje eri embaga gye ndibafumbira, era enkya ndikola nga kabaka bw'agambye.
9 Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyuse era ng'ajaguzizza mu mwoyo: naye Kamani bwe yalaba Moluddekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayimirira so nga tamusegulira, n'ajjula obusungu eri Moluddekaayi.
10 Era naye Kamani n'azibiikiriza n'addayo eka; n'atuma n'aleeta mikwano gye ne Zeresi mukazi we.
11 Awo Kamani n'ababuulira ekitiibwa ky'obugagga bwe, n'abaana be bwe benkana obungi, n'ebigambo byonna kabaka mwe yamukuliza, era bwe yamukuza okusinga abakungu ba kabaka n'abaddu be.
12 Era Kamani n'ayogera nti Weewaawo, Eseza kaddulubaale teyaganya muntu yenna kuyingira wamu ne kabaka en embaga gye yali afumbye wabula nze; era n'enkya ampise wamu ne kabaka.
13 Naye ebyo byonna tebiriiko kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng'atuula ku mulyango gwa kabaka.
14 Awo Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti Basimbe ekitindiro obuwanw bwakyo emikono amakumi ataano, enkya oyogere ne kabaka okuwanika Moluddekaayi okwo: kale olyoke oyingire ne kabaka eri embaga ng'osanyuka Ekigambo ekyo ne kisanyusa Kamani; n'asimbya ekitindiro.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Awo mu kiro ekyo kabaka n'atayinza kwebaka; n'alagira okuleeta ekitabo ekijjukiza eky'ebigambo ebya buli lunaku, ne babisomera mu maaso ga kabaka.
2 Awo ne basanga nga kiwandiikiddwa nga Moluddekaayi yabuulira ebigambo bya Bigusani ne Teresi, babiri ku balaawe ba kabaka ku abo abaakuumanga oluggi, abaagezaako okukwata kabaka Akaswero.
3 Awo kabaka n'ayogera nti Kitiibwa ki na bukulu ki Moluddekaayi bye yaweebwa olw'ekyo? Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Tewali kintu kyaweereddwa.
4 Awo kabaka n'ayogera nti Ani ali mu luggya? Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw'ebweru olw'oku nnyumba ya labaka, okwogera ne kabaka okuwanika Moluddekaayi ku kitindiro kye yali amusimbidde.
5 Awo abaddu ba kabaka ne bamugamba nti Laba, Kamani ayimiridde mu luggya. Kabaka n’ayogera nti Ayingire.
6 Awo Kamani n'ayingira Kabaka n'amugamba nti Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa anaakolebwa ki? Awo Kamani n'ayogera mu mutima gwe nti Ani kabaka gwe yandisanyukidde okumussaamu ekitiibwa okukira nze?
7 Awo Kamani n'agamba kabaka nti Omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa,
8 baleete ebyambalo bya kabaka, kabaka by'ayambala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala eri etikkirwako ku mutwe engule ey'obwakabaka;
9 bawe ebyambalo n'embalaasi mu mukono gw'omu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze n'ebyo omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitiibwa.
10 Awo kabaka n'agamba Kamani nti Yanguwa oddire ebyambalo n'embalaasi nga bw'oyogedde, okolere ddala bw'otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka: waleme okubulako n'ekimu ku ebyo byonna by'oyogedde.
11 Awo Kamani n'addira ebyambalo n'embalaasi, n'ayambaza Moluddekaayi, n'amwambaza okuyita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maaso ge nti Bw'atyo bw'anaakolebwa omusajja kabaka gw'asanyukira okumussaamu ekitimbwa.
12 Awo Moluddekaayi n'akomawo eri omulyango gwa kabaka. Naye Kamani n'ayanguwa n’agenda ewuwe, ng'anakuwadde era ng'abisse ku mutwe gwe.
13 Awo Kamani n'abuulira Zeresi mnkazi we ne mikwano gye bonna byonna ebyamubaddeko. Awo abasajja be abagezi ne Zeresi mukazi we ne bamugamba nti Moluddekaayi gw'otanulidde okugwa mu maaso ge, oba nga wa ku zzadde lya Bayudaaya, tojja kumusinga, naye tolirema kugwa mu maaso ge.
14 Awo bwe baali nga bakyayogera naye, abalaawe ba kabaka ne bajja, ne banguwa okuleeta Kamani eri embaga Eseza gye yali afumbye.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga wamu ne Eseza kaddulubaale.
2 Awo kabaka n'agamba nate Eseza ku lunaku olw'okubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Kiki ky'osaba, kaddulubaale Eseza, era onookiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.
3 Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ai kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange olw'okusaba kwange, n'abantu bange olw'okwegayirira kwange:
4 kubanga tutundiddwa, nze n'abantu bange okuzikirizibwa, okuttibwa n'okubula. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye Yandifiiriddwa
5 Awo kabaka Akaswero n'alyoka ayogera n'agamba Eseza kaddulubaale nti Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?
6 Awo Eseza n'ayogera nti Omulabe era, atukyawa, Kamani ono omubi. Awo Kamani n'atya mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale.
7 Awo kabaka n'agolokoka ng'aliko eltiruri n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri: Kamani n'ayimirira okusaba obulamu bwe eri Eseza kaddulubaale; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza,
8 Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti N'okukwata anaakwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba? Ekigambo nga kiva mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani.
9 Awo Kalubona, omu ku balaswe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano Kamani kyakoledde Moluddekaayi, eyayogera olwa kabaka ebirungi, kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani. Kabaka n'ayogera nti Mumuwanike okwo.
10 Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali asimbidde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana:
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Awo ku lunaku olwo kabaka Akaswero n'awa Eseza kaddulubaale ennyumba ya Kamani omulabe w'Abayudaaya. Awo Moluddekaayi n'ajja mu maaso ga kabaka; kubanga Eseza yali amubuulidde bwe yamuli.
2 Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'ateeka Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani.
3 Awo Eseza n'ayogera nate olw'okubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwa Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe lwe yali asalidde Abayudaaya.
4 Awo kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu. Awo Eseza n'agolokoka n'ayimirira mu maaso ga kabaka.
5 N'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu manso ge, n'ekigambo ekyo bwe kinaafaanana eky'ensonga mu maaso ga kabaka, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yateesa, ze yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka:
6 kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira obubi obulijja ku bantu bange? oba nnyinza ntya okugumiiluriza, okutunuulira baganda bange nga babazikiriza?
7 Awo kabaka Akaswero n'agamba Eseza kaddulubaale ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti Iaba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya.
8 Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu linnya lya kabaka, mugisseeko akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiike ekiwandiikiddwa mu linnya lya kabaka era ekiteekeddwako akabonero n'empeta ya kabaka, tewali muntu ayinza okukijjulula.
9 Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'okusatu, gwe mwezi Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'amakumi abiri mu ssatu; era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu, eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali.
10 Era n'awandiika mu linnya lya kabaka Akaswero n'agissaako akabonero n'empeta ya kabaka n'aweereza ebbaluwa ezitwalibwa ababaka abeebagala embalaasi, abeebagadde ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka, ebyazaalibwa mu bisibo bya kabaka:
11 era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana n'okwesibira obulamu bwabwe okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo,
12 ku lunaku lumu mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.
13 Awo ne balaaliha amawanga gonna ebyaggibwa ku kiwandiike, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunakti olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.
14 Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne bagenda, ekiragiro kya kabaka nga kibakubiriza era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu lubiri w’e Susani.
15 Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu: awo ekibuga Susani ne kyogerera waggulu ne kisanyuka.
16 Awo Abayudaaya ne baba n'omusana n'essanyu, n'okujaguza n’ekitiibwa.
17 Awo mu buli ssaza ne mu buli kibuga, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga, Abayudaaya ne baba n'essanyu n'okujaguza, embaga n'olunaku olulungi. Kale bangi ab'omu mawanga ag'omu nsi ne bafuuka Abayudaaya; kubanga entiisa ey'Abayudaaya yali ebaguddeko.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa;
2 awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi: so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna.
3 Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko.
4 Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna: kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga
5 Awo Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna nga babakuba n'ekitala, nga babazikiriza nga babamalawo, ne bakola nga bwe baayagalaabo abaabakyawa.
6 Ne mu lubiri lw'e Susani Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bi taano.
7 Awo Palusandasa ne Dalufoni ne Asupasa
8 ne Polasa ne Adaliya ne Alidasa
9 ne Palumasuta ne Alisayi ne Alidayi ne Vaizasa,
10 batabani ba Kamani ekkumi mutabani wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babatta; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
11 Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abattirwa mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maaso ga kabaka.
12 Awo kabaka n'agamba Eseza kaddulubaale nti Abayudaaya basse bazikirizza abasajja ebikumi bitaano mu lubiri w’e Susani ne batabani ba Kamani ekkumi; kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? era onookiweebwa: oba kiki kye weegayirira nate? era kinaakolebwa.
13 Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani baweebwe okukola n'enkya ng'ekiragiro ekya leero bwe kibadde, era batabani ba Kamani ekkumi bawanikibwe ku kitindiro.
14 Awo kabaka n'alagira bakole bwe batyo: kale ne balangirira etteeka mu Susani; ne bawanika batabani ba Kamani ekkumi.
15 Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
16 Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana ne beesibira obulamu bwabwe, ne baba n'okuwummula eri abalabe baabwe, ne batta ku bo abaabakyawa obukumi musanvu nu enkumi ttaano; naye ne batasaako mukono gwabwe ku munyago.
17 Ebyo byabaawo ku lunaku lw'ekkumi n'essatu olw'omwezi Adali; ne ku lunaku lwagwo olw'e kumi n'ennya ne bawummula; ne alufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
18 Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'enya; ne ku lunaku lwagwo w'ekkumi n'ettaano ne bawummu ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
19 Abayudaaya ab'omu byaabaabeeranga mu bibuga ebitako bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'owezi Adali olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga era olunaku olulungi era olw'okuweerezaganirako emigabo.
20 Awo Moluddekaayi n'awandiika ebyo, n'aweereza ebbaluwa Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala,
21 okubalagira okukwatanga olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, n'olunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano, buli mwaka,
22 nga ze nnaku Abayudaaya kwe baafunira okuwummula eri abalabe baabwe, n'omwezi ogwabafuukira ogw'essanyu okuva mu buyinike, era olunaku olulungi okuva mu kunakuwala: bazifuulenga ennaku ez'okuliirangako embaga n'ez'okusanyukirangako n'ez'okuweerezaganirangako emigabo n'ez'okuweererezangako abaavu ebirabo.
23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukolanga nga bwe baatanula, era nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira;
24 kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza eri Abayudaaya okubazikiriza, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza;
25 naye ekigambo bwe kyatuuka mu maaso ga kabaka n'alagiririra mu bbaluwa olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.
26 Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng'erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonna eby'omu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baalaba mu kigambo ekyo n'ekyo ekyababaako,
27 Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza ne basuubiriza ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiike kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka;
28 era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo okubuna emirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okubula eri ezzadde lyabwe.
29 Awo Eseza kaddulubaale muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo ey'okubiri eya Pulimu.
30 N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu amakumi abiri mu musanvu ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima,
31 okunyweza ennaku ezo eza pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Eseza kaddulubaale bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.
32 Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Awo kabaka Akaswero n'asalira ensi omusolo, n'ebizinga eby'omu nnyanja.
2 Era ebikolwa byonna eby'obuyinza bwe n'amaanyi ge n'okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi bwe bwenkana, kabaka bwe yamukuza, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumiumbe gya bassekabaka b'e Bumeedi n'e Buperusi?
3 Kubanga Moluddekaayi Omuyudaaya yaddirira kabaka Akaswero, era yali mukulu mu Bayudaaya, era yakkirizibwa ekibiina kya baganda be; ng'ayagala okukola abantu be obulungi, era ng'abuulira ezzadde lye lyonna emirembe.
   

Next
Back