Ezekyeri  

Essuula 1

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano, bwe nnali ndi mu basibe ku mabbali g'omugga Kebali, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda.
2 Ku lunaku olw'okutaano olw'omwezi, gwe gwali omwaka ogw'okutaano ogw'okusibibwa kwa kabaka Yekoyakini,
3 ekigambo kya Mukama ne kijjirira ddala Ezeekyeri kabona mutabani wa Buuzi mu nsi ey'Abakaludaaya ku mabbali g'omugga Kebali; omukono gwa Mukama ne gubeera ku ye eyo.
4 Awo ne ntunula, era, laba, embuyaga ezikunta olw'amaanyi ne zifuluma obukiika obwa kkono, ekire ekinene n'omuliro ogw'ezingazinga n'okumasamasa okukyetoolodde, era mu gwo wakati ne muva ng'ebbala erya zaabu etabuddwamu effeeza, enva mu muliro wakati.
5 Era mu gwo wakati ne muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. N'embala yaabyo yali bw'eti; byalina ekifaananyi eky'omuntu.
6 Era buli kimu kyalina obwenyi buna, era buli kimu ku byo kyalina ebiwaawaatiro bina.
7 N'ebigere byabyo byali bigere bigolokofu; ne munda w'ebigere byabyo nga mufaanana munda w'ekigere ky'ennyana: era nga bitangalijja ng'ebbala ery'ekikomo ekizigule.
8 Era byalina emikono gy'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabyo ku mbiriizi zaabyo ennya: era ebyo ebina byalina obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo bwe biti;
9 ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kiwaawaatiro ne kinnaakyo; tebyakyuka bwe byatambula; byagenda buli kimu nga byesimbye.
10 Ekifaananyi ky'obwenyi bwabyo, byalina obwenyi bw'omuntu; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'empologoma ku lubiriizi olwa ddyo; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'ente ku lubiriizi olwa kkono; ebyo byonna byalina n'obwenyi bw'empungu.
11 N'obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo byali nga byawuse waggulu; ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu byagattibwa wamu, n'ebibiri byasaanikira emibiri gyabyo.
12 Era buli kimu byagenda nga byesimbye: omwoyo gye gwabanga gugenda, gye byagenda; tebyakyuka bwe byagenda.
13 Ekifaananyi ky'ebiramu ebyo, embala yaabyo yali ng'ebisiriiza eby'omuliro ebyaka, ng'embala ey'emimuli; yayambukanga n'ekkira wakati mu biramu ebyo: era omuliro nga gumasamasa ne mu muliro ne muva enjota.
14 Ebiramu ne biddukana mbiro ne bikomawo ng'ekifaananyi eky'okumyansa kw'eggulu.
15 Awo bwe nnali nga ntunuulira ebiramu ebyo, laba, nnamuziga ku ttaka ku mabbali g'ebiramu, buli bwenyi ku bwenyi bwabyo obuna nnamuziga omu.
16 Embala eya bannamuziga n'omulimu gwabwe baafaanana ebbala erya berulo: era abo abana baalina ekifaananyi kimu: n'embala yaabwe n'omulimu gwabwe byali nga nnamuziga ali wakati wa nnamuziga.
17 Bwe baatambulanga baatambuliranga ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula.
18 Obwekulungirivu bwabwe bwali buwanvu, bwa ntiisa; era abo abana baalina obwekulungirivu bwabwe nga bujjudde amaaso enjuyi zonna.
19 Era ebiramu bwe byatambulanga, bannamuziga baatambuliranga ku mabbali gaabyo: era ebiramu bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga.
20 Omwoyo buli gye gwabanga gugenda, gye baagendanga; eyo omwoyo gye gwabanga gugenda: ne bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo; kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.
21 Ebyo bwe byatambulanga, ne bano baatambulanga; era ebyo bwe byayimiriranga, ne bano baayimiriranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku ttaka, bannamuziga baasitulibwanga ku mabbali gaabyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwali mu bannamuziga.
22 Era waggulu w'omutwe ogw'ekiramu waaliwo ekifaananyi eky'ebbanga, ng'ebbala erya kulusitalo ow'entiisa, nga kitimbibwa ku mitwe gyabyo waggulu.
23 Era waasi w'ebbanga ebiwaawaatiro byabyo byali bigolokofu, ekimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi, na buli kimu kyalina bibiri ebyasaanikira eruuyi ku mibiri gyabyo.
24 Era bwe byatambulanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ng'eddoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonna, okuwuuma okw'oluyoogaano ng'okuwuuma kw'eggye: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Era waaliwo eddoboozi waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo: bwe byayimiriranga, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
26 Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo kwaliko ekifaananyi eky'entebe, ng'embala ey'ejjinja eya safiro: ne ku kifaananyi eky'entebe kwaliko ekifaananyi ng'embala ey'omuntu ku yo waggulu.
27 Ne ndaba ng'ebbala ery'ezaabu eta buddwamu effeeza, ng'embala ey'o muliro munda mu yo enjuyi zonna, okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okwambuka; era okuva ku mbala y'ekiwato kye n'okukka, nalaba ng'embala ey'omuliro, era waaliwo okumasamasa okumwetoolodde.
28 Ng'embala eya musoke aba ku kire ku lunaku olw'enkuba, bw'etyo bwe yali embala ey'okumasamasa enjuyi zonna. Eno ye yali embala ey'ekifaananyi eky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nnakiraba, ne nvuunama amaaso gange, ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 N'aŋŋamba nti Omwana w'o muntu, yimirira ku bigere bye nange naayogera naawe.
2 Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ki bigere byange; ne mpulira oyo eya yogera nange.
3 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga oku tuukira ddala ku lunaku olwa leero.
4 N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.
5 Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaale kayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.
6 Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.
7 Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini.
8 Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa:
9 Awo bwe nnatunula, laba, omukono gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo;
10 n'egwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Awo n'a ŋŋamba nti Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'osanga; ya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri.
2 Awo ne njasama akamwa kange n'andiisa omuzingo.
3 N'aŋŋamba nti omwana w'omuntu, liisa olubuto wo, ojjuze ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa. Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera.
4 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, genda otuuke eri ennyunba ya Isiraeri, oyogere nabo ebigambo byange.
5 Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri;
6 si eri amawanga amangi ab'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, b'otoyinza kutegeera bigambo byabwe. Mazima singa nkubatumidde bo, bandikuwulidde.
7 Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu.
8 Laba, nkalubizza amaaso go awali amaaso gaabwe, n'ekyenyi kyo nkikalubizza awali ekyenyi kyabwe.
9 Nfudde ekyenyi kyo ng'alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery'embaalebaale: obatyanga, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde iga nnyumba njeemu.
10 Era nate n’aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, owulire n'amatu go.
11 Era genda otuuke eri abo ab'obusibe, eri abaana ab'abantu bo, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo.
12 Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye.
13 Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo, okuwuuma okuwulukuka okunene.
14 Awo omwoyo negunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gw'a Mukama ne guba gw'amaanyi ku nze.
15 Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musannvu.
16 Awo olwatuuka ennaku musanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
17 Omwana w'omuntu nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulaba okuva gye ndi.
18 Bwe ŋŋamba omubi nti Toliirema kufa; naawe n'otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
19 Era naye bw'olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.
20 Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
21 Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emeeme yo.
22 Awo omukono gw'a Mukama ne guba ku nze eyo; n'aŋŋamba nti Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndyogerera naawe eyo.
23 Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali ne nvuunama amaaso gange.
24 Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti Genda weggalire mu nnyumba yo.
25 Naye ggwe, omwana w'omuntu, laba, balikussaako enjegere, ne bazikusibisa, so tolifuluma mu bo:
26 era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gye bali anenya: kubanga nnyumba njeemu.
27 Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Era, omwana w'omuntu, weddirire ettoffaali oliteeke mu maaso go, oliwandiikeko ekibuga, Yerusaalemi:
2 okizingize, okizimbireko ebigo, okituumireko ekifunvu; era teekawo ensiisira okukirumba, okisimbeko ebitomera enjuyi zonna.
3 Era weddirire ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga: okisseeko amaaso go, kale kirizingizibwa, naawe olikizingiza. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isiraeri.
4 Era nate galamiririra ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: ng'omuwendo gw'ennaku bwe guliba z'oligalamiririra ku lwo, bw'olyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
5 Kubanga ntaddewo emyaka egy'obutali butuukirivu bwabwe okuba gy'oli omuwendo gw'ennaku, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda: bw'otyo bw'olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Isiraeri.
6 Era nate bw'oliba ng'omaze ezo, oligalamiririra ku lubiriizi lwo olwa ddyo, olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda: ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka, bwe nnabuteekerawo gy'oli.
7 Era osse amaaso go eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, omukono gwo nga gubikkuddwako; era olikiragulirako.
8 Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n'ebijanjaalo ne kawo n'omuwemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'ennaku z'oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw'onooliirangako bw'otyo.
9 Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n'ebijanjaalo ne kawo n'omuwemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'ennaku z'oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw'onooliirangako bw'otyo.
10 N'emmere yo gy'onoolyanga eneepimibwanga, sekeri amakumi abiri buli lunaku: onoogiriiranga mu ntuuko zaayo.
11 Era onoonywanga amazzi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky'omukaaga: onoonyweranga mu ntuuko zaago.
12 Era onoogiryanga nga migaati gya sayiri, era onoogyokeranga mu mazzi agava mu bantu, bo nga balaba.
13 Awo Mukama n'ayogera nti Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri banaalyanga emmere yaabwe nga si nnongoofu mu mawanga gye ndibagobera.
14 Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! Laba, emmeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku buto bwange na buli kati siryanga ku ekyo ekifa kyokka newakubadde ekitaaguddwa ensolo; so n'ennyama ey'omuzizo teyingiranga mu kamwa kange.
15 Awo n'alyoka aŋŋamba nti Laba, nkuwadde obusa bw'ente mu kifo ky'amazzi ag'abantu, era onoolongooserezanga okwo omugaati gwo.
16 Era nate n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, laba, ndimenya omuggo ogw'omugaati mu Yerusaalemi: kale banaalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banaanywanga amazzi nga bagagera era nga basamaalirira:
17 babulwe omugaati n'amazzi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Naawe, omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okyeddirire ng'akamwano ak'omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri.
2 Ekitundu eky'okusatu okyokeranga mu muliro wakati mu kibuga, ennaku ez'okuzingiza nga zituukiridde; n'ekitundu eky'okusatu okiddiranga, n'otema n'ekitala okukyetooloola; n'ekitundu eky'okusatu okisaasaanyizanga eri empewo, nange ndisowola ekitala ekiribagoberera.
3 Era otwalangako omuwendo gwazo si nnyingi n'ozisiba mu kirenge kyo.
4 Era ne ku ezo otwalangako, ozisuule mu muliro wakati, ozookere mu muliro; mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kino ye Yerusaalemi: nkitadde wakati mu mawanga, n'ensi zikyetoolodde.
6 Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliddemu.
7 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde;
8 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba.
9 Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw'emizizo gyo gyonna.
10 Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.
11 Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebiwe n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa.
12 Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera.
13 Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange.
14 Era nate ndikufuula amatongo n'ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba.
15 Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde
16 bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw'enjala obw'okuzikiriza bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw'omugaati;
17 era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Era ekigambo lya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, osse amaaso ge eri ensozi za Isiraeri, oziragule, oyogere nti
3 Mmwe ensozi za Isiraeri muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, eri ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.
4 N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyeka: eri ndisuula abasajja bammwe abattibwa mu maaso g'ebifaananyi byammwe.
5 Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.
6 Mu bifo byonna mwe mubeera ebibuga birizisibwa, n'ebifo ebigulumivu birirekebwawo: ebyoto byammwe bizisibwe era birekebwewo, n'ebifaananyi byammwe bimenyeke biggweewo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba bitemerwe ddala, n’emirimu gyammwe giggibwewo.
7 Kale abattibwa baligwa wakati mu mmwe, era mulimanya nga nze ndi Mukama
8 Era naye ndireka ekitundu ekifisseewo, kubanga muliba n'abamu abaliwona ekitala mu mawanga, bwe mulisaasaanyizibwa mu nsi nnyingi.
9 Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa mu basibe, bwe nnamenyeka olw’omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okuberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw’obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna.
10 Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno.
11 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.
12 Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n’ekitala; n'oyo asigalawo n’azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo.
13 Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti ogwera ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna.
14 Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekesawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi a Isiraeri nti Enkomerero: enkonerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi.
3 Kaakano enkonerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emisizo gyo gyonna.
4 So n'eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati: kale mulimanya nga nze Mukama.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Akabi, akabi kamu: laba, kajja.
6 Enkomerero etuuse, enkomerero yennyini etuuse, ezuukuka eri ggwe: laba, ejja.
7 Omusango gwo gutuuse gy'oli, ai ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so si lwa kwogereramu waggulu n'essanyu, ku nsozi.
8 Kaakano naatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne ntuukiriza obusungu bwange eri ggwe, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna.
9 So n'eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: ndikuleetako ng'amakubo go bwe gali, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba.
10 Laba, olunaku, laba, lujja: omusango gwo gufulumye; omuggo gwanyizza, amalala gamulisizza.
11 Ekyejo kigolokose okuba omuggo ogw'obubi; tewaliba ku bo abalisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe newakubadde obugagga bwabwe: so tewaliba bukulu mu bo.
12 Ekiseera kiruuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonna.
13 Kubanga atunda talidda eri ekyo ekitundibwa, newakubadde nga bakyali balamu: kubanga okwolesebwa kwa lufulube lwabwe lwonna, tewaliba alidda; so tewaliba alyenyweza mu butali butuukirivu obw'obulamu bwe.
14 Bafuuye ekkondeere bategese byonna; nave tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku lufulube lwabwe lwonna.
15 Ekitala kiri bweru, ne kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimulya.
16 Naye abo abaliwonawo ku bo baliwona, era baliba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe.
17 Emikono gyanna giriyongobera, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi.
18 Era balyesiba ebibukutu, n'ensisi eribabikkako; n'ensonyi ziribeera ku maaso gonna, n'emitwe gyabwe gyonna giribaako ebiwalaata.
19 Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalyekkusa mmeeme zaabwe, so tebalyejjuza mbuto zaabwe: kubanga ebyo bye byabanga enkonge ey'obutali butuukirivu bwabwe.
20 Obulungi obw'obuyonjo bwe yabusimba mu bukulu: naye ne bakolera ebifaananyi eby'emizizo gyabwe n'ebintu byabwe eby'ebivve omwo: kyenvudde mbufuula gye bali ng'ekintu ekitali kirongoofu.
21 Era ndibuwaayo mu mikono gya bannaggwanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi okuba eky'okugereka; era balibwonoona.
22 Era ndikyusa n'amaaso gange okugabaggyako, era bo balyonoona ekifo kyange eky'ekyama: era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
23 Kola olujegere: kubanga ensi ejjudde emisango egy'omusaayi, era ekibuga kijjudde ekyejo.
24 Kyendiva ndeeta bannaggwanga abasinga obubi, ne balya ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25 Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, kale nga tewali.
26 Walijja akabi ku kabi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balinoonya okwolesebwa eri nnabbi; nave amateeka galibula awali kabona, n'okuteesa awali abakadde.
27 Kabaka aliwuubaala, n'omukungu alyambala obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi giryeraliikirira: ndibakola ng'ekkubo lyabwe bwe liri, era nga bwe basaanidde bwe ndibasalira omusango; kale balimanya nga nze Mukama.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omukaaga mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku oIw'okutaano olw'omwezi, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n'abakadde ba Yuda nga batudde mu maaso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gugwira eyo ku nze.
2 Awo ne ntunula, era, laba, ekifaananyi ekyali ng'embala ey'omuliro; okuva ku mbala ey'ekiwato kye ne wansi, muliro: n'okuva ku kiwato kye n'okwambuka, ng'embala ey'okumasamasa, ng'ebbala lya zaabu etabuddwamu effeeza.
3 Awo n'agolola ekyali ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enviiri ez'oku mutwe gwange; omwoyo ne gunsitula wakati w'ensi n'eggulu ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri oluggi olw'omulyango ogw'oluggya olw'omunda, ogutunuulira obukiika obwa kkono; awali entebe ey'ekifaananyi eky'obuggya ekireeta obuggya.
4 Awo, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isireaeri kyali eyo ng'embala bwe yali gye nnalabira mu lusenyi.
5 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimusa amaaso go kaakano eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono. Awo ne nnyimusa amaaso gange eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono, kale, laba, ekifaananyi kino eky'obuggya nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omulyango ogw'ekyoto.
6 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olaba kye bakola? olaba emizizo emikulu ennyumba ya Isiraeri gye bakolera wano, ndyoke nneesambe wala awatukuvu wange? naye onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu.
7 Awo n'andeeta ku luggi olw'oluggya; awo bwe nnatunula, laba, ekituli nga kiri mu kisenge.
8 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, sima nno mu kisenge awo bwe nnamala okusima mu kisenge, laba, oluggi.
9 N'aŋŋamba nti Yingira olabe emizizo egy'obubi gye bakolera wano.
10 Awo ne nnyingira ne ndaba; era, laba, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo ez'emizizo n'ebifaananyi byonna eby'ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku kisenge enjuyi zonna.
11 Era nga wayimiridde mu maaso gaabyo abasajja nsanvu ku bakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri, ne wakati mu bo nga muyimiridde Yaazaniya mutabani wa Safani, buli muntu ng'akutte ekyoterezo kye mu mukono gwe; akaloosa ak'ekire eky'obubaane ne kanyooka.
12 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olabye abakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga boogera nti Mukama tatulaba; Mukama yaleka ensi.
13 Era n'aŋŋamba nti Era onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu gye bakola.
14 Awo n'andeeta eri oluggi olw'omulyango ogw'ennyumba ya Mukama ogwayolekera obukiika obwa kkono; awo, laba, abakazi nga batudde eyo nga bakaabira Tammuzi.
15 Awo n'arlgamba nti Olabye, omwana w'omuntu? era onoolaba nate emizizo egisinga gino obukulu.
16 Awo n'andeeta mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, kale, laba, ku luggi olwa yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano, abakubye enkoona yeekaalu ya Mukama n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira ebuvanjuba.
17 Awo n'aŋŋamba nti Olabye, omwana w'omuntu? kigambo kyangu eri ennyumba ya Yuda nga bakola emizizo gye bakolera wano? kubanga bajjuzizza ensi ekyejo, era bakyuse nate okunsunguwaza: era, laba, basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe.
18 Era nange kyendiva nkola n'ekiruyi: eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: era newakubadde nga bakaaba n'eddoboozi ddene mu matu gange, siribawulira.
   

Next
Back