Ezekyeri  

Essuula 17

1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, leeta ekikokko ogerere ennyumba ya Isiraeri olugero;
3 oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Empungu ennene erina ebiwaawaatiro ebinene n'ebiwaawa ebiwanvu eriko ebyoya bingi, ey'amabala agatali gamu, yajja ku Lebanooni, n'etwala obusongezo bw'omuvule:
4 yanogako amasanso gaagwo amato agakomererayo, n'eguggyayo n'egutwala mu nsi ey'obusuubuzi; yagusimba mu kibuga eky'abasuubuzi.
5 Era yatwala ne ku nsigo ey'omu nsi, n'egisiga mu ttaka ggimu; yaguteeka awali amazzi amangi n'egusimba ng'omusafusafu.
6 Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gagikyukira n'emmizi gyagwo gyali wansi waayo: kale ne guba muzabbibu ne gusuula amatabi, ne gumera amasanso.
7 Era waaliwo n'empungu ennene endala, eyalina ebiwaawaatiro ebinene n'ebyoya bingi: kale, laba, omuzabbibu ogwo ne gugiwetera emmizi gyagwo, ne gumera amatabi gaagwo okugenda gy'eri, okuva mu bibibi mwe gwasimbibwa, egufukirire amazzi.
8 Gwasimbibwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, gusuule amatabi era gubale ebibala, gubeerenga omuzabbibu omulungi.
9 Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Guliraba omukisa?talisimbulammizi gyagwo, n'asalako ebibala byagwo, guwotoke; amalagala gaagwo gonna amabisi agamera gawotoke; newakubadde nga tewali buyinza bungi newakubadde abantu bangi okugusimbula n'emmizi gyagwo?
10 Weewaawo, laba, bwe gusimbibwa guliraba omukisa? teguliwotokera ddala, embuyaga ez'ebuvanjuba bwe zigukomako? guliwotokera mu bibibi mwe gwakulira.
11 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
12 Gamba nno ennyumba enjeemu nti Temumanyi bigambo bino amakulu gaabyo bwe gali? babuulire nti Laba, kabaka w'e Babulooni yajja e Yerusaalemi n'awamba kabaka waayo n'abakungu baayo n'abaleeta gy'ali e Babulooni;
13 era n'atwala ku zzadde lya kabaka, n'alagaana naye endagaano; era n'amulayiza ekirayiro, n'aggyaYo ab'amaanyi ab'omu nsi:
14 obwakabaka bukkakkane, buleme okwegulnmiza, naye bunywere olw'okukwata endagaano ye.
15 Naye n'amujeemera ng'atuma ababaka be mu Misiri, bamuwe embalaasi n'a bantu bangi. Aliraba omukisa? aliwona oyo akola ebifaanana bwe bityo? alimenya endagaano, era naye n'ewona?
16 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima mu kifo kabaka mw'abeera eyamufuula kabaka, gwe yanyoomako ekirayiro kye n'ameny endagaano ye, oyo gy'ali waka mu Babulooni gy'alifiira.
17 So ne Falaawo n'eggye lye ery'amaanyi n'ekibiina ekinene talibaako ky'amugasa mu ntalo, bwe balituuma ebifunvu ne bazimba ebigo, okuzikiriza abantu bangi.
18 Kubanga anyoomye ekirayiro ng'amenya endagaano; era, laba, yali awadde omu kono gwe, era naye akoze eby byonna; taliwona.
19 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nga bwe ndi omulamu, mazima ekirayiro kyange ky'anyoomye n'endagaano yange gy'amenye ndibituusa n'okubituusa ku mutwe gwe ye.
20 Era ndimusuulako ekitimb kyange, era ndimutwala e Babulooni, era ndiwoleza naye eyo olw'e kyonoono kye kye yannyonoona.
21 Era abadduse be bonna mu bibiina bye byonna baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaa saanyizibwa eri empewo zonna kale mulimanya nga nze Mukama njogedde.
22 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era nditwala ku bu songezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvi olugulumivu:
23 ku lusozi olw'e ntikko ya Isiraeri kwe ndirisimba kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi era wansi waagwo wanaabeerang; ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinaatuulanga.
24 Me miti gyonna egy'omu ttale girimanya nga nze Mukama nkakkanyizzi omuti omuwanvu, era nga ngulumizizza omuti omumpi, era nga nkazizza omuti ogwamera, era nga njezezza omuti omukalu: nze Mukama njogedde era nkikoze.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo kya Mukama kyanjijira nate nga kyogera nti
2 Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula n'amannyo g'abaana ganyenyeera?
3 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temuliba na nsonga nate okugera olugero olwo mu Isiraeri.
4 Laba, emmeeme zonna zange; ng'emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana bw'eryo yange: emmeeme ekola ekibi ye erifa.
5 Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa eby'ensonga,
6 so nga taliiridde ku nsozi, so nga tayimusizza maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, so nga tayonoonye mukazi wa munne, so nga tasemberedde mukazi mu biro eby'okweyawula kwe;
7 so nga talyazaamaanyizza muntu yenna, naye eyaddizanga omwewoze omusingo gwe, so nga tanyaze muntu yenna lwa maanyi, era eyawanga omuyala emmere ye n'abikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo;
8 so nga talyazaamaanyizza muntu yenna, naye eyaddizanga omwewoze omusingo gwe, so nga tanyaze muntu yenna lwa maanyi, era eyawanga omuyala emmere ye n'abikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo;
9 eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga emisango gyange, okukolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda.
10 Bw'alizaala omwana, omunyazi, ayiwa omusaayi, era akola ku ebyo byonna,
11 so atakola ku ebyo byonna ebimugwanidde, naye okulya eyaliira ku nsozi, n'ayonoona mukazi wa munne,
12 eyalyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, eyanyaga olw'amaanyi, so atazza musingo, era eyayimusa amaaso ge eri ebifaananyi, eyakola eby'emizizo,
13 eyawolanga olw'amagoba, era eyakkiriza ebisukkirira: kale aliba mulamu ono? taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye.
14 Laba, bw'alizaala omwana, alaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo,
15 ataliiranga ku nsozi, so atayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, atayonoonanga mukazi wa munne,
16 so atalyazaamaanyanga muntu yena, atasingirwanga kintu, so atanyaganga lwa maanyi, naye eyawanga omuyala emmere ye, eyabikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo,
17 eyaggyako omukono gwe eri omwavu atakkirizanga magoba newakubadde ebisukkirira, eyatuukirizanga emisango gyange, eyatambuliranga mu mateeka gange; oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, talirema kuba mulamu.
18 Kitaawe, kubanga yajooga n'obukambwe, n'anyaga muganda we olw'amaanyi, n'akola ebyo ebitali birungi mu bantu be, laba, alifiira mu butali butuukirivu bwe.
19 Era naye mwogera nti Omwana kiki ekimulobera okubaako obutali butuukiriw bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa eby'ensonga, era ng'akutte amateeka gange gonna, era ng'agakoze, talirema kuba mulamu.
20 Emmeeme eyonoona ye erifa: omwana talibaako butali butuukiriw bwa kitaawe, so ne kitaawe talibaako butali butuukirivu bwa mwana we; obutuukiriw obw'omutuukiriw buliba ku ye, n'obubi obw'omubi buliba ku ye.
21 Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa eby'ensonga, talirema kuba mulamu, talifa.
22 Tewaliba ku byonoono bye bye yayonoona ebirijjukirwa ku ye: alibeera omulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola.
23 Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?
24 Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira.
25 Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Muwulire nno, ai ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanattkana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
26 Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira.
27 Nate omuntu omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe bw'akoze n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliwonya eauneeme ye okufa.
28 Kubanga alowooza n'akyuka okuleka ebyonoono bye byonna by'akoze, talirema kuba mulamu, talifa.
29 Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
30 Kyendiva mbasalira omusango, ai ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomeewo, mukyuke okuleka ebyonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza.
31 Musuule wala nammwe ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mwekolere omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?
32 Kubanga sirina ssanyu lyakusanyukira lwa kufa kw'oyo afa, bw'ayogera Mukama Katonda: kale mwekyuse muleme okufa
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 Era nate tanula okukungubagira abakungu ba Isiraeri,
2 oyogere nti Nnyoko kyali kiki? Mpologoma nkazi: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma ento mwe yayonseza abaana baayo.
3 N'akuza emu ku baana baayo; n'eba mpologoma ento: n'eyiga okukwata omuyiggo, n'erya abantu.
4 Era n'amawanga ne gagiwulira; yakwatibwa mu bunnya bwabwe; ne bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri.
5 Awo enkazi bwe yalaba ng'erindiridde n'essuubi lyayo nga libuze, n'eryoka eddira omwana gwayo omulala, n'egufuula empologoma ento.
6 N'etambulatambula mu mpologoma, yafuuka empologoma ento: era yayiga okukwata omuyiggo, yalya abantu.
7 Era yamanya amayumba gaabwe, n'ezisa ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonna ebyalimu olw'eddoboozi ery'okuwuluguma kwayo.
8 Awo amawanga ne bagirumba enjuyi zonna nga gayima mu masaza: ne bagisuulako ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu bunnya bwabwe.
9 Ne bagisiba mu jjiririzo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwala mu bigo, eddoboozi lyayo lireme okuwulirirwa nate ku nsozi za Isiraeri.
10 Nnyoko yali ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbibwa awali amazzi: yali mugimu, yajjula amatabi olw'amazzi amangi.
11 Era yalina emiggo eminywevu okuba emiggo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumizibwa wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'amatabi gaabwe.
12 Naye yasimbulibwa olw'ekiruyi; yasuulibwa wansi, embuyaga ez'ebuvanjuba ne zikaza ebibala bye: emiggo gye eminywevu ne giwogokako ne giwotoka; omuliro ne gugookya.
13 Awo kaakano asimbiddwa mu ddungu, mu nsi enkalu ey'emiyonta.
14 Era omuliro guvudde mu miggo egy'amatabi ge, gwokezza ebibala bye, ne kutaba ku ye omuggo munywevu okuba omuggo ogw'obwakabaka ogw'okufuga. Ebyo bya kukungubaga, era biriba bya kukungubaga.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omusanvu mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja okubuuza Mukama ne batuula mu maaso gange.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
3 Omwana w'omuntu, yogera n'abakadde ba Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Muzze okumbuuza? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe.
4 Onoobasalira, omwana w'omuntu, onoobasalira omusango? Bamanyise emizizo gya bajjajjaa bwe;
5 obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku Iwe nneeroboza Isiraeri ne nnyimusa omukono gwange eri ezzadde ery'ennyumba ya Yakobo, ne nneemanyisa eri bo mu nsi y'e Misiri, bwe nnayimusa omukono gwange eri bo, nga njogera nti Nze Mukama Katonda wammwe;
6 ku lunaku olwo nayimusa omukono gwange eri bo okubaggya mu nsi y'e Misiri, okubayingiza mu nsi gye nnali mbakettedde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna:
7 ne mbagamba nti Musuule buli muntu emizizo egy'amaaso ge, so temweyonoonyesanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; Me Mukama Katonda wammwe.
8 Naye ne banjeemera ne batayagala kumpulira; tebaasuula buli muntu emizizo egy'amaaso gaabwe, so tebaaleka bifaananyi bya Misiri: kale ne njogera okubafukako ekiruyi kyange, okutuukiriza obusungu bwange ku bo wakati mu nsi y'e Misiri.
9 Naye nakola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga, mwe baali, be nneetegereza mu maaso gaabwe gye bali, nga mbaggya mu nsi y'e Misiri.
10 Awo ne mbatambuza okuva mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu ddungu.
11 Awo ne mbawa amateeka gange ne mbalaga emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo.
12 Era nate ne mbawa ssabbiiti zange, okuba akabonero wakati wange nabo, balyoke bamanye nga aze Mukama abatukuza.
13 Naye ennyumba ya Isiraeri ne banjeemera mu ddungu: tebaatambuliranga mu mateeka gange, ne bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; ne ssabbiiti zange ne bazoonoona nnyo; kale ne njogera okubafukirako ekiruyi kyange mu ddungu okubamalawo.
14 Naye ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe.
15 Era nate ne mbayimusiza omukono gwange mu ddungu nga sigenda kubaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, kye kitiibwa ky'ensi zonna;
16 kubanga baagaana emisango gyange ne batatambuliranga mu mateeka gange ne boonoonanga ssabbiiti zange: kubanga omutima gwabwe gwagobereranga ebifaananyi byabwe.
17 Era naye eriiso lyange ne libasonyiwa okuzikirizibwa, so saabamalirawo ddala mu ddungu.
18 Awo ne nnambira abaana baabwe mu ddungu nti Temutambu liranga mu mateeka ga bajjajja mmwe so temwekuumanga mi sango gyabwe so temweyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe:
19 nze Mukama Katonda wammwe; mutambu lirenga mu mateeka gange, mukwa tenga emisango gyange mugikolenga:
20 era mutukuzenga essabbiiti zange; era zinaabanga kabonero wakati wange nammwe, mumanys nga nze Mukama Katonda wammwe.
21 Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo aliba mulamu mu gyo; baayonoonanga ssabbiiti zange; kale ne njogera okubafukirako ekituyi kyange okutuukiriza obusungu bwange eri bo mu ddungu.
22 Era naye ne nziza omukono gwange ne nkola olw'erinnya lyange lireme okuvumisibwa mu maaso g'amawanga be nnabaggira mu maaso gaabwe.
23 Era natene mbayimusizaomukono gwange mu ddungu aga ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbatataaganyiza mu nsi nnyingi;
24 kubanga baali tebatuukirizza misango gyange, naye nga bagaanyi amateeka gange, era nga boonoonye essabbiiti zange, n'amaaso gaabwe gaali nga, gagoberera ebifaananyi bya bajjajjaabwe.
25 Era nate ne mbawa amateeka agatali malungi, n'emisango gye batagenda kubeereramu balamu;
26 ne mbagwagwawaza olw'ebirabo byabwe bo, kubanga baayisanga mu muliro bonna abaggulaada, ndyoke mbamaleko byonna, era bamanye nga nze Mukama.
27 Kale, omwana w'omuntu, yogera n’ennyumba ya Isiraeri obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era ne mu kino bajjajjammwe mwe banvumidde, kubanga bansobyako ekyonoono.
28 Kubanga bwe nnali mbayingizizza mu nsi gye nnayimu.siza omukono gwange okubawa, kale ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti omuziyivu, ne baweeranga eyo ssaddaaka zaabwe, era eyo gye baaleeteranga ekiweebwayo kyabwe ekinnyiiza, era eyo gye baanyookerezanga akaloosa kaabwe, ne bafukanga ebiweebwayo byabwe eby’okunywa.
29 Awo ne mbagamba nti Ekifo ekigulumivu gye mugenda amakulu gaakyo ki? Awo erinnya lyakyo ne kituumibwa Bama ne leero.
30 Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mweyonoonyesa ng'engeri bwe yali eya bajjajjammwe? era mwenda okugoberera emizizo gyabwe?
31 era bwe muwaayo ebirabo byammwe, bwe muyisa batabani bammwe mu muliro, mweyonoonyesa n'ebifaananyi byammwe byonna ne leero? kale naabuuzibwa mmwe, ai ennyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, siibuuzibwe mmwe:
32 n'ekyo ekiyingira mu mwoyo gwammwe tekiribaawo n'akatono; kubanga mwogera nti Tunaaba ng'amawanga, ng'ebika eby'omu nsi, okuweereza emiti n'amayinja.
33 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima ndiba kabaka wammwe n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'ekiruyi ekifikkiddwa:
34 era ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogugoloddwa n'ekiruyi ekifukiddwa:
35 era ndibaleeta mu ddungu ery'amawanga, era ndiwoleza eyo nammwe nga tutunulagana amaaso n'amaaso.
36 Nga bwe nnawoleza ne bajjajjammwe mu ddungu ery'ensi y'e Misiri, bwe ntyo bwe ndiwoza nammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
37 Era ndibayisa wansi w'omuggo, era ndibayingiza mu busibe bw'endagaano;
38 era ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abansobya; ndibaggya mu nsi mwe batuula, naye tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri: kale mulimanya nga nze Mukama.
39 Nammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mugende muweereze buli muntu ebifaananyi bye, era n'oluvannyuma, bwe mutalikkiriza kumpulira: naye erinnya lyange ettukuvu temuliryonoona nate n'ebirabo byammwe n'ebifaananyi byammwe.
40 Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe balimpeerereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byammwe n'ebibala ebibereberye eby'ebitone byammwe wamu n'ebintu byammwe byonna ebitukuvu.
41 Ndibakkiriza ng'akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa; kale nditukuzibwa mu mmwe mu maaso g'amawanga.
42 Awo mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe.
43 Awo mulijjuukirira eyo amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe byonna bye mwegwagwawaza nabyo; era mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
44 Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'erinnya lyange, si ng'amakubo gammwe amabi bwe gali, so si ng'ebikolwa byammwe ebikyamu bwe biri, ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.
45 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
46 Omwana w'omuntu, simba amaaso go obukiika obwa ddyo, otonnyese ekigambo kyo okwolekera obukiika obwa ddyo, olagulire ku kibira eky'ennimiro ey'obukiika obwa ddyo;
47 ogambe ekibira eky'obukiika obwa ddyo nti Wulira ekigambo kya Mukama; bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuma omuliro mu ggwe ne gwokya buli muti ogwera oguli mu ggwe na buli muti mukalu: ennimi ez'omuliro ezaaka tezirizikizibwa, n'amaaso gonna okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono galiggya nagwo.
48 Kale bonna abalina omubiri baliraba nga nze Mukama ngukumye: tegulizikizibwa.
49 Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! banjogerako nti Si mugezi wa ngero?
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera e Yerusaalemi, otonnyese ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ya Isiraeri;
3 ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo, ne nktunaliramu ddala omutuukirivu n'omubi.
4 Kale kubanga ndikumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi, ekitala kyange kyeluriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonna abalina omubiri, okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono:
5 kale bonna abalina omubiri balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo; tekiridda nate lwa kubiri.
6 Kale ssa ebikkowe, ggwe omwana w'omuntu; amabega go nga gakusonjose era ng'oliko obuyinike bw'olissa ebikkowe bw'otyo bo nga balaba.
7 Kale olunaatuuka bwe banaakugamba nti Lwaki ggwe okussa ebikkowe? n'oyogera nti Olw'ebigambo ebiwuliddwa, kubanga bijja: na buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyotma giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi: laba, bijja, era birikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9 Omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Yogera nti Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa:
10 kiwagaddwa kitte ekiwendo; kiziguddwa kibe ng'enjota: kale tunaasanyuka? omuggo ogw'omwana we gunyooma buli muti.
11 Era kiweereddwayo okuzigulwa, kiryoke kikwatibwe: ekitala kiwagaddwa, weewaawo, kiziguddwa, okukiwaayo mu mukono gw'omussi.
12 Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo.
13 Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugaya bwe guliba nga tegukyaliwo? bw'ayogera Mukama Katonda.
14 Kale ggwe, omwana w'omuntu, lagula okube mu ngalo; ekitala kyongerwe omuIundi ogw'okusatu, ekitala eky'abafumitiddwa okufa: kye kitala ky'omukulu, afumitiddwa okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe.
15 Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, omutima gwabwe gusaanuuke n'okwesittala kwabwe kwongerwe nnyo: ee! kifuuse ng'enjota, kisongoddwa olw'okutta.
16 Weekuŋŋaanye, tambulira ku gwa ddyo; tala, tambulira ku gwa kkono; yonna yonna amaaso go gye goolekera.
17 Era ndikuba mu ngalo, ne nzikusa ekiruyi kyange: nze Mukama nkyogedde.
18 Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti
19 Era, omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babulooni mwe kinaafuluma; ago gombi galiva mu nsi emu: olambe ekifo, okirambire ekkubo eridda mu kibuga we lisibuka.
20 Oteekewo ekkubo ekitala mwe kinaafuluma okutuuka e Labba eky'abaana ba Amoni n'okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko enkomera.
21 Kubanga kabaka w'e Babulooni yayimirira mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we gasibuka; okulagulwa: yazunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku baterafi, n'akebera ekibumba.
22 Mu mukono gwe ogwa ddyo nga mulimu obulaguzi obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okwasamira akamwa okutta, okuyimusa eddoboozi n'okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo.
23 Era buliba gye bali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye ajjukiza obutali butuukirivu, balyoke bakwatibwe.
24 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mujjukizizza obutali butuukirivu bwammwe, kubanga okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabika mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mujjukiddwa, mulikwatibwa n'omukono.
25 Naawe, ai ggwe omubi afumitiddwa okufa, omukulu wa Isiraeri, ajjiriddwa olunaku lwo, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero;
26 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa.
27 Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n'ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.
28 Naawe, omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda eby'abaana ba Amoni n'eby'okuvuma kwabwe; oyogere nti Ekitala, ekitala kisowoddwa, kiziguliddwa ekiwendo, okukiriisa, kibeere ng'enjota:
29 nga bwe baakulabira ebyayanga, nga bwe baakulagula eby'obulimba, okukuteeka ku nsingo z'ababi abafumitiddwa okufa abajjiddwa olunaku lwabwe, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero.
30 Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango.
31 Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza.
32 Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliba wakati mu nsi; tolijjukirwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.
3 Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo so, ekiseera kyakyo kituuke, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawaza!
4 Ozzizza omusango ogw'omusaayi gwo gw'oyiye, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okukudaalira eri ensi zonna.
5 Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala.
6 Laba, abakungu ba Isiraeri, buli muntu ng'obuyinza bwe bwe buli, baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi.
7 Mu ggwe mwe baanyoomeranga kitaabwe ne nnyaabwe; wakati mu ggwe mw baakoleranga omugenyi eby'okujooga: mu ggwe mwe baalyazaamaanya nga atalina kitaawe ne nnamwandu.
8 Wanyoomanga ebintu byange ebitukuvu, n'oyonoonanga ssabbiiti zange.
9 Abasajja abawaayiriz baabanga mu ggwe okuyiwa omu saayi: ne mu ggwe mwe baaliirang ku nsozi: wakati mu ggwe mw baakoleranga eby'obukaba.
10 Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa kitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira n'amaanyi omukazi eyali nga si mulongoofu olw'okweyawul kwe.
11 Era waliwo akoze eky'o muzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obu kaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwa nnyina muwala wa kitaawe.
12 Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba ne bisukkirira, era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba ng'okwatiddwa omululu ng'ojooga, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.
13 Laba nno, amagoba go agata ga mazima ge wagoba kyennava ngakubira mu ngalo n'omusaayi gwo ogwabanga wakati mu ggwe.
14 Omutima gwo guliyinza okugumiikiriza, oba emikono gyo giriyinza okuba n'amaanyi, mu nnaku mm nditeeseza ebibyo? nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola.
15 Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu empitambi yo.
16 Awo oligwagwawazibwa ku bubwo wekka mu maaso g'amawanga; kale olimanya nga nze Mukama.
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18 Omwana w'omuntu, ennyumba Isiraeri efuuse amasengere gye ne bonna bikomo na masasi na byun na bbaati wakati mu kikoomi; masengere ga ffeeza.
19 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse mas ngere, laba, kyendiva mbakuŋŋnaana mu Yerusaalemi wakati.
20 Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omulikubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.
21 Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo.
22 Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati nu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.
23 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
24 omwana w'omuntu, kigambe nti ggwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonnyebwako nkuba ku lunaku olw'okunyiigirako.
25 Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuuguma etaagulataagula omuyiggo:) alidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde bannamwandu baakyo okuba abangi wakati mu kyo.
26 Bakabona baakyo bagiridde ekyejo amateeka gange, era bagwagwawazizza ebintu byange ebinkuvu: tebaawuddeemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tebayigiriza bantu okwawulamu ebitali birongoou n'ebirongoofu, era bakwese amaaso gaabwe essabbiiti zange, nange tvumisibwa mu bo.
27 Abakungu baakyo wakati mu kyo bali ng'enisege egitaagulataagula omuyiggo; okuyiwa omusaayi n'okuzikiriza emmeeme balyoke bafune amagoba igatali ga mazima.
28 Era bannabbi baakyo babasiigiddeko ebbumba eritasekuddwa bulungi, nga balaba ebyayanga era nga babalagula eby'obulimba, nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Mu zama nga so tayogedde.
29 Abantu ab'omu nsi bajooze, ne bagoberera okunyaga; weewaawo, beeraliikirizza omwavu n'eyeetaaga, era bajooze nunnaggwanga nga bamulanga bwereere.
30 Ne nnoonya omusajja mu bo eyandiddaabirizza olukomera z'ayimirira mu kituli ekiwaguddwa mu maaso gange ku lw'ensi, nneme okugizikiriza: naye ne ssiraba n'omu.
31 Kyenvudde mbafukako okunyiiga kwange; mbamazeewo n'omuliro ogw'obusungu bwange: ndese ku mutwe gwabwe ekkubo lyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, waaliwo abakazi babiri, nnyaabwe omu:
3 ne bayenda mu Misiri; baayenda mu buto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigirizibwa, era eyo gye baabetentera ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja.
4 N'amannya gaabwe Okola, omukulu, ne Okoliba, muganda we: ne baba bange ne bazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. N'amannya gaabwe, Samaliya ye Okola, ne Yerusaalemi ye Okoliba.
5 Okola n'ayenda bwe yali owange; n'asuusuuta baganzi be, Abaasuli baliraanwa be,
6 abaayambalanga kaniki, abakulu n'abaamasaza, bonna balenzi abeegombebwa, abasajja ab'embalaasi abeebagadde embalaasi.
7 N'abagabira obwenzi bwe, bonna basajja ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuuta, ne yeyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe byonna.
8 So talekangayo bwenzi bwe okuva mu nnaku ez'e Misiri; kubanga mu buto bwe baasula naye, ne babetenta ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja: ne bamufukako obwenzi bwabwe.
9 Kyennava mmuwaayo mu mukono gwa baganzi be, mu mukono gw'Abaasuli be yasuusuuta,
10 Abo baabikkula ku bwereere bwe: ne batwala abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala; naye ne bamutta n'ekitala: n'afuuka ekigambo eky'obuwemu mu bakazi; kubanga baamukomekkerezaako emisango.
11 Ne muganda we Okoliba n'alaba ekyo, naye n'amusinga okukyama mu kusuusuuta kwe ne mu bwenzi bwe obwabanga obungi okusinga obwenzi bwa muganda we.
12 Yasuusuuta Abaasuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, ab'embalaasi abeebagadde embalaasi, bonna balenzi abeegombebwa.
13 Ne ndaba ng'agwagwawazibwa; bombi baakwata ekkubo limu.
14 Ye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yalaba abasajja abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatonebwa n'eggerenge;
15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bukaludaaya, ensi mwe baazaalirwa.
16 Awo mangu ago nga kyajje abalabe n'abasuusuuta n'abatumira ababaka mu Bukaludaaya.
17 Abababulooni ne bajja gy'ali mu kitanda eky'okwagala, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, ye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa.
18 Kale bw'atyo n'abikkula ku bwenzi bwe n'abikkula ku bwereere bwe: kale omwoyo gwange ne gumutamwa, ng'omwoyo gwange bwe gwatamwa muganda we.
19 Era naye n'ayongera ku bwenzi bwe, ng'ajjukira ennaku ez'obuto bwe, mwe yayendera mu nsi ey'e Misiri.
20 Awo n'asuusuuta baganzi baabwe, omubiri gwabwe ng'ennyama y'endogoyi, n'ebibavaamu biri ng'ebiva mu mbalaasi.
21 Bw'otyo n'ojjukira obukaba obw'omu buto bwo, ennywanto zo bwe zaabetentebwa Abamisiri olw'amabeere ag'omu buwala bwe.
22 Kale, ggwe Okoliba, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigolokosa ku ggwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiddwa, ne mbaleeta okukulumba enjuyi zonna:
23 Abababulooni n'Abakaludaaya bonna, Pekodi ne Sowa ne Kowa, n'Abaasuli bonna wamu nabo: abalenzi abeegombebwa, bonna baamasaza n'abakulu, abalangira n'abasajja abaatiikirira, bonna nga beebagadde embalaasi.
24 24 Era balikutabaala nga; bakutte eby'okulwanyisa, amagaali ne bannamuziga, era nga balina ekibiina eky'amawanga; balyesimba okulwana naawe, nga balina obugabo n'engabo n'enkuffiira enjuyi zonna: era ndibatikkira okusala emisango, ne bakusalira omusango ng'emisango gya bwe bwe giri.
25 Era ndikusimbako obuggya bwange, nabo balikubonereza n'ekiruyi; balikuggyako ennyindo yo n'amatu go; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kirigwa n'ekitala: balitwala abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kiryokebwa omuliro.
26 Era balikwambuza ebyambalo byo; ne bakuggyako eby'obuyonjo byo ebirungi.
27 Bwe ntyo bwe ndimazaawo gy'oli obukaba bwo n'obwenzi bwo obwava mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusa n'otobayimusiza nate amaaso go newakubadde okujjukira Misiri nate.
28 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiddwa:
29 nabo balikukola olw'obukyawe, balikuggyako omulimu gwo gwonna, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobikkiddwako: obwereere obw'obwenzi bwo ne bubikkulibwa, obukaba bwo era n'obwenzi bwo.
30 Ebyo birikukolebwa, kubanga wayenda okugoberera ab'amawanga era kubanga ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byabwe.
31 Watambulira mu kkubo lya muganda wo; kyendiva mpa ekikompe kyo mu mukono gwo.
32 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya muganda wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa ddala n'oduulirwa: kirimu bingi.
33 Olijjula obutamiivu n'obuyinike, ekikompe eky'okusamaalirira n'okulekebwawo, ekikompe kya muganda wo Samaliya.
34 Olikinywa n'okutankira, n'omeketa engyo zaakyo, n'oyuza amabeere go: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
35 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga onneerabidde, n'onsuula ennyuma w'amabega go, kale naawe beerako obukaba bwo n'obwenzi bwo.
36 Era Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, onoosala omusango gwa Okola ne Okoliba? kale babuulire emizizo gyabwe.
37 Kubanga baayenda, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe, era baayenda ku bifaananyi byabwe; era ne batabani baabwe be banzaalira baabayisiza mu muliro eri byo okuliibwa.
38 Era nate bankoze kino: boonoonye ekifo kyange ekitukuvu ku lunaku olumu, era boonoonye essabbiiti zange.
39 Kubanga bwe baamala okuttira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne bajja ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, laba, bwe batyo bwe bakoze wakati mu nnyumba yange.
40 Era nate mwatumya abantu abava ewala: abaatumirwa omubaka, kale, laba, ne bajja; n'onaabira abo n'oziga amaaso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo;
41 n'otuula ku kitanda eky'ekitiibwa, emmeeza ng'etegekeddwa mu maaso gaakyo, kwe wateeka obubaane bwange n'amafuta gange.
42 N'eddoboozi ery'ekibiina ekyegolola iyali naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n'abasajja abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe.
43 Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye mu bwenzi nti Kaakano banaayenda ku ye, naye nabo.
44 Ne bayingira gy'ali, nga bwe bayingira eri omukazi omwenzi: bwe batyo bwe baayingira eri Okola n'eri Okoliba, abakazi abakaba.
45 N'abatuukirivu, abo be balibasalira omusango ng'abakazi abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakazi abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe.
46 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibalinnyisiza ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa.
47 Kale ekibiina kiribakuba amayinja, ne babafumita n'ebitala byabwe; balitta abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala ne bookya ennyumba zaabwe omuliro.
48 Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bayigirizibwe obutakola ng'obukaba bwammwe bwe buli.
49 Era balibasasula obukaba bwammwe, nammwe mulibaako ebibi eby'ebifaananyi byaaunwe: kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
1 Nate mu mwaka ogw'omwenda mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, weewandiikire erinnya ery'olunaku, ery'olunaku olwa leero: kabaka We Babulooni yasemberera Yerusaalemi ku lunaku luno.
3 Era ogerere ennyumba enjeemu olugero obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Teekako sseffuliya, giteekeko, era ogifukemu amazzi:
4 okuŋŋaanye ebifi byamu obiteekemu, buli kifi ekirungi, ekisambi n'omukono; gijjuze ama gvmba agasinga obulungi.
5 Ddira ku mbuzi esinga obulungi, otuume amagumba wansi waayo: gyeseze bulungi; weewaawo, amagumba gaayo gafumbibwe wakati mu yo.
6 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi, essufuliya omuli obutalagge bwayo, so n'obutalagge bwayo tebugivuddeemu! giggyeemu kitundu kitundu; tegwiriddwako kalulu.
7 Kubanga omusaayi gwakyo guli wakati mu kyo; kyaguteeka ku lwazi olwereere; tekyagufuka ku ttaka okugubikkako enfuufu;
8 gulinnyise ekiruyi okuwalana eggwanga, kyenvudde nteeka omusaayi gwakyo ku lwazi olwereere, guleme okubikkibwako.
9 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi! era nange nditeekera enkoomi okuba ennene.
10 Tindikira enku nnyingi, oyase omuliro, ofumbire ddala ennyama, okwase amazzi g'ennyama, amagumba gasiriire.
11 Olyoke ogiteeke ku manda gaayo nga teriimu kintu, ebugume, n'ekikomo kyayo kiggye, n'empitambi yaayo esaanuuke mu yo, obutalagge bwayo bumalibwewo.
12 Kyekooyezza n'okutegana: era naye obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu; obutalagge bwakyo tebuvaamu na muliro.
13 Mu mpitambi yo mulimu obukaba: kubanga nakulongoosa so tewalongoosebwa, kyoliva olema okulongoosebwa empitambi yo nate n'akatono okutuusa lwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe.
14 Nze Mukama nkyogedde: kirituuka nange ndikikola; siridda nnyuma so sirisonyiwa so sirejjusa; ng'amakubo go bwe gali era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe balikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Era ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
16 Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba: era naye towuubaa langa so tokaabanga maziga so n'a maziga go galemenga okukulukuta
17 Ssa ebikkowe naye kasirise towuubaalira afudde, weesibe ekiremba kyo, onaanike engatto zo mu bigere, so tobikka ku mimwa gyo, so tolyanga ku mmere ey'abantu.
18 Awo ne njogera n'abantu enkya; akawungeezi mukazi wange n'afa: ne nkola enkya nga bwe nnalagiddwa.
19 Abantu ne baŋŋamba nti Tootubuulire ebigambo bino bwe biri ku ffe, kyova okola bw'otyo?
20 Awo ne mbagamba nti Ekigambo kya Mukama kyanjijidde nga kyogera nti
21 Gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe ky'esaasira; kale abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala be mwaleka ennyuma baligwa n'ekitala.
22 Nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mimwa gyammwe so temulirya mmere ya bantu.
23 N'ebiremba byammwe biriba ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe mu bigere byammwe: temuliwuubaala so temulikaaba; naye muliyongoberera mu butali butuukirivu bwammwe, ne musinda buli muntu ne munne.
24 Bwe kityo Ezeekyeri aliba gye muli akabonero; nga byonna bwe biri by'akoze bwe mutyo bwe mulikola: ekyo bwe kirijja, kale ne mulyoka mutegeera nga nze Mukama Katonda.
25 Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako amaanyi gaabwe, essanyu ery'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima bwabwe, abaana baabwe ab'obuenzi n'ab'obuwala,
26 kale ku lunaku olwo tekiriba bwe kityo ig'oyo aliwona alijja gy'oli okukikuwuliza n'amatu go!
27 Ku lunaku lwo akamwa ko kalyasamira oyo aliba ng'awonye, n'oyogera so toliba kasiru nate: bwe kityo oliba kabonero gye bali; kale balimanya nga ze Mukama.
   

Next
Back