| |
|
|
| 1 |
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti |
| 2 |
Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti Wafaananyizibwa empologoma ento ey'omu mawanga: era naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; n'owaguza wamu n'emigga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, n'oyonoona emigga gyago: |
| 3 |
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange. |
| 4 |
Era ndikuleka ku lukalu ne nkusuula ku ttale ebweru, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, naawe ndikukkusa ensolo ez'omu nsi zonna bwe zenkana. |
| 5 |
Era nditeeka omubiri gwo ku nsozi ne njijuza ebiwonvu obugulumivu bwo. |
| 6 |
Era ndifukirira ensi gy'owugamu n'omusaayi gwo, okutuuka ne ku nsozi; n'ensalosalo zirikujjula: |
| 7 |
Awo bwe ndikumalawo, ndibikka ku ggulu ne nfuula emmunyeenye zaamu okubaako ekizikiza; era ndibikka ekire ku njuba, so n'omwezi tegulireeta kwaka kwagwo. |
| 8 |
Ettabaaza zonna ez'omu ggulu ezaakaayakana ndizireetako ekizikiza waggulu wo, ne nteeka ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda. |
| 9 |
Era ndyeraliikiriza emitima gy'amawanga amangi, bwe ndituusa okuzikirira kwo mu mawanga, mu nsi z'otomanyanga. |
| 10 |
Weewaawo, ndikusamaaliririza amawanga mangi, ne bakabaka baabwe balitya nnyo nnyini ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo. |
| 11 |
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekitala kya kabaka We Babulooni kirituuka ku ggwe. |
| 12 |
Ndigwisa olufulube lwo n'ebitala eby'ab'amaanyi; bonna ba ntiisa ba mu mawanga: era balinyaga amalala ga Misiri, n'olufulube lwayo lwonna lulizikirizibwa. |
| 13 |
Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; so n'ekigere ky'abantu tekirigatabangula nate, so n'ebinuulo eby'ensolo tebirigatabangula. |
| 14 |
Kale ne ndyoka ntangaaliza amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda. |
| 15 |
Bwe ndirekesaawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ensi eteriimu ebyo bye yajjulanga, bwe ndifumita abo bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama. |
| 16 |
Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo: balikungubagiza Misiri. n'olufulube lwamu lwonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda. |
| 17 |
Era olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano ekigambo kya Mukama ne lunjijira nga kyogera |
| 18 |
Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe olufulube lwa Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya. |
| 19 |
Osinga ani obulungi? serengeta oteekebwe wamu n'abatali bakomole: |
| 20 |
Baligwa wakati mu abo abattibwa n'ekitala: aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'olufulube lwe lwonna. |
| 21 |
Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati, mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala. |
| 22 |
Asuli ali eyo n'ekibiina kye kyonna; amalaalo ge gamwetoolodde: bonna battiddwa, bagudde n'ekitala: |
| 23 |
amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge: bonna batiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu. |
| 24 |
Eriyo Eramu n'olufulube lwe lwonna nga beetoolodde amalaalo ge: bonna battiddwa, ba gudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entusa yaabwi mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya. |
| 25 |
Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddws wamu n'olufulube lwe lworma amalaalo ge gamwetoolodde: bontu si bakomole, abattiddwa n'ekitala kubanga entiisa yaabwe yaleetebwa. nga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya: ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa. |
| 26 |
Eriyo Meseki; Tubali, n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu. |
| 27 |
So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu. |
| 28 |
Naye olimenyekera wakati mu batali bakomole, era oligalamira wamu n'abo aba ttiddwa n'ekitala. |
| 29 |
Eriyo Edomu, bakabaka be n'abakungu be, abateekeddwa mu maanyi gaabwe awamu n'abo abattiddwa n'ekitala: baligalamira n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya. |
| 30 |
Eriyo abalangira ab'obukiika obwa kkono, bonna, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya. |
| 31 |
Falaawo alibalaba, n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda. |
| 32 |
Kubanga ntadde entiisa ye mu nsi ey'abalamu: era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ye Falaawo n'olufulube lwe lwonna, bw'ayogera Mukama Katonda. |
| |
|