Ezekyeri  

Essuula 33

1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, yogera n'abaana b'abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi bwe baggyanga omusaja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe:
3 bw'alaba ekitala nga kijja ku nsi, oba nga afuuwa ekkondeere n'alabula abantu;
4 kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe ye.
5 Awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe gunaabanga ku ye: naye singa alabuse yandiwonyezza emmeeme ye.
6 Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gw'omukuumi.
7 Naawe bw'otyo, omwana w'omuntu, nkutaddewo okuba omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo eri akamwa kange, obawenga okulabula okuva gye ndi:
8 Bwe ŋŋambanga omubi nti Ai omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo
9 Era naye bw'olabulanga omubi ekkubo lye okukyuka okulivaamu, n'ata.kyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.
10 Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti Okusobya kwaffe n'okwonooaa kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale twandibadde tutya abalamu?
11 Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?
12 Naawe, omwana w'omuntu, gamba abaana b'abantu bo nti Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimugwisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe: so n'oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona.
13 Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga talirema kuba mulamu; bw'aneesiganga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira.
14 Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; bw'anaakyukanga okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga;
15 omubi bw'azzangayo omusingo, n'akomyawo ekyo kye yanyaga, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali, butuukirivu bw'akola; talirema kuba mulamu, talifa.
16 Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa eri ye: akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga; talirema kuba mulamu.
17 Era naye abaana b'abantu bo boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana: naye bo ekkubo lyabwe lye litenkanankana.
18 Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, n'okufa alifiira omwo.
19 Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo.
20 Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.
21 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okusibibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano omu eyali awonye mu Yerusaalemi n'ajja gye ndi ng'ayogera nti Ekibuga kikubiddwa.
22 Awo omukono gwa Mukama gwali nga gubadde ku nze akawungeezi, ye awonye nga tannajja; era yali ayasamizza akaj mwa kange okutuusa lwe yajja gye ndi enkya; akamwa kange ne kayasama, ne ssiba kasiru nate.
23 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
24 Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi: naye ffe tuli bangi; ensi etuweereddwa okuba obusika.
25 Kale obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi?
26 Muyima ku kitala kyammwe, mukola eby'emizizo, ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne: era mulirya ensi?
27 Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli.
28 Era ndifuula ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo, n'amalala ag'obuyima bwayo galikoma; n'ensozi za Isiraeri zirirekebwawo, omuntu yenna aleme okuyitamu.
29 Kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga nfudde ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo olw'emizizo gyabwe gyoruia gye bakoze.
30 Naawe, omwana w'omuntu, abaana b'abantu bo bakwogerako awali ebisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, ne bagambagana, buli muntu ng'agamba muganda we nti Mujje, mbeegayiridde, muwulire ekigambo ekivudde eri Mukama.
31 Ne bajja gy'oli ng'abantu bwe bajja, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange ne bawulira ebigambo byange naye ne batabikola: kubanga boolesa okwagala kungi n'akamwa kaabwe, naye omutima gwabwe gugoberera amagoba gaabwe.
32 Era, laba, oli gye bali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola.
33 Awo ebyo bwe birituukirira (laba, bijja), kale ne balyoka bamanya nga nnabbi abadde mu bo.
   

Essuula 34

[Ddayo waggulu]
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe, ogambe abasumba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebandiriisizza ndiga?
3 Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebya ssava; naye ne mutaliisa ndiga.
4 Eteyinza temugissangamu maanyi; so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temukomyangawo egobeddwa, so temunoonyanga ebuze; naye mwazifuganga n'amaanyi n'amawaggali.
5 Ne zisaasaana olw'obutabaawo musumba: ne ziba kya kulya era ensolo zonna ez'omu nsiko ne zisaasaana.
6 Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g'ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza.
7 Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama:
8 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez'omu nsiko olw'obutabaawo musumba, so n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange;
9 kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama;
10 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba ekyokulya eri bo.
11 Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuu liriza.
12 Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.
13 Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi.
14 Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku nsozi ez'entikko ya Isiraeri kwe kuliba ekisibo kyabwe: eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri.
15 Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw'ayogera Mukama Katonda.
16 Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n'ebya ssava n'eby'amaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n'omusango.
17 Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume.
18 Mukiyita kigambo kitono nga mwalya omuddo omulungi, naye ne kibagwanira okulinnyirira n'ebigere byammwe omuddo gwammwe ogwafikkawo? era nga mwanywa amazzi amateefu, naye ne kibagwanira okutabangula n'ebigere byammwe agafisseewo?
19 N'endiga zange zirya ebyo bye mulinnyiridde n'ebigere byammwe, ne zinywa ago ge mutabangudde n'ebigere byammwe.
20 Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango ogw'ensolo eza ssava n'ogw'ensolo enkovvu.
21 Kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasaanyiza ddala;
22 kyendiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango ogw'ensolo n'ensolo.
23 Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi; ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.
24 Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo; nze Mukama nkyogedde.
25 Era ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embi: kale balituula mu ddungu nga tebaliiko kye batya, ne beebakira mu bibira.
26 Era ndibafuula omukisa n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo; walibaawo empandaggirize ez'omukisa.
27 N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tabaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu.
28 So tebaliba muyiggo nate eri ab'amawanga, so n'ensolo ey'omu nsi teribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.
29 Era ndibayimusiza olusuku olw'okwatiikirira, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate.
30 Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw'ayogera Mukama Katonda.
31 Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 35

[Ddayo waggulu]
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu; simba amaaso go okwolekera olusozi Seyiri; olulagulireko
3 olugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi Seyiri; era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n'ekyewuunyo.
4 Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama.
5 Kubanga wabanga n'obulabe obutaggwaawo, n'owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw'ekitala mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero:
6 kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, amusaayi kyeguliva gukucocca.
7 Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n'amatongo; era ndimalawo okw oyo ayitamu n'oyo akomawo.
8 Era ndijjuza ensozi zaayo abaay abattibwa: abattibwa n'ekitala ba ligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez'amazzi.
9 Ndifukuula amatongo agataliggwaawo, so n'ebibuga byo tebirituulwamu: kale mulimanya nga nze Mukama.
10 Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi biriba byange, naffe tuligirya; naye Mukama yali eyo:
11 kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango.
12 Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuwoola kwo kwonna kwe wawoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya.
13 Era mwanneegulumirizaako n'akamwa ltammwe, era munnyongeddeko ebigambo byammwe: nze mpulidde.
14 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ettaka lyonna bwe lirisanyuka, ndikufuula ggwe amatongo.
15 Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri kubanga bwafuulwa amatongo, bwe ntyo bwe ndikukola ggwe: oliba nga ofuuliddwa amatongo, si olusozi Seyiri ne Edomu yonna, yonna bwe yenkana: kale balimanya nga nze Mukama.
   

Essuula 36

[Ddayo waggulu]
1 Naawe, omwana w'omuntu, lagula ensozi za Isiraeri oyogere nti Mmwe ensozi za Isiraeri, nuwulire ekigambo kya Mukama.
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama Kaonda nti Kubanga omulabe aboogeddeko nti Nyeenya! era nti Ebifo ebigulumivu eby'edda byaffe, tubiidde:
3 kale lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, kubanga babalekesezzaawo, era babalidde enjuyi zonna, amawanga agafisseewo gabaye, era musituliddwa mu mimwa gy'aboogezi ne mu bigambo ebibi by'abantu:
4 kale, mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda; bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obuozi, ensalosalo n'ebiwonvu, amatongo agaazika n'ebibuga ebyalekewawo, ebifuuse omuyiggo n'eky'ousekererwa eri amawanga agafisseewo ageetoolodde:
5 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogeredde mu muliro ogw'obuggya bwange eri amawanga agafisseewo n'eri Edomu yonna abeeteekeddewo ensi yange okugirya, omutina gwabwe gwonna nga gusanyuse, emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugisuula okuba omuyiggo:
6 kale lagula eby'ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogezezza obuggya bwange n'ekiruyi kyange, kubanga mwabangako ensonyi ez'ab'amawanga:
7 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima ab'amawanga agabeetoolodde abo be balibaako ensonyi zaabwe.
8 Naye mmwe, ai ensozi za Isiraeri, mulisuula amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala byammwe; kubanga banaatera okujja. Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa:
9 Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndikyukira gye muli, nammwe mulirimibwa, mulisigibwa:
10 era ndyaliza abantu ku mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri, yonna bwe yenkana n'ebibuga birituulwamu n'amatongo galizimbibwa:
11 era ndyaza ku mmwe abantu n'ensolo; era balyeyongera, balizaala: era ndibawa okutuulwako, nga mumaze okuba bwe mutyo, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka kwammwe: kale mulimanya nga nze Mukama.
12 Weewaawo, nditambuliza ku mmwe abantu, abantu bange Isiraeri; era balikulya, naawe oliba busika bwabwe, so tolibafiirisa nate abaana okuva leero.
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti Ggwe ensi, oli muli wa bantu, era waliisizanga eggwanga lyo; 14 kyoliva olema okulya abantu nate, so tolifiisiza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda;
14 kyoliva olema okulya abantu nate, so tolifiisiza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda;
15 so sirikuganya nate okuwulira ensonyi z'ab'amawanga, so tolibaako nate kuvumibwa kwa bantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
16 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
17 Omwana w'omuntu, ennyu mba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'ekkubo lyabwe n'olw'ebikolwa byabwe: ekkubo lyabwe mu maaso gange lyabanga ng'obutali bulongoofu bwa mukazi mu kweyawula kwe
18 Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe baali bafuse ku nsi, era kubanga baali bagyonoonye n'ebifaananyi byabwe:
19 ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi: n'abasalira omusango ng'ekkubo lyabwe bwe lyali era ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
20 Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya Lyange ettukuvu; kubanga. abantu baaboogerangako nti Bano bantu ba Mukama, era bavudde mu nsi ye.
21 Naye ne nsaasira erinnya lyange ettukuvu ennyumba ya Isiraeri lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda.
22 Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Sikola kino ku lwammwe, ai ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu ma wanga gye mwagenda.
23 Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe.
24 Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe.
25 Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu: ndibalongoosa mu mpitambi yammwe yonna ne mu bifaananyi byammwe byonna.
26 Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe: era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama.
27 Era nditeeka omwoyo gwange munda mu mmwe, ne mbatambuliza mu mateeka gange, era mulikwata emisango gyange ne mugikola.
28 Awo munaabeeranga mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; nammwe munaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda wammwe.
29 Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna: era ndiyita eŋŋaamo, ne ngyaza, so siribaleetako njala.
30 Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu animiro, mulemenga okuweebwa nate ekivume eky'enjala mu mawanga.
31 Kale ne mulyoka mujjukira amakubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebitali birungi; kale mulyetamwa mu maaso gammwe mmwe olw'obutali butuukirivu bwammwe n'olw'emizizo gyammwe.
32 Sikola kino ku lwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda, muldmanye: mukwatirwe ensonyi amakubo gammwe, muswale, ai ennyumba ya Isiraeri.
33 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n’amatongo galizimbibwa
34 N'ensi eyalekebwangawo eririmibwa, naye yabanga nsiko mu maaso g'abo bonna abayitawo.
35 Kale baiyogera nti Ensi eno eyalekebwangawo efuuse ng'olusuku Adeni; n'ebibuga ebyazika ebyalekebwawo ebyagwa bikoleddwako enkomera, abantu me babituulamu.
36 Kale amawanga agasigadde okubeetooloola ne galyoka gamanya nga nze Mukama nzimbye ebifo ebyagwa ne nsimba ekyo ekyalekebwawo: nze Mukama nkyogedde, nange ndikikola.
37 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ati Era ajagala ennyumba ya Isiraeri okumbuuzanga ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu ng'ekisibo.
38 Ng'ekisibo ekya ssaddaaka, ag'ekisibo ekya Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa; ebibuga ebyazika bwe birijjula bwe bityo ebisibo eby'abaatu: kale balimanya nga nze Mukama.
   

Essuula 37

[Ddayo waggulu]
1 Omukono gwa Mukama gwali ku nze, n'antwala n'anfulumiza mu mwoyo gwa Mukama, n'anzisa wakati mu kiwonvu; kale nga kijjudde amagumba;
2 n'agampisaako okugeetooloola: kale, laba, nga mangi nnyo mu kiwonvu mu bbanga; era, laba, makulu nnyo.
3 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu? Ne nziramu nti Ai Mukama Katonda, ggwe omanyi.
4 N'aŋŋamba nate nti Lagulira ku magumba gano ogagambe nti Ai mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama.
5 Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba amagumba gano nti Laba, ndiyingiza omukka mu mmwe; kale muliba balamu:
6 Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba amagumba gano nti Laba, ndiyingiza omukka mu mmwe; kale muliba balamu:
7 Awo ne ndagula nga bwe nnalagirwa: awo bwe nnali nga ndagula, ne wabaawo eddoboozi, era, laba, ekikankano ky'ensi, amagumba ne geegatta buli ggumba n'eggumba linnaalyo.
8 Awo ne ntunula, era, laba, nga kuliko ebinywa, omubiri ne gujja, eddiba ne ligabikkako waggulu: naye nga temuli mukka mu go.
9 Awo n'aŋŋamba nti Lagula empewo, lagula, omwana w'omuntu, ogambe empewo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti jjangu okuva eri empewo ennya, ai omukka, ofuuwe ku bano abattibwa, babeere abalamu.
10 Awo ne ndagula nga bwe yandagira, omukka ne gubayingira, ne babeera balamu, ne bayimirira ku bigere byabwe, eggye lingi nnyo.
11 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isiraeri: laba, boogera nti Amagumba gaffe gakaze, n'essuubi lyafe libuze; nunaliddwawo ddala.
12 Kale lagula obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyasamya amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, si abantu bange: era ndibayingiza mu nsi ya Isiraeri.
13 Kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga njasamizza amalaalo gammwe, ne mbalinnyisa okuva mu malaalo gammwe, ai abantu bange.
14 Era nditeeka omwoyo gwange mu mmwe, era muliba balamu, era ndibateeka mu nsi yammwe mmwe: kale mulimanya nga aze Mukama nkyogedde, era n'okutuukiriza ne nkituukiriza, bw'ayogera Mukama.
15 Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera
16 Naawe, omwana w'omuntu, ddira omuggo gumu, oguwandiikeko nti Gwa Yuda, era gwa baana ba Isiraeri banne: olyokke oddire omuggo omulala oguwandiikeko nti Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, era gwa nnyumba yonna eya Isiraeri banne:
17 kale ogyegattire gyombi okuba omuggo ogumu, gibeere ogumu mu mukono gwo.
18 Awe abaana b'abantu bo bwe balyogera naawe nga bagamba nti Tootunnyonnyole makulu bwe gali g'oleeta na gino?
19 n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri banne; era adibateeka wamu nagwo, wamu n'omuggo gwa Yuda, ne mbafuula omuggo gumu, kale ne baba gumu mu mukono gwange.
20 N'emiggo gy'owandiikako giriba mu mukono gwo mu maaso gaabwe.
21 N'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndiggya abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga, gye baagenda, ne mbakuŋŋaanyiza enjuyi zonna, ne mbaleeta mu nsi yaabwe bo:
22 kale ndibafuula eggwanga erimu mu nsi kul nsozi za Isiraeri; era kabaka omu ye aliba kabaka waabwe bonna: so tebalyawulibwa nate okuba obwakabaka bubiri n'akatono:
23 so tebalyeyonoona nate n'ebifaananyi byabwe newakubadde n'ebintu byabwe eby'emizizo newakubadde n'okusobya kwabwe kwonna: naye ndibalokola okuva mu nnyumba zaabwe zonna, mwe baakoleranga ebibi, ne mbalongoosa: kale bwe batyo banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe.
24 N'omuddu wange Dawudi ye aliba kabaka waabwe; era bonna baliba n'omusumba omu: era n'okutambuba balitambulira mu misango gyange ne bakwata amateeka gange ne bagakola.
25 Era balibeera mu nsi gye nnawa Yakobo omuddu wange bajjajjammwe mwe baabeera kale balibeera omwo, bo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe emirembe gyonna: era Dawudi omuddu wange ye anaabanga omulangira waabwe emirembe gyonna.
26 Era n'ereema yange eneebanga nabo: nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.
27 Kale mawanga galimanya nga nze Mukama atukuza Isiraeri, awatukuvu wange bwe wanaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
   

Essuula 38

[Ddayo waggulu]
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
2 omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Googi ow'omu nsi a Magoogi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali, omulagulireko oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi nulabe wo, ai Googi, omulangira wa Loosi, Meseki; ne Tubali:
3 era ndikuzzaayo, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya n'eggye yo lyonna, embalaasi n'abasajja abeebagadde embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa ebyatuukirira, ekibiina ekinene, nga balina obugabo n'engabo, bonna nga bakutte ebitala:
5 Obuperusi, Kuusi, ne Puti nga bali nabo; bonna nga Paliaa engabo n'enkuffiira:
6 Goneri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma, mu njuyi ez'ensi ezikomererayo; n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe.
7 Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwo n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe gye bali.
8 Ennaku nnyingi nga ziyiseewo olijjirwa: mu nyaka egy'enkomerero olireetebwa nu nsi ekomezebwawo okugiggya nu kitala, ekuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaabanga ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko kye batya, bonna.
9 Kale olyambuka olijja iga kibuyaga, oliba ng'ekire okuakka ku nsi, ggwe n'eggye lyo yonna n'amawanga mangi nga gali naawe.
10 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku unaku olwo ebigambo birijja mu mwoyo gwo, era olisala olukwe olubi:
11 kale olyogera nti Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, borma nga babeerera awo awatali babbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi:
12 okunyaga omunyago n'okunyaga omuyiggo; okukyusiza omukono gwo ku bifo eby'ensiko ebituulwamu kaakano, n'abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna.
13 Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, wamu n'empologoma ento zaayo zonna, balikugamba nti Ozze kunyaga munyago? okuŋŋaanyizza ekibiina kyo kunyaga muyiggo? okutwalira ddala effeeza n'ezaabu, okutwalira ddala ensolo n'ebintu, okunyaga omunyago mungi?
14 Kale, omwana w'omuntu, lagula ogambe Googi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku. olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya?
15 Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene:
16 era olitabaala. abantu bange Isiraeri, ng'ekire okubikka ku nsi; olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, bwe nditukuzibwa mu ggwe, ai Googi, mu maaso gaabwe.
17 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaalaguliranga emyaka emingi mu nnaku ezo nga ndikusindika okubatabaala bo?
18 Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, ekiruyi kyange kiririnnya mu nnyindo zange.
19 Kubanga njogezezza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene;
20 ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna, ebyewalula ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana bali kankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi.
21 Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: ekitala kya buli muntu kirirwana ne muganda we.
22 Era ndiwoza naye ne kawumpuli n'omusaayi; era ndimutonnyesaako ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye oluwandaggirize olwanjaala n'amayinja amanene ag'omuzira n'omuliro n'ekibiriiti.
   

Essuula 39

[Ddayo waggulu]
1 Naawe, omwana w'omuntu, mulagulireko Googi oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali:
2 era ndikuzzaayo, ne nkutwala mu maaso ne nkulinnyisa okuva mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo; ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri:
3 era ndikuba omutego gwo ne nguggya mu mukono gwo ogwa kkono, ne ngwisa obusaale bwo mu mukono gwo ogwa ddyo.
4 Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa.
5 Oligwa ku ttale mu bbanga: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
6 Era ndiweereza omuliro ku Magogi, ne ku abo abatuula ku bizinga nga tebaliiko kye batya: kale balimanya nga nze Mukama.
7 Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu okulivuma nate: kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri.
8 Laba, kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako.
9 N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro ebyokulwanyisa, engabo era n'obugabo, emitego n'obusaale, n'emiggo egy'omu mukono n'amafumu, balibissizaako omuliro emyaka musanvu:
10 n'okutyaba ne batatyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga balibissaako omuliro ebyokulwanyisa: era balinyaga abo abaabanyaganga, era balibaggyako abo abaaggyangako, bw'ayogera Mukama Katonda.
11 Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abo abayitamu ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba: era kiriziyiza abo abayitamu: era baliziika eyo Googi n'olufulube lwe lwonna: kale balikiyita nti Kiwonvu Kamonugoogi.
12 Era ennyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika, balongoose ensi.
13 Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gye bali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
14 Era balyawulamu abasajja okuba n'omulimu ogw'olutata, abanaayitanga mu nsi okuziika abo abaliyitamu, abalisigala ku maaso g'ensi, okugirongoosa: emyezi musanvu nga giweddeko balinoonya.
15 N'abo abayita mu nsi baliyitamu; awo omuntu yenna bw'anaalabanga eggumba ly'omuntu, kale anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi.
16 Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Kamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi.
17 Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane mujje; mukuŋŋaane enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbaweerayo, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe omusaayi.
18 Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna za ssava eza Basani.
19 Era mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira, ku ssaddaaka yange gye mbaweereddeyo.
20 Era mulikkuura mu ddiiro lyange embalaasi n'amagaali, abasajja ab'amaanyi n'abasajja bonna abalwanyi, bw'ayogera Mukama Katonda.
21 Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba omusango gwange gwe ntuukirizza, n'omukono gwange gwe mbataddeko.
22 Kale ennyumba ya Isiraeri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo.
23 N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakisa amaaso gange: kale ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne bagwa bonna n'ekitala.
24 Ng'obutali bulongoofu bwabwe bwe bwali era ng'okusobya kwabwe' bwe kwali, bwe ntyo bwe nnabakola; ne mbakisa amaaso gange.
25 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira enayumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya.
26 Era balibaako ensonyi zaabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali alibatiisa;
27 bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga mangi.
28 Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga nabasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so sirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo;
29 so siribakisa nate maaso gange: kubanga nfuse omwa yo gwange ku nnyumba ya Isiraeri; bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 40

[Ddayo waggulu]
1 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano ogw'okusibibwa kwaffe omwaka nga kye gujje gutanule ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ekibuga nga kimaze okumr nyebwa, ku lunaku olwo omukona gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo.
2 N'antwala mu nsi ya Isiraeri mu kwolesebwa kwa Katonda, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ng'embala y'ekibuga ku bukiika obwa ddyo.
3 N'antwalayo, kale, laba, nga wali wo omusajja; enfaanana ye ng'e nfaanana ey'ekikomo, ng'alina omu gwa ogw'obugoogwa mu mukono gwe n'olumuli olugera; n'ayimirira mu mulyango.
4 Omusajja oyo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke nkubirage byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri.
5 Awo, laba, ekisenge ebwen w'ennyumba okwetooloola, ne mt; mukono gw'omusajja nga mulimu olumuli olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono mukono ko oluta: awo n'agera obugazi bw'ennyumba, olumuli lumu; n'obugulumivu olumuli lumu:
6 Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu.
7 Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera, ennyumba, waaliwo olumuli lumu.
8 Era n'agera n'ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, olumuli lumu.
9 Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba.
10 N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi
11 Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono kkumi; n'obuwanvu bw'omulyango emi kono kkumi n'esatu;
12 n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi.
13 N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono amakumi abirimu etaano; oluggi nga lwolekera oluggi.
14 Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga; n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola.
15 N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano.
16 Era amayu gaaliko ebituli ebyazibibwa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko enkindu.
17 Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge n'amayinja amaaliire, ebyakolerwa oluggya okwetooloola: ebisenge amakumi abiri byali ku mayinja ago amaaliire.
18 N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi.
19 Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiika obwa kkono:
20 N'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogutunuulira obukiika obwa kkono n'agera obuwanw bwagwo n'obugazi bwagwo:
21 N'amayu gaako gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; n'emifuubeeto gyako n'ebizizi byako byali ng'ekigera eky'omutyango ogw'olubereberye: obuwanw bwagwo emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
22 N'ebituli byagwo n'ebizizi byagwo n'enkindu zaagwo, byali ng'ekigera eky'omu:yango ogutunuulira ebuvanjuba; era baagulinnyirangamu ku madaala musanvu; n'ebizizi byagwo byali nu maaso gaago.
23 Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiika obwa kkono era n'ebuvaijuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi.
24 Awo n'antwala obuiika obwa ddyo, kale, laba, omuyango obukiika obwa ddyo: n'agera mifuubeeto gyagwo n'ebizizi byawo ng'ebigera ebyo bwe biri.
25 Era kwaliko amadirisa ku gwo ne, ku bizizi byagwo enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago: obuwanvu emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
26 Era waaliwo amadaala musanw kwe baalinnyiranga, n'ebizizi byagwo byali mu maaso gaago: era gwaliko enkindu, olumu eruuyi n'olulu eruuyi ku mifuubeeto gyagwo.
27 Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiika obwa ddyo: n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiika obwa ddyo emikono kikumi.
28 Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiika obwa ddyo ng'ebigera ebyo bwe byali;
29 n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli era n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanw bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.
30 Era waaliwo ebizizi enjuyi zonna obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri mu etaano n'obugazi bwabyo emikono etaano.
31 N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyali enkindu; n'awalitmyirwa waaliwo amadaala munaana.
32 N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali;
33 n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli, n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanw bwagwo emikono amakuini ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.
34 N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
35 N'antwala ku mulyango ogw'obukiika obwa kkono: n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali;
36 amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanw bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.
37 N'emifunbeeto gyaEtwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifubeeto gyagwo gyaliko enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awaiinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
38 Era n'enju n'oluggi lwayo yali eriraanye ku mifuubeeto ku miryango; eyo gye baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa.
39 Ne mu kisasi eky'oku mulyango mwalimu emmeeza bbiri eruuyi n'emmeeza bbiri eruuyi okuttirangako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango.
40 Era ku luuyi ebweru ng'olinnya awayingirirwa mu mulyango okwolekera obukiika obwa kkono yaliyo emmeeza bbiri: ne ku luuyi olw'okubiri, lwe lw'ekisasi eky'oku mulyango, yaiiyo emmeeza bbiri.
41 Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka.
42 Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassanga ekiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka:
43 N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone.
44 Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbal g'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: era zaatunuulira obukiika obwa ddyo: nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiika obwa kkono.
45 Awo n'aŋŋamba nti Enju eno etunuulira obukiika obwoddyo ya bakabona abakuumi b’ennyumba gye balagirwa.
46 N'enju etunuulira obukiika obwa kkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza.
47 N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi n'obugazi bwalwo emikono kikumi okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba.
48 Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi.
49 Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono amakumi abiri n'obugazi emikono kkumi na gumu: ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo: era waaliwo empagi eziriraanye emifubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi.
   

Next
Back