Ezekyeri  

Essuula 41

1 N'antwala ku yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema.
2 N'awayingirirwa obugazi bwawo emikono kkumi; n'awayingirirwa embiriizi zaawo zaali emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi ana n'obugazi emikono amakumi abiri.
3 Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri: n'awayingirirwa emikono mukaaga: n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu.
4 N'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwawo emikono amakumi abiri, mu maaso ga yeekaalu: n'aŋŋamba nti Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.
5 Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna.
6 N'amayu ag'omu mbiriizi gaali asatu, enju ng'eri waggulu ku nju ginnaayo, era amakumi asatu nnyiriri nnyiriri; era gaayingira mu kisenge eky'ennyumba eyali ey'amayu ag'omu mbiriizi enjuyi zonna, gakwate omwo, so galeme okukwata mu bisenge eby'ennyumba.
7 N'amayu ag'omu mbiriizi gaagenda nga geeyongera okugaziwa nga gagenda nga geeyongera waggulu okwetooloola ennyumba; kubanga okwetooloola ennyumba kwagenda nga kweyongera waggulu okwebungulula ennyumba: obugazi bw'ennyumba kyebwava bweyongera waggulu; bwe batyo baalinnyanga okuva mu nju eya wansi okutuuka mu nju eya waggulu nga bayita mu nju eya wakati.
8 Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna: emisingi egy'amayu ag'omu mbiriizi gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga.
9 Obugazi bw'ekisenge ekyali eky'amayu ag'omu mbiriizi ebweru bwali emikono etaano: n'ebbanga etyafikkawo lyali kifo eky'amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba.
10 Era wakati w'amayu waaliwo obugazi obw'emikono amakumi abiri okwetooloola ennyumba enjuyi zonna:
11 N'enzigi ez'oku mayu ag'omu mbiriizi zaayolekera ekifo ekyafikkawo, oluggi olumu nga lwolekera obukiika obwa kkono n'oluggi olulala nga lwolekera obukiika obwa ddyo: n'ekifo ekyafikkawo obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna.
12 N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu; n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda.
13 Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi; n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwa kyo emikono kikumi.
14 Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi.
15 N'agera ennyumba obuwanvu bwayo okuva ku kifo ekyayawulibwa ekyali emmanju waayo n'ebbalaza zaayo eruuyi n'eruuyi, emikono kikumi; ne yeekaalu ey'omunda n'ebisasi eby'omu luggya;
16 emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'ebbalaza enjuyi zonna, bbalaza ssatu buli bbalaza ng'eri ku bbalaza ginnaayo, okwolekera omulyango, ezaabikkibwako emiti enjuyi zonna w'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era amadirisa gaabikkibwako;
17 n'okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'oluggi, okutuuka ku nnyumba ey'omunda n'ebweru ne ku kisenge kyonna enjuyi zonna munda n'ebweru, okugerebwa kwabyo.
18 Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina obwenyi bubiri;
19 obwenyi bw'omuntu ne bwolekera olukindu eruuyi, n'obwenyi bw'empologoma ento ne bwo lekera olukindu eruuyi: bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ennyumb yonna enjuyi zonna.
20 Bakerubi n'enkindu byakolebwa okuva ku ttaka okutuuka waggulu w'oluggi ekisenge kya yeekaalu bwe kyali bwe kityo.
21 Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanan yaabwo yali ng'enfaanana eya yeekaalu.
22 Ekyoto kyali kya miti obugulumivu bwakyo emikono esatu n'obuwanvu bwakyo emikono ebiri n'ensonda zaakyo n'obuwanvu bwa kyo n'ebisenge byakyo byali by miti: n'aŋŋamba nti Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama.
23 Eri yeekaalu n'awatukuvu byalina enzigi bbiri.
24 N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya embaawo bbiri za luggi lumu, n'e mbaawo bbiri za lnggi olw'oku biri.
25 Era kwakolebwako, ku nzi gi za yeekaalu, bakerubi n'enkindu ng'ebyakolebwa ku bisenge; era ku bwenyi bw'ekisasi ebweru kwaliko embaawo ez'emiti ez'omubiri omunene.
26 Erawaaliwoamadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi ku njuyi z'ekisasi: amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba bwe gaali bwe gatyo n'embaawo ez'o mubiri omunene.
   

Essuula 42

[Ddayo waggulu]
1 Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, lye kkubo eridda obukiika obwa kkono: n'annyingiza mu nju eyayolekera ekifo ekyayawu libwa era eyayolekera ennyumba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
2 Mu maaso g'obuwanvu buli obw'e mikono ekikumi we waali olugg olw'obukiika obwa kkono, n'obugazi bwali emikono amakumi ataano.
3 Okwolekera emikono abiri gir egy'oluggya olw'omunda n'okwole kera amayinja amaaliire gali ag'omi luggya olw'ebweru we waali ebbala za ng'eyolekera ebbalaza ginnaayi mu nju eya waggulu ey'okusatu.
4 Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikoni kkumi munda, ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiika obwa kkono.
5 Era amayuuga waggulu gaali mampi okusinga ago: kubanga ebbalaza zaasala ku ago okusinga bwe zaasala ku za ansi n'eza wakati mu nnyumba.
6 Kubanga gaali amayu aga waggulu asatu, so tegaalina mpagi ng'empagi ez'omu mpya: eya waggulu kyeyava efunzibwa okusinga eya wansi n'eya wakati okuva ku ttaka.
7 N'ekisenge ekyali ebweru ekyaliraana mayu okwolekera oluggya olw'eweru mu maaso g'amayu obuwavu bwakyo bwali emikono amakumi ataano.
8 Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya lw'ebweru bwali emikono amakumi ataano: era, laba, mu maaso ga yeekaalu waaliwo emikono kikumi.
9 Era wansi w'amayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'ebuvanjuba, ng'oyingira mu go ng'oa mu luggya olw'ebweru.
10 Ku mubiri gw'ekisenge eky'oluggya kwolekera obuvanjuba, mu maaso g’ekifo ekyayawulibwa ne mu maaso n'ennyumba, kwaliko amayu.
11 N'ekkubo eryali mu maaso gaago yali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'anayu agayolekera obukiika obwa kono; ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo: n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'ezigi zaago bwe zaali.
12 Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obuiika obwa ddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go.
13 Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiika obwa kkono n'amayu ag'obukiika obwa ddyo goolekedde ekifo ekyayawulibwa go ge mayu amatukuvu, bakabona bali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu nnyo: eyo gye banaateekanga ebi.tu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwao eky'obutta n'ekiweebwayo olw'eibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu.
14 Bakabona bwe banaayingirangaiu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'eweru, naye banaateekanga eyo byambalo byabwe bye baweereezaamu; kubanga bitukuvu; kale anaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu.
15 Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna.
16 N'agera ku luuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli olwo olugera, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli: olugera enjuyi zonna.
17 N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'olumuli olugera, emmuli ebikumi bitaano enjuyi zonna.
18 N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera.
19 N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwanjuba n'agera emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera.
20 Yagigera enjuyi ennya: yalina bbugwe enjuyi zonna, obuwanvu ebikumi bitaano n'obugazi ebikumi bitaano, okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu.
   

Essuula 43

[Ddayo waggulu]
1 Awo oluvannyuma n'antwala eri omulyango, omulyango ogwo ogutunuulira obuvanjuba:
2 kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba: n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi: ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.
3 Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe nnajja okuzikiriza ekibuga: era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: awo ne nvu»nama amaaso gange.
4 Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nnyumba nga kifuluma mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba.
5 Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
6 Awo ne mpulira ayogera nange ng'ayima mu nnyumba; omusajja n'ayimirira ku mabbali gange.
7 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu;
8 nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere n'ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola: kyennava mbamalawo n'obusungu bwange.
9 Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
10 Ggwe omwana w'omuntu, laga ennyumba ya Isiraeri ennyumba, bakwatirwe ensonyi obutali butuukirivu bwabwe: era bagere ekyokulabirako.
11 Awo bwe banaakwatirwa ensonyi ebyo byonna bye bakoze, bategeeze ennyumba bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'embala zaayo zonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba: balyoke bagikwate yonna: nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga.
12 Lino lye tteeka ery'ennyumba: ku ntikko y'olusozi embibi yaayo yonna enjuyi zonna eriba ntukuvu nnyo. Laba, eryo lye tteeka ery'ennyumba.
13 Era kuno kwe kugerebwa kw'ekyoto ng'emikono bwe gyenkana: (omukono gwe mukono ko oluta:) entobo eriba ya mukono gumu, n'obugazi mukono gumu, n'omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa luta: era eyo ye eneeba entobo y'ekyoto.
14 N'okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi waliba emikono ebiri n'obugazi omukono gumu; n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene waliba emikono ena n'obugazi omukono gumu.
15 N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena: n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana.
16 N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri obuwanvu n'ekkumi n'ebiri obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana.
17 N'omugo guliba emikono kkumi n'ena obuwanvu n'ekkumi n'ena obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira obuvanjuba.
18 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo, okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi.
19 Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente enwbuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda.
20 Era olitoola ku musaayi gwayo n'oguteeka ku mayembe gaakyo ana ne ku nsonda ennya ez'omugo ne ku mugo ogwetooloola; bw'otyo bw'onookirongoosanga n'okitangirira.
21 Era otwalanga ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agyokera mu kifo eky'ennyumba ekyalagirwa ebweru w'awatukuvu.
22 Awo ku lunaku olw'okubiri n'owangayo embuzi ennume eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ne balongoosa ekyoto nga bwe bakirongoosa n'ente.
23 Bw'olimala okukirongoosa, owangayo ente envubuka eteriiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.
24 N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne babisuulako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
25 Mu nnaku omusanw onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi era bategekenga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.
26 Ennaku musanvu batangirirenga ekyoto bakirongoose; bwe batyo bwe baba bakyawula:
27 Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 44

[Ddayo waggulu]
1 Awo n'anzizaayo mu kkubo ery'omulyango ogw'ebweru ogw'awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; awo nga luggale.
2 Awo Mukama n'aŋŋamba nu Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo.
3 Omulangira ye alituula omwo nga ye mulangira okuliiranga emmere mu maaso ga Mulzama; aliyingira ng’afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo omwo ma.'anaayitanga ng'avaamu.
4 Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono mu maaso g'ennyumba; ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde ermyumba ya Mukama; ne nwunama amaaso gange;
5 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, weetegereze nnyo, otunule n'amaaso go era owulire n'amatu go ebyo byonna bye mugamba ku biragiro byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu nnyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu.
6 Era ogambanga abajeemu, ogambanga ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ai mmwe ennyumba ya Isiraeri, emizizo gyammwe gyonna gibamale,
7 kubanga muyingizizza bannaggwanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna.
8 So temukuumye bintu byange ebitukuvu bye mwalagirwa: naye mweteekeddewo mwekka abakuumi b'ebyo bye nnalagira mu watukuvu wange.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba munnaggwanga, atali mukomole mu mutima era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munnaggwanga yenna anaabanga mu baana ba Isiraeri.
10 Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe.
11 Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'ennyumba, era nga baweerereza mu nnyumba; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, eta banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza.
12 Kubanga baabaweererezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'obutali butuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri; kyenvudde mbayimusizaako omukono gwange, bw'ayogera Mukama Katonda, era balibaako obutali butuukirivu bwabwe.
13 So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibaako ensonyi zaabwe n'emizizo gyabwe gye baakolanga.
14 Era naye ndibafuula abakuumi b'ennyumba gye baliragirwa, olw'okuweereza kwamu kwonna n'olwa byonna ebirikolebwa omwo.
15 Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baala girwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda:
16 abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira.
17 Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy'oluggya olw'omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya, bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy'oluggya olw'omunda ne munda.
18 Banaabanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya.
19 Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulanga ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne ambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyanbalo byabwe.
20 So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakuzanga nivumbo gyabwe; banaasalanga buazi enviiri ez'oku mitwe gyabwe.
21 So ne kabona yenna tanywanga nwenge nga bayingira mu luggya lw'omunda.
22 So tebawasanga namwandu newakubadde eyagobebwa bba: naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab'oku zadde ery'ennyumba ya Isiraeri, ba nnamwandu eyali muka kabona.
23 Era banaayigirizanga abantu abantu bange enjawulo bw'eri ey'ekitukuvu ekitali kitukuvu, ne babaawuza kitali kirongoofu n'ekirongoofu.
24 N'awali empaka be banaayimirianga okusala omusango; ng'emisango gyange bwe giri bwe banaazisalanga: era bakwatenga amateeka ange n'ebiragiro byange mu mbaga ange zonna ezaalagirwa; era batu uzenga ssabbiiti zange.
25 So tebasembereranga mufu yenna okwegwagwawaza: naye olwa kitaabwe ba nnyaabwe oba mutabani waabwe ba muwala waabwe, olwa muganda ,aabwe oba mwannyinaabwe ataanga na bba, bayinza okweyonoona.
26 Awo bw'amalanga okulongoosewa, bamubalirenga ennaku musanvu.
27 Awo ku lunaku lw'aaayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye uweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda.
28 Era baliba n’obusika; nze ndi busika bwabwe: so temubawanga butaka mu Isiraeri; nze butaka bwabwe.
29 Baaalyanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweewayo olw'omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe.
30 N'ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone nammwe byonna binaabanga bya bakabona: era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyuba yo.
31 Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newaibadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo.
   

Essuula 45

[Ddayo waggulu]
1 Era nate bwe muligabana n'obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw'emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttano, n'obugazi kakumi: guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola.
2 Ku gwo kuliggibwako olw'ekifo ekitukuvu ebikumi bitaano obuwanvu n'ebikumi bitaano obugazi okwenkanankana enjuyi zonna: n'emikono amakumi ataano olw'embuga yaako enjuyi zonna.
3 Era oligeza ekigera kino, obuwanvu obw'obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi obw'akakumi: n'omwo mwe muliba awatukuvu, awatukuvu ennyo.
4 Ogwo gwe mugabo gw'ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab'omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky'awatukuvu.
5 Kale Abaleevi, abaweereza ab'omu nnyumba, baliba n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu n'akakumi obugazi, okuba obutaka bwabwe, ku bwabwe, olw'amayu amakumi abiri.
6 Era muteekangawo obutaka obw'ekibuga, enkumi ttaano obugazi n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu, okuliraana ekitone eky'omugabo omutukuvu: buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri.
7 Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba: n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba.
8 Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri: so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ai abalangira ba Isiraeri: muggyeewo ekyejo n'okunyaga, mutuukirize omusango n'eby'ensonga; abantu bange mu baggyeeko obukamuzi bwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
10 Mubanga ne minzaani ey'amazima ne efa ey'amazima n'ensuwa ey'amazima.
11 Efa n'ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky'ekkumi eky'ekomeri: ekigera kyayo kiba ng'ekomeri bw'eri.
12 Ne sekeri eribagera amakumi abiri: sekeri amakumi abiri ne sekeri abiri mu ttaano ne sekeri kkumi na ttaano, maane yammwe bw'eriba bw'etyo.
13 Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky'omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey'eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky'omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri:
14 n'omugabo ogw'amafuta ogulagirwa, ogw'oku nsuwa ey'amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky'ensuwa, ekiggibwa ku kooli; ze nsuwa kkumi, ye komeri; kubanga ensuwa kkumi ye komeri:
15 n'omwana gw'endiga ogumu ogw'omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri, ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okubatangiriranga, bw'ayogera Mukama Katonda.
16 Abantu bonna ab'omu nsi banaawanga olw'ekitone ekyo olw'omulangira mu Isiraeri.
17 Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.
18 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye oddiranga ente envubuka eteriiko bulema; n'olongoosa awatukuvu.
19 Ne kabona atoolenga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi n'aguteeka ku mifuubeeto gy'ennyumba ne ku nsonda ennya ez'omugo ogw'ekyoto ne ku mifuubeeto egy'oku mulyango ogw'oluggya olw'omunda.
20 Era okolanga bw'otyo ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu olwa buli muntu asobya n'oyo atalina magezi: bwe mutyo bwe munaatangiriranga ennyumba.
21 Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya mubenga n'Okuyitako, embaga ey'ennaku omusanvu; emigaati egitazimbulukuswa gye ginaaliibwanga.
22 Awo ku lunakn olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n'abantu bonna ab'omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
23 Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga ategekenga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente musanvu n'endiga ennume musanvu ezitaliiko bulema, buli lunaku okumalako ennaku omusanvu; n'embuzi ennume buli lunaku okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
24 Era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ya nte, ne efa ya ndiga ennume, na buli efa yini ey'amafuta.
25 Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano mu mbaga akolenga bw'atyo okumala ennaku omusanvu; ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amafuta nga bwe gali.
   

Essuula 46

[Ddayo waggulu]
1 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulyango ogw'oluggya olw'omunda ogutunuulira obuvanjuba banaaguggalirangawo ennaku omukaaga ezikolerwamu omulimu; naye ku lunaku olwa ssabbiiti banaaguggulangawo, ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka banaaguggulangawo.
2 Era omulangira anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango ogw'ebweru, n'ayimirira awali omufuubeeto ogw'omulyango, ne bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye ebiweebwayo olw'emirembe, n'asinziza awayingirirwa ow'omulyango; kale n'afuluma: naye omulyango tebaguggalangawo okutuusa akawungeezi.
3 N'abantu ab'omu nsi basinzizenga ku luggi olw'omulyango ogwo mu maaso ga Mukama ku ssabbiiti ne ku myezi egyakaboneka.
4 N'ekiweebwayo ekyokebwa omulangira ky'anaawangayo eri Mukama kinaabamga ku lunaku olwa ssabbiiti abaana b'endiga mukaaga abataliiko bulema n'endiga ennume eteriiko bulema;
5 n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
6 Ne ku lunaku olw'omwezi ogwakaboneka kinaabanga ente envubuka eteriiko bulema; n'abaana b'endiga mukaaga n'endiga ennume; zinaabanga ezitaliiko bulema:
7 era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ku nte, ne efa ku ndiga ennume, ne ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga, na buli efa yini ya mafuta.
8 Era omulangira bw'anaayingiranga, anaalingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, era anaavangamu ng'afuluma mu kkubo omwo.
9 Naye abantu ab'omu nsi bwe banajjanga mu maaso ga Mukama mu mbaga ezaalagirwa, oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono okusinza anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo; n'oyo anaayingiranga ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa ddyo anaavangamu ng'afuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'obu kiika obwa kkono: taddirangayo mu kkubo ery'omulyango mwe yayingirira, naye avengamu nga yeesimbye mu maaso ge.
10 N'omulangira, bwe banaayingirangamu, anaagenderanga wakati mu bo; era bwe banaavangamu, banaaviirangamu wamu.
11 Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
12 Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa ssabbiiti: kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.
13 Era otegekanga omwana gw'endiga ogwakamala omwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama buli lunaku: buli nkya ogutegekanga.
14 Era otegekanga wamu nagwo ekiweebwayo eky’obutta buli enkya, ekitundu eky’ekkumi ekya efa n’ekitundu eky’okusatu ekya yini ey’amafuta, okunyiikiza obutta obulingi; ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama eky'olutata olw'ekiragiro ekitali ggwaawo.
15 Bwe batyo bwe baba bategekanga omwana gw'endiga n'ekiweebwayo eky'obutta n'amafuta; buli nkya okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'olutata.
16 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omulangira bw'anaawanga ekirabo mutabani we yenna, nga bwe busika bwe, buliba bwa batabani be; butaka bwabwe olw'obusika.
17 Naye bw'anaawanga ki busika bwe omuddu we yenna eki. rabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusiki bwe, obwo buliba bwa batabani be.
18 Era nate omulangira tatwalang ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawangs batabani be obusika ng'abuggyo ku butaka bwe ye: abantu bang, balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe.
19 Awo n'ampisa awayingirirwa ku mabbali g'omulyango n'anyingiza mu nju entukuvu eza bakabon ezaatunuulira obukiika obwa kkono era, laba, waaliwo ekifo ku luu yi olw'ennyuma ebugwanjuba.
20 N'aŋŋamba nti Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiwee bwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu.
21 Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, n'ampisa ku nsonda ennya ez'oluggya era, laba, mu buli nsonda ey'oluggya nga mulimu oluggya.
22 Mu nsonda ennya ez'oluggya mwalim empya ezaakomerwa, obuwanv bwazo emikono amakumi ana n'obugazi amakumi asatu: ezo ennya ezaali mu nsonda zaali za kigera kimu.
23 Era waaliwo olubu oluambibwa olwetoolodde mu zo okuseetooloola ezo ennya, era lwakolebwa nga lulimu ebifo eby'okuufumbiramu wansi w'embu enjuyi zonna.
24 Awo n'aŋŋamba nti Zino ze nnyumba ez'okufumbirangamu, abaweereza ab'ennyumba we banaafumbiranga ssaddaaka ey'abantu.
   

Essuula 47

[Ddayo waggulu]
1 Awo n'anzizaayo ku luggi olw'ennyumba; kale, laba, amazzi gaasibuka nga gava wansi w'omulyango ogw'ennyumba ebuvanjuba, kubanga obwenyi bw'ennyumba bwayolekera obuvanjuba: amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiika obwa ddyo.
2 Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiika obwa kkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era, laba, amazzi nga gakulukutira ku luuyi olwa ddyo.
3 Omusajja bwe yavaamu ng'agenda ebuvanjuba ng'akutte omugwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu bukongovvule.
4 Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi, n'ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu kiwato.
5 Oluvannyuma n'agera lukumi; ne guba mugga gwe ssaayinza kusomoka: kubanga amazzi gaali gatumbidde, amazzi ag'okuwugirira, omugga ogutayinzika kusomokeka.
6 N'aŋŋamba nti Omwana w'omumu, olabye? Awo n'antwala n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga.
7 Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi.
8 Awo n'aŋŋamba nti Amazzi gano gasibuka okugenda mu njuyi ez'ebuvanjuba, era galiserengeta mu Alaba: era galigenda eri ennyanja; mu nnyanja amazzi gye galidda agaasibusibwa; era amazzi galiwonyezebwa:
9 Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gajjula mu buli kifo emigga gye girituuka kiriba kiramu; era walibaawo olufulube lw'ebyennyanja lungi nnyo: kubanga amazzi gano gatuuse eyo, n'amazzi ag'omu nnyanja galiwonyezebwa, na buli kintu kiriba kiramu buli omugga gye gunaatuukanga.
10 Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo: okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu waliba ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini.
11 Naye ebifo eby'ettosi n'emigga gyagwo tebiriwonyezebwa; biriweebwayo eri omunnyo.
12 Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo: gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu: n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri bwe biri: Yusufu aliba n'emigabo.
14 Nanunwe muligisika buli muntu nga munne: gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa bajjajjammwe: era ensi eno eribagwira okuba obusika.
15 Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi;
16 Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani.
17 N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono obukiika obwa kkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa kkono.
18 N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w’e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiika obwa kkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba.
19 N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo eri obukiika obwa ddyo luliva ku Tamali okutuuka ku mazzi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. Olwo lwe luuyi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo.
20 N'oluuyi olw'ebugwanjuba luliba nnyanja nnene okuva ku nsalo ey'obukiika obwa ddyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'ebu gwanjuba.
21 Bwe mutyo bwe muligabana ensi eno mwekka na mwekka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri.
22 Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannaggwanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri.
23 Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 48

[Ddayo waggulu]
1 Era gano ge mannya g'ebika okuva ku nkomerero ey'obukiika obwa kkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba; Ddaani omugabo gumu.
2 N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Aseri omugabo gumu.
3 N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Nafutaali omugabo gumu.
4 N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Manase omugabo gumu.
5 N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Efulayimu omugabo gumu.
6 N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Lewubeeni omugabo gumu.
7 N'awali ensalo ya Lewubeeni, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Yuda omugabo gumu.
8 Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati.
9 Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'obugazi kakumi.
10 N'ekitone ekitukuvu kiriba ky'abo, kya bakabona; eri obukiika obwa kkono obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano, n'eri obugwanjuba obugazi kakumi, n'eri obuvanjuba obugazi kakumi, n'eri obukiika obwa ddyo obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo.
11 Kiriba kya bakabona abatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abatawabanga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba.
12 Era kiriba gye bali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi.
13 N'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi: obuwanvu bwonna buliba obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi kakumi:
14 So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala: kubanga kitukuvu eri Mukama.
15 N'enkumi ettaano ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'obukumi bubiri mu enkumi ttaano ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga: era ekibuga kiriba wakati omwo.
16 Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiika obwa kkono enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obukiika obwa ddyo enkumi nnya mu ebiktuni bitaano, ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba, enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu ebikumi bitaano.
17 Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiika obwa kkono ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obukiika obwa ddyo ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obuvanjuba ebikumi bibiri mu ataano, n'eri obugwanjuba ebikumi bibiri mu ataano.
18 N'obuwanvu obufisseewo obwenkana ekitone ekitukuvu buliba kakumi ebuvanjuba n'akakumi ebugwanjuba: era bulyenkana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biriba bya kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga.
19 N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonna ebya Isiraeri banaakirimanga.
20 Ekitone kyonna kiriba obugazi obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obuwanvu obukumi bubiri mu enkumi ttaano: muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga.
21 N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ttaano obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso g'obukumi obubiri mu enkumi ettaano okwolekera ensalo ey'ebuvagwanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu aw'ennyumba biriba wakati omwo.
22 Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku bataka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira.
23 N'ebika ebirala; okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Benyamini omugabo gumu.
24 N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwaajuba; Simvoni omueabo gumu.
25 N'awali ensalo ya Simyoni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Isakaali omugabo gumu.
26 N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku Lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba; Zebbulooni omugabo gumu.
27 N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi o1w'ebugwanjuba; Gaadi omugaba gumu.
28 N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'eruuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene.
29 Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda.
30 Era wano ekibuga we kikoma; ku lubiriizi olw'obukiika obwa kkono emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa:
31 n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu egitunuulira obukiika obwa kkono: omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu; omunyango gwa Leevi gumu:
32 ne ku lubiriizi olw'ebuvanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano; n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu; omulyango gwa Ddaani gumu:
33 ne ku lubiriizi olw'obukiika obwa ddyo emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu; omulyango gwa Zebbulooni gumu:
34 ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu ebikumi bitaano, n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu; omulyango gwa Nafutaali gumu.
35 Kiriba kya mmuli kakumi mu kanaana okwetooloola: n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti Mukama ali omwo.
   

Next
Back