Ezekyeri  

Essuula 9

1 Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange ng'ayogera nti Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.
2 Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu ogwolekera obukiika obwa kkono, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekitta mu mukono gwe; n'omusajja omu wakati mu bo ayambadde bafuta ng'alina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo.
3 Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali okutuuka ku mulyango ogw'ennyumba: n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato.
4 Awo Mukama n'amugamba nti Genda oyite wakati mu kibuga, wakati mu Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'a bantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo.
5 N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti Mmw muyite mu kibuga nga mumuvaako ennyuma mufumite: eriiso lyammwe lireme okusonyiwa so temubanga na kisa:
6 muttire ddala omukadde n'omulenzi n'omuwala n'abaana abato n'abakazi: naye temusembereranga muntu yenna aliko akabonero era musookere ku watukuvu wange. Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba
7 N'abagamba nti Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya abattibwa: mufulume. Awo ne bafuluma ne bafumitira mu kibuga.
8 Awo olwatuuka bwe baali nga bafumita nange nga nsigaddewo, ne nvuunama amaaso gange ne nkaaba ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kye ku Yerusaalemi?
9 Awo n'aŋŋamba nti Obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi nnyo nnyini, n'ensi ejjudde omusaayi, n'ekibuga kijjudde okulya ensonga: kubanga boogera nti Mukama yaleka ensi, so Mukama talaba.
10 Era nange eriiso lyange teririsonyiwa so sirisaasira, naye ndireeta ekkubo lyabwe ku mutwe gwabwe.
11 Kale, laba, omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo ng'ayogera nti Nkoze nga bw'ondagidde.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Awo ne ntunula, era, laba; mu bbanga eryali waggulu w'omutwe gwa bakerubi ne walabika waggulu waabwe ng'ejjinja erya safiro ng'embala ey'ekifaananyi eky'entebe.
2 N'agamba omusajja ayambadde bafuta n'ayogera nti Yingira wakati wa bannamuziga abeetooloola abawulukuka, wansi wa kerubi, ojjuze ebibatu byo byombi ebisiriiza eby'omuliro ebiva wakati wa bakerubi, obimansire ku kibuga. Awo n'ayingira nze nga ndaba.
3 Era bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo omusajja bwe yayingira; ekire ne kijjuza oluggya olw'omunda.
4 Ekitiibwa kya Mukama ne kirimya okuva ku kerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'edtiibwa kya Mukama.
5 N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya kerubi ne kuwulirwa okutuuka ne mu luggya olw'ebweru, ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna Wayogera.
6 Awo olwatuuka bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta ng'ayogera nti Ggya omuliro wakati wa bannamuziga abeetooloola abavulukuka wakati wa bakerubi, n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga mamuziga.
7 Awo kerubi n'agoola omukono gwe ng'ayima wakati va bakerubi eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'atwalako, n'agueeka mu mikono gy'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma.
8 Awo ne walabika mu bakerubi embala ey'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe.
9 Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga omu ng'ali ku mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga omulala ng'ali ku mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya bannamuziga rali ng'ebbala ery'ejjinja erya berulo.
10 N'embala yaabwe, abo abana baalina ekifaananyi kimu, kwenkana mamuziga ng'ali munda wa nnamuziga.
11 Bwe baatambulanga, ne batambulira ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula, naye mu kifo omutwe gye gwatunulanga, ne bagugobereranga tebaakyuka me baatambula.
12 N'omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne bannamuziga byali bijudde amaaso enjuyi zonna, bannanuziga abo abana be baalina.
13 Bannamuziga, baabayita nze nga mpulira bannamuziga abeetooloola abawulukuka.
14 Era buli omu yalina obwenyi buna: obwenyi obw'olubereberye bwali bwenyi bwa kerubi, n'obwenyi obw'okubiri bwali bwenyi bwa muntu, n'obwenyi obw'okusatu bwenyi bwa mpologoma, n'obw'okuna bwenyi bwa mpungu.
15 Era bakerubi baalinnya waggulu: ekyo kye kiramu kye nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali.
16 Era bakerubi bwe baatambulanga, bannamuziga ne batambulira ku mabbali gaabwe: era bakerubi bwe baayimusanga ebiwaawaatiro byabwe okulinnya okuva ku ttakka, so ne bannamuziga tebaakyukanga okuva ku mabbali gaabwe.
17 Abo bwe baayimiriranga, ne bano ne bayimirira; era bo bwe balinnyanga waggulu, ne bano ne balinnyira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ekiramu gwali mu bo.
18 Awo ekitiibwa kya Mukama ne kifuluma okuva waggulu ku mulyango gw'ennyumba ne kiyimirira waggulu wa bakerubi.
19 Era bakerubi baayimusa ebiwaawaatiro byabwe ne balinnya okuva ku ttaka nze nga ndaba bwe baafuluma, ne bannamuziga ku mabbali gaabwe: era baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama; era ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
20 Ekyo kye kiramu kye nnalaba wansi wa Katonda wa Isiraeri ku mabbali g'omugga Kebali; ne mmanya nga be bakerubi.
21 Buli omu yalina obwenyi buna kinnoomu, era buli omu ebiwaawaatiro bina; n'ekifaananyi eky'emikono gy'omuntu kyali wansi w'ebiwaawaatiro byabwe.
22 Era ekifaananyi eky'obwenyi bwabwe, bwe bwali obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali, embala zaabwe nabo bennyini; bonna baatambulanga nga beesimba.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Era nate omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama ogutunuulira ebuvanjuba: kale, laba, ku luggi olw'omulyango nga, kuliko abasajja amakumi abiri mu bataano; ne ndaba wakati mu bo Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakungu ab'omu bantu.
2 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bano be basajja abagunja obutali butuukirivu, era abawa okuteesa okubi mu kibuga kino:
3 aboogera nti Ekiseera tekiri kumpi okuzimba ennyumba: ekibuga kino ye ntamu, naffe nnyama.
4 Kale obalagulireko, lagula, ai omwana w'omuntu.
5 Awo omwoyo gwa Mukama ne gungwako, n'aŋŋamba nti Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutyo bwe mwogedde, ai ennyumba ya Isiraeri; kubanga mmanyi ebigambo ebiyingira mu mwoyo gwammwe.
6 Mwazizza abammwe abattibwa mu kibuga kino, era mujjuzizza enguudo zaakyo abo abattibwa.
7 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Abammwe abattibwa be mutadde wakati mu kyo, abo ye nnyama, n'ekibuga ye ntamu: naye mmwe muliggibwa wakati mu kyo.
8 Mutidde ekitala; nange ndibaleetako ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda.
9 Era ndibaggya wakati mu kyo, ne mbawaayo mu mikono gya bannaggwanga, era ndituukiriza mu mmwe emisango.
10 Muligwa n'ekitala; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama.
11 Muligwa n'ekitala; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama.
12 kale mulimanya nga nze Mukama: kubanga temutambulidde mu mateeka gange, so temutuukirizza misango gyange, naye mukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde
13 Awo olwatuuka bwe nnalagula, Peratiya mutabani wa Benaya n'afa. Awo ne nvuunama amaaso gange, ne nkaaba n'eddoboozi ddene ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoomaliwaro ddala ekitundu kya Isiraeri ekifisseewo?
14 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
15 Omwana w'omuntu, baganda bo, abasajja ab'ekika kyammwe, n'ennyumba yonna eya Isiraeri, bonna, be baabo abagambiddwa abo abali mu Yerusaalemi nti Mwesambe wala Mukama: ffe ensi eno etuweereddwa okuba obutaka:
16 kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nabajjulula ne mbatwala wala mu mawanga, era kubanga mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi era naye ndiba gye bali ekifo ekitukuvu ekiseera ekitono mu nsi gye batuuse.
17 Kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mbayoola okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Isiraeri.
18 Kale balijjayo, ne baggyawo ebintu byayo byonna eby'ebiwe n'emizizo gyayo gyonna ne bagimalayo.
19 Era ndibawa omutima gumu, era nditeeka omwoyo omuggya mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mutima gwabwe, ne mbawa omutima ogw'e nnyama:
20 balyoke batambulirenga mu mateeka gange ne bakwata ebyo bye nnassaawo ne babikola: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe.
21 Naye abo, omutima gwabwe gutambula okugoberera omutima ogw'ebintu byabwe eby'ebiwe n'emizizo gyabwe, ndireeta ekkubo lyabwe ku mitwe gyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.
22 Awo bakerubi ne balyoka bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ne bannamuziga nga bali ku mabbali gaabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
23 N'ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva wakati mu kibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba.
24 Omwoyo ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa olw'omwoyo gwa Katonda e Bukaludaaya eri ab'obusibe. Awo okwolesebwa kwe nnali ndabye ne kulinnya okunvaako.
25 Awo ne njogera n'ab'obusibe ebigambo byonna Mukama bye yali andaze.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Era ekigambo kya Mukama kyanjijira nga kyogera
2 Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba eyo enjeemu abalina amaaso ag'okulaba so tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira so tebawulira; kubanga nnyumba njeemu.
3 Kale, ggwe omwana. w'omuntu, weetegekere ebintu eby'obuwaŋŋanguse, ositule okusenguka misana bo nga balaba; era olisenguka mu kifo kyo n'odda mu kifo ekirala bo nga balaba: mpozzi balirowooza, newakubadde nga nnyumba njeemu.
4 Era oliggyamu ebintu misana bo nga balaba, ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse: era olivaamu wekka akawungeezi bo nga balaba, ng'abantu bwe bavaamu abagobebwa ewaabwe.
5 Sima ekisenge bo nga balaba, oyiseemu ebintu.
6 Bisitulire ku kibegabega kyo bo nga balaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri.
7 Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: naggyamu ebintu byange emisana ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekisenge n'omukono gwange; ne mbiggyamu ekizikiza nga kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bo nga balaba.
8 Awo enkya ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9 Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri, ennyumba enjeemu, tebakugambye nti Okola ki?
10 Bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri be balimu.
11 Yogera nti Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa ewaabwe okugenda mu busibe.
12 N'omulangira ali mu bo alisitulira ku kibegabega kye ekizikiza nga kikutte n'afuluma; balisima mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya: alibikka ku maaso ge, kubanga taliraba ttaka n'amaaso ge.
13 Era ndimusuulako ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey'Abakaludaaya: era naye talikiraba, newakubadde ng'alifiira eyo.
14 Era ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era ndisowola ekitala ekiribagoberera.
15 Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi.
16 Naye ndirekawo ku bo abasajja batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke babuulirenga emizizo gyabwe gyonna mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga nze Mukama.
17 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18 Omwana w'omuntu, lya emmere yo ng'okankana, onywe amazzi ng'ojugumira era nga weeraliikirira; ogambe abantu ab'omu nsi, nti
19 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekebwewo byonna ebirimu olw'ekyejo ky'abo bonna abatuulamu.
20 N'ebibuga ebibeerwamu birizisibwa, n'ensi eriba matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.
21 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
22 Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti Ennaku ziyitirira, era buli kwolesebwa kubula?
23 Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikomya olugero olwo, so tebalirugera nate mu Isiraeri okuba olugero; naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, n'okutuukiriza buli kwolesebwa.
24 Kubanga tewalibaawo nate kwolesebwa okw'obwereere newakubadde obulaguzi obunyumiriza mu nnyumba ya Isiraeri.
25 Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizi bwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ai ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.
26 Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
27 Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti Okwolesebwa kwalaba kwa mu nnaku nnyingi ezitannajja, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala.
28 Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyo. gera kirituukirizibwa, bw'ayogers Mukama Katonda.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, lagulira ki bannabbi ba Isiraeri abalagula obagambe abo abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo, nti Muwulirekigambo kya Mukama;
3 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze bannabbi abasirusiru aba goberera omwoyo gwabwe bo, so nga tebaliiko kye balabye!
4 Ai Isiaeri, bannabbi bo baabanga ng'ebe mu bifo ebyalekebwawo.
5 Temwambukanga mu bituli ebyavagulwa, so temuddaabiririzanga nnyumba ya Isiraeri olukomera, muyimirire mu lutalo ku lunaku lwa Mukama.
6 Balabye ebitaliimu n’obulaguzi obw'obulimba abo aboogera nti Mukama ayogera; so nga Mukama tabatumye: era basuubizizza abantu ng'ekigambo kigenda kunywezebwa.
7 Temulabye wolesebwa okutaliimu, era temwogedde bulaguzi bwa bulimba, kubanga mwogera nti Mukama ayogera: era naye soogeranga?
8 Mukama Katonda kyava ayogera nti Kubanga mwogedde ebitaliimu, era mulabye eby'obulimba, kale, laba, ndi mulabe wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
9 Era omukono gwange guliba nulabe wa bannabbi abalaba ebitaiimu ne balagula eby'obulimba: ebaliba mu abo abateesa ab'omu antu bange, so tebaliwandiikibwa nu kiwandiike eky'emtyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ra Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.
10 Kubanga, weewaawo, kubanga basenzesenze abantu bange, nga boogera nti Mirembe; so nga tewali mirembe; era omuntu bw'azimba ekisenge, aba, bakisiigako ebbumba eritasezuddwa bulungi:
11 bagambe abo abakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi nga kirigwa: walibaawo enkuba ekulukuta ennyo; nammwe, amayinja ag'omuzira amanene, muligwa; ne kibuyaga omungi alikimenya.
12 Laba, ekisenge bwe kiriba nga kigudde, temuligambibwa nti Okusiigako kwe mwakisiigako kuli ludda wa?
13 Kale bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikimenyera ddala ne kibuyaga mungi nga ndiko ekiruyi; era walibaawo enkuba ekulukuta ennyo nga ndiko obusungu, n'amayinja ag'omuzira amanene okukimalawo.
14 Bwe ntyo bwe ndyabiza ddala ekisenge kye mwasiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi, ne nkissa wansi, omusingi gwakyo n'okweruka ne gweruka: era kirigwa, nammwe mulimalibwawo wakati mu kyo: kale mulimanya nga nze Mukama:
15 Bwe ntyo bwe ndituukiriza ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiigako ebbumba eritasekuddwa bulungi; era ndibagamba nti Ekisenge tekikyaliwo newakubadde abo abaakisiigako;
16 be bannabbi ba Isiraeri abalagula ebya Yerusaalemi era abakirabira okwolesebwa okw'emirembe, so nga tewali mirembe, bw'ayogera Mukama Katonda.
17 Naawe, omwana w'omuntu, kakasa amaaso go okwolekera abawala b'abantu bo, abalagula ebiva mu mutima gwabwe bo; era balagulireko
18 oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abakazi abatungira ebigugu ku nkokola zonna, era abakolera ebiwero emitwe gy'abantu aba buli kigera okuyigga obulamu Muliyigga obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwekka obulamu bwammwe okufa?
19 Era mwanvumisa mu bantu bange olw'embatu eza sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okutta obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kuba bulamu, nga mulimba abantu bange abawulira eby'obulimba.
20 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa bigugu byammwe bye muyizza obulamu eyo okububuusa, era ndibisika okubiggya ku mikono gyammwe; era nditta obulamu, obulamu obwo bwe muyigga okubu buusa.
21 Era n'ebiwero byammwe ndibiyuza, ne mponya abantu bange mu mukono gwammwe, so nga tebakyabeera mu mukono gwammwe okuyiggibwa; kale mulimanya nga nze Mukama.
22 Kubanga muwuubazizza n'eby'obulimba omutima gw'omutuukiriw nze gwe siwuubaazanga; ne munyweza emikono gy'omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n'awona nga mulamu:
23 kyemuliva mulema okulaba nate ebitaliimu newakubadde okulagula obulaguzi: nange ndiwonya abantu bange mu mukono gwammwe; kale mulimanya nga nze Mukama.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Awo abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja gye ndi ne batuula mu maaso gange.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
3 Omwana w'omuntu, abasajja bano batutte ebifaananyi byabwe mu mutima gwabwe, era batadde enkonge ey'obutali butuukirivu mu maaso gaabwe: nnyinza ntya abo okumbuuza n'akamu kokka?
4 Kale yogera nabo obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Buli muntu ow'omu anyumba ya Isiraeri atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe, n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli;
5 ndyoke nkwase ennyumba ya Isiraeri omutima gwabwe bo, kubanga bonna banneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.
6 Kale bagambe ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mudde mukyuke okuleka ebifaananyi byammwe; era mukyuse amaaso gammwe okuleka emizizo gyammwe gyonna.
7 Kubanga buli muntu ow'omu nayumba ya Isiraeri oba ow'okubannaggwanga ababeera mu Isiraeri eyeeyawula nange n'atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama ndimuddamu nze mwene:
8 era ndikakasa amaaso gange okwolekera omuntu oyo, era ndimufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama.
9 Era oba aga nnabbi alirimbibwa n'ayogera ekigambo, nze Mukama nga nnimbye nnabbi oyo, era ndimugololerako omukono gwange, ne mmuzikiriza wakati mu bantu bange Isiraeri.
10 Era balyetikka obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukiriw bwa nnabbi bulyenkanira ddala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuuzaako;
11 ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
13 Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ng'esobezza, nange ne ngigololerako omukono gwange ne mmenya omuggo ogw'emigaati gyamu, ne ngiweerezaako enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo;
14 abo bonsatule, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu, newakubadde nga baali omwo, bandiwonyezza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Bwe ndiyisa ensolo embi mu nsi n'okugyonoona ne zigyonoona n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo;
16 abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.
17 Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti Ekitala, yita mu nsi; n'okumalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo;
18 abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini baliwonyezebwa bokka.
19 Oba bwe ndiweereza kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange mu musaayi, okugimalamu abantu n'ensolo:
20 Nuuwa ne Danyeri ne Yobu newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.
21 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kale tebirisinga nnyo okuba bwe bityo, bwe ndiweereza emisango gyange ena emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n'enjala n'ensolo embi ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?
22 Era naye mulisigalamu ekitundu ekifisseewo ekiriggibwamu ne kitwalibwa, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: laba, balifuluma balijja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulisanyusibwa mu bubi bwe ndeese ku Yerusaalemi, olwa byonna bye nkireseeeko.
23 Era balibasanyusa bwe muliraba ekkubo iyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga saabalanga bwereere okukola byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery'ogumu ku miti egy'omu kibira?
3 Banaggyangako emiti okukola omulimu gwonna? oba abantu banaggyangako ekikondo okuwanikako ekintu kyonna?
4 Laba, bagusuula mu muliro okuba enku: omuliro gugwokezza eruuyi n'eruuyi ne wakati waagwo wayidde; guliko kye gugasa olw'omulimu gwonna?
5 Laba, bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwasaanira mulimu. gwonna: kale omuliro nga gugwokezza era nga guyidde gukyasaanira gutya omulimu gwonna?
6 Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ng'omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, gwe mpaddeyo eri omuliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi.
7 Era ndikakasa amaaso gange okuboolekera; balifuluma mu muliro, naye omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndikakasa amaaso gange okuboolekera.
8 Era ndizisa ensi kubanga basobezza, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, manyisa Yeru saalemi emizizo gyakyo,
3 oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti.
4 Era eby'okuzaalibwa kwo ku lunaku kwe wazaalirwa tewasalibwa kalira, so tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewateekebwamu munnyo n'akatono, so tewabildubwako n'akatono.
5 Tewali liiso eryakusaasira okukukola ku ebyo byonna, okukukwatirwa ekisa; naye n'osuulibwa mu ttale ebweru, kubanga wakyayibwa ggwe ku lunaku kwe wazaalirwa.
6 Awo bwe nnakuyitako ne nkulabanga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu: weewaawo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'omu musaayi gwo, ba mulamu.
7 Ne nkwaza ng'ekimuli eky'omu nnimiro, ne weeyongera n'ofuuka mukulu, n'otuuka ku buyonjo obulungi ennyo; amabeere go ne gamera, enviiri zo ne zikula; era naye ng'oli bwereere nga tobikkiddwako.
8 Awo bwe nnakuyitako ne nkutunuulira, laba, ekiseera kyo nga kye kiseera eky'okwagalirwamu; ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo: weewaawo, ne nkulayirira, ne ndagaan naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange.
9 Awo ne nkunaaza n'amazzi; weewaawo, ne nkunaalizaako ddala omusaayi gwo, ne nkusiigako amafuta.
10 N'okwambaza ne nkwa mbaza omulimu ogw'eddalizi, n nkunaanika engato ez'amaliba g'eŋŋonge ne nkusiba olwebagyo olwa bafuta ennungi, ne nkubikkaki aliiri.
11 Era ne nkunaanika eby'obuyonjo, ne nteeka ebikomo ku mikono gyo n'omukuufu mu bulago bwo.
12 Ne nteeka empeta k nnyindo yo, n'eby'omu matu mu matu go n'engule ennungi ki mutwe gwo.
13 Bwe wayonjebwa bw'otyo n'ezaabu n'effeeza; n'ebya mbalo byo byali bya bafuta nnung ne aliiri n'omulimu ogw'eddalizi walyanga obutta obulungi n'omubis gw'enjuki n'amafuta: n'oba mulung nnyo nnyini, n'olaba omukisa oku tuusa mu bukulu obw'obwakabaka.
14 Ettutumu lyo ne lyatiikirira mi mawanga olw'obulungi bwo; ku banga bwali butuukiridde olw'obu kulu bwange bwe nnali nkutaddeko bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, ne weefuula omwene olw'ettutumu lyo, n'ofuka obukaba bwo ku buli muntu eyayitangawo bwabanga bubwe.
16 Era watoola ku byambalo byo, ne weekolera ebifo ebigulumivu ebyayonjebwa n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku byo: ebifaanana bwe bityo tebirijja so tebiriba bwe bityo.
17 N'okuddira n'oddira eby'obuyonjo bwo ebirungi ebya zaabu yange n'ebya ffeeza yange bye nnali nkuwadde, ne weekolera ebifaananyi by'abantu, n'oyenda ku byo:
18 n'oddira ebyambalo byo eby'eddalizi, n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo.
19 Era n'emmere yange gye nnakuwa, obutta obulungi n'amafuta n'omubisi gw'enjuki, bye nnakuliisanga, n'okuteeka n'obiteeka mu maaso gaabyo okuba evvumbe eddungi, ne biba bwe bityo, bw'ayogera Mukama Katonda.
20 Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, abo n'obawaayo okuba ssaddaaka eri byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono,
21 n'okutta n'otta abaana bange, n'obawaayo ng'obayisa mu muliro eri byo?
22 Era mu mizizo gyo gyonna ne mu bwenzi bwo tojjukiranga nnaku za buto bwo, bwe wali obwereere nga tobikkiddwako, era nga weekulukuunya mu musaayi gwo.
23 Awo olutuuse obubi bwo bwonna nga bumaze okubaawo, (zikusanze, zikusanze! bw'ayogera Mukama Katonda,)
24 weezimbidde ekifo ekikulumbala ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luguudo.
25 Ozimbye ekifo kyo ekigulumivu buli luguudo we lusibuka, era ofudde obulungi bwo okuba eky'omuzizo, era obikkulidde ku bigere buli muyise n'oyongera ku bwenzi bwo.
26 Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo, ab'omubiri omunene; n'oyongera ku bwe nzi bwo okunsunguwaza.
27 Kale, laba, nkugololeddeko omukono gwange, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri okwagala kw'abo abakukyawa, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi ekkubo lyo ery'obukaba.
28 Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kukkuta; weewaawo, oyenze ku bo, era naye tewanyiwa.
29 Era nate wayongera ku bwenzi bwo mu nsi ya Kanani okutuusa e Bukaludaaya; era naye n'obwo tebwakunyiya.
30 Omutima gwo nga munafu! bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga okola bino byonna, omulimu ogw'omukazi ow'amawaggali omwenzi;
31 kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lusibuka, n'okola ekifo kyo ekigulumivu mu buli luguudo; so tobanga nga mukazi mwenzi kubanga onyooma empeera.
32 Omukazi alina bba ayenda so! akkiriza abagenyi mu kifo kya bbaawe so!
33 Abakazi bonna abenzi babawa ebirabo: naye ggwe owa ebirabo byo baganzi bo bonna, n'obagulirira bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna olw'obwenzi bwo.
34 Era osobezza ensobya bbiri abakazi abalala mu bwenzi bwo, kubanga tewali akugoberera ggwe okwenda: era kubanga ogulirira so toweebwa mpeera kyova osobya ensobya ebbiri.
35 Kale, ai omwenzi, wulira ekigambo kya Mukama:
36 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga empitambi yo yafukirwa ddala, n'obwereere bwo ne bubikkulwako olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo gyo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa;
37 kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; okukuŋŋaanya ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bo nna balabe obwereere bwo.
38 Era ndikusalira omusango ng'abakazi abatta obufumbo ne bayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; era ndikuleetako omusaayi ogw'ekiruyi n'obuggya.
39 Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebyambalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo bwo ebirungi: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikkuddwako.
40 Era balikulinnyisaako ekibiina, ne bakukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe.
41 Era balyokya ennyumba zo omuliro ne batuukiriza emisango ku ggwe abakazi bangi nga balaba; era ndikulekesaayo obwenzi, so toliwaayo mpeera nate lwa kubiri.
42 Bwe ntyo bwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne ssibaako busungu nate.
43 Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; kale, laba, nange ndireeta ekkubo lyo ku mutwe gwo, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna.
44 Laba, buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'ayogera nti Nga nnyina ne muwala we bw'atyo.
45 Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa ba bbaabwe: nnyamniwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli.
46 Ne mukulu wo ye Samaliya abeera ku mukono gwo ogwa kkono, ye ne bawala be: ne mwana wannyo atuula ku mukono gwo ogwa ddyo ye Sodomu ne bawala be.
47 Era naye totambuliranga mu makubo gaabwe, so tokolanga ng'emizizo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okiyita kigambo kitono nnyo, n'osinga bo okuba omukyamu mu makubo go gonna.
48 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu takolanga, ye newakubadde bawala be, nga ggwe bw'okoze, ggwe ne bawala bo.
49 Laba, buno bwe bwali obutali butuukirivu bwa muganda wo Sodomu; amalala n'okukkutanga emmere n'okwesiima nga yeegolola byali mu ye ne mu bawala be; so teyanyweza mukono gwa mwavu n'eyeetaaga.
50 Era baalina ekitigi, ne bakola eby'emizizo mu maaso gange: kyennava mbaggyawo nga bwe nnasiima.
51 So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gye wakola.
52 Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweese.zza baganda bo obutuukirivu.
53 Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo:
54 olyoke obeereko ensonyi zo ggwe, era okwatibwe ensonyi olw'ebyo byonna bye wakola, kubanga obasanyusa.
55 Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, ne Samaliya ne bawala be balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda.
56 Kubanga muganda wo Sodomu akamwa ko tekamwatulanga ku lunaku olw'amalala go;
57 obubi bwo nga tebunnabikkulwa, nga mu biro abawala ab'e Busuuli lwe baavuma n'abo bonna abamwetoolodde, abawala aba Bafirisuuti abakugirira ekyejo enjuyi zonna.
58 Wabaako obukaba bwo n'emizizo gyo, bw'ayogera Mukama.
59 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano.
60 Era naye nze ndijjukira endagaano gye nnalagaana naawe mu nnaku ez'obuto bwo, era ndinyweza eri ggwe endagaano eteriggwaawo.
61 Kale n'olyoka ojjukira amakubo go, n'okwatibwa ensonyi, bw'oliweebwa baganda bo, baganda bo abakulu ne baganda bo abato: era ndikubawa okuba abawala, naye si lwa ndagaano yo.
62 Era ndinyweza endagaano yange naawe; kale olimanya nga nze Mukama:
63 olyoke ojjukire n'oswala n'olema okwasama nate akamwa ko olw'ensonyi zo; bwe ndimala okukusonyiwa byonna bye wakola, bw'ayogera Mukama Katonda.
   

Next
Back