| |
|
|
| 1 |
Kubanga Mukama alisaasira Yakobo, era, bw'alimala, n'alonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo: n'omugenyi alyegatta iabo, era balyetaba n'ennyumba ya Yakobo. |
| 2 |
N'amawanga balibawala, ne babaleeta mu kifo kyabwe: n'eanyumba ya Isiraeri baba nabo mu nsi ya Mukama okuba baddu n'abazaana: era baliwamba bo abaabawambanga; era balifuga bo abaabajooganga. |
| 3 |
Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwuunula mu nnaku zo ne mu kuteana kwo ne mu kuweereza okuzibu we wawalirizibwa okuweereza, |
| 4 |
awo oligera olugero luno ku kaaka w’e Babulooni n'oyogera nti Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga kya zaabu nga kiweddewo! |
| 5 |
Mukama amenye omuggo ogw'ababi, muggo ogw'obwakabaka ogw'abo abafuga; |
| 6 |
ogwakubanga amawanga obusungu olutata, ogwafuganga nawanga n'ekiruyi, ne guyigganyanga ne gutaziyizibwa muntu yenna. |
| 7 |
Ensi yonna ewummudde, era eredde: babaguka okuyimba. |
| 8 |
Weewaawo, enfugo zikusanyukira, emivule egy'oku Lebanooni, nga gyogera nti Kasookedde ogalamizibwa, tekulinnyanga ku ffe atutema. |
| 9 |
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe. |
| 10 |
Abo fionna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe? ofaanaanyizibwa nga ffe? |
| 11 |
Ekitiibwa kyo kissibwa emagombe, n'eddoboozi ly'ennanga zo: envunyu zaaliiriddwa wansi wo, era envunyu zikubisseeko. |
| 12 |
Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeeye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! |
| 13 |
N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono: |
| 14 |
ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo. |
| 15 |
Naye olissibwa emagombe, ku njuyi ez'enkomerero ez'obunnya. |
| 16 |
Abo abanaakulabanga banaakukeberanga, banaakulowoozanga, nga boogera nti Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka: |
| 17 |
eyazisanga ensi yonna, n'asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe be okudda ewaabwe? |
| 18 |
Bakabaka bonna ab'amawanga, bonna bwe benkana, beebakira mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye. |
| 19 |
Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere. |
| 20 |
Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n'otta abantu bo; ezzadde ly'abo abakola obubi teriryogerwako ennaku zonna. |
| 21 |
Mutegekere abaana be okuttibwa olw'obutali butuukirivu bwa bakitaabwe; baleme okugolokoka, ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga. |
| 22 |
Nange ndibagolokokerako, bw'ayogera Mukama ow'eggye, ne mpemmenta mu Babulooni erinnya n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama. |
| 23 |
Era ndikifuula obutaka bwa namunnungu, n'ebidiba eby'amazzi: era ndikyera n'olweyo olw'okuzikiriza, bw'ayogera Mukama ow'eggye. |
| 24 |
Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo; |
| 25 |
ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyira n'ebigere ku nsozi zange: kale ekikoligo kye kiribavaako, n'omugugu gwe guliva ku kibegabega kyabwe. |
| 26 |
Okwo kwe kuteesa okwateesebwa ku nsi yonna: era ogwo gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna. |
| 27 |
Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo? |
| 28 |
Mu mwaka kabaka Akkazi mwe yafiira ne wabaawo omugugu guno. |
| 29 |
Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba: kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka. |
| 30 |
N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe: era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa. |
| 31 |
Wowoggana, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuse, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna; kubanga mu bukiika obwa kkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa. |
| 32 |
Kale balyanukulwa batya aba baka ab'eggwanga? Nti Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira. |
| |
|