Isaaya  

Essuula 21

1 Omugugu ogw'eddungu ery'ennyanja. Nga kibuyaga ow'omu bukiika obwa ddyo bw'ayita amangu, bwe watyo bwe wava mu ddungu, mu nsi ey'entiisa.
2 Okwolesebwa okuzibu kumbuuliddwa; omulyazaamaanyi alyazaamaanya, a'omunyazi aayaga. Yambuka, ggwe Eramu: zingiza, ggwe Obumeedi; okussa ebikkowe kwayo kwonna nkukomezza.
3 Ekiwato kyange kyekivudde kijjula okubalagalwa; obulumi bunkutte ng'obulumi bw'omukazi alumwa okuzaala: nnyoleddwa n'okuyinza ne ssiyinza kuwulira; nkeŋŋetereddwa n'okuyinza ne ssiyinza kulaba.
4 Omutima gwange guwejjawejja, okwesisiwala kunkanze: ekiro kye nnali neegomba ki fuuse gye ndi kukaakana.
5 Bategeka emmeeza, bassaswo abakuumi, balya, banywa: mugolokoke, mmwe abakulu, musiige amafuta ku ngabo.
6 Kubanga bw'atyo Mukama bw'annambye nti Genda osseewo omukuumi; ategeeze ky'aaaalaba:
7 era bw'alabanga ekitongole, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu, ekibiiaa ky'endogoyi, ekibiina ky'eŋŋamira, awuliranga aayo nga yeetegereza bulungi.
8 N'akaaba ng'empologoma nti Ai Mukama, bulijjo emisana nnyimirira ku kigo awakuumirwa, era nkeesa obudde nga ndi muggalire.
9 era, laba, wajja ekitongole ky'abantu, abeebagala embalaasi babiri nga bali wamu. N'addamu n'ayogera nti Babulooni kigudde, kigudde; n'ebifaananyi byonna ebyole ebya bakatonda baakyo bimenyese okutuuka ku ttaka.
10 Woowe ggwe okuwuula kwange era eŋŋaano ey'omu gguuliro lyaage: ebyo bye mpulidde ebivudde eri Mukama ovd'eggye, Katonda wa Isiraeri, mbibabuulidde.
11 Omugugu gwa Duuma. Waliwo ampita ng'ayima ku Seyiri nti Omukuumi, eby'ekiro bitya? Omukuumi, eby'ekiro bitya?
12 Omukuumi n'ayogera nti Enkya ejja, era n'ekiro: bwe mwagala okubuuza, mubuuze: mukyuke mujje.
13 Omugngu oguli ku Buwalabu. Mu kibira mu Buwalabu mwe mulisula, mmwe ebibiina ebya Abadedeni ebitambula.
14 Oyo eyalumwa enayonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse a'emmere yaabwe.
15 Kubanga badduka ebitala, elutala ekisowole, n'omutego omunaanule, n'obubi bw'entalo.
16 Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyoana ekya Kedali kiri ggwaawo:
17 n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaaayi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Omugugu ogw'ekiwonvu eky'okwolesebwa. Obadde otya kaakano, n'okuliaaya n'olinayira ddala waggulu ku anyumba?
2 Ggwa ajjudde okuleekaana, ekibuga eky'oluyoogaano, ekibuga eky'essanyu; ababo abattibwa tebattibwa na kitala, so tebafiiridde mu ntalo.
3 Abakufuga bonna baddukira wamu, baasibibwa abalasi: bonna abaasangibwa ku babo baasibirwa wamu, baddukira wala.
4 Kyeanava njogera ati Mukyuse amaaso gammwe obutandaba, naakaba nnyo amaziga; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.
5 Kubanga lwe lunaku olw'olukeŋŋentererwako era olw'okulinayirirwako, era olw'okubuusizabuusizaako, oluva eri Mukama, Mukama ow'eggye mu kiwonvu eky'okwolesebwa; oku menyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi.
6 Eramu n'ayambalira omufuko, wamu n'amagaali ag'abasajja n'abeebagala embalaasi; Kiira n'asabuukulula engabo.
7 Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batalira mu mulyango.
8 N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaki luli ebyokulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira.
9 Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi: ne mukuŋŋaanya amazzi ag'ekidiba ekya wansi.
10 Ne mubala ennyumba ez'omu Yerusaalemi, ne mumenyaamenya ennyumba okunyweza bbugwe.
11 Era ne musimira ekidiba amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi: naye ne mutatunuulira oyo eyagira kino, so temwalowooza oyo eyakikola edda ennyo.
12 Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayits abantu okukaaba amaziga n'okuwuubaala n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu:
13 era, laba ssanyu na kujaguza, kutta nte ne kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: tulyetunywe kubanga enkya tunaafa.
14 Mukama ow'eggye ne yeebikkulira mu man gange nti Mazima obutali butuukirivu buno tebulirongoosebwa okubavaako okutuusa lwe mulifa, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
15 Bw'atyo bw'ayogera Mukama; Mukama ow'eggye, nti Weegendere eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ya mukulu w'ennyumba, oyogere nti
16 Okola ki wano? era ani gw'olina wano n'okwebajjira ne weebajjira wano entaana? ng'omubajjira entaana waggulu, nga yeetemera ennyumba mu lwazi!
17 Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi ng'omusajja ow'amaanyi; weewaawo, ali kusabikira ddala.
18 Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo.
19 Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuve mu bukulu bwo.
20 Awo ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya:
21 era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo, era ndimuteresa okufuga kwo mu mukono gwe: era aliba kitaabwe eri abo abatuula mu Yerusaalemi n'eri ennyumba ya Yuda.
22 N'ekisumuluzo eky'ennyumba ya Dawudi ndikiteeka ku kibegabega kye; era aliggulawo so tewaliba aggalawo; era aliggalawo so tewaliba aggulawo.
23 Era ndimukomerera ng'enninga mu kifo ekinywevu; era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24 Era balimuwanikako ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, ab'enda n'ezzadde, buli kintu ekitono, okuva ku bukompe okutuuka ku bita byonna.
25 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; era eritemebwawo n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako; kubanga Mukama akyogedde.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Omugugu gwa Ttuulo. Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi; kubanga kizise, obutabaamu nnyumba newakubadde okuyingiramu; bakibikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.
2 Musirike, mmwe abatuula ku kizinga; ggwe abasuubuzi ab’e Zidoni abawunguka ennyanja gwe bajjuza.
3 Era ku mazzi amangi ensigo za Sikoli, ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge; era oyo ye yali akatale k'amawanga.
4 Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.
5 Ebigambo bwe birituuka e Misiri, balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo.
6 Muwunguke mugende e Talusiisi; muwowoggane, mmwe abatuula ku kizinga.
7 Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu ekimaze emyaka emingi era ebigere byakyo ebyakitwalanga mu bitundu eby'ewala olw'obubudamo?
8 Ani ateesezza kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?
9 Ani ateesezza kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?
10 Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba olukusiba.
11 Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka: Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu.
12 N'ayogera nti Tokyeyongera kusanyuka, ggwe muwala wa Zidoni ajoogebwa: golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.
13 Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu: baazimba ebigo byabwe, baasuula amayumba gaamu; yaaizikiriza.
14 Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi: kubanga ekigo kyammwe kizise.
15 Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu, ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.
16 Ddira ennanga otambuletambule mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabirwa; kuhs bulungi ennanga, oyimbe ennimba nnyingi, olyoke ojjukirwe.
17 Awo olulituuka emyaka nsanvu nga giweddeko Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.
18 N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba butukuvu eri Mukama: tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebigumu.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
1 Laba, Mukama ensi agimalamu byonna, era agizisa, era agiwunika, era asaasaanyiza ddala abagituutamu.
2 Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugele we bw'aliba; ng'amuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba; ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba; ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba.
3 Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala; kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo.
4 Ensi ewuubaala era esaanuuka, ettaka liggwaamu amaanyi era lisaanuuka, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi.
5 Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w'abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo.
6 Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono.
7 Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe.
8 Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma.
9 Tebalinywa mwenge nga bayimba; ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa.
10 Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese: buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu.
11 Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna lizikizibwa, ekinyumu eky'ensi kigenze.
12 Mu kibuga musigadde okuzika, ne wankaaki akubiddwa n'okuzikirira.
13 Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde.
14 Bano baliyimusa eddoboozi lyabwe, balyogerera waggulu, olw'obukulu bwa Mukama baleekaana nga bayima ku nnyanja.
15 Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja.
16 Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa eri abatuukirivu. Naye ne njogera nti Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.
17 Entiisa n'obunnya n'omutego biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi.
18 Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya wakati omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi ginyeenya.
19 Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo.
20 Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate.
21 Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza eggye ery'abagulumivu waggulu, ne bakabaka ab'ensi ku nsi.
22 Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakunnaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku anyingi aga ziyiseewo balijjirwa.
23 Kale omwezi, gulikwatibwa ensoayi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa.
   

Essuula 25

[Ddayo waggulu]
1 Ai Mukama, ggwe Katonda wange; naakugulumizanga, naatenderezanga erinnya lyo; ku banga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.
2 Kubanga ekibuga okifudde ekifuavu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery'abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna.
3 Abantu ab'amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky'amawanga ag'entiisa kirikutya.
4 Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina hintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge.
5 Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa hulikkakkanyizibwa,
6 Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.
7 Era alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku baatu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna
8 Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abaatu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.
9 Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi bwe.
10 Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo.
11 Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga: era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze.
12 N'ekigo eky'olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n'akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu.
   

Essuula 26

[Ddayo waggulu]
1 Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera.
2 Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire.
3 Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe.
4 Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi alutaliggwaawo.
5 Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu, ekibuga ekigulumivu: akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu.
6 Ekigere kirikirinnyirira; ebigere by'omwavu, n'ebisinde by'oyo atalina kintu.
7 Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu.
8 Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.
9 Nakwoyanga n'obulamu bwange ekiro; weewaawo, nakeeranga mu makya okukunoonya n'omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu.
10 Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.
11 Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebalaba: naye baliraba obunyiikivu bwo olw'abantu ne bakwatibwa ensonyi; weewaawo, omuliro gulyokya abalabe bo.
12 Mukama, oliragira emirembe gye tuli: kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna.
13 Ai Mukama Katonda waffe, abaami abalala awali ggwe baatufuganga; naye ggwe tunaayatulanga erinnya lyo wekka.
14 Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza oku jjukirwa kwabwe kwonna.
15 Wayaza eggwanga, ai Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez'ensi.
16 Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.
17 Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ai Mukama.
18 Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde.
19 Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku middo, n'ettaka liriwandula abafu.
20 Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okuayiiga We kuliggwaawo.
21 Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe: n'ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo; so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.
   

Essuula 27

[Ddayo waggulu]
1 Ku lunaku luli Mukama alibonereza lukwata omusota oguwulukuka n'ekitala kye eky'obwogi ekinene eky'amaanyi, ne lukwata ogwegoloŋŋonya; era alitta ogusota oguli mu nnyanja.
2 Ku lunaku luli Olusuku olw'enizabbibu olw'omwenge muliruyimbira.
3 Nze Mukama ndukuuna; naalufukiriranga amazzi buli kaseera: ekintu kyonna kireme okulwonoonanga, naalukuumanga emisana n'ekiro.
4 Ekiruyi tekiri mu nze: singa katazamiti n'amaggwa gannumbye mu lutalo! nandigatabadde, nandigookedde wamu.
5 Oba akwate ku maanyi gange, atabagane nange; weewaawo, atabagane nange.
6 Mu biro ebiribaawo Yakobo alisimba emmizi; Isiraeri alyanya alimulisa: era balijjuza ensi gonna ebibala.
7 Amukubye nga ye bwe yakuba abo abaamukuba? oba attiddwa ag'abo bwe battibwa be yatta?
8 Bw'omusindika okugenda owatana naye mu kigero; amujjuludde n'okuwuuma kwe okw'amaanyi ku lunaku olw'embuyaga eziva ebuvanjuba.
9 Obutali butuukirivu obwa Yakobo kyebuliva bulongoosebwa n'ekyo, era ekyo kye kibala kyonna eky'okuggyako ekibi kye; bw'afuula imayinja gotma ag'ekyoto ng'ebisibosibo ebisekulwasekulwa, Baasera n'ebifaananyi by'enjuba n'okuyimuka ne bitayimuka nate.
10 Kubauga ekibuga ekyabangako enkomera kifulukwa, matongo agalekeddwawo, ng'eddungu: awo ennyana w'eririira, era awo w'erigalamira n'erya amatabi gaamu.
11 Amatabi gaamu bwe galiwotoka, galiwogolwa; abakazi balijja ne bagookya: kubanga be bantu abatalina magezi; eyabakola kyaliva alema okubasaasira, era eyababumba talibalaga kisa.
12 Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikuŋŋunta okuva ku ntaba ez'Omugga okutuusa ku mugga ogw'e Misiri, era mulikungulwa kinnoomu kinnoomu, mmwe abaana ba Isiraeri.
13 Awo olulituuka ku lunaku luli ekkondeere eddene lirifuuyibwa; era balijja abo abaali beeteeseteese okuzikirira mu nsi y'e Bwasuli n'abo abaali bagobeddwa mu nsi y'e Misiri; era balisinziza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.
   

Essuula 28

[Ddayo waggulu]
1 Zisanze engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu, n'ekimuli ekiwotoka eky'obu lungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggebwa omwenge!
2 Laba, Mukama alina ow'amaanyi era omuzira; nga kibuyaga alimu omuzira, embuyaga ezizikiriza, ng'amazzi amangi ag'amaanyi agayanjaala ennyo, bw'atyo bw'alisuula wansi ku ttaka n'omukono.
3 Engule ey'amalala ag'abatamiivu ab'omu Efulayimu eririnnyirirwa n'ebigere:
4 n'ekimuli ekiwotoka eky'obulungi bwe obw'ekitiibwa, ekiri ku mutwe gw'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ettiini erisooka okwengera ekyeya nga tekinnaruuka; oyo alitunuulira bw'aliraba nga likyali mu mukono gwe aliriia ddala.
5 Ku lunaku luli Mukama ow'eggye aliba ngule ya kitiibwa, era aliba nkuufiira ya buyoajo, eri abantu be abalifikkawo:
6 era aliba mwoyo gwa kusala misango eri oyo atuula ng'asala emisango, era aliba maanyi eri abo abazzaayo olutalo mu mulyango.
7 Naye era nabo bakyamye olw'omwenge, era ekitamiiza kibawabizza; kabona ne nnabbi bakyamye olw'omwenge, omwenge gubasaanyizzaawo, bawabye olw'ekitamiiza; bakyama mu kwolesebwa, beesittala mu kusala emisango.
8 Kubanga emmeeza zonna zijjudde ebisesemye n'empitambi, obutabaawo kifo kirongoofu.
9 Ani gw'aliyigiriza okumanya? era ani gw'alitegeeza ebibuulirwa? abo abaleseeyo okuyonka era abavudde ku mabeere?
10 Kubaaga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunayiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono.
11 Nedda, naye alyogera n'abantu bano n'emimwa emigenyi era n'olulimi olulala:
12 be yagamba nti Kuno kwe kuwummula, mumuwe okuwummula oyo akooye; era kuno kwe kuweera: naye ne bataganya kuwulira.
13 Ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono; bagende bagwe bugazi bameayeke bateegebwe bakwatibwe.
14 Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaayooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi: nti
15 Kubanga mwogedde nti Tulagaanye endagaano n'okufa, era tutabaganye n'amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby'obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w'obukuusa:
16 Mukama Katonda kyava ayogera nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja okuba omusingi, ejjinja eryakemebwa, ejjinja ery'oku nsonda ery'omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi: akkiriza talyanguyiriza.
17 Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n'obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza: n'omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky'obulimba, n'amazzi galyanjaala ku kifo eky'okwekwekamu.
18 N'endagaano gye mwalagaana n'okufa erijjulukuka, so n'okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n'amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kiribalinnyirira wansi.
19 Buli lwe kinaayitangamu; kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n'ekiro: era okutegeera ebibuulirwa kuliba ntiisa nsa.
20 Kubanga ekitanda kimpi omuntu n'okuyinza n’atayinza kukyegololerako; n'eky'okwebikkako kyako kifunda n'okuyinza n'atayinza kukyebikka.
21 Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky'e Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw'ekitalo, era atuukirize ekikolwa kye, ekikolwa kye eky'ekitalo.
22 Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okuaywezebwa: kubanga okukomekkereza era okwateesebwa kwe mpulidde okuva eri Mukama, Mukama ow'eggye, ku nsi yonna.
23 Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange; mutegereze muwulire ebigambo byange.
24 Omulimi alima lutata okusiga? akabala lutata n'akuba amavuunike ag'ettaka lye?
25 Bw'amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n'asaasaanya kumino, n'asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n'obulo ku lubibiro lwako?
26 Kubanga; Katonda we amutegeeza bulungi, amuyigiriza.
27 Kubanga entinnamuti teziwuulibwa na kintu kya bwogi, so ne kumino tebaginyooleranyoolerako namuziga w'eggaali; naye entinnamuti ziwuulibwa na muggo, ne kumino na luga.
28 Eŋŋaano ey'omugaati bagisa busa; kubanga talimala nnaku zonna ng'agiwuula: era namuziga w'eggaali lye n'embalaasi ze ne bwe bigisaasaanya, era tagisa.
29 Era n'ekyo kivudde eri Mukama ow'eggye, ow'ekitalo okuteesa ebigambo, asinga bonna amagezi.
   

Essuula 29

[Ddayo waggulu]
1 Owange, Alyeri, Alyeri, ekibuga Dawudi kye yasiisirako mugatte omwaka ku mwaka; embaga zituukire mu ntuuko zaazo:
2 ne ndyoka nakuwaza Alyeri, era walibaawo okukaaba n'okuwuubaala: era aliba gye ndi nga Alyeri.
3 Era ndikusiisirako enjuyi zonna, era ndikuzingiza n'ekigo, era ndikuzimbako enkomera ez'okuzimbirira:
4 Era olikkakkanyizibwa, era olyogera ng'oyima mu ttaka, n'ebigamba byo biriba wansi nga biyima mu nfuufu; n'Eddoboozi lyo liriba ng'eryoyo aliko omuzimu,. nga liyima mu ttaka, n'ebigambo byo biryogerwa kyama nga biyima mu nfuufu.
5 Naye ekibiina eky'abalabe bo kiriba ng'effufugge, n'ekibiim eky'ab'entiisa kiriba ng'enfuufi efuumuuka: weewaawo, kiriba kya kaseera mangu ago.
6 Alijjirwa Mukama ow'eggye n'okubwatuka n'ekikankano ky'ensi, n'eddoboozi eddene, n'omuzimu ne kibuyaga n'olulimi olw'omuliro ogwokya.
7 N'ekibiina eky'amawanga gonna agalwana ne Alyeri, gonna agalwama naye n'ekigo kye, n'abamuteganya kiriba ng'ekirooto, okwolesebw; okw'ekiro.
8 Awo kiriba ng'omuyala bw'aloota, era, laba, ng'alya naye n'azuukuka, n'obulamu bwe nga tebukkuse: oba ng'ow'ennyonta bw'aloota, era, laba, ng'anywa; naye n'azuukuka, era, laba, ng'azirika n'obulamu bwe nga bwoya: bwe kityo bwe kiriba ekibiina eky'ama waaga gonna agalwana n'olusozi Sayuuni.
9 Mulindirire mwewuunye; mweiimire ddala muzibe amaaso: batanidde, naye si na mwenge; batagatta, naye si na kitamiiza.
10 Kubanga Mukama afuse ku mmwe omwoyo ogw'otulo otungi, era aziiye amaaso gammwe, bannabbi; n'emitwe gyammwe, abalaguzi, agibisseeko.
11 N'okwolesebwa kwonna kufuuse gye muli ng'ebigambo eby'omu kitabo ekissibwako akabonero, abantu kye bawa omuntu eyayigirizibwa nga boogera nti Soma kino, nkwegayiridde: n’ayogera nti Siyinza, kubanga kissibbwako akabonero:
12 ne bamuwa ekitabo oyo ataayigirizibwa nga boogera nti Soma, kino, nkwegayiridde: n'ayogera nti Siyigirizibwanga.
13 Mukama n'ayogera nti Kubanga abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya mu kamwa kaabwe era kya ku mimwa gyabwe, naye omutima gwabwe baguntadde wala, n'okuntya kwame kiragiro kya bantu kye bayigirizibwa:
14 kale, laba, ŋŋenda okukola omulimu ogw'ekitalo mu bantu bano, omulimu ogw'ekitalo era eky'amagero: n'amagezi g'abagezigezi baabwe galizikirira, n'okutegeera kwa bakabaka baabwe kulikwekebwa.
15 Zibasanze abo abakka ennyo wansi okukweka Mukama okuteesa kabwe, n'emirimu gyabwe giri mu kizikiza, ne boogera nti Ani ttulaba? era ani arumanyi?
16 Muvuunikira ddala ebintu Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n'okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti Teyankola; oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti Talina magezi?
17 Tekyasigaddeyo kiseera kitono nnyo Lebanooni alifuusibwa ennimiro eŋŋimu, n'ennimiro eŋŋimu baligiyita kibira?
18 Era ku lunaku luli omuggavu w'amatu aliwulira ebigambo by'omu utabo, n'amaaso g'omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza.
19 Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama, b'abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri.
20 Kubanga ow'entiisa bamudibizza, n'omunyoomi akoma, n'abo bonna abalabirira obutali butuukirivu bazikiridde:
21 abafuula omuntu omusobya mu mu sango, ne bamutegera omutegi anenya mu mulyango, ne ba kyamya omutuukirivu n'ekitaliimu.
22 Mukama eyanunula Ibulayimu kyava ayogera mu nnyumba ya Yakobo talikwatibwa nsonyi kaakano, so n’amaaso ge tegaikyuka bbala lyago.
23 Naye bw’aliraba abaana be, omlimu ogw’engalo zange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange; weewaawo, balitukuza Omutukuvu owa Yakobo, era balitekemukira Katonda wa Isiraeri:
24 Era n'abo abakyama mu mwoyo, balifuuka abategeevu, n'abo abeemulugunya baliyiga okuyigirizibwa.
   

Essuula 30

[Ddayo waggulu]
1 Zibasanze abaana abajeemu bw'ayogera Mukama, abateesa ebigambo, naye si nange; era ababikka n'ekibikka, aaye si kya mwoyo gwange, balyoke bongere ekibi ki kibi:
2 abatambula okuserengeta okugenda e Misiri, so nga tebabuuzi zza mu kamwa kange; okwenyweza mu maanyi ga Falaawo, n'okwesiga ekisiikirize eky'e Misiri!
3 Amaanyi ga Falaawo kyegaliva gabeera ensonyi zammwe, n'okwesiga eki siikirize eky'e Misiri kuliba kuswala kwammwe.
4 Kubanga abakulu be bali Zowani, n'ababaka be batuus e Kanesi.
5 Bonna balikwatirwa ensonyi abantu abatayinza kubagasa abatayamba newakubadde okugasa wabula ensonyi era ekivume.
6 Omugugu ogw'ensolo ez'omu bukiika obwa ddyo. Bayita mu nsi ey'okulaba ennaku n'okubalagalwa, omuva empologoma enkazi n'ensajja, embalasaasa n'omusota ogw'omuliro ogubuuka nga batikka obugagga bwabwe ku mabega g'endogoyi ento, n'ebintu byabwe ku mabango g'eŋŋamira nga bagenda eri abantu abatagenda kubagasa.
7 Kubanga Misiri abeerera bwereere era busa: kyenvudde mmuyita Lakabu atuula obutuuzi.
8 Kale genda okiwandiikire ku kipande mu maaso gaabwe, okiteeke ne mu kitabo, kibeere kya biro ebigenda okujja emirembe n'emirerebe.
9 Kubanga be bantu abajeemu, abaana ab'obulimba, abaana abataganya kuwulira mateeka ga Mukama:
10 abagamba abalabi nti Temulabanga; n'abalaguzi nti Tenutulaguliranga bya mazima, mutubuulire ebiweweevu mulagule eby'obulimba:
11 muve mu luguudo, nukyame okuva mu kkubo, Omutukuvu owa Isiraeri mumumalewo mu naaso gaffe.
12 Kyava ayogera omutukuvu owa Isiraeri nti Kubanga munyoomye ekigambo kino ne mwesiga okujooga n'obubambaavu ne mwesigama okwo;
13 obuali butuukirivu buno kyebuliva bubeera gye muli ng'ekituli ekiwagule ekyagala okugwa, ekizimba enkundi mu kisenge ekiwanvu, okunenyeka kwakyo kujja mangu obuamanyirira.
14 Era alikimenya ng'ekintu eky'omubumbi bwe kinenyeka, ng'akimenyamenya awaali kusaasira; n'okulabika ne wataabika lugyo mu bitundu byakyo olw'okusena omuliro mu kyoto, oba olw'okusena amazzi mu kidiba:
15 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu zutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala.
16 Naye ne mugamba nti Nedda, kubanga tuliddukira ku mbalaasi; kyemuliva mudduka: era nti Tulyebagala ku z'embiro; abalibagoberera kyebaliva babeera ab'embiro.
17 Olukumi balidduka olw'okuboggola kw'omu; olw'okuboggola kw'abataano mulidduka: okutuusa lwe mulisigala ng'omulongooti oguli ku ntikko y'olusozi, era ng'ebendera eri ku kasozi.
18 Era Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa, era kyaliva agulumizibwa abasaasire: kubanga Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.
19 Kubanga abantu balituula ku Sayuuni e Yerusaalemi: tolikaaba nate maziga; talirema kukukwatirwa kisa olw'eddoboozi ery'oku kaaba kwo; bw'aliwulira alikwanukula:
20 Era Mukama newakubadde ng'akuwa emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okubonyaabonyezebwa, naye abayigiriza bo nga tebakyakwekebwa nate, naye amaaso go galiraba abayigiriza bo:
21 n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono.
22 Era mulyonoona ebibikka ku bifaananyi byo ebyole ebya ffeeza, n'ebisaanikira ku bifaananyi byo ebifumbe ebya zaabu: olibisuulira ddala ng'ekintu ekitali kirongoofu; olikigamba nti Vaawo.
23 Era alitonnyesa enkuba ey'ensigo zo, z'olisiga mu ttaka; era aligaba emmere ey'ekyengera eky'ettaka, era eriba nnimu era nnyingi: ku lunaku luli ebisibo byo biririira mu malundiro amagazi.
24 Era ente n'endogoyi ento ezirima ettaka zinaalyanga ebyokulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n'olugali n'ekiwujjo.
25 Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba ensulo n'emigga gy'amazzi, ku lunaku olw'okutia abangi, ebigo bwe birigwa.
26 Era omusana gw'omwezi guliba ag'omusana gw'enjuba, n'omusana gw'enjuba gulyeyongera emirundi musanvu ng'omusana gw'ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw'alisibirako ekinuubule eky’abantu be n'awonya ekiwundu eky'okufumitibwa kwabwe.
27 Laba, erinnya lya Mukama liva wala, nga lyaka n'obusungu bwe, era nga linyooka omukka omuziyivu emimwa gye gijjudde okunyiiga, n'olulimi lwe luli ng'omuliro ogwokya:
28 n'omukka gwe guli ng'omugga ogwanjaala, ogutuuka ne mu bulago, okukunnunta amawanga n'olugali olw'obutaliimu: n'olukoba oluwabya luliba mu mba z'amawanga.
29 Muliba n'oluyimba ng'ekiro bwe bakwata embaga entukuvu n'essanyu ery'omu mutima, ng'omuntu bw'agenda n'endere okujja ku lusozi lwa Mukama, eri Olwazi lwa Isiraeri.
30 Era Mukama aliwuliza eddoboozi lye ery'ekitiibwa, era aliraga okukka kw'omukono gwe, n'okunyiiga kw'obusungu bwe, n'olulimi lw'omuliro ogwokya n'okubwatuka ne kibuyaga n'omuzira.
31 Kubanga olw'eddoboozi lya Mukama Omwasuli alimenyekamenye ka, eyakubanga n'oluga.
32 Na buli lwe banaamukubanga n'omuggo ogwalagirwa, Mukama gw'alimuteekako, wanaabangawo ebitaasa n'ennanga: era alirwana nabo mu ntalo ez'okunyeenya.
33 Kubanga Tofesi kyategekebwa okuva edda; weewaawo, kyateekerwateekerwa kabaka; akifudde kiwanvu era kinene: ekikoomi kyakyo muliro na nku nnyingi; omukka gwa Mukama, ng'omugga ogw'ekibiriiti, gukyasa.
   

Next
Back