| 1 |
Musirike mu maaso gange, mmwe ebizinga, amawanga gaddemu obuggya amaanyi gaabwe: basembere; balyoke boogere: tusembere wamu eri omusango. |
| 2 |
Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba, gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye? agaba amawanga mu maaso ge, era amufuza bakabaka; abawa ekitala kye ng'enfuufu, ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe. |
| 3 |
Abagoba n'ayitawo mirembe; ayita mu kkubo ly'atayitangamu n'ebigere bye. |
| 4 |
Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkonerero, nze wuuyo. |
| 5 |
Ebizinga byalaba ne bitya; enkomerero z'ensi zaakankana: baasembera ne bajja. |
| 6 |
Baayamba buli muntu muliraaiwa we; buli muntu n'agamba nuganda we nti Guma omwoyo. |
| 7 |
Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu, n'oyo asennyeita n'ennyondo n'agumya oyo akuba ku luyijja, ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti Kirungi: n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana. |
| 8 |
Naye ggwe, Isiraeri, omuddu vange, Yakobo gwe nnalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwage; |
| 9 |
gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne kugamba nti Ggwe muddu wange, akulonda so sikusuulanga; |
| 10 |
totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange. |
| 11 |
Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa: abo abawakana naawe baliba nga si kintu, era balibula. |
| 12 |
Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza: abo abalwana naawe baliba nga si kintu era ng'ekirerya. |
| 13 |
Kubanga nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga. |
| 14 |
Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze naakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo. |
| 15 |
Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo: ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, a'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku. |
| 16 |
Oliziwujja, empewo n'ezifuumuula, embuyaga ez'akazunu ne zizisaasaanya: naawe olisanyukira Mukama, olyenyumiririza Omutukuvu wa Isiraeri. |
| 17 |
Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka. |
| 18 |
Ndizibikula emigga ku nsozi ez'obweru n'ensulo wakati mu biwonvu: ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi. |
| 19 |
Ndisimba mu lukoola omuvule n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni; nditeeka mu ddungu enfugo n'omuyovu ne namukago wamu: |
| 20 |
balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze. |
| 21 |
Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo. |
| 22 |
Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo: mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri, tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma; oba mutulage ebigenda okujja. |
| 23 |
Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma, tulyoke tutegeere nga muli bakatonda: weewaawo, mukole obulungi oba mukole obubi tukeŋŋentererwe tukirabire wamu. |
| 24 |
Laba, temuliiko gye muva, so n'omulimu gwammwe teguliiko gye guva: oyo abalonda wa muzizo. |
| 25 |
Nnyimusizza omuntu ava obukiika obwa kkono, era atuuse; okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange: era alijja ku bafuga nga ku ttaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba. |
| 26 |
Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye? era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti Mutuukirivu? weewaawo, tewali abuulira, weewaawo, tewali alaga, weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe. |
| 27 |
Ndisooka okugamba Sayuuni nti Balabe, balabe; era ndiwa Yerusaalemi omuntu aleeta ebigambo ebirungi. |
| 28 |
Era bwe ntunula, tewali muntu; mu bo bennyini temuli ateesa ebigambo, ayinza okwanukula ekigambo bwe mbabuuza. |
| 29 |
Laba, bo bonna emirimu gyabwe birerya so si kintu: ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula. |
| |
|