Isaaya  

Essuula 51

1 Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'obunnya bw'obuya bwe mwasimibwamu.
2 Tunuulira Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala: kubanga bwe yali ali omu yekka ne tumuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabika omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba.
4 Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange: kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, era ndibeesaawo omusango gwange okuba omusana eri amawanga.
5 Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango; ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga.
6 Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi: kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo: naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe.
8 Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng'ekyambalo, n'enkuyege eribalya ng'ebyoya by'endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.
9 Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi, ggwe omukono gwa Mukama; zuukuka nga mu nnaku ez'edda, mu mirembe egy'ebiro eby'edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu, eyafumita ogusota?
10 Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusemokeramu?
11 N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuumi n'okuyimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala.
12 Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa: ggwe anni n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo;
13 ne weerabira Mukama Omukozi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?
14 Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n'akka mu bunnya, so n'emmere ye teribula.
15 Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma: Mukama ow'eggye lye linnya lye.
16 Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne rJtlamba Sayuuni nti Ggwe bantu bange.
17 Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obukaali bwe; wanywa ku kibya eky'ekikompe eky'okutagatta n'okikutankira.
18 Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna beyalera.
19 Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; n'akusanyusa ntya?
20 Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; bajjudde obukaali bwa Mukama, okunenya kwa Katonda wo.
21 Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, era atamidde naye si na mweage:
22 bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kibya eky'ekikompe eky'obukaali bwange; tokyakinywangako lwa kubiri:
23 era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti Kutama tuyiteko: naawe n'oteekawo amabegago ng'ettaka era ng'oluguudo eri abo abayitako.
   

Essuula 52

[Ddayo waggulu]
1 Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu.
2 Weekunkumule enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi: weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza.
4 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere.
5 Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma.
6 Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.
7 Nga birungi ku nsozi ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga!
8 Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n'eriiso, Mukama bw'alikomawo e Sayuuni.
9 Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
10 Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
11 Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama.
12 Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba.
13 Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo,
14 Ng'abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n'embala ye okusinga abaana b'abantu,)
15 bw'atyo bw'alimansira amawanga amangi; bakabaka balibuniza obumwa bwabwe gy'ali: kubanga kye batabuulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera.
   

Essuula 53

[Ddayo waggulu]
1 Ani akkiriza ebigambo byaffe: era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2 Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.
3 Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.
4 Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabo nyezebwa.
5 Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.
6 Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.
7 Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasama kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke.
8 Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'eby'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.
9 Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke.
10 Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'abakulu, era aligerekera omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abairwa wamu n'abasobya: naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya.
   

Essuula 54

[Ddayo waggulu]
1 Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala: kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.
2 Gaziya ekifo eky'eweema yo, era babambe amagigi g'ennyumba zo; tokwata mpola: wanvuya emigwa gyo, onyweze enkondo zo.
3 Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo.
4 Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi: so toswala; kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buto bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 Kuba.nga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye: era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; aliyitibwa Katonda wa nsi zonna.
6 Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwayo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, omukazi ow'omu buvubuka, bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo.
7 Akaseera akatono nkuleseewo; naye ndikukutlnaanya n'okusaasira kungi.
8 Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
9 Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
10 Kubanga ensozi ziri vaawo n'obusozi buliggibwawo; na ye ekisa kyange tekirikuyaako si n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira.
11 Ggwe abonyaabonyezebwa asuukundibwa n'omuyaga so tosa nyusibwa, laba, nditeeka amayinj go mu mabala amalungi, ne nsimb emisingi gyo ne safiro.
12 N'ebi tikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne ka bunkulo, n'ensalo yo yonna n'ama yinja agasanyusa.
13 N'abaana bi bonna baliyigirizibwa Mukama; n'e mirembe gy'abaana bo giriba mingi.
14 Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa: onoobanga wala n'o kujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.
15 Laba, mpozzi ba likuŋŋaana naye si nze ndibakuŋŋaanya: buli alikukuŋŋaanirako aligwa ku lulwo.
16 Laba, natonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era natonda n'omuzikiriza okufaafaaganya.
17 Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa oku lwana naawe ekiriraba omukisa; en buli lulimi olulikugolokokerako oku woza naawe olirusinga. Obwo bwi busika obw'abaddu ba Mukama n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 55

[Ddayo waggulu]
1 Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n'oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje mugule omwenge n'amata awatali bigula awatali muwendo.
2 Lwaki okuwaayo ebigula olw'ebyo ebitali bya kulya? lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwa mmwe busanyukire amasavu.
3 Mutege amatu gammwe, mujji gye ndi; muwulire, n'obulamu bwa mmwe bunaaba bulamu: nange saalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira.
4 Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.
5 Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumisizza.
6 Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi:
7 omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.
8 Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama.
9 Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebi owoozo byammwe.
10 Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli ebyokulya;
11 bwe kityo me kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola kyo kye njagala, era kiriraba omuisa mu ekyo kye nnakitumirira.
12 Kubanga mulifuluma n'essanyu, nulitwalibwa n'emirembe okuvaayo: nsozi n'obusozi ziribaguka okuyinba mu maaso gammwe, n'emiti yonna egy'oku ttale girikuba mu agalo.
13 Mu kifo ky'omweramanyo mulimera olusambya, ne mu ifo ky'omutovu mulimera omunwanyi: era kiriba eri Mukama erinnya, akabonero akataliggwaawo kataliggibwawo.
   

Essuula 56

[Ddayo waggulu]
1 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mukwatenga eby'ensonga, mukolenga eby'obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera kujja, n'obutuukirivu bwange buaatera okubikkulibwa.
2 Alina mukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.
3 So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n'abantu be: so n'omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu.
4 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama w'abalaawe abakwata ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange.
5 nti Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba ne munda w'ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
6 Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
7 abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
8 Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.
9 Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira.
10 Abakuumi be bazibe be maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baa gala okubongoota.
11 Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkulzo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
12 Boogera nti Mujje, naakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanikika.
   

Essuula 57

[Ddayo waggulu]
1 Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako omwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja.
2 Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe.
3 Naye musembere wano, mmwe batabani b'omukazi omulogo, ezzadde ly'omwenzi n'omukazi omutambuzi.
4 Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana be kusobya, zzadde lya bulimba,
5 mmwe abeereetera okwegomba mu mivule, wansi wa buli muti ogumera; abattira abaana mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi?
6 Mu mayinja amaweweevu ag'omu kiwonvu we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo: ago ge wafuukira ekiweebwayo ekyokunywa, ge wawa ekirabo. Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo?
7 Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo: era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka.
8 Era wasimba ekijjukizo kyo ennyuma w'enzigi n'emifuubeeto: kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye; ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira.
9 N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wale. ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe.
10 Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti Tewali ssuubi: walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika.
11 Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda saasirika busirisi, naawe n'otontya?
12 Ndibuulira obutuukirivu bwo, n'ebikolwa byo nabyo tebirikugasa.
13 Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna: naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu.
14 Era alyogera nti Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.
15 Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.
16 Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola.
17 Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nakweka amaaso gange ne nsunguwala: ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe.
18 Ndabye amakubo ge; era ndimuwonya: n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako.
19 Nze ntonda ebibala eby'emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n'eri oyo ali okumpi, bw'ayogera Mukama; nange ndimuwonya.
20 Naye ababi baliŋŋanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro.
21 Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi.
   

Essuula 58

[Ddayo waggulu]
1 Yogerera waggulu, tota, yimusa eddoboozi lyo ng'ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange: ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu; basanyuka okusemberera Katonda.
3 Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaa ko mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, n'emirimu gyammwe gyonna nga mukoze n'amaanyi.
4 Laba, musiibira ennyombo n'okuwakana, n'okukuba ekikonde eky'ettima: temusiiba leero bwe mutyo n'okuwuliza ne muwuliza eddoboozi lyammwe mu ggulu.
5 Okusiiba kwe nnalonda bwe kufaanana bwe kutyo? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? ekyo ky'ojaooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima?
6 Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo?
7 Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekisa mubiri gwo ggwe?
8 Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja: n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kye kirikusemba.
9 N'olyoka oyita Mukama n'ayitaba; olikaaba naye alyogera nti Nze nzuuno. Bw'onoggya wakati wo ekikoligo, okulaga olunwe, n'okwogera obubi;
10 n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu:
11 era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi.
12 N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika: olizza emisingi egy'emirembe emingi: era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu.
13 Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe:
14 kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
   

Essuula 59

[Ddayo waggulu]
1 Laba, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n'okuyinza ne gutayinza kulokola; so n'okutu kwe tekumuggadde n'okuyinza ne kutayinza ku wulira:
2 naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n'ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n’atayagala kuwulira.
3 Kubanga emikono gammwe gyonoonese n'omusaayi, engalo zammwe n'obutali butuukirivu; emimwa gyammwe gyogedde eby'obulimba, olulimi lwammwe luvulungutana eby'ekyejo.
4 Tewali awaab: eby'ensonga so tewali awoza eby'a. mazima: beesiga obutaliimu ne boogera eby'obulimba; baba mbuto za bubi ne bazaala obutali butuukirivu.
5 Baalula amagi ag'essala. mbwa ne baluka engoye eza nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa n'ekyo ekibetentebwa ne kiwamatukamu embalasaasa.
6 ngoye zaabwe tezirifuuka byambalo, so tebalyebikka mirimu gyabwe: emirimu gyabwe mirimu gya butali butuukirivu, n'ekikolwa eky'ekyejo kiri mu ngalo zaabwe.
7 Ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, era banguya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango: ebi rowoozo byabwe birowoozo bya butali butuukirivu; okuzika n'oku zikirizibwa kuba mu makubo gaabwe.
8 Ekkubo ery'emirembe tebalimanyi; so mu magenda gaabwe temuli musango: beekubidde amakubo amakyamu; buli atambulira omwo tamanyi mirembe.
9 Omusango kyeguva gutubeera ewala, so n'obutuukirivu tebututuukako: tusuubira omusana, naye ne tulaba kizikiza; tusuubira okumasamasa naye ne tutambulira mu kifu.
10 Tuwammanta ekisenge ng'abazibe b'amaaso, weewaawo, tuwammanta ng'abo abatalina maaso twesitala mu ttuntu ng'ekiro; mabo abalina amaanyi tuliŋŋanga abafu.
11 Fenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo ng bukaamukuukulu: tusuubira omu sango naye nga tewali; tusuubira obulokozi, naye butuli wala.
12 Kubanga okusobya kwaffe kwe yongedde mu maaso go, n'ebibi byaffe be bajulirwa gye tuli: kubanga okusobya kwaffe kuli naffe, n’obutali butuukirivu bwaffe nabwo tubumanyi:
13 nga tusobya era nga twegaana Mukama, era nga kukyuka obutagoberera Katonda waffe, nga twogera eby'okujooga n’eby'okujeema, nga tugunja ebigambo eby'obulimba era nga tubyogera okuva mu mutima.
14 N'omusango gukyusibwa okudda ennyuma, n'obutuukirivu buyimirira wala: kubanga amazima gagwiridde mu luguudo, so n'obugolokofu tebuyinza kuyingira.
15 Weewaawo, amaima gabuze; n'oyo ava mu bubi yeefuula munyago: Mukama n'akiraba n'anyiiga obutabaawo musango.
16 N'alaba nga tewali muntu, ne yeewuunya obutabaawo muwoleeza: omukono gwe ye kyegwava gumuleetera obulokozi; n'obutuukirivu bwe bwe bwamuwanirira.
17 N'ayambala obutuukirivu ng'ey'omu kifuba, n'enkuufiira ey'obulokozi ku mutwe gwe; n'ayambaa engoye ez'okuwalana eggwanga okuba ebyambalo, n'ayambaibwa obunyiikivu ng'omunagiro.
18 Ng'ebikolwa byabwe bwe biriba, M'atyo bw'alisasula, abamukyawa libasasula ekiruyi, abamukyawa aliiasasula empeera; alisasula ebizinga mpeera.
19 Kale balitya erinnya ya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa a'onukka gwa Mukama.
20 Era omununuzi alijja e Sayuuni n'eri abo bakyuka okuva mu kusobya mu Yakobo, bw'ayogera Mukama.
21 Nange eno y'endagaano yange gye ndagaana nabo, bw'ayogera Mukama: omwoyo gwange oguli ku ggwe n'ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko tebiivenga mu kamwa ko newakubadde mu kamwa k'ezzadde lyo newakubadde mu kamwa k'ezzadde ly'ezzadde lyo, bw'ayogera Mukama, okusooka kaakano n'emirembe n'emirembe.
   

Essuula 60

[Ddayo waggulu]
1 Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n'ekiubwa kya Mukama kikuviiriddeyo.
2 Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga: naye Mukama alikuviirayo n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
3 N'amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo.
4 Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi.
5 Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa, n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli, obugagga obw'amawanga bulikujjira.
6 Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira eze Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.
7 Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitubwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange.
8 Bano be baani ababuuka ng'ekire era nga bukaamukuukulu eri ebituli byabwo?
9 Mazima ebizinga birinnindirira, n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo, olw'erinnya lya Mukama Katonda wo n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.
10 Era bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.
11 Era n'enzigi zo ziaaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.
12 Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.
13 Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa.
14 N'abaana b'abo abaakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n'abo bonna abaakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakuyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri.
15 Kubanga walekebwa n'okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula okuba obulungi obungi obutaliggavaawo, essanyu ery'emirembe emingi.
16 N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Owaamaanyi owa Yakobo.
17 Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo lry'ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma: era. ndifuula abaami bo okuba emirembe n'abakusolooza okuba obutuukirivu.
18 Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n'enzigi zo Kutendereza.
19 Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa: naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.
20 Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n'omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.
21 Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.
22 Omuto alifuuka lukumi n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.
   

Essuula 61

[Ddayo waggulu]
1 Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okiubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera;
2 Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde;
3 okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa, ye.
4 Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi.
5 Era bannaggwanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe, n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalo ngooserezanga emizabbibu.
6 Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama: abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe: mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza.
7 Mu kifo ky'ensonyi zammwe muliweebwa emirundi ebiri; ne mu kifo ky'okuswala balisanyukira omugabo gwabwe: kyebaliva babeera n'emirundi ebiri mu nsi yaabwe: baliba n'essanyu eritaliggwaawo.
8 Kubanga nze Mukama njagala omusango ogw'ensonga, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo.
9 N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu: bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa.
10 Naasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'ebyobuyonjo bwe.
11 Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna.
   

Essuula 62

[Ddayo waggulu]
1 Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka.
2 Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma.
3 Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4 Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafiunbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.
5 Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
6 Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga,
7 so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n’afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi.
8 Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu:
9 naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange.
10 Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera.
11 Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
12 Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa.
   

Essuula 63

[Ddayo waggulu]
1 Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike m ddagala ng'ava e Bozula? ono alin engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola.
2 Obeeredde ki omumyufu m byambalo byo, engoye zo ne zifaa nana oyo asambira mu ssogolero?
3 Nsambye essogolero omu nzekka so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange: weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala.
4 Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.
5 Ne mmagamaga ne wataba mu yambi; ne nneewuunya obutabaawi wa kuwanirira: omukono gwangwe nze kyegwava gundeetera obulokozi n'ekiruyi kyange kye kyampanirira.
6 Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange, ne mbatamiiza ku kiruyi kyange, ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe.
7 Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi n'amatendo go Mukama, nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama; n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri, bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli era ng'olufulube bwe luli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi.
8 Kubanga yayogera nti Mazima be bantu bange, abaana abatalikuusakuusa: kale n'aba mulokozi waabwe.
9 Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga: mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkiranga ennaku zonna ez'edda.
10 Naye ne bajeema ne banakuwaze omwoyo gwe omutukuvu: kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe; n'alwana nabo ye yennyini.
11 Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? ali ludda wa oyo eyateeka omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo?
12 eyatambuzanga omukono gwe gw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu mazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo?
13 eyabayisa mu buziba, ng'embaalasi mu ddungu, obuteesittala?
14 Ng'ente bwe ziba ezikka mu kiwonvu, omwoyo gwa Mukama gwabawummuzanga bwe gutyo: bwe watwala bw'otyo abantu bo okwekolera erinnya ery'ekitiibwa.
15 Tunula ng'oyima mu ggulu, olabe ng'oyima mu nnyumba ey'obutukuvu bwo n'ekitiibwa kyo: buli ludda wa obunyiikivu bwo n'ebikolwa byo eby'amaanyi? okwagala w'emmeeme yo n'okusaasira kwo kuziyizibwa gye ndi.
16 Kubanga gwe Kitaffe, newakubadde nga bulayimu tatumanyi so ne Isiraeri ga tatvkkiriza: ggwe, ai Mukama, gwe Kitaffe; omununuzi waffe kuva emirembe n'emirembe lye innya lyo.
17 Ai Mukama, lwaki gwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe butakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo.
18 Abantu bo abatukuvu baabulina aseera buseera kaseera buseera: balabe baffe balinnyiridde awatuuvu wo.
19 Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwuga linnya lyo.
   

Essuula 64

[Ddayo waggulu]
1 Singa oyuzizza eggulu, singa osse ensozi ne zikulukuta lw'okujja kwo;
2 ng'omuliro bwe kukwata ebisaka, ng'omuliro bwe weseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo!
3 Bwe wakola by'entiisa bye tutasuubiranga, waka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja wo.
4 Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubateeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omumu oyo amulindirira.
5 Osisinkaa n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu maubo go: laba, wasunguwala naffe ne vonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?
6 Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ag'empewo.
7 So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso! go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.
8 Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.
9 Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu enaaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo.
11 Ennyumba yaffe entukuw ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye.
12 Olizibiikiriza ebyo aga bimaze okubaawo, ai Mukama olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini?
   

Essuula 65

[Ddayo waggulu] 1
Mbuuzibwako abo abatambuuzaagako; ndabiddwa abo abatannoonyanga: nagamba nti Nda ba, ndaba, eri eggwanga eritatuumibwanga linnya lyange.
2 Ngololedde emikono gyange okuzibya obudde abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, okugoberera ebirowoozo byabwe bo;
3 abantu abaasunguwaza mu maaso gange olutata, aga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali;
4 abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya eanyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe;
5 aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera aze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde.
6 Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange: sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba byabwe
7 obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku asozi ne banzivoolera ku busozi: kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe.
8 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaswo eyogera ati Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange aneme okubazikiriza bonna.
9 Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo.
10 Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonw kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza.
11 Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule;
12 nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenaa mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita tomwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.
13 Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala:
14 laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe aga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa.
15 Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okitba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala:
16 eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazuna; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange.
17 Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.
18 Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu.
19 Era ndisanyukira Yerusaalemi ne ajaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira.
20 Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukaddeatannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa.
21 Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu.
22 Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe.
23 Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo.
24 Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.
25 Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 66

[Ddayo waggulu]
1 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?
2 Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.
3 Asala ente aliŋŋanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga alinnanga amenyako embwa obugalo; aleeta ekiweebwayo aliŋŋanga aleeta omusaayi gw'embizzi; ayoteza omugavu ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa: weewaawo, balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe;
4 era nange ndironda ebibalimbalimba, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita ne wataba muntu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira: naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira.
5 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye: nti Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi.
6 Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera.
7 Yali nga tannalumwa n'azaala; obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka n'azaala omwana wa bulenzi.
8 Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Easi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be.
9 Ndituusa okuzaalwa ne ssizaaza? bw'ayogera Mukama: nze azaaza ndiggala olubuto? bw'ayogera Katonda wo.
10 Musanyukire wamu ne Yerusaalemi, mujaguze ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala: musanyukire wamu naye olw'essanyu, mmwe mwenna abamukaabirira:
11 mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agasanyusa; mulamule mumalemu musanyukire ekitiibwa kye ekisukkirivu.
12 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n’ekitiibwa ky'amawaaga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.
13 Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa, bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe; ne musanyusibwa mu Yerusaalemi.
14 Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulilaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu: n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be.
15 Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro.
16 Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri: era Mukama b'alitta baliba bangi.
17 Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, ennyuma w'omu ali wakati, nga balya ennyama embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama.
18 Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe: ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange.
19 Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abawona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange.
20 Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama.
21 Era nditwala ne ku bo okuba bakabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama.
22 Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe birisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe.
23 Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama.
24 Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.
   

Next
Back