Luusi  

Essuula 1

Erimereki n'abantu be mu Mowaabu
1 Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda a'agenda okutuula mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi.
2 N'erinnya ly'omusajja lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we Nawomi, n'erinnya lya batabani be bombi Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo.
3 Awo Erimereki bba Nawomi n'afa; naye n'asigalawo ne batabani be bombi.
4 Ne bawasa ku bakazi ba Mowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'ow'okubiri Luusi: ne bamalayo emyaka nga kkumi.
5 Awo Maloni ne Kiriyoni ne bafa bombi; omukazi n'afiirwa abaana be bombi ne bba.
Nawomi agenda ne Luusi
6 Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere.
7 N'ava mu kifo mwe yali, ne baka baaaa be bombi wamu naye; ne batambula mu kkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
8 Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti Mugende muddeyo buli omu ku mmwe mu nnyumba ya nnyina: Mukama abakole eby'ekisa, nga mmwe bwe mwakola abaafa era nange.
9 Mukama abawe okulaba okuwummula, buli omu ku mmwe mu nnyumba ya bba. N'alyoka abanywegera; ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga.
10 Ne bamugamba nti Nedda; naye tuliddayo naawe eri abantu bo.
11 Nawomi n'agamba nti Mukyuke nate, baana bange: kiki ekibaagaza okugenda nange? nkyalina abaana mu lubuto lwange babeere babbammwe?
12 Mukyuke nate, baana bange, mweddireyo; kubanga nkaddiye mpitiridde okuba n'omusajja. Bwe nnaayogera nti Nsuubira, newakubadde nga mbeera n'omusajja ekiro kino, era ne nzaala abaana ab'obulenzi;
13 kale mwandibalindiridde okukula? kyemuliva muleka okuba n'abasajja? nedda, baana bange; kubanga nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga omukono gwa Mukama gwafuluma okulwana nange.
14 Ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nate amaziga: Olupa n'anywegera nnyazaala we; naye Luusi ne yeegata naye.
15 N'ayogera nti Laba, muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katoada we: naawe ddayo ogoberere muggya wo.
16 Awo Luusi n'ayogera nti Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera: kubanga gy'oaoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange:
17 gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinzika: Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.
18 Awo bwe yalaba ng'amaliridde okugenda naye, n'aleka okwogera naye.
19 Awo abo bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu. Awo olwatuuka bwe baamala okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, abakazi ne boogera nti Ono Nawomi?
20 N'abagamba nti Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala: kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo.
21 Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w'ebintu byonna yambonyaabonya?
22 Bwe batyo Nawomi n'akomawo, ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, wamu naye, eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu: ne batuuka e Besirekemu nga kyebajje bakungule sayiri.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
Luusi asisinkana Bowaazi
1 Era Nawomi yalina muganda wa bba, omusajja ow'amaanyi omugagga, ow'omu nnyumba ya Erimereki; n'erinnya lye Bowaazi.
2 Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anaakwatirwa ekisa. N'amugamba nti Genda, mwana wange.
3 N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise: era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki.
4 Era, laba, Bowaazi a'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti Mukama abeere nammwe. Ne bamuddamu nti Mukama akuwe omukisa.
5 Awo Bowaazi n'agamba omuddu we eyali akuaguza abakunguzi nti Omuwala ono w'ani?
6 Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu:
7 n'ayogera nti Nnonde, mbeegayiridde, nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa: awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nayumba katono.
8 Awo Bowaazi n'alyoka agamba Luusi nti Towulira mwana wange? Togendanga kulonda mu nnimiro endala, so tovanga wano, naye obeeranga wano kumpi; n'abawala bange.
9 Amaaso ge gabe ku nnimiro, gye banaakungulanga, naawe obagobererenga: sikuutidde balenzi obutakukomangakoi era enayonta bw'eneekulumanga; ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku ago abalenzi ge basenye.
10 Awo n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga?
11 Bowaazi n'addamu n'amugamba nti Bambuulirira ddala byonna bye waakakoze nnyazaala wo balo kasooka afa: era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko.
12 Mukama akusasulire emirimu gyo, era oweebwe empeera etebulako Mukama Katonda wa Isiraeri, gwe weeyuna wansi w'ebiwawaatiro bye.
13 Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.
14 Awo obudde bwe bwatuuka okulya Bowaazi n'amugamba nti Jjangu olye ku mmere okoze ennoga yo omwenge omukaatuufu. N'atuula ku mabbali g'abakunguzi: ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa.
15 Awo bwe yagolokoka okulonda, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti Alonde ne mu binywa so temumuvumanga.
16 Era mumutoolereko ne mu miganda, mugireke, alonde so temumuwuunako.
17 Awo n'alonda mu nnimiro n'azibya obudde: n'awuula ze yali alonze, ne ziba nga efa eya sayiri.
18 N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga: nnyazaala we n'alaba z'alonze: n'aleeta n'amuwa eyasigaddewo bwe yamala okukkuta.
19 Awo nnyazaala we n'amugamba nti Olonze wa leero? era okoze wa emirimu? aweebwe omukisa oyo akwekkaanyizza. N'ategeeza nnyazaala we oyo bwe yali gw'akoze naye, n'ayogera nti Omusajja gwe nkoze naye leero erinnya lye Bowaazi.
20 Nawomi n'agamba muka mwana we nti Aweebwe Mukama omukisa, atannaleka kisa kye eri abalamu n'eri abaafa. Nawomi n'amugamba nti Omusajja oyo muganda waffe ddala, omu ku banunuzi baffe.
21 Luusi Omumowaabu n'ayogera nti Weewaawo, aŋŋambye nti Onoobeeranga kumpi n'abalenzi bange, okutuusa lwe balimala eby'okukungula byange byonna.
22 Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti Kirungi, mwana wange, oyitenga wamu n'abazaana be, so baleme okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna.
23 Awo n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'atuula ne nnyazaala we.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
Okununulwa kwa Luusi
1 Awo Nawomi nnyazaala we n'amugamba nti Mwana wange, siikunoonyeze kuwummula, obe bulungi?
2 Era kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba, awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.
3 Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, oserengete mu gguuliro: naye teweetegeeza eri omusajja oyo okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa.
4 Awo olunaatuuka bw'anaagalamira, wekkaanye ekifo mw'anaagalamira, naawe n'oyingira n'obikkula ebigere bye, n'ogalamira; naye anaakubuulira bw'onookola.
5 N'amugamba nti Byonna by'oyogedde naabikola.
6 N'aserengeta mu gguuliro, n'atola nga byonna bwe bibadde nnyazaala we by'amulagidde.
7 Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda okugalamira ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano: n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bye n'agalamira.
8 Awo olwatuuka mu tumbi omusajja n’atya ne yeekyusa era, laba, omukazi ng'agalamidde ku bigere bye.
9 N'ayogera nti Ggwe ani? N'addamu nti Nze Luusi omuzaana wo: kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga oli mununuzi wange.
10 N'ayogera nti Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: olaze ekisa ekisinga obungi enkomerero okukira olubereberye, kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga.
11 Ne kaakano, mwana wange, totya; naakukola byonna by'oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky'abantu bange bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
12 Era kaakano kya mazima nga nze mununuzi wo: naye waliwo omulala ansinga nze oluganda.
13 Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale; akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde.
14 N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.
15 N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abi mutikka: n'agenda mu kibuga.
16 Awo bwe yatuuka eri nnyazaala we, n'ayogera nti Ggwe ani, mwana wange? N'amubuulira byonna omusajja by'amukoledde.
17 N'amugamba nti Ebigero bino omukaaga ebya sayiri abimpadde; kubanga ayogedde nti Togenda eri nnyazaala wo nga tolina kantu.
18 N'alyoka agamba nti Tuula ng'osirika, mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamalawo ekigambo kino leero.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
Bowaazi anunula Luusi
1 Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula.
2 N'atwala abasajja kkumi ku bakadde b'ekibuga n'ayogera nti Mutuule wano. Ne batuula.
3 N'agamba muganda w'omukazi nti Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki:
4 era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula.
5 Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa.
6 Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula.
7 Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri.
8 Awo muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Kyegulire. N'anaanula engatto ye.
9 Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi.
10 Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero.
11 Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu:
12 n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi; Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka.
13 Awo Bowaazi n'atwala Luusi, naye n'a:nufiunbirwa; n'ayingira gy'ali, Mukama n'amuwa olubuto,. n'azaala omwana wa bulenzi.
14 Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri.
15 Era alibeera gy'oli akomyawo obulamu era aliisa obukadde bwo: kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab'obulenzi omusanvu, abaamuzaaliddwa.
16 Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we.
17 Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa butenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.
18 Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni;
19 Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu;
20 Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni;
21 Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi;
22 Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi.
   

Next
Back