|
OKUJJUKIRA MAAMA WANGE OMWAGALWA ENNYO
Perepetwa Namubiru Ssajjabbi
Maama tewali lunaku luziba nga sikulowoozesaako. Mmanyi
nga
essaala zewansabiranga, n’emikisa gye wangemuliranga,
awamu ne
maama Victoria, mmanyi ng’okwo kwentambulira
kati.
Maama ebintu bizibu wansi eno. Ensi ekyuse nnyo bukya
ogenda.
Nkwesimisa kuba ggwe olutalo waluwangula era enguleyo
wagiweebwa. Okuva lwenawulira Mukama bye yakukozesa
ng’ebula
ennnaku ssatu zokka gwe wakkiriza akunone, essaala
gyewasaba nga
weegayirira Mukama akukulembere mu lugendo lwo, nakati
nkyewunya
olunaku olwo bwe lwakisibwa.
Awo ne neenyongera ennyo okwegayirira Mukama nange ampe
okukkiriza okulinga okukwo. Nzijjukira bwe nagolokokanga
ekiro
n’oyogeranga ne Katonda wo, bwe nawuliranga oyogera ne
nkubuuza
nti, “maama obadde oyogera ki wekka.” N’onziramu nti,
“nedda
mbadde nsaba.” Essaala gye wansabira n’ekigambo
byewangamba ku
ssimu ebyasembayo nti, “bw’onodda tunaalyaki.” era
n’ondekera
Mukama ankuume, munnange gwe wandekera okunkuuma mu
byonna
tanjabuliranga, weebale obutanerabira ne ku ssaawa
esembayo.
Nategezeebwa nti, Omukulembeze bwe yatuuka wagolola
omukono
ng’ate wali munafu ddala mu mubiri mu nnaku ezo. Naye
Mukama
n’akuwa amanyi kuba gwe wakkiriza yali atuuse okukutwala
mu
kiwummulo eky’emirembe, wayimusa omukono, naye n’akukwata
ku
mukono gwo n’akukulembera nga bwe wamusaba! N’akuwa
okuwummula okwemirembe n’emirembe,
Amiina.
Taata S.K.S. Maama Feibe Kyeyune, mugandawo era mutoowo,
abaanabo, abazukkulu era n’abaana babazukkulu era
n’abantu bonna
abaali bakwagala, twasaalirwa nnyo okutulekawo, naye
tusaba Mukama
atuwe amaanyi twongere okumwesiga. Naffe Mukama atuwe
obuvumu
mu kubonaabona mu bulamu bw’omu nsi eno, era ku nkomerero
naffe
tugwanire okunywa kunsulo y’amazzi ag’obulamu nga
ggwe.
Mukama yeebazibwe olw’ebyo byonna bye yakukozeza
ng’okyali mu
nsi eno, seerabira okukwebaza olwa byonna bye wankolera,
okutukuza
nga tutya Katonda, olw’okundabiririra abaana bange, kuba
ddala singa
tewakkiriza kubasigaza nga wakamala okulongoosebwa, nga
tetulina
mmere yadde sente egula ekintu kyonna. Kyokka
teweekaanya,
wakkiriza okubasigaza nga tomanyi bw’ogenda kubaliisa
kuba ddala
saakulekera yadde ennusu emu, ate nga naange nnali
simanyi bye ndisanga gyenali ndaga.
Neebaza nnyo mu byonna. Kuba n’abaana bewalera nabo
tebaakwerabira, baakulabirira, era ne bakuwerekerako
okukutuusa mu
nnyumbayo gye baatereka omubiri gwo, okutuusa Mukama
lw’alidda. Maama Mukama akuwummuze mirembe
|

