Makko  

Essuula 9
Yesu afuusibwa ku lusozi
1 N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono; okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.
2 Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.
3 Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo.
4 Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu.
5 Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.
6 Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali batidde nnyo.
7 Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.
8 Bwe baakebuka amangu ago, ne batalaba muntu nate wabula Yesu yekka nabo.
9 Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako kuliba kutya?
10 Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?
11 Ne bamubuuza nga bagamba nti Abawandiisi boogera nti kigwana Eriya okusooka okujja.
12 N'abagamba nti Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?
13 Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.
14 Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka.
15 Amangu ago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne baddukana gy'ali ne bamulamusa.
16 N'ababuuza nti Mubasokaasoka lwaki?
17 Omu mu kibiina n'amuddamu nti Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera;
18 buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: nnambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.
19 N'abaddamu, n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere.
20 Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangu ago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu.
21 N'abuuza kitaawe nti Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki? N'agamba nti Bwa mu buto
22 Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.
23 Yesu n'amugamba nti Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.
24 Amangu ago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Nzikirizza: saasira obutakkiriza bwange.
25 Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kikuŋŋaana mbiro, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiz'anga nate n'akatono.
26 Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti Afudde.
27 Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira.
28 Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti Ffe tetwayinzizza kumugoba.
29 N'abagamba nti Engeri eno teyinzika kuvaako lwa kigambo wabula olw'okusaba.
30 Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera.
31 Kubanga yayigiriza abayigirizwa be n'abagamba nti Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.
32 Naye tebaategeera kigamba ekyo, ne batya okumubuuza.
33 Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti Mubadde muwakana ki mu kkubo?
34 Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti ani omukulu.
35 N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.
36 N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti
37 Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.
38 Awo Yokaana n'amugamba nti Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo; ne tumugaana, kubanga teyayita naffe.
39 Naye Yesu n'agamba nti Temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangu ago n'anvuma.
40 Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe.
41 Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
42 Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja.
43 Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina mikono gyombi, mu muliro ogutasikira;
44 envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
45 N'okugulu kwo bwe kukwesittamnga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi;
46 envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
47 N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;
48 envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira.
49 Kubanga buli muntu alirungibwamu omuliro.
50 Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
Okufumbirganwa n'okwawukana
1 Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu mbibi ez'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga bwe yayisanga n'abayigiriza nate.
2 Awo Abafalisaayo ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti Kirungi omuntu okugobanga mukazi we? nga bamukema.
3 Naye n'addamu n'abagamba nti Musa yabalagira atya?
4 Ne bagamba nti Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba; alyoke agobebwenga.
5 Naye Yesu n'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino.
6 Naye okuva ku lubereberye lw'okutoada, yabatonda omusajja n'omukazi.
7 Omuntu kyanaavanga aleka kitame ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we;
8 nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu.
9 Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.
10 Awo ate mu nnyumba abayigirizwa ne bamubuuza ekigambo ekyo.
11 N'abagamba nti Buli muatu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, ng'ayenze okumusobya;
12 naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.
13 Awo ne bamuleetera abaana abato, okubakomako: abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta.
14 Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe:
15 Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.
16 N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abassaako emikono.
17 Bwe yali ng'agenda mu kkubo, omu n'ajja gy'ali ng'addukana, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti Omuyigiriza omulungi, naakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo? Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.
18 Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.
19 Omanyi amateeka, Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaaayanga Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.
20 N'amugamba nti Omuyigiriza, ebyo byonna nnabikwata okuva mu buto bwange.
21 Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n’amugamba nti Oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.
22 Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi.
23 Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n’agamba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda
24 Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25 Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
26 Ne bawuniikirira nnyo, ne bamugamba nti Kale ani ayinza okulokoka?
27 Awo Yesu n’abatunuulira n'agamba nti Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.
28 Awo Peetero n'atanula okumugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera.
29 Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba miyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'enjiri,
30 ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.
31 Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
32 Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya: Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri, n'atanula okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako, nti
33 Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga:
34 balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta; bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.
35 Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.
36 N'abagamba nti Mwagala mbakolere ki?
37 Ne bamugamba nti Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo.
38 Naye Yesu n'abagamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwa,mu nze?
39 Ne bamugamba nti Tuyinza. Yesu n'abagamba nti Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa;
40 naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa.
41 Awo ekkumi bwe baawulira, ne batanula okusunguwalira Yakobo ne Yokaana.
42 Yesu n'abayita, n'abagamba nti Mumanyi ng'abo abaalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka.
43 Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe;
44 na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna.
45 Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.
46 Awo ne batuuka e Yeriko: bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Batiimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo.
47 Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atanula okwogerera waggulu n'okugamba nti Omwana wa Dawudi, Yesu, onsaasire.
48 Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Omwana wa Dawudi, onsaasire:
49 Awo Yesu n'ayimirira n'agamba nti Mumuyite. Ne bayita omuaibe w'amaaso, ne bamugamba nti Guma omwoyo; golokoka, akuyita.
50 Naye n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'ajja eri Yesu.
51 Yesu n'amuddamu, n'agamba nti Oyagala nkukole ntya? Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti Labooni, njagala nzibule.
52 Awo Yesu n'amugamba nti Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Amangu ago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
Yesu ayingira mu Yerusaalemi n'obuwanguzi
1 Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri,
2 n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangu ago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete.
3 Omuntu bw'abagamba nti Mukola ki ekyo? mugamba nti Mukama waffe ye agwetaaga; amangu ago anaaguweereza eno.
4 Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula.
5 Abamu ku ab abaali bayimirikide awo ne baba gamba nti Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi?
6 Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba ne babaleka.
7 Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala
8 Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro.
9 Abaali bakulembedde n'abaali bava ennyuma ne boogerera waggulu nti Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama:
10 Buweereddwa omu kisa obwakabaka obujja, obwajjajja ffe Dawudi: Ozaana waggul ennyo.
11 N'atuuka ku Yerusaalemi n'ayingira mu yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda Bessaniya n'ekkumi n'ababiri.
12 Awo bwe bwakya enkya, bwe baali bavudde mu Bessaniya n'alumwa enjala.
13 Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala n'agutuukako, era wozzi alabeko ekintu: awo bwe yagutuukako, n'ata labako kintu wabula amalagala kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.
14 N'addamu n'agugamba nti Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira.
15 Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu n'asooka okugoba abaali batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;
16 n'ataganya muntu oku yisa ekibya mu yeekaalu.
17 N'ayigiriza, n'abagamba nti Tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabiranga mu amawanga gonna? naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.
18 Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
19 Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.
20 Awo bwe bwakya enkya bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini ga guvudde ku kikolo okukala.
21 Peetero bwe yajjukira n'amugaiba nti Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze.
22 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mube n’okukkiriza mu Katonda.
23 Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti Sigulibwa; osuulibwe mu nnyanja; nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiza nga kyayogera kikolebwa, alikiweebwa.
24 Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize ga mubiweereddwa, era mulibifuna.
25 Awo bwe munaayimiranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe.
26 Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.
27 Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde;
28 ne bamugamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?
29 Awo Yesu n'abagamba nti Naye kambabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaabuulira mmwe obuyinza bwe obunkoza bino.
30 Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? munziremu.
31 Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Bwe tunaamba nti Kwava mu ggulu; anagamba nti Kale kiki ekyabalobera mukkiriza?
32 Naye bwe tunagamba nti Kwava mu bantu baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.
33 Ne baddamu Yesu, bamugamba nti Tetumanyi. Yesu n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
Olugero lw'abalimi bo mu lusuku lw'ezabbibbu.
1 N'atanula okwogerera nabo mu ngero. Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusitako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisaamu abalimi, n'atambula mu nsi endala.
2 Awo omwaka bwe gwatuuka n'atuma omuddu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye.
3 Ne bamukwata, ne bamukuba, n'addayo ngalonsa.
4 Ate n'abatumira omuddu omulala, oyo ne bamwasa olubale, ne bamuswaza.
5 N'atuma omulala; oyo ne bamutta: n'abalala bangi; abamu nga babakuba, abalala nga babatta.
6 Yali ng'aliaa omu, omwana omwagalwa: oluvannyuma n'amutuma gye baali, ng'agamba nti Banassaamu ekitiibwa omwana wange.
7 Naye abalimi bali ne bagambagana bokka na bokka nti Ono ye musika, kale tumutte, n'obusika buliba bwaffe.
8 Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'olusuku lw'emizabbibu.
9 Kale alibakola atya nannyini lusuku lw'emizabbibu? Alijja alizikiriza abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa balala.
10 Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda:
11 Ekyo kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?
12 Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeera ag'ageredde ku bo olugero olwo: ne bamuleka, ne bagenda,
13 Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo,
14 Awo bwe bajja, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tumanyi ggwe ag'oli wa taazima, so ebigambo by'omuatu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nautiki si weewaawo?
15 Tuwengayo, oba tetuwangayo? Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.
16 Ne bagireeta. N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko buno by'ani? Ne bamugamba nti Bya Kayisaali.
17 Yesu n'abagamba nti Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda. Ne bamwewuunya nnyo.
18 Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuulura, ne bajja w'ali; ne bamubuuza ne bagamba nti
19 Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga talese mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'assizaawo muganda we ezzadde.
20 Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, n'atalekaawo zzadde;
21 ow'okubiri n'amuwasa n'afa, era naye n'atalekaawo zzadde; n'ow'okusatu bw'atyo:
22 bonna omusanvu ne batalekaawo zzadde. Oluvannyuma bonna nga baweddewo n'omukazi n'afa.
23 Kale bwe balizuukira aliba muka ani ku bo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa.
24 Yesu n'abagamba nti Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda?
25 Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebaliwasa, so tebaliwayira; naye baliba nga bamalayika ab'omu ggulu.
26 Naye eby'abafu oku zuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo?
27 Si Katonda wa bafu, naye wa balamu: mukyama nnyo.
28 Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?
29 Yesu n'addamu nti Ery'olubereberye lye lino nti Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu;
30 era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.
31 Ery'okubiri lye lino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.
32 Omuwandiisi n'amugamba ati Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu so tewali mulala wabula ye:
33 n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n’amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.
34 Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti Toli wala obwakabaka bwa Katonda. Awo ne wataba muntu ayaŋŋanga okumubuuza nate,
35 Yesu n'addamu n'agamba ng'ayigiriza mu yeekaalu nti Abawandiisi ekibagambya ki nti Kristo mwana wa Dawudi?
36 Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.
37 Dawudi yennyini amuyita Mukama we, abeera atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwutira n'essanyu.
38 Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale,
39 n'entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga;
40 abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.
41 N'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula effeeza mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.
42 Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante.
43 N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika:
44 kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo; bwe bulamu bwe bwonna.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Awo bwe yafuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.
2 Yesu n'amugamba nti Olaba enzimba eno ennene? teririrekebwa wano jjinja eriri ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
3 Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti
4 Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? n'akabonero ki ak'ebyo nga bigenda okutuukirizibwa byonna?
5 Yesu n'asooka okubagamba nti Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga.
6 Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti Nze nzuuyo; era balikyamya bangi.
7 Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo; temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
8 Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obw'akabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
9 Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makunnaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo.
10 Enjiri kigigwanira okumala oku buulirwa amawanga gonna.
11 Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu.
12 Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassanga.
13 Munaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.
14 Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukire ku nsozi;
15 ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye: 16 n'ali mu lusuku taddanga kutwala lugoye lwe.
17 Naye ziribasanga abali embuto; n'abayonsa mu nnaku ezo.
18 Musabe bireme okutuukira mu biro eby'empewo.
19 Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityi kasookedde Katonda atonda ebya tondebwa okutuusa kaakano, so teziriba.
20 So singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandiro kose mubiri gwonna: naye olw'abalonde be yalonda yazisalako ennaku.
21 Mu biro ebyo omuntu bw'aba gambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali eyo; temukkirizanga
22 kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba baliyimuka, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika abalonde.
23 Naye mwekuumi mmwe: laba, mbambuulidde byonna nga tebinnabaawo.
24 Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo,
25 n'emmunyeenye ziriba nga zigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankana.
26 Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa.
27 Awo n'alyoka atum: bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.
28 Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bw’aligejja n'amalagala ne gatojjera mutegeera ng'omwaka guli kumpi
29 era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse; mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi.
30 Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira.
31 Eggulu n'ensi biri ggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
32 Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bama layika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.
33 Mwekuumenga, mutunulenga musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.
34 Ng'omu ntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe n'alagira omuggazi okutunula.
35 Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennvumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya;
36 atera okujja amangu ago n'abasanga nga mwebase.
37 Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako n'emigaati egitazimbulukuswa etuuke: bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata mu lukwe n'okumutta:
2 kubanga baagamba nti Si ku lunaku lwa mbaga, mpozzi waleme okubaawo akeegugungo mu bantu.
3 Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwe.
4 Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala nga bagamba nti Amafuta gafudde ki bwe gatyo?
5 Kubanga amafuta gano bandiyinzizza okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu n'okusingawo n'okugabira abaavu. Ne bamwemulugunyiza.
6 Naye Yesu n'agamba nti Mumuleke; mumunaknwaliza ki? ankoledde ekikolwa ekirungi.
7 Kubanga abaava be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubatola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo.
8 Akoze nga bw'arinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika.
9 Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
10 Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu; okumuwaayo ye bali:
11 Awo bwe baawulira, tebasanyuka, ne basuubiza okumuva effeeza. N'asala amagezi bw'anaalaba ebbanga okumuwaayo.
12 Awo ku lunaku olwasooka olw'emigaati egitazimbulukuswa lwe batta Okuyitako, abayigirizwa be ne bamugamba nti Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?
13 N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere;
14 yonna yonna mw'anaayingira mugambe nnannyini nnyumba nti Omuyigiriza agambye nti Ennyumba eri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?
15 Anaabalaga ye yennyini ennyumba ennene eya waggulu eyaliiriddwa etegekeddwa: mututegekere omwo.
16 Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako.
17 Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri.
18 Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe;
19 ne batanula okunakuwala n'okumugamba kinnoomu nti Ye nze?
20 N'abagamba nti Omu ku kkumi n'ababiri akoza nange mu kibya ye wuuyo.
21 Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo.
22 Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti Mutoole; guno gwe mubiri gwange.
23 N'addira ekikompe, awo bwe yamala okweyanza, n'abawa; ne bakinywako bonna.
24 N'abagamba nti Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi.
25 Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku bibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya mu bwakabaka bwa Katonda.
26 Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
27 Awo Yesu n'abagamba nti Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.
28 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.
29 Naye Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.
30 Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.
31 Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. Era bonna ne bagamba bwe batyo.
32 Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano mmale okusaba.
33 N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atanula okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo.
34 N'abagamba nti Emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.
35 N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko.
36 N'agamba nti Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nziyaako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.
37 Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Simooni, weebase? tobadde na maanyi ag'okutunula n'essaawa emu nti
38 Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala, naye omubiri gwe munafu.
39 Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebitgambo bimu na biri.
40 N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga nnyo; so tebaamanya bwe banaamuddamu.
41 N'ajja omulundi ogw'okusatu, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
42 Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
43 Awo amangu ago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.
44 Era oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.
45 Awo bwe yatuuka, amangu ago n'ajja gy'ali n'agamba nti Labbi; n'amunywegera nnyo.
46 Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata.
47 Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu.
48 Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi; n'ebitala n'emiggo okunkwata?
49 Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.
50 Awo bonna ne bamwabulira ne badduka.
51 Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata;
52 naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere.
53 Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu: ne bamukuŋŋaanirdlko bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi.
54 Awo Peetero n'amugoberera wala, okutuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu; yali atudde n'abaweereza ng'ayota omuliro.
55 Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonyeza Yesu abajulirwa ab'okumussa, so ne batabalaba:
56 Kubanga abaamuwaayiriza eby'obulimba bangi, so n'okuwaayiriza kwabwe tekwali kumu.
57 Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti
58 Ffe twamuwulira ng'agamba nti Ndimenya yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.
59 So n'okuwaayiriza. kwabwe okwo nakwo tekwali kumu.
60 Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, ng'agamba nti Ggwe toyanukula n'akatono? kiki kye bakulumiriza bano?
61 Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amugamba nti Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?
62 Yesu n'agamba nti Nze nzuuna; nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.
63 Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti Twetaagira ki nate abajulirwa?
64 Muwulidde obuwoozi bwe: mulowooza mutya? Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.
65 Awo abamu ne batanula okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti Lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukuba empi.
66 Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana ba kabona asinga obukulu n'ajja;
67 awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'agamba nti Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.
68 Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti Simanyi, so sitegeera ky'oyogera: n'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima.
69 Awo omuzaana n'amulaba, n'atanula nate okubagamba abaali bayimiridde awo nti Ono w'ewaabwe.
70 Naye ne yeegaana nate. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti Mazima oli w'ewaabwe; kubanga oli Mugaliraaya.
71 Naye n'atanula okukolima n'okulayira nti Simanyi muntu ono, gwe mwogerako.
72 Amangu ago enkoko n'ekookolima omulundi ogw'okubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe. yamugambye nti Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu. Kale bwe yalowooza, n'akaaba amaziga.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
Yesu ewa Piraato
1 Awo amangu ago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato.
2 Awo Piraato n'amubuuza nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Bwe yaddamu n'amugamba nti Ggwe oyogedde.
3 Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi.
4 Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti Toyanukula n'akatono? laba ebigambo bingi bye bakuloopa.
5 Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya.
6 Awo ku mbaga yabateeranga omusibe omu gwe baamusaba.
7 Awo waaliwo omu ayitibwai Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema abatta abantu mu kujeema okwo.
8 Awo ekibiina ne kirinnya ne kitanula okumusaba okubakola nga bwe yabakolanga.
9 Awo Piraato n'abaddamu, ng'agamba nti Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?
10 Kubanga yategeera ngs bakabona abakulu baamuweesezzaayo buggya.
11 Naye bakabona abakulu ne baweerera ekibiina nt Balaba gw'aba abateera.
12 Awo Piraato n'addamu nate n'abagamba, nti Kale nnaamukola ntya gwa muyita Kabaka w'Abayudaaya?
13 Awo ne boogerera waggula nate nti Mukomerere.
14 Awo Piraato n'abagamba nti Kazzi kibi ki ky'akoze? Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Mukomerere.
15 Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amaze okumukuba.
16 Awo basserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana.
17 Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu. Ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira;
18 ne batanula okumulamusa nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!
19 Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza.
20 Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera.
21 Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe.
22 Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, okutegeezebwa kwakyo nti Kifo kya kiwanga,
23 Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza.
24 Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu; buli muntu ky'anaatwala.
25 Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera.
26 Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti KABAKA W'ABAYUDAAYA.
27 Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
28 Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti N'abalirwa awamu n'abasobya:
29 Awo abaali liayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti So, ggwe amenya yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu,
30 weerokole, ove ku musalaba.
31 Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi bokka na bokka ne bagamba nti Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka.
32 Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize. Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma.
33 Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda.
34 Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Eroi, Eroi, lama sabakusaani? okutegeezebwa kwakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
35 Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti Laba, ayita Eriya.
36 Awo omu n'addukana, n'annyika ekisuumwa mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.
37 Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu.
38 Awo n'eggigi ly'omu yeekaalu ne liyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.
39 Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.
40 Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo waaliwo ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome;
41 abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abaalinnya naye e Yerusaalemi.
42 Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti,
43 Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu ateesa ow'ekitiibwa, era eyasuubiranga yennyini obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu.
44 Awo Piraato ne yeewuunya bw'afudde amangu, n'ayita omwami w'ekitongole n'amubuuza oba ng'ekiseera kiyiseewo yaakafiira.
45 45 Awo bwe yakiwulira okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo.
46 Ye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'eki.taani olwo, n'amussa mu ntaana eyasimwa mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana.
47 Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateebwa.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
Azuukidde
1 Awo ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, bajje bamusiige.
2 Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana.
3 Awo baali beebuuzaganya bokka nti Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?
4 Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali; kubanga lyali ddene nnyo.
5 Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olutukuvu; ne bawuniikirira.
6 N'abagamba nti Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa.
7 Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.
8 Ne bava ku ntaana nga baddukana mangu; kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.
9 Awo bwe yamala okuzuukira mu makya ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu.
10 Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, nga banakuwala nga bakaaba.
11 Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza.
12 Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo.
13 Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, so ne batabakkiriza.
14 Oluvarmyuma n'alabikira ekkumi n'omu nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakaayavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamu laba ng'amaze okuzuukira:
15 N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna.
16 Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.
17 Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya;
18 banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, aabo banaawonanga.
19 Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
20 Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.
   

Next
Back