Matayo  

Essuula 11

Yokaana Omubatiza asindika ababaka eri Yesu
1 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
2 Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera ebikolwa bya Kristo; n'atuma abayigirizwa be,
3 okumugamba nti Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?
4 Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba:
5 abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
6 Naye yenna alina omukisa talinneesittalako.
7 Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye nwagenderera mu ddungu okutuiuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
8 Naye kiki kye mwagenderera okulaba? omuntu ayanbadde ezinekaaneka? Laba, abanbala ezinekaaneka baba mu nnyunba za bakabaka.
9 Naye kiki ye mwagenderera? okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.
10 Oyo ye yawatdiikwako nti Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.
11 Ddala mbagamba nti Tevanga nu abo abazaalibwa abakazi omuntu singa Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye.
12 Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okuuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza abunyaga lwa maanyi.
13 Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana.
14 Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.
15 Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16 Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato batuula mu butale abayita bannaawe,
17 nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.
18 Kubanga Yo:aana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni.
19 Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, muluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina bibi! Era amagezi gaweebwa obuuukirivu olw'ebikolwa byago.
20 N'asookera awo okubuulirira bibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya.
21 Zirikusanga ggwe Kolaziini! ziriusanga ggwe Besusayida! kubanga by'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo e Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.
22 Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.
23 Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodoma, singa weekiri ne kaakano.
24 Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.
25 Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato:
26 weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go.
27 Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumu bikkulira.
28 Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza.
29 Mwetikke ekikoligo nange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.
30 Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
Yesu ye mukama wa ssabbiiti
1 Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya.
2 Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti.
3 Naye n'abagamba nti Temusoinanga Dawudi bwe yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo;
4 bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy’omuzizo ye okugirya newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?
5 Nantiki musomanga mu mateeka, bakabona mu yeekaalu ku ssabbiiti bwe baasobya ssabbiiti, so tebazza musango?
6 Naye mbagamba nti ali wano asinga yeekaalu obukulu.
7 Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so sissaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango.
8 Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.
9 N'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe:
10 era, laba, mwalimu omu eyalina omukono ogukaze. Ne bamubuuza, nga bagamba nti Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? era bamuwawaabire.
11 N'abagamba nti Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata atagiggyamu?
12 Omuntu tasmga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti.
13 N'alyoka agamba omuntu oyo nti Golola omukono gwo. N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogw'okubiri.
14 Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza.
15 Yesu bwe yategeera n'avaayo: abantu bangi ne bagenda naye; n'awonya bonna,
16 n'abakomako baleme okumwatiikiriza:
17 kituukirire ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti
18 Laba mulenzi wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange: Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga omusango.
19 Taliyomba, so talireekaana; So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20 Olumuli olwatifu talirumenya, So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, Okutuusa lw'alisindika omusango okuwangula.
21 N'erinnya lye amawanga galirisuubira.
22 Awo ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa: n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera n'alaba.
23 Ebibiina ne bisamaalirira byonna, ne byogera nti Ono ye mwana wa Dawudi?
24 Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.
25 Bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka terirwawo:
26 ne Setaani bw'agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulirwawo butya?
27 Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kale abo be balibasalira omusango.
28 Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.
29 Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? n'alyoka anyaga enju ye.
30 Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
31 Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuwoola, naye okuwoola Omwoyo tekulisonyiyika.
32 Buli muntu aliwoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu aliwoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.
33 Oba mufuule omuti omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.
34 Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, aka mwa bye koogera.
35 Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.
36 Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango.
37 Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, bigambo byo bye birikusinza omusango.
38 Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti Omuyigiriza, twagala otulage akabonero tukalabe.
39 Naye n'addamu n'abagamba nti Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero: so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona:
40 kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.
41 Abantu ab'e Nnineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinza omusango: kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.
42 Kabaka omukazi ow'omu bukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'aba ab'emirembe gino, era alibasinza omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.
43 Naye dayimooni omubi bw'ava mu muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa.
44 Kale agamba nti Naddayo mu nnyumba yange mwe nnava; bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, ng'ero ngoosebbwa.
45 Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo: n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri ab'emirembe gino emibi.
46 Bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde bweru, nga baagala kwogera naye.
47 Omuntu n'amugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde bweru, baagala kwogera naawe.
48 Naye n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti Ani mmange? be baani baganda bange?
49 N'agolola omukono eri abayigirizwa be, n'agamba nti Laba, mmange ne ba ganda bange!
50 Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
Olugero lw'omusizi
1 Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku mabbali g'ennyanja.
2 Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku ttale.
3 N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti Laba, omusizi yafuluma okusiga;
4 bwe yali ng'asiga, ensigo endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya:
5 endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu:
6 enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera kubanga tezaalina mmizi, ne zikala.
7 Endala ne zigwa kumaggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa
8 endala ne zigwa ku ttaka eddungi ne zibala emmere endala kikumi endala nkaaga, endala makumi asatu
9 Alina amatu, awulire.
10 Abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti Kiki ekikwogeza nabo mu ngero?
11 N'addamu n'abagamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu naye bo tebaweereddwa.
12 Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo: naye buli atalina aliggibwako ne ky'ali nakyo.
13 Kyenva njogera nabo mu ngero kubanga bwe balaba tebalaba, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera.
14 Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti Muliwulira buwulizi, naye temu litegeera; Muliraba bulabi, naye temu lyetegereza:
15 Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe gawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima, N'okukyuka, Ne mbawonya.
16 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira.
17 Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'aba abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.
18 Kale mmwe muwulire olugero lw'omusizi.
19 Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu nutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.
20 N’oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira kigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu;
21 naye talina mmizi munda mu ye, naye, alwawo katono; bwe wabaawo ennaku n’okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.
22 N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obulimba bw'obugagga bizisa ekigambo, era tabala.
23 N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo ddala abala ddala ebibala, omulala aleeta kikumi, omulala nkaaga, omulala makumi asatu.
24 Awo n'abaleetera ohugero olulala n'ayogera nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye:
25 naye aba bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda.
26 Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko.
27 Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? kale yali etya okubaamu ŋŋaano ey'omu nsiko?
28 N'abagamba nti Omulabe ye yakola atyo. Abaddu ne bamugamba nti Kale oyagala tugende tugikoolemu?
29 Naye n'agamba nti Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini.
30 Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.
31 N'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye:
32 nako nga ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kaakula, ne kaba kanene okusinga omuddo gwonna, ne kaba omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga nga zijja, nga zibeera ku matabi gaagwo.
33 N'abagerera olugero olulala nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.
34 Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo:
35 kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
36 Awo n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju: abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omu nsiko eyali mu nnimiro.
37 N'addamu n'agamba nti Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu;
38 ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi;
39 omulabe eyagisiga ye Setaani: amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika.
40 Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekujgnaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi.
41 Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi,
42 balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji.
43 Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.
44 Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu n'akiraba, n'akikweka; n'olw'essanyu lye n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.
45 Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omutunzi anoonya eruulu ennungi:
46 bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula.
47 Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebya buli ngeri:
48 bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula.
49 Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi: bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu,
50 balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji.
51 Mubitegedde ebigambo bino byonna? Ne bamugamba nti Weewaawo.
52 N'abagamba nti Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.
53 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo.
54 Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino?
55 Ono si ye mwana w'omubazzi? nnyina si gwe bayita Malyamu? ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda?
56 Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna?
57 Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.
58 So teyakolayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
Yokaana Omubatiza atemebwako
1 Mu biro biri Kerode owessaza n'awulira ettutumu lya Yesu,
2 n'agamba abaddu be nti Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.
3 Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we.
4 Kubanga Yokaana yamugamba nti Kyamuzizo ggwe okubeera naye.
5 Bwe yali ayagala okumutta, n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi.
6 Bwe lwatuuka olw'okujjukira amazaalibwa ga Kerode, omuwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode.
7 Awo n'alayira n'asuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba.
8 Naye, bwe yaweererwa nnyina, n'agamba nti Mpeera wano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.
9 Kabaka n'alumwa; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa;
10 n'atuma, n'atemako Yokaana omutwe mu kkomera.
11 Ne baleeta omutwe gwe mu lutiba, ne baguwa omuwala: n'agutwalira nnyina.
12 Abayigirizwa be ne bajja, ne basitula omulambo, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.
13 Awo, Yesu bwe yawulira, n'aviirayo mu lyato, n'agenda awali eddungu kyama: ebibiina bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu.
14 N'avaayo, n'alaba ekibiina kinene, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe.
15 Bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bagamba nti Wano ddungu, obudde buyise nnyo; siibula aba, bagende mu bibuga, beegulire emmere.
16 Naye Yesu n'abagamba nti Tewali kibazzisaayo; mmwe mubawe ebyokulya.
17 Ne bamugamba nti Tetulina kintu wano wabula emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.
18 N'agamba nti Mubindeetere wano.
19 N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atwala emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
20 Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebibbo kkumi na bibiri ebyajjula.
21 N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano, abakazi n'abaana obutabassaako:
22 Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, amale okusiibula ebibiina.
23 Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba: obudde bwe bwawungeera, yaliyo bw'omu.
24 Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwa bafuluma mu maaso.
25 Awo ekiro mu kisisimuka eky'okuina n'ajja gye bali, ng'atambula ku nnyanja.
26 Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beeraliikirira, ne bagamba nti Dayimooni; ne beekanga nga batya.
27 Amangu ago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti Muddeemu omwoyo: nze nzuuno; temutya.
28 Peetero n'amuddamu n'agamba nti Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, adagira njije gy'oli ku mazzi.
29 N'agamba nti Jjangu. Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu.
30 Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola.
31 Amangu ago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?
32 Bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo.
33 N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti Mazima oli Mwana wa Katonda.
34 Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti.
35 Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde;
36 ae: bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro Iw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
Okwonoona kuva munda
1 Awo ne bajja eri Yesu Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, nga bagamba nti
2 Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? kubanga tebanaaba mu ngalo nga balya emmere.
3 N'addamu n'abagamba nti Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa?
4 Kubanga Katonda yagamba nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: nate nu Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.
5 Naye mmwe mugamba nti Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda,
6 alireka okussaamu ekitiibwa kitaawe. Mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.
7 Mmwe bannanfuusi, Isaaya yala gula bulungi ku mmwe, ng'agambo nti
8 Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; Naye omutima gwabwe guno wala.
9 Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
10 N'ayita ekibiina, n'abagamba nti Muwulire, mutegeere:
11 ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.
12 Awo abayigirizwa ne bajja, ne bamuga mba nti Omanyi Abafalisaayo ng baanyiiga, bwe baawulira ekigambo ekyo?
13 Naye n'addamu n'agamba nti Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulibwa.
14 Mubaleke: be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne bombi baligwa mu bunnya
15 Peetero n'addamu n'amugamba nti Tunnyonnyole olugero olwo.
16 Naye n'agamba nti Era nammwe temunnaba kuba na magezi.
17 Temutegeera ati buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa mu kiyigo?
18 Naye ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu.
19 Kubanga mu mutima mu muva ebirowoozo ebibi, obussi obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma:
20 ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoon; muntu.
21 Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni.
22 Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava ku mbibi eyo, n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Onsaasire Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.
23 Naye n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti Musiibule; kubanga atuleekaanira emabega.
24 Naye n'addamu n'agamba nti Saatumibwa wabula eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.
25 Naye n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti Nlukama wange, mbeera.
26 N'addamu n'agamba nti Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'okugisuulira obubwa.
27 Naye n'agamba nti Weewaawo, Mukama wange: kubanga n'obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.
28 Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene: kibeere gy'oli nga bw'oyagala. Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.
29 Yesu n'avaayo, n'ajja ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo.
30 Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya:
31 ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.
32 Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'agamba nti Nsaasira abantu kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya: n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, wozzi banaazirikira mu kkubo.
33 Abayigirizwa ne bamugamba nti Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?
34 Yesu n'abagamba nti Mulina emigaati emeka? Ne bagamba nti Musanvu, n'ebyennyanja ebitono si bingi.
35 N'alagira ekibiina okutuula wansi;
36 n'atoola emigaati musanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'amenyamu n'awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
37 Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebisero musanvu ebyajjula.
38 N'abo abaalya baali tbasajja enkumi nnya, abakazi n'abaana obutabassaako.
39 N'asiibua ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu mbibi y'e Magadani.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
Abafalisaayo n'Abasaddukaayo basaba okubalagibwa akabonero
1 Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.
2 Naye n'addamu n'abagamba nti [Bwe buba akawungeezi, mugamba nti Bunaaba bulungi: kubanga eggulu limyuse.
3 N'enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?]
4 Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'agenda.
5 Abayigirizwa ne bajja emitala w'eri, ne beerabira okutwala emigaati.
6 Yesu n'abagamba nti Mutunuulire mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
7 Ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Kubanga tetuleese migaati.
8 Yesu n'amanya n'agamba nti Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka kubanga temulina migaati?
9 Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano eri abo enkumi ettaano, n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya
10 Era emigaati omusanvu eri abo enkumi ennya, n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
11 Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambiridde lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
12 Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
13 Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti Omwana w'omuntu aba bamuyita batya?
14 Ne bagamba nti Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya: abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi.
15 N'abagamba nti Naye mmwe mumpita mutya?
16 Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.
17 Yesu n'addamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
18 Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.
19 Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu: yonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisu mululibwa mu ggulu.
20 Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo.
21 Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.
22 Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agatttba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono.
23 N'akyuka, n'agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani oli nkonge gye ndi: kubanga tologtooza bya Katonda, wabula eby'abantu.
24 Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Omuntu bw'ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
25 Kubanga buli ayagaIa okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
26 Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
27 Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.
28 Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
Okufuusibwa kwa Yesu
1 Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n'abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka:
2 n'afuusibwa mu maaso gaabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omusana.
3 Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye.
4 Peetero n'addamu n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu; emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.
5 Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.
6 Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo.
7 Yesu n'ajja n'abakomako n'agamba nti Muyimuke, temutya.
8 Ne bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu, wabula Yesu yekka.
9 Bwe baali nga bakka ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti Temubuulirako muntu bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.
10 Abayigirizwa be ne bamubuuza, ne bagamba nti Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja?
11 N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna:
12 naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa bo.
13 Awo abayigirizwa ne bategeera nti yayogera nabo ku Yokaana Omubatiza.
14 Bwe baatuuka eri ekibiina, omuntu n'ajja gy'ali, n'amufukaamirira, ng'agamba nti
15 Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, zimubonyaabonya nnyo: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi mu mazzi.
16 Ne mmuleetera abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.
17 Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere wano.
18 Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
19 Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bagamba nti Kiki ekitulobedde ffe okuyima okumugoba?
20 N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza.
21 Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.
22 Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;
23 balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo.
24 Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bagamba nti Mukama wammwe tawa diderakima?
25 N'agamba nti Awa. Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga?
26 N'agamba nti Bannaggwanga. Yesu n'amugamba nti Kale abaana ba ddembe.
27 Naye, tuleme okubasittaza, genda ku nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
Ani mukulu
1 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?
2 N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe,
3 n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
4 Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5 Na buli alisembeza omwana omuto ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze:
6 naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiiza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
7 Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
8 Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.
9 Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeem ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
10 Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubangi mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
11 [Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.]
12 Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko?
13 Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.
14 Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.
15 Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulirara ng'ofunye muganda wo.
16 Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.
17 Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaan, okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
18 Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mi ggulu: era byonna bye mulisumu lula ku nsi birisumululibwa mi ggulu.
19 Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabang ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
20 Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21 Awo Peetero n'ajja, n'amu gamba nti Mukama wange, mugand wange bw'annyonoonanga, nnaa musonyiwanga emirundi emeka kutuusa emirundi musanvu?
22 Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi mumvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu.
23 Obwakabaka obw'omu ggulu yebuva bufaananyizibwa n'omu.tu eyali kabaka, eyayagala okubala muwendo n'abaddu be.
24 Bwe asooka okubala, ne bamuleetera mu, gw'abanja ettalanta akakumi.
25 Naye kubanga teyalina kya kusaula, mukama we n'alagira okumuunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe.
26 Awo omuddu n'a;wa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna.
27 Mukama w'omuddu oyo n'amuaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja.
28 Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, we yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange.
29 Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'a;amba, nti Mmanja mpola, nange idikusasula.
30 N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, male okusasula ebbanja.
31 Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaideyo.
32 Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira:
33 naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?
34 Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
35 Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe muta, onyiwa mu mitima.gyammwe buli nuntu muganda we.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
Obufumbo n'okwawukana
1 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, n'ava Ggaliraaya, n'ajja ku mbibi y'e Buyudaaya emitala wa Yoludaani;
2 ebibiina ebinene ne bimugoberera; n'abawonyeza eyo.
3 Abafalisaayo ne bajja gy'a1i, ne bamukema, nga bagamba nti Omuntu ayinza okugoba mukazi we okumulanga buli kigambo?
4 N'addamu n'agamba nti Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n'omukazi,
5 n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?
6 obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.
7 Ne bamugamba nti Kale, Musa ekyamulagiza ki okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?
8 N'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo.
9 Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.
10 Abayigirizwa ne bamugamba nti Ebigambo eby'omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo, si kirungi okuwasa.
11 N'abagamba nti Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abakiweebwa.
12 Kubanga waliwo abalaawe abazaNaye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubaaga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe. alibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu: waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu: Ayinza okukikkiriza, akikkirize.
13 Awo ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, asabe: abayigirizwa ne babajunga.
14 Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubaaga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
15 N'abassaako emikono n'avaayo.
16 Laba, omuntu n'ajja gy'ali n'agamba nti Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?
17 N'amugamba nti Lwaki ompita omulungi? Omulungi ali Omu: naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.
18 N'amugamba nti Galuwa? Yesu n'agamba nti Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga,
19 Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.
20 Omulenzi n'amugamba nti Ebyo byonna nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate?
21 Yesu n'amugamba nti Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.
22 Omulenzi bwe yawulira ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde: kubanga yali alina obugagga bungi.
23 Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.
24 Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
25 Abayigirizwa bwe haawulira ne beewuunya nnyo, nga bagamba nti Kale ani ayinza okulokolebwa?
26 Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.
27 Awo Peetero n'addamu n'amugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tuliba na ki?
28 Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.
29 Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba hyalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
30 Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
Olugero lwa balimi mu lusuku lw'emizzabbibu
1 Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
2 Bwe yamala okulagaana n'abalimi eddinaali ey'olunaku olumu, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu.
3 N'afuluma essaawa nga ziri ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola;
4 nabo n'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabaweera ekinaatuuka. Ne bagenda.
5 N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era n'omwenda, n'akola bw'atyo.
6 N'afuluma essaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola?
7 Ne bamugamba nti Kubanga tewali muntu eyatupakasizza. N'abagamba nti Nammwe mugende mu lusuku olw'emizabbibu.
8 Obudde bwe bwawungeera, omwami w'olusuku olw'emizabbibu n'agamba omukoza we nti Bayite abalimi, obawe empeera, osookere ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.
9 N'ab'omu ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
10 N'abo abaasooka bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okukirawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu.
11 Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza omwami.
12 nga bagamba nti Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu, n'obenkanya naffe, abaateganye enkya n'essana nga litwokya.
13 Naye n'addamu n'agamba omu ku abo nti Munnange, sikukoze bubi: tewalagaanye nange eddinaali emu?
14 Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono ow'oluvannyuma nga ggwe.
15 Siyinza kukola byange nga bwe njagala? oba eriiso lyo bbi kubanga nze ndi mulungi?
16 Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluyannyuma.
Yesu ayogera ku kufa kwe omulundi ogw'okusatu
17 Yesu bwe yali ng'ayambuka okugenda e Yerusaalemi; n'atwala abayigirizwa ekkumi n'ababiri kyama, n'abagambira mu kkubo nti
18 Laba, twambuka tugenda e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; nabo balimusalira omusango okumutta,
19 era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukuba, n'okumukomerera: n'alyoka azuukizibwa ku lunaku olw'okusatu.
20 Awo nnyina w'abaana ba Zebbedaayo n'ajja gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'amusaba ekigambo.
21 N'amugamba nti Oyagala ki?N'amugamba nti Lagira abaana bange bano bombi batuul e, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu bwakabaka bwo.
22 Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako? Ne bamugamba nti Tuyinza.
23 N'abagamba nti Ku kikompe kyange mulinywerako ddala: naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba, wabula eri abo Kitange be yakuterekera.
24 Na bali ekkumi bwe baawulira, ne banyiigira ab'oluganda ababiri.
25 Naye Yesu n'abayita gy'ali, n'agamba nti Mumanyi ng'abaami b'amawanga babafuga, n'abakulu baabwe babatwala n'amaanyi.
26 Tekiibenga bwe kityo mu mmwe: naye buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe:
27 na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe:
28 nga Omwana w'omuntu bw'atajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky'abangi.
29 Bwe baali nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimugoberera.
30 Laba, abazibe b'amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, bwe baawulira nti Yesu ayitawo, ne boogerera waggulu; nga bagamba nti-Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi.
31 Ekibiina ne kibaboggolera, okusirika: naye bo ne beeyongera okwogerera waggulu, nga bagamba nti Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi.
32 Yesu n'ayimirira, n'abayita, n'agamba nti Mwagala mbakole ki?
33 Ne bamugamba nti Mukama waffe, amaaso gaffe gazibuke.
34 Yesu n'akwatibwa ekisa, n'akoma ku maaso gaabwe: amangu ago ne balaba, ne bamugoberera.
   

Next
Back