Nikkemeya  

Essuula 8

1 Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango gw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge Falagira Isiraeri.
2 Ezera kabona n’aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne Donna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku alw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu.
3 Awo n'asoma omwo mu maaso g’ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya nu makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abe abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka.
4 Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya ne Sema ne Anaya ne Uliya ne Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono Pedaya ne Misayeri ne Malukiya ne Kasumu ne Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.
5 Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; (kubanga yali waggulu w'abantu bonna;) kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira:
6 Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe: ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.
7 Era Yesuwa ne Baani ne Serebiya ne Yamini ne Akkubu ne Sabbesayi ne Kodiya ne Masseya ne Kerita ne Azaliya ne Yozabadi ne Kanani ne Peraya n'Abaleevi ne bategeeza abantu amateeka: abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.
8 Ne basoma mu kitabo mu mateeka ga Katonda okuwulikika; ne baleeta amakulu n'okutegeera ne bategeera ebyasomebwa.
9 Awo Nekkemiya Tirusaasa ne Ezera kabona omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga. Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka.
10 Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.
11 Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera, nti Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.
12 Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'akunywa n'okuwereeza emigabo n'okusanvuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.
13 Awo ku lunaku olw'okubiri ne wakuŋŋaana emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abantu bonna, bakabona n'Abaleevi, awali Ezera omuwandiisi, okutega amatu eri ebigambo eby'amateeka.
14 Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama bwe yalagirira mu Musa, abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu:
15 bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.
16 Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, bulu muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu.
17 Awo ekibiina kyotma eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira: kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe baryo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.
18 Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olw'olubereberye n'amalira ku lunaku olw'enkomerero n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Awo ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi guno abaana ba Isirieri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka.
2 Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula mu bannaggwanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
3 Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky'olunaku eky'okuna; n'ekitundu eky'okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe.
4 Awo ne wayimirira ku madaala g'Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene.
5 Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza.
6 Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza.
7 Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n'omuggya mu Uli ey'Abakaludaaya, n'omuwa erinnya Ibulayimu;
8 n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ensi ey'Omukanani n'Omukiiti n'Omwamoli n'Omuperizi n'Omuyebusi n'Omugirugaasi, okugiwa ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo kubanga ggwe mutuukirivu.
9 Era walaba okubonaabona kwa bajjajjaaffe mu Misiri n'owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu;
10 n'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.
11 Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
12 Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu.
13 Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n'ebiragiro:
14 n'obamanyisa ssabbiiti yo entukuvu, n'obalagira ebiragiro n'amateeka ne tawuleeti mu mukono gwa Musa omuddu wo:
15 n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wayimusiza omukono gwo okubawa.
16 Naye bo ne bajjajjaaffe ne bakola eby'amalala, ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne batawulira biragiro byo,
17 ne bagaana okugonda so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.
18 Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri, era nga bakoze ebinyiiza ennyo;
19 naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu: empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu.
20 Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe.
21 Weewaawo, wabaliisiza emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga.
22 Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali: kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w’e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w’e Basani.
23 Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya.
24 Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.
25 Ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez'e emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.
26 Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w'amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebinyiiza ennyo.
27 Kyewava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga: kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe.
28 Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go: kyewava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'oyima mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali;
29 n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw'agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.
30 Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omunsi.
31 Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira.
32 Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakunga baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati.
33 Naye ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby'amazima, naye ffe mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo n'emisango gyo bye wategeeza eri bo.
34 Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebiri.
35 Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebiri.
36 Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo.
37 Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.
38 Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo tulagaana endagaano ey'enkalakkalira, ne tugiwandiika; abakungu baffe n'Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Era abo abassaako akabonero be bano, Nekkemiya Tirusaasa, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya;
2 Seraya, ne Azaliya ne Yeremiya;
3 ne Pasukuli ne Amaliya ne Malukiya;
4 ne Kattusi ne Sebaniya ne Malluki;
5 ne Kalimu ne Meremoosi ne Obadiya;
6 ne Danyeri ne Ginnesoni ne Baluki;
7 ne Messulamu ne Abiya ne Miyamini;
8 ne Maaziya ne Birugayi ne Semaaya: abo be baali baka bona.
9 N'Abaleevi amannya gaabwe, Yesuwa mutabani wa Azaniya ne Binnuyi ow'oku baana ba Kenadadi ne Kadumyeri;
10 ne baganda baabwe, Sebaniya ne Kodiya ne Kerita ne Peraya ne Kanani;
11 ne Mikka ne Lekobu ne Kasabiya;,
12 ne Zakkuli ne Serebiya ne Sebaniya;
13 ne Kodiya ne Baani ne Beninu.
14 Abakulu b'abantu: Palosi ne Pakasumowaabu ne Eramu ne Zattu ne Baani;
15 ne Bunni ne Azugaadi ne Babayi;
16 ne Adoniya ne Biguvayi ne Adini;
17 ne Atera ne Keezeekiya ne Azzuli;
18 ne Kodiya ne Kasumu ne Bezayi;
19 ne Kalifu ne Anasosi ne Nobayi;
20 ne Magupiyasi ne Mesullamu ne Keziri;
21 ne Mesezaberi ne Zadoki ne Yadduwa;
22 ne Peratiya ne Kanani ne Anaya;
23 ne Koseya ne Kananiya ne Kassubu;
24 ne Kallokesi ne Piruka ne Sobeki;
25 ne Lekumu ne Kasabuna ne Maaseya;
26 ne Akiya ne Kanani ne Anani;
27 ne Malluki ne Kallimu ne Baana.
28 N'abantu abalala bonna, bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'Abanesinimu n'abo bonna abeeyawula mu mawanga ag'omu nsi eri amateeka ga Katonda, bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, buli muntu eyalina okumanya n'okutegeera;
29 ne beegatta ne baganda baabwe, abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda agaaweerwa mu Musa omuddu wa Katonda, n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Mukama waffe, n'emisango gye n'amateeka ge;
30 era tulemenga okuwa bawala baffe amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani' baffe bawala baabwe;
31 era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba ebyokulya byonna okutundira ku lunaku olwa ssabbiiti, obutagulaaniranga nabo ku ssabbiiti newakubadde ku lunaku olutukuvu: era nga tunaalekanga omwaka ogw'omusanvu, n'okubanjanga ebbanja lyonna.
32 Era ne tweteekerawo amateeka okwesaliranga buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe;
33 olw'emigaati egy'okulaga n'olw'ekiweebwayo eky'obutta ekitaggwaawo n'olw'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaggwaawo, eby'oku ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga egyateekebwawo, n'olw'ebintu ebitukuvu n'olw'ebiweebwayo olw'ekibi okutangirira Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe.
34 Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi n'abantu, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka:
35 n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama:
36 era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe:
37 era nga tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'ettaka lyaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira.
38 Era kabona mutabani wa Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi: era Abaleevi banaaleetanga ekitundu eky'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga.
39 Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi: so tetuulekenga nnyumba ya Katonda waffe.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi: era n'abantu abalala ne bakuba obuiuiui okuggya omu ku kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala.
2 Awo abantu ne beebaza abasajja bonna abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemi.
3 Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi: nave mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona n'Abaleevi n'Abanesinimu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani.
4 Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda ne ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda: Ataya mutabanil wa Uzziya mutabani wa Zekkaliyai mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi;
5 ne Maaseya mutabani, wa Baluki mutabani wa Kolukoze mutabani wa Kazaya mutabani wa Adaya mutabani wa Yoyalibu mutabani wa Zekkaliya omwana w'Omusiiro.
6 Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana abasajja abazira.
7 Era bano be batabani ba Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaya mutabani wa Kolaya mutabani wa Maaseya mutabani wa Isiyeri mutabani wa Yesaya.
8 Awo oluvannyuma lw'oyo Gabbayi ne Sallayi, olwenda mu amakumi; abiri mu munaana.
9 Ne Yoweeri, mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe: ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga.
10 Ku bakabona: Yedaya mutabani wa Yoyalibu ne Yakini
11 ne Seraya mutabani wa Kirukiya mutabani wa Mesullamu mutabani wa Zadoki mutabani wa Merayoosi mutabani wa Akitubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda,
12 ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, olunaana mu abiri mu babiri: ne Adaya mutabani wa Yerokamu mutabani wa Peraliya mutabani wa Amuzi mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Pasukuli mutabani wa Malukiya,
13 ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ebikumi bibiri mu ana mu babisi: ne Amasusaayi mutabani wa Azaleri mutabani wa Azavi mutabani wa Mesiremoosi mutabani wa Immeri,
14 ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana: ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe.
15 Ne ku Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubu mutabani wa Azulikamu mutabani wa Kasabiya mutabani wa Bunni;
16 ne Sabbesayi ne Yozabadi, ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu egy'ebweru egy'ennyumba ya Katonda;
17 ne Mattaniya mutabani wa Mikka mutabani wa Zabudi mutabani wa Asafu eyali omukulu okuleeterezanga okwebaza bwe baasabanga, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa mutabani wa Galali mutabani wa Yedusuni.
18 Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana.
19 Era nate abaggazi, Akkubu ne Talumooni ne baganda 'baabwe abaakuumanga emiryango baali kikumi mu nsanvu mu babiri.
20 N'Abaisiraeri bonna abalala, ku bakabona Abaleevi, baabanga mu bibuga byonna ebya Yuda, buli muntu mu busika bwe.
21 Nave Abanesinimu ne babeeranga mu Oferi: ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abanesinimu.
22 Ne Uzzi mutabani wa Baani mutabani wa Kasabiya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda.
23 Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira nga buli lunaku bwe lwetaaga.
24 Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda yabanga ku mukono gwa kabaka olw'ebigambo byonna eby'abantu.
25 N'olw'ebyalo n'ennimiro zaako, abamu ku baana ba Yuda ne babeeranga mu Kirasualuba ne mu bibuga byako, ne mu Diboni n'ebibuga byako, ne mu Yekabuzeeri n'ebyalo byako:
26 ne mu Yesuwa ne mu alolada ne Besupereti;
27 ne mu Kazalusuali ne mu Beeruseba ne mu bibuga byako;
28 ne mu Zikulagi ne mu Mekona n'ebibuga byako;
29 ne mu Enulimmoni ne mu Zola ne mu Yalamusi;
30 Zanowa ne Adulamu n'ebyalo byako, Lakisi n'ennimiro zaako, Azeka n'ebibuga byako. Bwe batyo bwe baasiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31 Abaana ba Benyamini nabo ne babeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo e Mikumasi ne Ayiya, ne Beseri n'ebibuga byako;
32 Anasosi ne Nobu ne Ananiya;
33 Kazoli ne Laama ne Gittayimu;
34 ne Kadidi ne Zeboyimu ne Neballati;
35 ne Loodi ne Ono, ekiwonvu eky'abakozi.
36 Ne ku Baleevi ebisanja ebimu eby'omu Yuda ne bigattibwa ne Benyamini.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Era bano be bakabona n'Abaleevi abaayambuka ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa, Seraya ne Yeremiya ne Ezera;
2 ne Amaliya ne Malluki ne Kattusi;
3 ne Sekaniya ne Lekumu ne Meremoosi;
4 ne Iddo ne Ginnesoyi ne Abiya;
5 ne Miyamini ne Maadiya ne Biruga;
6 ne Semaaya ne Yoyalibu ne Yedaya;
7 ne Sallu ne Amoki ne Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakaboaa n’aba bagaada baabwe mu nnaku za Yesuwa.
8 Era nate Abaleevi; Yesuwa ne Binnuyi ne Kadumyeri ne Serebiya ne Yuda ne Mattaniya eyali omukulu w'okwebaza, ye ne baganda be.
9 Era Bakubukiya ne Unni beganda baabwe ne baboolekera mu bisanja.
10 Yesuwa n'ezaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eriyasibu, Eriyasibu n'azaala Yoyaada,
11 Yoyaada n'azaala Yonasaani, Yonasaani n'azaala Yadduwa.
12 Mu nnaku za Yoyakimu ne wabaawo bakabona emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; owa Seraya, Meraya; owa Yeremiya, Kananiya;
13 owa Ezera, Mesullamu; owa Amaliya, Yekokanaai;
14 owa Malluki, Yonasaani; owa Sebaniya, Yusufu;
15 owa Kalimu, Aduna; owa Merayoosi, Kerukayi;
16 owa Iddo, Zekkaliya; owa Ginaesoni, Mesullamu;
17 owa Abiya, Zikuli; owa Miniyamini, owa Mowadiya, Pirutayi;
18 owa Biruga, Sammuwa; owa Semaaya, Yekonasani;
19 n'owa Yoyalibu, Mattenayi; owa Yedaya, Uzzi;
20 owa Sallayi, Kallayi; owa Amoki, Eberi;
21 owa Kirukiya, Kasabiya; owa Yedaya, Nesaneeri.
22 Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada ne Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga gye mitwe gy'eanyumba za bakitaabwe: era ne bakabona, Daliyo Omuperusi nga ye kabaka.
23 Batabani ba Leevi, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu.
24 N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya ne Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde okuteaderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekisanja nga kyolekera ekisanja.
25 Mattaniya ne Bakubukiya ne Obadiya ne Mesullamu ne Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango.
26 Abo be baaliwo mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, n'ebya Ezera kabona omuwandiisi.
27 Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yetvsaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga.
28 Abaana b'abayimbi ne bakuntlaana, okuva mu lusenyi olwetoolodde Yerusaalemi ne mu byalo eby'Abanetofa;
29 era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumaveesi kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi.
30 Awo bakabona n'Abaleevi ne beerongoosa; ne balongoosa abantu n'emiryango ne bbugwe.
31 Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa:
32 n'oluvannyuma lwabwe Kosaaya n'atambula n'ekitundu eky'abakulu ba Yuda,
33 ne Azaliya ne Ezera ne Mesullamu
34 ne Yuda ne Benyamuu ne Semaaya ne Yeremiya,
35 n'abamu ku baana ba bakabona nga balina amakondeere: Zekkaliya mutabani wa Yoaasaani mutabani wa Semaaya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikaaya mutabani wa Zakkuli mutabani wa Asafu;
36 ne baganda be, Semaaya ne Azaleeri ne Miralayi ne Giralayi ne Maayi ne Nesaneeri ne Yuda ne Kanani, nga balina ebivuga ebya Dawudi omusajja wa Katonda; ne Ezera omuwandiisi ng'abaknlembedde:
37 ne bayita mu mulyango ogw'oluzzi n'okusimba mu maaso gaabwe ne balinnya ku lutindo olw'ekibuga kya Dawudi, bbugwe w'ayambukira waggulu w'ennyumba ya Dawudi okuruusa ku mulyango ogw'amazzi ebuvanjuba.
38 N'ekibiina eky'okubiri eky'abo abeebaza ne bagenda okubasisinkana, nange nga mbavaako ennyuma, wamu n'ekitundu ky'abantu ku bbugwe engulu w'ekigo eky'ebikoomi, okutuusa ku bbugwe omugazi;
39 era engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'ekigo kya Kananeri, n'ekigo kya Kameya, okutuusa ku mulyango ogw'endiga: ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi.
40 Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange n'ekitundu ky'abakulu wamu nange:
41 ne bakabona, Eriyakimu ne Maaseya ne Miniyamini ne Mikaaya ne Eriwenayi ne Zekkaliya ne Kananiya nga balina amakondeere;
42 ne Maaseya ne Semaaya ne Ereyazaali ne Uzzi ne Yekokanani ne Malukiya ne Eramu ne Ezera. Abayimbi ne bayimba n'eddoboozi ddene, Yezulakiya nga ye mukulu waabwe.
43 Ne bawaayo ssaddaaka enkulu ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka: awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala.
44 Awo ku lunaku olwo ne balonda abantu okuba abakulu b'enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu ng’ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka: kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza.
45 Era baakwata ebisanja bya Katonda waabwe n'ebisanja eby’okulongoosa, era bwe batyo bwe baakola n'abayimbi n'abaggazi ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we.
46 Kubanga mu nurembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga dokwebazanga Katonda.
47 Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali: ne batukulizanga Abaleevi; Abaleevi ne batukulizanga batabani ba Alooni.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Ku lunaku olwo ne basoma mu kitabo kya Musa mu matu g'abantu; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;
2 kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri nga balina emmere n'amazzi, naye ne bagulirira Balaamu eri bo okubakolimira: era naye Katonda waffe n'afuula ekikolomo okuba omukisa.
3 Awo olwatuuka bwe baawulira amateeka, ne balyoka baawula mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannamaggwanga.
4 Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, bwe yali mukoddomi wa Tobiya,
5 Yali amutegekedde ekisenge ekinene, gye baateekeranga edda ebiweebwayo eby'obutta, n'omugavu, n'ebintu, n'ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, Abaleevi bye baaweebwanga olw'ekiragiro n'abayimbi n'abaggazi n'ebiweebwayo ebisitulibwa ebya bakabona.
6 Naye mu biro ebyo byonna nze nga siri Yerusaalemi: kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni ne ŋŋenda eri kabaka, awo. nga wayiseewo ennaku, ne ndaga kabaka:
7 ne njija e Yerusaalemi ne ntegeera obubi Eriyasibu bwe yali akoze olwa Tobiya, ng'amutegekera ekisenge mu mpya ez'ennyumba ya Katonda.
8 Ne kmnakuwaza nnyo: kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge.
9 Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge: ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu.
10 Ne ntegeera nga Abaleevi baali tebannaweebwa migabo gyabwe; awo Abaleevi n'abayimbi abaakolanga omulimu nga baddukidde buli muntu mu kyalo kye.
11 Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda? Ne, mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe.
12 Awo Abayuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta eri amawanika.
13 Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya: ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe kugabiranga baganda baabwe.
14 Onjijukiranga, ai Katonda wange, olw'ekigambo ekyo, so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange n'olw'ebya ebikwatirwa omwo.
15 Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basambira ku ssabbiiti amasogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabibu n'ettiini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingiza mu Yerusaalemi ku lunaku olwa ssabbiiti: ne mba omujulirwa eri bo ku lunaku kwe baatundira ebyokulya.
16 Era mwabeeramu abasajja w’e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne babaguliza ku ssabbiiti abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi.
17 Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa ssabbiiti?
18 Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu ku Isiraeri nga mwonoona ssabbiiti.
19 Awo olwatuuka ekizikiza bwe kyasooka okukwata enzigi ez'e Yerusaalemi ssabbiiti ng'eneebaako enkya, ne ndagira okuggalawo enzigi, ne ndagira obutaziggulawo okutuusa ssabbiiti lw'eriggwaako: ne nteeka abamu ku baddu bange ku nzigi, baleme okuyingiza omugugu gwonna ku lunaku olwa ssabbiiti.
20 Awo abasuubuzi n'abatunzi b'ebintu eby'engeri zonna ne basula ebweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri.
21 Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti Kiki ekibasuza. okwetooloola bbugwe? bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata. Awo okuva ku lunaku olwo ne batajjira nate ku ssabbiiti:
22 Awo ne ndagira Abaleevi okwerongoosa, era okujja okukuuma enzigi okutukuza olunaku olwa ssabbiiti. Onjijukiriranga, ai Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi.
23 Mu biro ebyo era ne ndaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ba Asudodi n'aba Amoni n'aba Mowaabu:
24 n'abaana baabvve baayogeranga ekitundu lulimi lwa Asudodi so tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga bwe lwali.
25 Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini,
26 Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyayonoonanga mu ebyo? naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna: era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.
27 Kale tunnabawulira mmwe okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?
28 Era omu ku batabani ba Yoyada mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni: kyennava mmugoba gye ndi.
29 Obajjukiranga, ai Katonda wange, kubanga baayonoona obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi.
30 Bwe ntyo bwe nnabalongoosa eri batuiaggwanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe;
31 n'olwekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo; n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga; ai Katonda wange, okunkola obulungi.
   

Next
Back