Okubala  

Essuula 1

1 Awo Mukama n'ayogerera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, mu mwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti
2 Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'omuwendo gw'amannya bwe guli, buli, musajja, ng'emitwe gyabwe bwe giri;
3 abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri, ggwe ne Alooni mulibabala ng'eggye lyabwe bwe liri.
4 Era waliba wamu nammwe omusajja ow'omu buli kika; buli muatu omutwe gw'ennyumba ya bakitaawe.
5 Era gano ge mannya g'abasajja abaliyimirira awamu nammwe: ku Lewubeeni; Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
6 Ku Simyoni; Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
7 Ku Yuda; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
8 Ku Isakaali; Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
9 Ku Zebbulooni; Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 Ku baana ba Yusufu: ku Efulayimu; Erisaama mutabani wa Ammikudi: ku Manase; Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11 Ku Benyamini: Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
12 Ku Ddaani; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
13 Ku Aseri; Pagiyeeri mutabaai wa Okulaani.
14 Ku Gaadi; Eriyasaafu 'mutabani wa Deweri.
15 Ku Nafutaali; Akira mutabani wa Enani.
16 Abo be baayitibwa ku kibiina, abakulu b'ebika bya bakitaabwe; gye gyali emitwe gy'enkumi za Isiraeri.
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya:
18 ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okubiri, ne baatula okuzaalibwa kwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali.
19 Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu lya Sinaayi.
20 N'abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
21 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Lewubeeni, baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano.
22 Ku baana ba Simyoni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza, okutabaala;
23 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Simyoni, baali obukumi' butaano mu kenda mu bisatu.
24 Ku baana ba Gaadi, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
25 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
26 Ku baana ba Yuda, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
27 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Yuda, baali obukumi musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
28 Ku baana ba Isakaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyalca abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
29 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Isakaali, baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina.
30 Ku baana ba Zebbulooni, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
31 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Zebbulooni, baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina.
32 Ku baana ba Yusufu, ku baana ba Efulayimu, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
33 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Efulayimu, baali obukumi buna mu bitaano.
34 Ku baana ba Manase, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'etmyumna za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
35 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Manase, baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
36 Ku baana ba Benyamini, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
37 37 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali obukumi busatu mu enkumi ttaano mu bina.
38 Ku baana ba Ddaani, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
39 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
40 Ku baana ba Aseri, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'etmyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
41 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Aseri, baali obukumi buna mu lukumi mu bitaano.
42 Ku baana ba Nafutaali, okuzaalibwa kwabwe, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala;
43 abaabalibwa ku bo, ku kika kya Nafutaali, baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.
44 Abo be baabalibwa, Musa ne Alooni be baabala, n'abakulu ba Isiraeri, abasajja kkumi na babiri: buli muntu wa mu nnyumba ya bakitaawe.
45 Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ha Isiraeri; ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, bonna abaayinza okutabaala mu Isiraeri;
46 bonna abaabalibwa baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
47 Naye Abaleevi ng'ekika kya bakitaabwe bwe kyali tebaabalibwa mu bo.
48 Kubanga Mukama yagamba Musa
49 nti Kyokka ekika kya Leevi tolikibala, so tolinoonya muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri:
50 naye Abaleevi obafuule abakulu b'ennyumba ey'obujulirwa, era ab'ebintu byayo byonna, era ab'ebintu byonna ebigenderako: banaasitulanga ennyumba, n'ebintu byayo byonna; era banaagiweerezanga, era baanasiisiranga okwetoo loola ennyumba.
51 Era ennyumba bw'eneebanga etambula, Abaleevi be banaagisimbulanga: era ennyumba bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga: era munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
52 Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe; buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri.
53 Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola ennyumba ey'obujulirwa, walemenga okuba obusungu ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri: era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ey'obujulirwa.
54 Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, ne bakola bwe batyo.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Awo Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe: banaasiisiranga okwolekera eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zonna.
3 Era abo abasiisira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri: era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.
4 Era eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi musanvu mu lukaaga.
5 N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana: era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali:
6 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi butaano mu enkumi nnya mu bina:
7 n'ekika kya Zebbulooni: era Eriyaabu mutabani wa Keroni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Zebbulooni:
8 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi butaano mu kasanvu mu bina.
9 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu obukumi munaana mu lukaaga mu bina, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaasookanga okusitula.
10 Ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri: era Erizuuli mutabani wa Sedewuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni.
11 N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali obukumi buna mu kakaaga mu bitaano.
12 N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana: era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni:
13 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu kenda mu bisatu:
14 n'ekika kya Gaadi: era Eriyasaafu mutabani wa Leweri ye anaabanga omukulu w'abaana ba Gaadi:
15 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obuktuni buna mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
16 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu obukumi butaano mu lukumi mu bina mu ataano, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali okusitula.
17 Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambulanga, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.
18 Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe lizi: era Erisaama mutabani wa Amaiikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu.
19 N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi buna mu bitaano.
20 N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga: era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase;
21 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bibiri:
22 n'ekika kya Benyamini: era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini:
23 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali abukumi busaru mu enkumi ttaano mu bina.
24 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali nate okusitula.
25 Ku luuyi olw'obukiika obwa kkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggyel lyabwe bwe liri: era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani.
26 N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
27 N'ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana: era Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Aseri:
28 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu' lukumi mu bitaano:
29 n'eluka kya Nafutaali: era Akira mutabani wa Enani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Nafutaali:
30 n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.
31 Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Ddaani baali kasiriivu mu obukumi butaano mu kasanvu mu lukaaga. Be banaasembanga ng'ebendera bwe ziri.
32 Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
33 Naye Abaleevi tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
34 Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baasitulanga, buli muntu ag'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba ya bakitaabwe bwe zaali.
   

[Ddayo waggulu]
1 Era kuno kwe kuzaala kwa Alooni ne Musa ku lunaku Mukama lwe yayogereramu ne Musa ku lusozi Sinaayi.
2 Era gano ge mannya 8'abaana ba Alooni; Nada, bu, omubereberye, ne Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali.
3 Ago ge mannya g'abaana ba Alooni, bakabona abaafukibwako amafuta, be yayawula okuweererezanga mu bwakabona.
4 Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu dduagu lya Sinaayi, ne bataba na baana: awo Eriyazaali ne Isamaali ne ba,weererezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe.
5 Mukama n'agamba Musa nti
6 Sembeza ekika kya Leevi, obateeke mu maaso ga Alooni kabona, bamuweerezanga.
7 Era banaakuumanga ebyo ye bye yalagirwa, n'ebyo ekibiina kyonna bye kyalagirwa, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba.
8 Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba.
9 Era onoowa Alooni n'abaana be Atialeevi: baweereddwa ddala ye ku bw'abaana ba Isiraeri.
10 Era onossaawo Alooni n'abaana be, era banaakuumanga obwakabona bwabwe: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
11 Awo Mukama n'agamba Musa nti
12 Nange, laba, nze nziye Abaleevi mu baana ba Isiraeri mu kifo ky'ababereberye abaggulanda mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange:
13 kubanga ababereberye bonna bange; ku lunaku lwe nnattiramu ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nneetukuliza ababereberye bonna mu Isiraeri, abantu era n'ensolo: banaabanga bange; nze ndi Mukama.
14 Awo Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi nti
15 bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri: buli mwana mulenzi eyaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo onoobabala.
16 Musa n'ababala ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga bwe yalagirwa.
17 Era bano be baana ba Leevi ng'amannya gaabwe bwe gali; Gerusoni ne Kokasi ne Merali.
18 Era gano ge mannya g'abaana ba Gerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali; Libuni ne Simeeyi.
19 N'abaana ba Kokasi ng'enda zaabwe bwel zaali; Amulaamu ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.
20 20 N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali; Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'enayumba za bakitaabwe bwe zaali.
21 Mu Gerusoni mwe mwava enda y'Abalibuni, n'enda y'Abasimeeyi: ezo ze nda z'Abagerusoni.
22 Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo baali kasanvu mu bitaano.
23 Enda z'Abagerusoni banaassiisiranga nnyuma w'ennyumba ku luuyi olw'ebugwanjuba.
24 N'omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey',Sbagerusoni anaabanga Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
25 Era abaana ba Gerusoni kye baalagirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu kinaabanga ennyumba n'Eweema, elugibikkako, a'eggigi ery'omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu,
26 n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'omulyango gw'oluggya oluli ku nnyumba era olwetooloola ekyoto, n'emigwa gyalwo olw'pkuweereza kwalwo kwonna.
27 Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, n'enda y'Abaizukaali, n'enda y'Abakebbulooni, n'enda y'Abawuziyeeri: ezo ze nda z'Abakokasi.
28 Ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo baali kanaana mu lukaaga abaakuumanga awatukuvu we baalagirwa.
29 Enda z'abaana ba Kokasi banaasiisiranga ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo.
30 Era omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abakokasi anaabanga Erizafani mutabaani wa Wuziyeeri.
31 Era kye balagirwa kinaabanga sanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa, n'eggigi n'okuweereza kwalyo kwonna.
32 Ne Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa.
33 Mu Merali mwe mwava eada y'Abamakuli, n'enda y'Abamusi: ezo ze nda za Merali.
34 Era abo abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali kakaaga mu bibiri.
35 Era omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe ey'enda za Merali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri: abo banaasiisiranga ku luuyi lw'ennyumba olw'obukiika obwa kkono.
36 N'omulimu ogulagirwa ogw'abaana ba Merali gunaabanga embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna;
37 n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo.
38 N'abo abanaasiisiranga mu maaso g'ennyumba ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba ng'evaayo, banaabanga Musa, ne Alooni ne batabani be, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa, olw'okulagirwa kw'abaana ba Isiraeri; ne munnaggwanga anaasembe ranga anattibwanga.
39 Bonaa abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri.
40 Mukama n'agamba Musa nti Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, otwale omuwendo gw'amannya gaabwe.
41 Era olintwalira nze Abaleevi nze Mukama mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri; n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'embereberye zonna ku bisibo by'abaana ba Isiraeri.
42 Awo Musa n'abala, nga Mukama bwe yamulagira, ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri.
43 N'abasajja bonna ababereberye, ng'omuwendo gw'amannya bwe gwali, abaakamaze omwezi ogumu n'okukirawo, abo abaabalibwa ku bo, baali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsanvu mu basatu.
44 Mukama n'agamba Musa nti
45 Twala Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo byabwe: era Abaleevi banaabanga bange; nze Mu kama.
46 N'olw'okununula ababereberye b'abaana ba Isiraeri bibiri mu nsanvu mu basatu, abafikkawo ku muwendo gw'Abaleevi,
47 onoosoloozanga sekeri ttaano bulimuntu ng'emitwe bwe giri; onoozitwalanga nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri sekeri ze gera abiri:
48 era onoowanga effeeza enunulal omuwendo gwabwe ogufikkawo Alooni ne batabani be.
49 Musa n'abasoloozaako etFeeza enunula abo abafikkawo ku abo abaanunulibwa n'Abaleevi:
50 ababereberye b'abaana ba Isiraeri be yasoloozaako effeeza; sekeri lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ssatu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri:
51 awo Musa n'awa Alooni ne batabani be effeeza enunula, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali nga Mukama bwe yalagira Musa.
   

Chapter 4

[Ddayo waggulu]

1 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Mubale omuwendo gw'abaana ba Kokasi ku baana ba Leevi, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri,
3 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano, bonna abayingira mu kuweereza okwo, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu.
4 Guno gwe mulimu gw'abaana ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu, ogw'ebintu ebitukuvu ennyo:
5 olusiisira bwe lunaasitulanga, Alooni anaayingiranga n'abaana be ne batimbulula eggigi eritimbibwa, ne balibikka ku sanduuko ey'obujulirwa:
6 ne bateeka okwo amaliba g'ensionge okubikkako, ne baaliirira okwo olugoye olwa kaniki lwonna, ne bayingiza emisituliro gyayo.
7 Ne ku mmeeza ey'emigaati egy'okulaga banaayaliirangako olugoye olwa kaniki ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe eby'okufukanga nabyo: n'emigaati egitavangawo ginaabanga okwo:
8 era banaayaliiranga ku byo olugoye olumyufu, ne balusabikako olwo n'amaliba 'g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyayo.
9 Ne baddira olugoye olwa kaniki, ne basabika ku kikondo ky'ettabaaza, n'eby'ettabaaza byakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta, bye bakiweerezesa:
10 ne bakisiba kyo n'ebintu byakyo byonna mu maliba g'eŋŋonge agasabika, ne bakiteeka ku muti.
11 Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa kaniki, ne balusabikako amaliba g'ennonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo:
12 ne baddira ebintu byonna eby'okuweereza, bye baweerezesa mu watukuvu, ne babisiba mu lugoye olwa kaniki, ne babisabikako amaliba g'ennonge agasabika, ne babiteeka ku muti.
13 Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakyaliirako olugoye olw'effulungu:
14 ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye baweerezesa emirimu gyakyo, emmumbiro, n'eby'okukwasa ennyama, n'ebijiiko, n'ebibya, ebintu byonna eby'ekyoto; ne bakyaliirako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo.
15 Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ku watukuvu, n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, olusiisira nga lunaatera okusitula; oluvannyuma batabani ba Kokasi ne balyoka bajja okubisitula: naye tebakomanga ku watukuvu, baleme okufa. Ebyo gwe mugugu gwa batabani ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu.
16 Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona by'anaateresebwa binaabanga mafuta ga ttabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'amafuta ag'okufukako, anaateresebwanga eweema yonna, n'ebigirimu byonna, awatukuvu n'ebintu byawo.
17 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
18 Ekika eky'ennyumba z'Abakokasi temukisalako okukiggya mu Baleevi:
19 naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, ag'abasemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne balagira buli muntu okuweereza kwe n'omugugu gwe:
20 naye tebayingiranga n'akamu kokka kulaba watukuvu, baleme okufa.
21 Mukama n'agamba Musa nti
22 Bala omuwendo gw'abaana ba Gerusoni nabo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri;
23 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano b'oba obala; bonna abayingira okulwana olutalo olwo, okukola omulimu mu weema ey'o kusisinkanirangamu.
24 Kuno kwe kuweereza kw'enda ez'Abagerusoni, mu kuweereza ne mu kusitula emigugu:
25 banaasitulanga amagigi ag'ennyumba, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, ebisabika ku yo, n'amaliba g'erjgonge agagisabikako waggulu, n'eggigi ery'oluggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu;
26 n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'oluggi lwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto eajuyi zonna, n'emigwa gyabyo, a'ebintu byonna eby'okuweereza kwabyo, n'emirimu gyonna gye binaakolanga, ebyo bye banaaweerezanga.
27 Alooni ne batabani be be banaalagiranga okuweereza kwonna okwa batabani ba Gerusoni, mu kusitula kwabwe kwonna ne mu kuweereza kwabwe kwonna: era mmwe munaabagabiranga okusinila kwabwe kwonna okubakukwasa.
28 Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabaai ba Gerusoni mu weema ey'okusisinkanirangamu: n'okulagirwa kwabwe kunaabanga wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
29 Batabani ba Merali, onoobabala ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri;
30 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano b'oba obala, buli ayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu ogw'ewcema ey'okusisinkanirangamu.
31 Era kino kye kiragiro eky'okusitula kwabwe, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli mu weema ey'okusisinkanirangamu; embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
32 n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, n'okuweereza kwazo kwonna: era munaabagabiranga ng'amannya gaabwe bwe gali ebintu bye banaalagirwanga bye banaasitulanga.
33 Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe kwo'nna bwe kuli, mu weema ey'okuI sisinkanirangamu, wansi w'omukono gwa- Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
34 Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala batabani b'Abakokasi, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
35 abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo ,okutuusa emyaka ataano, buli eyalyingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinka'nirangamu:
36 era abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano.
37 Abo be baabalibwa ku nda ez'Abakokasi, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
38 N'abo abaabalibwa ku batabani ba Gerusoni, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
39 abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu,
40 abo abaabalibwa ku I bo, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiii mu lu sanvu mu asatu.
41 Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Gerusoni, bonna abaaweerezanga mu 'weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali.
42 N'abo abaabalibwa ku nda za batabani ba Merali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
43 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu,
44 abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu bibiri.
45 Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Merali Musa ne Alooni be baabalal ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
46 Abo bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
47 abaali baakamaze emyaka asatu a'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli' eyayingira okukolanga omulimu ogw'okuweereza, n'omulimu ogw'okusitula emigugu mu weema ey'okusisinkanirangamu,
48 abo abaabalibwa ku bo baali kanaana mu bitaano mu kinaana.
49 Ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, baabalibwa n'omukono gwa Musa buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, era ng'okusitula kwe bwe kwali: bw'atyo bwe yababala, nga Mukama bwe yalagira Musa.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli atali mulongoofu olw'omufu:
3 abasajja era n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwabwe, lwe ntuulamu wakati
4 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira: nga Mukama bwe yagamba Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo.
5 Mukama n'agamba Musa nti
6 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna abantu kye bakola, okusobya Mukama, omuntu oyo n'abaako omusango;
7 kale banaayatulanga ekibi kye bakoze: era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'assaako n'ekitundu kyabyo eky'okutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
8 Naye omuntu oyo bw'aba nga talina muganda we gwe bayinza okuliyira olw'omusango, ebyo bye baliwa olw'omusango bye baliyira Mukama binaabanga bya kabona; era n'endiga ennume ey'okutangirira, gye banaamutangirizanga.
9 Na buli kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu byonna ebitukuw eby'abaana ba Isiraeri, bye baleetera kabona, kinaabanga kikye.
10 N'ebintu ebya buli muntu ebitukuzibwa, binaabanga bibye: ekintu kyonna omuntu yenna ky'anaawanga kabona, kinaabanga kikye.
11 Mukama n'ayogera ne Musa nti
12 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omukazi w'omuntu yenna bw'anaakyamanga, n'amusobyako,
13 omusajja n'asula naye, ne kikwekebwa amaaso ga bbaawe, ne kikisibwa, ye n'ayonooneka, ne wataba mujulirwa amulumiriza, era nga tebamusisinkanirizza;
14 omwoyo ogw'obuggya ne gumujjira, n'akwatirwa mukazi we obuggya, naye ng'ayonoonese: oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunaamujjiranga, n'akwatirwa mukazi we obuggya, so naye nga tayonoonese:
15 kale omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona, n'amuleetera ekitone kye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri; tafukangako mafuta gonna, so tateekangako mugaw; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, ekijjukiza obutali butuukirivu.
16 Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama:
17 kabona n'addira amazzi amatukuvu mu kintu eky'r bbumba; ne ku nfuufu eri wansi mu weema kabona anaatolangako, n'agiteeka mu mazzi:
18 kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama n'abikkula ku nviiri ez'oku mutwe gw'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'a kujjukiza, kye kiweebwayo eky'obutta eky'obuggya: era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazti agakaawa agaleeta ekikolimo:
19 awo kabona anaamulayizanga, n'agamba omukazi nti Oba up Itewali musajja eyasula naawe, so tokyamanga eri obutali bulongoofu, ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegakubeerako:
20 naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala oba nga yasula naawe atali balo:
21 awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'okukolima, kabona n'agamba omukazi nti Mukama akufuule ekikolimo n'ekirayiro mu bantu bo, Mukama bw'akoozimbyanga ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo;
22 n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo; omukazi n'ayogera nti Amina, Amina.
23 Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa:
24 n’anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo: amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa.
25 Awo kabona anaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omuI kazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akireeta eri ekyoto:
26 kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ek:jjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago.
27 Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, kale olunaatuukanga, bw'anaabanga ayonoonese, era ng'asobezza ku bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingirangamu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be.
28 Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, naye nga mulongoofu; kale taabengako kigambo, n'okuba aliba lubuto.
29 Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi ng'afugibwa bbaawe bw'anaakyamangan'ayonooneka:
30 oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunajjiranga omusajja, n'akwatirwa mukazi we obuggya; awo anaateekanga omukazi mu maaso ga Mukama, ne kabona anaamukoleranga etteeka eryo lyonna:
31 Omusajja n'atabaako butali butuukirivu, n'omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Mukama n'ayogera ne Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omusajja oba omukazi bw'aneey amanga obweyamo ku bubwe yekka, obweyamo obw'omuwonge, okwewonga eri Mukama:
3 aneeyawulanga n'omwenge n'ekitamiiza; tanywanga ku mwenge omukaaruufu, n'ewakubadde ekitamiiza ekikaatuufu, so tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, so talyanga zabbibu mbisi newakubadde enkalu.
4 Ennaku zonna ez'okwewonga kwe talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, newakubadde ensigo newakubadde ebikuta.
5 Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: okutuusa ennaku lwe zinaatuukiriranga, ze yeewongeramu eri Mukama, anaabanga mutukuvu, anaalekanga emivunibo gy'enviiri ez'oku mutwe gwe okukula.
6 Ennaku zonna ze yeewongeramu eri Mukama, tasembereranga mulambo.
7 Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa kitaawe, newakubadde lwa nnyina, newakubadde lwa muganda we, newakubadde lwa mwannyina, bwe banaafanga: kubanga okwewonga kwe eri Katonda kuli ku mutwe gwe.
8 Ennaku zonna ez'okwewonga kwe aba mutukuvu eri Mukama.
9 Era omuntu yenna bw'anaafanga amangu ennyo ng'amuliraanye naye n'ayonoona omutwe ogw'okwewonga kwe; kale anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe ku lunaku olw'omusanvu kw'anaagumweranga.
10 Ne ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
11 awo kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira, kubanga yayonoona olw'abafu, n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo.
12 Era anaawonganga eri Mukama ennaku ez'okwewonga kwe, n'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango: naye ennaku ezisoose zinaabanga zifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.
13 Era lino lye tteeka ery'omuwonge, ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaatuukiriranga: anaaleetebwanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
14 n'awaayo ekitone kye eri Mukama, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ebiweebwayo olw'emirembe,
15 n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwako obuweebwayo, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.
16 Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'a waayo ekyokebwa:
17 n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa: era kabona anaawangayo n'obutta obuweebwayo bwako, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.
18 Era omuwonge anaamweranga omutwe ogw'okwewonga kwe ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ez'oku mutwe ogw'okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
19 Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukuswa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukuswa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe ogw'okwewonga kwe
20 awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa: oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
21 Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekitone kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe, obutassaako ebyo by'ayinza okufiuia: ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.
22 Mukama n'ayogera ne Musa nti
23 Yogera ne Alooni ne batabani be nti Bwe mutyo bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri: munaabagambanga nti
24 Mukama akuwe omukisa, akukuume:
25 Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa:
26 Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe.
27 Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]

1 Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba ennyumba, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;
2 awo abakulu ba Isiraeri, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawaayo; abo be baali abakulu b'ebika, abo be baafuganga abo abaabalibwa:
3 ne baleeta ekitone kyabwe mu maaso ga Mukama, amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri; eggaali erunu lya bakulu kinnababirye era kinoomu ente: ne babyanjula mu maaso g'ennyumba.
4 Mukama n'agamba Musa nti
5 Kitoole gye bali, bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.
6 Musa n'atoola amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi:
7 Amagaali abiri n'ente nnya bye yawa batabani ba Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali:
8 n'amagaali ana n'ente munaana bye yawa batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
9 Naye batabani ba Kokasi teyabawaako: kubanga okuweereza okw'omu watukuvu kwali kwabwe; baakusituliranga ku bibegabega bya bwe.
10 Awo abakulu ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe, kyafukirwako amafuta, abakulu ne bawaayo ekirabo kyabwe mu maaso g'ekyoto.
11 Mukama n'agamba Musa nti Banaawangayo ekitone kyabwe, buli mukulu ku lunaku lwe, olw'okutukuza ekyoto.
12 N'oyo eyawaayo ekitone kye ku lunaku olw'olubereberye yali Nakusoni mutabani wa Aauninadaabu ow'omu kika kya Yuda:
13 n'ekitone kye kyali ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
14 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
15 ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiwee bwayo ekyokebwa;
16 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo oIw'ekibi;
17 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, eadiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu:
18 Ku lunaku olw'okubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo:
19 yawaayo okuba ekitone kye essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
20 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
21 ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwaaa gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
22 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
23 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennu me ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abataanamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
24 Ku lunaku olw'okusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo:
25 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
26 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
27 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
28 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
29 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30 Ku lunaku olw'okuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo:
31 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri lcikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
32 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
33 ente evubuka emu, endiga ennume emu, omwaaa gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
34 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
35 era okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gtunu: ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabaani wa Sedewuli.
36 Ku lunaku olw'okutaano Serujmiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni n'awaayo:
37 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
38 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
39 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
40 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
41 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Senuniyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42 Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo:
43 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri eyomu watukuvu bw'eri; byombi, nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
44 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
45 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
46 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
47 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bacaano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48 Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Amm.ikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo;
49 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuwbw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
50 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi ekijjudde obubaane;
51 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
52 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
53 n'okuba ssaddaaka ey'ebiwee bwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54 Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo:
55 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
56 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
57 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyakebwa;
58 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
59 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli.
60 Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo:
61 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibys kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eti; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
62 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya seketi kkumi, ekijjudde obubaane;
63 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
64 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
65 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaaao, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu; ekyo kye kyali ekitone kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
66 Ku luaaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani, n'awaayo:
67 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuw bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
68 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
69 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
70 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
71 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennttme ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72 Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo:
73 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsavu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
74 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
75 ente evubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
76 embuzi ennume emuokuba ekiweebwayo olw'ekibi;
77 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
78 Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo:
79 ekitone kye kyali ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta;
80 ekijiiko kimu ekya zaabu ekya Isekeri kkumi ekijjudde obubaane;
81 ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga iomulume gumu ogutannamala mwaka gumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
82 embuzi enntune emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
83 n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, lendiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga labalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akira mutabani wa Enani.
84 Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukirwako amafuta mu mikono gy'abakulu ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri ebya zaabu:
85 buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu, na buli kibya sekeri nsanvu: effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri;
86 ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri:
87 ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa kkumi na bibiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu kkumi na babiri, n'obutta bwabyo obuweebwayo: n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri:
88 n'ente zonna okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ente abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu nkaaga. Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta.
89 Awo Musa bwe yayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu okwogera naye, n'alyoka awulira Eddoboozi eryo nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku sanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi: n'ayogera naye.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]

1 Mukama n'ayogera ne Musa nti
2 Yogera ne Alooni omugambe nti Bw'onookoleezanga ettabaaza, ettabaaza omusavu zinaayakiranga mu maaso g'ekikondo.
3 Alooni n'akola bw'atyo; yakoleeza ettabaaza zaakyo okwakiranga mu maaso g'ekikondo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
4 Era guno gwe gwali omulimu ogw'ekikondo, mulimu gwa zaabu mpeese; okutuuka ku ntobo yaakyo, n'okutuuka ku bimuli byakyo, kyali mulimu muweese: ng'ekyokulabirako bwe kyali Mukama kye yalaga Musa, bw'atyo bwe yakola.
5 Mukama n'agamba Musa nti
6 Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obalongoose.
7 Era bw'onoobakola bw'oti okubalongoosa: mansira ku bo amazzi ag'okutangirira, era akamwano bakayise ku mubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beerongoose.
8 Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka ey'okubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
9 Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweeuta ey'okusisinkanirangamu: n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri:
10 n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama: abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi:
11 Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku bw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okukola okuweereza kwa Mukama
12 Abaleevi ne bateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe oweeyo emu okuba ekiweebwayo ,olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, eri Mukama, okutangirira Abaleevi.
13 N'oteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama.
14 Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri: n'Abaleevi banaabanga bange.
15 Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe oaoobalongoosa, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa.
16 Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi mu baana ba Isiraeri; naabeetwalira mu kifo ky'abo bonna abaggula nda, be ,babereberye ku baana ba Isiraeri bonna.
17 Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba nga muntu oba nga nsolo: ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nabeetukuliza.
18 Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
19 Era mpadde Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni n'eri batabani be nga mbaggYa mu baana ba Isiraeri, okukolanga okuweereza kw'abaana ba Isiraeri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga abaana ba Isiraeri: walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, abaana ba Isiraeri nga basembera mu watukuvu.
20 Bw'atyo Musa bwe yakola Abaleevi ne Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa ku Baleevi, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baabakola.
21 Abaleevi ne beerongoosa mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwunbibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abataugirira okubalongoosa.
22 Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza kwabwe mu weema ey'okusisinkaniranganiu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be: nga Mukama bwe yali alagidde Musa ku Baleevi, bwe batyo bwe baabakola.
23 Mukama n'agamba Musa nti
24 Bino bye by'Abaleevi: abaakamaze emyaka abiri mu etaano n'okukirawo banaayingiranga okulwanira olutalo mu mulimu ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu:
25 era bwe banaawezanga emyaka ataano, banaalekeranga awo okulwanira mu mulimu, aga tebakyaweereza;
26 naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa, nga tebaweereza kuweereza kwonna. Bw'otyo bw'onookola Abaleevi mu ebyo bye baateresebwa.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, nti
2 Era abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu atuuko zaakwo ezaalagirwa.
3 Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakukwatiranga mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa: ng'amateeka gaakwo gonna n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli, bwe munaakukwatanga bwe mutyo.
4 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako.
5 Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri.
6 Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu, n'obutayinza ne batayinza kukwatira Kuyitako ku lunaku olwo: ne bajja mu maaso ga Musa ne Alooni ku lunaku olwo:
7 abantu abo ne bamugamba nti Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu: ekituziyiza kiki okuwaayo ekitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?
8 Musa n'abagamba nti Musooke muleke; ndyoke mpulire Mukama ky'anaalagira ku mmwe.
9 Mukama n'agamba Musa nti
10 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omuntu yenna ku mmwe oba ku mirembe gyammwe bw'anaabanga si mulongoofu olw'omulambo, oba bw'anaabanga ali mu lugendo ewala, naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama:
11 mu mwezi ogw'okubiri ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi kwe banaaku kwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukuswa n'enva ezikaawa:
12 tebasigazangako okutuusa enkya, so tebamenyanga ggumba lyakwo: ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri bwe banaakukwatanga bwe batyo.
13 Naye omuntu omulongoofu so atali mu lugendo, n'aleka okukwata Okuyitako, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be: kubanga tawaddeeyo kitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa, omuntu oyo anaabangako ekibi kye.
14 Era omugenyi bw'anaatuulanga mu mmwe, n'ayagala okukwata Okuyitako eri Mukama; ng'etteeka ery'Okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe buli, bw'anaakolanga bw'atyo: munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'eri oyo eyazaalirwa mu nsi.
15 Awo ku lunaku enayumba kwe yasimbirwa ekire ne kibikka ku nnyumba y'eweema ey'obujulirwa: era akawungeezi ne kiba ku nnyumba ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.
16 Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna: ekire kyagibikkangako, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro.
17 Era buli ekire lwe kyaggibwangako ku Weema, awo abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula: ne mu kifo ekire mwe kyabeeranga, awo abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.
18 Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama: ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku nnyumba baatuulanga mu lusiisira.
19 Era ekire bwe kyalwanga ennaku nnyingi ku nnyumba, awo abaana ba Isiraeri ne bakwatanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula.
20 Era oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku nnyumba; awo ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali ne batuulanga mu lusiisira, era ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali baatambulanga.
21 Era oluusi ekire kyabangako okusooka akawungeezi okutuusa enkya; era ekire bwe kyaggibwangako enkya ne batambula: oba bwe kyabangako emisana n'ekiro, ekire bwe kyaggibwangako, ne batambula.
22 Oba nga nnaku bbiri oba nga mwezi oba nga mwaka, ekire bwe kyalwanga ku nnyumba, nga kibeera okwo, abaana ba Isiraeri ne batuulanga mu lusiisira, ne batatambula: naye bwe kyaggibwangako, ne batambulanga.
23 Baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama, era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yakuutira, olw'ekiragiro kya Mukama mu mukono gwa Musa.


Next
Back