1 |
Awo olwatuuka kawumpuli ng'awedde, Mukama n'agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti |
| 2 |
Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri. |
| 3 |
Musa ne Eriyazaali kabona ne babagambira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko nti |
| 4 |
Mubale omuwendo gw'abantu, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo; nga Mukama bwe yalagira Musa n'abaana ba Isiraeri, abaava mu nsi y'e Misiri. |
| 5 |
Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: batabani ba Lewubeeai; okuva ku Kanoki, enda ey'Abakanoki: okuva ku Palu, enda eya Abapalu: |
| 6 |
okuva ku Kezulooni, enda eya Bakezulooni: okuva ku Kalumi, enda eya Bakalumi. |
| 7 |
Ezo ze nda eza Balewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu. 8 Ne batabani ba Palu; Eriyaabu. |
| 8 |
Ne batabani ba Palu; Eriyaabu. |
| 9 |
Ne batabani ba Eriyaabu; Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Abo be Dasani ne Abiraamu abo, abaalondebwa ekibiina, abaawakana ne Musa ne Alooni mu kibiina kya Koola, bwe baawakana ne Mukama: |
| 10 |
ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira wamu ne Koola, ekibiina ekyo bwe kyafa; mu biro ebyo omuliro bwe gwayokya abasajja ebikumi bibiri mu ataano, ne bafuuka kabonero. |
| 11 |
Naye batabani ba Koola tebaafa. |
| 12 |
Batabani ba Simyoai ag'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Nemweri, enda eya Banemweri: okuva ku Yamini, enda eya Bayamini: okuva ku Yakini, enda eya Bayakini: |
| 13 |
okuva ku Zeera, enda eya Bazeera: okuva ku Sawuli, enda eya Basawuli. |
| 14 |
Ezo ze nda eza Basimyoni, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu bibiri. |
| 15 |
Batabani ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Zefoni, enda eya Bazefoni: okuva ku Kagi, enda eya Bakagi: okuva ku Suni, enda eya Basuni: |
| 16 |
okuva ku Ozeni, enda eya Baozeni: okuva ku Eri, enda eya Baeri: |
| 17 |
okuva ku Alodi, enda eya Baalodi: okuva ku Aleri, enda eya Baaleri: |
| 18 |
ezo ze nda eza batibani ba Gaadi ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi buna mu bitaano. |
| 19 |
Batabani ba Yuda, Eri ne Onani: Eri ne Onani ne bafiira mu nsi ya Kanani. |
| 20 |
Ne batabani ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali bano; okuva ku Seera, enda eya Baseera: okuva ku Pereezi, enda eya Bapereezi: okuva ku Zeera, enda eya Bazeera. |
| 21 |
Ne batabani ba Pereezi bano; okuva ku Kezulooni, enda eya Bakezulooni okuva ku Kamuli, enda eya Bakamuli. |
| 22 |
Ezo ze nda za Yuda ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi musanvu mu kakaaga mu bitaano. |
| 23 |
Batabani ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Tola, enda eya Batola: okuva ku Puva, enda eya Bapuva: |
| 24 |
okuva ku Yasubu, enda eya Bayasubu: okuva ku Simuloni, enda eya Basimuloni. |
| 25 |
Ezo ze nda za Isakaali ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu. |
| 26 |
Batabani ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Seredi, enda eya Baseredi: okuva ku Eroni, enda eya Baeroni: okuva ku Yaleeti, enda eya Bayaleeri. |
| 27 |
Ezo ze nda eza Bazebbulooni ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu bitaaao. |
| 28 |
Batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali: Manase ne Efulayimu |
| 29 |
Batabani ba Manase: okuva ku Makiri, enda eya Bamakiri: Makiri n'azaala Gireyaadi: okuva ku Gireyasdi, enda eya Bagireyaadi. |
| 30 |
Bano be batabaru ba Gireyaadi: okuva ku Yezeeri, enda eya Bayezeeri: okuva ku Kereki, enda eya Bakereki: |
| 31 |
n'okuva ku Asuliyeri, enda eya Basuliyeri: n'okuva ku Sekemu, enda eya Basekemu: |
| 32 |
n'okuva ku Semida, enda eya Basemida: n'okuva ku Keferi, enda eya Bakeferi. |
| 33 |
Ne Zerofekadi mutabani wa Keferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala: ne bawala ba Zerofekadi amannya gaabwe Maala ne Toowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza. |
| 34 |
Ezo ze nda za Manase: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi bbiri mu lusanvu. |
| 35 |
Bano be batabani ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Susera, enda eya Basusera: okuva ku Bekeri, enda eya Babekeri: okuva ku Takani, enda eya Batakani. |
| 36 |
Ne bano be batabani ba Susera: okuva ku Erani, enda eya Baerani. |
| 37 |
Ezo ze nda za batabani ba Efulayimu ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali. |
| 38 |
Batabani ba Benyamiai ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Bera, enda eya Babera: okuva ku Asuberi, enda eya Basuberi: okuva ku Akiramu, enda eya Bakiramu: |
| 39 |
okuva ku Sufamu, enda eya Basufamu: okuva ku Kufamu, enda eya Bakufamu. |
| 40 |
Ne batabani ba Bera baali Aluda ne Naamani: oknva ku Aluda, enda eya Baluda: okuva ku Naamaai, enda eya Banaamani. |
| 41 |
Abo be batabani ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga. |
| 42 |
Bano be batabani ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Sukamu, enda eya Basukamu. Ezo ze nda za Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali. |
| 43 |
Enda zonna eza Basukamu, ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, baali obukumi mukaaga mu enkumi nnya mu bina. |
| 44 |
Batabani ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Imuna, enda eya Baimuna: okuva ku Isuvi, enda eya Baisuvi: okuva ku Beriya, enda eya Baberiya. |
| 45 |
Okuva ku batabani ba Beriya: okuva ku Keberi, enda eya Bakeberi: okuva ku Malutciyeeri, enda eya Bamalukiyeeri. |
| 46 |
Ne muwala wa Aseri erinnya lye Seera. |
| 47 |
Ezo ze nda eza batabani ba Aseri ag'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina. |
| 48 |
Batabani ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Yazeeri, enda eya Bayazeeri: okuva ku Guni, enda eya Baguni: |
| 49 |
okuva ku Yezeeri, enda eya Bayezeeri: okuva ku Siremu, enda eya Basiremu. |
| 50 |
Ezo ze nda za Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu bina. |
| 51 |
Abo be baabalibwa ku baaaa iba Isiraeri, obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu. |
| 52 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 53 |
nti Abo be baligabirwa ensi okuba obusika ng'omuwendo gw'amannya bwe guli. |
| 54 |
Abayinga obungi olibawa obusika okusukkiriza, n’abatono olibawa obusika okukendeezaako: buli muntu ng'abo abaabalibwa ku ye bwe baali, bw'aliweebwa bw'atyo obusika bwe. |
| 55 |
Era naye ensi erigabibwa aa bululu: ng'amannya g'ebika bya bakitaabwe bwe gali bwe balisika. |
| 56 |
Ng'obululu bwe buliba obusika bwabwe bwe buligabirwa abo abayinga obungi n'abatono. |
| 57 |
Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Gerusoni, enda eya Bagerusoni: okuva ku Kokasi, enda eya Bakokasi: okuva ku Merali, enda eya Bamerali. |
| 58 |
Zino ze nda za Leevi: enda eya Balibuni, enda eya Bakebbulooni, enda eya Bamakuli, enda eya Bamusi, enda eya Bakoola. Kokasi n'azaala Amulaamu. |
| 59 |
Ne mukazi wa Amulaamu erinnya lye Yokebedi, muwala wa Leevi, eyazaalirwa Leevi mu Misiri: n'azaalira Amulaamu Alooni ne Musa ne Miryamu mwanayinaabwe. |
| 60 |
Alooni n'azaalirwa Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. |
| 61 |
Nadabu ne Abiku ne bafa, bwe baawaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama. |
| 62 |
N'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi bubiri mu enkumi ssatu, buli musajja eyaakamala omwezi ogumu n'okukirawo: kubanga tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri, kubanga tebaaweebwa busika mu baana ba Isiraeri. |
| 63 |
Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko. |
| 64 |
Naye mu abo temwali a'omu ku abo abaabalibwa Musa ne Alooni kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu ddungu lya Sinaayi. |
| 65 |
Kubanga Mukama yali ayogedde ku bo nti Tebalirema kufiira mu ddungu. So tewaasigalawo ku bo n'omu wabula Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuni. |
| |
|