|
| 1 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 2 |
Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani; oluvannyuma olyoke okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo. |
| 3 |
Musa n'agamba abantu nti Muggye mu mmwe abasajja mubawe eby'okulwanyisa olw'entalo, batabaale Midiyaani, okuwoolera eggwanga lya Mukama ku Midiyaaai. |
| 4 |
Munaggya ku buli kika lukumi okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, ne mubatuma okutabaala. |
| 5 |
Awo ne baleeta ku nkumi za Isiraeri, ku buli kika lukumi, kakumi mu enkumi bbiri nga balina ebyokulwanyisa olw'entalo. |
| 6 |
Musa n'abasindika okutabaala, ku buli kika lukumi, bo ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, okutabaala, awamu n'ebintu eby'omu watukuvu n'amakondeere agalawa mu mukono gwe.
|
| 7 |
Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta buli musajja. |
| 8 |
Ne batta bakabaka ba Midiyaani wamu n'abalala abattibwa; Evi ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba, bakabaka ba Midiyaani abataano: ne Balamu mutabani wa Byoli baamutta n'ekitala. |
| 9 |
Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi ba Midiyaaai n'abaana baabwe abato; n'ebisibo byabwe byonna, n'embuzi zaabwe zonna, n'ebintu byabwe byonna ne babitwala okuba omunyago. |
| 10 |
N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne babyokya omuliro. |
| 11 |
Ne batwala omunyago gwonna ne bye baafuna byonna, oba nga bantu oba nga nsolo. |
| 12 |
Ne baleeta omwandu ne bye baafuna n'omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona a'eri ekibiina ky'abaana ba Isiraeri, eri olusiisira olwali mu nsenyi za Mowaabu, eziri ku Yoludaani e Yeriko. |
| 13 |
Awo Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okubasisinkana ebweru w'olusiisira. |
| 14 |
Musa n'asuguwalira abaami b'eggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, abaava mu kuweereza mu lutabaalo. |
| 15 |
Musa n'abagamba nti Abakazi bonna mubawonyezza okufa? |
| 16 |
Laba, bano be baasobesa abaana ba Isiraeri ku Mukama, olw'okuteesa kwa Balamu, mu bigambo bya Peoli, bw'atyo kawumpuli n'aba mu kibiina kya Mukama. |
| 17 |
Kale ano kaakano mutte buli musajja ku baana abato, era mutte buli mukazi eyamanya omusajja ng'asula naye. |
| 18 |
Naye abaana abato ab'obuwala, abatamanyanga musajja nga basula naye, mubeewonyeze obutafa. |
| 19 |
Era musiisire ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: buli eyatta omuntu yenna, era buli eyakoma ku muntu yenna eyattibwa, mwerongoose ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, mmwe n'omwandu gwammwe. |
| 20 |
Na buli kyambalo na buli kintu eky'eddiba, n'omulimu gwonna ogw'ebikuzzi by'embuzi, n'ebintu byonna eby'emiti, muneerongoosa. |
| 21 |
Eriyazaali kabona n'agamba abasajja abatabaazi abaatabaala nti Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama ky'alagidde Musa: |
| 22 |
naye zaabu ne ffeeza, ekikomo, ekyuma, ebbaati, n'erisasi, |
| 23 |
buli kintu ekiyinza omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiba kirongoofu; naye kinaalongoosebwa n'amazzi ag'okwawula: n'ebyo byonna ebitayinza muliro munaabiyisa mu mazzi. |
| 24 |
Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.
|
| 25 |
Mukama n'agamba Musa nti |
| 26 |
Bala omuwendo gw'omunyago ogwanyagibwa, abantu ' era n'ensolo, ggwe ne Eriyazaali kabona n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ekibiina: |
| 27 |
mwawulemu omunyago ebitundu bibiri; eky'abasajja abamanyi entalo abaatabaala, n'eky'ekibiina kyonna: |
| 28 |
omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi: |
| 29 |
omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi: |
| 30 |
Ne ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri onoggyako obumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu, ku nte, ku ndogoyi, ne ku mbuzi, ku nsolo zonna, n'obuwa Abaleevi, abakuuma ennyumba ya Mukama gye baateresebwa. |
| 31 |
Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 32 |
N'eby'okugereka ebyafikkawo ku munyago abasajja abatabaazi gwe baanyaga, byali endiga obusiriivu mukaaga mu obukumi musanvu mu enkumi ttaano, |
| 33 |
n'ente obukumi musanvu mu enkumi bbiri, |
| 34 |
n'endogoyi obukumi mukaaga mu lukumi, |
| 35 |
n'abantu obukumi busatu mu enkumi bbiri okugatta bonna, ku bakazi abatamanyanga musajja nga basula naye. |
| 36 |
abatamanyanga musajja nga basula naye. 36 N'ekitundu ekyali eky'abo abaatabaala, omuwendo gwakyo kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano: |
| 37 |
n'omusolo gwa Mukama ogw'oku ndiga gwali lukaaga mu nsanvu mu ttaano. |
| 38 |
N'ente zaali obukumi busatu mu kakaaga; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nsanvu mu bbiri. |
| 39 |
N'endogoyi zaali obukumi busatu mu bitaano; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nkaaga mu emu. |
| 40 |
N'abantu baali kakumi mu kakaaga; ku abo omusolo gwa Mukama gwali abantu asatu mu babiri. |
| 41 |
Musa n'awa Eriyazaali kabona omusolo, kye kyali ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 42 |
Musa n'aggya ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri, Musa kye yayawula ng'akiggya ku basajja abaatabaala, |
| 43 |
(era ekitundu eky'ekibiina kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano, |
| 44 |
n'ente obukumi busatu mu kakaaga, |
| 45 |
n'endogoyi obukumi busatu mu bitaano, |
| 46 |
n'abantu kakumi mu kakaaga;) |
| 47 |
ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri Musa n'aggya obulamu bumu obnggibwa ku buli ataano, ku bantu era ne ku nsolo, n'abiwa Abaleevi abaakuumanga. ennyumba ya Mukama gye baateresebwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 48 |
N'abaami abaatwala enkumi ez'omu ggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, ne basemberera Musa: |
| 49 |
ne bagamba Musa nti Abaddu bo babaze omuwendo gw'abasajja abatabaazi be tutwala, so tekubuzeeko muntu n'omu ku ffe. |
| 50 |
Era tuleese ekirabo kya Mukama, buli muntu ky'afunye, ebyobuyonjo ebya zaabu, emikuufu egy'oku magulu, n'emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, n'ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama |
| 51 |
Musa ne Eriyazaali kabona ne babaggyako ezaabu, ebyobuyonjo 'byonna ebiweese. |
| 52 |
Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa kye baawaayo eri Mukama; nga bagiggya ku baami b'enkumi ne ku baami b'ebikumi, yali sekeri kakumi mu kakaaga mu lusanvu mu ataano. |
| 53 |
(Kubanga abasajja abatabaazi; baali beenyagidde ebintu, buli mu'ntu ebibye.) |
| 54 |
Musa ne Eriyazaali kabona ne batwala ezaabu ey'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, ne bagireeta mu weema ey'okusisinkanirangamu, okuba nga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama. |
| |
|