Okubikkulirwa  

Essuula 12

1 N'akabonero akanene ne kalabika mu ggulu, omukazi ng'ayambadde enjuba, n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, ne ku mutwe gwe nga kuliko engule ey'emmunyeenye kkumi na bbiri;
2 era ng'ali lubuto: n'akaaba ng'alumwa era ng'abalagalwa okuzaala.
3 Ne walabika akabonero akalala mu ggulu; era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu.
4 N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi: ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we.
5 N'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma: n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.
6 N'omukazi n'adduka n'atuuka mu ddungu, gye yalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamuliisisenga eyo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu nkaaga.
7 Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo;
8 ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu.
9 N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.
10 Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti Kaakano obulokozi buzze n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n'ekiro.
11 Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.
12 Kale musanyuke, eggulu n'abaruulamu. Zisanze ensi n'ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng'alina obusuagu bungi, ng'amanyi ng'alina akaseera katono.
13 Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi.
14 Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, gy'aliisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekituadu ky'ekiseera, mu maaso g'omusota.
15 N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo ennyuma w'omukazi amazzi ng'omugga, gulyoke gttmutwaze omugga.
16 Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n’enywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo.
17 Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n'ab'omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu:
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ensolo ng'eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag'obuvvoozi.
2 N'ensolo gye nnalaba yali efaanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebya ddubu, n'akamwa kaayo ng'akamwa k'empologoma: n'ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi.
3 Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi zonna ne ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya;
4 ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng'ensolo? era ani ayinza okulwana nayo?
5 n'eweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
6 N'eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu:
7 N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga.
8 Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
9 Omuntu yenna bw'aba n'okutu awulire.
10 Omuntu yenna bw'ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw'atta n'ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n'ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu.
11 Ne ndaba ensolo endala ng'eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, n'eyogera ng'ogusota.
12 N'ekoza obuyinza bwonna obw'ensolo ey'olubereberye mu maaso gaayo. N'esinzisa ensi n'abatuulamu ensolo ey'olubereberye, eyawona ekiwundu eky'okufa.
13 N'ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g'abantu.
14 N'erimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g'ensolo; ng'egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'eba nnamu.
15 N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky'ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo.
16 N'ewaliriza bonna, abato n'abakulu, n'abagagga n'abaavu, n'ab'eddembe n'abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe;
17 era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly'ensolo oba omuwendo gw'erinnya lyayo.
18 Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, era wamu naye aka siriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe.
2 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okunene: n'eddoboozi lye nnawulira ng'ery'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe:
3 ne bayimba ng'oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaagulibwa mu nsi.
4 Abo be bateeyonoona eri abakazi; kubanga tebamanyanga mukazi. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'endiga.
5 Era mu kamwa kaabwe temwalabika bulimba: tebaliiko bulema.
6 Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu,
7 ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.
8 Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.
9 Ne malayika omulala ow'okusaru n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe,
10 oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga:
11 n'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo.
12 Awo we wali okugumiikiriza kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu.
13 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw'ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.
14 Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atuddeko eyali afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi.
15 Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikaze.
16 N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa.
17 Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi.
18 Ne malsyika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.
19 Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'akisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.
20 N'essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.
2 Ne ndaba ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda.
3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe.
4 Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa bye eby'obutuukirivu birabise.
5 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu n'ebikkulwa:
6 ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu.
7 Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe.
8 Ne yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu naanyi ge; so tewali muntu eyayiza okuyingira mu yeekaalu, okuuusa ebibonyoobonyo omusanvu bya bamalayika omusanvu lwe yatuukirira.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu yeekaalu, nga ligaiba bamalayika omusanvu nti Muende, mufuke ebibya omusanvu by'obusungu bwa Katonda ku nsi.
2 Ow'olubereberye n'agenda, n'auka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo bbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina nkovu y'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.
3 Ow'okubiri n'afuka ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli mwoyo omuunu ne gufa, n'ebyo ebyali mu nyanja.
4 Ow'okusatu n'afuka ekibya kye ku migga ne mu nsulo z'amazzi, e wabaawo omusaayi.
5 Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo:
6 kubanga baafuka omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa bannabbi, omusaayi ggwe gw'obawadde okunywa: asaanidde.
7 Ne mpulira ekyoto ga kyogera nti Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu yonna, gya mazima era gya nsonga nisango gyo.
8 Ow'okuna n'afuka ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abatu n'omuliro.
9 Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina amaayi ku bibonyoobonyo ebyo; ne ateenenya okumuwa ekitiibwa.
10 Ow'okutaano n'afuka ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo obwakabaka bwayo ne buzikiziava: ne beeruma ennimi zaabwe w'obulumi,
11 ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi vabwe n'olw'amabwa gaabwe, so beenenya mu bikolwa byabwe.
12 Ow'omukaaga n'afuka ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe.
13 Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere:
14 kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna.
15 (Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.)
16 Ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Amagedoni.
17 Ow'omusanvu n'afuka ekibya kye ku bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti Kikoleddwa:
18 ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.
19 N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebituadu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.
20 Na buli kizinga ne kidduka, so n'ensozi tezaalabika.
21 N'omuzira omunene, buli mpeke ng'obuzito obwa ttatanta, ne gukka okuva mu ggulu ku bantu: n'abantu ne bawoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibomyoobonyo kyagwo kinene nnyo.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
1 Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi;
2 bakabaka b'ensi gwe baayenda naye, n'abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.
3 N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyufu, ng'ejjudde amannya ag'obuwoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi.
4 Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey'obwenzi bwe,
5 ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.
6 Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwowuunya kunene.
7 Malapika n'anijamba nti Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
8 Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abatuula ku nsi balyewuunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky'obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate eribaawo.
9 Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z'atuddeko;
10 era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono.
11 N'ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w'osunaana, naye ye w'oku musanvu, era agenda mu kubula.
12 N'amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu.
13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n'obuyinza.
14 Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana Kw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa. N'annamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
15 N'annamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
16 N'amayembe ekkimi ge walabye, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, batimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro.
17 Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa, n'okuteesa awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira.
18 N'omukazi gwe walabye kye kibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b'ensi.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye.
2 N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa.
3 Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe.
4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye:
5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.
6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri.
7 Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono.
8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango.
9 Era bakabaka b'ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw'okwokebwa kwe,
10 nga bayimiridde wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.
11 N'abatunzi ab'omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe;
12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, ne aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi;
13 n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaane, n'omuzigo gw'omugavu, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obutta obulungi, n'eŋŋaano, n'ente n'endiga; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaddu; n'emyoyo gy'abantu.
14 N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate.
15 Abatunzi b'ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw'entiisa y'okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala;
16 nga boogera nti Zikisanze; zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu!
17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambulawonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala,
18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw'okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng'ekibuga ekinene?
19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira.
20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe.
21 Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja ddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti Babulooni, ekibuga eki. nene, bwe kirisuulibwa bwe kirye n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate.
22 Newakubadde eddoboozi ly'abakubi b'ennanga n'abalina ebivuga n'abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w'emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'olubengo teririwulirwa nate mu ggwe
23 newakubadde okutangaala kw'ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi be baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa.
24 Era n'omusaayi gwa bannabbi n'abarukuvu n'ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu; n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe:
2 kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asa.lidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo.
3 Omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Aleruuya. N'omukka gwe gunyooka emirembe n'emirembe.
4 N'abakadde amakumi abiri mu bana n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya.
5 N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.
6 Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga.
7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.
8 N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno byeikolwa eby'obutuukirivu eby'abaukuvu.
9 N'aŋŋamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abakitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Onwana gw'endiga. N'aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby'amazima bya Katonda.
10 Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: Ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okuegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi.
11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.
12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.
13 Era ng'ayaibadde ekyambalo ekyamansirwako musaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda.
14 N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi.
15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'owogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna.
16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.
17 Ne ndaba malayika ng'ayimiide mu njuba; n'ayogerera waggun'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda;
18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab’maanyi, n'ennyama ey'embalaasi n’ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, abato n'abakulu.
19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n'eggye lyabwe nga bakuaanye okulwana n'oyo eyali atudde mbalaasi n'eggye lye.
20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y'ensolo, n'abo abasinza ekifaaranyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti:
21 n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Ne ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'alujegere olunene mu mukono gwe.
2 N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi,
3 n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okurmsa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.
4 Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okutegeeza kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukuuni.
5 Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi Iwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.
6 Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.
7 Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye,
8 era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋ aanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyanja.
9 Ne balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya.
10 N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezeb.vanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.
11 Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; n'ekifo kyabyo tekyalabika.
12 Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawaadiikibwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
13 N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
14 N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro.
15 Era omuntu yenna ataalabika ng'awandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga bigenze: n'ennyanja nga tekyaliwo.
2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.
3 Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe:
4 naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo.
5 N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N'ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.
6 N'aŋŋamba nti Bituukiridde. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu buwa,
7 Awangula alisikira ebyo: nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.
8 Naye a bati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n’abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro n'ekibiriiti; kwe kufa okw'okubiri.
9 Ne wajja omu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w'Omwaaa gw'endiga.
10 N'antwala mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
11 nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, ng'ejjinja yasepi, eritangalijja:
12 nga kirina bbugwe omunene omuwanvu: nga kirina emiryango kkumi n'ebiri, ne ku miryango bamalayika kkumi na babiri; n'amannya agawandiikiddwako, ge g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri:
13 ebuvanjuba emiryango esatu; era obukiika obwa kkono emiryango esatu; era obukiika obwa ddyo emiryango esatu; era ebugwanjuba emiryango esatu.
14 Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri, ne kubaako amannya kkumi n'abiri ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga.
15 Naye eyayogera nange yalina ekigera olumuli olwa zaabu okugera ekibuga, n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.
16 N'ekibuga kyenkanyankanyizibwa enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo buli ng'obugazi, n'agera ekibuga n'olumuli, amabanga kakumi mu enkumi bbiri: obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo bwenkanankana.
17 N'agera bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mu ena, ekigera ky'omuntu, kye kya malayika.
18 N'okuzimbibwa kwa bbugwe waakyo kwa yasepi: n'ekibuga kya zaabu ennungi, ng'endabirwamu ennungi.
19 Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogw'olubereberye yasepi; ogw'okubiri safiro; ogw'okusatu kalukedoni; ogw'okuna lya nnawandagala;
20 ogw'okutaano sadonukisi; ogw'omukaaga sadiyo; ogw'omusanvu kerusoliso; ogw'omunaana berulo; ogw'omwenda topazi; ogw'ekkumi kerusoperaso; ogw'ekkumi n'ogumu kuwakinso; ogw'ekkumi n'ebiri amesusito.
21 N'emiryango ekkuni n'ebiri luulu kkumi na bbiri, buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu: n'oluguudo olw'ekibuga zaabu ennungi, ng'endabirwamu etangalijja,
22 So ssaalabamu yeekaalu mu kyo: kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye yeekaalu yaakyo.
23 So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n'ettabaaza yaakyo ye Mwana gw'endiga.
24 N'amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.
25 N'emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono emisana (kubanga eyo ekiro tekiibengayo);
26 era balireeta ekitiibwa n'ettendo ery'amawanga mu kyo:
27 so temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky'omuzizo n'obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'endiga.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Yandaga omugga ogw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga,
2 wakati w'oluguudo lwakyo. Era eruuyi n'eruuyi ew'omugga omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala ekkumi n'ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n'amalagala g'omuti ga kuwonya amawanga.
3 So teribaayo nate kikolimo: n'entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo: n'abaddu be banaamuweerezanga,
4 era banaamulabanga amaaso ge; era erinnya lye linaabanga mu byenyi byabwe.
5 So teebenga kiro nate; so tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n'omusana gw'enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabawanga omusana: era banaafuganga emirem be n'emirembe.
6 N'aŋŋamba nti Ebigambo bino bya bwesige era bya nazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi yatuma malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu.
7 Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino.
8 Nange Yokaana nze anawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g'ebigere bya malayika andaga bino.
9 N'aŋŋamba nti Laba tokola bw'etyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo bannabbi, n'abo abakwata ebigambo eby'ekitabo kino: sinza Katonda.
10 N'aŋŋamba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi.
11 Ayonoona abeere ng'akyayonoona: era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abeere ng'akyakola obutuukirivu: era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.
12 Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.
13 Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero.
14 Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu, era balyoke bayingire mu lubuga nga bayita mu miryango.
15 Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, na buli ayagala n'akola obulimba.
16 Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Nze ndi kikolo era omuzukkulu wa Dawudi, emmunyeenye eyaka ey'enkya.
17 Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
18 Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino:
19 era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
20 Ategeeza bino ayogera nti Weewaawo: njija mangu. Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu.
21 Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu Amiina.
   

Next
Back