| 1 |
Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi. |
| 2 |
Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi. |
| 3 |
Katonda n'ayogera nti, Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu. |
| 4 |
Katonda n'alaba nga kirungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikizza. |
| 5 |
Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu. |
| 6 |
Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi. |
| 7 |
Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali
waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali. |
| 8 |
Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri. |
| 9 |
Katonda n'ayogera nti, Amazzi agali wansi w'ggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali. |
| 10 |
Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga kirungi. |
| 11 |
Katonda n'ayogera nti, ensi emere ebimeera, omuddo ogubala ensigo, omuti gw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali. |
| 12 |
Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mungeri yaagwo: Katonda n'akiraba nga kirungi. |
| 13 |
Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu. |
| 14 |
Katonda n'ayogera nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu; byawulenga emisana n'ekiro, bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka: |
| 15 |
Bibenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu bakenga ku nsi: bwe kityo be kyali. |
| 16 |
Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro: era n'emmunyeenye. |
| 17 |
Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, |
| 18 |
bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga obutangaavu n'elizikiza: Katonda n'akiraba nga kirungi. |
| 19 |
Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okuna. |
| 20 |
Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu. |
| 21 |
Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo,
na buli ekibuuka ekirina ebyona mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi. |
| 22 |
Katonda n'abiwa omukisa n'ayongera nti, Mweyongere mwale, mujjuze
amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi. |
| 23 |
Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano. |
| 24 |
Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali. |
| 25 |
Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaazo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi. |
| 26 |
Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu,
n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi. |
| 27 |
Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera;
omusajja n'omukazi bwe yabaonda. |
| 28 |
Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abangamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye:
mufugenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu,
nabuli ekirina obulamu ekitambula ku nsi. |
| 29 |
Katonda n'ayogera nti, Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu, ekibala ky'omuti ogubala ensigo eri mmwe;
gunaabanga mmere. |
| 30 |
n'eri buli enolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu mukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi
okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali. |
| 31 |
Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, nga kirungi. Ne buba akawungeezi ne buba, enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga. |