| |
|
|
| 1 |
Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba ennyuma w'olugoye lw'ogabisseeko: Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalaaudde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi. |
| 2 |
Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu. |
| 3 |
Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu, N'akamwa ko kalungi: Ekyenyi kyo kiri ng'ekitundu ky'ekkomamawanga Ennyuma w'olugoye lw'obisse ku maaso. |
| 4 |
Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu ebyokulwanyisa, Omuwanikibwa engabo olukumi, Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi. |
| 5 |
Amabeere. go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga. |
| 6 |
Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Neegendera eri olusozi oiwa mooli. N'eri akosozi ak'omugavu. |
| 7 |
Oli mulungi wenna, gwe ajagala; So ku ggwe tekuli bbala. |
| 8 |
Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange, Ffembi okuva ku Lebanooni: Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana, Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni, Ng'oyima awali empuku ey'empologoma, Ku nsozi ez'engo. |
| 9 |
Osanyusizza omutima gwange mwannyinaze, mugole wange Osanyusizza omutima gwange n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omi bulago bwo. |
| 10 |
Okwagala kwo nga kulungi mwannyinaze, mugole wange Okwagala kwo nga kusinga nny omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi! |
| 11 |
Emimwa gyo, ai mugole wange, gitonnya ag'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'okuwunya kw'ebyambalo byo kuli ng'okuwunya kwa Lebanooni. |
| 12 |
Mwannyinaze, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa; Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero. |
| 13 |
Ebimera byo lusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emiti egy'omugavu: |
| 14 |
Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi. |
| 15 |
Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi. |
| 16 |
Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva obukiika obwa kkono; nammwe mujje, ez’obukika obwa ddyo: Mukuntire ku nnimiro ynge, eby’akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi. |
| |
|