Omubuulizi  

Essuula 1

1 Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
2 Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu.
3 Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba?
4 Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala gijja; ensi n'ebeerera awo ennaku zonna.
5 Era n'enjuba evaayo, eiijuba n'egwa, n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva.
6 Empewo egenda eri obukiilca obwa ddyo, n'ekyukira obukiika obwa kkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo.
7 Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate.
8 Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.
9 Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.
10 Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka.
11 Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvaanyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
12 Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi.
13 Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya o1w'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'a bantu okubaluma.
14 Nalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15 Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa: n'ekyo ekitatuuka tekibalika.
16 Nateesa n'omutima gwange nze ngz njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n'okumanya.
17 Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru: nalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.
18 Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi: n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Nayogera mu mutima gwange nti Kale nno, naakukema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu: era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu.
2 Nayogera ku nseko nti Ziraluse: ne ku binyumu nti Bikola ki?
3 Nanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, era bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.
4 Neekolera emirimu eminene, neezimbira ennyumba; neesimbira ensuku ez'emizabbibu;
5 neekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna:
6 neekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna:
7 nagula abaddu n'abazaana, ne nzaalirwa abaddu mu nnyumba yange: era nalina obugagga bungi obw'ente n'embuzi, okukira abo bonna abansooka mu Yerusaalemi:
8 era neekumaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza: neefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, abazaana bangi nnyo.
9 Kale ne mba mukulu, ne nneeyongera okusinga bonna abansooka mu Yerusaalemi: era amagezi gange ne gabeera nange.
10 Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga saakigamma: saaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna.
11 Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola: era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.
12 Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru: kubanga omuntu ayinza ki addirira kabaka? Ayinza ekyo ekyakolebwa edda.
13 Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi ng'omusana bwe gusinga ekizikiza.
14 Omugezigezi amaaso ge gaba mu mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza: era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu kibatuukako.
15 Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Ekituuka ku musirusiru era kye kirituuka ku nze nange; kale musinga mu ki amagezi? Kale ne njogera mu mutima gwange nga n'ekyo butaliimu.
16 Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru tajjukirwa mirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru!
17 Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama: kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
18 Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba: kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra.
19 Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru, naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, ere kwe nnayolesezaamu amagezi wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu.
20 Kyennava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba.
21 Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo buta liimu na kabi kanene.
22 Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonna n'olw'okufuba kw'omutima gwe kw'ategaaa wansi w'e'njuba?
23 Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu.
24 Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe. Era n'ekyo nakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda.
25 Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze?
26 Kubanga omuntu amusanyusa Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu: naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w'eggulu kiriko ekiseera kyakyo:
2 ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu, n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa;
3 ekiseera eky'okuttiramu, n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okwabizaamu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu;
4 ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okuwuubaaliramu, n'ekiseera eky'okuziniramu;
5 ekiseera eky'okusuuliramu amayinja, n'ekiseera eky'okukugnaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba;
6 ekiseera eky'okunoonyezaamu, n'ekiseera eky'okubulirwamu; ekiseera eky'okukuumiramu, n'ekiseera eky'okusuuliramu;
7 ekiseera eky'okuyulizaamu, n'eluseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu;
8 ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'o kutabaganiramu.
9 Magoba ki gaafuna oyo akola emirimu mu ekyo mw'ateganira?
10 Nalaba okutegana Katonda kwe yawa abaana b'abantu okubateganya.
11 Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero.
12 Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n'okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu.
13 Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.
14 Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako: era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge.
15 Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo.
16 Era nate nalaba wansi w'enjuba mu kifo eky'okusaliramu emisango ng'obubi bwali eyo; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo.
17 Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'omubi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna.
18 Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo.
19 Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukako; ng'eyo bw'efa, n'oyo bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo: kubanga byonna butaliimu.
20 Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.
21 Ani amanyi omwoyo gw'abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n'omwoyo gw'ensolo oba gukka wansi mu ttaka?
22 Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe?
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Awo ne nzirayo ne ndaba okujooga kwonna kwe bajooga wansi w'enjuba: era, laba, amaziga g'abo abajoogebwa, so nga tebalina abasanyusa; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoozi baabwe, naye no nga tebalina abasanyusa.
2 Kyennava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba;
3 weewaawo, ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w'enjuba.
4 Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
5 Omusirusiru afunya emikono gye, n'alya omubiri gwe ye.
6 Olubatu lumu wamu n'okutereera lusinga embatu bbiri wamu n'okutegana n'okugoberera empewo.
7 Awo ne nzirayo ne ndaba obutaliimu wansi w'enjuba.
8 Wabaawo ali omu, nga talina wa kubiri; weewaawo, talina mwana newakubadde ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonna tekuliiko we kukoma, so n'amaaso ge tegakkuta bugagga. Kale nteganira ani, bw'ayogera, ne nnyima emmeeme yange ebirungi? Era n'ekyo butaliimu, weewaawo, kweraliikirira kungi.
9 Babiri basinga omu; kubanga baba n'empeera ennungi olw'okutegana kwabwe.
10 Kubanga bwe bagwa omu ali yimusa munne: naye zimusanze oyo ali yekka bw'agwa, so nga talina munne amuyimusa.
11 Nate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omu ayinza atya okubuguma bw'aba yekka?
12 Era omuntu bw'asinga oyo ali yekka, ababiri be balimusobola; n'omugwa ogw'emiyondo esatu tegutera kukutuka.
13 Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukadde omusirusiru atakyamanyi kubuulirirwa.
14 Kubanga mu kkomera mwe yava okuba kabaka; weewaawo, ne mu bwakabaka bwe yazaalibwa nga mwavu.
15 Nalaba abalamu bonna abatambulira wansi w'enjuba, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayimirira mu kifo kye.
16 Abantu bonna tebaaliko gye bakoma, abo bonna be yakulira: naye abo abalibaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era ri ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Okuumanga ekigere kyo bw'ogendanga mu nnyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo ssaddaaka ey'abasirusiru: kubanga tebamanyi nga bakola bubi.
2 Akamwako tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyenna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi: kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
3 Kubanga ekirooto kijjira wamu n'olufulube lw'emirimu; n'eddoboozi ly'omusirusiru lijjira wamu n'olufulube lw'ebigambo.
4 Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama.
5 Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula.
6 Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n'olema okusasula.
7 Kubanba bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi: naye ggwe otyanga Katonda.
8 Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga balya ensonga olw'amaanyi ne banyoola omusango mu ssaza, teweewuunyanga kigambo ekyo: kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu.
9 Nate ekyengera eky'ettaka kiba kya bonna: kabaka yennyini ennimiro emuweereza.
10 Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n'oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n'ekyo butaliimu.
11 Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera: kale magoba ki nannyini byo g'afuna, wabula okubiraba obulabi n'amaaso ge?
12 Otulo otw'omukozi w'emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw'omugagga tegumuganya kwebaka.
13 Waliwo ekibi ekinene kye nnalaba wansi w'eggulu, kye kino, obugagga nnyini bwo bw'akuuma ne yeerumya yekka:
14 obugagga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibi ebiggwaawo; era bw'aba ng'azadde omwana, nga temuli kintu mu mukono gwe.
15 Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe.
16 Era n'ekyo kibi kinene, ng'aligenda ng'ali bw'atyo mu bigambo byonna era; nga bwe yajja: era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira mpewo?
17 Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era yeeraliikitira tmyo, era abaako endwadde n'obusungu.
18 Laba, ekyo kye nnalaba nga kye kiwooma kye kisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa: kubanga ogwo gwe mugabo gwe.
19 Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde obuyinza okulyangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda.
20 Kubanga talijjukira nnyo ennaku ez'obulamu bwe; kubanga Katonda amuddamu olw'okusanyuka kw'omutima gwe.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu:
2 omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi.
3 Omuntu bw'azaala abaana kikumi, n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate: n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo:
4 kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza;
5 nate talabanga njuba so tagimanyanga; ono ye aba n'okuwummula okusinga oyo:
6 weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi: bonna tebadde mu kifo kimu?
7 Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kwe kamwa ke, era naye okwegomba tekukkuta.
8 Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu?
9 Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba: era n’ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
10 Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu so tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi.
11 Kubanga waliwo ebintu bingi ebyongera ku butaliimu, omuntu yeeyongera ki okugasa?
12 Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? kubanga ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabnga oluvannyuma lwe wansi w'enjuba?
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.
2 Okugenda mu, nnYumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.
3 Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busannyusa omutima.
4 Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu.
5 Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.
6 Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu
7 Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.
8 Enkomerero y'elugambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugriza asinga alina omwoyo ogw'amalala.
9 Toyangayirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.
10 Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi.
11 Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba.
12 Kubanga amagezi kigo, nb'a ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga annagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
13 Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola?
14 Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna e.kiriba oluvannyuma lwe.
15 Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe.
16 Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza?
17 Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: Iwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka?
18 Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna.
19 Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga.
20 Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona.
21 Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira:
22 kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw'otyo wakolimira abalala.
23 Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala.
24 Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera?
25 Nakyuka, omutima gwa nge ne ngukakasa okumanyanga n'okuketmeenyanga, n'okunoonya nga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busiru siru, era ng'obusirusiru ddalu:
26 era ndaba ekigambo ekising okufa okubalagala, ye mukazi, omu tima gwe byambika n'ebitimba; n'e mikono gye giri ng'enjegese: bu asanyusa Katonda alimuwona; nayalina ebibi alikwatibwa ye.
26 emmeeme yange ky'ekyanoonya; naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga.
27 Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.
28 Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Ani ali ng'omugezigezi? era ani amanyi ekigambo bwe kitegeezebwa? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.
2 Nkuweerera ebigambo, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda:
3 Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi: kubanga akola buli ky'ayagala.
4 Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti Okola ki?
5 Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'Omuntu omugezigezi gwawula ekiseera n'okuteesa:
6 kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo:
7 kubanga tamanyi ekiribaawo: kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?
8 Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa: so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera.
9 Ebyo byonna nabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.
10 Era nate nalaba ababi nga babaziika, ne bajja eri entaana; n'abo abaakolanga eby'ensonga ne bagenda nga bava mu kifo ekitukuvu, ne beerabirwa mu kibuga: era n'ekyo butaliimu.
11 Kubanga omusango ogusatirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.
12 Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kkumi n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu masso ge:
13 naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nayingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso ga Katonda.
14 Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'ababi; naye waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋanga omtilimu ogw'abatuukirivu: ne njogera nga n'ekyo butaliimu.
15 Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga: kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.
16 Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi: (kubanga waliwo era atafuna tulo mu maaso ge emisana n'ekiro:)
17 awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda; omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumaaya, nate taliyinza kugulaba.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Kubanga ebyo byonna nabiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda: oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi: byonna biri mu mberi yaabwe.
2 Byonna byenkana okujjira bonna: waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri omuIongoofu n'eri atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka: ng'omulungi bw'ali, alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo arya ekirayiro.
3 Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna: weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu.
4 Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu bonna waliwo essuubi: kubanga embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.
5 Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijiukizo kyabwe kyerabirwa.
6 Okwagala kwabwe kwenkana n'okukyawa n'obuggya bwabwe okuzikirira kaakano: so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.
7 Weegenderenga, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo a'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo.
8 Ebyambalo byo bitukulenga enaaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta.
9 Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu: kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba.
10 Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda.
11 Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba ng'ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu: abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bttgwizi ebiseera n'ebigambo.
12 Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye: ng'ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.
13 Era nalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo; ne gafaanana mangi gye ndi:
14 waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako amakomera amanene:
15 awo ne walabika omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu.
16 Kale ne njogera nti Amagezi gasinga amaanyi obulungi: era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.
17 Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru.
18 Amagezi gasinga ebyokulwanyisa: naye omu alina ebibi azikiriza ebirungi bingi.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa: bwe kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
2 Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono.
3 Era, weewaawo, omusirusiru bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwaako, n'agamba buli muntu nga musirusiru.
4 Omwoyo gw'omukulu bwe gukugolokokerako, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kukkakkanya okunyiiga okungi.
5 Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, ekiri ng'okusobya oknva eri omukulu:
6 obusirusiru aga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, atagagga ne batuula mu kifo ekya wansi
7 Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka.
8 Asima obunnya aiibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma.
9 Buli asimula amayinja galimuluma; n'oyo ayasa enku zimuleetera akabi.
10 Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omamwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okussaako amaanyi: naye amagezi gagasa okuluŋŋamya.
11 Omusota bwe guluma nga tegunnalogebwa, kale omulogo taliiko ky'agasa.
12 Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimira ye yennyini.
13 Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru: n'enkamerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi.
14 Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamanyi ebiribaawo; n'ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okumubuulira?
15 Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
16 Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, abakulu bo ne balya enkya!
17 Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo baliira, mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
18 Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya.
19 Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna.
20 Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula: kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Suulanga emmere yo ku mazzi: kubanga oligiraba ennaku nayingi nga ziyiseewo.
2 Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi.
3 Ebire bwe bijjula enkuba, ne biyiika ku nsi: n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiika obwa ddyo oba obwa kkono, mu kifo omuti mwe gugwa we gulibeera.
4 Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula.
5 Nga bw’otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.
6 Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizamba mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.
7 Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba.
8 Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.
9 Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.
10 Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo: kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obvvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti Sigisaayukira n'akamu;
2 enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne hikomawo enkuba ng'emaze okutonnya.
3 ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa,
4 enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkaaye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'enayony, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa;
5 weewaawo, balitya ekyo ekigvlumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi guhmulisa, n’ejjaazi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo:
6 omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;
7 enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.
8 Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.
9 Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.
10 Omubuulzi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima.
11 Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.
12 Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri.
13 Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.
14 Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.
   

Next
Back